Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Bible in 90 Days

An intensive Bible reading plan that walks through the entire Bible in 90 days.
Duration: 88 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Ezeekyeri 12:21-23:39

21 Ekigambo kya Mukama ne kinzijira ng’agamba nti, 22 (A)“Omwana w’omuntu, makulu ki agali mu lugero olukwata ku nsi ya Isirayiri, olugamba nti, ‘Ennaku ziggwaayo naye teri kwolesebwa kutuukirira?’ 23 (B)Bagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, ŋŋenda kukomya olugero luno, era tebaliddayo nate kulwogera, mu Isirayiri.’ Bagambe nti, ‘Ebiro binaatera okutuuka, okwolesebwa kwonna lwe kulituukirira. 24 (C)Tewaliba nate kwolesebwa kwa bulimba newaakubadde obunnabbi obusavuwaze mu bantu ba Isirayiri. 25 (D)Naye nze Mukama ndyogera kye ndisiima, era kirituukirira amangu ddala. Mu nnaku zo ggwe ennyumba enjeemu, ndyogera ekigambo era ndikituukiriza, bw’ayogera Mukama Katonda.’ ”

26 Ekigambo kya Mukama ne kinzijira ng’agamba nti, 27 (E)“Omwana w’omuntu, laba, ennyumba ya Isirayiri egamba nti, ‘Okwolesebwa kwalaba kw’amyaka mingi okuva ne kaakano, era ayogera obunnabbi obulibaawo mu bbanga ery’ewala.’

28 “Noolwekyo bagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, tewalibaawo nate kigambo kyange na kimu ekirirwisibwa, buli kye njogera kirituukirira, bw’ayogera Mukama Katonda.’ ”

Bannabbi Aboobulimba Basalirwa Omusango

13 Ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira ng’agamba nti, (F)“Omwana w’omuntu, yogera ebyobunnabbi eri bannabbi ba Isirayiri aboogera obunnabbi kaakano. Tegeeza abo aboogera obunnabbi bwe bayiiyizza nti, ‘Muwulire ekigambo kya Mukama. (G)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, zibasanze bannabbi abasirusiru abagoberera omwoyo gwabwe ate nga tebalina kye balabye. Isirayiri, bannabbi bo bali ng’ebibe ebitambulatambula mu bifulukwa. (H)Temwambuse kuddaabiriza bbugwe n’okuziba ebituli ebirimu ku lw’ennyumba ya Isirayiri, esobole okuyimirira nga ngumu mu lutalo ku lunaku lwa Mukama Katonda. (I)Okwolesebwa kwabwe kukyamu, n’okubikkulirwa kwabwe kwa bulimba. Mukama ne bw’aba tabatumye boogera nti, “bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda,” ne bamusuubira okutuukiriza ebyo bye boogedde. Temulabye kwolesebwa kukyamu ne mwogera n’okubikkulirwa okw’obulimba, bwe mwogedde nti, “Mukama bw’ati bw’ayogera,” newaakubadde nga mba soogedde?

“ ‘Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, olw’ebigambo byo ebikyamu n’olw’okwolesebwa kwo okw’obulimba, ndi mulabe wo. (J)Omukono gwange gulibeera ku bannabbi abalaba okwolesebwa okukyamu era aboogera okubikkulirwa okw’obulimba. Tebalituula mu kibiina eky’abantu bange newaakubadde okuwandiikibwa ku nkalala z’ennyumba ya Isirayiri, wadde okuyingira mu nsi ya Isirayiri. Olwo olimanya nga nze Mukama Katonda.

10 (K)“ ‘Olw’okuba nga babuzaabuza abantu bange nga boogera nti, “Mirembe,” ate nga tewali mirembe, ate bwe bazimba bbugwe omunafu, ne basiigako langi okubikka bye batazimbye bulungi, 11 (L)kyonoova ogamba abo ababikkirira ne langi nti bbugwe aligwa. Enkuba eritonnya nnyo, era ndisindika omuzira, n’embuyaga ez’amaanyi zirikunta. 12 Bbugwe bw’aligwa, abantu tebalikubuuza nti, “Langi gye wasiigako eruwa?”

13 (M)“ ‘Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Mu kiruyi kyange ndisindika kibuyaga ow’amaanyi, ne mu busungu bwange ndisindika omuzira, ne mu bukambwe obungi enkuba ennyingi ennyo eritonnya okukizikiriza. 14 (N)Ndimenya bbugwe gwe mwasiiga langi musaasaanye ku ttaka, n’omusingi gwe gusigale nga gwasaamiridde. Bw’aligwa, alikugwiira n’ozikirizibwa, olyoke omanye nga nze Mukama Katonda. 15 Ndimalira ekiruyi kyange ku bbugwe ne ku abo abaakisiiga langi, nga ŋŋamba nti, “Bbugwe agenze, era abaamusiiga langi nabo balugenze, 16 (O)abo bannabbi ba Isirayiri abaayogera eby’obunnabbi eri Yerusaalemi ne balabikirwa okwolesebwa ow’emirembe gye bali, ate nga tewaaliwo mirembe, bw’ayogera Mukama Katonda.” ’

17 (P)“Kaakano omwana w’omuntu, amaaso go gateeke ku bawala b’abantu bo aboogera eby’obunnabbi bye bayiiyizza. Bawe obunnabbi, oyogere nti, 18 ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Zibasanze abakazi abatunga ebikomo eby’obulogo ku mikono gyabwe ne batunga ebyokwebikkirira ku mutwe ebiwanvu mu ngeri ez’enjawulo basobole okutega abantu. Olitega obulamu bw’abantu bange, naye ne weesigaliza obubwo? 19 (Q)Onswazizza mu bantu bange olw’embatu entono eza sayiri n’olw’obukunkumuka bw’emigaati, bw’osse abantu abatateekwa kuttibwa, ate n’oleka abatateekwa kuba balamu, ng’obalimba nabo ne bawuliriza eby’obulimba.

20 “ ‘Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Ndi mulabe w’obulogo bwo, bw’okozesa okuteega abantu ng’ateega ebinyonyi, era ndibaggya mu mikono gyo. Ndinunula abantu be wateega ng’ebinyonyi n’obasiba. 21 (R)Ndiyuza ebyambalo byo ebyokwebikkirira, ne mponya abantu bange mu mikono gyo, ne bataddayo kugwa mu mutego gwa buyinza bwo, olyoke omanye nga nze Mukama Katonda. 22 (S)Kubanga wanakuwaza abatuukirivu n’obulimba bwo, ate nga nnali sibanakuwazza. Olw’okuleetera abakozi b’ebibi okweyongera mu ngeri zaabwe ezitali za butuukirivu, n’owonya obulamu bwabwe, 23 (T)ky’oliva olemwa okulaba okwolesebwa okukyamu wadde okufuna okubikkulirwa. Ndiwonya abantu bange okuva mu mikono gyo, olyokye omanye nga nze Mukama Katonda.’ ”

14 (U)Abamu ku bakadde ba Isirayiri ne bajja gye ndi, ne batuula mu maaso gange. Awo ekigambo kya Mukama ne kinzijira ng’agamba nti, (V)“Omwana w’omuntu, abasajja bano batadde bakatonda abalala ku mitima gyabwe ne bateeka n’ebyesittaza mu maaso gaabwe. Mbakkirize banneebuuzeeko? Noolwekyo yogera gye bali obategeeze nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Omuyisirayiri yenna bw’ateeka bakatonda abalala ku mutima gwe, n’ateeka n’ebyesittaza mu maaso ge, n’agenda eri nnabbi, nze kennyini, nze nnaamwanukulanga olwa bakatonda be abalala baayita abakulu. (W)Bwe ntyo bwe ndikola okwewangulira emitima gy’ennyumba ya Isirayiri, bonna abaanvaako okugoberera bakatonda abalala.’

(X)“ ‘Noolwekyo tegeeza ennyumba ya Isirayiri nti, Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Mwenenye muleke bakatonda bammwe, mulekeyo ebikolwa byammwe eby’ekivve.

(Y)“ ‘Omuyisirayiri yenna oba omugenyi abeera mu Isirayiri bw’ananvangako, n’ateeka bakatonda abalala ku mutima gwe n’ateeka n’ebyesittaza mu maaso ge, ate n’agenda eri nnabbi okunneebuuzaako, nze Mukama nze nnaamwanukulanga. (Z)Omuntu oyo nnaamulwanyisanga ne mufuula ekyokulabirako era eky’okunyumyako. Ndimusalako ku bantu be, mulyoke mumanye nga nze Mukama.

(AA)“ ‘Nnabbi bw’anaasendebwasendebwanga okuwa obubaka ng’ategeeza nti nze Mukama Katonda nsenzesenze nnabbi oyo, ndigolola omukono gwange ku ye ne muzikiriza okumuggya mu bantu bange Isirayiri. 10 Baliba bansingiddwa omusango, era nnabbi aliba asingiddwa omusango gwe gumu n’oyo azze okumwebuuzaako. 11 (AB)Olwo ennyumba ya Isirayiri tebaliddayo nate kubula newaakubadde okweyonoona n’ebibi byabwe byonna. Baliba bantu bange, nange ndiba Katonda waabwe, bw’ayogera Mukama Katonda.’ ”

12 Awo ekigambo kya Mukama ne kinzijira ng’agamba nti, 13 (AC)“Omwana w’omuntu, ensi bw’ekola ebibi mu maaso gange n’ebeera etali nneesigwa, ne ngolola omukono gwange gy’eri ne nsalako obugabirizi bw’emmere yaabwe, ne mbasindikira ekyeya, ne nzita abantu baamu n’ensolo zaabwe, 14 (AD)newaakubadde ng’abasajja bano abasatu Nuuwa, ne Danyeri, ne Yobu bandibadde bagirimu, bandiwonyeza bulamu bwabwe bwokka olw’obutuukirivu bwabwe, bw’ayogera Mukama Katonda.

15 (AE)“Oba newaakubadde nga nsindika ensolo enkambwe ez’omu nsiko mu nsi eyo, ne zigyonoona ne zigireka nga temuli mwana n’omu, n’efuuka matongo, ne wataba n’omu agiyitamu olw’ensolo ezo, 16 (AF)ddala nga bwe ndi omulamu, abasajja abo abasatu tebandiwonyezza batabani baabwe wadde bawala baabwe, bw’ayogera Mukama Katonda. Bo bokka be bandiwonye, naye ensi yandifuuse matongo.

17 (AG)“Oba singa ndeeta ekitala ku nsi eyo ne njogera nti, ‘Leka ekitala kiyite mu nsi yonna,’ ne nzita abantu baamu n’ensolo zaabwe, 18 nga bwe ndi omulamu, newaakubadde ng’abasajja bano abasatu bandibadde bagirimu, tebandiwonyezza batabani baabwe wadde bawala baabwe. Bandiwonyeza bulamu bwabwe bwokka olw’obutuukirivu bwabwe, bw’ayogera Mukama Katonda.

19 (AH)“Oba singa ndeeta kawumpuli mu nsi eyo, ne mbafukako ekiruyi kyange, ne njiwa omusaayi mu nsi eyo, ne nzita abantu baamu n’ensolo zaabwe, 20 (AI)nga bwe ndi omulamu, Nuuwa ne Danyeri ne Yobu ne bwe bandigibaddemu, tebandiwonyezza mutabani waabwe newaakubadde muwala waabwe. Bo bokka be nandiwonyezza olw’obutuukirivu bwabwe, bw’ayogera Mukama Katonda.

21 (AJ)“Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Kiriba kitya bwe ndiweereza ebibonerezo byange ebina: ekitala n’ekyeya n’ensolo enkambwe ez’omu nsiko ne kawumpuli, ku Yerusaalemi, okutta abantu baamu n’ensolo zaabwe! 22 (AK)Naye ate nga walibaawo abamu abaliwona, abaana aboobulenzi n’aboobuwala abaliggibwamu. Balijja gy’oli, era bw’oliraba enneeyisa yaabwe n’ebikolwa byabwe, olikkiriza akabi ke ndeese ku Yerusaalemi, buli kabi ke mmuleeseeko. 23 (AL)Bw’oliraba enneeyisa yaabwe n’ebikolwa byabwe olikkiriza nga sirina kye nkoze mu Yerusaalemi awatali nsonga, bw’ayogera Mukama Katonda.”

Yerusaalemi Omuzabbibu Ogutaliimu Nsa

15 Ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira, n’aŋŋamba nti, (AM)“Omwana w’omuntu, omuti gw’omuzabbibu gusinga gutya ettabi ery’omuti ku miti egy’omu kibira? Guvaamu omuti ogukolebwamu ekintu kyonna eky’omugaso? Kiyinzika ogukolamu eŋŋango ey’okuwanikako ekintu kyonna? (AN)Bwe gusuulibwa mu muliro okuba enku, omuliro ne gugwokya eruuyi n’eruuyi, ne wakati ne wasiriira guba gukyaliko kye gugasa? Bwe guba nga tegwali gwa mugaso nga mulamba, olwo guyinza okubaako kye gugasa nga gwokebbwa mu muliro ne gusiriira?”

Mukama Katonda kyava ayogera nti, “Nga bwe njogedde ku muzabbibu mu miti egy’omu kibira, gwe ntadde mu muliro okuba enku, bwe ntyo bwe ndyokya abatuuze ba Yerusaalemi. (AO)Ndikyusa amaaso gange ne mbatunuulira, era ne bwe balidduka, omuliro gulibookya, era mulimanya nga nze Mukama Katonda. (AP)Ndizisa ensi, kubanga tebabadde beesigwa, bw’ayogera Mukama Katonda.”

16 Ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira, n’aŋŋamba nti, (AQ)“Omwana w’omuntu manyisa Yerusaalemi ebikolwa bye eby’ekivve, (AR)oyogere nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda eri Yerusaalemi: Wasibuka era n’ozaalibwa mu nsi ey’Abakanani; Kitaawo yali Mwamoli, ne nnyoko nga Mukiiti. (AS)Ku lunaku kwe wazaalirwa, tewasalibwa kkundi, so tewanaazibwa na mazzi kutukula, newaakubadde okusiigibwa omunnyo, newaakubadde okubikkibwa mu ngoye. Tewali yakusaasira so tewali yakukwatirwa kisa kukukolera ebintu ebyo byonna, naye wasuulibwa ebweru ku ttale, kubanga wanyoomebwa okuva ku lunaku kwe wazaalirwa.

(AT)“ ‘Bwe nnali nga mpitaayita ne nkulaba ng’osambagala mu musaayi gwo, ne nkugamba nti, “Ba mulamu!” (AU)Ne nkukuza ne nkulabirira ng’ekimuli mu nnimiro. N’okula n’owanvuwa n’olabika bulungi nnyo mu maaso ng’amayinja ag’omuwendo omungi; n’osuna amabeere, n’enviiri zo ne zikula, ggwe eyali obwereere nga tobikkiddwako.

(AV)“ ‘Oluvannyuma lwa bbanga, bwe nnali nga mpitaayita, ne nkulengera ne ndaba ng’okuze era ng’otuuse okufumbirwa, ne nkwaliirako ekirenge kyange ne mbikka ku bwereere bwo; ne nkulayirira ne nkola naawe endagaano, bw’ayogera Mukama Katonda, n’ofuuka wange.

(AW)“ ‘Ne nkunaaza n’amazzi, ne nkunaazaako omusaayi, ne nkusiigako amafuta. 10 (AX)Ne nkwambaza olugoye oluliko omudalizo, ne nkuwa n’engatto ez’amaliba; ne nkwambaza olugoye olwa linena ne nkubikkako engoye ez’omuwendo omungi. 11 (AY)Ne kunaanika amayinja ag’omuwendo omungi; ne nkuteeka ebikomo ku mukono, n’omukuufu mu bulago, 12 (AZ)ne nkuteeka empeta mu nnyindo, n’eby’omu matu ku matu, ne nkutikkira n’engule ku mutwe. 13 (BA)Wayonjebwa ne zaabu n’effeeza, n’engoye zo zaali za linena, n’ebyambalo byo byali byamuwendo mungi era nga biriko omudalizo. Walyanga emmere ey’obutta obulungi, n’omubisi gw’enjuki n’omuzigo ogw’omuzeyituuni. Walungiwa nnyo n’otuuka ku mwaliiro ery’obwa kabaka omukazi. 14 (BB)Ettutumu lyo lyabuna mu mawanga olw’obulungi bwo, kubanga nakuwa ekitiibwa kyange, bw’ayogera Mukama Katonda.

15 (BC)“ ‘Naye weesiga obulungi bwo, n’okozesa ettutumu lyo okukola obwenzi, n’ofuka obukaba bwo ku buli eyayitangawo obulungi bwo ne bufuuka bubwe. 16 (BD)Waddira ebimu ku byambalo byo ne weekolera ebifo ebigulumivu nga byamabala mangi, gye wakoleranga obwenzi bwo. Ebintu bwe bityo tebikolebwa, era tebikolebwanga. 17 (BE)Ate era waddira emikuufu emirungi gye nnali nkuwadde, egyakolebwa mu zaabu n’effeeza bye nakuwa, ne weekolera bakatonda abalala abali mu bifaananyi eby’ekisajja, bw’otyo n’okola eby’obwenzi nabyo, 18 n’oddira ebyambalo byo ebiriko emidalizo n’obibikkako, n’oteeka omuzigo gwange n’obubaane bwange mu maaso gaabyo. 19 (BF)N’emmere gye nnali nkuwadde, obuwunga obw’obutta, n’omuzigo ogw’omuzeyituuni n’omubisi gw’enjuki bye nnali nkuwadde okulya, wabiwaayo okuba ebiweebwayo eby’evvumbe eddungi eri bbyo. Era bw’otyo bwe wakola, bw’ayogera Mukama Katonda.

20 (BG)“ ‘Waddira batabani bo ne bawala bo be wanzaalira, n’obawaayo ng’ebiweebwayo eby’emmere eri bakatonda abalala. Obwenzi bwe wakola bwali tebumala? 21 (BH)Watta abaana bange n’obawaayo ng’ebiweebwayo eri bakatonda abalala. 22 (BI)Mu bikolwa byo byonna eby’ekivve n’obwenzi bwo, tewajjukira biseera eby’obuvubuka bwo, bwe wali obwereere nga toliiko bw’oli, era ng’osambagala mu musaayi gwo.

23 “ ‘Zikusanze! Zikusanze, bw’ayogera Mukama Katonda. Mu bikolwa byo ebibi byonna, 24 (BJ)weezimbira ekifo ekigulumivu ne weekolera n’essabo mu buli kibangirizi ekigazi eky’ekibuga. 25 (BK)Buli luguudo we lusibuka, wazimbawo essabo lyo, n’okolerawo obwenzi, ng’owaayo omubiri gwo mu bukaba obungi eri buli eyayitangawo. 26 (BL)Weetaba mu bwenzi ne baliraanwa bo abakaba Abamisiri, n’oyongera ku bukaba bwo n’onsunguwaza. 27 (BM)Kyenava nkugololerako omukono gwange ne nkendeeza ku nsalo yo, ne nkuwaayo eri omululu gw’abalabe bo abawala b’Abafirisuuti, abeekanga olw’obukaba bwo. 28 (BN)Weetaba mu bikolwa eby’obwenzi n’Abasuuli, kubanga tewamalibwa, ate n’oluvannyuma lw’ekyo n’otamatira. 29 (BO)N’oluvannyuma n’oyongerayo ebikolwa byo eby’obukaba mu Bakaludaaya, ensi ey’ebyamaguzi, naye era n’otamalibwa.

30 (BP)“ ‘Omutima gwo nga munafu, n’okwewaayo ne weewaayo okukola ebintu ebyo byonna, ne weeyisa ng’omwenzi ow’amawaggali ateefiirayo. 31 (BQ)Bwe wazimba ebifo byo ebigulumivu buli luguudo we lusibuka, n’oteeka amasabo go mu buli kibangirizi ekigazi, tewafaanana ng’omwenzi kubanga wanyoomanga empeera.

32 “ ‘Ggwe omukazi omwenzi eyeegomba abatambuze okusinga balo! 33 (BR)Buli mwenzi afuna empeera, naye ggwe owa baganzi bo bonna ebirabo, ng’obagulirira okujja gy’oli okuva buli wamu olw’obwenzi bwo. 34 Era mu bikolwa byo eby’obwenzi tofaanana ng’abalala; tewali akusindika kukola bwenzi. Oli wanjawulo okuva ku balala kubanga osasula empeera, naye ate nga tewali akusasula.

35 “ ‘Kale nno, wulira ekigambo kya Mukama ggwe omwenzi. 36 (BS)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Olw’obugagga bwo bwe walaga, n’oyanika obwereere bwo wakati mu baganzi bo ng’okola ebikolwa eby’obwenzi, n’olwa bakatonda bo abalala ab’ekivve, n’okuwaayo omusaayi gw’abaana bo, 37 (BT)kyendiva nkuŋŋaanya baganzi bo bonna, be wasinza, bonna be wayagala ne be wakyawa, gy’oli ne bakwetooloola, ne nkufungulirira mu maaso gaabwe, balabe obwereere bwo. 38 (BU)Ndikusalira omusango ne nkuwa ekibonerezo ng’eky’abakazi abenzi n’abo abayiwa omusaayi, ne nkuleetako omusaayi ogw’ekiruyi n’obuggya. 39 (BV)N’oluvannyuma ndikuwaayo mu mukono gw’abaganzi bo; balimenyaamenya ebifo byo ebigulumivu, ne bazikiriza amasabo go. Era balikwambula ebyambalo byo, ne batwala eby’omuwendo byo, ne bakuleka ng’oli bukunya. 40 (BW)Balisendasenda enkuyanja y’abantu, ne bakukuba amayinja, ne bakutemaatema obufiififi n’ebitala byabwe. 41 (BX)Balyokya amayumba go ne bakubonereza mu maaso g’abakyala abangi, era ndikulesaayo ebikolwa byo eby’obwenzi so tolisasula baganzi bo mpeera. 42 (BY)N’oluvannyuma obusungu bwange bulikendeera, n’obuggya bwange bulikuvaako, era ndiba mukkakkamu, nga sirina busungu.

43 (BZ)“ ‘Kubanga tojjukira biseera eby’obuvubuka bwo, n’onnyiiza n’ebintu ebyo byonna; kyendiva nkuleetako omusango olw’ebikolwa byo, bw’ayogera Mukama Katonda. Ku bukaba obwo bwonna si kwe wayongera ebikolwa ebyo byonna eby’ekivve?

44 “ ‘Buli agera engero anaakugereranga olugero luno nga boogera nti, “Nnyina ne muwala we batyo.” 45 (CA)Oli muwala wa nnyoko ddala, eyanyooma bba n’abaana be, era oli mwannyina ddala owa baganda bo abanyooma ba bbaabwe n’abaana baabwe. Nnyoko yali Mukiiti, kitaawo nga Mwamoli. 46 (CB)Mukulu wo yali Samaliya eyabeeranga ne bawala be ku luuyi lwo olw’Obukiikakkono, ne muto wo ne bawala be nga babeera ku luuyi lwo olw’Obukiikaddyo, era nga ye Sodomu. 47 (CC)Tewakoma ku kugoberera ngeri zaabwe kyokka, n’okukoppa ebikolwa byabwe eby’ekivve, naye waayitawo ebbanga ttono engeri zo zonna ne zisukka ku zaabwe obubi. 48 (CD)Nga bwe ndi omulamu, bw’ayogera Mukama Katonda, muganda wo Sodomu ne bawala be tebaatuuka ku ssa, ggwe ne bawala bo kwe mwatuuka.

49 (CE)“ ‘Guno gwe musango muganda wo Sodomu gwe yazza: ye ne bawala be baali baamalala, nga baamululu abatafaayo, wadde okuyamba abaavu abaali mu bwetaavu. 50 (CF)Baali baamalala, era baakola ebikolwa eby’ekivve mu maaso gange, kyennava mbaggyawo nga bwe nasiima. 51 (CG)So ne Samaliya teyatuuka awo; wakola ebikolwa eby’ekivve okusinga ne bwe baakola, era n’oleetera baganda bo okulabika ng’abatuukirivu mu ebyo byonna by’okola. 52 Kaakano naawe k’ojjule ensonyi, kubanga owolereza baganda bo, ate n’ebibi bye wakola biswaza okusinga ebyabwe, kyebaliva balabika nga batuukirivu okukusinga. Kyonoova oswala, ne weetikka obuswavu bwo, kubanga oleetedde baganda bo okulabika ng’abatuukirivu.

53 (CH)“ ‘Wabula ndizzaawo obugagga bwa Sodomu ne bawala be, n’obwa Samaliya ne bawala be, ate ne nzizaawo n’obubwo, 54 (CI)olyoke weetikke obuswavu bwo, oswale mu maaso gaabwe olw’ebyo byonna bye wakola ng’obawooyawooya. 55 (CJ)Baganda bo, Sodomu wamu ne bawala be, ne Samaliya wamu ne bawala be baliddayo nga bwe baali edda, ate naawe oliddayo n’obeera nga bwe wali edda. 56 Lwaki muganda wo Sodomu teyayogerwako ku lunaku olw’amalala go, 57 (CK)okwonoona kwo nga tekunnabikkulwa? Kaakano ofuuse kyakusekererwa eri abawala ab’e Busuuli ne baliraanwa be bonna, n’eri abawala aba Bufirisuuti, abo bonna abakwetoolodde abakunyooma. 58 (CL)Olibonerezebwa olw’obukaba bwo n’ebikolwa byo eby’ekivve, bw’ayogera Mukama Katonda.

59 (CM)“ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Ndikukola nga bwe kikusaanira, kubanga wanyooma ekirayiro kyange, bwe wamenya endagaano. 60 (CN)Naye ndijjukira endagaano gye nakola naawe mu biseera eby’obuvubuka bwo, era ndissaawo endagaano ey’emirembe n’emirembe. 61 (CO)Olwo olijjukira engeri zo, n’oswala bw’olitwala baganda bo abakusinga obukulu ne bato bo, ne mbankuwa babeere bawala bo, naye si lwa ndagaano yange naawe. 62 (CP)Ndinyweza endagaano yange naawe, era olimanya nga nze Mukama Katonda, 63 (CQ)n’oluvannyuma olw’okutangiririrwa, olijjukira ne wejjusa n’otaddayo kwasamya nate kamwa ko, bw’ayogera Mukama Katonda.’ ”

Empungu Ebbiri n’Omuzabbibu

17 Ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira, n’aŋŋamba nti, (CR)“Omwana w’omuntu, gerera ennyumba ya Isirayiri olugero; (CS)obagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Waaliwo empungu ennene eyalina ebiwaawaatiro ebinene, ng’erina ebyoya bingi, nga by’amabala agatali gamu, eyajja mu Lebanooni. N’eddira obusongenzo bw’omuvule n’emenyako amasanso gaagwo agasooka waggulu amato, n’egwetikka n’egutwala mu nsi ey’abasuubuzi n’egusimba mu kibuga ky’abatunda ebyamaguzi.’

(CT)“ ‘N’etwala emu ku nsigo ez’ensi eyo, n’egisimba mu ttaka eggimu; n’egisimba okumpi n’amazzi amangi, n’emera n’eba ng’omusafusafu, n’ebala n’efuuka omuzabbibu, ne gulanda wansi; amatabi gaagwo ne gakula nga gadda ewaayo, naye emirandira gyagwo ne gisigala wansi waagwo. Ne gufuuka omuzabbibu ne guleeta amatabi n’ebikoola byagwo.’

(CU)“ ‘Naye ne wabaawo empungu endala ennene eyalina ebiwaawaatiro ebinene, n’ebyoya ebingi. Omuzabbibu ne gukuza emirandira gyagwo eri empungu eyo okuva mu kifo we gwasimbibwa, ate ne gwanjuluza n’amatabi gaagwo gy’eri egifukirire. Gwali gusimbiddwa mu ttaka eddungi awali amazzi amangi, guleete amatabi era gubale ebibala gubeere omuzabbibu ogwegombesa.’

“Bategeeze nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Gulibeerera? Tegulisigulwa n’amatabi gaakwo ne gatemebwa ne gukala? Tekiryetagisa omukono ogw’amaanyi oba abantu abangi okugusigulayo. 10 (CV)Ne bwe baligusimbuliza, gulirama? Tegulikalira ddala embuyaga ez’Ebuvanjuba bwe zirigufuuwa, ne gukalira mu kifo we gwakulira?’ ”

11 Awo ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti, 12 (CW)“Gamba ennyumba enjeemu eyo nti, ‘Temumanyi bintu ebyo kye bitegeeza?’ Bategeeze nti, ‘Kabaka w’e Babulooni yagenda e Yerusaalemi, n’awamba kabaka waayo n’abakungu be n’abatwala e Babulooni. 13 (CX)N’oluvannyuma n’addira omu ku balangira n’akola naye endagaano, ng’amulayiza. Yatwala n’abasajja abalwanyi abazira ab’omu nsi, 14 (CY)obwakabaka bukkakkane buleme kwegulumiza, era nga mu kukwata endagaano ye mwe balinywerera. 15 (CZ)Naye kabaka yamujeemera, n’aweereza ababaka e Misiri okufunayo embalaasi n’eggye eddene. Aliraba omukisa? Omuntu akola ebyo ayinza okuba omulamu? Alimenya endagaano n’awona?’

16 (DA)“ ‘Nga bwe ndi omulamu, bw’ayogera Mukama Katonda, alifiira mu Babulooni, mu nsi eya kabaka eyamufuula kabaka, gwe yanyooma mu kirayiro kye n’amenya n’endagaano gye baakola. 17 (DB)Falaawo n’eggye lye eddene, n’ekibiina kye ekinene, tebalibaako kye bamuyamba mu lutalo, bwe balizimba ebifunvu n’ebisenge okuzikiriza obulamu bw’abangi. 18 (DC)Olw’okunyooma ekirayiro kye, n’amenya endagaano, n’akola ebintu ebyo byonna ate nga yeewaayo, kyaliva tawona.

19 (DD)“ ‘Mukama Katonda kyava ayogera bw’ati nti, Nga bwe ndi omulamu, ndireeta ku mutwe gwe ekirayiro kye yanyooma, n’endagaano yange gye yamenya. 20 (DE)Ndimutegera akatimba kange, n’agwa mu mutego gwange, era ndimuleeta e Babulooni ne musalira omusango olw’obutali bwesigwa bwe gye ndi. 21 (DF)Abaserikale be bonna abaliba badduka, balifa ekitala, n’abaliwonawo balisaasaanyizibwa empewo; olwo olitegeera nga nze Mukama, nze nkyogedde.

22 (DG)“ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Nze kennyini ndiddira ettabi okuva ku busongezo bw’omuvule ne ndisimba; era ndimenya amasanso okuva ku matabi gaagwo amato ne ndisimba ku lusozi oluwanvu olugulumivu. 23 (DH)Ku ntikko ey’olusozi lwa Isirayiri kwe ndirisimba era lirireeta amatabi ne libala ebibala, ne gaba omuvule ogwegombesa. Ennyonyi eza buli kika ziriwummulira ku gwo, era zirifuna we zituula mu bisiikirize eby’amatabi gaagwo. 24 (DI)Era emiti gyonna egy’omu ttale giritegeera nga nze Mukama ayimpaya omuti omuwanvu, ate ne mpanvuya omuti omumpi. Nkaza omuti ogwakamera, ne mmerusa n’omuti ogubadde gukaze.

“ ‘Nze Mukama Katonda nze nkyogedde, era ndikikola.’ ”

Omwoyo Ogwonoona gwe Gulifa

18 Ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira, n’aŋŋamba nti, (DJ)“Mutegeeza ki bwe mugerera olugero luno ensi ya Isirayiri nti,

“ ‘Bakitaabwe balidde ezabbibu ezikaawa,
    n’amannyo g’abaana ganyenyeera’?

“Nga bwe ndi omulamu, bw’ayogera Mukama Katonda, temuliddayo kugera lugero olwo mu Isirayiri. (DK)Buli kiramu, kyange; obulamu bw’omuzadde n’obw’omwana bwonna nabwo bwange.

“Emmeeme eyonoona ye erifa,
    omuntu bw’abeera omutuukirivu n’akola ebyalagirwa era ebituufu;
(DL)nga talya mu masabo agali ku nsozi
    newaakubadde okusinza bakatonda abalala ab’ennyumba ya Isirayiri;
n’atayenda ne mukazi wa muliraanwa we,
    newaakubadde okwebaka n’omukazi ali mu biseera bye eby’abakyala;
(DM)omuntu atalyazaamaanya muntu yenna,
    naye asasula ebbanja lye lyonna,
atanyaga muntu yenna,
    naye emmere ye agigabira abayala,
    n’ayambaza n’abali obwereere;
(DN)atawola lwa magoba
    newaakubadde okutwala ensimbi ezisukkamu mu ezo ze yawola.
Yeewala okukola ekibi,
    era asala emisango egy’ensonga.
(DO)Agoberera ebiragiro byange,
    n’akuuma amateeka gange n’obwesigwa,
oyo ye muntu omutuukirivu
    era aliba mulamu,”
    bw’ayogera Mukama Katonda.

10 (DP)“Bw’aba n’omwana omulalu, ayiwa omusaayi, oba akola ebifaanana ng’ebyo, 11 newaakubadde nga kitaawe ebyo tabikola:

“N’alya mu masabo agali ku nsozi,
n’ayenda ku mukazi wa muliraanwa we,
12 (DQ)n’anyigiriza omwavu n’omunaku,
n’okubba n’abba,
n’atasasula kye yeeyama,
n’asinza bakatonda abalala,
n’akola eby’ekivve,
13 (DR)n’awola ng’asuubira amagoba, oba n’okutwala ensimbi ezisukka mu ezo ze yawola;

omuntu ng’oyo aliba mulamu? Taliba mulamu. Kubanga akoze ebintu ebyo byonna eby’ekivve, kyaliva attibwa, n’omusaayi gwe guliba ku mutwe gwe ye.

14 (DS)“Naye bw’aba n’omuzzukulu, alaba ebibi byonna kitaawe by’akola, n’atakola bya ngeri eyo;

15 “N’atalya mu masabo agali ku nsozi
    newaakubadde okusinza bakatonda abalala ab’ennyumba ya Isirayiri,
n’atayenda na mukazi wa muliraanwa we,
16 (DT)atanyigiriza muntu yenna
    newaakubadde okusaba amagoba ku bbanja lye yawola,
atabba, naye agabira emmere abayala
    n’abali obwereere
    n’abambaza.
17 Yeekuuma obutakola kibi,
    n’atalya magoba ku bbanja newaakubadde okutwala ensimbi ezisukiridde,
era akuuma amateeka gange n’agoberera n’ebiragiro byange.

Talifa olw’ebibi bya kitaawe, naye aliba mulamu. 18 Naye kitaawe alifa olw’ebibi bye ye kubanga yalyazaamanya, n’anyaga muliraanwa we, n’akola ebitaali birungi mu bantu banne.

19 (DU)“Mubuuza nti, ‘Lwaki omwana tabonaabona olw’ebibi bya kitaawe?’ Omwana bw’aba akoze eby’ensonga era ebituufu, ng’agoberedde ebiragiro byange, aliba mulamu. 20 (DV)Emmeeme eyonoona ye erifa. Omwana talibonaabona olw’ebibi bya kitaawe, so ne kitaawe talibonaabona olw’ebibi eby’omwana we. Obutuukirivu bw’omuntu omutuukirivu bulibalirwa ye, n’obutali butuukirivu bw’oyo atali mutuukirivu bulibalirwa ye.

21 (DW)“Naye omuntu atali mutuukirivu bw’alikyuka n’alekeraawo okukola ebibi byonna, n’akuuma ebiragiro byange byonna n’akola eby’ensonga era ebituufu, aliba mulamu, talifa. 22 (DX)Tewaliba kyonoono na kimu ku ebyo bye baakola ebirijjukirwa, naye olw’eby’obutuukirivu bye baliba bakoze, baliba balamu. 23 (DY)Mulowooza nga nsanyukira okufa kw’atali mutuukirivu? Bw’ayogera Mukama. Sisinga kusanyuka nnyo bwe ndaba ng’akyuse okuva mu ngeri ze n’aba omulamu?

24 (DZ)“Naye omuntu omutuukirivu bw’alekeraawo okukola eby’obutuukirivu, n’akola eby’ekivve bye bimu n’eby’omuntu atali mutuukirivu, aliba mulamu? Tewaliba ne kimu ku ebyo eby’obutuukirivu bye yakola, ebirijjukirwa: Olw’obutaba mwesigwa aliba n’omusango, era n’olw’ebibi bye yakola, alifa.

25 (EA)“Mugamba nti, ‘Mukama si mwenkanya.’ Kaakano muwulire mwe ennyumba ya Isirayiri, enkola yange y’etali ya bwenkanya oba mmwe mutali benkanya? 26 Omuntu omutuukirivu bw’aleka okukola ebikolwa bye eby’obutuukirivu n’akola ebibi, mw’alifiira, kubanga ebibi by’akoze bye birimuleetera okufa. 27 (EB)Naye bw’alikyuka okuva mu butali butuukirivu bwe bw’akoze, n’akola eby’ensonga era ebituufu, alirokola obulamu bwe. 28 Era bw’alirowooza ku bibi byonna by’akoze, n’akyuka n’alekeraawo okubikola, mazima ddala aliba mulamu, talifa. 29 Naye oluvannyuma ennyumba ya Isirayiri ne mwogera nti, ‘Ekkubo lya Mukama si lya bwenkanya.’ Mmwe ennyumba ya Isirayiri, engeri zange ze zitali za bwenkanya? Engeri zammwe si ze zitali za bwenkanya?

30 (EC)“Kyendiva mbasalira omusango, mmwe ennyumba ya Isirayiri, buli muntu ng’ebikolwa byammwe bwe biri, bw’ayogera Mukama. Mwenenye, muleke ebikolwa ebitali bya butuukirivu, oba nga ssi weewaawo ebibi byammwe biribaleetera okuzikirira. 31 (ED)Mweggyeeko ebikolwa byonna ebitali bya butuukirivu, bye mukoze, mufune omutima omuggya n’omwoyo omuggya. Kiki ekibaleetera okufa, mmwe ennyumba ya Isirayiri? 32 (EE)Sisanyukira kufa kwa muntu yenna, bw’ayogera Mukama Katonda. Mwenenye mube balamu.”

Okukungubagira Abalangira ba Isirayiri

19 (EF)Kungubagira abalangira ba Isirayiri, oyogere nti,

“ ‘Maama wo nga yali mpologoma nkazi,
    mu mpologoma!
Yagalamiranga wakati mu mpologoma ento,
    n’erabirira abaana baayo.
N’ekuza emu ku baana baayo
    n’efuuka empologoma ey’amaanyi,
n’eyiga okuyigga ebisolo,
    n’okulya abantu.
(EG)Amawanga gaawulira ebimufaako,
    n’akwatirwa mu kinnya kye yali asimye,
ne bamusibamu amalobo
    ne bamuleeta mu nsi y’e Misiri.

(EH)“ ‘Awo bwe yalaba essuubi lye nga terituukiridde,
    ne bye yali alindirira nga biyise,
n’eddira emu ku baana baayo ab’empologoma endala,
    n’egifuula empologoma ey’amaanyi.
(EI)N’etambulatambula mu mpologoma,
    kubanga yali efuuse empologoma ey’amaanyi,
era n’eyiga okuyigga ensolo,
    n’okulya abantu.
(EJ)N’emenyaamenya ebifo byabwe eby’amaanyi,
    n’ezikiriza n’ebibuga byabwe;
ensi n’abo bonna abaagibeerangamu,
    ne batya olw’okuwuluguma kwayo.
(EK)Awo amawanga gonna ne gagirumba,
    okuva mu bitundu ebyali byetooloddewo,
ne bayanjuluza ekitimba kyabwe,
    ne bagikwatira mu kinnya kyabwe.
(EL)Ne bakozesa amalobo okugisikayo,
    ne bagiteeka mu kayumba ak’ebyuma,
ne bagitwala eri kabaka w’e Babulooni;
    n’eteekebwa mu kkomera,
    n’etaddayo kuwulikika nate ku nsozi za Isirayiri.

10 (EM)“ ‘Maama wo yali ng’omuzabbibu mu nnimiro
    ogwasimbibwa okumpi n’amazzi;
ne gubala ebibala ne bijjula amatabi,
    kubanga waaliwo amazzi mangi.
11 (EN)Amatabi gaagwo gaali magumu,
    era nga gasaanira okukolebwamu omuggo gw’obwakabaka.
Omuzabbibu ogwo gwali muwanvu ne guyitamu
    okusinga emiti emirala,
ne gumanyibwa olw’obuwanvu bwagwo,
    n’olw’amatabi gaagwo amangi.
12 (EO)Naye gwasigulibwa n’ekiruyi
    ne gusuulibwa wansi;
embuyaga ez’Ebuvanjuba ne zigukaza,
    ebibala byagwo ne biggwaako,
n’amatabi gaakwo amagumu ne gakala,
    era ne gwokebwa omuliro.
13 (EP)Kaakano gusimbiddwa mu ddungu,
    awakalu awatali mazzi.
14 (EQ)Omuliro gwava ku limu ku matabi,
    ne gwokya amatabi gaagwo n’ebibala byagwo.
Tewasigadde ttabi ggumu na limu ku gwo
    eriyinza okukolwamu omuggo ogw’obwakabaka.’

Kuno kukungubaga, era kukozesebwa ng’okukungubaga.”

Isirayiri Omujeemu

20 (ER)Awo mu mwaka ogw’omusanvu, mu mwezi ogwokutaano ku lunaku olw’ekkumi, abamu ku bakadde ba Isirayiri ne bajja okwebuuza ku Mukama Katonda, ne batuula wansi mu maaso gange.

Ekigambo kya Mukama ne kinzijira, mbategeeze nti, (ES)“Omwana w’omuntu, yogera eri abakadde ba Isirayiri obagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti: Muzze kunneebuuzaako? Mazima nga bwe ndi omulamu temujja kunneebuuzaako, bw’ayogera Mukama Katonda.’

(ET)“Olibasalira omusango? Olibasalira omusango ggwe omwana w’omuntu? Kale bategeeze ebikolwa eby’ekivve bajjajjaabwe bye baakola, (EU)era bategeeze nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti: ku lunaku lwe, neroboza Isirayiri, nalayirira bazzukulu b’ennyumba ya Yakobo, ne mbeeyabiza mu Misiri nga njogera nti, “Nze Mukama Katonda wammwe.” (EV)Ku lunaku olwo nabalayirira nti ndibaggya mu nsi y’e Misiri ne mbatwala mu nsi gye nabanoonyeza, ensi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki, ensi esinga mu nsi zonna obulungi. (EW)Ne mbagamba nti, “Buli muntu aggyewo ebintu eby’omuzizo mu maaso ge, muleme okweyonoonyesa ne bakatonda abalala ab’e Misiri, kubanga nze Mukama Katonda wammwe.” 

(EX)“ ‘Naye ne banjeemera, ne bagaana okumpuliriza; tebaggyawo bintu eby’omuzizo mu maaso gaabwe, newaakubadde okuleka bakatonda abalala ab’e Misiri. Kyenava njogera nti ndibabonerereza mu Misiri. (EY)Naye olw’obutavumisa linnya lyange mu maaso g’amawanga mwe baabeeranga, ne mu maaso gaabo be neeyabiza eri Abayisirayiri nga mbaggya mu Misiri, nakola bwe nti olw’erinnya lyange. 10 (EZ)Kyenava mbaggya mu Misiri ne mbatwala mu ddungu. 11 (FA)Nabawa ebiragiro byange ne mbamanyisa n’amateeka gange, omuntu yenna bw’abigoberera abeere mulamu. 12 (FB)Ne mbawa ne Ssabbiiti zange ng’akabonero wakati wange nabo, bategeere nga nze Mukama abatukuza.

13 (FC)“ ‘Naye era abantu ba Isirayiri ne banjeemera mu ddungu, ne batagoberera biragiro byange, ne banyooma amateeka gange, ebyandiyinzizza okulokola omuntu abigondera, ne Ssabbiiti zange ne batazitukuza. Kyenava njogera nti ndibasunguwalira ne mbazikiririza mu ddungu. 14 (FD)Naye olw’erinnya lyange nakola ekyo obutavumisibwa obuteeswaza mu maaso g’amawanga mwe nabaggya. 15 (FE)Era ne mbalayirira mu ddungu nga bwe siribaleeta mu nsi gye nnali mbawadde, ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki, ensi esinga endala zonna obulungi, 16 (FF)kubanga baajeemera amateeka gange ne batagoberera biragiro byange, ne batatukuza Ssabbiiti zange, kubanga emitima gyabwe gyasinzanga bakatonda abalala. 17 Naye wakati mu ebyo byonna ne mbasaasira ne sibazikiriza, newaakubadde okubasaanyaawo mu ddungu. 18 (FG)Ne ŋŋamba abaana baabwe mu ddungu nti, “Temugoberera biragiro bya bakitammwe, newaakubadde okukwata amateeka gaabwe, so temweyonoonyesanga ne bakatonda baabwe abalala. 19 (FH)Nze Mukama Katonda wammwe, mugoberere ebiragiro byange era mwegendereze okukwata amateeka gange, 20 (FI)n’okutukuza Ssabbiiti zange, era ebyo binaabanga kabonero wakati wange nammwe, olwo mulimanya nga nze Mukama Katonda wammwe.”

21 “ ‘Naye abaana banjeemera; tebaagoberera biragiro byange newaakubadde okukwata amateeka gange, ebyandiyinzizza okulokola omuntu abigondera, ne Ssabbiiti zange ne batazitukuza. Kyenava njogera nti ndibasunguwalira mu ddungu. 22 (FJ)Naye neekuuma olw’erinnya lyange obutaliswaza mu maaso g’amawanga mwe nnali mbaggye. 23 (FK)Era ne mbalayirira mu ddungu nti ndibasaasaanya mu mawanga, ne mbabunya mu nsi, 24 (FL)kubanga tebaagoberera mateeka gange era ne bajeemera n’ebiragiro byange, era ne batatukuza Ssabbiiti zange, naye amaaso gaabwe ne gayaayaanira bakatonda abalala aba bajjajjaabwe. 25 (FM)Kyennava mbawaayo eri ebiragiro ebitali birungi n’amateeka ebitayinza kubabeezesaawo mu bulamu; 26 (FN)ne mbaswaza nga nkozesa ebirabo byabwe, bwe baleeta omuggulanda waabwe ng’ekiweebwayo, balyoke bajjule entiisa, era bamanye nga nze Mukama.’

27 (FO)“Kale omwana w’omuntu, yogera eri abantu ba Isirayiri obagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti: mu kino nakyo bajjajjammwe mwe banvumira ne banzivoola. 28 (FP)Bwe nabaleeta mu nsi gye nabalayirira ne balaba buli lusozi oluwanvu na buli muti ogwamera yo, ne baweerangayo ssaddaaka zaabwe, ne baweerangayo ebiweebwayo ebyannyiiza, ne banyookerezanga obubaane bwabwe, era ne baweerangayo n’ebiweebwayo ebyokunywa. 29 Kyenava mbabuuza nti, Ekifo ekyo ekigulumivu gye mugenda kya mugaso ki?’ ”

Okusala Omusango n’Okuzzibwa Obuggya

30 (FQ)“Noolwekyo gamba ennyumba ya Isirayiri nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Mulyeyonoona nga bajjajjammwe bwe baakola ne mugoberera ebintu eby’ekivve? 31 (FR)Bwe muwaayo ebirabo, ne muwaayo n’abaana bammwe mu muliro ng’ebiweebwayo, mweyongera okweyonoona ne bakatonda bammwe abalala bonna. Nnyinza okubakkiriza okunneebuuzaako mmwe ennyumba ya Isirayiri? Nga bwe ndi omulamu temujja kunneebuuzaako, bw’ayogera Mukama Katonda.

32 “ ‘Mwogera nti, “Twagala okuba ng’amawanga amalala, ng’abantu ab’ensi endala, abaweereza embaawo n’amayinja,” naye ebyo bye mulowooza tebiribaawo n’akatono. 33 (FS)Nga bwe ndi omulamu, bw’ayogera Mukama Katonda, ndibafuga n’omukono ogw’amaanyi, era ndigolola omukono gwange n’obusungu bungi. 34 (FT)Ndibaggya mu mawanga n’omukono ogw’amaanyi omugolole, nga nzijudde obusungu, ne mbakuŋŋaanya okuva mu nsi gye mwasaasaanira. 35 (FU)Ndibaleeta mu ddungu ery’amawanga, era eyo gye ndibasalira omusango nga tutunuuliganye amaaso n’amaaso. 36 (FV)Nga bwe nasalira bajjajjammwe omusango mu ddungu ery’ensi ya Misiri, bwe ntyo bwe ndibasalira omusango, bw’ayogera Mukama Katonda. 37 (FW)Ndibeetegereza nga muyita wansi w’omuggo gwange ne mbassaako envumbo y’endagaano yange. 38 (FX)Ndibamaliramu ddala mu mmwe abajeemu era abansobya. Era newaakubadde nga ndibaggya mu nsi gye balimu, tebaliyingira mu nsi ya Isirayiri, mulyoke mumanye nga nze Mukama.

39 (FY)“ ‘Ate ggwe ennyumba ya Isirayiri, bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Mugende muweereze bakatonda bammwe abalala, mugende, naye oluvannyuma mulimpuliriza, ne mulekayo n’okuvumisa erinnya lyange ettukuvu n’ebirabo byammwe era ne bakatonda bammwe abalala. 40 (FZ)Ku lusozi lwange olutukuvu, olusozi oluwanvu olwa Isirayiri mu nsi eyo, ennyumba ya Isirayiri yonna balimpeereza, nange ndibasembeza. Era eyo gye ndibasabira ebiweebwayo byammwe, n’ebibala ebibereberye eby’ebirabo byammwe, wamu ne ssaddaaka zammwe ezitukuzibbwa. 41 (GA)Bwe ndibaggya mu mawanga ne mbakuŋŋaanya okuva mu nsi gye mwasaasaanira, ndibakkiriza nga bwenzikiriza akaloosa ak’evvumbe eddungi, era ndibalaga obutukuvu bwange mu maaso g’amawanga. 42 (GB)Mulimanya nga nze Mukama, bwe ndibaleeta mu nsi ya Isirayiri ensi gye nalayirira bajjajjammwe n’omukono ogugoloddwa. 43 (GC)Era eyo gye mulijjuukirira enneeyisa yammwe n’ebikolwa byammwe byonna bye mweyonoonyesa, era mulyetukuza olw’ebibi byonna bye mwakola. 44 (GD)Mulimanya nga nze Mukama, bwe ndibakola ng’erinnya lyange bwe liri so si ng’ebibi byammwe bwe biri, n’ebikolwa byammwe eby’obukumpanya bwe biri, mmwe ennyumba ya Isirayiri, bw’ayogera Mukama Katonda.’ ”

Obubaka eri Obukiikaddyo

45 Ekigambo kya Mukama ne kinzijira nti, 46 (GE)“Omwana w’omuntu, simba amaaso go mu bukiikaddyo, obabuulire era owe obunnabbi gye bali n’eri ekibira eky’ensi ey’Obukiikaddyo. 47 (GF)Yogera eri ekibira eky’omu bukiikaddyo nti, ‘Wulira ekigambo kya Mukama. Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Nnaatera okukukumako omuliro, era gulizikiriza emiti gyonna, omubisi n’omukalu. Ennimi ez’omuliro tezirizikizibwa, na buli ludda okuva mu bukiikaddyo okutuuka mu bukiikakkono bulyokebwa. 48 (GG)Buli muntu aliraba nga nze Mukama abyokezza, era tegulizikizibwa.’ ”

49 (GH)Awo ne njogera nti, “Ayi Mukama Katonda, banjogerako nti, ‘Oyo tanyumya ngero bugero.’ ”

Katonda Akozesa Babulooni ng’Ekitala kye

21 Awo ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira, n’aŋŋamba nti, (GI)“Omwana w’omuntu tunuulira Yerusaalemi oyogere ku bifo ebitukuvu. Wa ekigambo ky’obunnabbi eri ensi ya Isirayiri, (GJ)oyogere nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, nnina oluyombo naawe, era ndisowola ekitala kyange okuva mu kiraato kyakyo ne nzikiriza abatuukirivu n’abatali batuukirivu abali mu ggwe. (GK)Kubanga ndiba nzikiriza abatuukirivu n’abatali batuukirivu, kyendiva nnema okuzza ekitala kyange mu kiraato kyakyo, ne ntabaala buli muntu nakyo okuva Obukiikaddyo okutuuka Obukiikakkono. (GL)Awo abantu bonna balimanya nga nze Mukama nsowodde ekitala kyange okuva mu kiraato kyakyo, era tekiriddayo mu kiraato kyakyo nate.’ 

(GM)“Omwana w’omuntu, kyonoova okaabira mu maaso gaabwe ng’omutima gwo gujjudde ennaku n’obuyinike. (GN)Bwe balikubuuza nti, ‘Okaabira ki?’ Oliddamu nti, ‘Olw’amawulire ge nfunye, kubanga ebyo bwe birijja, buli mutima gulisaanuuka, na buli mukono ne gulemala, n’emyoyo ne gizirika, n’amaviivi gonna ne ganafuwa ne gafuuka ng’amazzi.’ Bijja era birituukirira, bw’ayogera Mukama Katonda.”

Ekigambo kya Mukama ne kinzijira, n’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, wa obunnabbi oyogere nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“ ‘Ekitala, ekitala, kiwagaddwa
    era kiziguddwa,
10 (GO)kiwagaddwa okutta, kiziguddwa, era kimasamasa ng’okumyansa kw’eggulu!
    Tulisanyukira obuyinza bw’omwana wange Yuda?

“ ‘Ekitala kinyooma buli muggo.

11 (GP)“ ‘Ekitala kiweereddwayo okuzigulwa
    kiryoke kinywezebwe mu mukono;
kiwagaddwa era kiziguddwa,
    kiryoke kiweebwe omussi.
12 (GQ)Kaaba era wowoggana, omwana w’omuntu,
    kubanga ekyo nkikola bantu bange,
    era nkikola abalangira bonna aba Isirayiri.
Mbawaddeyo eri ekitala wamu n’abantu bange,
    noolwekyo weekube mu kifuba.

13 “ ‘Okugezesebwa kuteekwa okujja. Kiba kitya ng’omuggo gw’obufuzi bwa Yuda ekitala gwe kinyooma, tegulabika nate? bw’ayogera Mukama Katonda.’

14 (GR)“Kyonoova owa obunnabbi, omwana w’omuntu,
    n’okuba ne mu ngalo.
Leka ekitala kisale emirundi ebiri
    oba emirundi esatu.
Kitala kya kutta,
    okutta okunene,
    nga kibataayiza enjuuyi zonna,
15 (GS)era n’emitima gyabwe girisaanuuka,
    n’abattiddwa baliba bangi.
Ntadde ekitala ekitta
    ku miryango gyabwe gyonna.
Kiwagaddwa era kimyansa ng’okumyansa kw’eggulu
    era kinywezebbwa olw’okutta.
16 Ggwe ekitala genda osale
    ku mukono ogwa ddyo ne ku gwa kkono,
    ne yonna obwogi bwo gye bunaakyukira.
17 (GT)Nange ndikuba mu ngalo,
    n’ekiruyi kyange kirikkakkana.
Nze Mukama njogedde.”

18 Ekigambo kya Mukama ne kinzijira nate, n’aŋŋamba nti, 19 “Omwana w’omuntu, teekawo amakubo abiri ekitala kya kabaka w’e Babulooni we kinaayita, gombi nga gava mu nsi emu. Oteeke ekipande, awo ekkubo we lyawukanira okudda mu kibuga. 20 (GU)Okole ekkubo erimu ekitala mwe kinaayita okulumba Labba eky’abaana ba Amoni, n’eddala okulumba Yuda ne Yerusaalemi ekibuga ekiriko enkomera. 21 (GV)Kabaka w’e Babulooni aliyimirira mu kifo mu masaŋŋanzira, amakubo we gaawukanira, okutegeezebwa ebigambo bya Mukama; alisuula obusaale okukuba akalulu, ne yeebuuza ku bakatonda be, era alikebera n’ekibumba. 22 (GW)Mu mukono gwe ogwa ddyo mwe mulibeera akalulu ka Yerusaalemi, gy’aliteeka ebitomera wankaaki, era gy’aliyimusiza eddoboozi eririragira okutta kutandike, era gy’aliyimusiza eddoboozi eririrangirira olutalo, era gy’aliteeka ebitomera emiryango, n’okuzimba ebitindiro n’ebigo ebikozesebwa okutaayiza. 23 (GX)Kulirabika ng’obunnabbi obw’obulimba eri abo aba mulayirira, naye alibajjukiza omusango gwabwe n’abatwala nga bawambe.

24 Mukama Katonda kyava ayogera nti, ‘Olw’okunzijjukiza omusango gwammwe, olw’obujeemu bwammwe obw’olwatu, ekiggyayo ebibi byammwe mu byonna bye mwakola, era olw’okukola ebyo, kyemuliva mutwalibwa mu buwambe.

25 (GY)“ ‘Ggwe omulangira wa Isirayiri omwonoonefu, omukozi w’ebibi, olunaku gwe lutuukidde, ekiseera eky’okubonerezebwa kwo, bwe kituukidde ku ntikko esemberayo ddala, 26 (GZ)bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Ggyako ekitambala ku mutwe, oggyeko n’engule, kubanga ebintu tebikyali nga bwe byali. Abakkakkamu baligulumizibwa, n’abeegulumiza balikkakkanyizibwa. 27 (HA)Matongo, matongo, ndikifuula matongo, era tekirizzibwa buggya okutuusa nnyinikyo lw’alijja, era oyo gwe ndikiwa.’

28 (HB)“Kaakano ggwe omwana w’omuntu, wa obunnabbi, oyogere nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ku baana ba Amoni n’obujoozi bwabwe:

“ ‘Ekitala, ekitala,
    kisowoddwa okutta,
Kiziguddwa okusaanyaawo
    era kimyansa ng’okumyansa kw’eggulu.
29 (HC)Newaakubadde nga baakubuulira ebirooto eby’obulimba,
    ne bakuwa obunnabbi obw’obulimba,
ekitala kiriteekebwa ku bulago
    bw’abakozi b’ebibi abookuttibwa,
olunaku be lutuukidde n’ekiseera eky’okubonerezebwa kwabwe
    be kituukidde ku ntikko esemberayo ddala.

30 (HD)“ ‘Ekitala kizze
    mu kiraato kyakyo.
Mu kifo mwe watondebwa, mu nsi ey’obujjajja,
    eyo gye ndikusalirira omusango.
31 (HE)Ndikufukako ekiruyi kyange,
    ne nkufuuwako omuliro ogw’obusungu bwange,
ne nkuwaayo mu mikono gy’abasajja abakambwe abali ng’ensolo,
    abaatendekebwa mu byo kuzikiriza.
32 (HF)Oliba nku za muliro,
    n’omusaayi gwo guliyiyibwa mu nsi yo,
era tolijjukirwa nate,
    kubanga nze Mukama njogedde.’ ”

Ebibi bya Yerusaalemi

22 Ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira, n’aŋŋamba nti, (HG)“Omwana w’omuntu, olikisalira omusango? Olisalira omusango ekibuga ekiyiwa omusaayi? Kale mulumbe wakati mu bikolwa bye byonna eby’ekivve; (HH)mugambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Ggwe ekibuga ekittira abantu mu kyo era ekyeyonoonesa olwa bakatonda abalala be beekolera, weeleeseeko wekka ekivume, (HI)era osingiddwa olw’omusaayi gw’oyiye era weeyonoonyesezza olwa bakatonda abalala be weekolera. Ennaku zo ozikomekkerezza, enkomerero ye myaka gyo etuuse. Kyendiva nkuswaza eri amawanga, n’ofuuka eky’okusekererwa eri ensi zonna. Abali okumpi n’abali ewala balikukudaalira, ggwe ekibuga ekinyoomebwa era ekijjudde emivuyo.

(HJ)“ ‘Laba, buli mulangira wa Isirayiri bw’akozesa obuyinza bwe okuyiwa omusaayi. (HK)Bataata ne bamaama banyoomebwa, era n’abagenyi mu mmwe banyigirizibwa, era babonyaabonya bamulekwa ne bannamwandu. (HL)Munyoomye ebintu byange ebitukuvu, ne mwonoona Ssabbiiti zange. (HM)Mu mmwe mulimu abantu abawaayiriza abaamalirira okuyiwa omusaayi, era mulimu n’abo abaliira ku nsozi, ne bakola eby’obugwagwa. 10 (HN)Era mu mmwe mulimu abajerega obwereere bwa bakitaabwe, era mulimu n’abo abeebaka n’abakazi abali mu nsonga zaabwe ez’abakazi nga si balongoofu. 11 (HO)Mu mmwe mulimu omusajja akola ebibi eby’obwenzi ne muka muliraanwa we, omulala n’ayonoonyesa muka mwana mu buswavu, ate omulala n’akwata mwannyina muwala wa kitaawe. 12 (HP)Mu mmwe mulimu abantu abalya enguzi okuyiwa omusaayi, ne basolooza amagoba agasukkiridde ne bafuna ekisukkiridde okuva ku baliraanwa baabwe mu ngeri ey’obukumpanya, era munneerabidde, bw’ayogera Mukama Katonda.

13 (HQ)“ ‘Kale nno ndikuba mu ngalo olw’amagoba agatasaanidde ge mukoze n’omusaayi ogwayiyibwa wakati mu mmwe. 14 (HR)Obuvumu bwo bulibeerera, oba emikono gyo giriba n’amaanyi olunaku lwe ndikubonereza? Nze Mukama nkyogedde, era ndikikola. 15 (HS)Ndibabunya mu mawanga ne mbasaasaanya mu nsi, era ndikomya obutali bulongoofu bwo. 16 Bw’oliggwaamu ekitiibwa mu maaso g’amawanga, olimanya nga Nze Mukama.’ ”

17 Awo ekigambo kya Mukama ne kinzijira n’aŋŋamba nti, 18 (HT)“Omwana w’omuntu, ennyumba ya Isirayiri efuuse amasengere gye ndi; bonna bali ng’ebikomo, masasi, n’ebyuma ebisigalira wansi mu kikoomi ky’ekyokero. Bali ng’amasengere ga ffeeza. 19 Mukama Katonda kyava ayogera nti, ‘Kubanga mwenna mufuuse masengere, kyendiva mbakuŋŋaanya ne mbateeka wakati mu Yerusaalemi. 20 (HU)Ng’omuntu bw’okuŋŋaanya effeeza, n’ebikomo, n’ebyuma, n’amasasi mu kyokero okubisaanuusa n’omuliro ogw’amaanyi, nange bwe ntyo bwe ndibakuŋŋaanya nga ndiko obusungu n’ekiruyi, ne mbateeka mu kibuga ne mbasaanuusa. 21 Ndibakuŋŋaanya, ne mbafukuta mu muliro ogw’ekiruyi kyange, ne musaanuukira munda mu kyo. 22 (HV)Era ng’effeeza bw’esaanuusibwa mu kyokero, nammwe bwe mutyo bwe mulisaanuusibwa munda mu kyo, era mulimanya nga Nze Mukama mbafuseeko ekiruyi kyange.’ ”

23 Ekigambo kya Mukama ne kinzijira nate, n’aŋŋamba nti, 24 (HW)“Omwana w’omuntu, yogera eri ensi nti, ‘Ggwe oli nsi eteri nongoose, era etetonnyebwako nkuba ku lunaku olw’ekiruyi.’ 25 (HX)Bannabbi b’ensi balina enkwe, bali ng’empologoma ewuluguma etaagulataagula omuyiggo gwayo; bavaabira abantu, ne batwala eby’obugagga n’ebintu eby’omuwendo, ne bafuula abakazi bangi mu kyo okuba bannamwandu. 26 (HY)Bakabona baakyo bajeemedde amateeka gange era boonoonye ebintu byange ebitukuvu; tebaawuddeemu bitukuvu na bya bulijjo; bayigiriza nti tewali njawulo wakati wa bitali birongoofu n’ebirongoofu, so tebassaayo mwoyo okukuuma Ssabbiiti zange, ne banswaza Nze mu bo. 27 (HZ)Abakungu baakyo bali ng’emisege egitaagulataagula omuyiggo gwagyo; bayiwa omusaayi ne batta abantu okukola amagoba mu butali bwenkanya. 28 (IA)Bannabbi baakyo bakkiriza ebikolwa ebyo, nga babalimba n’okwolesebwa okukyamu n’okuwa obunnabbi obw’obulimba, nga boogera nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda,’ so nga Mukama tayogedde. 29 (IB)Abantu ab’omu nsi bakola eby’obukumpanya ne babba; banyigiriza omwavu ne babonyaabonya ne munnaggwanga ne batabasalira musango mu bwenkanya.

30 (IC)“Ne nnoonya omuntu mu bo ayinza okuzimba ekisenge era ayinza okubeeyimiririra mu maaso gange ku lw’ensi, naye ne siraba n’omu. 31 (ID)Kyendiva mbayiwako ekiruyi kyange, ne mbamalawo n’omuliro ogw’obusungu bwange, ne mbaleetako ebyo byonna bye baakola,” bw’ayogera Mukama Katonda.

Abooluganda Ababiri Abenzi

23 Ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti, (IE)“Omwana w’omuntu waaliwo abakazi babiri, nnyabwe omu, (IF)abeewaayo mu Misiri, ne bakola obwamalaaya okuviira ddala mu buto bwabwe, era eyo gye baakwatirakwatira ku mabeere ne batandika n’okumanya abasajja. Erinnya ly’omukulu nga ye Okola, ne muto we nga ye Okoliba. Baali bange, era banzalira abaana aboobulenzi n’aboobuwala. Okola ye yali ayitibwa Samaliya, Okoliba nga ye Yerusaalemi.

(IG)“Okola n’akola obwamalaaya ng’akyali wange, n’akabawala ku baganzi be Abasuuli, abaserikale abaayambalanga kaniki, n’abaamasaza, n’abaduumizi b’eggye, bonna nga basajja balabika bulungi era nga beebagala embalaasi. (IH)Yeewaayo okubeera malaaya eri abakulembeze ab’e Bwasuli, ne yeeyonoonyesa ne bakatonda abalala bonna aba buli muntu gwe yakabawalanga naye. (II)Teyalekayo bwamalaaya bwe yatandikira mu Misiri.

(IJ)“Kyenava muwaayo eri baganzi be Abasuuli, be yakabawalanga nabo. 10 (IK)Baamwambula, ne batwala batabani be ne bawala be, ye ne bamutta n’ekitala. Yafuuka ekivume mu bakazi ne bamuwa n’ekibonerezo.

11 (IL)“Newaakubadde nga muganda we Okoliba, yabiraba ebyo, yeeyongera mu bukaba bwe ne mu bwamalaaya bwe n’okusinga muganda we. 12 (IM)Yakabawala n’Abasuuli, n’abaamasaza n’abaduumizi b’eggye n’abaserikale abaali bambadde obulungi engoye ennungi n’abeebagalanga embalaasi n’abaalabikanga obulungi abeegombebwanga. 13 Ne ndaba nga naye yeeyonoonye, era bombi nga bakutte ekkubo lye limu.

14 (IN)“Naye wakati mu ebyo byonna, ne yeeyongeranga mu bwamalaaya bwe; n’alaba ebifaananyi eby’abasajja ebyasiigibwa ku bisenge, n’ebifaananyi eby’Abakaludaaya ebyatonebwa mu langi emyufu, 15 nga beesibye enkoba mu biwato, nga beesibye n’ebiremba ku mitwe, bonna nga bafaanana ng’abakungu ba Babulooni abavuga amagaali ab’omu nsi ey’Abakaludaaya. 16 Awo olwatuuka, n’abeegomba, n’abatumira ababaka mu Bukaludaaya. 17 Era Abababulooni ne bajja gy’ali, ne beebaka naye, era mu kwegomba kwe ne bamwonoona. Bwe baamusobyako n’abaviira, nga yeetamiddwa. 18 (IO)Bwe yagenda mu maaso n’obwamalaaya bwe mu lwatu, n’ayolesa obwereere bwe, ne mmuviira nga nennyamidde, nga bwe nnava ku muganda we. 19 Newaakubadde nga namukola ebyo byonna, yeeyongeranga bweyongezi mu maaso, nga bwe yejjukanya ennaku ez’omu buvubuka bwe, bwe yakola obwamalaaya mu Misiri, 20 gye yakabawalira ku baganzi be, abaalina entula ez’ekisajja nga zifaanana ez’endogoyi, n’amaanyi agabavaamu ng’ag’embalaasi. 21 (IP)Bw’otyo n’oyaayaanira okwegomba okw’omu buvubuka bwo, bwe wali mu Misiri ne bakukwatirira mu ngeri ey’obukaba, ne bakwatirira n’amabeere go amato.

22 (IQ)“Kale ggwe Okoliba, bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Ndikuma mu baganzi bo omuliro, ne bakulumba ku njuyi zonna: 23 (IR)Abababulooni, n’Abakaludaaya bonna, n’abasajja ab’e Pekodi ne Sara ne Kowa, n’Abaasuli bonna wamu nabo, n’abavubuka abalabika obulungi, n’abaamasaza n’abaduumizi b’eggye bonna, n’abakungu abavuga amagaali n’abaserikale ab’oku ntikko bonna, nga beebagadde embalaasi bonna. 24 (IS)Balikulumba nga balina amagaali, n’ebiwalulibwa n’ekibiina eky’abantu; balyesega ne beetereeza mu bifo byabwe ne bakulumba enjuuyi zonna nga bakutte engabo ennene n’entono nga bambadde n’enkuufiira ez’ebyuma. Ndikuwaayo mu mukono gwabwe ne bakusalira omusango, era balikubonereza ng’amateeka gaabwe bwe gali. 25 (IT)Ndikuyiwako ekiruyi kyange, nabo ne bakubonereza mu busungu. Balibasalako ennyindo zammwe n’amatu gammwe, n’abalisigalawo balifa n’ekitala. Balitwala batabani bammwe ne bawala bammwe, n’abaliba basigaddewo, balyokebwa omuliro. 26 (IU)Balibambulamu engoye zammwe, ne batwala n’eby’omu bulago. 27 (IV)Era ndikomya obukaba n’obwamalaaya bwe waleeta okuva mu Misiri, so tolibuyaayaanira nate newaakubadde okujjukira Misiri.

28 (IW)“Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Nnaatera okukuwaayo eri abo abakukyawa n’eri abo be weetamwa. 29 (IX)Balikukwata n’obukyayi obuyitiridde, ne batwala ebintu byonna bye wakolerera, ne bakuleka bwereere nga tolina kantu, n’ensonyi z’obwamalaaya zirabibwe buli muntu. Obukaba bwo n’obugwagwa bwo 30 (IY)bwe bukuleetedde ebyo, kubanga weegomba amawanga ne weeyonoona ne bakatonda baabwe. 31 (IZ)Kubanga wagoberera ekkubo lya muganda wo, kyendiva nkuwa ekikompe kye mu mukono gwo.

32 (JA)“Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,

“Olinywa ekikompe kya muganda wo,
    ekikompe ekigazi era ekinene;
kirikuleetera okusekererwa n’okuduulirwa
    kubanga kirimu ebintu bingi.
33 (JB)Olijjuzibwa okutamiira n’ennaku,
    ekikompe eky’obuyinike era eky’okunakuwala,
    ekyo kye kikompe kya muganda wo Samaliya.
34 (JC)Olikinywa n’okikaliza;
    olikyasaayasa,
    ne weeyuzaayuza amabeere.

Nze Mukama Katonda, nkyogedde.

35 (JD)Mukama Katonda kyava ayogera nti, Kubanga mwanneerabira ne munkuba amabega, kyemuliva mubonaabona olw’okwegomba kwammwe.” 36 (JE)Mukama n’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu olisalira Okola ne Okoliba omusango? Kale nno baŋŋange olw’ebikolwa byabwe eby’ekivve, 37 (JF)kubanga bakoze eby’obwenzi, n’engalo zaabwe zijjudde omusaayi. Benze ne bakatonda baabwe, ne basaddaaka n’abaana baabwe ng’emmere y’abakatonda baabwe, abaana be banzalira. 38 Ne kino bakinkoze. Mu kiseera kyekimu boonoonye ekifo kyange ekitukuvu, era boonoonye ne Ssabbiiti zange. 39 (JG)Ku lunaku kwe baassaddaakira abaana baabwe eri bakatonda baabwe, baayingira mu watukuvu ne bayonoonawo. Ebyo bye baakola mu nnyumba yange.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.