Print Page Options Listen to Reading
Previous Prev Day Next DayNext

The Daily Audio Bible

This reading plan is provided by Brian Hardin from Daily Audio Bible.
Duration: 731 days

Today's audio is from the GNT. Switch to the GNT to read along with the audio.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Ezeekyeri 3:16-6:14

Okulabula Isirayiri

16 (A)Oluvannyuma lw’ennaku omusanvu ekigambo kya Mukama ne kinzijira: 17 (B)“Omwana w’omuntu, nkufudde omukuumi w’ennyumba ya Isirayiri, era buli lw’onoowuliranga ekigambo kye nnaayogeranga, balabulenga. 18 (C)Bwe ŋŋamba atali mutuukirivu nti, ‘Mazima tolirema kufa,’ n’otamulabula newaakubadde okwogera naye ng’omulabula alekeyo engeri ze ezitali za butuukirivu asobole okuwonya obulamu bwe, omuntu oyo atali mutuukirivu alifa olw’obutali butuukirivu bwe, naye omusaayi gwe ndiguvunaana ggwe. 19 (D)Naye bw’olirabula omuntu atali mutuukirivu, n’atalekaayo obutali butuukirivu, newaakubadde engeri ze embi, alifa olw’ekibi kye, naye obulamu bwo bulilokolebwa.

20 (E)“Ate era bw’alireka ebikolwa bye eby’obutuukirivu n’akola ebibi, ne nteeka enkonge mu maaso ge, alifa. Olw’okubanga tewamulabula, alifa olw’ekibi kye. Ebikolwa eby’obutuukirivu bye yakola tebirijjukirwa, era ndikuvunaana olw’omusaayi gwe. 21 (F)Kyokka bw’olabulanga omutuukirivu obutayonoona, n’atayonoona, ddala ddala aliba mulamu kubanga yawulira okulabula kwo, era naawe oliba weerokodde.”

22 (G)Omukono gwa Mukama gw’andiko eyo, n’aŋŋamba nti, “Golokoka olage ku ttale, era eyo gye nnaayogerera naawe.” 23 (H)Ne nsituka ne ndaga ku ttale. Ekitiibwa kya Mukama kyaliwo, nga kifaanana ekitiibwa kye nalaba ku Mugga Kebali; ne neeyala wansi.

24 (I)Awo Omwoyo n’anzikako, n’annyimusa okuva we nnali, n’aŋŋamba nti, “Genda weggalire mu nnyumba yo. 25 (J)Ggwe omwana w’omuntu balikusiba emiguwa, n’olemwa okugenda okulaba abantu bo. 26 (K)Ndiziba akamwa ko, n’osirikira ddala, n’olema okubanenya, newaakubadde nga nnyumba njeemu. 27 (L)Kyokka bwe ndyogera gy’oli, ndizibula akamwa ko era olibagamba nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Ayinzabyonna.’ Aliwuliriza kale aliwuliriza, n’oyo aligaana okuwuliriza naye muleke agaane okuwuliriza; nnyumba njeemu.”

Ekifaananyi Ekiraga Okuzingizibwa kwa Yerusaalemi

“Kaakano omwana w’omuntu, ddira ekipande eky’ebbumba okiteeke mu maaso go, okikubeko ekifaananyi ky’ekibuga Yerusaalemi, (M)okizingize, okizimbeko bbugwe okukyetooloola, okituumeko ekifunvu, era oteekewo ensiisira okukyetooloola n’ebifunvu bye banaatomera enjuuyi zonna.

(N)“Oluvannyuma oddire olukalango olw’ekyuma, oluteeke okuba bbugwe ow’ekyuma wakati wo n’ekibuga, okyuke okitunuulire. Kiriba mu mbeera ey’okuzingizibwa, era naawe kizingize. Ako kaliba kabonero eri ennyumba ya Isirayiri.

“N’oluvannyuma oligalamira ku lubiriizi lwo olwa kkono n’oddira ekibi ky’ennyumba ya Isirayiri okyeteekeko. Olyetikka ekibi kyabwe ennaku z’olimala ng’ogalamidde ku lubiriizi lwo. Ennaku z’olimala ezenkanankana emyaka gye baamala nga boonoona. Noolwekyo olimala ennaku ebikumi bisatu mu kyenda nga weetisse ekibi ky’ennyumba ya Isirayiri.

(O)“Ekyo bw’olikimala, oligalamira nate, ku mulundi guno ku lubiriizi lwo olwa ddyo, ne weetikka ekibi ky’ennyumba ya Yuda. Olimala ennaku amakumi ana, buli lunaku mwaka. Olikyusa amaaso go n’otunula eri okuzingizibwa kwa Yerusaalemi, okyogerereko ebigambo n’omukono gwo ogutali mubikkeko, (P)Ndikusiba emiguwa n’otosobola kwekyusa okuva ku luuyi olumu okudda ku lulala, okutuusa ennaku ez’obusibe bwo lwe ziriggwaako.

(Q)“Ddira eŋŋaano ne sayiri, n’obulo, n’omukyere, n’ebijanjalo, n’enva endiirwa endala obisse mu kibya omuterekebwa, obikozese okwefumbira omugaati. Oligulya mu nnaku ezo ebikumi ebisatu mu ekyenda z’oliba ogalamidde ku luuyi olw’omubiri gwo. 10 Opime gulaamu ebikumi bibiri mu amakumi asatu ez’emmere gy’olirya buli lunaku, era gy’oliriira mu biseera ebigere. 11 Ate opime nga kitundu kya lita ey’amazzi, oganywe mu biseera ebigere. 12 (R)Olye emmere nga bwe wandiridde keeke eya sayiri; ogifumbe n’obusa bw’omuntu, ng’abantu balaba.” 13 (S)Mukama n’aŋŋamba nti, “Mu ngeri eno abantu ba Isirayiri baliriira emmere etali nnongoofu mu mawanga gye ndibasindika.”

14 (T)Ne njogera nti, “Nedda Ayi Mukama Katonda. Sseeyonoonesanga, era okuva mu buto bwange n’okutuusa kaakano siryanga kifu wadde ekitaaguddwataaguddwa ensolo enkambwe. Siryanga nnyama etali nnongoofu.”

15 N’ayogera nti, “Weewaawo, nnaakukkiriza okukozesa obusa bw’ente okufumba omugaati mu kifo ky’obusa bw’abantu.”

16 (U)N’oluvannyuma n’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, ndisalako emmere eri mu Yerusaalemi. Abantu balirya emmere engere mu kutya, ne banywa amazzi amapime mu kutya, 17 (V)kubanga emmere n’amazzi biriba bya bbula. Tebalyagala kwetunulako, era baliggwaawo olw’ekibi kyabwe.”

(W)“Kaakano, omwana w’omuntu, ddira ekitala ekyogi, okikozese nga weembe ya kinyoozi okwemwa omutwe n’ekirevu. N’oluvannyuma oteeke enviiri ku minzaani ozipime era ozigabanyeemu. (X)Ennaku ez’obusibe bwo bwe ziriggwaako, oyokere kimu kya kusatu ku nviiri ezo mu kibuga. Ekimu kya kusatu ekirala okisaasaanye mu mpewo. Ndibagobesa ekitala. (Y)Naye ddira ku miguwa mitono, egy’enviiri ogifundikire mu kyambalo kyo. Ate era ddira mitono ku egyo, ogisuule mu muliro, ogyokye. Omuliro gulibuna ennyumba ya Isirayiri yonna okuva okwo.

“Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Eno ye Yerusaalemi gye nateeka wakati mu mawanga, ng’ensi zonna zigyetoolodde. (Z)Naye, boonoonye okusinga amawanga n’ensi abemwetoolodde bwe boonoonye ne bajeemera amateeka n’ebiragiro byange. Ajeemedde amateeka gange, n’atagoberera biragiro byange.

(AA)“Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Mubadde bajeemu nnyo n’okusinga amawanga agabeetoolodde ne mutagoberera biragiro byange wadde okukuuma amateeka gange. Mukoze ebibi okusinga amawanga agabeetoolodde ne mutagoberera biragiro byange wadde okukuuma amateeka gange. Mwonoonye okukira amawanga agabeetoolodde bwe gakola.

(AB)“Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Nze kennyini ndi mulabe wo, Yerusaalemi, era ndikubonerereza mu maaso g’amawanga. (AC)Olwa bakatonda bo abalala bonna ab’emizizo, ndikukola ekyo kye sikolanga, era kye siriddayo kukola. 10 (AD)Bakitaabwe baliriira abaana baabwe mu maaso gammwe, ate n’abaana balirya bakitaabwe, era ndikubonereza ne nsasaanya abalisigalawo eri empewo. 11 (AE)Noolwekyo nga bwe ndi omulamu, olw’okuyonoonesa awatukuvu wange ne bakatonda abalala ab’ekivve, n’ebikolwa byammwe eby’ekivve, nze kennyini kyendiva nnema okukulaga ekisa, era sirikulaga kisa wadde okukusaasira, bw’ayogera Mukama Katonda. 12 (AF)Kimu kya kusatu ku bantu bo balifa kawumpuli oba bazikirire olw’ekyeya nga bali mu ggwe. Kimu kya kusatu ekirala kirittibwa ekitala ebweru wa bbugwe, ne kimu kya kusatu ekirala ndikisaasaanya eri empewo ne mbagoba n’ekitala ekisowole.

13 (AG)“Olwo nno obusungu bwange n’ekiruyi kyange birikkakkana, era ndiba nesasuzza. Era bwe ndibasunguwalira balimanya nga nze Mukama nkyogeredde mu buggya.

14 (AH)“Ndikufuula ekyazikirira era ekivume mu mawanga agakwetoolodde, mu maaso g’abo bonna abayitawo. 15 (AI)Bwe ndikubonerereza mu busungu bwange, ne mu kiruyi kyange nga nnyiize, oliba kivume, oyogerebweko oyeeyerezebwe. Oliba kyakulabula era ekintu ekitiisa eri amawanga agakwetoolodde. Nze Mukama nkyogedde. 16 (AJ)Bwe ndirasa obusaale obutta era obuzikiriza obw’ekyeya ndirasa okubazikiriza. Ndyongera okuleeta ekyeya, ne nsalako n’emmere ebaweebwa. 17 (AK)Ndibaleetera ekyeya n’ensolo enkambwe ez’omu nsiko, ne zibaleka nga temulina baana. Kawumpuli n’okuyiwa omusaayi biribatuukako, ne mbaleetako ekitala. Nze Mukama nkyogedde.”

Obubaka eri Ensozi za Isirayiri

Awo ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira nti, (AL)“Omwana w’omuntu tunuulira ensozi za Isirayiri, (AM)oyogere nti, ‘Mmwe ensozi za Isirayiri, muwulire ekigambo kya Mukama Katonda. Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda eri ensozi n’obusozi, eri emigga n’ebiwonvu, nti, Nze kennyini ndibaleetako ekitala ne nzikiriza n’ebifo byammwe ebigulumivu. (AN)Ebyoto byammwe birimenyebwamenyebwa, n’ebyoto kwe mwotereza obubaane birimenyebwamenyebwa; ndittira abantu bo mu maaso ga bakatonda bo abalala. (AO)Ndiddira emirambo gy’Abayisirayiri ne ngiteeka mu maaso ga bakatonda baabwe abalala, era ndisaasaanya amagumba go okwetooloola ebyoto byo. (AP)Buli gye mubeera ebibuga biriyonoonebwa n’ebifo byammwe ebigulumivu birisaanyizibwawo, n’ebyoto byammwe ne byonoonebwa ne bimenyebwamenyebwa, ne bakatonda bammwe ne bamenyebwamenyebwa ne boonoonebwa, era n’ebyoto byammwe ebyokerwako obubaane ne bimenyebwa ne bye mukoze ne bisaanawo. Abantu bo balittibwa wakati mu mmwe, ne mulyoka mumanya nga nze Mukama.

(AQ)“ ‘Naye ndirekawo abamu ku mmwe, era muliba bakaawonawo nga musaasaanye mu nsi ne mu mawanga. (AR)Era eyo mu mawanga bakaawonawo gye mwatwalibwa mu busibe, mulinzijukira, kubanga nnumwa olw’emitima gyabwe eginjeemedde egyegomba era egisinza bakatonda abalala. Balikyama olw’obutali butuukirivu bwabwe, n’olwebikolwa byabwe byonna ebigwenyufu. 10 Era balimanya nga nze Mukama; saabatiisiza bwereere okubaleetako akabi kano.

11 (AS)“ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Kuba mu ngalo zo, osambagale era okaabire waggulu oyogere nti, “Woowe”; olw’ebikolwa byonna ebitali bya butuukirivu n’ebintu byonna eby’ekkive eby’ennyumba ya Isirayiri; abamu baligwa n’ekitala, abalala balifa enjala, n’abalala balifa kawumpuli. 12 (AT)Ali ewala alifa kawumpuli, n’oyo ali okumpi aligwa n’ekitala, n’oyo alisigalawo alifa enjala. Bwe ntyo bwe ndiraga obusungu bwange. 13 (AU)Mulitegeera nga nze Mukama, abantu baabwe bwe balisangibwa nga bafiiridde wakati mu bakatonda baabwe be baakola n’emikono okwetooloola ebyoto byabwe, ne ku buli lusozi oluwanvu, ne ku buli ntikko ez’ensozi, ne buli wansi w’omuti oguliko ebikoola, n’omwera oguliko ebikoola, ebifo gye baali nga bootereza obubaane eri bakatonda baabwe be baakola n’emikono. 14 (AV)Era ndigolola omukono gwange ku bo, ensi ne yonooneka ne tebalamu kintu okuva ku ddungu okutuuka e Dibula, ne buli gye babeera. Olwo balimanya nga nze Mukama.’ ”

Abaebbulaniya 4

Ssabbiiti kiwummulo ky’Abantu ba Katonda

(A)Noolwekyo ng’ekisuubizo eky’okuyingira mu kiwummulo kye, bwe kikyaliwo, twerinde, omuntu yenna ku mmwe aleme kulabika nga takituuseemu. (B)Kubanga naffe tubuuliddwa Enjiri, nga nabo bwe baagibuulirwa. Kyokka baalema okukkiriza ekigambo kye baawulira, era tebaalina kye baagasibwa. (C)Kubanga ffe abakkiriza, ffe tuyinza okuyingira mu kiwummulo kye, nga bwe yayogera nti,

“Kyennava ndayira nga nsunguwadde nti,
    ‘Tebaliyingira mu kiwummulo kyange.’ ”

Omulimu gwe gwaggwa ku kutondebwa kw’ensi. (D)Kubanga waliwo w’ayogerera nti, “Katonda bwe yamala okukola emirimu gye gyonna n’awummulira ku lunaku olw’omusanvu.” (E)Ayongera n’agamba nti, “Tebaliyingira mu kiwummulo kyange.”

(F)Kyaterekerwa abamu okuyingiramu, ate ng’abo abaasooka okubuulirwa Enjiri, tebaayingira olw’obujeemu. (G)Katonda kyeyava ateekateeka nate olunaku, n’alutuuma leero, bwe yayogerera mu Dawudi, oluvannyuma lw’ekiseera ekiwanvu nti,

“Leero bwe munaawulira eddoboozi lye,
    Temukakanyaza mitima gyammwe.

(H)Kubanga singa Yoswa yabatwala mu kifo eky’okuwummula, Katonda teyandiyogedde ku lunaku olulala olw’okuwummula.” Naye Katonda atusuubizza olunaku olwa Ssabbiiti lwe tuliwummula, newaakubadde nga terunnatuuka. 10 (I)Kubanga oyo ayingira mu kiwummulo kya Katonda, awummula emirimu gye nga Katonda bwe yawummula ng’amaze emirimu gye. 11 (J)Noolwekyo tufubenga okuyingira mu kiwummulo ekyo, omuntu yenna alemenga kugoberera ekyokulabirako ekibi eky’abajeemu.

12 (K)Ekigambo kya Katonda kiramu era kikola. Kisala okusinga ekitala eky’obwogi obubiri, era kiyitamu ne kituukira ddala ku mmeeme n’omwoyo, n’ennyingo n’obusomyo, era kyawula ebirowoozo n’okufumiitiriza kw’omutima. 13 (L)Katonda amanyi ebintu byonna, so tewali kitonde na kimu ekikwekeddwa amaaso ge. Alaba buli kintu, era tulyogera mazima nga tumutegeeza buli kimu.

Yesu Kristo Kabona Asinga Obukulu

14 (M)Noolwekyo nga bwe tulina Kabona Asinga Obukulu, eyagenda mu ggulu, ye Yesu, Omwana wa Katonda, tunyweze okukkiriza kwe twayatula. 15 (N)Tulina Kabona Asinga Obukulu alumirwa awamu naffe mu bunafu bwaffe, eyakemebwa mu byonna nga ffe, kyokka n’atakola kibi kyonna. 16 Kale tusembererenga entebe ya Katonda ey’obwakabaka ey’ekisa n’obuvumu, tufune okusaasirwa n’ekisa tubeerwe mu kwetaaga kwaffe.

Zabbuli 104:24-35

24 (A)Ayi Mukama, ebintu bye wakola nga bingi nnyo!
    Byonna wabikola n’amagezi ag’ekitalo;
    ensi ejjudde ebitonde byo.
25 (B)Waliwo ennyanja, nnene era ngazi,
    ejjudde ebitonde ebitabalika,
    ebintu ebirina obulamu ebinene era n’ebitono.
26 (C)Okwo amaato kwe gaseeyeeyera nga galaga eno n’eri;
    ne galukwata ge wakola mwe gabeera okuzannyiranga omwo.

27 (D)Ebyo byonna bitunuulira ggwe
    okubiwa emmere yaabyo ng’ekiseera kituuse.
28 (E)Bw’ogibiwa,
    nga bigikuŋŋaanya;
bw’oyanjuluza engalo zo n’obigabira ebintu ebirungi
    ne bikkusibwa.
29 (F)Bw’okweka amaaso go
    ne byeraliikirira nnyo;
bw’obiggyamu omukka nga bifa,
    nga biddayo mu nfuufu.
30 Bw’oweereza Omwoyo wo,
    ne bifuna obulamu obuggya;
    olwo ensi n’ogizza buggya.

31 (G)Ekitiibwa kya Katonda kibeerengawo emirembe gyonna;
    era Mukama asanyukirenga ebyo bye yakola.
32 (H)Atunuulira ensi, n’ekankana;
    bw’akwata ku nsozi ennene, ne zinyooka omukka.

33 (I)Nnaayimbiranga Mukama obulamu bwange bwonna;
    nnaayimbanga nga ntendereza Katonda wange ennaku zonna ze ndimala nga nkyali mulamu.
34 (J)Ebirowoozo byange, nga nfumiitiriza, bimusanyusenga;
    kubanga mu Mukama mwe neeyagalira.
35 (K)Naye abakola ebibi baggweewo ku nsi;
    aboonoonyi baleme kulabikirako ddala.

Weebaze Mukama, gwe emmeeme yange.

Mumutenderezenga Mukama.

Engero 26:27

27 (A)Buli asima ekinnya y’alikigwamu,
    n’oyo aliyiringisa ejjinja gwe liriddira.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.