Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Old/New Testament

Each day includes a passage from both the Old Testament and New Testament.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Olubereberye 46-48

Yakobo Agenda e Misiri

46 (A)Awo Isirayiri n’addira byonna bye yalina, n’atandika olugendo; bwe yatuuka e Beriseba n’awaayo ssaddaaka eri Katonda wa kitaawe Isaaka.

(B)Katonda n’ayogera ne Isirayiri mu kwolesebwa ekiro, n’amuyita nti, “Yakobo, Yakobo?”

N’amuddamu nti, “Nze nzuuno.”

(C)Katonda n’amugamba nti, “Nze Katonda, Katonda wa kitaawo; totya kuserengeta Misiri, kubanga ndi kufuulirayo eyo eggwanga eddene. (D)Nzija kuserengeta naawe e Misiri, era ndi kuggyayo; era olifiira mu mikono gya Yusufu.”

(E)Awo Yakobo n’ava e Beriseba, batabani be ne bamutwalira wamu n’abaana baabwe abato, ne bakazi baabwe ne babassa mu magaali Falaawo ge yaweereza okumutwala. (F)Era ne batwala ebisibo n’ebintu byabwe bye baafunira mu nsi ya Kanani ne batuuka e Misiri, Yakobo wamu n’ezzadde lye. (G)Batabani be ne bazzukulu be, bawala be n’abaana ba bawala be; ezzadde lye lyonna n’alireeta mu Misiri wamu naye.

Abaana n’Abazzukulu ba Yakobo

(H)Gano ge mannya g’abazzukulu ba Isirayiri abaagenda e Misiri ne Yakobo:

Lewubeeni mutabani wa Yakobo omubereberye,

(I)ne batabani ba Lewubeeni:

Kanoki, ne Palu, ne Kezulooni ne Kalumi.

10 (J)Ne batabani ba Simyoni:

Yamweri, ne Yamini, ne Okadi, ne Yakini, ne Zokali ne Sawuli omwana w’omukazi Omukanani.

11 (K)Ne batabani ba Leevi:

Gerusoni, ne Kokasi ne Merali.

12 (L)N’aba Yuda:

Eri, ne Onani, ne Seera, ne Pereezi ne Zeera; naye bo Eri ne Onani baafiira mu nsi ya Kanani.

Batabani ba Pereezi baali:

Kezulooni ne Kamuli.

13 (M)Bo aba Isakaali baali:

Tola, ne Puva, ne Yobu ne Simuloni.

14 (N)Batabani ba Zebbulooni baali

Seredi, ne Eroni ne Yaleeri.

15 Abo be batabani ba Leeya be yazaalira Yakobo nga bali mu Padanalaamu, omuwala ye yali Dina. Abaana bonna aboobulenzi n’aboobuwala baali amakumi asatu mu basatu.

16 (O)Batabani ba Gaadi baali

Zifiyooni, ne Kagi, ne Suni, ne Ezuboni, ne Eri, ne Alodi ne Aleri.

17 (P)Bo batabani ba Aseri be bano:

Imuna, ne Isuva, ne Isuvi, ne Beriya

awamu ne Seera mwannyinaabwe.

Bo Batabani ba Beriya baali

Keba ne Malukiyeeri.

18 (Q)Bano be batabani ba Zirupa, Labbaani gwe yawa Leeya muwala we, be yazaalira Yakobo; abantu kkumi na mukaaga.

19 (R)Batabani ba Laakeeri, mukazi wa Yakobo be bano

Yusufu ne Benyamini.

20 (S)Aba Yusufu ng’ali e Misiri baali Manase ne Efulayimu, Asenaasi muwala wa Potiferi kabona wa Oni be yamuzaalira.

21 (T)Ne batabani ba Benyamini be ba:

Bera, ne Bekeri, ne Asuberi, ne Gera, ne Naamani, ne Eki, ne Losi, ne Mupimu, ne Kupimu ne Aludi.

22 Abantu abasibuka mu Laakeeri mukazi wa Yakobo baali kkumi na bana.

23 Mutabani wa Ddaani ye

Kusimu.

24 Bo aba Nafutaali be ba:

Yazeeri, ne Guni, ne Yezeri, ne Siremu.

25 (U)Bano be baava mu Biira mukazi wa Yakobo, Labbaani gwe yawa Laakeeri muwala we; bonna be bantu musanvu.

26 (V)Abantu bonna aba Yakobo abajja mu Misiri, ab’enda ye nga totaddeeko baka baana be, baali abantu nkaaga mu mukaaga. 27 (W)Batabani ba Yusufu abaamuzaalirwa ng’ali mu Misiri baali babiri. Abantu bonna ab’ennyumba ya Yakobo abajja e Misiri baali nsanvu[a].

Okutuula e Misiri

28 (X)Yakobo n’atuma Yuda eri Yusufu ajje amusisinkane mu Goseni, ne batuuka e Goseni. 29 (Y)Awo Yusufu n’ateekateeka eggaali lye n’agenda okusisinkana Isirayiri kitaawe e Goseni, n’amweraga, n’amugwa mu kifuba n’akaabira mu kifuba kye okumala akabanga.

30 Isirayiri n’agamba Yusufu nti, “Kale kaakano ka nfe, kubanga ndabye amaaso go ne ntegeera nti okyali mulamu.”

31 (Z)Yusufu n’agamba baganda be n’ab’ennyumba ya kitaawe nti, “Nzija kugenda eri Falaawo mugambe nti, ‘Baganda bange n’ennyumba ya kitange abaali mu nsi ya Kanani bazze gye ndi. 32 Kyokka balunzi; balunda ente era baleese amagana gaabwe n’ebisibo byabwe ne byonna bye balina.’ 33 (AA)Kale Falaawo bw’abayita n’ababuuza nti, ‘Mukola mulimu ki?’ 34 (AB)Mumuddemu nti, ‘Abaweereza bo kasookedde tuzaalibwa tuli balunzi, ffe ne bajjajjaffe.’ Mulyoke mubeere mu nsi ya Goseni, kubanga abalunzi baamuzizo eri Abamisiri.”

47 (AC)Awo Yusufu n’agenda eri Falaawo n’amugamba nti, “Kitange ne baganda bange n’amagana gaabwe n’ebisibo byabwe ne byonna bye balina bazze nga bava mu Kanani; kaakano bali Goseni.” Yalondako bataano ku baganda be, n’agenda nabo ewa Falaawo.

(AD)Falaawo n’ababuuza nti, “Omulimu gwammwe mulimu ki?” Ne bamuddamu nti, “Abaweereza bo tuli balunzi nga bajjajjaffe. (AE)Tuzze muno kunoonyeza bisibo byaffe muddo, kubanga abaddu bo tuva mu njala mpitirivu eri mu Kanani; ne kaakano abaddu bo tukusaba tubeere e Goseni.”

Awo Falaawo n’agamba Yusufu nti, “Kitaawo ne baganda bo bazze gy’oli. (AF)Ensi y’e Misiri gw’ogirinako obuyinza, teeka kitaawo ne baganda bo awasinga obulungi; bateeke e Goseni. Era obanga omanyi asobola mu bo muwe akuume ente zange.”

(AG)Awo Yusufu n’ayingiza Yakobo, kitaawe n’amwanjula eri Falaawo. Yakobo n’asabira Falaawo omukisa. Falaawo n’abuuza Yakobo nti, “Olina emyaka emeka?” (AH)Yakobo n’addamu nti, “Emyaka egy’olugendo lwange mu nsi giri kikumi mu amakumi asatu; emyaka gyange gibadde mitono era mizibu; siwangadde nga bajjajjange.” 10 (AI)Olwo Yakobo n’asabira Falaawo omukisa n’ava mu maaso ga Falaawo.

11 (AJ)Awo Yusufu n’asenza kitaawe ne baganda be e Misiri, n’abawa ekitundu ekyali kisinga obulungi eky’e Goseni, mu Disitulikiti ey’e Lamusesi nga Falaawo bwe yalagira. 12 (AK)Yusufu n’awa kitaawe ne baganda be n’ab’ennyumba ya kitaawe emmere ng’omuwendo gw’abaana baabwe bwe gwali.

Yusufu mu Njala

13 (AL)Awo emmere n’eggwa mu kitundu ekyo kyonna kubanga enjala yayitirira obungi, ne kireetera ensi y’e Misiri ne Kanani okukosebwa ennyo. 14 (AM)Yusufu n’akuŋŋaanya ensimbi zonna ezaali mu Misiri ne mu Kanani ng’abaguza emmere; n’azireeta mu lubiri lwa Falaawo. 15 (AN)Awo ensimbi bwe zaggwa ku bantu b’e Misiri ne Kanani ne bajja eri Yusufu ne bamugamba nti, “Tuwe emmere. Ensimbi zituweddeko. Lwaki tufa?”

16 Yusufu n’abagamba nti, “Kale obanga ensimbi zibaweddeko mundeetere ensolo zammwe mbaguze emmere.” 17 (AO)Awo ne bamuleetera amagana g’ensolo zaabwe, omwali embalaasi, n’endiga, n’ente, n’endogoyi, okubiwaanyisaamu emmere; emmere eyo n’ebayisa mu mwaka ogwo.

18 Omwaka ogwo bwe gwaggwaako, ne bajja eri Yusufu mu mwaka ogwaddirira ne bamugamba nti, “Tetuukukise mukama waffe, ensimbi zituweddeko n’ensolo zaffe zifuuse zizo tewali kye tusigazza, wabula emibiri gyaffe gino n’ebyalo byaffe. 19 Tufiira ki nga w’oli? Tugule ffe n’ebyalo byaffe otuwe emmere tuleme okufa, naffe tuliba baddu ba Falaawo, ensi yaffe ereme okuzikirira.”

20 Bw’atyo Yusufu n’agulira Falaawo ensi yonna ey’e Misiri. Abamisiri kinoomu, bonna ne batunda ebyalo byabwe kubanga enjala yali mpitirivu, ensi yonna n’efuuka ya Falaawo. 21 Bwe batyo n’abantu baamu okuva ku njuyi zonna ne bafuuka baddu ba Falaawo. 22 (AP)Ekitundu kya bakabona kye kyokka ky’ataagula, kubanga bo baasasulwanga Falaawo. Kye yabasasulanga kwe beeguliranga ebyokulya; bo kyebaava batatunda ttaka lyabwe.

23 Awo Yusufu n’agamba abantu nti, “Mulabe, olwa leero mbaguze mmwe n’ebyalo byammwe; mbagulidde Falaawo. Kale kaakano ensigo zino zammwe munaazisiga. 24 (AQ)Bwe mulikungula, muliwa Falaawo ekitundu kimu kyakutaano, ebitundu bina bya kutaano biriba byammwe, okuba ensigo mu nnimiro zammwe, n’emmere ku lwammwe n’ab’ennyumba zammwe n’abaana bammwe.” 25 (AR)Ne bamuddamu nti, “Otuwonyezza okufa; mukama waffe bw’anaasiima tuliba baddu ba Falaawo.”

26 (AS)Awo Yusufu n’ateeka etteeka erikwata ku ttaka mu nsi y’e Misiri; weeliri n’okutuusa kaakano, nti ekitundu kimu kyakutaano kiba musolo gwa Falaawo; ettaka ly’abakabona lyokka lye litaafuuka lya Falaawo.

Ekisuubizo kya Yusufu eri Yakobo

27 (AT)Bw’atyo Isirayiri n’abantu be ne babeera mu nsi y’e Misiri, mu Goseni, ne bagaggawalira mu kitundu ekyo. Baazaala ne baala nnyo. 28 (AU)Yakobo n’amala mu Misiri emyaka kkumi na musanvu. Bw’atyo Yakobo n’awangaala emyaka kikumi mu ana mu musanvu. 29 (AV)Ekiseera eky’okufa kwa Isirayiri bwe kyali kisembedde, n’ayita mutabani we Yusufu n’amugamba nti, “Obanga nfunye ekisa mu maaso go teeka omukono gwo wansi w’ekisambi kyange, ondayirire ng’onompulira n’otonkuusakuusa: tonziikanga mu Misiri, 30 (AW)onteekanga wamu ne bajjajjange. Olintwala n’onziika ku butaka.”

Yusufu n’amuddamu nti, “Ndikola nga bw’ogambye.”

31 (AX)N’amugamba nti, “Ndayirira.” N’amulayirira. Awo Isirayiri n’akoteka omutwe gwe ng’atudde emitwetwe w’ekitanda kye.

Yakobo Asabira Batabani ba Yusufu Omukisa

48 (AY)Oluvannyuma Yusufu n’ategeezebwa nti, “Laba, kitaawo mulwadde.” Bw’atyo n’atwala batabani be Manase ne Efulayimu; Yakobo n’ategeezebwa nti, “Mutabani wo azze okukulaba.”

Awo Yakobo ne yeekakaba ku kitanda kye n’atuula. (AZ)N’agamba Yusufu nti, “Katonda Ayinzabyonna yandabikira e Luzi mu nsi ya Kanani n’ampa omukisa. (BA)N’aŋŋamba nti, ‘Laba, ndikwaza n’osukkirira ne nkufuula abantu abangi, era ensi eno ndigiwa ezzadde lyo okuba obutaka bwabwe ennaku zonna.’

(BB)“Kale kaakano batabani bo bombi abaakuzaalirwa mu Misiri nga sinnajja, bange; Efulayimu ne Manase baliba bange nga Lewubeeni ne Simyoni bwe bali. N’abo abaakuzaalirwa oluvannyuma lwabwe baliba babo, banaayitibwa amannya ga baganda baabwe mu mugabo gwabwe. (BC)Kubanga bwe najja ng’ava e Paddani, ne ndaba ennaku Laakeeri n’anfiirako mu kkubo mu nsi ya Kanani, nga nkyagenda Efulasi; ne mmuziika eyo mu kkubo erigenda Efulasi, ye Besirekemu.”

Isirayiri bwe yalaba batabani ba Yusufu n’abuuza nti, “Bano be baani?”

(BD)Yusufu n’addamu kitaawe nti, “Be batabani bange, Katonda b’ampeeredde wano.”

N’amugamba nti, “Nkusaba obansembereze mbasabire omukisa.”

10 (BE)Mu kiseera kino amaaso ga Isirayiri gaali gayimbadde olw’obukadde, nga takyasobola kulaba. Awo Yusufu n’abamusembereza, Yakobo n’abagwa mu kifuba n’abanywegera.

11 (BF)Isirayiri n’agamba Yusufu nti, “Saasuubira kulaba maaso go; era laba Katonda ansobozesezza okulaba n’abaana bo.”

12 Awo Yusufu n’abaggya ku maviivi ge n’avuunama wansi. 13 (BG)Yusufu n’abatwala bombi, Efulayimu ng’ali mu mukono gwe ogwa ddyo, okwolekera ogwa Isirayiri ogwa kkono, ne Manase ng’ali mu mukono gwe ogwa kkono okwolekera ogwa Isirayiri ogwa ddyo, n’abamusembereza. 14 (BH)Isirayiri n’agolola omukono gwe ogwa ddyo n’aguteeka ku mutwe gwa Efulayimu eyali omuto, n’omukono gwe ogwa kkono n’aguteeka ku mutwe gwa Manase, n’ayisiŋŋanya emikono gye, kubanga Manase ye yasooka okuzaalibwa.

15 (BI)N’awa Yusufu omukisa, n’agamba nti,

“Katonda wa jjajjange
    Ibulayimu ne kitange Isaaka gwe baatambulira mu maaso ge,
Katonda oyo ankulembedde obulamu bwange bwonna
    okutuusa leero,
16 (BJ)Malayika oyo eyannunula okuva mu bizibu byonna,
    owe omukisa abalenzi bano.
Erinnya lyange lyeyongerenga okutuumibwa mu bo
    era n’erya Ibulayimu n’erya Isaaka.
Era bafuuke ekibiina ekinene
    mu maaso g’ensi.”

17 (BK)Yusufu bwe yalaba nga kitaawe atadde omukono gwe ogwa ddyo ku Efulayimu n’atakyagala, n’akwata omukono gwa kitaawe okuguggya ku mutwe gwa Efulayimu aguzze ku mutwe gwa Manase. 18 N’agamba kitaawe nti, “Kireme kuba kityo, kitange, kubanga ono ye mubereberye, teeka omukono ogwa ddyo ku mutwe gwe.”

19 (BL)Naye kitaawe n’agaana n’agamba nti, “Mmanyi, mwana wange, mmanyi nti alifuuka eggwanga era aliba mukulu; kyokka muto we aliba mukulu okumusinga era alivaamu amawanga mangi.” 20 (BM)Awo n’abasabira omukisa ku lunaku olwo ng’agamba nti,

“Abaana ba Isirayiri basabiragane omukisa nga bagamba nti,
    ‘Katonda akuyise nga Efulayimu ne Manase.’ ”

Bw’atyo n’ateeka Efulayimu mu maaso ga Manase.

21 (BN)Ate Isirayiri n’agamba Yusufu nti, “Laba, nnaatera okufa, kyokka Katonda alibeera naawe era alikuzzaayo mu nsi ya bajjajjaabo. 22 (BO)Wabula ggwe nkuwadde kinene okusinga baganda bo, nkuwadde ekitundu kimu ekikkirira olusozi, kye naggya ku Bamoli n’ekitala kyange n’omutego gwange.”

Matayo 13:1-30

Olugero lw’Omusizi

13 (A)Ku lunaku olwo Yesu n’afuluma mu nnyumba n’agenda n’atuula ku lubalama lw’ennyanja. (B)Ekibiina kinene ne kimukuŋŋaanirako. Kwe kuyingira mu lyato n’atuula omwo abantu bonna ne bayimirira ku lubalama. N’ababuulira ebintu bingi mu ngero ng’agamba nti, “Omulimi yali asiga ensigo mu nnimiro ye. Bwe yagenda ng’amansa ensigo, ezimu ne zigwa ku mabbali g’ekkubo, ennyonyi ne zijja ne zizirya. Endala ne zigwa ku lwazi okutali ttaka lingi era ne zimera mangu kubanga ettaka teryali ggwanvu. Naye omusana bwe gwayaka ne ziwotoka kubanga emirandira gyazo gyali kumpi. Endala ne zigwa mu maggwa, bwe zaamera amaggwa nago ne gakula ne gazisinga amaanyi, obulimi obwali bwakamera ne bukala. (C)Endala ne zigwa ku ttaka eddungi, ne zimera ne zibala bulungi, ne zivaamu emirundi amakumi asatu, n’endala emirundi nkaaga n’endala emirundi kikumi. (D)Alina amatu agawulira, awulire.”

10 Abayigirizwa be ne bamusemberera ne bamubuuza nti, “Lwaki oyogera nabo mu ngero?”

11 (E)N’abaddamu nti, “Mmwe mulina omukisa kubanga mwaweebwa okutegeera ebyama eby’obwakabaka obw’omu ggulu, naye bo tebaakiweebwa. 12 (F)Kubanga buli alina alyongerwako abeerere ddala na bingi, naye oyo atalina aliggyibwako n’ako akatono k’alina. 13 (G)Kyenva njigiriza mu ngero:

“Abalaba baleme okulaba,
    n’abawulira baleme okuwulira wadde okutegeera.

14 Kino kituukiriza nnabbi Isaaya kye yagamba nti,

“ ‘Muliwulira naye temulitegeera
    n’okulaba muliraba naye temulimanya.
15 (H)Kubanga omutima gw’abantu bano
    gwesibye,
    n’amatu gaabwe tegawulira bulungi.
N’amaaso gaabwe gazibiridde baleme okulaba n’amaaso wadde okuwulira n’amatu,
    wadde omutima gwabwe okutegeera,
ne bakyuka
    ne mbawonya.’

16 (I)Naye amaaso gammwe galina omukisa, kubanga galaba, n’amatu gammwe kubanga gawulira. 17 (J)Ddala ddala mbagamba nti, Waaliwo bannabbi bangi, n’abatuukirivu bangi abeegombanga okulaba ku bino bye mulaba, n’okuwulira bye muwulira kyokka ne batafuna mukisa ogwo.

18 “Noolwekyo muwulirize olugero lw’omulimi eyasiga ensigo. 19 (K)Ensigo eyagwa ku mabbali g’ekkubo efaanana ng’omuntu awulira ekigambo kya Katonda n’atakitegeera era omulabe Setaani n’ajja n’akimusikulako okuva ku mutima. 20 Ensigo eyagwa ku byaziyazi efaanana ng’omuntu awulira ekigambo, amangwago n’akyaniriza n’essanyu, 21 (L)naye olw’okuba nga talina mmizi mu ye, wa kaseera buseera, ennaku n’okuyigganyizibwa bwe bijja olw’ekigambo, amangwago n’agwa. 22 (M)N’ensigo eyagwa mu maggwa efaanana ng’omuntu awulira ekigambo naye okweraliikirira kw’ebintu by’ensi n’obugagga obutaliimu ne bibuutikira ekigambo ne kitabala bibala. 23 (N)Naye ensigo eyagwa ku ttaka eddungi efaanana ng’omuntu awulira ekigambo n’akitegeera, n’abalira ddala ebibala, n’abala ebibala amakumi asatu, oba nkaaga oba kikumi.”

24 (O)N’abagerera olugero olulala nti, “Obwakabaka obw’omu ggulu bufaanana n’omuntu eyasiga ensigo ennungi mu nnimiro ye, 25 naye ekiro nga yeebase abasajja abalabe ne bajja ne basiga omuddo wakati mu ŋŋaano ye ne bagenda. 26 Naye eŋŋaano ennungi bwe yamera, n’omuddo ne gumerera wamu nayo.

27 “Naye abaddu b’omwami w’ennyumba bwe baamusemberera ne bamugamba nti, ‘Mukama waffe, tewasiga nsigo nnungi mu nnimiro yo? Naye ate omuddo guvudde wa?’

28 “Ye n’abaddamu nti, ‘Omulabe ye yakola ekyo.’ Abaddu kyebaava bamubuuza nti, ‘Tugende tugukoolemu?’

29 “N’abaddamu nti, ‘Nedda, kubanga bwe munaaba mukuulamu omuddo mujja kukuuliramu n’eŋŋaano. 30 (P)Kale mubireke byonna bikulire wamu, okukungula bwe kulituuka ne ndyoka ndagira abakunguzi basooke bakuŋŋaanye omuddo bagusibeko n’oluvannyuma bagwokye, naye yo eŋŋaano bagikuŋŋaanyize mu tterekero lyange.’ ”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.