Old/New Testament
Abimereki Atwala Mukazi wa Ibulayimu
20 (A)Ibulayimu bwe yava eyo n’atambula okwolekera Negevu, n’abeera wakati wa Kadesi ne Ssuuli; n’agenda mu Gerali. 2 (B)Ibulayimu n’ayogera ku Saala mukazi we nti, “Mwannyinaze.” Abimereki kabaka we Gerali n’atumya n’atwala Saala.
3 (C)Naye Katonda n’ajja eri Abimereki mu kirooto ekiro n’amugamba nti, “Laba oli mufu, olw’omukazi gw’otutte kubanga muka musajja.” 4 (D)Naye Abimereki yali tanneebaka naye, n’alyoka agamba nti, “Onotta abantu abataliiko musango. 5 Si yeyaŋŋamba nti, ‘Mwannyinaze?’ Era ne Saala n’aŋŋamba nti, ‘Mwannyina.’ Kino nkikoze mu mutima omutuukirivu n’emikono gyange tegiriiko musango.”
6 (E)Awo Katonda n’ayogera naye mu kirooto nti, “Ddala mmanyi nti okoze kino mu mutima omutuukirivu, era nze nakukuuma oleme okwonoona gye ndi; ne nkuziyiza okumukwatako. 7 (F)Kale kaakano zzaayo mukazi w’omusajja, kubanga nnabbi, era anaakusabira, nawe on’oba mulamu. Naye bw’otomuzzeeyo, manya ng’ojja kufa, ggwe ne by’olina byonna.”
Okwegayirira kw’Abimereki eri Ibulayimu
8 Awo Abimereki n’agolokoka mu makya ennyo n’ayita abakungu be bonna n’abategeeza ebintu bino byonna; abasajja ne batya nnyo. 9 (G)Awo Abimereki n’ayita Ibulayimu n’amugamba nti, “Otukoze ki? Era nsobi ki gye nkukoze, n’ondeetera nze n’obwakabaka bwange ekibi ekinene ekyenkana awo? By’onkoze tebisaana kukolebwa muntu.” 10 Era Abimereki n’agamba Ibulayimu nti, “Wali olowooza ki okukola ekintu kino?” 11 (H)Ibulayimu n’addamu nti, “Nakikola kubanga nalowooza nti mu kifo kino temuliimu kutya Katonda n’akamu, era balinzita olwa mukazi wange. 12 Naze ebyo nga biri awo ddala mwannyinaze, muwala wa kitange, naye si muwala wa mmange; era yafuuka mukazi wange. 13 Katonda bwe yandeeta okuva mu nnyumba ya kitange, ne mugamba nti, ‘Eky’ekisa ky’oyinza okunkolera kye kino, buli kifo kye tutuukamu njogeraako nti ndi mwannyoko.’ ”
14 (I)Awo Abimereki n’atwala endiga n’ente, abaweereza abasajja n’abaweereza abakazi, n’abiwa Ibulayimu, n’amuddiza Saala mukyala we. 15 (J)Era Abimereki n’amugamba nti, “Laba ensi yange eri mu maaso go, beera w’oyagala.”
16 N’agamba ne Saala nti, “Laba mpadde mwannyoko ebitundu bya ffeeza lukumi, okukumalako ensonyi mu maaso gaabo bonna abali naawe.”
17 (K)Awo Ibulayimu n’asabira Abimereki eri Katonda, ne Katonda n’awonya Abimereki era n’awonya ne mukazi we; n’abaweereza be abakazi ne balyoka bazaala abaana. 18 (L)Kubanga Mukama yali aggalidde embuto z’ab’omu nnyumba y’Abimereki olwa Saala mukazi wa Ibulayimu.
Okuzaalibwa kwa Isaaka
21 (M)Awo Mukama n’akwatirwa Saala ekisa nga bwe yagamba Ibulayimu n’akola Saala nga bwe yasuubiza. 2 (N)Saala n’aba olubuto, n’azaalira Ibulayimu omwana owoobulenzi mu bukadde bwe, mu kiseera Mukama kye yamugamba. 3 (O)Ibulayimu n’atuuma omwana owoobulenzi, eyamuzaalirwa Saala, erinnya Isaaka. 4 (P)Ibulayimu n’akomola mutabani we Isaaka ow’ennaku omunaana ez’obukulu nga Katonda bwe yamulagira. 5 Ibulayimu yali aweza emyaka kikumi mutabani we Isaaka bwe yazaalibwa.
6 (Q)Saala n’agamba nti, “Katonda andeetedde okusekererwa, buli anaawulira anansekerera.” 7 Era n’agamba nti, “Ani yandirowoozezza nti Saala alifuna omwana? Naye, laba mmuzaalidde omwana wabulenzi.”
Agali ne Isimayiri Bagobwa
8 Isaaka n’akula, n’aggyibwa ku mabeere, Ibulayimu n’afumba embaga ennene ku lunaku Isaaka lwe yaggyibwa ku mabeere.[a] 9 (R)Naye Saala yalaba nga mutabani wa Agali Omumisiri, gwe yazaalira Ibulayimu ng’azannya ne mutabani we Isaaka. 10 (S)N’alyoka agamba Ibulayimu nti, “Goba omuweereza ono ne mutabani we, kubanga omwana w’omuweereza ono talisikira wamu na mwana wange Isaaka.”
11 (T)Naye ekyo Ibulayimu n’atakisiima. 12 (U)Katonda n’agamba Ibulayimu nti, “Tonakuwala olw’omulenzi n’olw’omuweereza wo omukazi, buli Saala ky’akugamba kikole; kubanga mu Isaaka mwe ndituukiririza ebyo byonna bye nakusuubiza. 13 (V)Era n’omwana w’omuweereza wo omukazi ndimufuula eggwanga, kubanga ava mu ggwe.” 14 (W)Ibulayimu n’agolokoka ku makya ennyo, n’addira omugaati n’ensawo ey’amazzi n’abiwa Agali n’omwana gwe yazaala ng’abiteeka ku kibegabega kye, n’amusiibula. Agali n’agenda ng’atambulatambula mu ddungu lya Beeruseba.
Agali ne Isimayiri mu Ddungu
15 Awo amazzi ag’omu ddiba bwe gaggwaamu, Agali n’ateeka omwana we wansi w’ogumu ku miti. 16 Agali ne yeeyongerayo ebbanga ng’awalasibwa akasaale, nga mita kikumi, n’atuula okumwolekera, kubanga yayogera nti, “Nneme okulaba omwana ng’afa.” Naye bwe yali ng’atudde, omwana n’ayimusa eddoboozi n’akaaba.
17 (X)Katonda n’awulira eddoboozi ly’omulenzi ng’akaaba, malayika wa Katonda n’ayita Agali ng’asinziira mu ggulu n’amugamba nti, “Kiki ekikuteganya? Totya, kubanga Katonda awulidde eddoboozi ly’omulenzi w’ali. 18 (Y)Golokoka, situla omwana omunyweze mu mikono gyo, kubanga ndimufuula eggwanga eddene.”
19 (Z)Awo Katonda n’azibula amaaso g’Agali, n’alaba oluzzi, n’agenda n’ajjuza ensawo ey’eddiba amazzi, n’anywesa omulenzi.
20 (AA)Awo Katonda n’aba n’omulenzi n’akula n’abeera mu ddungu n’aba mwatiikirivu mu kulasa. 21 (AB)Yabeeranga mu ddungu lya Palani: nnyina n’amufunira omukazi okuva mu nsi y’e Misiri.
Ibulayimu Alagaana n’Abimereki
22 Mu kiseera ekyo Abimereki ng’ali ne Fikoli omukulu w’eggye lye n’agamba Ibulayimu nti, “Katonda ali naawe mu buli ky’okola: 23 (AC)kale kaakano ndayirira mu maaso ga Katonda nga tolinkuusakuusa, wadde okukuusakuusa omwana wange oba omwana w’omwana wange. Naye nga nze bwe nkukoze obulungi nga naawe bw’olinkola nze n’ensi mw’ozze.”
24 Ne Ibulayimu n’amuddamu nti, “Nkulayiridde.”
25 (AD)Awo Ibulayimu ne yeemulugunya eri Abimereki olw’oluzzi lwe abaddu be lwe baamunyagako. 26 Abimereki n’amugamba nti, “Simanyi n’omu eyakola ekintu ekyo, ggwe tewambulira era sikiwulirangako okutuusa ggwe lw’okintegeezeezza olwa leero.” 27 (AE)Awo Ibulayimu n’addira endiga n’ente n’abiwa Abimereki, ne balagaana endagaano bombi.
28 Awo Ibulayimu n’ayawulako endiga enduusi musanvu okuva mu kisibo kye. 29 Abimereki n’abuuza Ibulayimu nti, “Endiga ezo omusanvu enduusi z’oyawuddeko amakulu gaazo ki?” 30 (AF)N’amuddamu nti, “Endiga ezo enduusi omusanvu onoozitwala okuva gye ndi kalyoke kabe obukakafu nti nze nasima oluzzi olwo.”
31 (AG)Ekifo ekyo kyekyava kiyitibwa Beeruseba, kubanga eyo bombi gye baalagaanira. 32 Bwe baamala okukola endagaano e Beeruseba, Abimereki ne Fikoli omukulu w’eggye lye ne basitula ne baddayo mu nsi y’Abafirisuuti.
33 (AH)Ibulayimu n’asimba omuti omumyulimu mu Beeruseba n’akaabiririra eyo erinnya lya Mukama, Katonda Ataggwaawo. 34 Ibulayimu ne yeeyongera okutambulatambula mu nsi y’Abafirisuuti okumala ennaku nnyingi.
Katonda Agezesa Ibulayimu
22 (AI)Awo oluvannyuma lw’ebyo, Katonda n’agezesa Ibulayimu, n’amuyita nti, “Ibulayimu!”
N’addamu nti, “Nze nzuuno.”
2 (AJ)Katonda n’amugamba nti, “Twala mutabani wo, mutabani wo omu yekka, Isaaka, gw’oyagala, ogende mu nsi Moliya ku lumu ku nsozi lwe ndikulaga omuweereyo eyo okuba ekiweebwayo ekyokebwa.”
3 Ibulayimu n’agolokoka ku makya n’ateeka amatandiiko ku ndogoyi ye, n’atwala babiri ku baweereza be abasajja ne Isaaka mutabani we, n’ayasa enku ez’ekiweebwayo ekyokebwa, n’asituka n’agenda mu kifo Katonda kye yamugamba. 4 Ku lunaku olwokusatu Ibulayimu n’ayimusa amaaso ge n’alengera ekifo. 5 Awo Ibulayimu n’agamba balenzi be nti, “Musigale wano n’endogoyi, nze n’omulenzi tugende eri tusinze, tulyoke tukomewo.”
6 (AK)Ibulayimu n’addira enku ez’ekiweebwayo ekyokebwa n’azitikka Isaaka mutabani we, ye n’akwata omuliro n’akambe, ne bagenda bombi. 7 (AL)Isaaka n’agamba Ibulayimu nti, “Taata.”
Ibulayimu n’amuddamu nti, “Nzuuno mwana wange.”
Isaaka n’amubuuza nti, “Laba, omuliro n’enku biibino, naye omwana gw’endiga ogw’ekiweebwayo ekyokebwa guluwa?” 8 Ibulayimu n’amuddamu nti, “Mwana wange, Katonda aneefunira omwana gw’endiga ogw’ekiweebwayo ekyokebwa.” Kale ne bagenda bombi.
Ibulayimu Awaayo Isaaka
9 (AM)Bwe baatuuka mu kifo Katonda kye yamugamba, Ibulayimu n’azimba ekyoto, n’atindikira enku, n’asiba omwana we Isaaka, n’amuteeka ku kyoto ku nku. 10 Awo Ibulayimu n’akwata ekiso, n’agolola omukono gwe atte omwana we. 11 Naye malayika wa Mukama n’amukoowoola ng’asinziira mu ggulu, n’agamba nti, “Ibulayimu! Ibulayimu!”
Ibulayimu n’addamu nti, “Nze nzuuno.” N’amugamba nti, 12 (AN)“Togolola mukono gwo ku mulenzi so tomukola kintu na kimu, kubanga kaakano ntegedde nti otya Katonda, ndabye nti omwana wo tomunnyimye, omwana wo omu yekka bw’ati.”
13 (AO)Awo Ibulayimu n’ayimusa amaaso, n’alaba, era laba, emabega we endiga ennume ng’eri mu kisaka ng’amayembe gaayo mwe galaalidde. Ibulayimu n’agenda n’addira endiga eyo n’agiwaayo okuba ekiweebwayo ekyokebwa, mu kifo ky’omwana we. 14 (AP)Ibulayimu kyeyava atuuma ekifo ekyo erinnya Yakuwayire, era ne kaakano bwe kiyitibwa nti ku lusozi lwa Mukama anaagabiriranga.
15 Awo malayika wa Mukama n’ayita Ibulayimu omulundi ogwokubiri ng’asinziira mu ggulu, 16 (AQ)n’amugamba nti, “Nze Mukama neerayiridde, nga bw’okoze kino, n’otonnyima mwana wo omu yekka bw’ati, 17 (AR)ddala ndikuwa omukisa, era ndyaza ezzadde lyo, ne liba ng’emmunyeenye ez’eggulu era ng’omusenyu oguli ku lubalama lw’ennyanja. Era ezzadde lyo balitwala eby’abalabe baabwe, 18 (AS)era mu zzadde lyo amawanga gonna mwe galiweerwa omukisa, kubanga ogondedde eddoboozi lyange.”
19 Ibulayimu n’alyoka addayo eri abavubuka be, ne basitula ne balaga e Beeruseba.
20 (AT)Awo mu biro ebyo ne babuulira Ibulayimu nti, “Laba Mirika azaalidde Nakoli muganda wo abaana: Uzi ye mubereberye,
21 ne muto we ye Buzi, ne Kemweri kitaawe wa Alamu,
22 ne Kesedi, ne Kazo, ne Pirudaasi, ne Yidulaafu ne Besweri.”
23 (AU)Era Besweri yazaala Lebbeeka.
Abaana abo omunaana Mirika be yazaalira Nakoli muganda wa Ibulayimu.
24 Ate ne mukazi we omulala Lewuma n’azaalira Nakoli, abaana aboobulenzi era be bano:
Teba, ne Gakamu, ne Takasi, ne Maaka.
Obugagga obw’Amazima
19 (A)“Temweterekeranga byabugagga wano ku nsi kwe biyinza okwonoonebwa ennyenje n’obutalagge, n’ababbi kwe bayinza okubibbira. 20 (B)Naye mweterekerenga obugagga bwammwe mu ggulu gye butayinza kwonoonebwa nnyenje wadde obutalagge, n’ababbi gye batayinza kuyingira kububba. 21 (C)Kubanga obugagga bwo gye buli n’omutima gwo gye gunaabeeranga.”
22 “Eriiso y’ettabaaza y’omubiri gwo, noolwekyo eriiso bwe liba eddamu, omubiri gwo gwonna gujjula ekitangaala ng’eky’omusana. 23 Naye eriiso lyo bwe liba ebbi, omubiri gwo gwonna gunaabeeranga n’ekizikiza, noolwekyo ekizikiza ekyo kiba kikwafu nnyo!”
24 (D)“Tewali n’omu ayinza kuweereza bakulu babiri, kubanga alikyawako omu n’ayagala omulala oba aliwulirako omu n’anyooma omulala. Toyinza kuweereza Katonda na mamona.[a] ”
Temweraliikiriranga
25 (E)“Noolwekyo mbagamba nti, Temweraliikiriranga bya bulamu bwammwe, bye munaalya oba bye munaanywa, wadde ebyokwambala. Kubanga obulamu businga ebyokulya, n’omubiri gusinga ebyambalo. 26 (F)Mulabire ku nnyonyi ez’omu bbanga! Tezisiga so tezikungula so tezikuŋŋaanyiza mmere mu tterekero, naye Kitammwe ali mu ggulu aziriisa. Naye mmwe temusinga nnyo ennyonyi ezo? 27 (G)Ani ku mmwe, bwe yeeraliikirira, ayinza okwongerayo obulamu bwe akatundu n’akamu?”
28 “Naye lwaki mweraliikirira ebyokwambala? Mulabire ku malanga ag’oku ttale! Tegaliiko kye geekolera, 29 (H)naye ne Kabaka Sulemaani mu kitiibwa kye kyonna teyagenkana mu kwambala. 30 (I)Naye obanga Katonda ayambaza obulungi bw’atyo omuddo ogw’omu nsiko ogw’ekiseera obuseera, ogubaawo leero ate enkeera ne gwokebwa mu kyoto, talisingawo nnyo okubambaza? Nga mulina okukkiriza okutono! 31 Noolwekyo temweraliikiririranga nga mugamba nti, ‘Tunaalya ki? Oba nti, Tunaanywa ki? Oba nti, Tunaayambala ki?’ 32 (J)Ebyo byonna bannamawanga bye bayaayaanira. Naye Kitammwe ali mu ggulu amanyi ng’ebyo byonna mubyetaaga. 33 (K)Naye musooke munoonye obwakabaka bwa Katonda n’obutuukirivu bwe, ebyo byonna mulibyongerwako. 34 Noolwekyo temweraliikiriranga bya nkya. Kubanga olunaku olw’enkya lulyeraliikirira ebyalwo. Buli lunaku lulina emitawaana gyalwo egimala.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.