Print Page Options Listen to Reading
Previous Prev Day Next DayNext

The Daily Audio Bible

This reading plan is provided by Brian Hardin from Daily Audio Bible.
Duration: 731 days

Today's audio is from the NLT. Switch to the NLT to read along with the audio.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Ezeekyeri 37-38

Ekiwonvu eky’Amagumba Amakalu

37 (A)Omukono gwa Mukama gwali ku nze, Mwoyo wa Mukama n’anfulumya, n’andeeta wakati mu kiwonvu ekyali kijjudde amagumba. N’agannaambuza, ne ndaba amagumba mangi, amakalu ennyo wansi mu kiwonvu. (B)N’ambuuza nti, “Omwana w’omuntu, amagumba gano gayinza okuba amalamu?”

Ne nziramu nti, “Ggwe Ayi Mukama Katonda, ggwe wekka gw’omanyi.”

(C)Awo n’aŋŋamba nti, “Wa obunnabbi ku magumba gano, oyogere nti, ‘Mmwe amagumba amakalu, muwulire ekigambo kya Mukama! (D)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda eri amagumba gano nti, Laba ndibateekamu omukka ne mufuuka abalamu. (E)Ndibateekako ebinywa n’ennyama ne mbabikkako n’olususu; ndibateekamu omukka, ne mufuuka abalamu. Olwo mulimanya nga nze Mukama.’ ”

Awo ne njogera nga bwe nalagirwa. Awo bwe nnali nga njogera, ne waba eddoboozi, ng’ebintu ebikubagana, amagumba ne geegatta, buli limu ku linnaalyo. Ne ntunula, ebinywa n’ennyama ne birabika ku go, n’olususu ne luddako, naye temwali mukka. (F)Awo n’aŋŋamba nti, “Wa obunnabbi eri omukka; yogera omwana w’omuntu, ogambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Ggwe omukka vva eri empewo ennya, oyingire mu battibwa, babe balamu.’ ” 10 (G)Ne mpa obunnabbi nga bwe yandagira, omukka ne gubayingiramu ne balamuka, ne bayimirira, era ne baba eggye ddene nnyo.

11 (H)Awo n’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, amagumba gano ye nnyumba yonna eya Isirayiri. Boogera nti, ‘Amagumba gaffe gaakala era n’essuubi lyaffe lyaggwaawo, twasalibwako.’ 12 (I)Kyonoova owa obunnabbi gye bali n’oyogera nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Mmwe abantu bange, ndyasamya amalaalo gammwe ne mbazuukiza, era ndibakomyawo mu nsi ya Isirayiri. 13 Kale mulimanya nga nze Mukama, era nga nammwe muli bantu bange, bwe ndyasamya amalaalo gammwe ne mbazuukiza. 14 (J)Ndibateekamu Omwoyo wange era muliba balamu; ndibateeka mu nsi yammwe mmwe ne mutuula omwo, mulyoke mumanye nga nze Mukama nkyogedde, era nkikoze, bw’ayogera Mukama Katonda.’ ”

Eggwanga Limu Lifugibwa Kabaka Omu

15 Awo ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti, 16 (K)“Omwana w’omuntu ddira omuggo owandiikeko nti, ‘Guno gwa Yuda n’Abayisirayiri abakolagana nabo.’ Oddire n’omuggo omulala owandiikeko nti, ‘Guno muggo gwa Efulayimu owa Yusufu n’ennyumba ya Isirayiri yonna, bwe bakolagana.’ 17 (L)Bagatte bafuuke omuggo gumu, bafuuke omuntu omu mu mukono gwo.

18 (M)“Awo abantu bo bwe bakubuuzanga nti, ‘Amakulu ga bino kye ki?’ 19 (N)Obategeezanga nti, Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, ‘Ndiddira omuggo gwa Yusufu oguli mu mukono gwa Efulayimu, n’ebika bya Isirayiri n’abo bwe bakolagana, ne mbigatta ku muggo gwa Yuda, bafuuke omuntu omu mu mukono gwange.’ 20 Balage emiggo gy’owandiiseeko, 21 (O)obagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Ndiggya Abayisirayiri mu mawanga gye baagenda. Ndibakuŋŋaanya okuva wonna, ne mbakomyawo mu nsi yaabwe. 22 (P)Ndibafuula eggwanga limu mu nsi, ku nsozi za Isirayiri. Balifugibwa kabaka omu, tebaliddayo kubeera mawanga abiri, wadde okwawulibwa mu bwakabaka obubiri. 23 (Q)Tebaliddayo kweyonoonyesa ne bakatonda abalala, ebintu ebikole obukozi n’emikono eby’ekivve, wadde okweyonoonyesa mu bibi byabwe. Ndibawonya okuva mu bifo byonna gye beeyonoonyesa, ndibafuula abalongoofu, muliba bantu bange, nange ndiba Katonda wammwe. 

24 (R)“ ‘Omuweereza wange Dawudi alibeera kabaka waabwe, era bonna baliba n’omusumba omu. Baligoberera amateeka gange, babeere beegendereza okukwata ebiragiro byange. 25 (S)Balibeera mu nsi gye nawa omuweereza wange Yakobo, ensi bajjajjammwe mwe baabeeranga. Bo n’abaana baabwe, balibeera omwo ennaku zonna, era Dawudi omuweereza wange alibeera mulangira waabwe emirembe gyonna. 26 (T)Ndikola endagaano yange ebawa emirembe, eriba ndagaano ey’olubeerera. Ndibanyweza ne mbaaza, era nditeeka ekifo kyange eky’okubeeramu wakati mu bo emirembe gyonna. 27 (U)Ekifo kyange eky’okubeeramu kinaabeeranga mu bo. Nnaabeeranga Katonda waabwe nabo banaabeeranga bantu bange. 28 (V)Amawanga galimanya nga nze Mukama Katonda, nze ntukuza Isirayiri; ekifo kyange eky’okubeeramu kiri mu bo emirembe gyonna.’ ”

Obunnabbi eri Googi

38 Ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti, (W)“Omwana w’omuntu tunuuliza amaaso go eri Googi ow’omu nsi ya Magoogi, omulangira omukulu owa Meseki ne Tubali, owe obunnabbi gy’ali, (X)oyogere nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Nkulinako ensonga ggwe Googi omulangira omukulu owa Meseki ne Tubali. (Y)Ndikwetoolooza, ne nteeka amalobo mu mba zo, era ndibakulembera n’eggye lyo lyonna, n’embalaasi n’abeebagala embalaasi, bonna nga bambadde ebyokulwanyisa mu kibinja ekinene ekirina engabo ennene n’entono, nga bakutte n’ebitala. (Z)Obuperusi, ne Kuusi ne Puuti[a] balibeera wamu nabo, bonna nga balina engabo n’enkuufiira; (AA)era ne Gomeri n’eggye lye lyonna, n’ennyumba ya Togaluma okuva mu bukiikakkono obw’ewala ddala n’eggye lyabwe lyonna, amawanga mangi nga gali wamu nammwe.

(AB)“ ‘Weeteeketeeke beera bulindaala ggwe n’ekibinja kyonna ekikwetoolodde; obaduumire. (AC)Oluvannyuma olw’ennaku ennyingi mulikuŋŋaanyizibwa era mu myaka egy’oluvannyuma mulirumba ensi eyaakava mu lutalo, ensi abantu mwe baakuŋŋanyizibwa okuva mu mawanga amangi ku nsozi za Isirayiri ezalekebwawo. Abantu baayo baggyibwa mu mawanga, kaakano bonna batudde mirembe. (AD)Ggwe n’eggye lyo lyonna n’amawanga agali awamu naawe, muliyambuka mubalumbe, era mulibalumba ng’omuyaga, era muliba ng’ekire ekibisse ku nsi.

10 (AE)“ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Ku lunaku olwo ebirowoozo biribajjira ne muteesa okukola akabi. 11 (AF)Muligamba nti, “Ndirumba ensi ey’ebyalo ebitaliiko nkomera, ndirumba eggwanga erijjudde emirembe era eriteeteeseteese, bonna nga babeera mu bigango okutali nkomera newaakubadde ebyuma eby’amaanyi. 12 Ndibba ne nnyaga ne nnumba ebifo ebyazika, kaakano ebibeeramu abantu, abantu abaakuŋŋaanyizibwa okuva mu mawanga ag’enjawulo gye babeera, abalina obugagga bw’ente n’ebintu ebirala, ababeera wakati mu nsi.” 13 (AG)Seeba ne Dedani n’abasuubuzi ab’e Talusiisi n’ab’ebyalo bye bonna balibabuuza nti, “Muzze kunyaga? Mukuŋŋaanyizza ebibinja byammwe mutunyage, mutwale effeeza yaffe ne zaabu yaffe, n’ebisolo byaffe n’ebintu byaffe ebirala, mutwale omunyago omunene?” ’

14 (AH)“Noolwekyo omwana w’omuntu kyonoova owa obunnabbi, n’ogamba Googi nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Ku lunaku olwo abantu bange Isirayiri bwe baliba ng’abatudde mirembe, temulikiraba? 15 (AI)Olijja okuva mu kifo kyo mu bukiikakkono obuli ewala ennyo, ggwe n’amawanga mangi wamu naawe, bonna nga beebagadde embalaasi, enkuyanja y’abantu, era eggye eddene. 16 (AJ)Mulitabaala abantu bange Isirayiri ng’ekire ekibikka ku nsi. Era mu nnaku ez’oluvannyuma ndikulinnyisa n’olumba ensi yange, ggwe Googi, amawanga gamanye. Era ndyolesa obutukuvu bwange mu maaso gaabwe.

17 “ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Si mmwe be nayogerako edda nga mpita mu baddu bange bannabbi ba Isirayiri, abaawa obunnabbi mu biro ebyo okumala ebbanga, nga ŋŋenda kubasindika mubalumbe? 18 Naye ku lunaku olwo, Googi bw’alirumba ensi ya Isirayiri, ndiraga obusungu bwange, bw’ayogera Mukama Katonda. 19 (AK)Mu buggya bwange ne mu busungu bwange nnangirira nga njogera nti walibaawo musisi ow’amaanyi mu nsi ya Isirayiri; 20 (AL)n’ebyennyanja ebiri mu nnyanja, n’ennyonyi ez’omu bbanga, n’ensolo enkambwe ez’omu nsiko, ne buli kyewalulira ku ttaka, n’abantu bonna abali ku nsi balikankana olw’okujja kwange. Ensozi zirisuulibwa n’ebbanga liribulunguka, ne buli bbugwe aligwa ku ttaka. 21 (AM)Nditumira Googi ekitala okuva mu nsozi zange zonna, bw’ayogera Mukama Katonda, era buli muntu alirwana ne muganda we. 22 (AN)Ndibabonereza ne kawumpuli n’okuyiwa omusaayi, era nditonnyesa amatondo ag’enkuba amanene nga mulimu omuzira n’omuliro ku ye, n’eggye lye ne ku mawanga amangi agaamwegattako. 23 (AO)Olwo ndyolesa obukulu bwange n’obutukuvu bwange, era ndyeraga eri amawanga mangi, ne balyoka bamanya nga Nze Mukama Katonda.’ ”

Yakobo 1:19-2:17

Okuwuliriza n’okukola

19 (A)Ekyo mukimanye abooluganda abaagalwa! Buli muntu abeerenga mwangu wa kuwulira, kyokka alemenga kubuguutana kwogera, era alemenga kwanguwa kunyiiga. 20 Kubanga obusungu bw’omuntu tebumuweesa butuukirivu bwa Katonda. 21 (B)Kale mulekenga emize gyonna, n’ekibi ekyasigala mu mmwe, mwanirize n’obuwombeefu ekigambo ekyasigibwa ekiyinza okulokola emyoyo gyammwe.

22 Mubeerenga bakozi ba kigambo, so si abakiwulira ne batakikola, nga mwerimbarimba. 23 Kubanga omuntu awuliriza ekigambo naye n’atakigondera, afaanana ng’omuntu eyeeraba mu ndabirwamu; 24 bw’ava mu ndabirwamu, amangwago ne yeerabira nga bw’afaananye. 25 (C)Naye oyo atunula enkaliriza mu tteeka ettuufu erituukiridde erireetera abantu eddembe, n’alinyikiririramu tajja kukoma ku kulijjukiranga kyokka, naye ajjanga kukola bye ligamba, era anaaweebwanga omukisa mu buli ky’akola.

26 (D)Omuntu yenna bwe yeerowooza nga wa ddiini, naye n’atafuga lulimi lwe, aba yeerimba, n’eddiini ye teriiko ky’egasa. 27 (E)Eddiini entuufu etaliiko bbala mu maaso ga Katonda Kitaffe, y’eyo ey’omuntu alabirira bamulekwa ne bannamwandu era nga yeekuuma ensi gy’alimu ereme kumuletako bbala.

Obutabaamu kyekubiira

(F)Abooluganda, mmwe abakkiririza mu Mukama waffe Yesu Kristo, Mukama ow’ekitiibwa, temusosolanga mu bantu. Kubanga singa omuntu omu ajja mu kuŋŋaaniro lyammwe, ng’ayambadde engoye ez’omuwendo omunene, ng’anaanise n’empeta eza zaabu ku ngalo ze, mu kiseera kye kimu ne wajjawo n’omusajja omwavu ng’ali mu ngoye ezisensusesensuse, ne mwaniriza omugagga, ne mumugamba nti, “Tuulira wano kyokka ne mugamba omwavu nti ggwe oyinza okuyimirira wali, oba si ekyo tuula wano wansi w’akatebe kwe nteeka ebigere byange,” (G)kale muba temwesosoddeemu mwekka na mwekka nga mukyamizibwa ebirowoozo byammwe ebibi?

(H)Mumpulirize, abooluganda abaagalwa, Katonda teyalonda abo ensi b’eyita abaavu, okuba abagagga mu kukkiriza, era okuba abasika ab’obwakabaka obw’omu ggulu, Katonda bwe yasuubiza abo abamwagala? (I)Naye munyooma omwavu. Abagagga si be babanyigiriza ne babatwala ne mu mbuga z’amateeka? Era si be banyoomoola erinnya eddungi lye muyitibwa?

(J)Kiba kirungi nnyo era kya kitiibwa bwe mugondera etteeka eriri mu Kyawandiikibwa erigamba nti, “Yagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka.” (K)Naye bwe musosola mu bantu muba mukoze kibi, n’etteeka libasingisa omusango ng’aboonoonyi. 10 (L)Era omuntu akwata amateeka gonna, naye n’asobyako erimu, omusango gumusinga mu ngeri y’emu ng’oli asobezza amateeka gonna. 11 (M)Kubanga Katonda eyagamba nti, “Toyendanga,” era y’omu eyagamba nti, “Tottanga.” Noolwekyo singa toyenda, naye n’otta oba mumenyi wa mateeka gonna.

12 (N)Noolwekyo mwogere era mukole ng’amateeka ag’eddembe bwe gali naye nga mumanyi nti tunaatera okulamulwa. 13 (O)Kubanga abo abatalina kisa, nabo tebalikwatirwa kisa. Ekisa kiwangula omusango.

Okukkiriza n’ebikolwa ebirungi

14 (P)Abooluganda, kibagasa ki okugamba nti mulina okukkiriza kyokka ng’okukkiriza kwammwe temukwoleka mu bikolwa? Mulowooza ng’okukkiriza ng’okwo kugenda kubalokola? 15 (Q)Singa muganda wo oba mwannyoko takyalina kyakwambala wadde ekyokulya, 16 (R)naye omu ku mmwe n’amugamba nti, “Genda mirembe, obugume, era olye bulungi”, naye nga tamuwaddeeyo byetaago bya mubiri, olwo kimugasa ki? 17 Noolwekyo n’okukkiriza bwe kutyo; bwe kutabaako bikolwa kuba kufu.

Zabbuli 117

117 (A)Mutendereze Mukama, mmwe ensi zonna;
    mumugulumize, mmwe amawanga gonna.
(B)Kubanga okwagala kwe okutaggwaawo kungi gye tuli;
    n’obwesigwa bwa Mukama bwa lubeerera.

Mutendereze Mukama.

Engero 28:1

28 (A)Abakozi b’ebibi badduka nga tewali abagoba,
    naye abatuukirivu babeera n’obuvumu ng’empologoma.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.