Print Page Options Listen to Reading
Previous Prev Day Next DayNext

The Daily Audio Bible

This reading plan is provided by Brian Hardin from Daily Audio Bible.
Duration: 731 days

Today's audio is from the CEB. Switch to the CEB to read along with the audio.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
1 Ebyomumirembe 5:18-6:81

18 (A)Abalewubeeni, n’Abagaadi, n’ekitundu ky’ekika kya Manase baalina abasajja emitwalo ena mu enkumi nnya mu lusanvu mu nkaaga, ab’amaanyi era nga bazira mu kukwata engabo, ekitala, ne mu kukozesa obusaale, era nga batendeke mu kulwana. 19 (B)Ne balumba Abakaguli, ne Yetuli, ne Nafisi ne Nodabu. 20 (C)Olw’okwesiga n’okusaba Katonda okubabeera, baawangula Abakaguli mu lutalo. 21 Baanyaga amagana g’ente, n’eŋŋamira emitwalo etaano, n’endiga emitwalo abiri mu etaano n’endogoyi enkumi bbiri ate ne bawamba n’abasajja emitwalo kkumi. 22 (D)Era bangi ku bo battibwa kubanga olutalo lwali lwa Katonda. Ne basenga eyo okutuusa lwe baawaŋŋangusibwa.

Ekitundu ky’Ekika kya Manase

23 (E)Abantu ab’ekitundu ky’ekika kya Manase baali bangi nnyo, era baasenga mu nsi eya Basani okutuuka ku Baalukerumooni, ne Seniri, ne ku lusozi Kerumooni.

24 Bano be baali abakulu b’ennyumba zaabwe: Eferi, ne Isi, ne Eryeri, ne Azulyeri, ne Yeremiya, ne Kodaviya, ne Yakudyeri, abasajja abazira era ab’amaanyi, abettutumu, nga gy’emitwe gy’ennyumba zaabwe. 25 (F)Naye ne bakola ebibi ebimenya ebiragiro bya Katonda wa bajjajjaabwe, ne bagoberera bakatonda baamawanga ag’omu nsi eyo, Katonda be yazikiririza mu maaso gaabwe. 26 (G)Katonda wa Isirayiri kyeyava akubiriza omwoyo gwa Puli kabaka w’e Bwasuli, eyayitibwanga Tirugazupiruneseri, n’alumba Abalewubeeni, n’Abagaadi n’ekitundu ekyali kisigaddewo ku Manase, n’abawamba era n’abatwala mu buwaŋŋanguse e Kala, n’e Kaboli, n’e Kaala ne ku mugga Gozani, gye bali n’okutuusa leero.

Ekika kya Leevi

(H)Batabani ba Leevi baali

Gerusoni, ne Kokasi ne Merali.

Batabani ba Kokasi ne baba

Amulaamu, ne Izukali, ne Kebbulooni, ne Wuziyeeri.

(I)Ate abaana ba Amulaamu baali

Alooni, ne Musa ne Miryamu.

Batabani ba Alooni baali

Nadabu, ne Abiku, ne Eriyazaali ne Isamaali.

Eriyazaali n’azaala Finekaasi,

ate Finekaasi n’azaala Abisuwa;

Abisuwa n’azaala Bukki,

ate Bukki n’azaala Uzzi;

Uzzi n’azaala Zerakiya,

ne Zerakiya n’azaala Merayoosi;

Merayoosi n’azaala Amaliya,

ne Amaliya n’azaala Akitubu;

(J)Akitubu n’azaala Zadooki,

ate Zadooki n’azaala Akimaazi;

Akimaazi n’azaala Azaliya,

ne Azaliya n’azaala Yokanaani;

10 (K)Yokanaani n’azaala Azaliya (oyo ye yaweerezanga nga kabona mu yeekaalu sulemaani gye yazimba mu Yerusaalemi);

11 Azaliya n’azaala Amaliya,

ne Amaliya n’azaala Akitubu;

12 Akitubu n’azaala Zadooki,

ne Zadooki n’azaala Sallumu;

13 (L)Sallumu n’azaala Kirukiya,

ne Kirukiya n’azaala Azaliya;

14 (M)Azaliya n’azaala Seraya,

ne Seraya n’azaala Yekozadaki;

15 (N)Yekozadaki yatwalibwa mu buwaŋŋanguse Mukama bwe yawaayo Yuda ne Yerusaalemi mu mukono gwa Nebukadduneeza.

16 (O)Batabani ba Leevi baali

Gerusomu, ne Kokasi ne Merali.

17 Gano ge mannya g’abatabani ba Gerusomu,

ne Libuni ne Simeeyi.

18 Batabani ba Kokasi baali

Amulaamu, ne Izukali, ne Kebbulooni ne Wuziyeeri.

19 (P)Batabani ba Merali baali

Makuli ne Musi.

Gino gy’emituba egy’Abaleevi okutandika ne bajjajja baabwe:

20 Abaava mu Gerusomu baali

Libuni mutabani we, ne Yakasi,

ne Zimura, 21 ne Yowa,

ne Iddo, ne Zeera,

ne Yeyaserayi.

22 (Q)Bazzukulu ba Kokasi baali

Amminadaabu mutabani we, Koola muzzukulu we,

Assiri muzzukulu we; 23 Erukaana muzzukulu we,

Ebiyasaafu muzzukulu we, Assiri muzzukulu we;

24 (R)Takasi muzzukulu we, Uliyeri muzzukulu we, Uzziya muzzukulu we, ne Sawuli muzzukulu we.

25 Batabani ba Erukaana baali

Amasayi ne Akimosi,

26 ne bazzukulu be nga be ba Erukaana, ne Zofayi,

ne Nakasi, 27 (S)ne Eriyaabu,

ne Yerokamu, ne Erukaana

ne Samwiri.

28 (T)Batabani ba Samwiri baali

Yoweeri omuggulanda we,

n’owokubiri nga ye Abiya.

29 Bazzukulu ba Merali baali

Makuli, ne Libuni,

ne Simeeyi, ne Uzza,

30 ne Simeeyi, ne Kaggiya

ne Asaya, ng’omu ye kitaawe w’omulala nga bwe baddiriŋŋana.

31 (U)Bano be basajja Dawudi be yalonda okukulira eby’ennyimba mu nnyumba ya Mukama, essanduuko ng’eteekeddwamu. 32 Baaweererezanga mu nnyimba mu maaso g’ekuŋŋaaniro ey’Eweema ey’Okusisikanirangamu, okutuusa Sulemaani lwe yazimba yeekaalu ya Mukama mu Yerusaalemi. Era bakolanga emirimu gyabwe, nga bagoberera ebiragiro ebyabaweebwa.

33 (V)Bano be basajja abaaweerezanga, wamu ne batabani baabwe:

Okuva mu Abakokasi;

Kemani, omuyimbi,

mutabani wa Yoweeri, muzzukulu wa Samwiri,

34 (W)muzzukulu wa Erukaana, muzzukulu wa Yerokamu,

muzzukulu wa Eryeri, muzzukulu wa Toowa,

35 muzzukulu wa Zufu, muzzukulu wa Erukaana,

muzzukulu wa Makasi, muzzukulu wa Amasayi;

36 muzzukulu wa Erukaana, muzzukulu wa Yoweeri,

muzzukulu wa Azaliya, muzzukulu wa Zeffaniya,

37 (X)muzzukulu wa Takasi, muzzukulu wa Assiri,

muzzukulu wa Ebiyasaafu, muzzukulu wa Koola,

38 (Y)muzzukulu wa Izukali, muzzukulu wa Kokasi,

muzzukulu wa Leevi, mutabani wa Isirayiri.

39 (Z)Kemani yalina muganda we Asafu eyamuyambangako mu mulimu ogwo, era n’ab’enju ye baali bwe bati:

Asafu mutabani wa Berekiya, muzzukulu wa Simeeyi,

40 muzzukulu wa Mikayiri, muzzukulu wa Baaseya,

muzzukulu wa Malukiya, 41 muzzukulu wa Esuni,

muzzukulu wa Zeera, muzzukulu wa Adaaya,

42 muzzukulu wa Esani, muzzukulu wa Zimma,

muzzukulu wa Simeeyi, 43 muzzukulu wa Yakasi,

muzzukulu wa Gerusoni, mutabani wa Leevi.

44 Ne baganda be abalala abaamuyambangako baali abazzukulu ba Merali, mutabani wa Leevi,

Esani mutabani wa Kiisi, muzzukulu wa Abudi,

muzzukulu wa Malluki, 45 muzzukulu wa Kasukabiya,

muzzukulu wa Amaziya, muzzukulu wa Kirukiya, muzzukulu wa Amaziya,

46 muzzukulu wa Amuzi, muzzukulu wa Bani,

muzzukulu wa Semeri, 47 muzzukulu wa Makuli,

muzzukulu wa Musi, muzzukulu wa Merali,

mutabani wa Leevi.

48 (AA)Baganda baabwe Abaleevi baavunaanyizibwanga okukola emirimu gyonna egy’omu Weema, ye Nnyumba ya Katonda.

Ennyumba ya Alooni

49 (AB)Naye Alooni ne batabani be ne bazzukulu be, be baawangayo ku kyoto ebiweebwayo ebyokebwa ne ku kyoto eky’okwoterezangako obubaane olw’ebyo byonna ebyakolebwanga mu Kifo ekisinga Obutukuvu, olw’okutangirira Isirayiri, nga Musa, omuddu wa Katonda bwe yalagira.

50 Bano be baava mu nda ya Alooni:

mutabani we Eriyazaali, muzzukulu we Finekaasi,

muzzukulu we Abisuwa, 51 muzzukulu we Bukki,

muzzukulu we Uzzi, muzzukulu we Zerakiya,

52 muzzukulu we Merayoosi, muzzukulu we Amaliya,

muzzukulu we Akitubu, 53 (AC)muzzukulu we Zadooki,

ne muzzukulu we Akimaazi.

54 (AD)Bino by’ebifo ebyabaweebwa okutuulamu ng’ensi yaabwe era bino bye byali biweereddwa bazzukulu ba Alooni Abakokasi, kubanga be baasooka okufuna omugabo.

55 Baaweebwa Kebbulooni mu nsi ya Yuda, n’amalundiro agakyetoolodde, 56 (AE)naye ennimiro n’ebyalo ebyetoolodde ekibuga ekyo, byaweebwa Kalebu mutabani wa Yefune. 57 (AF)Bazzukulu ba Alooni baaweebwa Kebbulooni, ekibuga eky’okwekwekamu, Libuna n’amalundiro gaakyo, 58 (AG)Kireni n’amalundiro gaakyo, Debiri n’amalundiro gaakyo, 59 (AH)Asani n’amalundiro gaakyo, ne Besusemesi n’amalundiro gaakyo.

60 (AI)Ate n’okuva eri ekika kya Benyamini baaweebwa Gibyoni[a] ne Geba, ne Allemesi, ne Anasosi wamu n’amalundiro gaabyo. Ebibuga byonna awamu ebyaweebwa Abakokasi byali kkumi na bisatu.

61 Bazzukulu ba Kokasi abalala baweebwa ebibuga kkumi okuva ku nda ez’ekitundu ky’ekika kya Manase nga bakuba akalulu.

62 Bazzukulu ba Gerusoni, ng’enda zaabwe bwe zaali, baaweebwa ebibuga kkumi na bisatu okuva ku bika bya Isakaali, Aseri, Nafutaali, n’okuva ku kika kya Manase mu Basani.

63 Bazzukulu ba Merali ng’enda zaabwe bwe zaali, baaweebwa ebibuga kkumi na bibiri okuva ku bika bya Lewubeeni, Gaadi ne Zebbulooni.

64 (AJ)Awo Abayisirayiri ne bawa Abaleevi ebibuga ebyo ne babaweerako n’amalundiro byabyo.

65 N’ebibuga okuva mu bika bya Yuda, ne Simyoni ne Benyamini ebyogeddwako byabaweebwa nga bakuba akalulu.

66 Enda ezimu eza Kokasi zaaweebwa ebibuga okuva eri ensi y’ekika kya Efulayimu.

67 (AK)Okuva eri ensi ya Efulayimu baaweebwa Sekemu, ekibuga ky’obuddukiro, Gezeri, 68 (AL)ne Yokumyamu, ne Besukolooni, 69 (AM)ne Ayalooni ne Gasulimmoni, n’amalundiro gaabyo.

70 N’okuva eri ekitundu ky’ekika kya Manase, Abayisirayiri ne babagabira Aneri ne Biryamu, wamu n’amalundiro byako eri enda ezaali zisigaddewo eza Kokasi.

71 (AN)Abagerusomu baaweebwa ebifo bino wansi:

okuva eri ekitundu ky’ekika kya Manase baafuna Golani mu Basani ne Asutoleesi, wamu n’amalundiro byako.

72 (AO)Okuva eri ekika kya Isakaali baafuna Kedesi, Daberasi 73 Lamosi ne Anemu wamu n’amalundiro gaabyo (byako);

74 (AP)okuva eri ekika kya Aseri, baafuna Masali, Abudoni, 75 (AQ)Kukkoki ne Lekobu wamu n’amalundiro gaabyo;

76 (AR)n’okuva eri ekika kya Nafutaali baafuna Kedesi eky’omu Ggaliraaya, ne Kammoni ne Kiriyasayimu wamu n’amalundiro byako.

77 Abaleevi abaali basigaddewo, be bazzukulu ba Merali, baaweebwa ebifo bino wansi:

okuva eri ekika kya Zebbulooni baafuna Limunono ne Taboli wamu n’amalundiro byabyo;

78 (AS)okuva eri ekika kya Lewubeeni, emitala wa Yoludaani ku luuyi olw’ebuvanjuba lw’e Yeriko, baafuna Bezeri ekiri mu ddungu, Yaza, 79 (AT)Kedemosi ne Mefaasi wamu n’amalundiro byabyo;

80 (AU)n’okuva eri ekika kya Gaadi baafuna Lamosi ekiri mu Gireyaadi, Makanayimu, 81 (AV)Kesuboni ne Yazeri wamu n’amalundiro byabyo.

Ebikolwa by’Abatume 26

Empoza ya Pawulo mu maaso ga Agulipa

26 (A)Agulipa n’agamba Pawulo nti, “Okkirizibbwa okuwoza ensonga zo.” Awo Pawulo n’agolola omukono gwe, n’awoza nti, “Kabaka Agulipa, nnina omukisa okuwoleza mu maaso go leero, nga nnyanukula byonna Abayudaaya bye banvunaana, (B)kubanga mmanyi ng’empisa z’Ekiyudaaya, zonna ozitegeera bulungi. Kyenva nkusaba ompulirize n’obugumiikiriza.

(C)“Nayigirizibwa n’obwegendereza mu mpisa z’Ekiyudaaya okuviira ddala mu buto bwange mu kibuga ky’ewaffe e Taluso ne mu Yerusaalemi, era ne ntambulira mu mpisa ezo obulamu bwange bwonna. Ebyo byonna Abayudaaya bonna babimanyi bulungi. (D)Era bammanyidde ebbanga ddene nnyo, singa babadde baagala bandinjulidde, nga ndi munnakibiina eky’Abafalisaayo, eky’omu ddiini yaffe ekisingira ddala okunonooza mu buli nsonga ey’Ekiyudaaya. (E)Kaakano nnyimiridde nga nvunaanibwa, kubanga nnina essuubi mu ebyo Katonda bye yasuubiza bajjajjaffe, (F)ebika byaffe ekkumi n’ebibiri bye basuubira okutuukako nga banyiikira okusinza emisana n’ekiro; era olw’essuubi eryo, ayi kabaka, Abayudaaya kyebavudde banvunaana. (G)Kiki ekibalowoozesa nti tekiyinzika Katonda okuzuukiza abafu?

(H)“Nze ku lwange nalowooza nti kiŋŋwanidde okuyigganya erinnya lya Yesu Omunnazaaleesi, n’obukambwe bungi. 10 (I)Bwe ntyo ne mbikola ne mu Yerusaalemi era ne nsiba abatuukirivu bangi mu makomera, era ne mpeebwa n’obuyinza okuva eri bakabona abakulu; abatukuvu ne bwe battibwanga, nga nkiwagira. 11 (J)Ne mu makuŋŋaaniro gonna wonna ne mbasindiikirizanga nga mbawalirizanga okuvvoola, ne mbasunguwaliranga nnyo, ne mbayigganyanga okutuuka ne mu bibuga eby’ewala.

12 “Awo bwe nnali nga ndaga e Damasiko, nga ndagiddwa era nga mpeereddwa obuyinza okuva eri bakabona abakulu, 13 nga ndi mu kkubo mu ttuntu, ayi Kabaka, ne ndaba ekitangaala ekyaka okusinga eky’enjuba, ne kinjakira ne bannange be nnali ntambula nabo. 14 (K)Ffenna bwe twagwa wansi, ne mpulira eddoboozi nga liŋŋamba mu Lwebbulaniya nti, ‘Sawulo, Sawulo, onjigganyiza ki? Weerumya wekka bw’osamba ku nkato.’ 15 Ne mbuuza nti, ‘Ggwe ani Mukama wange?’ Mukama waffe n’addamu nti, ‘Nze Yesu, gw’oyigganya. 16 (L)Naye golokoka. Nkulabikidde, nkulonde obeere omuweereza wange era omujulirwa w’ebyo mw’ondabidde era ow’ebyo mwe nnaakulabikiranga. 17 (M)Era ndikuwonya mu bantu bano ne mu baamawanga gye ndikutuma 18 (N)okuzibula amaaso gaabwe bakyuke bave mu kizikiza badde eri omusana, n’okuva mu buyinza bwa Setaani, badde eri Katonda balyoke basonyiyibwe ebibi bafunire wamu omugabo gwa Katonda n’abo abatukuzibwa olw’okunzikiriza.’

19 “Bwe ntyo, Ayi Kabaka Agulipa, ne sinyooma kwolesebwa okwo okwava mu ggulu, 20 (O)naye ne nsookera ku b’omu Damasiko, ne nzizaako ab’omu Yerusaalemi ne mu Buyudaaya mwonna, n’eri Abaamawanga, nga mbategeeza beenenye bakyukire Katonda, era bakolenga ebikolwa eby’okwenenya ebisaanira. 21 (P)Eyo y’ensonga Abayudaaya kyebaava bankwata nga ndi mu Yeekaalu ne bagezaako n’okunzita. 22 (Q)Katonda kyavudde ankuuma okutuusa leero ndyoke nyimirire nga ndi mujulirwa eri ab’ekitiibwa era n’aba bulijjo, nga sirina kirala kye njogera, wabula ebyo bannabbi ne Musa bye baategeeza nga bigenda okujja 23 (R)nti Kristo kimugwanira okubonaabona, era abeere omubereberye mu kuzuukira kw’abafu, alyoke aleetere abantu bano n’Abamawanga omusana.”

24 (S)Awo Pawulo bwe yali akyawoza Fesuto n’aleekaana mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Pawulo, olaluse! Okusoma ennyo kukusudde eddalu!”

25 (T)Pawulo n’addamu nti, “Siraluse, Oweekitiibwa Fesuto. Ebigambo bye njogera bya nsonga era bya mazima. 26 (U)Era ebintu bino Kabaka Agulipa abitegeera, noolwekyo nnyinza okubimubuulira nga seekomoma. Era nkakasa nga tewali na kimu ku bintu bino ky’ataamanya, kubanga tebyakolerwa mu nkiso! 27 Kabaka Agulipa, bannabbi obakkiriza? Mmanyi ng’obakkiriza.”

28 (V)Agulipa n’agamba Pawulo nti, “Onsendasenda nfuuke Omukristaayo mu kaseera kano akatono bwe kati?” 29 (W)Pawulo n’addamu nti, “Nsaba Katonda, mu kaseera katono oba mu kiseera kinene, ggwe ne bonna abampuliriza kaakano, bafuuke nga nze, okuggyako enjegere zino ezinsibiddwa.”

30 (X)Awo Kabaka, ne gavana ne Berenike, n’abalala bwe baali batudde, ne basituka ne bafuluma. 31 (Y)Bwe badda ebbali ne bakkiriziganya ne bagamba nti, “Omusajja ono talina ky’akoze kimusaanyiza kuttibwa wadde okusibwa mu njegere.”

32 (Z)Agulipa kwe kugamba Fesuto nti, “Omusajja ono yanditeereddwa singa teyajulira wa Kayisaali.”

Zabbuli 6

Eri Omukulu wa Bayimbi. Eyimbibwa n’ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Dawudi.

(A)Ayi Mukama, tonnenya ng’ojjudde obusungu;
    so tombonereza mu kiruyi kyo.
(B)Onsaasire, Ayi Mukama, kubanga ndi munafu.
    Omponye, Ayi Mukama, kubanga amagumba gange gali mu bulumi.
(C)Emmeeme yange ejjudde ennaku.
    Olirindirira kutuusa ddi olyoke onnyambe?

(D)Onkyukire, Ayi Mukama, olokole omwoyo gwange;
    omponye okufa olw’okwagala kwo okungi.
(E)Kubanga tewali ayinza kukujjukira ng’amaze okufa.
    Ani alikutendereza ng’asinziira emagombe?

(F)Mpweddemu amaanyi olw’okusinda.

Buli kiro obuliri bwange bujjula amaziga gange
    n’omutto ne gutoba.
(G)Amaaso gange ganafuye olw’okunyolwa,
    tegakyalaba bulungi olw’abalabe bange.

(H)Muve we ndi mmwe mwenna abakola ebibi;
    kubanga Mukama awulidde okukaaba kwange.
(I)Mukama awulidde okwegayirira kwange,
    n’okusaba kwange akukkirizza.
10 (J)Abalabe bange bonna baliswazibwa era balitya nnyo;
    bazzibwe emabega nga bajjudde obuswavu mangu ago.

Engero 18:20-21

20 (A)Omuntu anakkutanga ebigambo ebiva mu kamwa ke;
    ebibala ebijjula akamwa ke bye binamukkusanga.

21 (B)Olulimi lulina obuyinza okuwa obulamu oba okutta,
    era n’abo abalwagala balirya ebibala byalwo.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.