Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

The Daily Audio Bible

This reading plan is provided by Brian Hardin from Daily Audio Bible.
Duration: 731 days

Today's audio is from the NET. Switch to the NET to read along with the audio.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Okuva 10:1-12:13

Enzige Zirya Ebirime by’Abamisiri

10 (A)Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Genda eri Falaawo, kubanga nnyongedde okukakanyaza omutima gwe, n’omutima gw’abaweereza be, ndyoke mbalage ebyamagero byange bino: (B)era naawe onyumize abaana bo, n’abaana b’abaana bo, ebintu bye nkoledde mu Misiri, n’ebyamagero bye mbalaze; nammwe mulyoke mutegeere nga nze Mukama.”

(C)Awo Musa ne Alooni ne bagenda ewa Falaawo, ne bamugamba nti, “Mukama Katonda wa Abaebbulaniya n’agamba bw’ati nti, ‘Olituusa ddi ng’okyagaanye okwetoowaza mu maaso gange? Leka abantu bange bagende, bansinze. (D)Singa ogaana okubakkiriza okugenda, enkya nzija kuleeta enzige mu nsi yo. (E)Zijja kubikka ensi yonna, wabulewo n’omuntu w’ayisa eriiso okulaba ettaka. Zijja kulya ebyo omuzira bye gwalekawo, zirye ne buli muti ogukula mu nnimiro. Zinajjuza amayumba go, n’amayumba g’abakungu bo bonna, n’amayumba g’Abamisiri bonna; ekyo bakadde bo, ne bakadde ba bakadde bo nga tebakirabangako kasookedde babeera mu nsi eno n’okutuusa leero.’ ” Musa n’akyuka n’aviira Falaawo.

(F)Abakungu ba Falaawo ne bamugamba nti, “Omusajja ono alituusa ddi ng’atufuukidde omutego? Leka abantu bagende basinze Mukama Katonda waabwe. Ggwe tolaba Misiri nga bw’eweddewo?” (G)Musa ne Alooni ne bazzibwa awali Falaawo. N’abagamba nti, “Kale, mugende musinze Mukama Katonda wammwe. Naye abagenda be baani?” Musa n’addamu nti, “Abakulu n’abato, batabani baffe ne bawala baffe bonna tujja kugenda nabo; era tugenda n’amagana gaffe n’ebisibo byaffe, kubanga waliwo embaga gye tujja okukolera Mukama.”

10 Falaawo n’abagamba nti, “Mukama abeere nammwe, obanga mulowooza nga nzija kubaleka mugende, mmwe n’abaana bammwe! Nze ndaba nga mulina olukwe lwe muteekateeka. 11 Nedda! Abasajja bokka ka bagende basinze[a] Mukama; kubanga ekyo kye mwagala.” Ne bagobebwa awali Falaawo.

12 (H)Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Golola omukono gwo ku nsi ya Misiri oyite enzige, zijje ku nsi ya Misiri, zirye buli kantu konna akamera mu nnimiro, n’ebyo byonna omuzira bye gwataliza.”

13 (I)Musa n’agolola omuggo gwe ku nsi ya Misiri; Mukama Katonda n’aleeta embuyaga ezaava ebuvanjuba, ne zikunta olunaku olwo lwonna n’ekiro kyonna. Obudde bwe bwakya embuyaga ne zireeta enzige. 14 (J)Enzige nnyingi nnyo ne zigwa ku nsi yonna ey’e Misiri, ne zigisaanikira, okuva ku nsalo yaayo ey’oluuyi olumu okutuuka ku y’oluuyi olulala. Zaali nzige za kabi kanene, nga tewalabikanga ziri ng’ezo, era tezigenda kulabika. 15 (K)Zaabuutikira ensi yonna, ne wabaawo ekizikiza ku nsi; ne zirya buli kimera kyonna mu nsi, n’ebibala byonna eby’emiti omuzira bye gwali gutalizza; era tewaasigalawo kintu kyonna kya kiragala ku miti n’ebimera mu nnimiro, mu nsi yonna ey’e Misiri.

16 (L)Awo Falaawo n’atumya Musa ne Alooni bunnambiro, n’abagamba nti, “Nnyonoonye eri Mukama Katonda wammwe ne gye muli. 17 (M)Mbeegayiridde munsonyiwe olw’okwonoona kwange, omulundi guno gwokka; era musabe Mukama Katonda wammwe anziggyeeko olumbe luno lwokka olututta.” 18 (N)Musa n’ava ewa Falaawo ne yeegayirira Mukama. 19 Awo Mukama n’aleeta embuyaga ez’amaanyi ennyo nga ziva ebuvanjuba, ne zisitula enzige ne zizisuula mu Nnyanja Emyufu. Tewaasigala nzige n’emu wonna wonna mu nsi y’e Misiri. 20 (O)Naye Mukama n’akakanyaza omutima gwa Falaawo, abaana ba Isirayiri n’atabakkiriza kugenda.

Ekizikiza Kikwata mu Bamisiri

21 (P)Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Golola omukono gwo waggulu eri eggulu, wabeewo ekizikiza ku nsi ey’e Misiri; ekizikiza ekiyinza n’okuwulikika.” 22 (Q)Musa n’agolola omukono gwe eri eggulu; ne wabaawo ekizikiza ekikwafu mu nsi yonna ey’e Misiri okumala ennaku ssatu. 23 (R)Abantu bonna nga tewali asobola kulaba munne; era tewaali yaseguka kuva mu kifo kye w’abeera okumala ennaku ssatu. Naye bo abaana ba Isirayiri ewaabwe ng’obudde bulaba.

24 (S)Awo Falaawo n’atumya Musa, n’amugamba nti, “Mugende musinze Mukama. Abaana bammwe nabo mugende nabo, wabula ente zammwe, n’embuzi n’endiga ze ziba zisigala.”

25 Naye Musa n’addamu nti, “Osaana otuleke tutwale ebisolo eby’okuwaayo ssaddaaka n’ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama Katonda waffe. 26 Ente zaffe tusaana okugenda nazo; tewali nsolo n’emu eneesigala. Kubanga kitusaanira okuzitwala nga tugenda okusinza Mukama Katonda waffe; kubanga tujja kumala kutuuka eri, ne tulyoka tumanya kye tunaakozesa mu kusinza Mukama.”

27 (T)Naye Mukama n’akakanyaza omutima gwa Falaawo, n’atabaleka kugenda. 28 Falaawo n’agamba Musa nti, “Nva mu maaso! Era weekuume, sikulabanga ng’okomyewo w’endi; bwe ndiddayo okukulaba tolirema kufa.”

29 (U)Musa n’addamu nti, “Nga bw’ogambye, nange siriddayo kukulaba.”

Okuttibwa kw’Abaana Abamisiri Ababereberye

11 Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Ekyaliyo ekibonoobono kimu kye nzija okuleetera Falaawo n’ensi y’e Misiri. Oluvannyuma lwakyo ajja kubaleka mugende; ate bw’anaabakkiriza okugenda, ajja kubeegoberako ddala bwegobi abasindiikirize. (V)Kale, tegeeza abantu, buli musajja asabanga muliraanwa we, ne buli mukazi asabanga muliraanwa we, ebintu eby’omuwendo ebya ffeeza n’ebya zaabu.” (W)Mukama n’aleetera Abamisiri okukwanagana n’abaana ba Isirayiri; ne Musa n’aweebwa nnyo ekitiibwa mu nsi y’e Misiri. Abakungu ba Falaawo n’abantu bonna ne bamugulumiza nnyo.

(X)Awo Musa n’agamba Falaawo nti, “Mukama agambye bw’ati nti, ‘Nga wakati mu ttumbi, nzija kuyita mu Misiri yonna. (Y)Ebibereberye mu nsi y’e Misiri bijja kufa, okutandikira ku mubereberye wa Falaawo agenda okumusikira, okutuukira ddala ku mubereberye[b] w’omuwala omuzaana asa ku lubengo; era n’ebibereberye byonna eby’ebisolo. (Z)Wajja kubaawo okukungubaga okunene mu nsi yonna eya Misiri, okutabangawo era nga tewagenda kubaawo kukwenkana. (AA)Naye mu baana ba Isirayiri n’embwa teribaayo gw’eboggolera wadde ebisolo byabwe; mulyoke mutegeere nga Mukama Abamisiri n’Abayisirayiri tabayisa bumu.’ (AB)Era bano abakungu bo bonna balijja gye ndi nga babundabunda, ne banvuunamira nga banneegayirira nti, ‘Genda, ggwe n’abantu bo bonna abakugoberera.’ Oluvannyuma lw’ebyo nange ndigenda.” N’ava awali Falaawo n’obusungu bungi nnyo.

(AC)Mukama yali agambye Musa nti, “Falaawo tagenda kuwuliriza by’omugamba, bwe ntyo ndyoke nkolere ebyamagero byange bingi mu Misiri.” 10 (AD)Musa ne Alooni baakolera ebyamagero ebyo byonna awali Falaawo; naye Mukama yakakanyaza omutima gwa Falaawo, n’atakkiriza baana ba Isirayiri kuva mu nsi ye.

Okuyitako

12 Awo Mukama n’ayogera ne Musa ne Alooni nga bali mu nsi y’e Misiri, n’abagamba nti, (AE)“Okuva leero omwezi[c] guno gwe gunaabanga omubereberye mu myezi gyonna mu mwaka gwammwe. Mutegeeze abantu bonna aba Isirayiri nti ku lunaku olw’ekkumi olw’omwezi guno kigwanidde buli mukulu wa nnyumba, addire omwana gw’endiga ogw’okuliibwa mu maka ge, buli maka omwana gw’endiga gumu. Singa amaka gabaamu abantu batono nnyo abatamalaawo mwana gwa ndiga, amaka ago geegatte n’ag’omuliraano balye omwana gw’endiga ogwo. Muligeraageranya obungi bw’abantu abamalawo omwana gw’endiga nga musinziira ku ndya ya buli omu mu maka omwo. (AF)Omwana gw’endiga gusaana gube gwa seddume nga gwa mwaka gumu obukulu, era nga teguliiko kamogo. Guyinza okuba omwana gw’endiga oba ogw’embuzi. (AG)Ensolo ezo muzirabiriranga okutuusa ku lunaku olw’ekkumi n’ennya olw’omwezi guno; ekibiina kyonna eky’abantu ba Isirayiri ne kiryoka kizitta akawungeezi. Baddiranga omusaayi ne bagumansira ku njuyi zombi ne waggulu, ku mwango gw’oluggi lwa buli nnyumba mwe baliriira omwana gw’endiga. (AH)Mu kiro ekyo ennyama balyanga njokye ku muliro, era baliirangako n’emigaati egitali mizimbulukuse n’enva ezikaawa. Tewabanga ku nnyama eyo gye mulya nga mbisi obanga efumbwa mu mazzi; wabula mugyokyanga ku muliro: omutwe, amagulu n’eby’omunda byonna. 10 (AI)Temugiterekangako kutuusa nkeera; bw’ebalemanga eggulolimu, mugyokyanga bwokya ne mugizikiriza. 11 (AJ)Mugiryanga bwe muti: Mwesibanga ekimyu, nga mwambadde n’engatto zammwe[d], nga mukutte n’omuggo. Mugiryanga mangu. Kubanga eyo y’Embaga ey’Okuyitako kwa Mukama.

12 (AK)“Kubanga mu kiro ekyo ndiyita mu nsi ya Misiri, nditta buli kibereberye kyonna mu nsi y’e Misiri, abantu era n’ebisolo; era bakatonda bonna ab’omu Misiri ndibasalira omusango. Nze Mukama. 13 Omusaayi ke kaliba akabonero akalaga ennyumba mwe muli; era bwe ndiraba omusaayi, nga mbayitako; so n’okuzikirira kwe ndireeta ku Bamisiri mmwe tekulibakwatako.

Matayo 20:1-28

Olugero lw’Abalimi mu Nnimiro y’Emizabbibu

20 (A)Awo Yesu n’abagamba nti, “Obwakabaka obw’omu ggulu bufaanana ng’omuntu ssemaka, eyakeera mu makya n’apangisa abakozi okukola mu nnimiro ye ey’emizabbibu. N’alagaana n’abapakasi okubasasula omuwendo eddinaali emu emu, ze zaali ensimbi ez’olunaku olumu. N’abasindika mu nnimiro ye ey’emizabbibu.

“Bwe waayitawo essaawa nga bbiri n’asanga abalala nga bayimiridde mu katale nga tebalina kye bakola, nabo n’abagamba nti, ‘Nammwe mugende mu nnimiro y’emizabbibu, era nnaabasasula empeera ebasaanira.’ Ne bagenda.

“Ku ssaawa omukaaga ne ku mwenda n’asindikayo abalala mu ngeri y’emu. Essaawa nga ziweze nga kkumi n’emu n’asanga abalala nga bayimiridde awo, n’ababuuza nti, ‘Lwaki muyimiridde awo olunaku lwonna nga temulina kye mukola?’

“Ne bamuddamu nti, ‘Kubanga tetufunye atuwa mulimu.’ N’abagamba nti, ‘Nammwe mugende mukole mu nnimiro yange ey’emizabbibu.’

(B)“Awo obudde nga buwungeera nannyini nnimiro n’alagira nampala ayite abakozi abawe empeera yaabwe ng’asookera ku b’oluvannyuma.

“Abaatandika ku ssaawa ekkumi n’emu ne baweebwa eddinaali emu emu. 10 Bali abaasookayo bwe bajja ne basuubira nti bo ze banaasasulwa zijja kusingako obungi. Naye nabo yabasasula omuwendo gwe gumu ogw’olunaku olumu nga bali. 11 (C)Bwe baagifuna ne beemulugunyiza nannyini nnimiro 12 (D)nga bagamba nti, ‘Bano abooluvannyuma baakoledde essaawa emu yokka naye lwaki obawadde empeera eyenkana eyaffe, ffe abaakoze okuva mu makya ne mu musana gw’omu tuntu?’

13 (E)“Mukama waabwe kwe kuddamu omu ku bo nti, ‘Munnange si kubbye; bwe wabadde otandika okukola tetwalagaanye eddinaali emu? 14 Twala eddinaali yo ogende. Naye njagala n’ono asembyeyo okumuwa empeera y’emu nga gye nkuwadde. 15 (F)Siyinza kukozesa byange nga bwe njagala? Obuggya bukukutte kubanga ndi wa kisa?’

16 (G)“Kale nno bwe kityo bwe kiriba abooluvannyuma ne baba aboolubereberye, n’aboolubereberye ne baba abooluvannyuma.”

17 Awo Yesu bwe yali ayambuka e Yerusaalemi n’atwala abayigirizwa be ekkumi n’ababiri, mu kyama. Bwe baali mu kkubo, n’abagamba nti, 18 (H)“Laba twambuka e Yerusaalemi, Omwana w’Omuntu aliweebwayo eri bakabona abakulu n’abannyonnyozi b’amateeka, bamusalire omusango ogw’okufa. 19 (I)Era balimuwaayo eri Abamawanga ne bamuduulira ne bamukuba, era balimukomerera ku musaalaba. Naye ku lunaku olwokusatu alizuukizibwa.”

Okusaba kwa Nnyina Yakobo ne Yokaana

20 (J)Awo nnyina w’abaana ba Zebbedaayo, n’ajja eri Yesu ne batabani be bombi, n’amusinza ng’ayagala okubaako ky’amusaba.

21 (K)Yesu n’amubuuza nti, “Kiki ky’oyagala?” N’addamu nti, “Nsaba, mu bwakabaka bwo, abaana bange bano bombi batuule naawe omu ku mukono gwo ogwa ddyo n’omulala ku gwa kkono.”

22 (L)Naye Yesu n’amuddamu nti, “Tomanyi ky’osaba. Muyinza okunywa ku kikompe nze kye ŋŋenda okunywako?” Ne baddamu nti, “Tuyinza.”

23 (M)N’abagamba nti, “Weewaawo ekikompe mugenda kukinywako. Naye eky’okutuula ku mukono gwange ogwa ddyo oba ogwa kkono nze sikirinaako buyinza. Ebifo ebyo byategekebwa dda Kitange.”

24 (N)Abayigirizwa bali ekkumi bwe baawulira ebyo abooluganda ababiri bye baasaba, ne babanyiigira nnyo. 25 Yesu kwe kubayita n’abagamba nti, “Mumanyi ng’abakulembeze b’abamawanga babazitoowereza embeera, n’abakulu baabwe babafuza lyanyi. 26 (O)Naye tekisaanye kuba bwe kityo mu mmwe. Buli ayagala okubeera omukulu mu mmwe, abeerenga muweereza wa banne. 27 Na buli ayagala okuba omwami mu mmwe aweerezenga banne ng’omuddu waabwe. 28 (P)Mube nga Omwana w’Omuntu atajja kuweerezebwa wabula okuweereza, n’okuwaayo obulamu bwe ng’omutango okununula abangi.”

Zabbuli 25:1-15

Zabbuli ya Dawudi.

25 (A)Eri ggwe, Ayi Mukama,
    gye ndeeta okusaba kwange.

(B)Neesiga ggwe, Ayi Mukama, tondeka kuswala mu maaso g’abalabe bange. Tobaganya kumpangula.
(C)Ddala ddala abakwesiga tebaajulirirenga,
    naye ab’enkwe baliswazibwa.

(D)Njigiriza nga bwe nnaakolanga, Ayi Mukama,
    ondage amakubo go mwe nnaatambuliranga.
Onjigirizenga okunywerera ku mazima go, era onkulemberenga mu byonna;
    kubanga ggwe Katonda, ow’obulokozi bwange
    era essuubi lyange liri mu ggwe olunaku lwonna.
(E)Jjukira, Ayi Mukama, okusaasira kwo okunene, n’okwagala kwo okungi,
    kubanga byava dda.
(F)Tojjukira bibi byange
    n’obujeemu bwange eby’omu buvubuka bwange.
Onzijukire, Ayi Mukama,
    ng’okwagala kwo gye ndi bwe kuli, kubanga oli mulungi.

(G)Mukama mulungi, era wa mazima,
    noolwekyo ayigiriza aboonoonyi ekkubo lye.
(H)Abawombeefu abaluŋŋamya mu kkubo ettuufu
    n’abayigiriza ekkubo lye.
10 (I)Amakubo ga Mukama gonna gajjudde okwagala n’amazima
    eri abo abagondera endagaano ye n’ebiragiro bye.
11 (J)Olw’erinnya lyo, Ayi Mukama,
    onsonyiwe ebibi byange, kubanga bingi.

12 (K)Omuntu wa ngeri ki atya Katonda?
    Oyo gw’anaayigirizanga okukwata ekkubo lye yamulondera.
13 (L)Obulamu bwe bunajjuzibwanga emikisa gya Katonda,
    era bazzukulu be ensi eriba yaabwe.
14 (M)Mikwano gya Mukama be bo abamugondera;
    anaababikkuliranga ekyama eky’endagaano ye.
15 (N)Ntunuulira Mukama buli kiseera,
    kubanga yekka y’anzigya mu kabi.

Engero 6:6-11

(A)Yigira ku biwuka, mugayaavu ggwe;
    fumiitiriza engeri gye bikolamu obiyigireko.
Tebirina mukulembeze,
    mukungu oba mufuzi yenna abikulembera,
(B)kyokka byekuŋŋaanyiza emmere mu biseera eby’amakungula,
    ne bitereka emmere mu biseera ebituufu mu mwaka.

(C)Olituusa ddi okwebaka mugayaavu ggwe?
    Oligolokoka ddi n’ova mu tulo two?
10 (D)Otulo otutonotono, n’okusumagira akatono,
    n’okufunya emikono okuwummulako,
11 (E)obwavu bulikutuukako ng’omutemu,
    era n’obwetaavu ng’omutemu.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.