The Daily Audio Bible
Today's audio is from the CEB. Switch to the CEB to read along with the audio.
Mukama Awa Musa Obuyinza Okukola Ebyamagero
4 (A)Musa n’addamu nti, “Tebagenda kunzikiriza, wadde okuwuliriza ebyo bye mbagamba: kubanga bagenda kwogera nti, Mukama takulabikiranga.”
2 (B)Awo Mukama n’amubuuza nti, “Ekyo kiki ekiri mu ngalo zo?”
N’addamu nti, “Muggo.”
3 Mukama Katonda n’amugamba nti, “Gusuule wansi.”
Musa n’agusuula wansi; ne gufuuka omusota, n’agudduka! 4 Mukama n’agamba Musa nti, “Golola omukono gwo ogukwate akawuuwo ogusitule.” N’agolola omukono gwe n’agukwata, ne gufuuka omuggo mu mukono gwe. 5 (C)Mukama n’amugamba nti, “Bw’olikola bw’otyo bagenda kukukkiriza, era balitegeera nga Mukama Katonda wa bajjajjaabwe, Katonda wa Ibulayimu, era Katonda wa Isaaka, era Katonda wa Yakobo, yakulabikira.”
6 (D)Mukama n’amugamba nate nti, “Yingiza omukono gwo munda mu kyambalo kyo.” N’ayingiza omukono gwe munda mu kyambalo kye: bwe yaguggyaayo, laba, nga gujjudde ebigenge nga gutukula ng’omuzira.
7 (E)Ate n’amugamba nti, “Zzaayo omukono gwo munda mu kyambalo kyo.” Musa n’azzaayo omukono gwe mu kyambalo kye. Bwe yaguggyaayo, laba nga gufuuse mulamu ng’omubiri gwe ogwa bulijjo.
8 Mukama n’agamba Musa nti, “Bwe batalikukkiririza ku kabonero akasoose, balikukkiririza ku kabonero akookubiri. 9 (F)Bwe bagaananga okukukkiriza nga bamaze okulaba obubonero obwo bwombi, osenanga amazzi mu mugga n’ogayiwa ku lukalu; amazzi ago g’olisena mu mugga, galifuuka omusaayi ng’ogayiye ku lukalu.”
10 (G)Awo Musa n’agamba Mukama nti, “Ayi Mukama wange, siri mwogezi mulungi okuva edda n’edda, wadde ne mu kiseera kino ggwe kaayogerera nange, omuddu wo; njogera nnembeggerera ate nga bwe nnaanaagira.” 11 (H)Mukama n’amuddamu nti, “Ani yakola akamwa k’omuntu? Ani yatonda bakasiru, ne bakiggala, n’abatunula, ne bamuzibe? Si nze, Mukama? 12 (I)Kaakano, genda! Nnaakuyambanga ng’oyogera, era nnaakuyigirizanga by’onooyogeranga.”
13 Naye Musa n’agamba nti, “Mukama wange, nkwegayiridde tuma omuntu omulala.” 14 (J)Mukama n’asunguwalira nnyo Musa, n’amugamba nti, “Muganda wo Alooni Omuleevi, taliiwo? Mmanyi nga mwogezi mulungi; era, laba, ajja gy’oli, era bw’anaakulabako ajja kusanyuka mu mutima gwe. 15 (K)Ggwe ojja kwogeranga naye, nze nnaakutegeezanga ky’onoomugambanga, nange n’abayambanga mwembi, ne mbayigiriza eky’okukola. 16 (L)Y’anaakwogereranga eri abantu, ng’abategeeza bye wandiyogedde; ggwe n’oba nga Katonda gy’ali, ng’omutegeezanga by’anaayogeranga. 17 (M)Era oligenda n’omuggo guno, ng’ogukutte mu mukono gwo; gw’onookozesanga ebyamagero.”
18 Awo Musa n’addayo eri Yesero, kitaawe wa mukazi we n’amugamba nti, “Nkusaba onzikirize ŋŋende ndabe obanga baganda bange e Misiri bakyali balamu.” Yesero n’addamu Musa nti, “Genda mirembe.”
Musa Addayoko e Misiri
19 (N)Awo Mukama n’ayogera ne Musa e Midiyaani nti, “Genda, oddeyo e Misiri kubanga abantu bonna abaali baagala okukutta, baafa.” 20 (O)Musa n’addira mukyala we n’abaana be, n’abassa ku ndogoyi, n’asitula okuddayo mu nsi y’e Misiri, ng’akutte omuggo gwa Katonda mu ngalo ze.
21 (P)Mukama n’agamba Musa nti, “Bw’oddangayo e Misiri, okoleranga ebyamagero ebyo byonna bye nkulaze, awali Falaawo. Nze ndikakanyaza omutima gwe, abantu bange aleme okubakkiriza okugenda. 22 (Q)Falaawo omugambanga bw’oti nti, Mukama agambye nti, ‘Isirayiri mutabani wange, ye mwana wange omubereberye; 23 (R)era nkulagira oleke omwana wange agende ampeereze; naye singa ogaana okumuleka okugenda, laba, nditta mutabani wo omubereberye.’ ”
24 (S)Awo bwe baali bagenda nga batuuse ku nnyumba y’abagenyi, Mukama n’amulabikira, n’ayagala okumutta. 25 (T)Naye Zipola n’addira ejjinja eryogi, n’akomola omwana we, ekikuta n’akisuula ku bigere bya Musa, n’amugamba nti, “Oli baze wa musaayi!” 26 Awo Mukama n’amuleka. Mu kaseera ako Zipola we yayogerera ku kukomola nti, “Baze wange ng’osaabye omusaayi!”
27 (U)Awo Mukama n’agamba Alooni nti, “Genda mu ddungu, osisinkane Musa. N’agenda, n’amusanga ku lusozi lwa Katonda, ne bagwaŋŋana mu bifuba.” 28 (V)Musa n’abuulira Alooni ebigambo byonna Mukama bye yali amutumye okwogera, n’obubonero bwonna obw’ebyamagero bwe yamulagira okukola.
29 (W)Musa ne Alooni ne bagenda, ne bakuŋŋaanya abakulu abakulembeze b’abaana ba Isirayiri; 30 Alooni n’abategeeza byonna Mukama bye yagamba Musa; era n’abakolera n’obubonero, 31 (X)ne bakkiriza. Era bwe baawulira nga Mukama yakyalira abaana ba Isirayiri, n’alaba okubonaabona kwabwe, ne bakoteka emitwe gyabwe ne basinza.
Falaawo Aziyiza Abayisirayiri Okuva mu Misiri
5 (Y)Oluvannyuma lw’ebyo, Musa ne Alooni ne bajja eri Falaawo, ne bamugamba nti, “Tutumiddwa Mukama Katonda wa Isirayiri ng’akugamba nti, ‘Leka abantu bange bagende, bankolere embaga mu ddungu.’ ”
2 (Z)Naye Falaawo n’abaddamu nti, “Mukama ye ani, mmugondere, nzikirize Abayisirayiri, sijja kubakkiriza kugenda.”
3 (AA)Ne bamugamba nti, “Katonda w’Abaebbulaniya yatulabikira. Tukusaba otuleke tugende olugendo lwa nnaku ssatu mu ddungu, tuweeyo ssaddaaka eri Mukama Katonda waffe;[a] aleme kututta ne kawumpuli, oba n’ekitala.”
4 (AB)Naye kabaka w’e Misiri n’abagamba nti, “Mmwe Musa ne Alooni, lwaki mwagala okuggya abantu ku mirimu gyabwe? Muddeeyo mangu ku mirimu gyammwe.” 5 (AC)Falaawo n’ayongera n’agamba nti, “Kale, mulabe abantu nga bwe beeyongedde obungi mu ggwanga ate mmwe mubaziyiza kukola.”
6 Ku lunaku olwo lwennyini Falaawo n’alagira abagabi b’emirimu ne bannampala b’abantu[b] nti, 7 “Mulekeraawo okuwanga abantu essubi ery’okukozesa mu kubumba amatoffaali; mubaleke bagende beenoonyezenga essubi lyabwe.[c] 8 Naye mubalagire babumbenga obungi bw’amatoffaali bwe bumu nga ge babadde babumba; temukendeezanga ku muwendo ogwabasalirwa. Bagayaavu; era kyebava bankaabirira nti, ‘Tuleke tugende tuweeyo ssaddaaka eri Katonda waffe.’ 9 Abasajja mubongereko ku mirimu gye mubasalira, bakole nnyo, balyoke baleme na kufa ku ebyo bye babalimbalimba.”
Abakozesa Bongera ku Mirimu gy’Abayisirayiri
10 Awo abakozesa ne bannampala ne bagenda ne bategeeza abantu nti, “Falaawo agambye bw’ati nti, ‘Sijja kwongera kubawanga ssubi. 11 Mugende mwenoonyeze essubi yonna gye musobola okuliraba; kyokka emirimu gyammwe tegijja kukendeezebwako n’akatono.’ ” 12 Bwe batyo abantu ne basaasaanira Misiri yonna okukuŋŋaanya obukonge bw’essubi ly’eŋŋaano bakozese obwo mu kifo ky’essubi. 13 Abakozesa ne babakuluusanyanga nga babalagira nti, “Emirimu gyammwe egibasalirwa buli lunaku, mugituukirize nga bwe mwakolanga ng’essubi likyabaweebwa.” 14 (AD)Bannampala Abayisirayiri, abaalondebwa abakozesa ba Falaawo, ne bakubibwanga nga bwe babuuzibwa nti, “Lwaki omuwendo gw’amatoffaali ogwa jjo n’ogwa leero ogwabasalirwa temugutuukirizza nga bwe mwakolanga edda?”
15 Awo bannampala Abayisirayiri ne bajja ne bajulira ewa Falaawo, ne bamugamba nti, “Ffe abaddu bo, lwaki otuyisizza bw’oti? 16 Abaddu bo tetuweebwa ssubi, kyokka tulagirwa nti, ‘Mubumbe amatoffaali!’ Abaddu bo tukubibwa, so ng’omusango guli mu bantu bo.” 17 (AE)Falaawo n’abaddamu nti, “Muli bagayaavu bugayaavu kyokka. Kyemuva mundeeberera nti, ‘Tuleke tugende tuweeyo ssaddaaka eri Mukama.’ 18 Kale, mugende mukole! Temujja kuweebwa ssubi, naye muteekwa okubumba omuwendo gw’amatoffaali omujjuvu nga bwe gwabasalirwa.”
19 Bannampala Abayisirayiri ne bategeera ng’akacwano kabatuukiridde, bwe baagambibwa nti, “Omuwendo gw’amatoffaali ogwabasalirwa okubumbanga buli lunaku tegujja kukendeezebwako.” 20 Bwe baava ewa Falaawo, baasanga Musa ne Alooni nga babalindiridde. 21 (AF)Bannampala ne babagamba nti, “Mukama abatunuulire era asalewo; kubanga mutufudde ekyenyinyalwa ewa Falaawo n’abaweereza be, era mubakwasizza ekitala okututta.”
Omukulu mu Bwakabaka obw’Omu Ggulu
18 Mu kiseera ekyo abayigirizwa ba Yesu ne bajja gy’ali nga bagamba nti, “Ani asinga obukulu mu bwakabaka obw’omu ggulu?”
2 Yesu n’ayita omwana omuto n’amussa mu makkati gaabwe. 3 (A)N’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti bwe mutakyuke kufaanana ng’abaana abato temugenda kuyingira mu bwakabaka obw’omu ggulu. 4 (B)Noolwekyo buli eyeetoowaza ng’omwana ono omuto y’aliba asinga obukulu mu bwakabaka obw’omu ggulu.
5 (C)“Na buli asembeza omwana omuto ng’ono mu linnya lyange ng’asembeza Nze. 6 (D)Naye alyesittaza omu ku baana abato anzikiririzaamu, asaanidde okusibibwa olubengo mu bulago asuulibwe mu nnyanja.”
7 (E)“Ensi zigisanze! Kubanga ejjudde ebibi bingi. Okukemebwa okukola ebibi tekulema kubaawo, naye zimusanze oyo akuleeta. 8 (F)Obanga omukono gwo gukuleetera okwonoona gutemeko ogusuule. Kisinga okuyingira mu bulamu ng’ogongobadde oba ng’olemadde, okusinga okugenda mu muliro ogutazikira ng’olina emikono ebiri n’ebigere bibiri. 9 (G)Obanga eriiso lyo nga likuleetera okwonoona, liggyeemu olisuule. Kisinga okuyingira mu ggulu ng’olina eriiso limu okusinga okusuulibwa mu muliro gwa ggeyeena ng’olina amaaso go gombi.”
Olugero lw’Endiga Eyabula
10 (H)“Mwekuume obutanyoomanga n’omu ku baana bano abato. Kubanga mbagamba nti bamalayika baabwe ennaku zonna babeera mu maaso ga Kitange ali mu ggulu. 11 Kubanga Omwana w’Omuntu yajja okulokola ekyabula[a].
12 “Mulowooza kiki ekituufu? Omuntu bw’aba n’endiga ze ekikumi, emu n’emubulako, taleka ziri ekyenda mu omwenda ku lusozi n’agenda anoonya eri emu ebuze? 13 Ddala ddala mbagamba nti, bw’agiraba agisanyukira nnyo okusinga ziri ekyenda mu omwenda ezitaabuze. 14 Kale bwe kityo ne Kitammwe ali mu ggulu tasiima kulaba ng’omu ku bato bano ng’azikirira.”
Owooluganda Okusonyiwa Muganda we
15 (I)“Muganda wo bw’akusobyanga ogendanga gy’ali n’omutegeeza ekisobyo kye nga muli babiri. Bw’akkirizanga n’akwetondera olwo ng’oggyeemu omuntu mu muganda wo. 16 (J)Naye bw’agaananga okukuwuliriza, ofunangayo omuntu omulala omu oba babiri obujulirwa bw’abantu ababiri oba abasatu bukakase buli kigambo. 17 (K)Naye bw’agaananga okubawuliriza ng’ensonga ozitwala eri Ekkanisa. Singa agaana okuwuliriza Ekkanisa, abeere nga munnaggwanga, era omuwooza w’omusolo.
18 (L)“Ddala ddala mbagamba nti byonna bye mulisiba ku nsi, ne mu ggulu birisibwa ne bye mulisumulula ku nsi, ne mu ggulu bigenda kusumululwa.
19 (M)“Era ddala ddala mbagamba nti bwe munaabanga babiri mu nsi ne mukkiriziganya ku ekyo kye mwagala okusaba, Kitange ali mu ggulu alikibakolera. 20 Kubanga abantu ababiri oba abasatu bwe banaakuŋŋaananga mu linnya lyange, nange nnaabeeranga awo wakati waabwe.”
19 (A)Naye ggwe, Ayi Mukama, tobeera wala nange.
Ggwe, Amaanyi gange, yanguwa okunnyamba!
20 (B)Omponye okuttibwa n’ekitala;
obulamu bwange obw’omuwendo butaase mu maanyi g’embwa!
21 Nzigya mu kamwa k’empologoma,
omponye amayembe g’embogo enkambwe.
22 (C)Nnaategezanga ku linnya lyo mu booluganda;
nnaakutenderezanga mu kibiina ky’abantu.
23 (D)Mmwe abatya Mukama, mumutenderezenga.
Abaana ba Yakobo mwenna mumugulumizenga;
era mumussengamu ekitiibwa nga mumutya, mmwe abaana ba Isirayiri mwenna.
24 (E)Kubanga tanyooma kwaziirana
kw’abo abali mu nnaku,
era tabeekweka,
wabula abaanukula bwe bamukoowoola.
25 (F)Mu ggwe mwe muva ettendo lyange mu kibiina ekinene, ne nkutendereza olw’ebyo by’onkoledde.
Obweyamo bwange nnaabutuukirizanga mu maaso gaabo abakutya.
26 (G)Abaavu banaalyanga ne bakkuta,
abo abanoonya Mukama banaamutenderezanga.
Emitima gyabwe ginaajaguzanga emirembe gyonna.
Obuvunaanyizibwa n’Essanyu mu Bufumbo
15 Onoonywanga amazzi ag’omu kidiba kyo,
n’amazzi agava mu luzzi lwo goonoonywanga.
16 Ensulo zo zisaanye okukulukutira mu nguudo,
n’enzizi zo mu bifo ebigazi eby’omu kibuga?
17 Leka bibeere bibyo wekka,
bireme kugabanibwako b’otomanyiiko n’akamu.
18 (A)Kale leka ensulo yo ebeere n’omukisa,
era osanyuke ne mukazi wo ow’omu buvubuka bwo.
19 (B)Ng’ennangaazi eyeeyagaza n’empeewo esanyusa,
leka okusuuta kwe kukumalenga ennaku zonna era naye akwetoloozenga okwagala kwe.
20 Lwaki mwana wange osendebwasendebwa omukazi omwenzi,
n’ogwa mu kifuba ky’omukazi w’omusajja omulala?
21 (C)Kubanga Mukama alaba amakubo g’omuntu gonna,
era n’akebera n’amakubo ge gonna.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.