Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Bible in 90 Days

An intensive Bible reading plan that walks through the entire Bible in 90 days.
Duration: 88 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Yeremiya 10:14-23:8

14 Buli muntu talina magezi era taliimu kutegeera;
    buli muweesi wa zaabu aswala olw’ekifaananyi ky’akoze.
Kubanga ebifaananyi bye ebisaanuuse bulimba,
    era tebiriimu bulamu.
15 (A)Tebiriiko kye bigasa, ebisaanye okunyoomebwa
    ebirizikirizibwa nga Mukama azze okusala omusango.
16 (B)Oyo Katonda Omugabo gwa Yakobo tali ng’ebyo,
    ye Mutonzi w’ebintu byonna,
era owa Isirayiri, eggwanga ery’omugabo gwe,
    Mukama Katonda ow’Eggye lye linnya lye.

Okuzikirira Okujja

17 (C)Mukuŋŋaanye ebyammwe muve mu nsi,
    mmwe abazingiziddwa.
18 (D)Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,
    “Laba nfuumuula abantu
    mbaggye mu nsi eno,
era ndibaleetako ennaku
    balyoke bawambibwe.”

19 (E)Zinsanze nze olw’ekiwundu kyange
    ekinnuma ennyo.
Naye ate ne ŋŋamba nti,
    “Eno ndwadde yange, nteekwa okugigumira.”
20 (F)Eweema yange eyonooneddwa,
    era emiguwa gyonna gikutuse, abaana bange bandese, tewakyali.
Tewali n’omu asigaddewo kaakano
    kuzimba weema yange
    wadde okuzimba ekigango kyange.
21 (G)Kubanga abasumba bafuuse ng’ensolo
    tebakyebuuza ku Mukama.
Noolwekyo tebakulaakulana
    era endiga zaabwe zonna zisaasaanye.
22 (H)Wuliriza!
    Amawulire gatuuse,
waliwo akeegugungo ak’amaanyi okuva mu nsi ey’omu bukiikakkono,
    kajja kufuula ebibuga bya Yuda amatongo, ebisulo by’ebibe.

Okusaba kwa Yeremiya

23 (I)Mmanyi Ayi Mukama Katonda ng’obulamu bw’omuntu si bubwe,
    omuntu si y’aluŋŋamya amakubo ge.
24 (J)Nnuŋŋamya, Mukama Katonda naye mu kigera ekisaanidde,
    si mu busungu bwo,
    si kulwa ng’onfuula ekitaliimu.
25 (K)Yiwa obusungu bwo ku mawanga agatakumanyi,
    agatakutwala ng’ekikulu,
    ku bantu abatakoowoola linnya lyo.
Kubanga bamazeewo Yakobo,
    bamuliiridde ddala
    era ne boonoona ensi ye.

Yuda Amenye Endagaano

11 Kino kye kigambo kya Mukama ekyajjira Yeremiya. Wuliriza ebigambo by’endagaano eno era yogera n’abantu ba Yuda era n’abo ababeera mu Yerusaalemi. (L)Bagambe nti, “Bw’ati Mukama Katonda wa Isirayiri bw’ayogera nti, ‘Akolimiddwa omuntu atagondera bigambo by’endagaano eno (M)bye nalagira bakitammwe bwe nabaggya mu nsi y’e Misiri, okuva mu kikoomi ky’omuliro.’ Nabagamba nti, ‘Muŋŋondere era mukole ebintu byonna nga bwe mbalagira, munaabeeranga bantu bange, nange nnaabeeranga Katonda wammwe, (N)ndyoke ntuukirize ekirayiro kye nalayirira bajjajjammwe, okubawa ensi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki, ensi gye mulimu leero.’ ” Awo ne nziramu nti, “Kibeere bwe kityo Mukama.”

(O)Mukama n’aŋŋamba nti, “Langirira ebigambo bino byonna mu bibuga bya Yuda ne mu nguudo za Yerusaalemi. ‘Muwulire ebigambo by’endagaano era mubikole. (P)Okuva lwe naggya bajjajjammwe mu Misiri okutuusa leero, mbakuutidde emirundi mingi nga mbagamba nti, “Muŋŋondere.” (Q)Naye tebampuliriza wadde okussaayo omwoyo, wabula buli muntu yeeyongera okutambulira mu bukakanyavu bw’omutima gwe omubi. Ne ndyoka mbaleetako ebikolimo byonna ebiri mu ndagaano gye nabalagira okukwata ne batagikwata.’ ”

(R)Ate Mukama n’aŋŋamba nti, “Waliwo olukwe mu basajja ba Yuda ne mu batuuze b’omu Yerusaalemi. 10 (S)Bazzeeyo mu butali butuukirivu bwa bajjajjaabwe abaagaana okugoberera ebigambo byange. Bagoberedde bakatonda abalala ne babaweereza. Ennyumba zombi eya Isirayiri n’eya Yuda zimenye endagaano gye nakola ne bajjajjaabwe. 11 (T)Noolwekyo, bw’atyo bw’ayogera Mukama nti, ‘Laba, ndibaleetako akabi ke batayinza kuwona; wadde banaankaabirira, sijja kubawuliriza. 12 (U)Ebibuga bya Yuda n’abantu ba Yerusaalemi bajja kugenda bakaabirire bakatonda baabwe be bootereza obubaane, naye tebaabayambe n’akamu nga bali mu nnaku. 13 (V)Mulina bakatonda abenkana ebibuga byammwe obungi, ggwe Yuda; n’ebyoto bye mukoze okwoterezaako obubaane eri Baali byenkana enguudo za Yerusaalemi obungi.’ 

14 (W)“Noolwekyo tosabira bantu bano, tobakaabiririra wadde okubegayiririra kubanga siribawulira mu biro lwe baligwako akabi.

15 “Omwagalwa akola ki mu yeekaalu yange ng’ate akoze eby’ekivve?
    Okuwaayo ssaddaaka kuyinza okukuggyako ekibonerezo ekijja?
    Okola ebibi n’olyoka ojaguza!”

16 (X)Mukama yakutuuma Omuzeyituuni ogubala ennyo,
    oguliko ebibala ebirungi.
Naye ajja kugukumako omuliro
    n’okuwuuma okw’omuyaga ogw’amaanyi,
    amatabi gaagwo gakutuke.

17 (Y)Mukama Katonda ow’Eggye, eyakusimba akulangiriddeko akabi kubanga ennyumba ya Isirayiri n’ennyumba ya Yuda zikoze eby’ekivve ne zinkwasa obusungu bwe zooterezza Baali obubaane.

18 Mukama yambikkulira nnamanyisa mu bbanga eryo olukwe lwe baali bansalira. 19 (Z)Nnali ng’omwana gw’endiga gwe batwala okuttibwa. Nnali simanyi nga nze gwe baali balyamu olukwe, nga bagamba nti,

“Ka tuzikirize omuti n’ekibala kyagwo,
    ka tumutemere ddala ave ku nsi y’abalamu,
    erinnya lye lireme okuddayo okujjukirwa n’akatono.”
20 (AA)Naye ggwe Mukama Katonda ow’Eggye,
    alamula mu bwenkanya, agezesa omutima n’ebirowoozo,
ka ndabe bw’obawoolera eggwanga,
    kubanga ggwe gwenkwasizza ensonga yange.

21 (AB)Noolwekyo bw’atyo bw’ayogera Mukama Katonda ku basajja b’e Anasosi abanoonya obulamu bwo nga bagamba nti, “Totubuulira bunnabbi mu linnya lya Mukama, tuleme okukutta.” 22 (AC)Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti, “Laba, nzija kutta abavubuka n’ekitala; ne batabani baabwe n’abawala bafe enjala. 23 (AD)So tewaliba n’omu alisigalawo, kubanga ndireeta akabi ku basajja b’e Anasosi, mu mwaka gwe ndibabonererezaamu.”

Okwemulugunya kwa Yeremiya

12 (AE)Bulijjo oba mutuukirivu, Ayi Mukama Katonda,
    bwe nkuleetera ensonga yange.
Noolwekyo nnaaleeta ensonga yange gy’oli.
    Lwaki abakozi b’ebibi baba mu kwesiima?
    Lwaki abalimbalimba bonna baba mu bulamu obw’emirembe?
(AF)Wabasimba, emirandira ne ginywera,
    bakula ne baleeta ebibala.
Tova ku mimwa gyabwe bulijjo
    wadde ng’oliwala n’emitima gyabwe.
(AG)Ate ng’ommanyi Ayi Mukama Katonda,
    ondaba era otegeera bye nkulowoozaako.
Sika otwale abasajja bano ababi ng’endiga ezigenda okuttibwa.
    Bategekere olunaku lwe balisanjagirwako.
(AH)Ensi erikoma ddi okwonooneka,
    n’omuddo mu buli nnimiro okukala?
Kubanga abo abali mu nsi bakozi ba bibi,
    ensolo n’ebinyonyi bizikiridde,
kubanga abantu bagamba nti,
    “Katonda taalabe binaatutuukako.”

Katonda Addamu

(AI)“Bw’oba owakana n’abaddusi b’embiro
    n’oggwaamu amaanyi
    oyinza otya okudduka n’embalaasi?
Obanga mu nsi entereevu weesitadde n’ogwa bugwi,
    onoosobolayo otya mu nsiko y’oku Yoludaani?
(AJ)Ne baganda bo n’ab’omu nnyumba ya kitaawo
    nabo bennyini bakwefuukidde,
    beegasse ku abo abawowoggana nga bakulangiriza.
Tobeesiga
    wadde nga bakwogerako bulungi.”

Ennaku ya Mukama olw’Abantu be

(AK)“Njabulidde ennyumba yange,
    ne ndeka omugabo gwange;
mpaddeyo abo emmeeme yange b’eyagala,
    mu mikono gy’abalabe baabwe.
(AL)Abantu bange be nalonda
    banfuukidde ng’empologoma eri mu kibira;
empulugumira,
    noolwekyo mbakyaye.
(AM)Abantu bange be nalonda
    tebanfuukidde ng’ennyonyi erya ginnaazo ey’amabala,
    ebinyonyi ebirala ebirya binaabyo gye bizingiza ne bigirumba?
Mugende mukuŋŋaanye ensolo zonna ez’omu nsiko
    muzireete zirye.
10 (AN)Abasumba bangi
    boonoonye ennimiro yange ey’emizabbibu,
balinnyiridde ennimiro yange,
    ensi yange ennungi bagirese njereere.
11 (AO)Eyonooneddwa efuuse ddungu
    esigadde awo ng’enkaabirira.
Ensi yonna efuuse matongo
    kubanga tewali muntu n’omu agifaako.
12 (AP)Abanyazi bazze
    batuuse ku nsozi zonna ez’omu ddungu,
kubanga ekitala kya Mukama kijja kulya
    okuva ku nsonda emu ey’ensi okutuuka ku ndala,
    awataliiwo n’omu kuwona.
13 (AQ)Basize eŋŋaano, ne bakungula amaggwa.
    Bakooyedde bwereere ne bataba na kebaggyamu.
Bakwatiddwa ensonyi olw’ebibala bye bakunguddeyo,
    kubanga ebyo Mukama y’abikoze olw’obusungu bwe obungi.”

14 (AR)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Ebikwata ku baliraanwa bange ababi nga bifa ku mugabo gwe nawa abantu bange Isirayiri okuba ogwabwe, laba ndibasiguukulula okuva mu nsi yaabwe, era ndiggya ennyumba ya Yuda mu bo. 15 (AS)Naye nga mmaze okubasiguukululamu, ndibakwatirwa ekisa ne mbakomyawo buli omu eri omugabo gwe mu nsi ye. 16 (AT)Era nga bwe bayigiriza abantu bange okulayirira mu linnya lya Baali bwe batyo balikwatira ddala empisa z’abantu bange, okulayirira mu linnya lyange nga boogera nti, ‘Nga Mukama bw’ali omulamu,’ olwo balizimbibwa wakati mu bantu bange. 17 (AU)Naye eggwanga bwe litalissaayo mwoyo, ndirisiguukulula ne ndisaanyizaawo ddala,” bw’ayogera Mukama.

13 Bw’ati Mukama bwe yaŋŋamba nti, “Genda ogule olukoba olwa linena olwesibe mu kiwato kyo, naye tolunnyikanga mu mazzi.” Bwe ntyo ne neegulira olukoba, nga Mukama bwe yandagira, ne ndwesiba mu kiwato kyange.

Awo ekigambo kya Mukama ne kinzijira omulundi ogwokubiri nti, “Ddira olukoba lwe wagula lwe weesibye mu kiwato kyo ogende ku mabbali g’omugga Fulaati olukweke eyo mu lwatika lw’olwazi.” (AV)Bwe ntyo ne ŋŋenda ne ndukweka ku mabbali g’omugga Fulaati nga Mukama bwe yandagira.

Ennaku nnyingi nga ziyiseewo, ate Mukama nandagira nti, “Genda kaakano ku Fulaati oleete olukoba lwe nakulagira okukwekayo.” Awo ne ndyoka ŋŋenda ku mugga Fulaati, ne nsimulayo olukoba ne nduggya mu kifo we nnali ndukwese. Naye laba, olukoba lwali lwonoonese, nga terukyalina kye lugasa.

Awo ekigambo kya Mukama ne kinzijira nga kyogera nti, (AW)“Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Bwe ntyo bwe ndikkakkanya okwegulumiza kwa Yuda ne Yerusaalemi. 10 (AX)Abantu bano aboonoonyi abagaana okukwata ebigambo byange, abagoberera obujeemu bw’emitima gyabwe ne bagoberera bakatonda abalala okubaweereza n’okubasinza, bajja kuba ng’olukoba olwo olutaliiko kye lugasa. 11 (AY)Ng’olukoba bwe lunywerera mu kiwato ky’omuntu, bwe ntyo bwe nzija okwagala ennyumba ya Isirayiri yonna n’eya Yuda zinneesibeko,’ bw’ayogera Mukama, ‘balyoke babeere abantu bange, bagulumize erinnya lyange n’ettendo; naye bo ne batawulira.’ ”

Olugero lw’Ekita

12 “Bagambe bw’oti nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda wa Isirayiri, buli kita kiba kya kujjuza nvinnyo.’ Nabo balikuddamu nti, ‘Tetumanyi nga buli kita kiba kya kujjuza nvinnyo?’ 13 (AZ)Olwo olyoke obagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Laba nditamiiza abantu bonna abatuula mu nsi eno, ne bakabaka abatuula ku ntebe ya Dawudi ey’obwakabaka, ne bakabona, ne bannabbi n’abantu bonna ab’omu Yerusaalemi. 14 (BA)Era buli omu alikoonagana ne munne, abalenzi ne bakitaabwe, bw’ayogera Mukama. Siribalumirwa, wadde okubaleka oba okubakwatirwa ekisa, ndibazikiriza.’ ”

Amalala n’Okuswazibwa kwa Yerusaalemi

15 Wuliriza ontegere okutu;
    toba na malala,
    Mukama y’akyogedde.
16 (BB)Mukama Katonda wo
    mugulumize nga tannaleeta kizikiza,
nga ebigere byo tebinneesittala ku nsozi
    ezikutte ekizikiza.
Musuubira ekitangaala,
    naye ajja okukifuulamu ekisiikirize eky’okufa
    akikyuse kibe ekizikiza ekikutte ennyo.
17 (BC)Naye bwe mutaafeeyo,
    emmeeme yange eneekaabira mu kyama
    olw’amalala gammwe;
amaaso gange gajja kukaaba nnyo nnyini
    gakulukuse amaziga
    era ekisibo kya Mukama kijja kuwambibwa.

18 Gamba kabaka era ne namasole nti,
    “Mukke muve ku ntebe zammwe ez’obwakabaka,
kubanga engule zammwe ez’ebitiibwa
    zijja kugwa okuva ku mitwe gyammwe.”
19 (BD)Ebibuga by’e Negebu biggaddwawo,
    tewali n’omu anaabiggulawo;
Yuda yonna yaakutwalibwa mu buwaŋŋanguse,
    yonna yaakutwalibwa.

20 (BE)Muyimuse amaaso gammwe
    mulabe abo abava mu bukiikakkono.
Kiruwa ekisibo ekyabaweebwa,
    endiga ezaabeeyinuzanga?
21 (BF)Muligamba mutya Mukama
    bw’alibawaayo okufugibwa abo be mwali mutwala nga ab’omukago?
Temulirumwa
    ng’omukazi alumwa okuzaala?
22 (BG)Era bwe weebuuza nti,
    “Lwaki kino kintuseeko?”
Olw’ebibi byo ebingi
    engoye zo kyezivudde ziyuzibwa,
    era omubiri gwo ne gubonerezebwa.
23 Omuwesiyopya ayinza okukyusa olususu lw’omubiri gwe
    oba engo okukyusa amabala gaayo?
Bwe mutyo bwe mutasobola kukola birungi,
    mmwe abaamanyiira okukola ebibi.

24 (BH)“Ndibasaasaanya ng’ebisusunku
    ebifuuyibwa empewo eva mu ddungu.
25 (BI)Guno gwe mugabo gwo
    gwe nakupimira,” bw’ayogera Mukama,
“kubanga wanneerabira
    ne weesiga bakatonda ab’obulimba.
26 (BJ)Nze kennyini ndibikkula engoye zammwe ne nzibikka ku mitwe gyammwe,
    obwereere bwammwe ne bulabika.
27 (BK)Ndabye obwenzi bwammwe
    n’obwamalaaya bwe mukoze.
Ndabye ebikolwa byo eby’ekivve ku busozi
    era ne mu nnimiro.
Zikusanze ggwe, ayi Yerusaalemi!
    Olituusa ddi obutaba mulongoofu?”

Ekyeya, Enjala, n’Ekitala

14 Ekigambo kya Mukama ekyajjira Yerusaalemi ekikwata ku kyeya.

(BL)“Yuda ekungubaga n’ebibuga byayo bifaafaaganye,
    bakaabira ensi,
era omulanga
    gusimbuse mu Yerusaalemi.
(BM)Abakungu batuma abaddu baabwe okuleeta amazzi;
    bagenda mu ttanka ez’omu ttaka nga temuli kantu,
    bakomawo n’ebintu ebikalu;
ensonyi nga zibakutte
    n’essuubi nga libaweddemu;
    babikka amaaso gaabwe.
(BN)Ettaka lyatise
    kubanga enkuba tekyatonnya,
abalimi baweddemu amaanyi,
    babikka ku mitwe gyabwe.
(BO)N’empeewo ku ttale ezaala
    n’ereka awo omwana gwayo
    kubanga tewali muddo.
(BP)N’ennyumbu ez’omu nsiko ziyimirira ku busozi obukalu
    nga ziwejjawejja ng’ebibe,
amaaso gaazo nga tegalaba bulungi
    kubanga tezirina kye zirya.”

(BQ)Wadde obutali butuukirivu bwaffe butulumiriza, Ayi Mukama,
    baako ky’okola olw’erinnya lyo.
Kubanga tuzze ennyuma emirundi mingi,
    tukwonoonye nnyo.
(BR)Ayi ggwe essuubi lya Isirayiri,
    Omulokozi waalyo mu biseera eby’okulabiramu ennaku,
lwaki oli ng’omuyise mu nsi,
    ng’omutambuze asula ekiro ekimu?
(BS)Lwaki oli ng’omuntu gwe baguddeko obugwi,
    ng’omulwanyi ataliimu maanyi ganunula?
Ggwe, Ayi Mukama Katonda, oli wakati mu ffe,
    era tuyitibwa linnya lyo.
    Totuleka.

10 (BT)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ku bantu be nti,

“Baagala nnyo okubula,
    tebaziyiza bigere byabwe.
Noolwekyo Mukama tabakkiriza
    era kaakano wakujjukira obutali butuukirivu bwabwe
    era ababonereze olw’ebibi byabwe.”

11 (BU)Awo Mukama Katonda n’aŋŋamba nti, “Tosabira bantu bano kubeera bulungi. 12 (BV)Newaakubadde nga basiiba, sijja kuwulira kukaaba kwabwe, era wadde bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo eby’empeke, sijja kubikkiriza. Naye nnaabazikiriza n’ekitala, n’enjala ne kawumpuli.”

13 (BW)Naye ne njogera nti, “Woowe, Mukama Katonda, bannabbi abalala babagamba nti, ‘Tewajja kubaawo lutalo wadde okulumwa enjala. Naye nzija kuleeta mirembe egitakoma mu kifo kino.’ ”

14 (BX)Awo Mukama n’alyoka aŋŋamba nti, “Bannabbi bawa obunnabbi obw’obulimba mu linnya lyange, sibatumanga wadde okubalagira okwogera nabo. Babategeeza okwolesebwa okw’obulimba n’obunnabbi obutaliimu, n’obutaliimu bw’emitima gyabwe. 15 (BY)Noolwekyo, bw’atyo bw’ayogera Mukama, ebikwata ku bannabbi abategeeza ebyobunnabbi mu linnya lyange wadde nga sibatumanga, era abagamba nti, ‘Ekitala n’enjala tebijja kujja mu nsi eno.’ Bannabbi abo bennyini bajja kuzikirizibwa ekitala n’enjala. 16 (BZ)N’abantu be bategeezezza obunnabbi balifa enjala n’ekitala ne bakasukibwa mu nguudo babulweko abaziika, bo ne bakazi baabwe, ne batabani baabwe, n’abawala. Kubanga ndibayiwako obusungu obubasaanira.

17 (CA)“Kino ky’oba obagamba nti,

“ ‘Leka amaaso gange gakulukute amaziga
    emisana n’ekiro awatali kukoma;
kubanga muwala wange embeerera, abantu bange,
    bafunye ekiwundu ekinene,
    ekintu eky’amaanyi.
18 (CB)Bwe ŋŋenda mu byalo
    ndaba abafumitiddwa n’ekitala!
Bwe ŋŋenda mu kibuga
    ndaba okutaagulwataagulwa okw’enjala.
Naye nnabbi ne kabona beeyongera okukola emirimu gyabwe mu ggwanga
    kyokka nga bye boogera bya bulimba.’ ”

19 (CC)Yuda ogigaanidde ddala?
    Sayuuni ogyetamiriddwa ddala?
Otufumitidde ddala awatali kuwonyezebwa?
    Twasuubira emirembe naye tewali kalungi ke tufunye,
ekiseera eky’okuwonyezebwa
    naye laba tufunye bulabe bwereere.
20 (CD)Ayi Mukama tukkiriza ebibi byaffe
    era n’obutali butuukirivu bwa bajjajjaffe,
    kubanga ddala twayonoona gy’oli.
21 (CE)Olw’erinnya lyo totugoba,
    tovumaganyisa ntebe yo ey’obwakabaka ey’ekitiibwa.
Jjukira endagaano gye wakola naffe,
    togimenya, gituukirize.
22 (CF)Waliwo ku bakatonda ababajje bannaggwanga asobola okutonnyesa enkuba?
    Eggulu ku bw’alyo lisobola okuleeta enkuba?
Nedda, wabula ggwe, Ayi Mukama Katonda waffe.
    Noolwekyo essuubi lyaffe liri mu ggwe,
    kubanga ggwe okola bino byonna.

Yuda Wakuzikirira

15 (CG)Awo Mukama n’alyoka aŋŋamba nti, “Musa ne Samwiri ne bwe bandiyimiridde okunneegayirira, sandisonyiye bantu bano. Bagobe okuva mu maaso gange, banviire. (CH)Era bwe bakubuuza nti, ‘Tunaagenda wa?’

“Bagambe nti, ‘Kino Mukama kyagamba nti,
Ab’okuttibwa bagenda kuttibwa,
n’ab’ekitala bafe ekitala, n’ab’enjala bafe enjala,
n’ab’okuwambibwa bawambibwe.’

(CI)“Ndiweereza engeri nnya ez’okubazikiriza,” bw’ayogera Mukama. “Ekitala kya kufumita, embwa zikulule, ebinyonyi eby’omu bbanga n’ensolo ez’omu nsiko zirye n’okuzikiriza. (CJ)Era ndibawaayo babeetamwe eruuyi n’eruuyi mu bwakabaka bwonna obw’omu nsi olw’ekyo Manase mutabani wa Keezeekiya kabaka wa Yuda kye yakola mu Yerusaalemi.

(CK)“Ani alikukwatirwa ekisa ggwe Yerusaalemi?
    Oba ani alikukungubagira?
    Oba ani alikyama okubuuza ebikufaako?
(CL)Mwanneegaana,” bw’ayogera Mukama.
    “Temutya kudda nnyuma.
Noolwekyo mbagololeddeko omukono gwange
    ne mbazikiriza.
Sikyasobola
    kukukwatirwa kisa.
(CM)Era ndibakuŋŋunta n’ekitiiyo eky’amannyo
    mu miryango gy’ebibuga eby’omu nsi.
Ndizikiriza abantu bange ne mbamalawo
    kubanga tebaaleka makubo gaabwe.
(CN)Bannamwandu beeyongedde obungi
    okusinga n’omusenyu gw’ennyanja.
Mu ttuntu mbaleetedde omuzikiriza
    amalewo ababazaalira abalenzi abato.
Mbakubiddewo
    obubalagaze n’entiisa.
(CO)Eyazaala omusanvu ayongobedde,
    awejjawejja.
Enjuba ye egudde nga bukyali misana,
    amaanyi gamuwedde, ensonyi zimukutte, awuunze, awuubadde.
N’abo abawonyeewo ndi wa kubasogga ekitala,
    mu maaso ga balabe baabwe,”
    bwayogera Mukama.

10 (CP)Zinsanze, mmange lwaki wanzaala
    omuntu eggwanga lyonna gwe lirwanyisa ne likuluusanya?
Siwolanga wadde okweyazika,
    kyokka buli muntu ankolimira.

11 (CQ)Mukama agamba nti,

“Ddala ndikununula olw’ekigendererwa ekirungi,
    ddala ndireetera abalabe bo okukwegayirira,
    mu biseera eby’okuluma obujiji, mu biseera eby’akabi.

12 (CR)“Omusajja ayinza okumenya ekikomo
    oba ekyuma eky’omu bukiikakkono?

13 (CS)“Ndiwaayo eby’obugagga byo n’ebintu byo eby’omuwendo ennyo
    binyagibwe awatali kusasulwa,
olw’ebibi byo byonna
    ebikoleddwa mu ggwanga lyonna.
14 (CT)Ndibafuula abasibe b’abalabe bammwe
    mu ggwanga lye mutamanyi,
kubanga obusungu bwange bwakukoleeza omuliro
    ogunaabookya gubamalewo.”

Yeremiya Yeekaabirako

15 (CU)Ayi Mukama ggwe omanyi byonna.
    Nzijukira ondabirire.
    Ompalanire eggwanga ku abo abanjigganya.
Mu kugumiikiriza kwo okunene tontwala.
    Lowooza ku ngeri gye mbonyeebonye ku lulwo.
16 (CV)Ebigambo byo bwe byanzijira, ne mbirya,
    byali ssanyu era okujaguza kw’omutima gwange.
Kubanga mpitibwa linnya lyo,
    Ayi Mukama Katonda ow’Eggye.
17 (CW)Situulangako mu kuŋŋaaniro ly’abo ab’ebinyumu
    era sibeerangako mu biduula nabo.
Natuulanga nzekka kubanga naliko omukono gwo,
    era wandeetera okwekyawa.
18 (CX)Lwaki okulumwa kwange tekukoma
    era n’ekiwundu kyange ne kitawona?
Onomberera ng’akagga akalimbalimba
    ng’ensulo ekalira?

19 (CY)Noolwekyo kino Mukama ky’agamba nti,

“Bwe muneenenya,
    ndibakomyawo musobole okumpeereza;
bwe mulyogera ebigambo ebisaana so si ebitasaanidde,
    mulibeera boogezi bange.
Leka abantu bano be baba bajja gy’oli,
    so si ggwe okugenda gye bali.
20 (CZ)Ndikufuula ekisenge eri abantu bano,
    ekisenge ekinywezebbwa eky’ekikomo.
Balikulwanyisa
    naye tebalikuwangula,
kubanga ndi naawe,
    okukununula, n’okukulokola,”
    bw’ayogera Mukama.
21 (DA)“Ndikununula okuva mu mukono gw’abakozi b’ebibi
    era n’enkuggya mu mukono gw’abasajja abakambwe,” bw’ayogera Mukama.

Olunaku olw’Akabi

16 Ekigambo kya Mukama ne kinzijira nga kigamba nti, (DB)“Towasa, kuzaalira balenzi na bawala mu kifo kino. (DC)Kubanga kino Mukama ky’agamba ku balenzi n’abawala abazaalibwa mu nsi eno era ne ku bakazi ba nnyaabwe ne ku basajja ba kitaabwe. (DD)Balifa endwadde ez’akabi. Tebalibakungubagira wadde okuziikibwa naye balibeera ng’ebisaaniko ebisuuliddwa ku ttaka. Balizikirira na kitala era balifa njala; n’emirambo gyabwe girifuuka mmere ya binyonyi eby’omu bbanga n’ebisolo eby’omu nsiko.”

Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Toyingira mu nnyumba we balya emmere y’olumbe, togenda kukungubaga wadde okubasaasira kubanga nziggyewo omukisa gwange n’okwagala kwange era n’okusaasira kwange ku bantu bano,” bw’ayogera Mukama. (DE)Bonna ab’ekitiibwa n’abakopi baakufiira mu nsi eno. Tebajja kuziikibwa wadde okukungubagirwa era tewali ajja kwesala misale wadde okumwa omutwe ku lwabwe. (DF)Tewaliba n’omu aliwaayo mmere okuliisa abakungubagira abafiiriddwa, ne bwaliba kitaabwe oba nnyaabwe nga kwe kuli afudde; tewaliba n’omu alibawaayo wadde ekyokunywa okubakubagiza.

(DG)Era toyingiranga mu nnyumba muli kinyumu n’otuula okulya n’okunywa. (DH)Kubanga kino Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri, ky’agamba nti, “Nga weerabirako n’amaaso go, mu nnaku z’obulamu bwo, ndikomya eddoboozi ery’essanyu era n’ery’okwesiima ery’abagole omusajja ne mukyala we mu kifo kino.

10 (DI)“Bw’oligamba abantu bino byonna ne bakubuuza nti, ‘Lwaki Mukama atutuusizaako akabi kano konna? Kibi ki kye tukoze? Musango ki gwe tuzizza eri Mukama Katonda waffe?’ 11 (DJ)Kale bagambe nti, ‘Kubanga bakitammwe bandeka ne batakuuma mateeka gange,’ bw’ayogera Mukama, ‘ne bagoberera bakatonda abalala ne babaweereza ne babasinza. Bandeka ne batakuuma mateeka gange. 12 (DK)Era mweyisizza bubi n’okusinga bakitammwe. Laba buli omu nga bwe yeeyisa ng’akakanyaza omutima gwe ogujjudde ebibi mu kifo ky’okuŋŋondera. 13 (DL)Noolwekyo ndibaggya mu nsi eno ne mbateeka mu nsi mmwe gye mutamanyi wadde bakitammwe gye bataamanya, era nga muli eyo muliweereza bakatonda abalala emisana n’ekiro, era siribakwatirwa kisa.’

14 (DM)“Naye ennaku zijja,” bw’ayogera Mukama. “Abantu lwe bataliddayo kwogera nti, ‘Ddala nga Katonda bw’ali omulamu eyaggya Isirayiri mu nsi y’e Misiri,’ 15 (DN)naye baligamba nti, ‘Ddala nga Mukama bw’ali omulamu eyaggya Abayisirayiri mu nsi ey’omu bukiikakkono era n’okuva mu nsi zonna gye yali abasudde.’ Kubanga ndibakomyawo mu nsi gye nawa bajjajjaabwe.

16 (DO)“Naye kaakano leka ntumye abavubi bange,” bw’ayogera Mukama, “era bajja kubavuba. Ng’ekyo kiwedde nzija kutumya abayizzi bange, era bajja kubayigga ku buli lusozi era na buli kasozi na buli lwatika lwonna mu njazi. 17 (DP)Amaaso gange galaba buli kye bakola, tebinkwekeddwa wadde obutali butuukirivu bwabwe okuunkwekebwa. 18 (DQ)Ndibasasula olw’obutali butuukirivu bwabwe n’olw’ekibi kyabwe emirundi ebiri, kubanga boonoonye ensi yange olw’ebintu ebitaliimu bulamu ne bajjuza omugabo gwange ebifaananyi bya bakatonda baabwe abakolerere, eby’emizizo.”

19 (DR)Ayi Mukama, amaanyi gange era ekigo kyange,
    ekiddukiro kyange mu biro eby’okulabiramu ennaku,
bannaggwanga balijja gy’oli,
    okuva ku nkomerero z’ensi bagambe nti,
“Bakitaffe tebaalina kantu okuggyako bakatonda ab’obulimba,
    ebifaananyi ebikolerere ebitagasa ebitaabayamba.
20 (DS)Abantu beekolera bakatonda baabwe?
    Ye, naye si Katonda!

21 “Noolwekyo ndibayigiriza,
    ku mulundi guno;
    ŋŋenda kubalaga amaanyi gange n’obuyinza bwange.
Olwo balyoke bamanye nti
    erinnya lyange nze Mukama.”

Ekibi n’Ekibonerezo kya Yuda

17 (DT)“Ekibi kya Yuda kiwandiikiddwa n’ekkalaamu ey’ekyuma
    n’ejjinja essongovu;
kirambiddwa ku mitima gyabwe
    ne ku mayembe g’ebyoto byabwe.
(DU)N’abaana baabwe basinziza
    ku byoto bya bakatonda ba Asera
ebiri ku buli muti oguyimiridde
    era ne ku busozi obuwanvu.
(DV)Olusozi lwange oluli mu nsi,
    obugagga bwammwe n’ebintu byo eby’omuwendo byonna,
ndibiwaayo byonna binyagibwe
    n’ebifo byammwe ebigulumivu kwe musaddaakira
    olw’ekibi ekibunye mu nsi yonna.
(DW)Musango gwo ggwe nti olifiirwa ensi gye nakuwa okuba omugabo gwo,
    ndikufuula muddu wa balabe bo mu nsi gy’otomanyangako,
kubanga mu busungu bwange omuliro gukoleezeddwa
    ogunaayakanga emirembe gyonna.”

(DX)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

Akolimiddwa oyo eyeesiga omuntu
    era eyeesiga omubiri okuba amaanyi ge,
    era alina omutima oguva ku Katonda.
(DY)Aliba ng’ekisaka mu ddungu,
    ataliraba birungi bwe birijja,
naye alibeera mu biwalakate mu ddungu,
    ensi ey’omunnyo omutali abeeramu.

(DZ)Naye alina omukisa omusajja oyo eyeesiga Mukama,
    nga Mukama ly’essuubi lye.
(EA)Ali ng’omuti ogusimbiddwa awali amazzi,
    ne gulandiza emirandira gyagwo ku mabbali g’omugga,
nga wadde omusana gujja, tegutya
    n’amakoola gaagwo tegawotoka,
so tegulyeraliikirira mu mwaka ogw’ekyeya
    era teguliremwa kubala bibala.
(EB)Omutima mulimba okusinga ebintu byonna,
    era gulwadde endwadde etawonyezeka.
    Ani ayinza okugutegeera?

10 (EC)“Nze Mukama nkebera omutima,
    ngezesa emmeeme,
okuwa buli muntu ng’amakubo ge bwe gali,
    ng’ebikolwa bye bwe biri.”

11 (ED)Ng’enkwale bw’eyalula amagi geetebiikanga,
    bw’atyo bw’abeera oyo afuna obugagga mu makubo amakyamu;
obulamu bwe nga bwakabeerawo kaseera buseera,
    bulimuggwaako era oluvannyuma alizuulibwa nga musiru.

12 (EE)Ekifo kyaffe ekitukuvu,
    ntebe ey’ekitiibwa eyagulumizibwa okuva ku lubereberye.
13 (EF)Ayi Mukama essuubi lya Isirayiri,
    bonna abakuvaako baliswala.
Abo abakuvaako ne bakuleka baliba ng’abawandiikiddwa mu nfuufu,
    kubanga bavudde ku Mukama,
    oluzzi olw’amazzi amalamu.

14 (EG)Mponya, Ayi Mukama, nange nnaawona,
    ndokola nange nnaalokoka,
    kubanga ggwe gwe ntendereza.
15 (EH)Tobakkiriza kuŋŋamba nti,
    “Ekigambo kya Mukama kiri ludda wa?
    Ka kituukirire nno kaakano!”
16 Sirekeddaawo kuba musumba wa ndiga zo,
    omanyi nga sikusabanga kubaleetako nnaku.
    Byonna ebiva mu kamwa kange tebikukwekeddwa, obimanyi.
17 (EI)Toba wa ntiisa gye ndi,
    ggwe oli buddukiro bwange mu kiseera eky’okulabiramu ennaku.
18 (EJ)Abo abanjigganya leka baswale,
    era onkuume nneme kuswala;
leka bagwemu ekyekango
    nze onkuume nneme okwekanga,
batuuse ku lunaku olw’ekikangabwa,
    bazikiririze ddala.

Okukuuma Ssabbiiti nga Ntukuvu

19 (EK)Bw’ati Mukama bwe yaŋŋamba nti, “Genda oyimirire ku mulyango gw’abantu, bakabaka ba Yuda mwe bayingirira n’okufuluma; yimirira ne ku nzigi endala eza Yerusaalemi. 20 (EL)Bagambe nti, ‘Muwulirize ekigambo kya Mukama mmwe bakabaka ba Yuda n’abantu bonna ababeera mu Yerusaalemi, abayita mu miryango gy’ekibuga. 21 (EM)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Weegendereze oleme kufulumya mugugu gwonna mu nnyumba yo wadde okukola omulimu gwonna ku ssabbiiti, naye mukuume olunaku lwa Ssabbiiti nga lutukuvu nga temulukolerako mulimu gwonna, 22 (EN)era kuuma olunaku lwa Ssabbiiti nga lutukuvu nga bwe nalagira bajjajjammwe.’ 23 (EO)Naye tebaawuliriza wadde okukkiriza okunenyezebwa. 24 Kyokka bwe muneegendereza ne muŋŋondera, bw’ayogera Mukama, ‘ne mutayisa kintu kyonna kye mwetisse mu miryango gy’ekibuga ku ssabbiiti, naye ne mukuuma olwa Ssabbiiti nga lutukuvu obutakolerako mulimu gwonna, 25 (EP)olwo bakabaka abatuula ku ntebe ya Dawudi bajja kuyita mu miryango gy’ekibuga n’abakungu baabwe. Bo n’abakungu baabwe baakujja ng’abamu bavuga amagaali abalala nga beebagadde embalaasi, nga bawerekeddwako abasajja ba Yuda n’abo abali mu Yerusaalemi era ekibuga kino kiribeerwamu emirembe gyonna. 26 (EQ)Abantu balijja okuva mu bibuga bya Yuda ne mu byalo ebiriraanye Yerusaalemi, okuva mu bitundu bya Benyamini ne mu biwonvu ne mu nsozi z’ebugwanjuba, n’okuva mu nsi ey’ensozi ey’e Negevu, nga baleeta ebiweebwayo ebyokebwa, ne ssaddaaka, ebiweebwayo eby’empeke, n’obubaane era n’ebiweebwayo eby’okwebaza mu nnyumba ya Mukama. 27 (ER)Naye bwe mutaŋŋondere kukuuma lunaku lwa Ssabbiiti nga lutukuvu ne mwetikkirako emigugu gyammwe nga mufuluma mu nguudo za Yerusaalemi ku lunaku olwa Ssabbiiti, ndikoleeza omuliro ogutazikira mu miryango gya Yerusaalemi oguliyokya ebigo byakyo.’ ”

Olugero lw’Omubumbi n’Ebbumba

18 Kino ky’ekigambo ekyajjira Yeremiya ekyava eri Mukama nti, “Serengeta mu nnyumba y’omubumbi nkuweere eyo obubaka bwange.” Awo ne nserengeta eri ennyumba y’omubumbi ne mmulaba ng’akolera emirimu gye ku nnamuziga. Naye ekintu kye yali abumba kyali kyonoonekedde mu ngalo ze, omubumbi kyeyava akibumbamu ekintu ekirala ng’akibumba nga bwe yasiima.

Awo ekigambo kya Mukama ne kinzijira nga kigamba nti, (ES)“Gwe ennyumba ya Isirayiri, siyinza nze kubakola ng’omubumbi ono bw’akoze?” bw’ayogera Mukama. “Okufaanana ng’ebbumba mu mukono gw’omubumbi, bwe mutyo bwe muli mu ngalo zange, ggwe ennyumba ya Isirayiri. (ET)Ekiseera kyonna bwe nnangirira nti eggwanga oba obwakabaka bwa kusiguukululwa, okumenyebwa era n’okuzikirizibwa, (EU)era singa eggwanga lye nalabula lyenenya ebibi byalyo, olwo ndyejjusa ne sibatuusaako kabi ke nnali ŋŋambye okubakola. (EV)Era ekiseera kyonna nnangirira ebikwata ku ggwanga oba obwakabaka nti ndizimba era ndisimba, 10 (EW)era bwe likola ebibi mu maaso gange, ne litaŋŋondera, ndyejjusa obulungi bwe nagamba okubakolera.

11 (EX)“Noolwekyo gamba abantu ba Yuda n’abo ababeera mu Yerusaalemi nti, ‘Kino Mukama ky’ayogera nti, Laba ntekateeka okubatuusaako ekikangabwa era nteesezza okubakola akabi. Kale muve mu makubo gammwe amabi, buli omu ku mmwe, mukyuse enneeyisa yammwe n’ebikolwa byammwe.’ 12 (EY)Naye ne boogera nti, ‘Tekirina kye kigasa. Tujja kugenda mu maaso n’entegeka yaffe; buli omu ku ffe anaakolanga ng’obukakanyavu bw’omutima gwe bwe buli.’ ”

13 (EZ)Noolwekyo bw’ati Mukama ng’agamba nti,

“Mwebuuzeeko mu mawanga.
    Ani eyali awuliddeko ekintu bwe kiti?
Muwala wange Isirayiri
    akoze ekintu eky’ekivve.
14 Omuzira oguli ku Lebanooni
    gwali guwedde ku njazi zaakwo?
Amazzi gaakwo amannyogovu agava ewala
    gaali galeseeyoko okukulukuta?
15 (FA)Naye ate abantu bange banneerabidde,
    banyookezza obubaane eri bakatonda abalala,
abaleetera okwesittala mu makubo gaabwe
    era ne mu makubo ag’edda
era ne balaga mu bukubokubo.
16 (FB)Ensi yaabwe ya kusigala matongo,
    ekintu eky’okusekererwa emirembe gyonna,
abo bonna abayise balyewuunya
    era ne banyeenya emitwe gyabwe.
17 (FC)Ndibasaasaanya mu maaso g’abalabe baabwe
    ng’empewo eva ebuvanjuba;
ndibalaga mabega
    so si maaso gange ku lunaku olw’okulabirako ennaku.”

18 (FD)Awo ne balyoka bagamba nti, “Mujje tubeeko kye tukola Yeremiya. Kubanga bakabona weebali banaatutegeezanga amateeka, n’amagezi tunaagafunanga ku bagezi, era n’ebyobunnabbi binaavanga mu bannabbi. Kaakano mujje tumulumbe tumuwakanye era tuleme okussaayo omwoyo ku bigambo bye.”

19 Ompulirize, Ayi Mukama,
    owulirize abampakanya kye bagamba.
20 (FE)Ebikolwa ebirungi binaasasulwanga na bikolwa ebibi?
    Bansimidde obunnya.
Ojjukire nga nayimirira mu maaso go
    ne nkaaba ku lwabwe,
    nga nsaba olekeraawo okubasunguwalira.
21 (FF)Noolwekyo abaana baabwe baleke bafe enjala,
    obaweeyo battibwe n’ekitala.
Leka bakazi baabwe bafuuke bagumba era babe bannamwandu;
    abasajja baabwe battibwe;
    abavubuka baabwe batirimbulwe n’ekitala mu lutalo.
22 (FG)Leka okukaaba kuwulirwe nga kuva mu nnyumba zaabwe,
    bwe banaalumbibwa ne bazindibwa embagirawo,
kubanga bansimidde ekinnya bankwate
    era bateze ebigere byange emitego.
23 (FH)Naye Ayi Mukama, gw’omanyi byonna,
    bye bateesa banzite.
Tobasonyiwa byonoono byabwe
    wadde okusangulawo ebibi byabwe mu maaso go.
Obawangulire ddala,
    era obabonereze mu kiseera ky’obusungu bwo.

Olugero lw’Ensumbi Eyayatika

19 (FI)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Genda ogule ensumbi ey’ebbumba okuva ku mubumbi. Twala abamu ku bakadde ne ku bakabona, (FJ)ofulume ogende mu kiwonvu kya mutabani wa Kinomu ekiri awayingirirwa mu mulyango Kalusiisi, olangiririre eyo ebigambo bye nnaakutegeeza. (FK)Ogambe nti, ‘Muwulire ekigambo kya Mukama mmwe bakabaka ba Yuda nammwe abali mu Yerusaalemi, bw’atyo bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, Muwulirize! Ndireeta ekikangabwa mu kifo kino ekiriwaawaaza buli kutu. (FL)Kubanga banvuddeko ekifo kino ne bakifuula ekya bakatonda abalala. Bookerezaamu ebiweebwayo eri bakatonda, bakitaabwe wadde bakabaka ba Yuda be batamanyangako, nga bajjuzza ekifo kino omusaayi gw’abataliiko musango. (FM)Bazimbye ebifo ebigulumivu ebya Baali, bookereyo batabani baabwe mu muliro ng’ekiweebwayo eri Baali, ekintu kye siragiranga, era kye soogerangako, wadde okukirowoozaako. (FN)Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Mwegendereze, ennaku zijja, ng’ekifo kino abantu tebakyakiyita Tofesi newaakubadde Kiwonvu kya mutabani wa Kinomu, wabula nga bakiyita ekiwonvu eky’ettambiro.

(FO)“ ‘Mu kifo kino ndizikiriza entegeka za Yuda ne Yerusaalemi. Ne mbawaayo mu mikono gy’abalabe baabwe battibwe n’ekitala, era ndiwaayo emirambo gyabwe okuba emmere y’ebinyonyi eby’omu bbanga n’ebisolo eby’omu nsiko. (FP)Ndidibaga ekibuga kino ne nkifuula eky’okusekererwa, n’abo bonna abayitawo bennyamire era baseke olw’ebiwundu byakyo byonna. (FQ)Olw’okuzingizibwa n’okunyigirizibwa abalabe baabwe abanoonya okubatta, ndibaliisa emirambo gya batabani baabwe n’egy’abawala baabwe era buli omu alirya munne.’

10 (FR)“Awo n’olyoka omenya ensumbi abo b’ogenze n’abo nga balaba, 11 (FS)obagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti, Ndiyasaayasa eggwanga lino n’ekibuga kino ng’ensumbi y’omubumbi eno bw’engiyasaayasa nga tekikyayinzika kugiddaabiriza. Baliziika abafu mu Tofesi okutuusa ekifo awaziikibwa lwe kirijjula. 12 Kino kye ndikola ekifo kino n’abo abakibeeramu, bw’ayogera Mukama. Ekibuga kino ndikifuula nga Tofesi. 13 (FT)Amayumba g’omu Yerusaalemi n’aga bakabaka ba Yuda galiyonoonebwa ng’ago mu Tofesi, ennyumba zonna mwe booterezza obubaane eri eggye lyonna erya bakatonda ab’omu bbanga, ne baweerayo ekiweebwayo ekyokunywa.’ ”

14 (FU)Awo Yeremiya n’akomawo okuva e Tofesi Mukama gye yali amutumye okuwa obunnabbi, n’ayimirira mu mbuga ya yeekaalu ya Mukama n’agamba abantu bonna nti, 15 (FV)“Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Muwulirize, ndireeta ku kibuga kino ne ku bubuga obukyetoolodde buli kikangabwa kyonna kye nakirangirirako, kubanga baakakanyaza ensingo zaabwe ne batagondera bigambo byange.’ ”

Yeremiya Ayigganyizibwa ng’Abuulira

20 (FW)Awo Pasukuli eyali kabona mutabani wa Immeri, eyali omukulu mu yeekaalu ya Mukama, yawulira nga Yeremiya awa obubaka buno, (FX)n’alagira Yeremiya akubibwe. N’asibibwa mu nvuba eyali mu mulyango ogw’ekyengulu ogwa Benyamini ku yeekaalu ya Mukama. (FY)Olunaku olwaddirira, nga Pasukuli amusumuludde mu nvuba, Yeremiya n’amugamba nti, “Mukama takyakuyita Pasukuli, naye Magolumissabibu. (FZ)Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Laba, ndikufuula eky’entiisa, ekikangabwa, eri ggwe n’eri mikwano gyo bonna; era balifa ekitala ky’abalabe baabwe, n’amaaso go galikiraba, era Yuda yonna ndigiwaayo mu mukono gwa kabaka w’e Babulooni, alibatwala e Babulooni oba okubattisa ekitala. (GA)Era ndigabula obugagga bw’ekibuga kino bwonna obulimu, n’eby’omuwendo omungi era n’eby’obugagga byonna ebya bakabaka ba Yuda mu mukono gw’abalabe baabwe. Balibutwala babwetikke ng’omunyago mu Babulooni. (GB)Era ggwe Pasukuli, era n’abo bonna ab’omu nnyumba yo balitwalibwa mu busibe, e Babulooni. Eyo gy’olifiira era oziikibwe, ggwe ne mikwano gyo bonna b’otegeezezza obunnabbi obw’obulimba.’ ”

Okwemulugunya kwa Yeremiya

Ayi Mukama, wannimba era n’ennimbibwa,
    wansinza amaanyi n’ompangula.
Nvumibwa okuva ku makya okuzibya obudde,
    buli muntu ankudaalira.
(GC)Buli lwe njogera,
    ndeekaana ne nnangirira akatabanguko n’okuzikirira.
Kale ekigambo kya Mukama kindeetera
    kuvumwa na kusekererwa buli lunaku.
(GD)Naye bwe ŋŋamba nti,
    “Sijja kumwogerako oba okweyongera okwogera mu linnya lye,”
ekigambo kye mu mutima gwange kiri ng’omuliro ogwaka,
    ogukwekeddwa mu magumba gange.
Nkooye okukizibiikiriza
    era ddala sisobola.
10 (GE)Mpulira bangi nga beegeya nti, “Akabi kali enjuuyi zonna.
    Mumuloope.
    Leka naffe tumuloope.”
Mikwano gyange bonna
    banninda ngwe,
nga bagamba nti, “Oboolyawo anaasobya,
    tumugweko
    tuwoolere eggwanga.”

11 (GF)Naye Mukama ali nange ng’omulwanyi ow’amaanyi ow’entiisa,
    kale abanjigganya kyebaliva bagwa ne bataddayo kuyimirira.
Baakulemererwa era baswalire ddala
    n’okuswala kwabwe tekulyerabirwa emirembe gyonna.
12 (GG)Ayi Mukama Katonda ow’Eggye oyo agezesa abatuukirivu,
    alaba ebiri munda mu mitima era n’ebirowoozo,
kale leka ndabe bw’obawoolererako eggwanga,
    kubanga ensonga zange nzitadde mu mikono gyo.

13 (GH)Muyimbire Mukama Katonda.
    Mumuwe ettendo.
Kubanga awonyezza obulamu bw’omunaku
    mu mikono gy’abo abakozi b’ebibi.
14 (GI)Lukolimirwe
    olunaku kwe nazaalirwa!
Olunaku mmange kwe yanzaalira
    luleme kuweebwa mukisa!
15 Akolimirwe eyaleetera kitange amawulire,
    agaamusanyusa ennyo,
    ng’agamba nti, “Omwana omulenzi akuzaaliddwa.”
16 (GJ)Omusajja oyo abeere ng’ebibuga Mukama bye yamenyaamenya
    awatali kusaasira kwonna.
Okukaaba kuwulirwe ku makya,
    ne nduulu z’abalwanyi mu ttuntu.
17 (GK)Yandinzitidde mu lubuto lwa mmange.
    Mmange yandibadde entaana yange,
    olubuto lwe ne luba lunene emirembe gyonna.
18 (GL)Lwaki nava mu lubuto
    okulaba emitawaana n’obuyinike
    era ennaku zange ne nzimala mu buswavu?

Katonda Agaana Okusaba kwa Zeddekiya

21 (GM)Kino kye kigambo ekyajja eri Yeremiya okuva eri Mukama, kabaka Zeddekiya bwe yamutumira Pasukuli mutabani wa Malukiya ne Zeffaniya kabona mutabani wa Maaseya okumugamba nti, (GN)“Tubuulize kaakano ku Mukama kubanga Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni atulumbye. Oboolyawo Mukama anatukolera ekyamagero ng’edda, Nebukadduneeza n’atuleka.”

Naye Yeremiya n’abaddamu nti, “Mugambe Zeddekiya nti, (GO)‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda wa Isirayiri nti, Nnaatera okuboolekeza ebyokulwanyisa byammwe ebiri mu mikono gyammwe bye mukozesa okulwanyisa kabaka w’e Babulooni n’Abakaludaaya ababazinze ne beetooloola ebweru wa bbugwe w’ekibuga kyammwe. Nzija kubakuŋŋaanyiza munda mu kibuga kino. (GP)Nze kennyini nzija kubalwanyisa n’omukono gwange ogw’amaanyi, ogugoloddwa mu busungu, n’ekiruyi n’obukambwe obungi. (GQ)Era ndittisa kawumpuli omubi, abantu awamu n’ensolo enkambwe, mu kibuga kino. (GR)Oluvannyuma lw’ekyo, nnaawaayo Zeddekiya kabaka wa Yuda, n’abakungu be n’abantu bonna mu kibuga kino abanaaba bawonye kawumpuli, ekitala n’enjala ebya Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni n’abalabe baabwe ababanoonya okubatta. Nebukadduneeza anaabatta n’ekitala, taabalage kisa n’akatono wadde okubasaasira oba okubasonyiwa.’

“Era abantu bagambe nti, ‘Bw’ati Mukama bw’ayogera nti: Laba mbateereddewo ekkubo ery’obulamu era n’ekkubo ery’okufa. (GS)Buli anaasigala mu kibuga kino ajja kufa ekitala, oba enjala oba kawumpuli. Naye buli afuluma ne yeewaayo eri Abakaludaaya ababazingizza, ajja kuba mulamu, era anaawonya obulamu bwe. 10 (GT)Mmaliridde okuleetera ekibuga kino akabi so si mirembe, bw’ayogera Mukama. Kijja kuweebwayo mu mikono gya kabaka w’e Babulooni, era ajja kukizikiriza n’omuliro.’

11 (GU)“N’ekirala gamba ennyumba ya Yuda ey’obwakabaka nti, ‘Wulira ekigambo kya Mukama; 12 (GV)ggwe ennyumba ya Dawudi,

“ ‘kino Mukama ky’agamba:
    Musale emisango mu bwenkanya,
    mununule ababa banyagiddwa ababanyigiriza,
obusungu bwange buleme kuvaayo
    bubookye ng’omuliro olw’ekibi kye mukoze,
    nga tewakyali n’omu abuziyiza.
13 (GW)Laba nkugguddeko olutalo,
    ggwe Yerusaalemi abeera waggulu w’ekiwonvu,
    ku lusozi olwagaagavu olw’ekyaziyazi, bw’ayogera Mukama,
mmwe abagamba nti, “Ani ayinza okutulumba?
    Ani ayinza okuyingira mu nnyumba zaffe?”
14 (GX)Nzija kubabonereza ng’ebikolwa byammwe bwe biri,
    era ndikoleeza omuliro mu kibira kyammwe,
gwokye byonna ebikyetoolodde,’ ”
    bw’ayogera Mukama.

Omusango eri Bakabaka Ababi

22 Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Serengeta ogende mu lubiri lwa kabaka wa Yuda (GY)olangirire obubaka buno nti, Wulira ekigambo kya Katonda ggwe kabaka wa Yuda, ggw’atuula ku ntebe ya Dawudi, mmwe abakungu n’abantu bammwe abayita mu miryango gino. (GZ)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Musale emisango egy’ensonga, mukole ebituufu. Anyagiddwako ebibye mumuggye mu mukono gw’oyo amujooga. Temukola kibi oba eby’obukambwe eri omugwira, newaakubadde atalina kitaawe, newaakubadde nnamwandu so temuyiwa musaayi gw’abantu abataliiko musango mu kifo kino. (HA)Kubanga bwe muneegendereza ne mukuuma ebiragiro bino, olwo bakabaka abatuula ku ntebe ya Dawudi baliyita mu miryango gy’olubiri luno nga batudde mu magaali gaabwe n’abo abeebagadde embalaasi nga bawerekerwako n’abakungu baabwe, n’abantu baabwe. (HB)‘Naye bwe mutaagondere biragiro bino, nneelayirira ku lwange nti olubiri luno lulifuuka matongo,’ bw’ayogera Mukama.”

(HC)Kubanga kino Mukama ky’agamba ku lubiri lwa kabaka wa Yuda nti,

“Newaakubadde ng’oli nga Gireyaadi gye ndi,
    ng’entikko y’olusozi Lebanooni,
ddala ddala nzija kukufuula ddungu,
    ng’ebibuga ebitaliimu bantu.
(HD)Ndikusindikira abakuzikiriza,
    buli musajja n’ebyokulwanyisa bye,
era balitema emivule gyo egisinga obulungi
    ne bagisuula mu muliro.

(HE)“Abantu abava mu mawanga amangi baliyita ku kibuga kino nga beebuuzaganya bokka ne bokka nti, ‘Lwaki Mukama yakola ekintu ekifaanana bwe kiti ku kibuga kino ekikulu bwe kiti?’ (HF)Era eky’okuddamu kibeere nti, ‘Kubanga beerabira endagaano ya Mukama Katonda waabwe ne basinza era ne baweereza bakatonda abalala.’ ”

10 (HG)Temukaabira kabaka afudde
    oba okumukungubagira,
wabula mukaabire nnyo oyo omuwaŋŋanguse,
    kubanga taliddayo kulaba nsi ye nate.

11 (HH)Kubanga kino Mukama ky’agamba ku Sallumu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda eyasikira Yosiya n’afuuka kabaka wa Yuda naye n’atwalibwa. “Talidda. 12 (HI)Alifiira eyo gye baamutwala nga musibe, taliraba nsi eno nate.”

13 (HJ)“Zimusanze oyo azimba olubiri ku butali butuukirivu,
    ebisenge bye ebya waggulu ku butali bwenkanya
abantu b’ensi ye n’abakozeseza bwereere
    n’atabasasula mpeera yaabwe.
14 (HK)Agamba nti, ‘Nzija kwezimbira olubiri olunene
    n’ebisenge ebya waggulu ebigazi ennyo.’
Kale nnaakola amadirisa amanene
    nnaateekamu emivule
    era nnaasiigako langi emyufu.

15 (HL)“Okweyongerayongera emivule emingi kikufuula kabaka?
    Kitaawo teyalina byakulya na byakunywa?
Yakola ebituufu eby’obwenkanya.
    Noolwekyo byonna
    byamugendera bulungi.
16 (HM)Yalwanirira abaavu n’abali mu bwetaavu
    kale byonna ne bimugendera bulungi.
Ekyo si kye kitegeeza okummanya?”
    bw’ayogera Mukama.
17 (HN)“Naye amaaso gammwe n’emitima gyammwe
    biri ku magoba ag’obukuusa,
ne ku kuyiwa omusaayi ogutaliiko musango
    ne ku kunyigiriza ne ku kunyaga.”

18 Noolwekyo kino Mukama ky’ayogera ku Yekoyakimu omwana wa Yosiya kabaka wa Yuda nti,

“Tebalimukungubagira;
    ‘Kikafuuwe, mukama wange!’
Kikafuuwe,
    obugagga bwe!
19 (HO)Aliziikibwa
    nga bwe baziika endogoyi,
    akululwe asuulibwe ebweru w’enzigi za Yerusaalemi.”

20 (HP)“Genda mu Lebanooni okaabe,
    leka eddoboozi lyo liwulirwe mu Basani.
Kaabira ku Abalimu,
    kubanga bonna ababadde ku ludda lwo bazikiridde.
21 (HQ)Nayogera gy’oli ng’okyali mu biseera byo eby’obugagga
    naye n’ogamba nti, ‘Sijja kuwuliriza!’
Bw’oti bw’obadde okuva mu buto bwo,
    togonderanga ku ddoboozi lyange.
22 Empewo erikunguzza abalunzi b’ebisibo byo bonna,
    n’abawagizi bo batwalibwe mu buwaŋŋanguse.
Olwo okwatibwe ensonyi
    oggweemu amaanyi olw’ebibi byo byonna.
23 (HR)Mmwe abali mu Lebanooni,[a]
    abesulira mu bizimbe eby’emivule,
nga mulikaaba, ng’obulumi bubajjidde!
    Okulumwa ng’okw’omukazi alumwa okuzaala.

24 (HS)“Ddala ddala nga bwe ndi omulamu, wadde ggwe Koniya omwana wa Yekoyakimu, singa wali mpeta ey’obuyinza ku mukono gwange ogwa ddyo, nandikusiseeko,” bw’ayogera Mukama. 25 (HT)“Ndikuwaayo eri abo abanoonya obulamu bwo, abo bootya, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni era n’eri Abakaludaaya. 26 (HU)Ndikusuula mu nsi endala gye mutaazaalibwa, ggwe ne maama wo eyakuzaala, era eyo mwembi gye mulifiira. 27 Temulidda mu nsi gye mwegomba okuddamu.”

28 (HV)Omusajja ono Koniya kintu ekinyoomebwa,
    ekimenyese, ekitaliiko ayagala?
Lwaki ye n’abaana be balikanyugibwa ebweru,
    basuulibwe mu nsi gye batamanyi?
29 (HW)Ayi ggwe ensi, ensi,
    wulira ekigambo kya Katonda!
30 (HX)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“Omusajja ono mumubale ng’atazaalangako
    kubanga tewali ku baana be alikulaakulana,
alituula ku ntebe ya Dawudi
    oba aliddayo okufuga mu Yuda.”

Ettabi Ettukuvu

23 (HY)“Zibasanze abasumba abazikiriza era abasaasaanya endiga z’ekisibo kyange!” bw’ayogera Mukama. (HZ)Noolwekyo, bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri ebikwata ku basumba abalabirira abantu bange nti, “Kubanga musaasaanyizza abantu bange ne mubagoba ne mutabalabirira, nzija kubaleetako ebibonerezo olw’ebibi bye mukoze,” bw’ayogera Mukama. (IA)“Nze kennyini nzija kukuŋŋaanya abaasigalawo ku kisibo kyange okuva mu mawanga gonna gye nabagobera, mbakomyewo mu kisibo kyabwe, gye banaabalira ebibala beeyongere obungi. (IB)Ndibawa abasumba abanaabalabirira, era tebaliddayo kutya oba kuggwaamu maanyi, era tewaabe n’omu abula,” bw’ayogera Mukama.

(IC)“Ennaku zijja,
    lwe ndiyimusiza Dawudi Ettabi ettukuvu,
Kabaka alikulembera n’amagezi
    akole ebituufu eby’obwenkanya mu nsi,” bwayogera Mukama.
(ID)Mu mirembe gye, Yuda alirokolebwa
    ne Isirayiri alibeera mu mirembe.
Lino lye linnya lye balimuyita:
    Mukama OBUTUUKIRIVU BWAFFE.

(IE)“Noolwekyo ennaku zijja, abantu lwe batalyogera nate nti, ‘Ddala nga Mukama bwali omulamu eyaggya Abayisirayiri mu Misiri,’ bwayogera Mukama, (IF)naye bagambe nti, ‘Ddala nga Mukama bw’ali omulamu, eyaggya abaana ba Isirayiri mu nsi ey’omu bukiikakkono era ne mu nsi zonna gye yali abagobedde.’ Olwo balibeera mu nsi yaabwe ku bwabwe,” bw’ayogera Mukama.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.