The Daily Audio Bible
Today's audio is from the CSB. Switch to the CSB to read along with the audio.
12 (A)Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Omutukuvu wa Isirayiri nti,
“Olw’okugaana obubaka buno,
ne mwesiga okunyigirizibwa,
ne mwesiga omulimba,
13 (B)ekibi kino kyekiriva kikufuukira bbugwe omuwanvu,
alimu enjatika era azimbye,
okutemya n’okuzibula ng’agudde.
14 (C)Alimenyekamenyeka mu bitundutundu ng’ensumbi eyakolebwa mu bbumba,
n’asaasaanyizibwa awatali kusaasira,
era tewaliba luggyo ku byamenyekamenyeka olulirabika
okusobola okuyoozesa omuliro mu kyoto,
oba okusenyesa amazzi mu kinnya.”
15 (D)Weewaawo bw’ati bw’ayogera Mukama Ayinzabyonna Omutukuvu wa Isirayiri nti,
“Mu kwenenya ne mu kuwummula mwe muli obulokozi bwammwe,
mu kusiriikirira ne mu kwesiga mwe muli amaanyi gammwe,
naye temufuddeeyo.
16 (E)Wayogera nti, ‘Nedda tuliddukira ku mbalaasi.’
Kyoliva odduka.
Wayogera nti, ‘Tuliddukira ku mbalaasi ezidduka ennyo.’
Ababagoba kyebaliva bawenyuka emisinde.
17 (F)Abantu olukumi balidduka
olw’okutiisibwatiisibwa kw’omuntu omu;
Olw’okutiisibwatiisibwa kw’abataano,
olidduka,
Okutuusa lw’olisigala ng’omulongooti okuwanikibwa bbendera oguli ku ntikko y’olusozi,
ng’ebendera eri ku kasozi.”
18 (G)Songa Mukama ayagala nnyo okuba ow’ekisa gy’oli;
era agolokoka okukulaga okusaasira.
Kubanga Mukama Katonda wa bwenkanya,
balina omukisa bonna abamulindirira.
19 (H)Mmwe abantu ba Sayuuni ababeera mu Yerusaalemi, temuliddayo kukaaba. Alikukwatirwa ekisa bw’olimukaabira ng’omusaba akuyambe. Amangwago ng’awulidde, alikwanukula. 20 (I)Newaakubadde nga Mukama akuwa omugaati ogw’okulaba ennaku, n’amazzi ag’okubonaabona,[a] abasomesa bo tebaliddamu kukwekebwa, era olibalaba n’amaaso go. 21 (J)Bw’olidda ku mukono ogwa ddyo oba ku gwa kkono, amatu go galiwulira eddoboozi emabega wo nga ligamba nti, “Lino ly’ekkubo, litambuliremu.” 22 (K)Olwo olyonoonayonoona ebintu ebyakolebwa n’emikono ebiriko ffeeza, n’ebifaananyi byo ebyabikkibwako zaabu, era olibisuula nga bw’osuula ekiwero ekikozesebwa mu nsonga za bakyala era olibigamba nti, “Muveewo.”
23 (L)Alibaweereza n’enkuba olw’ensigo z’osiga mu ttaka, n’emmere eva mu ttaka eggimu nga nnyingi. Mu biro ebyo ente zo ziririira mu ddundiro eggazi. 24 (M)Ente n’endogoyi ezirima ettaka zirirya omuddo ogwaterekebwa n’emmere ensotte, eyawewebwa n’ekitiiyo eky’amannyo. 25 (N)Mu biro eby’okuttibwa okunene, emirongooti bwe girigwa, emigga gy’amazzi girikulukuta ku buli lusozi oluwanvu na ku buli kasozi akagulumivu. 26 (O)Omwezi gulyaka ng’enjuba, n’omusana gulyaka emirundi musanvu okusinga ogwa bulijjo, ng’ekitangaala ky’ennaku omusanvu zonna awamu, Mukama bw’alinyiga ekinuubule ky’abantu be, n’awonya ekiwundu ky’abaakosebwa.
27 (P)Laba, erinnya lya Mukama liva wala
n’obusungu obubuubuuka n’omukka ogukutte ng’ekire;
emimwa gye gijjudde ekiruyi,
n’olulimi lwe muliro ogusaanyaawo.
28 (Q)Omukka gwe guli ng’omugga gw’amazzi
agakulukuta n’amaanyi, agabimba okutuuka mu bulago.
Anyeenyanyeenya amawanga mu kakuŋŋunta ak’okuzikirizibwa
era mu mba z’abantu ateekamu eddobo ery’okubawabya.
29 (R)Oluyimba luliba ng’olwo lwoyimba mu kiro ng’ojaguza ku mbaga entukuvu;
omutima gwo gulijaguza ng’abantu bwe bajaguza nga bafuuwa endere
ku lusozi lwa Mukama, ku lwazi lwa Isirayiri.
30 Mukama aliyamba abantu okuwulira eddoboozi lye ery’ekitiibwa,
alibaleetera okulaba omukono gwe nga gukka mu busungu obungi ennyo ne mu muliro ogusaanyaawo, ne mu bire ebibwatuka, ne mu muzira.
31 (S)Weewaawo eddoboozi lya Mukama lirisesebbula Bwasuli,
alibakuba n’omuggo gwe ogw’obwakabaka.
32 (T)Buli muggo Mukama gw’anakukubanga
n’oluga lwe olubonereza,
guliba ng’ebivuga by’ebitaasa n’entongooli,
ng’abalwanyisa n’omukono gwe mu ntalo.
33 (U)Weewaawo Tofesi amaze ebbanga ddene nga yeeteekateeka;
ky’ateekebwateekebwa kabaka.
Ekinnya kyakyo eky’omuliro
kiwanvu era kigazi,
kijjudde omuliro n’enku;
omukka gwa Mukama
gugukoleeza ng’omugga gwa salufa.
Zibasanze abo Abeesiga Misiri
31 (V)Zibasanze abo abaserengeta e Misiri okuyambibwa,
abeesiga embalaasi,
abeesiga amagaali gaabwe amangi,
abeesiga amaanyi amangi ag’abeebagala embalaasi
ne batatunuulira Omutukuvu wa Isirayiri
wadde okunoonya obuyambi bwa Mukama.
2 (W)Kyokka Mukama mugezi era asobola okuleeta akabi;
tajjulula bigambo bye.
Aligolokokera ku nnyumba y’abatali batuukirivu,
ne ku abo abayamba abakozi b’ebibi.
3 (X)Naye Abamisiri bantu buntu si Katonda
n’embalaasi zaabwe mibiri bubiri.
Katonda bw’agolola omukono gwe
oyo ayamba, alyesittala,
n’oyo ayambibwa aligwa
era bombi balizikiririra wamu.
4 (Y)Ddala ddala bw’ati bw’ayogera Mukama gye ndi nti,
“Ng’empologoma bwe wuluguma,
empologoma ey’amaanyi bwe wulugumira ku muyiggo gwayo
era newaakubadde ng’ekibinja ky’abasumba
kiyitibwa awamu okugirumba,
tetiisibwatiisibwa kuwowogana kwabwe,
newaakubadde oluyoogaano lwabwe.
Bw’atyo ne Mukama Katonda ow’Eggye bw’aliserengeta,
okulwanira ku lusozi Sayuuni ne ku busozi bwa lwo.
5 (Z)Ng’ebinyonyi bwe bibuukira waggulu,
bw’atyo Mukama Katonda ow’Eggye bw’alisaanikira Yerusaalemi;
alikikuuma, n’akiwonya,
alikiyitamu n’akirokola.”
6 Mudde eri oyo gwe mwajeemera ennyo, mmwe abaana ba Isirayiri. 7 (AA)Mu biro ebyo buli omu ku mmwe alisuulira ddala wala ebitali Katonda ebya ffeeza ne zaabu, emikono gyo egitali mituukirivu gye byakola.
8 (AB)“Bwasuli kirigwa n’ekitala ekitali kya muntu;
ekitala ekitali ky’abo abafa kirimusaanyaawo.
Alidduka ekitala,
n’abavubuka be balikozesebwa emirimu egy’amaanyi n’obuwaze.
9 (AC)Ekigo kyabwe kirigwa olw’okutya,
n’abaduumizi baabwe balitekemuka omutima olw’okulaba ebbendera ey’olutalo,”
bw’ayogera Mukama
nannyini muliro oguli mu Sayuuni,
era nannyini kikoomi ekiri mu Yerusaalemi.
Obwakabaka obw’Obutuukirivu
32 (AD)Laba, Kabaka alifuga mu butuukirivu,
n’abafuzi balifuga mu bwenkanya.
2 (AE)Buli muntu aliba ng’ekifo eky’okwekwekamu empewo,
ng’ekiddukiro okuva eri kibuyaga,
ng’emigga gy’amazzi mu ddungu,
ng’ekisiikirize eky’olwazi olunene mu nsi ey’ennyonta.
3 (AF)Olwo amaaso gaabo abalaba tegaliziba,
n’amatu g’abo abawulira galiwuliriza.
4 (AG)Omutima gw’abatali bagumiikiriza gulimanya era gulitegeera,
n’olulimi olw’abanaanaagira lulitereera ne boogera bulungi.
5 (AH)Omusirusiru taliddayo kuyitibwa wa kitiibwa,
newaakubadde omuntu omwonoonyi okuteekebwamu ekitiibwa.
6 (AI)Omusirusiru ayogera bya busirusiru,
n’omutima gwe gwemalira ku kukola ebitali bya butuukirivu.
Akola eby’obutatya Katonda,
era ayogera bya bulimba ku Mukama,
n’abayala abaleka tebalina kintu,
n’abalumwa ennyonta abamma amazzi.
7 (AJ)Empisa z’omwonoonyi si za butuukirivu. Akola entegeka ezitali za butuukirivu, alyoke azikirize abaavu n’ebigambo eby’obulimba, ensonga y’abali mu kwetaaga ne bw’eba nga ntuufu.
8 (AK)Naye omuntu ow’ekitiibwa akola entegeka za kitiibwa,
era ku bikolwa bye eby’ekitiibwa kw’anywerera.
9 (AL)Mmwe abakazi abateefiirayo,
mugolokoke muwulirize eddoboozi lyange;
mmwe abawala abawulira nga muli wanywevu,
muwulire bye ŋŋamba.
10 (AM)Mu mwaka gumu oba n’okusingawo,
mmwe abawulira nga muli wanywevu, mulitya,
amakungula g’emizabbibu galifa,
n’amakungula g’ebibala tegalijja.
11 (AN)Mutye mmwe abakazi abateefiirayo,
mukankane mmwe abawala abawulira nga muli wanywevu.
Muggyeko engoye zammwe,
mwesibe ebibukutu mu biwato byammwe.
12 (AO)Munakuwalire ennimiro ezaali zisanyusa,
olw’emizabbibu egyabalanga,
13 (AP)n’olw’ensi ey’abantu bange,
ensi eyamerangamu amaggwa ne katazamiti.
Weewaawo mukaabire ennyumba zonna ezaali ez’amasanyu,
na kino ekibuga ekyali eky’amasanyu.
14 (AQ)Weewaawo ekigo kirirekebwawo,
ekibuga ekirimu oluyoogaano kirifuuka kifulukwa.
Ebigo n’eminaala birifuuka ebitagasa ennaku zonna,
ekifo ekisanyusa endogoyi, eddundiro ly’ebisibo,
15 (AR)okutuusa Omwoyo lw’alitufukibwako okuva waggulu,
n’eddungu ne lifuuka ennimiro engimu,
n’ennimiro engimu n’erabika ng’ekibira.
16 Obwenkanya bulituula mu ddungu,
n’obutuukirivu bulibeera mu nnimiro engimu.
17 (AS)Ekibala ky’obutuukirivu kiriba mirembe,
n’ekiriva mu butuukirivu kiriba kusiriikirira na bwesige emirembe gyonna.
18 (AT)Abantu bange balibeera mu bifo eby’emirembe,
mu maka amateefu
mu bifo eby’okuwummuliramu ebitatawaanyizibwa.
19 (AU)Omuzira ne bwe guligwa ne gukuba ekibira okukimalawo,
n’ekibuga ne kiggirwawo ddala,
20 (AV)ggwe oliraba omukisa,
ng’osiga ensigo y’oku migga gyonna,
n’ente zo n’endogoyi zo ne zirya nga zeeyagala.
33 (AW)Zikusanze ggwe omuzikiriza
ggwe atazikirizibwanga.
Zikusanze ggwe alya olukwe mu balala,
ggwe, gwe batalyangamu lukwe,
bw’olirekaraawo okuzikiriza,
olizikirizibwa.
Bw’olirekeraawo okulya mu balala olukwe,
balikulyamu olukwe.
2 (AX)Ayi Mukama tusaasire,
tukuyaayaanira.
Obeere amaanyi gaffe buli makya,
obulokozi bwaffe mu biro eby’okulabiramu ennaku.
3 (AY)Olw’eddoboozi ery’okubwatuka, abantu balidduka,
bw’ogolokoka, amawanga gasaasaana.
4 Omunyago gwo, gukungulwa enzige ento,
era abantu bagugwako ng’ekibinja ky’enzige.
5 (AZ)Mukama agulumizibwe, kubanga atuula waggulu,
alijjuza Sayuuni n’obwenkanya n’obutuukirivu.
6 (BA)Y’aliba omusingi omugumu mu biro byo,
nga lye tterekero eggagga ery’obulokozi, n’amagezi n’okumanya.
Okutya Mukama kye kisumuluzo kye tterekero ly’obugagga obwo.
7 (BB)Laba abasajja abazira ab’amaanyi bakaabira mu nguudo mu ddoboozi ery’omwanguka,
n’ababaka ab’emirembe bakaaba nnyo.
8 (BC)Enguudo ennene tezitambulirwako,
tewali azitambulirako.
Endagaano yamenyebwa,
n’abajulizi baayo banyoomebwa,
tewali assibwamu kitiibwa.
9 (BD)Ensi ekungubaga era eyongobera,
Lebanooni aswadde era awotose;
Saloni ali ng’eddungu,
ng’asuula Basani ne Kalumeeri.
Eddembe mu Kristo
5 (A)Kale nga Kristo bwe yatufuula ab’eddembe, bwe mutyo munywerere mu ddembe eryo muleme kusibwa nate mu kikoligo ky’obuddu.
2 (B)Ka mbategeeze nze Pawulo: Bwe mukomolebwa, nga Kristo taliiko ky’abagasa. 3 (C)Era nziramu okutegeeza buli muntu akomolebwa nti alina ebbanja okutuukiriza amateeka gonna. 4 (D)Mwava mu Kristo mmwe abanoonya okufuna obutuukirivu olw’amateeka. Mwava mu kisa. 5 (E)Kubanga ffe, ffe ku bw’Omwoyo olw’okukkiriza tulindirira n’essuubi obutuukirivu. 6 (F)Kubanga mu Kristo Yesu, okukomolebwa oba obutakomolebwa, tekulina maanyi, wabula okukkiriza kukola olw’okwagala.
7 (G)Mwali mutambula bulungi. Ani eyabasendasenda n’abaggya ku kugondera amazima? 8 (H)Okusendebwasendebwa okwo, si kw’oyo eyabayita. 9 (I)Ekizimbulukusa ekitono kizimbulukusa ekitole kyonna. 10 (J)Mbeesiga mu Mukama waffe nga temujja kulowooza kintu kirala kyonna. Naye oyo abateganya alisalirwa omusango ne bw’aliba ani. 11 (K)Naye nze abooluganda, oba nga nkyayigiriza okukomolebwa, lwaki njigganyizibwa? Kale enkonge ey’omusaalaba evuddewo. 12 Nnandyagadde abo abaabateganya beeraawe.
Zabbuli ya Dawudi, bwe yali mu ddungu lya Yuda.
63 (A)Ayi Katonda, oli Katonda wange,
nkunoonya n’omutima gwange gwonna;
emmeeme yange ekwetaaga,
omubiri gwange gwonna gukuyaayaanira,
nga nnina ennyonta ng’ali
mu nsi enkalu omutali mazzi.
2 (B)Nkulabye ng’oli mu kifo kyo ekitukuvu,
ne ndaba amaanyi go n’ekitiibwa kyo.
3 (C)Kubanga okwagala kwo okutaggwaawo kusinga obulamu;
akamwa kange kanaakutenderezanga.
4 (D)Bwe ntyo nnaakutenderezanga obulamu bwange bwonna;
nnaayimusanga emikono gyange mu linnya lyo.
5 (E)Emmeeme yange enekkutanga ebyassava n’obugagga;
nnaayimbanga nga nkutendereza n’emimwa egy’essanyu.
6 (F)Nkujjukira nga ndi ku kitanda kyange,
era nkufumiitirizaako mu ssaawa ez’ekiro.
7 (G)Olw’okuba ng’oli mubeezi wange,
nnyimba nga ndi mu kisiikirize ky’ebiwaawaatiro byo.
8 (H)Emmeeme yange yeekwata ku ggwe;
omukono gwo ogwa ddyo gumpanirira.
9 (I)Naye abo abannoonya okunzita balizikirizibwa,
baliserengeta emagombe.
10 Balisaanawo n’ekitala;
ne bafuuka emmere y’ebibe.
11 (J)Naye ye kabaka anaajagulizanga mu Katonda;
bonna abalayira mu linnya lya Katonda banaatenderezanga Katonda,
naye akamwa k’abalimba kalisirisibwa.
22 (A)Wulirizanga kitaawo eyakuzaala,
so togayanga nnyoko ng’akaddiye.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.