The Daily Audio Bible
Today's audio is from the CSB. Switch to the CSB to read along with the audio.
Katonda Azza Obuggya Endagaano ne Yakobo
35 (A)Katonda n’agamba Yakobo nti, “Golokoka oyambuke e Beseri, obeere eyo, ozimbire Katonda ekyoto, eyakulabikira bwe wadduka muganda wo Esawu.”
2 (B)Awo Yakobo n’agamba ab’omu nnyumba ye ne bonna abaali naye nti, “Muggyeewo bakatonda abalala abali nammwe, mwetukuze mukyuse ebyambalo byammwe, 3 (C)tulyoke twambuke tugende e Beseri ndyoke nzimbire Katonda ekyoto, Katonda eyanziramu mu nnaku ez’okunakuwala kwange, era abadde nange buli gye ŋŋenze. 4 (D)Awo ne bawa Yakobo bakatonda abalala bonna be baalina, n’empeta ezaali ku matu gaabwe;[a] Yakobo n’abiziika wansi w’omuvule ogwali okumpi ne Sekemu.” 5 (E)Bwe baali batambula, entiisa ya Katonda n’egwa ku bibuga ebyali bibeetoolodde, ne batagoberera baana ba Yakobo.
6 (F)Yakobo n’ajja e Luzi, ye Beseri, ekiri mu nsi ya Kanani, ye n’abantu bonna abaali naye. 7 (G)N’azimba eyo ekyoto, n’akituuma Erubeeseeri. Kubanga eyo Katonda gye yamweragira bwe yadduka muganda we.
8 (H)Debola omujjanjabi wa Lebbeeka n’afa n’aziikibwa wansi w’omuvule, wansi wa Beseri kyekyava kiyitibwa Alooninakusi. 9 (I)Yakobo bwe yava mu Padanalaamu Katonda n’amulabikira, n’amuwa omukisa. 10 (J)Katonda n’amugamba nti, “Erinnya lyo ggwe Yakobo; tokyaddayo kuyitibwa Yakobo, erinnya lyo linaabanga Isirayiri.” Bwe kityo erinnya lye ne liba Isirayiri. 11 (K)Katonda n’amugamba nti, “Ndi Katonda Ayinzabyonna: zaala oyale, eggwanga n’enkuyanja y’amawanga biriva mu ggwe, ne bakabaka balisibuka mu ggwe. 12 (L)Ensi gye nawa Ibulayimu ne Isaaka, ndigikuwa ggwe, era ndigiwa n’ezzadde lyo eririddawo.” 13 (M)Awo Katonda n’alinnya okuva waali mu kifo we yayogerera naye.
14 (N)Yakobo n’asimba empagi mu kifo Katonda mwe yayogerera naye, empagi ey’ejjinja; n’agiyiwako ekiweebwayo ekyokunywa, n’ayiwako n’amafuta. 15 (O)Yakobo ekifo Katonda we yayogerera naye n’akiyita Beseri.
16 Bwe baava e Beseri, era nga bakyali walako okuva Efulasi, Laakeeri n’alumwa, n’alumwa ddala nnyo. 17 (P)Bwe yali ng’alumwa bw’atyo omuzaalisa n’amugamba nti, “Totya kubanga kaakano onoofuna omwana omulala owoobulenzi.” 18 Omwoyo bwe gwali gumuggwaamu ng’afa, n’amutuuma Benoni, naye kitaawe n’amuyita Benyamini.
19 (Q)Awo Laakeeri n’afa n’aziikibwa ku kkubo erigenda Efulasi (ye Besirekemu). 20 (R)Yakobo n’asimba empagi ku malaalo ge, y’empagi y’amalaalo ga Laakeeri, ekyaliwo n’okutuusa kaakano.
21 Isirayiri ne yeeyongera okutambula, n’akuba eweema ye, emabega w’omunaala gwa Ederi. 22 (S)Isirayiri bwe yali ng’ali mu nsi omwo Lewubeeni n’agenda ne yeebaka ne Biira omuweereza wa kitaawe, Isirayiri n’akiwulira.
Batabani ba Yakobo baali kkumi n’ababiri.
23 (T)Batabani ba Leeya baali:
Lewubeeni mutabani wa Yakobo omubereberye,
ne Simyoni, ne Leevi, ne Yuda, ne Isakaali ne Zebbulooni.
24 (U)Batabani ba Laakeeri ye:
Yusufu ne Benyamini.
25 (V)Batabani ba Biira, omuweereza wa Laakeeri be ba:
Ddaani ne Nafutaali.
26 (W)Batabani ba Zirupa omuweereza wa Leeya be ba:
Gaadi ne Aseri.
Bano be batabani ba Yakobo abaamuzaalirwa mu Padanalaamu.
Okufa kwa Isaaka
27 (X)Awo Yakobo n’ajja eri kitaawe Isaaka e Mamule, oba Kiriyasaluba, ye Kebbulooni, Ibulayimu ne Isaaka mwe baatuulanga. 28 (Y)Isaaka yawangaala emyaka kikumi mu kinaana. 29 (Z)Isaaka n’afa ng’akaddiye nnyo n’agenda abantu be gye bagenda, ng’amaze ennaku nnyingi, batabani be Esawu ne Yakobo ne bamuziika.
Ezadde lya Esawu
36 (AA)Bino bye bifa ku b’olulyo lwa Esawu, ye Edomu.
2 (AB)Esawu yawasa abakazi ng’abaggya mu Bakanani: Yawasa Ada muwala wa Eroni Omukiiti, ne Okolibama muwala wa Ana mutabani wa Zibyoni Omukiivi, 3 ne Basimansi muwala wa Isimayiri muganda wa Nebayoosi.
4 (AC)Ada n’azaalira Esawu Erifaazi, ne Basimansi n’azaala Leweri; 5 ne Okolibama n’azaala Yewusi, ne Yalamu ne Koola; abo be batabani ba Esawu abaamuzaalirwa mu nsi ya Kanani.
6 (AD)Awo Esawu n’atwala bakazi be, ne batabani be, ne bawala be n’abantu be bonna, n’ente ze, awamu n’ebintu bye byonna bye yafuna mu nsi ya Kanani; n’agenda mu nsi ey’ewala ku ya muganda we Yakobo. 7 (AE)Kubanga obugagga bwabwe bwali bungi nnyo nga tebukyabasobozesa kubeera wamu n’ensi mwe baali ng’ebafundiridde olw’obungi bw’ebisolo byabwe. 8 (AF)Olwo ye Esawu, era ye Edomu, n’abeera mu nsi ey’ensozi za Seyiri.
9 Bino bye bifa ku b’olulyo lwa Esawu, kitaawe w’Abaedomu abaamuzaalirwa ng’ali mu nsi y’ensozi za Seyiri.
10 Batabani be baali:
Erifaazi eyamuzaalirwa Ada, ne Leweri eyamuzaalirwa Basimansi.
11 (AG)Batabani ba Erifaazi baali
Temani, ne Omali, ne Zefo, ne Gatamu ne Kenazi.
12 (AH)Timuna yali mukazi wa Erifaazi, mutabani wa Esawu era yamuzaalira Ameleki. Abo be batabani ba Ada mukazi wa Esawu.
13 Bano be batabani ba Leweri:
Nakasi, ne Zeera, ne Saama ne Mizza. Abo be bazzukulu ba Esawu ne mukazi we Basemasi.
14 N’abaana ba Okolibama muwala wa Ana, muzzukulu wa Zibyoni, baali
Yewusi, ne Yalamu ne Koola, be yazaalira bba Esawu.
15 (AI)Bano be bakulu b’enda ya Esawu:
Enda ya Erifaazi omubereberye wa Esawu:
Temani, ne Omali, ne Zefo, ne Kenazi, 16 (AJ)ne Koola, ne Gatamu ne Amaleki abaali mu nsi ya Edomu be batabani ba Ada.
17 (AK)Enda ya Leweri mutabani wa Esawu:
Nakasi, ne Zeera, ne Samma ne Mizza nabo baali mu nsi ya Edomu, era baava mu Basimansi, mukazi wa Esawu.
18 Abaazaalibwa Okolibama mukazi wa Esawu, muwala wa Ana:
Yewusi, ne Yalamu ne Koola.
19 (AL)Abo bonna be baava mu Esawu, ye Edomu, era be bakulu b’enda zaabwe.
20 (AM)Batabani ba Seyiri Omukooli abaabeeranga mu Edomu be ba
Lotani, ne Sobali, ne Zibyoni, ne Ana, 21 ne Disoni, ne Ezeri ne Disani. Abo be baava mu Bakooli, be baana ba Seyiri abaali mu nsi ya Edomu.
22 Batabani ba Lotani baali
Kooli, ne Kemamu, era Lotani yalina mwannyina nga ye Timuna.
23 Batabani ba Sobali be ba
Aluvani, ne Manakasi, ne Eberi, ne Sefo ne Onamu.
24 Aba Zibyoni, be ba
Aya ne Ana; ono ye Ana eyavumbula ensulo z’amazzi agookya, ezaali mu ddungu; bwe yali ng’alunda endogoyi za kitaawe Zibyoni.
25 Abaana ba Ana be ba
Disoni ne Okolibama omuwala.
26 Bo batabani ba Disoni be ba
Kemudaani, ne Esubani, ne Isulani ne Kerani.
27 Aba Ezeri be ba
Birani, ne Zaavani ne Akani.
28 Ate aba Disani be ba
Uzi ne Alani.
29 Bano be bakulu b’enda za Bakooli:
Lotani, ne Sobali, ne Zibyoni, ne Ana, 30 ne Disoni, ne Ezeri ne Disani.
Bano be bakulu b’enda za Bakooli ng’ebika byabwe bwe byali, mu nsi ya Seyiri.
Bakabaka ba Edomu
31 (AN)Bakabaka abafuga ensi ya Edomu, nga tewannaba na kabaka afuga Isirayiri be bano:
32 Bera mutabani wa Byori yafuga Edomu ng’asinziira mu kibuga kye Dinukaba.
33 (AO)Bera bwe yafa Yobabu mutabani wa Zeera ow’e Bozula n’afuga mu kifo kye.
34 (AP)Yobabu bwe yafa Kusamu Omutemani n’afuga mu kifo kye.
35 (AQ)Ne Kusamu bwe yafa, Kadadi mutabani wa Bedadi, eyawangula Midiyaani, mu nsi ya Mowaabu n’afuga mu kifo kye; ng’afugira mu kibuga ky’e Avisi.
36 Ate Kadadi bwe yafa, Samula ow’e Masuleka n’afuga mu kifo kye.
37 Samula bwe yafa Sawuli ow’e Lekobosi, ku mugga Fulaati n’afuga mu kifo kye.
38 Sawuli bwe yafa, Baalukanani mutabani wa Akubooli n’afuga mu kifo kye.
39 Ate Balukanani mutabani wa Akubooli bwe yafa, Kadali n’afuga mu kifo kye, ng’ali mu kibuga kye Pawu; mukazi we yayitibwanga Meketaberu muwala wa Mezakabu ne Matirida.
40 Bano be bakulu b’enda zaabo abaava mu Esawu, nga bwe baali mu bifo byabwe:
Timuna, ne Aluva, ne Yesesi,
41 ne Okolibama, ne Era, ne Pinoni,
42 ne Kenazi, ne Temani, ne Mibuza,
43 ne Magidiyeri, ne Iramu.
Abo be bakulu b’enda ya Edomu, ye Esawu kitaawe wa Edomu, okusinziira mu bifo mwe baali mu nsi y’obutaka bwabwe.
Mukama wa Ssabbiiti
12 (A)Awo mu kiseera ekyo Yesu n’ayita mu nnimiro y’emmere ey’empeke ku lunaku lwa Ssabbiiti. Abayigirizwa be ne balumwa enjala ne batandika okunoga ebirimba by’eŋŋaano ne babirya. 2 (B)Naye Abafalisaayo bwe baalaba kino ne bagamba Yesu nti, “Laba abayigirizwa bo bakola ekitakkirizibwa kukolebwa ku Ssabbiiti.”
3 (C)Naye Yesu n’abaddamu nti, “Temusomanga ku Dawudi kye yakola bwe yalumwa enjala ne be yali nabo? 4 (D)Yayingira mu nnyumba ya Katonda n’alya emigaati egy’okulaga, egikkirizibwa bakabona bokka okulya. 5 (E)Oba temusomanga mu mateeka nti bakabona ababeera mu luwalo lw’okuweereza mu Yeekaalu ne basobya ku Ssabbiiti tebaliiko musango? 6 (F)Naye mbagamba nti ekisinga Yeekaalu kiri wano. 7 (G)Naye singa mumanyi amakulu ga kino nti, ‘Njagala mubeerenga ba kisa okusinga okuwangayo ssaddaaka,’ temwandinenyezza bataliiko musango. 8 (H)Kubanga Omwana w’Omuntu ye Mukama wa Ssabbiiti.”
9 N’avaayo n’ajja mu kuŋŋaaniro lyabwe. 10 (I)Laba mwalimu omusajja eyalina omukono ogwakala. Ne babuuza Yesu obanga kikkirizibwa okuwonya ku Ssabbiiti.[a] Baali basuubira nti anaddamu nti kituufu, balyoke bamuwawaabire.
11 (J)Naye n’abaddamu nti, “Singa wabaddewo omuntu mu mmwe ng’alina endiga emu, n’egwa mu bunnya ku lunaku lwa Ssabbiiti, tagiggyamu? 12 (K)Kale, omuntu tasinga nnyo endiga omuwendo? Noolwekyo kikkirizibwa okukola ekirungi ku Ssabbiiti.”
13 Bw’atyo n’agamba omusajja nti, “Golola omukono gwo.” N’agugolola ne guwona, ne guba mulamu nga gunnaagwo! 14 (L)Awo Abafalisaayo ne bafuluma ne bateesa nga bwe banaazikiriza Yesu.
Omuweereza wa Katonda
15 (M)Naye Yesu bwe yakimanya n’afuluma mu kuŋŋaaniro, abantu bangi nnyo ne bamugoberera, n’awonya abaali abalwadde bonna, 16 (N)kyokka n’abakomako baleme okumwatuukiriza. 17 Ebyayogerwa Nnabbi Isaaya biryoke bituukirire nti:
18 (O)“Laba Omuweereza wange, ggwe neerondera,
gwe njagala ennyo asanyusa emmeeme yange.
Ndimuteekako Omwoyo wange
era Alisalira amawanga gonna emisango.
19 Taliyomba so talireekaana,
era tewaliba n’omu aliwulira eddoboozi lye mu nguudo.
20 Talimenya lumuli lunafu,
wadde okuzikiriza
olutambi lw’ettaala olunyooka.
21 (P)Era abamawanga baliba n’essuubi mu linnya lye.”
Zabbuli ya Dawudi.
15 (A)Ayi Mukama, ani anaabeeranga mu nnyumba yo?
Ani anaatuulanga ku lusozi lwo olutukuvu?
2 (B)Oyo ataliiko kya kunenyezebwa,
akola eby’obutuukirivu,
era ayogera eby’amazima nga biviira ddala mu mutima gwe.
3 (C)Olulimi lwe talwogeza bya bulimba,
era mikwano gye tagiyisa bubi,
so tasaasaanya ŋŋambo ku baliraanwa be.
4 (D)Anyooma ababi,
naye abatya Mukama abassaamu ekitiibwa.
Atuukiriza ky’asuubiza
ne bwe kiba nga kimulumya.
5 (E)Bw’awola tasaba magoba;
so takkiriza kulya nguzi ku muntu yenna.
Oyo akola ebyo
aliba munywevu emirembe gyonna.
Ab’amagezi Baweebwa Ekitiibwa
21 (A)Mwana wange, beeranga n’okuteesa okulungi n’okusalawo ebisaana,
ebyo biremenga okukuvaako,
22 (B)binaabeeranga obulamu eri emmeeme yo,
era ekyokwambala ekirungi ekinaawoomesanga obulago bwo.
23 (C)Bw’otyo bw’onootambulanga nga onyweredde mu kkubo lyo,
era ekigere kyo tekijjanga kwesittala.
24 (D)Bw’onoogalamiranga toobenga na kutya,
weewaawo bw’oneebakanga otulo tunaakuwoomeranga.
25 Totyanga kabenje kootomanyiridde,
wadde okuzikirira okujjira abakozi b’ebibi,
26 (E)Kubanga Mukama y’anaabeeranga obwesigwa bwo,
era anaalabiriranga ekigere kyo ne kitakwatibwa mu mutego.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.