Print Page Options Listen to Reading
Previous Prev Day Next DayNext

The Daily Audio Bible

This reading plan is provided by Brian Hardin from Daily Audio Bible.
Duration: 731 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Isaaya 1-2

(A)Okwolesebwa kwa Isaaya, mutabani wa Amozi, kwe yafuna okukwata ku Yuda ne Yerusaalemi mu bufuzi bwa Uzziya, ne Yosamu, ne Akazi ne Keezeekiya, bassekabaka ba Yuda.

Eggwanga Ejjeemu

(B)Wulira ggwe eggulu, mpuliriza ggwe ensi,
    kubanga bw’ati Mukama bw’ayogera nti,
“Nayonsa ne ndera abaana
    naye ne banjeemera.
(C)Ente emanya nannyini yo
    n’endogoyi emanya ekisibo kya mukama waayo,
naye Isirayiri tammanyi,
    abantu bange tebantegeera.”

(D)Woowe! Eggwanga erijjudde ebibi,
    abantu abajjudde obutali butuukirivu,
ezzadde eryabakola ebibi,
    abaana aboonoonyi!
Balese Mukama
    banyoomye Omutukuvu wa Isirayiri,
    basenguse bamuvuddeko bamukubye amabega.

(E)Lwaki mweyongera okujeema?
    Mwagala mwongere okubonerezebwa?
Omutwe gwonna mulwadde,
    n’omutima gwonna gunafuye.
(F)Okuva mu mala g’ekigere okutuuka ku mutwe
    temuli bulamu
wabula ebiwundu, n’okuzimba,
    n’amabwa agatiiriika amasira
agatanyigibwanga, okusibibwa,
    wadde okuteekebwako eddagala.

(G)Ensi yammwe esigadde matongo,
    ebibuga byammwe byokeddwa omuliro,
nga nammwe bennyini mulaba.
    Bannamawanga[a] balidde ensi yammwe,
    era ezise kubanga bannaggwanga bagisudde.
(H)Omuwala wa Sayuuni alekeddwa
    ng’ensiisira esigadde mu nnimiro y’emizabbibu,
ng’ekiwummulirwamu mu nnimiro y’emyungu[b],
    ng’ekibuga ekizingiziddwa.
(I)Singa Mukama ow’Eggye
    teyatulekerawo bantu abatonotono abaasigalawo
twandibadde nga Sodomu,
    twandifuuse nga Ggomola.

10 (J)Muwulirize ekigambo kya Katonda
    mmwe abafuzi ba Sodomu!
Musseeyo omwoyo eri okuyigiriza kwa Katonda waffe
    mmwe abantu b’e Ggomola!
11 (K)“Ssaddaaka enkumu ze munsalira
    zingasa ki?
Nkooye endiga ennume
    enjokye eziweebwayo,
so sisanyukira musaayi gwa nte,
    newaakubadde ogw’abaana b’endiga, newaakubadde ogw’embuzi ennume,” bw’ayogera Mukama.
12 (L)Bwe mujja mu maaso gange,
    ani aba abayise
    ne mujja okulinnyirira empya zange?
13 (M)Mulekeraawo okuleeta ssaddaaka zammwe ezitaliimu;
    obubaane bwammwe bwa muzizo gye ndi.
Omwezi Ogubonese ne Ssabbiiti n’enkuŋŋaana zammwe
    zijjudde obutali butuukirivu.
14 (N)Emyezi gyammwe Egibonese n’embaga zammwe ez’ennaku entukuvu,
    emmeeme yange ebikyaye,
binfuukidde omugugu,
    nkooye okubigumiikiriza.
15 (O)Bwe munaayimusanga emikono gyammwe musabe
    nnaabakwekanga amaaso gange,
era ne bwe munaasabanga ennyo
    siiwulirenga
kubanga emikono gyammwe gisaabaanye omusaayi.

16 (P)Munaabe, mwetukuze
    muggirewo ddala ebikolwa byammwe ebibi gye ndi,
    mulekeraawo okukola ebibi.
17 (Q)Muyige okukola obulungi, musalenga emisango n’amazima,
    mudduukirirenga abajoogebwa,
musalenga omusango gw’atalina kitaawe,
    muwolerezenga bannamwandu.

18 (R)“Mujje nno tukubaganye ebirowoozo,”
    bw’ayogera Mukama;
“ebibi byammwe ne bwe biba ng’olugoye olumyufu
    binaafuuka byeru ng’omuzira,
ne bwe binaaba bitwakaavu nga langi emyufu enkwafu,
    binaatukula ng’ebyoya by’endiga.
19 (S)Bwe munaagondanga ne muwulira,
    munaalyanga ebirungi eby’ensi;
20 (T)naye bwe munaagaananga ne mujeemanga
    ekitala kinaabalyanga,”
kubanga akamwa ka Mukama ke kakyogedde.

21 (U)Laba ekibuga ekyesigwa
    bwe kifuuse ng’omwenzi!
Oyo eyasalanga emisango mu bwenkanya!
    Obutuukirivu bwatuulanga mu ye,
    naye kaakano batemu bennyini nnyini!
22 Effeeza yo efuuse masengere,
    wayini wo afuuse wa lujjulungu.
23 (V)Abafuzi bo bajeemu,
    mikwano gya babbi,
bonna bawoomerwa enguzi,
    era banoonya kuweebwa birabo;
tebayamba batalina ba kitaabwe,
    so n’ensonga za bannamwandu tebazifaako.
24 (W)Noolwekyo kyava ayogera Mukama, Mukama ow’Eggye,
    ow’amaanyi owa Isirayiri nti,
“Ndifuka obusungu ku balabe bange,
    era ne nesasuza abo abankyawa.
25 (X)Era ndikukwatamu n’omukono gwange,
    ne nnoongoosereza ddala amasengere go gonna
    ne nkuggyamu ebitali birungi byonna.
26 (Y)Era ndikomyawo abalamuzi bo ng’olubereberye
    n’abo abakuwa amagezi, nga bwe kyali okusooka.
Olwo olyoke oyitibwe
    ekibuga eky’obutuukirivu,
    ekibuga ekyesigwa.”

27 (Z)Sayuuni alinunulibwa lwa bwenkanya,
    n’abantu baamu abalyenenya mu butuukirivu.
28 (AA)Naye abeewaggula n’abakozi b’ebibi balizikirizibwa wamu,
    n’abo abava ku Mukama Katonda, balimalibwawo.

29 (AB)“Kubanga mulikwatibwa ensonyi olw’emiti
    mwe mwenyumiririzanga,
n’olw’ennimiro
    ze mweroboza.
30 Kubanga mulibeera ng’omuvule oguwotoka
    era ng’ennimiro etaliimu mazzi.
31 (AC)N’omusajja ow’amaanyi alifuuka ng’enfuuzi,
    n’omulimu gwe ng’akasasi akavudde ku lyanda,
era byombi biriggiira wamu
    so tewaliba azikiza omuliro ogwo.”

Olusozi lwa Mukama

(AD)Kuno kwe kwolesebwa Isaaya omwana wa Amozi kwe yalaba ku Yuda ne Yerusaalemi.

(AE)Olulituuka mu nnaku ez’oluvannyuma

olusozi okuli ennyumba ya Mukama Katonda
    lulinywezebwa lusinge ensozi zonna okugulumira,
luliyimusibwa lusukke ku ndala zonna,
    era amawanga gonna galilwolekera.

(AF)Abantu bangi balijja bagambe nti,

Mujje twambuke tulinnye ku lusozi lwa Mukama,
    mu nnyumba ya Katonda wa Yakobo,
alyoke atuyigirize amakubo ge,
    tulyoke tutambulire mu mateeka ge.
Kubanga Mukama aliteeka amateeka ng’asinziira mu Sayuuni,
    era mu Yerusaalemi abayigirize ekigambo kye.
(AG)Alisala enkaayana z’amawanga,
    aliramula emisango gy’abantu bangi,
era ebitala byabwe balibiwesaamu enkumbi,
    n’amafumu gaabwe bagaweeseemu ebiwabyo.
Eggwanga teririyimusa kitala ku ggwanga linnaalyo,
    so tebalyetegeka kulwana ntalo nate.

Mukama Ayita Ennyumba Ya Yakobo Okwenenya

(AH)Ggwe ennyumba ya Yakobo,
    mujje tutambulire mu kitangaala kya Mukama Katonda.
(AI)Wayabulira abantu bo
    ab’ennyumba ya Yakobo,
kubanga eggwanga lijjudde obusamize obuva mu buvanjuba,
    n’obulaguzi obuli nga obw’omu Bafirisuuti,
    era basizza kimu ne bannamawanga.
(AJ)Ensi yaabwe ejjudde effeeza ne zaabu,
    n’obugagga bwabwe tebuliiko kkomo:
ensi yaabwe ejjudde embalaasi,
    era erimu n’amagaali g’embalaasi mangi nnyo.
(AK)Ensi yaabwe ejjudde bakatonda ababumbe,
    basinza omulimu gw’emikono gyabwe bo,
    engalo zaabwe gwe zeekolera.
(AL)Kale omuntu wa kukkakkanyizibwa,
    omuntu wa kussibwa wansi.
    Mukama, tobasonyiwa!

10 (AM)Mugende mwekweke mu njazi,
    mwekweke mu binnya wansi mu ttaka,
nga mudduka entiisa ya Mukama Katonda,
    nga mudduka entiisa y’ekitiibwa ky’obukulu bwe.
11 (AN)Olunaku lujja okweyisa kw’omuntu
    n’amalala ge lwe birizikirizibwa,
era Mukama Katonda yekka yaligulumizibwa ku olwo.

12 (AO)Kubanga Mukama Katonda ow’Eggye alina olunaku lw’ategese
    eri abo bonna ab’amalala era abeewanise,
    eri ebyo byonna eby’egulumiza ebijjudde
    okwemanya n’okwewulira.
13 (AP)Alizikiriza emiti gy’omu Lebanooni,[c] emiwanvu emigulumivu,
    n’emivule gyonna egya Basani.
14 (AQ)Era n’ensozi zonna empanvu,
    n’obusozi bwonna obugulumivu.
15 (AR)Na buli mulongooti gwonna omuwanvu,
    na buli bbugwe gwe bakomese.
16 (AS)Alizikiriza emmeeri zonna ez’e Talusiisi,
    n’ebifaananyi byonna ebisiige eby’omuwendo omungi.
17 (AT)Era okwegulumiza kw’abantu kulijemulukuka,
    n’amalala g’abantu galissibwa;
era Mukama Katonda yekka yaligulumizibwa ku lunaku olwo.
18     (AU)N’ebifaananyi bye basinza birizikiririzibwa ddala ku olwo.

19 (AV)Abantu balidduka ne beekweka mu mpuku mu mayinja,
    ne mu binnya mu ttaka,
nga badduka entiisa
    n’ekitiibwa ky’obukulu bwa Mukama Katonda,
    bwaliyimuka okukankanya ensi n’amaanyi.
20 (AW)Ku lunaku olwo abantu balisuulira ddala
    bakatonda baabwe abakole mu ffeeza, n’abakole mu zaabu,
be beekolera nga ba kusinzanga,
    ne babakanyuga eri emmese n’eri ebinyira.
21 (AX)Balidduka ne beekukuma mu mpuku
    ez’amayinja amaatifu
nga badduka entiisa
    n’ekitiibwa ky’obukulu bwa Mukama Katonda,
    bwaliyimuka okukankanya ensi.

22 (AY)Mulekeraawo okwesiga omuntu
    alina omukka obukka mu nnyindo ze.
Kiki ennyo kyali?

2 Abakkolinso 10

Pawulo awolereza omulimu gwe

10 (A)Kaakano nze kennyini, Pawulo, mbeegayirira mu buwombeefu n’obukkakkamu bwa Kristo bwe mba nabwo nga neetoowazizza nga ndi nammwe, naye bwe mba nga siri nammwe ne mba muvumu gye muli; (B)mbegayirira wadde ssiriiwo, bwe ndijja nneme kwogeza maanyi nga bwe nkola eri abantu abamu abatulowooleza okuba nga tugoberera bya mubiri. Newaakubadde nga tutambulira mu mubiri, tetulwana ng’ab’omubiri, (C)kubanga ebyokulwanyisa byaffe eby’olutalo, si bya mubiri wabula bya maanyi mu Katonda olw’okuwangula ebigo, n’olw’okuwangula endowooza, (D)na buli kintu ekigulumivu ekyekuluntaza okusinga amagezi ga Katonda, era nga tujeemulula buli kirowoozo, kigondere Kristo, (E)era nga tweteeseteese okuwalana eggwanga ku bujeemu bwonna, bwe munaagonderanga ddala.

(F)Mutunuulira ebintu nga bwe birabika kungulu. Omuntu yenna bw’alowooza munda mu ye okuba owa Kristo, ekyo akirowooza ku ye yekka, nti nga naffe tuli ba Kristo nga ye. (G)Kubanga ne bwe ndisukkirira okwenyumiriza olw’obuyinza bwe tulina, Mukama bwe yatuwa olw’okubazimba so si lwa kubassa wansi, sirikwatibwa nsonyi, nneme kufaanana ng’abatiisa mu bbaluwa zange. 10 (H)Kubanga agamba nti, “Ebbaluwa ze ddala nzito era z’amaanyi, naye okubaawo kwe mu mubiri kunafu, n’okwogera kwe kunyoomebwa.” 11 Alowooza bw’atyo ategeere nga bye twogerako mu bbaluwa nga tetuli nammwe, era bye tukola nga tuli nammwe.

12 (I)Ffe tetwaŋŋanga kwebalira wadde okwegeraageranya n’abamu ku abo abeetendereza, naye bo bwe beepimamu bokka na bokka, ne beegeraageranya bokka na bokka tebaba na kutegeera. 13 (J)Naye ffe tetujja kwenyumiriza kusukka ku kigera kyaffe, naye tujja kwenyumiriza ng’ekigera ekyo ekyatuweebwa Katonda bwe kiri, ne tusobola n’okubatuukako mmwe. 14 (K)Kubanga tetukununkiriza kusinga kigera kye tulina, kubanga nammwe twabatuusaako Enjiri ya Kristo, 15 (L)nga tetwenyumiriza kusinga omulimu abalala gwe baakola, naye nga tulina essuubi nti ng’okukkiriza kwammwe bwe kugenda kweyongera, n’omulimu gwaffe gugenda gweyongera, 16 (M)era nga tubuulira Enjiri ne mu bitundu ebibali ewala, naye so si mu kitundu eky’omulala omwakolebwa edda omulimu waleme okubaawo eyeenyumiriza. 17 (N)Naye eyeenyumiriza yeenyumirizenga mu Mukama waffe; 18 (O)kubanga eyeetenda yekka, oyo si ye asiimibwa, wabula oyo Mukama gw’atenda.

Zabbuli 52

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi Dowegi Omwedomu bwe yagenda n’abuulira Sawulo nti, “Dawudi alaze mu nnyumba ya Akimereki.”

52 (A)Lwaki weenyumiririza mu kibi ggwe omusajja ow’amaanyi?
    Endagaano ya Katonda ey’obwesigwa ebeerera emirembe n’emirembe.
(B)Oteekateeka enkwe ez’okuzikiriza.
    Olulimi lwo lwogi nga kkirita
    era buli kiseera lwogera bya bulimba.
(C)Oyagala okukola ebibi okusinga okukola ebirungi,
    n’okulimba okusinga okwogera amazima.
(D)Osanyukira nnyo okwogera ebirumya.
    Ggwe olulimi kalimbira!

(E)Kyokka Katonda alikuzikiriza emirembe gyonna;
    alikusikula, akuggye mu maka go;
    alikugoba mu nsi y’abalamu.
(F)Bino abatuukirivu balibiraba, ne babitunuulira nga batidde.
    Naye balikusekerera, nga bwe bagamba nti,
(G)“Mumulabe omusajja
    ateesiga Katonda okuba ekiddukiro kye,
naye ne yeesiganga obugagga bwe obungi,
    ne yeeyongera n’amaanyi ng’azikiriza abalala.”

(H)Naye nze nfaanana ng’omuti omuzeyituuni
    ogukulira mu nnyumba ya Katonda.
Neesiga okwagala kwa Katonda okutaggwaawo
    emirembe n’emirembe.
(I)Nnaakwebazanga emirembe gyonna olw’ekyo ky’okoze.
    Nneesiganga erinnya lyo kubanga erinnya lyo ddungi;
    era nnaakutendererezanga awali abatuukirivu bo.

Engero 22:26-27

26 (A)Teweegattanga ku abo abeeyama,
    newaakubadde ku abo abeeyimirira ab’amabanja.
27 (B)Bw’oliba nga tolina kya kusasula
    ekitanda kyo kyennyini kye kirikuggyibwako.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.