The Daily Audio Bible
Today's audio is from the NLT. Switch to the NLT to read along with the audio.
Essanduuko Ereetebwa e Yerusaalemi
15 (A)Dawudi bwe yamala okwezimbira embiri ze mu kibuga kya Dawudi, n’ategekera essanduuko ya Katonda ekifo, n’agikubira eweema. 2 (B)Awo Dawudi n’ayogera nti, “Tewali muntu yenna akkirizibwa kusitula essanduuko ya Katonda wabula Abaleevi, kubanga Mukama be yalonda okugisitula, era n’okumuweerezanga ennaku zonna.”
3 (C)Dawudi n’akuŋŋaanya Abayisirayiri bonna mu Yerusaalemi, okulinnyisa essanduuko ya Mukama mu kifo kyayo kye yali agitegekedde.
4 N’ayita abazzukulu ba Alooni n’Abaleevi:
5 ku bazzukulu ba Kokasi,
Uliyeri omukulembeze ne baganda be kikumi mu abiri;
6 ku bazzukulu ba Merali,
Asaya omukulembeze ne baganda be bibiri mu abiri;
7 ku bazzukulu ba Gerusomu,
Yoweeri omukulembeze ne baganda be kikumi mu asatu;
8 (D)ku bazzukulu ba Erizafani,
Semaaya omukulembeze ne baganda be ebikumi bibiri,
9 (E)ku bazzukulu ba Kebbulooni,
Eryeri omukulembeze ne baganda be kinaana;
10 ku bazzukulu ba Wuziyeeri,
Amminadaabu omukulembeze ne baganda be kikumi mu kkumi na babiri.
11 (F)Awo Dawudi n’atumya Zadooki ne Abiyasaali bakabona, ne Uliyeri, ne Asaya, ne Yoweeri, ne Semaaya, ne Eryeri ne Amminadaabu Abaleevi, 12 (G)n’abagamba nti, “Mmwe bakulembeze mu nnyumba z’Abaleevi, era mmwe ne baganda bammwe mujja kwetukuza, mulyoke mwambuse essanduuko ya Mukama Katonda wa Isirayiri, okugiteeka mu kifo kye ngitegekedde. 13 (H)Kubanga mmwe temwagisitula omulundi ogwasooka Mukama Katonda waffe kyeyava atusunguwalira, olw’obutamwebuuzaako okutegeera nga bwe kyalagibwa.” 14 Awo bakabona n’Abaleevi ne beetukuza okulinnyisa essanduuko ya Mukama, Katonda wa Isirayiri. 15 (I)Abaleevi ne basitulira essanduuko ya Mukama ku bibegabega byabwe n’emisituliro gyako, nga Musa bwe yalagira, ng’ekigambo kya Mukama bwe kyali.
16 (J)Awo Dawudi n’alagira abakulembeze b’Abaleevi okulonda baganda baabwe okuba abayimbi, nga bayimba ennyimba ez’essanyu, nga bakuba ebivuga: entongooli, n’ennanga, n’ebitaasa.
17 (K)Abaleevi ne balonda Kemani mutabani wa Yoweeri, ku baganda be ne balonda Asafu mutabani wa Berekiya, ne ku batabani ba Merali, baganda baabwe, ne balonda Esani mutabani wa Kusaya; 18 (L)ne baganda baabwe abaabaddiriranga nga be ba Zekkaliya, ne Yaaziyeri, ne Semiramosi, ne Yeyeri, ne Unni, ne Eriyaabu, ne Benaaya, ne Maaseya, ne Mattisiya, ne Erifereku, ne Mikuneya, n’abaggazi Obededomu ne Yeyeeri, 19 (M)ne Kemani, ne Asafu, ne Esani abayimbi abaalina okukuba ebitaasa eby’ebikomo; 20 ne Zekkaliya, ne Aziyeri, ne Semiramosi, ne Yekyeri, ne Unni, ne Eriyaabu, ne Maaseya ne Benaya baali baakukuba entongooli ez’ekyalamosi; 21 naye Mattisiya, ne Erifereku, ne Mikuneya, ne Obededomu, ne Yeyeri, ne Azaziya baali baakukulemberamu nga bakuba ennanga ez’ekiseminisi. 22 Kenaniya omukulembeze w’Abaleevi mu by’okuyimba, avunaanyizibwe eby’okuyimba kubanga yali mukugu mu byo.
23 Berekiya ne Erukaana be baali abaggazi b’omulyango gw’ekifo essanduuko mw’ebeera. 24 (N)Sebaniya, ne Yosafaati, ne Nesaneri, ne Amasayi, ne Zekkaliya, ne Benaya, ne Eryeza be bakabona abaafuuwanga amakondeere mu maaso g’essanduuko ya Katonda. Obededomu ne Yekiya n’abo baali baggazi b’omulyango gw’ekifo essanduuko mw’ebeera.
25 (O)Awo Dawudi n’abakadde aba Isirayiri, n’abaduumizi b’enkumi ne bagenda okwambusa essanduuko ey’endagaano ya Mukama okugiggya mu nnyumba ya Obededomu nga basanyuka. 26 (P)Olw’okubeera Katonda kwe yabeera Abaleevi abaali basitudde essanduuko ey’endagaano ya Mukama, baawaayo sseddume z’ente musanvu ne z’endiga musanvu nga ssaddaaka. 27 Dawudi yali ayambadde olugoye olwa linena, ng’Abaleevi bonna abaali basitudde essanduuko, era ng’abayimbi ne Kenaniya eyali avunaanyizibwa okuyimba. Dawudi yali ayambadde n’ekkanzu eya linena. 28 (Q)Awo Isirayiri yenna ne bambusa essanduuko ey’endagaano ya Mukama nga baleekaana n’amaloboozi ag’essanyu, n’eddoboozi ery’eŋŋombe, ery’amakondeere, n’ebitaasa, era nga bakuba nnyo entongooli n’ennanga.
29 Awo essanduuko ey’endagaano ya Mukama bwe yali ng’eyingizibwa mu kibuga kya Dawudi, Makali muwala wa Sawulo n’alingiza mu ddirisa, n’alaba Kabaka Dawudi ng’azina era ng’ajjaguza, n’amunyooma mu mutima gwe.
16 (R)Awo ne baleeta essanduuko ya Mukama, ne bagiyingiza mu weema Dawudi gye yali agisimbidde, ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’emirembe eri Katonda. 2 (S)Awo Dawudi bwe yamala okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’emirembe, n’asabira abantu omukisa mu linnya lya Mukama, 3 era n’agabira buli Muyisirayiri omusajja n’omukazi, omugaati n’ekitole eky’ezabbibu enkalu, n’ekiyungula ky’ennyama.
4 (T)Yalonda abamu ku Baleevi okuweerezanga mu maaso g’essanduuko ya Mukama, okukoowoola nga basaba, nga beebaza, era nga batendereza Mukama, Katonda wa Isirayiri. 5 Asafu ye yali omukulu waabwe, Zekkaliya n’amuddirira, Yeyeeri n’addako, n’oluvannyuma Semiramosi, ne Yekyeri, ne Mattisiya, ne Eriyaabu, ne Benaya, ne Obededomu, ne Yeyeri, abookukuba entongooli n’ennanga, Asafu ye ng’akuba ebitaasa. 6 Benaya ne Yakaziyeeri bakabona be baafuuwanga amakondeere bulijjo mu maaso g’essanduuko ey’endagaano ya Katonda.
Zabbuli ya Dawudi ey’Okwebaza
7 (U)Awo ku lunaku olwo, Dawudi n’alagira Asafu n’abantu be yakolanga nabo, basooke okwebaza Mukama nga bagamba nti:
8 (V)Mwebaze Mukama, mukoowoole erinnya lye,
mumanyise ebikolwa bye mu mawanga.
9 (W)Mumuyimbire, muyimbe okumutendereza
mwogere ku byamagero bye byonna.
10 Erinnya lye ligulumizibwe,
n’emitima gy’abo abanoonya Mukama gisanyuke.
11 (X)Mutunuulire Mukama n’amaanyi ge;
munoonye amaaso ge ennaku zonna.
12 (Y)Mujjukire ebyewuunyo by’akoze,
n’ebyamagero bye, n’ensala ye ey’emisango gy’alangirira,
13 mmwe abazzukulu ba Isirayiri, abaweereza be,
mmwe abaana ba Yakobo, abalonde be.
14 (Z)Ye Mukama Katonda waffe;
okusalawo kwe okw’emisango kubuna ensi yonna.
15 Ajjukira endagaano ye emirembe gyonna,
n’ekigambo kye yalagira, okutuusa ku mirembe olukumi,
16 (AA)gye yakola ne Ibulayimu,
era n’agirayiza Isaaka.
17 (AB)N’aginyweza ng’etteeka eri Yakobo,
n’eri Isirayiri ng’endagaano ey’olubeerera,
18 (AC)ng’agamba nti, “Ndikuwa ensi ya Kanani, ng’omugabo, ogw’obusika bwo.”
19 (AD)Omuwendo gwabwe bwe gwali omutono,
era omutono ddala, nga batambuze mu yo,
20 baatambulatambulanga okuva mu nsi emu okudda mu ndala,
n’okuva mu bwakabaka obumu okudda mu bantu abalala.
21 (AE)Teyaganya muntu n’omu kubanyigiriza;
weewaawo, yanenya bakabaka ku lwabwe:
22 (AF)ng’agamba nti, “Temukwatanga ku abo be nnafukako amafuta,
so bannabbi bange temubakolanga akabi.”
23 Muyimbire Mukama, mmwe ensi zonna;
mulangirire obulokozi bwe buli lunaku.
24 Mubuulire ekitiibwa kye mu mawanga,
n’ebikolwa bye ebyamagero mu bantu bonna.
25 (AG)Mukama mukulu era asaanira okutenderezebwa;
era atiibwenga okusinga bakatonda abalala bonna.
26 (AH)Bakatonda bonna abamawanga bifaananyi,
naye Mukama ye yakola eggulu.
27 Ekitiibwa n’obukulu biri mu maaso ge,
amaanyi n’essanyu biri wamu naye.
28 (AI)Mugulumize Mukama, mmwe ebika eby’amawanga byonna,
mutende ekitiibwa kya Mukama awamu n’amaanyi ge.
29 (AJ)Muyimusize Mukama ekitiibwa ekigwanira erinnya lye;
muleete ekiweebwayo, mujje mu maaso ge;
musinze Mukama mu kitiibwa ky’obutukuvu bwe.
30 (AK)Mukankane mu maaso ge ensi yonna,
weewaawo ensi nywevu, teyinza kusesetulwa.
31 (AL)Eggulu lisanyuke, n’ensi ejaguze;
boogere mu mawanga nti, “Mukama afuga!”
32 (AM)Ennyanja ewuume, n’ebigirimu byonna,
n’ennimiro zijaguze, n’okujjula kwazo!
33 (AN)Awo emiti egy’omu kibira ginaayimba,
ginaayimbira Mukama n’essanyu,
kubanga akomawo okusalira ensi omusango.
34 (AO)Weebaze Mukama kubanga mulungi;
era okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
35 (AP)Mwogerere waggulu nti, “Tulokole, Ayi Katonda ow’obulokozi bwaffe;
tukuŋŋaanye, otulokole eri amawanga,
twebaze erinnya lyo ettukuvu,
era tujagulize mu ttendo lyo.”
36 (AQ)Mukama yeebazibwe, Katonda wa Isirayiri
ow’emirembe n’emirembe.
Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina, Mukama yeebazibwe.”
Obusungu bwa Katonda eri abantu
18 (A)Kubanga obusungu bwa Katonda bubikkulibbwa okuva mu ggulu ku abo abatatya Katonda bonna n’abakaafiiri bonna ku bye bakola okuziyiza amazima okuvaayo. 19 (B)Kubanga ebisoboka okumanyibwa ku Katonda bibabikkuliddwa, kubanga Katonda abibalaze byonna mu bujjuvu. 20 (C)Kubanga okuviira ddala ku kutondebwa kw’ensi, ebintu bye ebitalabika, bwe buyinza bwe obutaggwaawo n’obwa Katonda bwe, bitegeerwa ne birabikira ddala mu by’obutonde bwe, abantu balyoke baleme kubaako na kya kwewolereza.
21 (D)Kubanga newaakubadde nga Katonda bamumanyi, tebaamugulumiza nga Katonda wadde okumwebazanga, naye ne bagobereranga ebitaliimu mu mpaka zaabwe, omutima gwabwe omusirusiru ne gujjuzibwa ekizikiza. 22 (E)Beeyita ab’amagezi ne bafuuka abasirusiru, 23 (F)ne bawanyisa ekitiibwa kya Katonda ataggwaawo okukifaananyiriza ekifaananyi ky’omuntu aggwaawo, n’eky’ebinyonyi, n’eky’ebirina amagulu ana n’eky’ebyewalula.
24 (G)Katonda kyeyava abaleka, emitima gyabwe ne girulunkanira eby’obugwagwa ne bawemula emibiri gyabwe bokka na bokka. 25 (H)Ne bafuula amazima ga Katonda okuba obulimba ne basinza era ne baweereza ebitonde, mu kifo ky’okusinza eyabitonda, eyeebazibwa emirembe n’emirembe. Amiina.
26 (I)Katonda kyeyava abaleka ne beeyongera mu kwegomba kwabwe okw’obuwemu. Abakazi baabwe baawanyisa enkolagana yaabwe ey’obuzaaliranwa n’abasajja, ne bakola ebitali bya buzaaliranwa. 27 (J)Abasajja nabo baalekayo okwegatta ne bakazi baabwe mu ngeri ey’obuzaaliranwa, ne bajjuzibwa obukaba ne beegatta ne basajja bannaabwe. N’ekyava mu bikolwa ebyo eby’obugwagwa, kwe kusasulibwa empeera esaanira okwonoona kwabwe.
28 (K)Bwe baagaana okumanya Katonda, Katonda kyeyava abaleka ne babeera n’omutima omwonoonefu ne bakola ebitasaana. 29 (L)Bajjuzibbwa obutali butuukirivu bwonna, n’ebibi, n’omululu, n’obukyayi, n’obuggya, n’obussi, n’entalo, n’obulimba, n’enkwe, n’okwogera ebitasaana, nga basala ku bannaabwe ebigambo, 30 (M)era nga bageya, nga bakyawa Katonda, nga bavuma bannaabwe, nga bajjudde amalala n’okwekulumbaza, nga bagunjawo enkola y’ebikyamu, era nga bajeemera bakadde baabwe. 31 (N)Tebategeera so tebalina kukkiriza, tebalina kwagala, era tebalina mutima gusaasira. 32 (O)Newaakubadde nga bamanyi nga Katonda yagamba nti abantu abakola ebintu ng’ebyo balizikirizibwa, tebakoma ku kubikola kyokka, naye basiima n’abo ababikola.
10 (A)Lwaki otwekwese, Ayi Mukama?
Lwaki otwekwese mu biseera eby’emitawaana?
2 Omubi, mu malala ge, ayigganya abanafu;
muleke agwe mu nkwe ezo z’asaze.
3 (B)Kubanga omubi yeewaana ng’anyumya ku bibi ebiri mu mutima gwe,
agabula aboomululu n’avuma Mukama.
4 (C)Omubi mu malala ge
tanoonya Katonda.
5 Buli ky’akola kimugendera bulungi.
Amateeka go tagafaako,
era n’abalabe be abanyooma.
6 (D)Ayogera mu mutima gwe nti, “Sikangibwa,
nzija kusanyuka emirembe gyonna.”
7 (E)Mu kamwa ke mujjudde okukolima n’obulimba awamu n’okutiisatiisa;
ebigambo bye bya mutawaana era bibi.
8 (F)Yeekukuma mu byalo
okutemula abantu abataliiko musango.
Yeekweka ng’aliimisa b’anatta.
9 (G)Asooba mu kyama ng’empologoma,
ng’alindirira okuzinduukiriza abateesobola.
Abakwasa n’abatwalira mu kitimba kye.
10 B’abonyaabonya bagwa wansi
ne babetentebwa ng’amaanyi g’omubi gabasukkiridde.
11 (H)Ayogera mu mutima gwe nti, “Katonda yeerabidde, amaaso ge agakwese,
era takyaddayo kubiraba.”
12 (I)Golokoka, Ayi Mukama, ozikirize omubi, Ayi Katonda;
abanaku tobeerabiranga.
13 Omuntu omubi ayinza atya okukunyooma, Ayi Katonda,
n’agamba mu mutima gwe nti
“Sigenda kwennyonnyolako?”
14 (J)Naye ggwe, Ayi Katonda, ennaku zaabwe n’okubonaabona kwabwe obiraba
era ojja kubikolako.
Ateesobola yeewaayo mu mikono gyo,
kubanga gwe mubeezi w’abatalina bakitaabwe.
15 (K)Malawo amaanyi g’omwonoonyi,
muyite abyogere ebyo
ebibadde bitajja kuzuulwa.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.