Print Page Options Listen to Reading
Previous Prev Day Next DayNext

The Daily Audio Bible

This reading plan is provided by Brian Hardin from Daily Audio Bible.
Duration: 731 days

Today's audio is from the CSB. Switch to the CSB to read along with the audio.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Danyeri 5

Ekiwandiiko ku Kisenge

(A)Kabaka Berusazza n’agabula embaga nnene eri abakungu be lukumi, ne banywa omwenge naye. (B)Awo Berusazza, yali ng’anywa omwenge, n’atumya ebikompe ebya zaabu n’ebya ffeeza, Nebukadduneeza kitaawe bye yaggya mu yeekaalu mu Yerusaalemi, ye n’abakungu be, n’abakyala be n’abazaana be babinyweremu. Era ne baleeta ebikompe ebya zaabu n’ebya ffeeza ebyaggyibwa mu yeekaalu ya Katonda mu Yerusaalemi, kabaka n’abakungu be, n’abakyala be n’abazaana be ne babinyweramu. (C)Ne banywa omwenge ne batandika okutendereza bakatonda aba zaabu n’aba ffeeza, n’ab’ebikomo, n’ab’ekyuma, n’ab’emiti n’ab’amayinja.

Mu kiseera ekyo ne walabika engalo z’omukono gw’omuntu ne ziwandiika ku kisenge okuliraana ettaala mu lubiri lwa kabaka; kabaka n’alaba ekibatu ky’omukono nga kiwandiika. (D)Entunula ye n’ekyuka, n’atya nnyo, n’amaviivi ge ne gakubagana n’amagulu ge ne galemererwa okumuwanirira.

(E)Kabaka n’alagira mu ddoboozi ery’omwanguka baleete abafumu, n’Abakaludaaya, n’abalaguzi. Kabaka n’agamba abasajja abagezigezi abo ab’e Babulooni nti, “Omuntu yenna anaasoma ekiwandiiko ekyo, n’antegeeza amakulu gaakyo, alyambazibwa engoye ez’effulungu era alyambazibwa omukuufu ogwa zaabu mu bulago, era aliba mukulu owa waggulu ow’ekifo ekyokusatu mu bwakabaka.”

(F)Awo abasajja ba kabaka abagezigezi bonna ne bajja, naye ne balemwa okusoma ekiwandiiko ekyo newaakubadde okutegeeza kabaka amakulu gaakyo. (G)Kabaka Berusazza ne yeeyongera nnyo okweraliikirira, n’entunula ye ne yeeyongera okukyuka; n’abakungu be amagezi ne gababula.

10 (H)Awo muka kabaka bwe yawulira ebigambo ebyatuuka ku kabaka n’abakungu be, n’agenda mu kisenge ekinene embaga mwe yali n’ayogera nti, “Ayi kabaka, owangaale! Leka kweraliikirira, so tokeŋŋentererwa. 11 (I)Waliwo omusajja mu bwakabaka bwo alimu omwoyo gwa bakatonda abatukuvu. Mu mirembe gya kitaawo yasangibwa okuba n’okutegeera, n’amagezi, ng’aga bakatonda, era Kabaka Nebukadduneeza kitaawo, n’amufuula omukulu w’abasawo, n’abafumu, n’Abakaludaaya, n’abalaguzi. 12 (J)Omusajja oyo Danyeri, kabaka gwe yatuuma Berutesazza, yasangibwa ng’alina omwoyo ogw’okutegeera, n’okumanya, n’okulootolola ebirooto, n’okubikkula ebigambo eby’ekyama, n’okutta ebibuuzo ebizibu ennyo. Kale Danyeri ayitibwe, anaakutegeeza amakulu g’ekiwandiiko.”

13 (K)Awo Danyeri n’aleetebwa mu maaso ga kabaka, kabaka n’amubuuza nti, “Ggwe Danyeri, omu ku abo abaaleetebwa kabaka kitange mu buwaŋŋanguse okuva mu Yuda? 14 Bantegeezezza ng’omwoyo wa bakatonda abatukuvu ali mu ggwe, era olaba ebitalabibwa bantu abaabulijjo, otegeera era oli w’amagezi amasukkirivu. 15 Abasajja abagezigezi, n’abafumu baaleeteddwa mu maaso gange basome ekiwandiiko ekyo era bantegeeze n’amakulu gaakyo, naye balemeddwa okukinnyonnyola. 16 Naye ntegeezeddwa, ng’oyinza okunnyonnyola amakulu g’ebigambo ebizibu. Kaakano bw’ononsomera ekiwandiiko ekyo, era n’ontegeeza n’amakulu gaakyo, onooyambazibwa engoye ez’effulungu n’omukuufu ogwa zaabu mu bulago, era oliba mukulu owookusatu mu bwakabaka.”

17 (L)Awo Danyeri n’addamu kabaka nti, “Ebirabo byo byeterekere, n’empeera yo ogiwe omuntu omulala. Naye nzija kukusomera ekiwandiiko era nkutegeeze n’amakulu gaakyo.

18 (M)“Katonda Ali Waggulu Ennyo yawa Nebukadduneeza kitaawo obwakabaka, n’obuyinza, n’ekitiibwa n’obukulu, ayi kabaka; 19 (N)era olw’obuyinza bwe yamuwa, abantu bonna n’amawanga gonna n’abantu ab’ennimi zonna baamutyanga era ne bakankana mu maaso ge. Abo kabaka be yayagalanga battibwe, battibwanga; n’abo be yasonyiwanga, baasonyiyibwanga; n’abo be yayagalanga okugulumiza bagulumizibwanga, n’abo be yayagalanga okutoowaza, baatoowazibwanga. 20 (O)Naye omutima gwe bwe gwegulumiza ne gukakanyala olw’amalala ge, yaggyibwa ku ntebe ye ey’obwakabaka, n’ekitiibwa kye ne kimuggyibwako. 21 (P)N’agobebwa mu bantu, n’ebirowoozo bye ne biwaanyisibwa n’aba ng’ensolo ey’omu nsiko, n’abeera wamu n’endogoyi ez’omu nsiko, n’alya omuddo ng’ente, n’omubiri gwe ne gutoba omusulo ogw’eggulu, okutuusa lwe yategeera nga Katonda Ali Waggulu Ennyo, y’afuga obwakabaka bw’abantu, era y’ateekawo buli gw’asiima.

22 (Q)“Naye ggwe mutabani we, Berusazza, teweetoowazizza mu mutima newaakubadde ng’ebyo byonna wabimanya. 23 (R)Weegulumizizza eri Mukama w’eggulu; ebikompe ebyaggyibwa mu yeekaalu ye, obitumizzaayo; era ggwe, n’abakungu bo, n’abakyala bo, n’abazaana bo mubinywereddemu omwenge, n’oluvannyuma ne mutandika okutendereza bakatonda aba ffeeza, n’aba zaabu, n’ab’ebikomo, n’ab’ebyuma, n’ab’emiti, n’ab’amayinja abatayinza kulaba newaakubadde okuwulira newaakubadde okutegeera. Naye Katonda oyo alina omukka gwo mu ngalo ze, era amanyi engeri zo zonna, tomugulumizizza. 24 Kale kyeyavudde akusindikira omukono ogwawandiise ebigambo ebyo.

25 “Era ebigambo ebyawandiikiddwa bye bino nti:

Mene, Mene, Tekel, Ufarsin.

26 (S)“N’amakulu gaabyo ge gano:

Mene:[a] Katonda akendezezza ennaku z’obwakabaka bwo era abukomezza.

27 (T)Tekel:[b] Opimiddwa ku minzaani, era osangiddwa ng’obulako;

28 (U)Peres:[c] Obwakabaka bwo bugabanyiziddwamu, era buweereddwa Abameedi n’Abaperusi.”

29 Awo amangwago Berusazza n’alagira Danyeri ayambazibwe engoye ez’effulungu, era bamwambaze omukuufu ogwa zaabu, era n’ekiragiro ne kiyita nga bw’ali omukulembeze owookusatu mu bwakabaka.

30 (V)Ekiro ekyo Berusazza kabaka w’Abakaludaaya n’attibwa. 31 (W)Daliyo Omumeedi n’alya obwakabaka nga wa myaka nkaaga mu ebiri.

2 Peetero 2

Abayigiriza ab’Obulimba

(A)Naye waaliwo ne bannabbi ab’obulimba mu bantu, era nga bwe walibaawo abayigiriza ab’obulimba mu mmwe. Baliyingiza mu nkiso enjigiriza enkyamu etwala abantu mu kuzikirira. Balyegaana ne Mukama waffe, ne beereetako okuzikirira okw’amangu. Abantu bangi baligoberera empisa zaabwe ez’obukaba ne bavumaganyisa ekkubo ery’amazima; (B)balibafunamu amagoba mangi nga bakozesa ebigambo eby’obulimba olw’omululu gwabwe. Abo Katonda yabasalira dda omusango era n’okuzikirizibwa kwabwe tekubuusibwabuusibwa.

(C)Katonda teyasaasira bamalayika abaayonoona, wabula yabasuula mu lukonko oluwanvu olujjudde ekizikiza, gye bali, nga basibiddwa mu njegere nga balindirira olunaku olw’okusalirwako omusango. (D)N’ensi ey’edda teyagisaasira, n’aleeta amataba ku nsi okuzikiriza abo abataamutya, n’alokolako Nuuwa eyabuulira obutuukirivu wamu n’abalala musanvu. (E)Era yasalira omusango abaali mu bibuga by’e Sodomu n’e Ggomola bwe yabazikiriza, ne bisirikka mu muliro, bw’atyo n’alaga ebyo ebigenda okutuuka ku buli atatya Katonda. (F)Kyokka n’awonya Lutti, omutuukirivu, eyalumwanga ennyo olw’obulamu obw’abantu abo abajeemu. Olw’okubanga yababeerangamu, buli lunaku, yalabanga era n’awuliranga ebikolwa eby’obujeemu bye baakolanga, ekyo ne kimuleetera okunyolwa mu mwoyo gwe omutuukirivu. (G)Mukama amanyi okuwonya n’okuggya mu kugezesebwa abamutya, n’abonereza abatali bakkiriza okutuusa ku lunaku olw’okusalirako omusango, 10 (H)n’okusingira ddala abo abagoberera okwegomba kwabwe okw’omubiri ne banyooma abakulembeze baabwe.

Tebaliiko kye batya, beerowoozaako bokka, era tebakwatibwa na nsonyi kuvuma baakitiibwa. 11 (I)Kyokka bo bamalayika newaakubadde be basinga abayigiriza abo amaanyi n’obuyinza, bwe batwala ensonga ezo eri Mukama waffe tebakozesa lulimi luvuma. 12 (J)Abantu bali bavuma ne bye batategeera, bali ng’ensolo obusolo ezitaliimu magezi ezikwatibwa okuttibwa ne zizikirizibwa; era nabo okufaanana ng’ensolo ezo, bagenda kuzikirizibwa.

13 (K)Abantu abo bagenda kubonerezebwa olw’ebibi bye bakola. Kubanga buli lunaku bagoberera okwegomba kwabwe olw’okwesanyusa, era abantu abo bakwasa mmwe ensonyi era babaswaza bwe beegatta nammwe mu mbaga zammwe, nga bakola effujjo mu masanyu gaabwe. 14 (L)Balina amaaso agajjude obukaba, tebalekaayo kukola kibi buli kiseera boonoona era basendasenda abatali banywevu, bajjudde omululu. Baana abaakolimirwa, 15 (M)abaakyama ne bava mu kkubo okufaanana nga Balamu mutabani wa Beyoli, eyayagala empeera ey’obutali butuukirivu. 16 (N)Kyokka endogoyi etayogera, Katonda bwe yagyogeza n’emumanya olw’obujeemu bwe n’eziyiza eddalu lya nnabbi oyo.

17 (O)Abantu abo nzizi ezitaliimu mazzi. Bali ng’ebire ebitwalibwa embuyaga, era baterekeddwa ekifo eky’ekizikiza ekikutte be zigizigi. 18 (P)Boogera ebigambo eby’okwekuluntaza era ebitaliimu nsa. Mu kwegomba kw’omubiri ne mu bukaba bwabwe basendasenda abo abali okumpi n’okubadduka abakyatambulira mu kibi. 19 (Q)Babasuubiza eddembe, so nga bo bennyini baddu ba bikolwa ebibi eby’okuzikirira. Kubanga omuntu afuuka muddu w’ekyo ekimufuga. 20 (R)Era abantu bwe bategeera Mukama waffe era Omulokozi waffe Yesu Kristo, ne badduka okuva mu bintu ebyo eby’ensi ebyonoona era ebitwala abantu mu kuzikirira, ate ne bava awo ne babiddamu, bibasibira ddala era obulamu bwabwe bufuuka bubi nnyo okusinga bwe bwali okusooka. 21 (S)Ekyandisinze be bantu abo obutategeerera ddala kkubo lya Mukama waffe ery’obutuukirivu, eriggya abantu mu kuzikirira, okusinga lwe bamala okulitegeera, ate ne bava ku biragiro ebitukuvu bye baaweebwa. 22 (T)Olugero olwagerebwa kyeluva lutuukirira ku bo olugamba nti, “Embwa eridde ebisesemye byayo,” na luno nti: “Embizzi eva okunaazibwa ezzeeyo okwekulukuunya mu bitosi.”

Zabbuli 119:113-128

ס Sameki

113 (A)Nkyawa abalina emitima egisagaasagana,
    naye nze njagala amateeka go.
114 (B)Ggwe kiddukiro kyange era ggwe ngabo yange;
    essuubi lyange liri mu kigambo kyo.
115 (C)Muve we ndi mmwe abakola ebitali bya butuukirivu,
    mundeke nkwate ebiragiro bya Katonda wange.
116 (D)Onnyweze nga bwe wasuubiza, ndyoke mbeere omulamu;
    nneme kuswazibwa ne nzigwamu essuubi.
117 Onnyweze ndyoke nfuuke ow’eddembe,
    era nkwatenga ebiragiro byo bulijjo.
118 Onyooma abo bonna abaleka ebiragiro byo;
    weewaawo obugezigezi bwabwe tebuliimu kantu.
119 (E)Abakola ebibi bonna mu nsi obalaba ng’ebisasiro;
    nze kyenva njagala ebyo bye walagira.
120 (F)Nkankana nzenna nga nkutya,
    era ntya amateeka go.

ע Ayini

121 Nkoze eby’obwenkanya era eby’obutuukirivu;
    tondeka mu mikono gy’abo abanjooga.
122 (G)Okakase okundaganga ekisa kyo bulijjo,
    oleme kukkiriza ababi okunjooganga.
123 (H)Amaaso gange ganfuuyiririra, nga nnindirira obulokozi bwo
    n’ebyo bye wasuubiza mu butuukirivu bwo.
124 (I)Nze omuddu wo nkolaako ng’okwagala kwo bwe kuli;
    era onjigirize amateeka go.
125 (J)Ndi muddu wo, mpa okwawula ekirungi n’ekibi;
    ndyoke ntegeere ebiragiro byo.
126 Ekiseera kituuse, Ayi Mukama, okubaako ky’okola,
    kubanga amateeka go gamenyeddwa.
127 (K)Naye nze njagala amateeka go
    okusinga zaabu, wadde zaabu omulongoose.
128 (L)Kubanga mmanyi ng’ebiragiro byo byonna bituufu;
    nkyawa buli kkubo lyonna ekyamu.

Engero 28:19-20

19 (A)Omuntu alima ennimiro ye aliba n’emmere nnyingi,
    naye oyo ali mu birowoozo ebitaliimu alifa bwavu.

20 (B)Omusajja omwesigwa aliweebwa emikisa mingi,
    naye oyo ayanguyiriza okugaggawala talirema kubonerezebwa.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.