Bible in 90 Days
19 (A)Ndisimba mu lukoola omuvule ne akasiya,
omumwanyi n’omuzeyituuni,
ate nsimbe mu ddungu
enfugo n’omuyovu awamu ne namukago.
20 (B)Abantu balyoke balabe bamanye,
balowooze
era batuuke bonna okutegeera nti omukono gwa Mukama gwe gukoze kino,
nti Omutukuvu wa Isirayiri yakikoze.”
Mukama Asoomooza bakatonda Abalala
21 (C)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda gye muli mmwe nti,
“Mmwe bakatonda baamawanga, mujje nammwe mwogere.
Muleete ensonga zammwe tuziwulire,” bw’ayogera Kabaka wa Yakobo.
22 (D)“Baleete bakatonda bwabwe
batubuulire ebigenda okubaawo.
Batubuulire n’ebyaliwo emabega,
tusobole okubimanya,
n’okubirowoozaako
n’okumanya ebinaavaamu oba okutubuulira ebigenda okujja.
23 (E)Mutubuulire ebigenda okubaawo
tulyoke tumanye nga muli bakatonda.
Mubeeko kye mukola ekirungi oba ekibi
tulyoke tutye era tukeŋŋentererwe mu mutima.
24 (F)Laba, temuliiko bwe muli
ne bye mukola tebigasa.
Abo ababasinza bennyamiza.
25 (G)Nonze omuntu alifuluma mu bukiikakkono akoowoola erinnya lyange,
abeera mu buvanjuba.
Alirinnyirira abafuzi ng’asamba ettaka,
abe ng’omubumbi asamba ebbumba.
26 (H)Ani eyakyogera nti kiribeerawo tulyoke tumanye,
eyakyogera edda tulyoke tugambe nti, ‘Wali mutuufu?’
Tewali n’omu yakyogerako,
tewali n’omu yakimanya
era tewali n’omu yawulira kigambo na kimu okuva gye muli.
27 (I)Nasooka okubuulira Sayuuni
era ne mpeereza omubaka e Yerusaalemi ababuulire amawulire amalungi.
28 (J)Naye tewali n’omu mu bakatonda bammwe eyabategeeza kino.
Tewali n’omu awa bigambo biruŋŋamya,
tewali n’omu addamu bwe mbuuza.
29 (K)Laba, bonna temuli nsa!
Bye bakola byonna tebigasa.
Ebifaananyi byabwe byonna ebibajje, mpewo na butaliimu.”
Omuweereza wa Katonda
42 (L)Laba omuweereza wange gwe mpanirira,
omulonde wange gwe nsanyukira ennyo.
Ndimuwa Omwoyo wange
era alireeta obwenkanya eri amawanga.
2 Talireekaana
wadde okuyimusa eddoboozi lye mu luguudo.
3 (M)Talimenya lumuli lubetentefu
oba okuzikiza olutambi olwaka empola ennyo;
mu bwesigwa alireeta obwenkanya.
4 (N)Taliremererwa oba okuggwaamu essuubi okutuusa ng’aleesewo obutebenkevu ku nsi.
N’ebizinga eby’ewala
biririndirira amateeka ge.
5 (O)Bw’atyo bw’ayogera Mukama Katonda,
eyatonda eggulu n’alibamba.
Eyayanjuluza ensi ne byonna ebigivaamu;
awa omukka abantu baakwo
era n’obulamu eri bonna abagitambulirako.
6 (P)“Nze Mukama,
nakuyita mu butuukirivu.
Ndikukwata ku mukono era ndikukuuma.
Ndikufuula okuba endagaano eri abantu,
era omusana eri bannamawanga.
7 (Q)Okuzibula amaaso g’abazibe,
okuta abasibe okuva mu makomera
n’okuggya abo abali mu bunnya, abo abali mu kizikiza.
8 (R)“Nze Mukama,
eryo lye linnya lyange, n’ekitiibwa kyange sirikiwa mulala,
newaakubadde ettendo lyange okukiwa bakatonda abalala.
9 Laba, ebyo bye nagamba nti
biribaawo bituuse,
kaakano mbabuulira ku bigenda okujja;
mbibategeeza nga tebinnabaawo.”
Oluyimba olw’Okutendereza Mukama
10 (S)Muyimbire Mukama oluyimba oluggya,
ettendo lye okuva ku nkomerero y’ensi!
Mmwe abasaabala ku nnyanja ne byonna ebigirimu,
mmwe ebizinga ne bonna ababibeeramu.
11 (T)Leka eddungu n’ebibuga byamu biyimuse amaloboozi gaabyo,
ebyalo Kedali mw’atuula.
Leka abantu b’e Seera bayimbe n’essanyu.
Leka baleekaanire waggulu ku ntikko z’ensozi.
12 (U)Leka Mukama bamuwe ekitiibwa
era balangirire ettendo lye mu bizinga.
13 (V)Mukama, anafuluma okulwana ng’omutabaazi ow’amaanyi,
era ng’omutabaazi ow’amaanyi alijja yeeswanta,
n’okuleekaana ng’alangirira olutalo.
Era aliwangula abalabe be.
Katonda Asuubiza Okuyamba Abantu be
14 “Ebbanga ggwanvu nga siriiko kye ŋŋamba,
nga nsirise neekuumye.
Naye okufaanana ng’omukazi alumwa okuzaala,
nkaaba, mpejjawejja era nzisa ebikkowe.
15 (W)Ndizikiriza ensozi n’obusozi,
egyo emiddo gyakwo gyonna ndi wakugiwotosa.
Era ndikaza ebinywa byabwe byonna
n’emigga ndigifuula ebizinga.
16 (X)Era ndikulembera abantu bange abazibe ba maaso mu kkubo lye batamanyi
n’abayise mbaluŋŋamize mu makubo ge batamanyidde.
Ndifuula ekizikiza okuba omusana mu maaso gaabwe
n’ebifo ebizibu okuyitamu ndibirongoosa.
Ebyo by’ebintu bye ndikola,
sirireka bantu bange.
17 (Y)Naye abo abeesiga bakatonda abalala, ababagamba nti,
‘Mwe bakatonda baffe,’ balikwasibwa ensonyi,
era baligobebwa, mu buswavu obungi.”
Ekibi ky’Eggwanga n’Okubonerezebwa
18 (Z)“Muwulire mmwe bakiggala,
mutunule mmwe bamuzibe, mulabe.
19 (AA)Ani muzibe okuggyako omuweereza wange,
oba kiggala okuggyako omubaka wange gwe ntuma?
Eriyo eyaziba amaaso asinga oyo eyeewaayo gye ndi,
oba omuzibe ng’omuweereza wa Mukama?
20 (AB)Olabye ebintu bingi naye tobifuddeko,
amatu go maggule naye tolina ky’owulira.”
21 (AC)Kyasanyusa Mukama olw’obulungi obw’obutuukirivu bwe
okukuza amateeka ge
n’okugassaamu ekitiibwa.
22 (AD)Naye bano, bantu be,
ababbibwa ne banyagibwa bonna
ne basibibwa mu binnya oba abasibibwa mu makomera.
Bafuuka munyago
nga tewali n’omu abanunula,
bafuuliddwa abanyage
nga tewali n’omu agamba nti, “Bateebwe baddeyo.”
23 (AE)Ani ku mmwe anaawuliriza kino,
oba anaafaayo ennyo n’awuliriza mu biro ebigenda okujja?
24 (AF)Ani eyawaayo Yakobo okuba omunyago
ne Isirayiri eri abanyazi?
Teyali Mukama gwe twayonoona?
Ekyo yakikola
kubanga tebaagoberera makubo ge.
Tebaagondera mateeka ge.
25 (AG)Kyeyava abafukako obusungu bwe obubuubuuka
n’obulumi bw’entalo.
Beebungululwa ennimi z’omuliro naye tebaategeera.
Gwabookya naye ne batakissaako mwoyo.
Omulokozi wa Isirayiri Ali Omu Yekka
43 (AH)Naye kaakano bw’atyo bw’ayogera Mukama oyo eyakutonda,
ggwe Yakobo,
eyakukola ggwe Isirayiri:
“Totya kubanga nkununudde,
nakuyita nga mpitira ddala erinnya lyo, oli wange.
2 (AI)Bw’onooyitanga mu mazzi amawanvu
nnaabeeranga naawe,
ne bw’onooyitanga mu migga
tegirikusaanyaawo;
bw’onooyitanga mu muliro
tegukwokyenga,
ennimi z’omuliro tezirikwokya.
3 (AJ)Kubanga nze Mukama Katonda wo,
Katonda Omutukuvu owa Isirayiri; Omulokozi wo.
Mpayo Misiri ggwe osobole okuteebwa,
era Kuusi ne Seba mbiwaayo gwe ofune emirembe gyo.
4 (AK)Kubanga oli wa muwendo gye ndi, ow’ekitiibwa,
era kubanga nkwagala,
ndiwaayo abasajja ku lulwo
mpeeyo n’abantu ku lw’obulamu bwo.
5 (AL)Totya, kubanga nze ndi nawe,
ndireeta ezzadde lyo okuva ebuvanjuba
era nkukuŋŋaanye okuva ebugwanjuba.
6 (AM)Ndigamba obukiikakkono nti, ‘Waayo b’olina,’
n’obukiikaddyo nti, ‘Tobagaanira.’
Leeta batabani bange okuva ewala
ne bawala bange okuva ku nkomerero y’ensi.
7 (AN)Buli muntu yenna ayitibwa erinnya lyange,
gwe natonda olw’ekitiibwa kyange,
gwe nakola gwe natonda.”
Eggwanga erirondeddwa nga Omujulirwa
8 (AO)Fulumya abo abalina amaaso naye nga tebalaba,
abalina amatu naye nga tebawulira.
9 (AP)Amawanga gonna ka gakuŋŋaane
n’abantu bajje.
Ani ku bo eyali ayogedde ku bintu bino?
Ani ku bo eyali alangiridde ebyaliwo?
Leka baleete abajulizi okukakasa nti baali batuufu
abawulira bagambe nti, “Ddala bwe kiri.”
10 (AQ)“Muli bajulirwa bange,” bw’ayogera Mukama,
“omuweereza wange gwe nalonda:
mulyoke mummanye, munzikirize,
mutegeere nga Nze wuuyo:
Tewali Katonda eyansooka
era teriba mulala alinzirira.
11 (AR)Nze, Nze mwene, nze Mukama;
okuggyako nze tewali Mulokozi.
12 (AS)Nze naleeta okwolesebwa ne nangirira ne ndokola;
nze so si katonda mulala mugwira mu mmwe.
Muli bajulirwa bange,” bw’ayogera Mukama.
13 (AT)“Weewaawo, okuva mu nnaku ez’edda Nze Nzuuyo;
tewali n’omu ayinza okuwonya omuntu mu mukono gwange.
Kye nkola ani ayinza okukikyusa?”
14 (AU)Bw’ati bw’ayogera Mukama,
Omununuzi wammwe, Omutukuvu wa Isirayiri nti,
“Ku lwammwe nditumya e Babulooni,
ndeetere ab’e Babulooni bonna nga bawambe
mu byombo ebyabeewanya.
15 Nze Mukama, Omutukuvu wammwe,
Omutonzi wa Isirayiri, Kabaka wammwe.”
16 (AV)Bw’ati bw’ayogera Mukama,
oyo eyakola ekkubo mu nnyanja,
n’oluguudo mu mazzi amangi ennyo,
17 (AW)eyaleetera amagaali, n’embalaasi n’eggye, n’abaali bazze okubayamba,
byonna awamu okugwa omwo,
ne bitaddamu kusituka, nga bizikiridde,
nga bikomye ng’akatambi akabadde kaaka:
18 “Mwerabire eby’emabega,
so temulowooza ku by’ayita.
19 (AX)Laba, nkola ekintu ekiggya!
Kaakano kitandise okulabika, temukiraba?
Nkola oluguudo mu ddungu
ne ndeeta emigga mu lukoola.
20 (AY)Ensolo ez’omu nsiko zinzisaamu ekitiibwa,
ebibe n’ebiwuugulu;
kubanga nze ngaba amazzi mu ddungu,
n’emigga mu lukoola,
okunywesa abantu bange, abalonde bange,
21 (AZ)abantu be nnekolera
balangirire ettendo lyange.
22 (BA)“So tonkowodde ggwe, Yakobo,
era teweekooyeza ggwe Isirayiri.
23 (BB)Tondeetedde ndiga ey’ebiweebwayo ebyokebwa,
wadde okunzisaamu ekitiibwa ne ssaddaaka zo.
Sikukaluubirizanga nga nkusaba ebiweebwayo ebyempeke
wadde okukukooya n’obubaane.
24 (BC)Tondeeteddeeyo bubaane buwunya kawoowo
wadde okunzikusa n’amasavu ga ssaddaaka zo,
naye onkoyesezza n’ebibi byo,
era n’onteganya n’obutali butuukirivu bwo.
25 (BD)“Nze, Nze mwene,
nze wuuyo asangula ebyonoono byo ku lwange nze,
so sirijjukira bibi byo.
26 (BE)Nzijukiza eby’edda, tuwoze ffembi,
jjangu ensonga tuzoogereko fembi,
yogera ebiraga nga toliiko musango.
27 (BF)Kitaawo eyasooka yasobya,
abakulembeze bo baanjemera.
28 (BG)Kyendiva ndiswaza abakungu ba yeekaalu yo,
era ndiwaayo Yakobo azikirizibwe
ne Isirayiri aswazibwe.”
Isirayiri Eyalondebwa
44 (BH)“Naye kaakano ggwe Yakobo omuweereza wange, wuliriza,
ggwe Isirayiri gwe nalonda.
2 (BI)Bw’ati bw’ayogera Mukama oyo,
eyakutonda era eyakubumba mu lubuto,
ajja kukuyamba.
Totya ggwe Yakobo,[a] omuweereza wange,
ggwe Yesuruni gwe nalonda.
3 (BJ)Kubanga ndifuka amazzi ku ttaka
eririna ennyonta n’enzizi ku ttaka ekkalu.
Ndifuka Omwoyo wange ku zadde lyo,
era n’omukisa gwange ku bazzukulu bo.
4 (BK)Era balimera ng’omuddo ku mabbali g’enzizi,
babe ng’emiti egiri ku mabbali g’emigga.
5 (BL)Omu aligamba nti, ‘Nze ndi wa Mukama,’
n’omulala ne yeeyita erinnya lya Yakobo,
n’omulala ne yeewandiikako nti, ‘Wa Mukama,’
ne yeetuuma Isirayiri.
6 (BM)“Bw’ati bw’ayogera Mukama kabaka wa Isirayiri era Omununuzi we,
Mukama Katonda ow’Eggye:
Nze w’olubereberye era nze nkomererayo
era tewali Katonda mulala we ndi.
7 (BN)Ani afaanana nga nze,
akirangirire,
eyali asobola okumanya n’alangirira ebigenda okubaawo
okuviira ddala ku ntandikwa?
Leka batubuulire ebigenda okubaawo.
8 (BO)Temutya wadde okuggwaamu amaanyi.
Saakirangirira ne ntegeeza ebigenda okujja?
Mmwe bajulirwa bange.
Eriyo Katonda omulala okuggyako nze? Nedda.
Tewali Lwazi lulala,
sirina lwe mmanyi.”
9 (BP)Abo abakola bakatonda abakole n’emikono tebaliimu nsa,
era ebyo bye basanyukira okukola tebirina kye bigasa.
Abajulirwa baabwe tebalaba so tebalina kye bamanyi,
balyoke bakwatibwe ensonyi.
10 (BQ)Ani akola Katonda omubajje oba asaanuusa ekifaananyi ekyole ekitaliiko kye kiyamba?
11 (BR)Laba ye ne banne balikwatibwa ensonyi.
N’ababazzi nabo bantu buntu.
Leka bonna bakuŋŋaane, banjolekere; balikwatibwa ensonyi n’entiisa.
Ensonyi ziribatta bonna era bagwemu entiisa.
12 (BS)Omuweesi akwata ekitundu ky’ekyuma
n’akiyisa mu manda, agaliko omuliro.
Akikolako n’akitereeza n’ennyondo mu maanyi ge.
Enjala emuluma,
n’aggwaamu amaanyi,
tanywa mazzi era akoowa.
13 (BT)Omubazzi akozesa olukoba okupima olubaawo
era n’alamba n’ekkalaamu.
Akinyiriza ne landa,
n’akiramba kyonna n’ekyuma ekigera,
n’akikolamu ekifaananyi ky’omuntu ng’omuntu bw’afaanana,
kiryoke kiteekebwe mu nnyumba.
14 Atema emivule oba n’addira enzo oba omuyovu n’agusimba
oba n’aguleka gukule n’emiti mu kibira,
oba n’asimba enkanaga,
enkuba n’egikuza.
15 (BU)Abantu bagukozesa ng’enku,
ezimu n’azitwala n’azikozesa okukuma omuliro ne yeebugumya.
Akuma omuliro n’afumba emigaati.
Naye ekitundu ekirala akikolamu katonda n’amusinza,
akola ekifaananyi ekikole n’emikono n’akivuunamira.
16 Ekitundu ky’olubaawo akyokya mu muliro,
ekitundu ekirala akyokesa ennyama
n’agirya n’akutta.
Ayotako n’abuguma nga bw’agamba nti,
“Mbugumye, omuliro ngutegedde!”
17 (BV)Ekitundu ekisigaddewo akikolamu katonda,
ekifaananyi ekikole n’emikono,
era n’akivuunamira n’akisinza n’akyegayirira n’agamba nti,
“Mponya, kubanga ggwe katonda wange.”
18 (BW)Tebaliiko kye bamanyi so tebaliiko kye bategeera,
amaaso gaabwe gazibye n’okuyinza ne batayinza kulaba,
n’okutegeera ne batayinza kutegeera.
19 (BX)Tewali n’omu ayimirira n’alowooza,
tewali n’omu amanyi wadde ategeera okugamba nti,
“Ekimu ekyokubiri ekyakwo nkyokezza mu muliro,
era ne nfumba n’obugaati ku manda gaakyo,
njokezzaako n’ennyama n’engirya.
Ekitundu kyakyo kifuuse eky’omuzizo?
Nvuunamire ekisiki ky’omuti?”
20 (BY)Alya vvu. Omutima gwe gumulimbalimba,
tasobola kwerokola wadde okwebuuza nti,
“Kino ekiri mu mukono gwange ogwa ddyo si bulimba?”
Mukama, Omutonzi era Omulokozi
21 (BZ)“Jjukira ebintu bino, ggwe Yakobo;
oli muweereza wange ggwe Isirayiri.
Nze nakubumba, oli muweereza wange,
ggwe Isirayiri sirikwerabira.
22 (CA)Ebyonoono byo mbyezeewo n’embisenda ng’ekire, n’ebibi byo ne mbyerawo ng’olufu olw’omu makya. Komawo gye ndi kubanga nakununula.”
23 (CB)Yimba n’essanyu ggwe eggulu
kubanga ekyo Mukama yakikoze.
Muleekaane n’essanyu mmwe abali wansi ku nsi.
Muyimbe mmwe ensozi, mmwe ebibira na buli muti ogulimu.
Mukama anunudde Yakobo
era yeegulumiriza mu Isirayiri.
Yerusaalemi kya kuzzibwawo
24 (CC)“Bw’ati bw’ayogera Mukama Omulokozi wo,
eyakutondera mu lubuto.
“Nze Mukama,
eyatonda ebintu byonna,
eyabamba eggulu nzekka,
eyayanjuluza ensi obwomu,
25 (CD)asazaamu abalaguzi bye balagudde
era abalogo abafuula abasirusiru.
Asaabulula eby’abagezi
n’afuula bye balowoozezza okuba eby’obusirusiru.
26 (CE)Anyweza ekigambo ky’omuweereza we
n’atuukiriza obubaka bwa babaka bange.
“Ayogera ku Yerusaalemi nti, ‘Kirituulibwamu,’
ne ku bibuga bya Yuda nti, ‘Birizimbibwa,’
ne ku bifo ebyazika nti, ‘Ndibizzaawo.’
27 Agamba amazzi g’obuziba bwe nnyanja nti, ‘Kalira,
era ndikaliza emigga gyo.’
28 (CF)Ayogera ku Kuulo nti, ‘Musumba wange
era alituukiriza bye njagala byonna.’
Alyogera ku Yerusaalemi nti, ‘Kizimbibwe,’
ne ku yeekaalu nti, ‘Emisingi gyayo gizimbibwe.’ ”
45 (CG)“Bw’ati Mukama bw’agamba Kuulo gwe yafukako amafuta,
oyo gwe mpadde amaanyi mu mukono gwe ogwa ddyo
okujeemulula amawanga mu maaso ge
era n’okwambula bakabaka ebyokulwanyisa byabwe,
okuggulawo enzigi ezimuli mu maaso,
emiryango eminene gireme kuggalwawo.
2 (CH)Ndikukulembera
ne ntereeza ebifo ebigulumivu.
Ndimenyaamenya emiryango egy’ebikomo
ne ntemaatema ebisiba eby’ekyuma.
3 (CI)Era ndikuwa obugagga obwakwekebwa mu bifo ebyekusifu
era n’ebintu ebyakwekebwa mu bifo ebyekyama
olyoke omanye nga nze Mukama,
Katonda wa Isirayiri akuyitira ddala erinnya lyo.
4 (CJ)Ku lwa Yakobo omuweereza wange ne ku lwa Isirayiri omulonde wange
kyenvudde nkuyita erinnya,
ne nkuwa ekitiibwa
wadde nga tonzisaako mwoyo.
5 (CK)Nze Mukama, tewali mulala.
Tewali katonda mulala wabula nze.
Ndikuwa amaanyi
wadde nga tonzisaako mwoyo,
6 (CL)balyoke bamanye nga okuva enjuba gy’eva okutuuka gyegenda
tewali mulala wabula nze.
Nze Mukama,
tewali mulala.
7 (CM)Nze nteekawo ekitangaala
ne ntonda ekizikiza.
Nze ndeeta okukulaakulana n’okubonaabona.
Nze Mukama akola ebyo byonna.
8 (CN)“Mmwe eggulu eriri waggulu,
mutonnyese obutuukirivu.
Ebire bitonnyese obutuukirivu.
Ensi egguke n’obulokozi bumeruke,
ereete obutuukirivu.
Nze Mukama nze nagitonda.
9 (CO)“Zimusanze oyo ayomba n’omutonzi we!
Zimusanze oyo oluggyo mu nzigyo z’ensi.
Bbumba ki eribuuza oyo alibumba nti,
‘Obumba ki?’
Oba omulimu gwo okukubuuza nti,
‘Aliko emikono?’
10 Zimusanze oyo agamba kitaawe nti,
‘Wazaala ki?’
Oba nnyina nti,
‘Kiki ky’ozadde?’
11 (CP)“Bw’ati bw’ayogera Mukama Omutukuvu wa Isirayiri
era Omutonzi we nti,
‘Lwaki mumbuuza ebigenda okujja,
oba ebikwata ku baana bange,
oba okumpa ebiragiro ku bikwata ku mirimu gy’emikono gyange?’
12 (CQ)Nze nakola ensi ne ngitonderamu abantu. Emikono gyange gyennyini gye gyayanjuluza eggulu, era ne ndagira eby’omu bwengula byonna bitondebwewo.
13 (CR)Ndiyimusa Kuulo mu butuukirivu
era nditereeza amakubo ge gonna.
Alizimba ekibuga kyange
n’asumulula abantu bange abaawaŋŋangusibwa;
naye si lwa mpeera oba ekirabo,”
bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye.
14 (CS)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“Ebiva mu Misiri n’ebyamaguzi bya Kuusi birireetebwa,
n’abo Abasabeya abawanvu
balijja
babeere abaddu bo,
bajje nga bakugoberera
nga basibiddwa mu njegere.
Balikuvuunamira bakwegayirire nga bagamba nti,
‘Ddala Katonda ali naawe, ye Katonda yekka, tewali Katonda mulala.’ ”
15 (CT)Ddala oli Katonda eyeekweka,
ggwe Katonda wa Isirayiri era Omulokozi we.
16 (CU)Bonna abakola bakatonda abakole n’emikono baliswazibwa,
balikwatibwa ensonyi, bonna balikwata ekkubo limu nga baswadde.
17 (CV)Naye Isirayiri alirokolebwa Mukama
n’obulokozi obutaliggwaawo.
Temuukwatibwenga nsonyi,
temuuswalenga emirembe gyonna.
18 (CW)Kubanga bw’atyo bw’ayogera Mukama eyatonda eggulu,
ye Katonda eyabumba ensi n’agikola.
Ye yassaawo emisingi gyayo.
Teyagitonda kubeera nkalu
naye yagikola etuulwemu.
Ye yagamba nti, “Nze Mukama so tewali mulala.
19 (CX)Soogereranga mu kyama,
oba mu nsi eyeekizikiza.
Sigambanga bazzukulu ba Yakobo nti,
‘Munoonyeze bwereere.’
Nze Mukama njogera mazima,
mbuulira ebigambo eby’ensonga.
20 (CY)“Mwekuŋŋaanye mujje,
mukuŋŋaane, mmwe abasigaddewo mu mawanga.
Tebalina magezi abo abasitula ebifaananyi ebibajje,
abasaba eri katonda atasobola kubalokola.
21 (CZ)Mukuŋŋaane muleete ensonga zammwe.
Muteese muyambagane.
Ani eyayogera nti kino kiribaawo?
Ani eyakyogerako edda?
Si nze Mukama?
Tewali Katonda mulala wabula nze,
Katonda omutuukirivu era Omulokozi,
tewali mulala wabula nze.
22 (DA)“Mudde gye ndi, mulokoke,
mmwe mwenna abali ku nkomerero z’ensi,
kubanga nze Katonda so tewali mulala.
23 (DB)Neerayiridde,
ekigambo kivudde mu kamwa kange mu mazima
so tekiriggibwawo mu maaso gange.
Buli vviivi lirifukamira,
na buli lulimi lulirayira!
24 (DC)Balinjogerako nti, ‘Mu Mukama mwokka mwe muli obutuukirivu n’amaanyi.’ ”
Bonna abaamusunguwalira
balijja gy’ali nga baswadde.
25 (DD)Naye mu Mukama ezzadde lyonna erya Isirayiri mwe liriweerwa obutuukirivu
era mwe liryenyumiririza.
Bakatonda b’e Babulooni
46 (DE)Beri avunnama,
Nebo akutamye!
Ebifaananyi bya bakatonda baabwe biteekeddwa ku nsolo ez’omu nsiko, era ne ku nte.
Ebifaananyi bya bakatonda baabwe migugu mizito ddala ku ndogoyi ezikooye.
2 (DF)Bikutamye byonna bivuunamye.
Tebiyinza kuyamba ku mbeera,
byo byennyini bitwaliddwa mu busibe.
3 (DG)“Mumpulire mmwe, ennyumba ya Yakobo
n’abantu bonna abasigaddewo mu nnyumba ya Isirayiri.
Mmwe be nnalera okuva lwe mwava mu lubuto,
be nasitula okuva lwe mwazaalibwa.
4 (DH)Ne mu bukadde bwammwe nzija kusigala nga ye nze Nzuuyo.
Ne bwe muliba mulina envi nnaabasitulanga.
Nze nabakola era nze nnaabawekanga.
Nnaabasitulanga era nnaabanunulanga.
5 (DI)“Ani gwe mulinfaananya era gwe mulinnenkanya
era gwe mulingerageranyaako tufaanane?
6 (DJ)Eriyo abaggya zaabu ennyingi mu nsawo zaabwe
ne bapima ne ffeeza ku minzaani.
Olwo ne bapangisa omuweesi wa zaabu n’agiweesaamu katonda waabwe,
ne bagwa wansi ne basinza.
7 (DK)Katonda waabwe ne bamusitulira ku kibegabega, ne bamuwa ekifo w’anaayimiriranga.
N’ayimirira awo,
n’atava mu kifo kye.
Oli ne bw’amukaabirira tayinza kumuddamu,
tayinza kumuwonya mu mitawaana gye.
8 (DL)“Mujjukire kino mmwe, mulowooze mu mitima gyammwe.
Mwekube mu kifuba, mmwe abajeemu.
9 (DM)Mujjukire ebigambo ebyasooka eby’edda ennyo.
Kubanga nze Katonda, teri mulala.
Nze Katonda, teri ali nga nze;
10 (DN)alanga ku ntandikwa ebigenda okubaawo.
Okuva ku mirembe egy’edda ennyo,
nalanga ebintu ebitannabaawo, nga ŋŋamba nti, ‘Enteekateeka zange zijja kubaawo
era ndituukiriza byonna bye nategeka.’
11 Mpita ekinyonyi ekikwakkula ebiramu ebirala.
Omusajja[b] ava ebuvanjuba mu nsi eyewala, anaakola bye njagala.
Weewaawo njogedde era nnaatuukiriza.
Nga bwe nategeka bwe nnaakola.
12 (DO)Mumpulirize mmwe abalina emitima emikakanyavu,
abakyama ennyo ne bava mu kkubo ly’obutuukirivu.
13 (DP)Nsembeza kumpi obutuukirivu bwange,
tebuli wala.
N’obulokozi bwange tebuulwewo.
Ndireeta obulokozi mu Sayuuni,
ne nzizaawo ekitiibwa kyange mu Isirayiri.”
Babulooni Esalirwa Omusango
47 (DQ)“Omuwala wa Babulooni embeerera,
kakkana wansi otuule mu nfuufu,
tuula wansi awatali ntebe ya bwakabaka,
ggwe omuwala w’Abakaludaaya.
Ekibuga ekitawangulwangako.
Toliddayo nate kuyitibwa kyatika oba nnalulungi.
2 (DR)Ddira olubengo ose obutta.
Ggyako akatimba ku maaso,
situla ku ngoye z’oku magulu
oyite mu mazzi.
3 (DS)Obwereere bwo bulibikkulwa;
obusungu bwo bulyeraga.
Nzija kuwoolera eggwanga;
tewali muntu yenna gwe ndirekawo.”
4 (DT)Omununuzi waffe Mukama Katonda ow’Eggye lye linnya lye,
ye Mutukuvu wa Isirayiri.
5 (DU)“Tuula mu kasirise
yingira mu kizikiza ggwe omuwala w’Abakaludaaya,
tebakyakuyita kabaka omukazi
afuga obwakabaka obungi.
6 (DV)Nnali nsunguwalidde abantu bange,
ne nyonoonesa omugabo gwange.
Nabawaayo mu mikono gyo,
n’otobasaasira n’akatono.
N’abakadde wabateekako ekikoligo ekinene ennyo.
7 (DW)Wayogera nti,
‘Nzija kubeera kabaka omukazi emirembe gyonna,’
naye n’otolowooza ku bintu bino
wadde okulowooza ku kyali kigenda okubaawo.
8 (DX)“Kale nno kaakano wuliriza kino,
ggwe awoomerwa amasanyu
ggwe ateredde mu mirembe gyo,
ng’oyogera mu mutima gwo nti,
‘Nze ndiwo era tewali mulala wabula nze.
Siribeera nnamwandu
wadde okufiirwa abaana.’
9 (DY)Ebintu bino byombi birikutuukako mangu nnyo mu lunaku lumu,
eky’okufiirwa abaana
n’okufuuka nnamwandu.
Birikutuukako mu kigera kyabyo ekituufu,
newaakubadde obulogo bwo nga bungi okuyitirira,
n’eby’obufumu byo nga bigenze wala.
10 (DZ)Weesiga obutali butuukirivu bwo,
n’olowooza nti, ‘Siriiko annondoola.’
Amagezi go era n’okumanya kwo byakuwabya,
bwe wayogera nti, ‘Nze ndiwo, era teri mulala wabula nze.’
11 (EA)Kyokka ensasagge erikujjira
era tolimanya ngeri yakugyeggyako;
n’okuzikirira kw’otoliyinza kweggyako na muwendo gwa nsimbi;
akabi k’otolirabirawo kalikutuukako amangu ddala.
12 (EB)“Weeyongere nno n’obulogo bwo
n’obufumu bwo obwayinga obungi,
bwe wanyiikiriramu okuva mu buto bwo.
Oboolyawo olibaako kyoggyamu,
oboolyawo olikolawo ekyobulabe.
13 (EC)Amagezi ago g’ofuna gakukooya bukooya.
Abalagulira ku munyeenye basembera,
n’abo abakebera emmunyeenye,
era aboogera ebiribaawo buli mwezi, babadduukirire mu bigenda okubatuukako.
14 (ED)Laba, bali ng’ebisusunku
era omuliro gulibookya!
Tebalyewonya
maanyi ga muliro.
Tewaliiwo manda ga kukubugumya
wadde omuliro ogw’okwota!
15 (EE)Ekyo kye bayinza okukukolera kyokka;
b’obonyeebonye nabo
b’oteganidde okuva mu buto bwo.
Buli muntu alikwata ekkubo lye nga yeeyongera okukola ebibi bye
era tewali n’omu ayinza okukulokola.”
Katonda bye Yayogera Bituukirira
48 (EF)“Muwulire kino, mmwe ennyumba ya Yakobo,
abayitibwa erinnya lya Isirayiri,
era abaava mu nda ya Yuda.
Mmwe abalayirira mu linnya lya Mukama,
era abaatula Katonda wa Isirayiri,
naye si mu mazima wadde mu butuukirivu.
2 (EG)Kubanga beeyita ab’ekibuga ekitukuvu,
abeesiga Katonda wa Isirayiri,
Mukama Katonda ow’Eggye lye linnya lye.
3 (EH)Okuva ku ntandikwa, nayasanguza ebyali bigenda okubaawo;
byava mu kamwa kange ne mbyogera.
Amangwago ne tubikola ne bituukirira.”
4 (EI)Kubanga namanya obukakanyavu bwammwe;
ebinywa by’ensingo nga bikakanyavu ng’ekyuma;
ekyenyi ng’ekikomo.
5 (EJ)Nabamanyisizaawo edda ebyali bigenda okujja nga tebinnabaawo,
muleme kugamba nti,
“Bakatonda bange be baabikola:
Ekifaananyi kyange ekyole
n’ekifaananyi ekisaanuuse bye byakikola.”
6 Mulabe ebintu bino nabibagamba dda,
era temubikkirize?
“Okuva leero nzija kubabuulira ku bintu ebiggya ebigenda okujja,
eby’ekyama bye mutawulirangako.
7 Mbikola kaakano,
so si ekiseera ekyayita:
mwali temubiwulirangako mu biseera eby’emabega
si kulwa nga mugamba nti, ‘Laba nnali mbimanyi.’
8 (EK)Towulirangako wadde okutegeera.
Okuva edda n’edda okutu kwo tekuggukanga.
Kubanga namanya nti wali kyewaggula,
okuva ku kuzaalibwa kwo wayitibwa mujeemu.
9 (EL)Olw’erinnya lyange
ndwawo okusunguwala. Olw’ettendo lyange
ndwawo okukusunguwalira nneme okukuzikiriza.
10 (EM)Laba nkugezesezza naye si nga ffeeza.
Nkugezesezza mu kirombe ky’okubonaabona.
11 (EN)Ku lwange nze,
ku lwange nze ndikikola. Erinnya lyange nga livumiddwa.
Ekitiibwa kyange sirikiwa mulala.
Isirayiri Enunulibwa
12 (EO)“Mpuliriza ggwe Yakobo.
Isirayiri gwe nalonda.
Nze Nzuuyo.
Nze ow’olubereberye era nze ow’enkomerero.
13 (EP)Omukono gwange gwe gwateekawo omusingi gw’ensi,
era omukono gwange ogwa ddyo ne gwanjuluza eggulu.
Bwe mbiyita
byombi bijja.
14 (EQ)“Mwekuŋŋaanye mwenna
mujje muwulire!
Ani ku bo eyali alangiridde ebintu bino?
Mukama amwagala; ajja kutuukiriza ekigendererwa kye e Babulooni,
era omukono gwe gwolekere Abakaludaaya.[c]
15 (ER)Nze; Nze nzennyini nze njogedde.
Nze namuyita.
Ndimuleeta
era alituukiriza omulimu gwe.
16 (ES)“Munsemberere muwulirize bino.
“Okuva ku lubereberye saayogera mu kyama.
Nze mbaddewo okuviira ddala ku ntandikwa.”
Era kaakano Mukama Ayinzabyonna
n’Omwoyo we antumye.
17 (ET)Bw’atyo bw’ayogera Mukama, Omununuzi wammwe,
Omutukuvu wa Isirayiri nti,
“Nze Mukama Katonda wo
akuyigiriza okukulaakulana,
akukulembera mu kkubo ly’oteekwa okutambuliramu.
18 (EU)Singa kale wali owulirizza ebiragiro byange!
Wandibadde n’emirembe egikulukuta ng’omugga!
Era n’obutuukirivu bwo ng’amayengo g’ennyanja,
19 (EV)ezzadde lyo lyandibadde ng’omusenyu
abaana bo ng’obuweke bwagwo.
Erinnya lyabwe teryandivuddewo
wadde okuzikirira nga wendi.”
20 (EW)Muve mu Babulooni,
mudduke Abakaludaaya.
Mugende nga mutegeeza amawulire gano n’essanyu.
Mugalangirire wonna wonna
n’okutuusa ku nkomerero y’ensi.
Mugambe nti, “Mukama anunudde omuddu we Yakobo!”
21 (EX)So tebaalumwa nnyonta bwe yabayisa mu malungu.
Yabakulukusiza amazzi mu lwazi:
yayasa olwazi
amazzi ne gavaamu.
22 (EY)“Tewali mirembe eri aboonoonyi,” bw’ayogera Mukama.
Omuweereza wa Mukama
49 (EZ)Mumpulirize mmwe ebizinga,
mmwe muwulire kino amawanga agali ewala.
Nnali sinazaalibwa Mukama n’ampita.
Bwe nnali nkyali mu lubuto lwa mmange n’ayatula erinnya lyange.
2 (FA)Yakola akamwa kange ng’ekitala eky’obwogi,
nankweka mu kisiikirize ky’omukono gwe.
Yanfuula akasaale akazigule
era nankweka mu mufuko gwe.
3 (FB)Era n’aŋŋamba nti, “Ggwe muweereza wange, Isirayiri,
mu ggwe mwe ndiweerwa ekitiibwa.”
4 (FC)Naye ne njogera nti, “Nteganidde bwereere,
amaanyi gange ng’amalidde bwereere era gafudde busa.
Kyokka ate Mukama yannamula,
n’empeera yange eri ne Katonda wange!”
5 (FD)Era kaakano Mukama ayogera,
oyo eyammumba mu lubuto okubeera omuweereza we,
okukomyawo Yakobo gy’ali
era n’okukuŋŋaanya Isirayiri gy’ali.
Kubanga ndi wa kitiibwa mu maaso ga Mukama
era Katonda wange afuuse amaanyi gange.
6 (FE)Mukama agamba nti,
“Eky’okubeera omuweereza wange
n’okuzza amawanga ga Yakobo
era n’okukomyawo abantu ba Isirayiri kintu kitono nnyo.
Nzija kukufuula ekitangaala eri abamawanga,
olyoke oleete obulokozi bwange eri ensi yonna.”
7 (FF)Bw’ati bw’ayogera Mukama,
Omununuzi era Omutukuvu wa Isirayiri,
eri oyo eyanyoomebwa n’akyayibwa amawanga,
eri omuweereza w’abafuzi nti,
“Bakabaka baliyimirira ne bakuwa ekitiibwa,
abalangira balikulaba ne bakuvuunamira.
Kino kiribaawo ku lwa Mukama, omwesigwa Omutukuvu wa Isirayiri,
oyo akulonze.”
Isirayiri Azzibwawo
8 (FG)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“Ndikwanukula mu biro mwe ndisiimira,
ku lunaku olw’obulokozi ndikuyamba.
Ndikukuuma ne nkufuula endagaano eri abantu,
muliddayo ku ttaka lyammwe ne muddizibwa ebitundu byammwe ebyazika,
9 (FH)nga mugamba abasibe nti, ‘Muveemu,’
n’abo abali mu kizikiza nti, ‘Mube n’eddembe!’
“Banaaliranga ku mabbali g’ekkubo,
ne ku ntikko z’obusozi bwonna obwereere banasangangako omuddo.
10 (FI)Tebaalumwenga njala newaakubadde ennyonta,
ebbugumu ly’omu ddungu teriibakwatenga newaakubadde omusana okubookya.
Oyo abakwatirwa ekisa alibakulembera,
anaabatwalanga awali enzizi z’amazzi.
11 (FJ)Era ndifuula ensozi zange zonna okuba amakubo
era enguudo zange ennene zirigulumizibwa.
12 (FK)Laba, abantu bange balidda okuva ewala,
abamu, baliva mu bukiikakkono
n’abalala ebuvanjuba, n’abalala bave mu nsi ye Sinimu.”
13 (FL)Yogerera waggulu n’essanyu, era jjaguza ggwe ensi.
Muyimbe mmwe ensozi!
Kubanga Mukama agumya abantu be era alisaasira abantu be ababonyaabonyezebwa.
14 Naye Sayuuni n’ayogera nti, “Mukama andese,
era Mukama wange anneerabidde.”
15 (FM)“Nnyina w’omwana ayinza okwerabira omwana we gw’ayonsa,
n’atasaasira mwana eyava mu lubuto lwe?
Weewaawo, wadde ng’ayinza okumwerabira
naye nze sirikwerabira.
16 (FN)Laba, nkuwandiise mu bibatu by’engalo zange;
ebisenge byo binaabeeranga mu maaso gange.
17 (FO)Abaana bo banguwa okujja era abakuzimba balisukkuluma ku bakuzikiriza
era abo abaakuzikirizanga balikuvaamu bagende.
18 (FP)Yimusa amaaso go otunule enjuuyi zonna olabe.
Abantu bo beekuŋŋaanya bajja gy’oli.
Nga bwe ndi Katonda omulamu,
balikwesiimisa, obambale ng’ebikomo n’emidaali ebyebbeeyi
ng’omugole bw’ayambala malidaadi,” bw’ayogera Mukama.
19 (FQ)“Wadde nga wazika n’olekebwa awo ensi yo n’ezikirizibwa,
kaakano ojja kubeera mufunda nga toja mu bantu bo,
era abo abakuteganya
banaakubeeranga wala.
20 (FR)Abantu bo abazaalibwa mu buwaŋŋanguse
lumu balyogera ng’owulira nti,
‘Ekifo kino nga kifuuse kifunda bulala;
tuwe ekifo aw’okubeera.’
21 (FS)N’olyoka oyogera mu mutima gwo nti,
‘Ani eyanzaalira abaana bano bonna?
Nafiirwa abaana bange bonna ng’ate ndi mugumba.
Nawaŋŋangusibwa ne nsigala nzekka.
Bano baava ludda wa?
Nasigala nzekka,
naye ate bano, baava wa?’ ”
Okuzzibwawo kwa Isirayiri mu Kitiibwa
22 (FT)Bw’atyo bw’ayogera Mukama Katonda nti, “Laba, ndikolera abamawanga obubonero
era ndiyimusiza abantu ebbendera yange:
era balireeta batabani bo nga babasitulidde mu bifuba
ne bawala bo nga babasitulidde ku bibegabega byabwe.
23 (FU)Era bakabaka be balibeera ba kitammwe babalabirire,
ne bannabagereka babeere bamaama ababayonsa.
Balivuunama mu maaso go nga batunudde wansi;
balikomba enfuufu y’omu bigere byo.
Olwo lw’olimanya nti nze Mukama,
abo bonna abannindirira n’abansuubiriramu tebalikwatibwa nsonyi.”
24 (FV)Omunyago guyinza okuggyibwa ku mutabaazi,
oba omuwambe omutuukirivu okuwona omutabaazi?
25 (FW)Naye bw’ati bw’ayogera Mukama:
“N’oyo eyawambibwa omutabaazi alisumululwa ateebwe,
n’omunyago guggyibwe ku mulabe wo,
kubanga ndiyomba n’oyo ayomba naawe,
era ndirokola mponye abaana bo.
26 (FX)Ndiriisa abakujooga ennyama yaabwe bo.
Era balittiŋŋana batamiire omusaayi gwabwe, nga wayini.
Olwo abalina omubiri bonna bamanye nti nze Mukama Omulokozi wo,
Omununuzi wo,
ow’Amaanyi owa Yakobo.”
Ekibi Kyawukanya Isirayiri ku Katonda
50 (FY)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“Ebbaluwa egoba nnyammwe, kwe namugobera eri ludda wa?
Oba nabatunda eri ani?
Mwatundibwa lwa bikolwa byammwe ebibi;
olw’obutali butuukirivu bwammwe nnyammwe kyeyava agobwa.
2 (FZ)Lwaki bwe najja tewaali muntu n’omu?
Bwe nakoowoola lwaki tewaali muntu n’omu annyanukula?
Omukono gwange gwali mumpi nnyo okukununula?
Mbuliddwa amaanyi agakununula?
Laba nnyinza okwogera obwogezi ennyanja n’ekalira,
emigga ne ngifuula eddungu,
ebyennyanja byamu ne bifa ennyonta,
ne bivunda olw’okubulwa amazzi.
3 (GA)Nyambaza eggulu,
n’ekizikiza ne nkiwa ebibukutu okulibikka.”
4 (GB)Mukama Ayinzabyonna ampadde olulimi
oluyigirizibbwa, mmanye ebigambo ebigumya abo abakooye.
Anzukusa buli nkya,
buli nkya anzukusa okuwulira by’anjigiriza.
5 (GC)Mukama Ayinzabyonna azibudde okutu kwange
ne siba mujeemu.
Sizzeeyo mabega.
6 (GD)N’awaayo omugongo gwange eri abankuba,
n’amatama gange eri abo abankunyuulako ekirevu.
Saakweka maaso gange eri abo abansekerera
n’eri abo abanfujjira amalusu.
7 (GE)Kubanga Mukama Ayinzabyonna anyamba
kyennaava siswazibwa.
Noolwekyo kyenvudde n’egumya
era mmanyi nti siriswazibwa.
8 (GF)Kubanga oyo ampolereza ali kumpi.
Ani alinnumiriza omusango?
Twolekagane obwenyi.
Ani annumiriza?
Ajje annumbe.
9 (GG)Mukama Ayinzabyonna y’anyamba.
Ani alinsalira omusango?
Bonna balikaddiwa bayulike ng’ekyambalo;
ennyenje ziribalya.
10 (GH)Ani ku mmwe atya Mukama,
agondera ekigambo ky’omuweereza we?
Oyo atambulira mu kizikiza,
atalina kitangaala
yeesige erinnya lya Mukama
era yeesigame ku Katonda we.
11 (GI)Naye mmwe mwenna abakoleeza omuliro,
ne mwekoleereza ettaala z’omuliro,
mutambulire mu kitangaala ky’omuliro gwammwe,
ne mu kitangaala kye ttaala ze mukoleezeza.
Naye kino kye munaafuna okuva mu mukono gwange;
muligalamira mu nnaku.
Okukubirizibwa Okwesiga Katonda
51 (GJ)“Mumpulirize,
mmwe abanoonya obutuukirivu, mmwe abanoonya Mukama:
Mutunuulire olwazi lwe mwatemebwako,
n’obunnya bw’ekirombe gye mwasimibwa.
2 (GK)Mulowooze ku Ibulayimu jjajjammwe
ne Saala eyabazaala.
Kubanga we namuyitira yali bw’omu
ne mmuwa omukisa ne mmwaza.
3 (GL)Kubanga ddala Mukama alikubagiza Sayuuni;
akwatirwe ekisa ebifo byakyo byonna ebyazika
era afuule olukoola lwe lwonna okuba Adeni,
n’eddungu libeere ng’ennimiro ya Mukama;
Essanyu n’okujaguza biryoke bibeere omwo,
okwebaza n’amaloboozi ag’okuyimba.
4 (GM)“Mumpulirize, mmwe abantu bange;
era muntegere okutu mmwe ensi yange.
Kubanga etteeka lifuluma okuva gye ndi,
obwenkanya bwange bubeere omusana eri amawanga.
5 (GN)Obutuukirivu bwange
busembera mangu nnyo,
obulokozi bwange buli mu kkubo.
Era omukono gwange gujja kuleeta obwenkanya eri amawanga.
Ebizinga birinnindirira era birindirire n’essuubi omukono gwange okubirokola.
6 (GO)Muyimuse amaaso gammwe eri eggulu,
mutunuulire ensi wansi!
Kubanga eggulu lirivaawo ng’omukka
n’ensi ekaddiwe ng’ekyambalo.
Abagituulamu balifa ng’ensowera.
Naye obulokozi bwange bunaabeereranga emirembe gyonna,
so n’obutuukirivu bwange tebujjulukukenga.
7 (GP)“Mumpulirize,
mmwe abamanyi obutuukirivu,
eggwanga eririna amateeka gange
mu mitima gyammwe.
Temutya kuvumibwa bantu
wadde okukeŋŋentererwa olw’okuyomba kwabwe.
8 (GQ)Kubanga ennyenje ziribalya nga bwe zirya ebyambalo.
N’obuwuka bubalye ng’obulya ebyoya by’endiga.
Naye obutuukirivu bwange bunaabeereranga ennaku zonna.
Obulokozi bwange bunywere emirembe gyonna.”
9 (GR)Zuukuka,
zuukuka oyimuke otuyambe Ayi Mukama Katonda.
Kozesa amaanyi go otuyambe.
Gakozese nga edda.
Si ggwe wuuyo eyatemaatemamu Lakabu obufiififi?
Si ye ggwe eyafumita ogusota?
10 (GS)Si ggwe wuuyo eyakaliza ennyanja,
amazzi ag’obuziba obuwanvu ennyo
ne gafuuka ekkubo
abantu be wanunula bayitewo?
11 (GT)N’abo Mukama be wawonya
balikomawo
ne bajja mu Sayuuni nga bayimba.
Essanyu ery’emirembe n’emirembe liriba nga ngule ku mitwe gyabwe.
Balisanyuka ne bajaguza; ennaku n’okusinda bibadduke.
Mukama Alinunula Abantu be
12 (GU)“Nze, nze mwene, nze nzuuno abawa amaanyi.
Mmwe baani abatya omuntu alifa,
n’omwana w’omuntu ali ng’omuddo,
13 (GV)ne weerabira Mukama Omutonzi wo
eyabamba eggulu,
n’ateekawo n’emisingi gy’ensi,
ebbanga lyonna ne mubeera mu kutya
obusungu bw’abo abakunyigiriza,
oyo eyemalidde mu kuzikiriza?
Kubanga kale buliruddawa obulabe bw’oyo abanyigiriza?
14 (GW)Abo be bawamba ne basibibwa banaatera okuteebwa,
tebalifiira mu bunnya,
era tebalibulwa mmere gye balya.
15 (GX)Kubanga nze Mukama Katonda wo,
asiikuula amayengo g’ennyanja ne gawuluguma:
Mukama ow’Eggye lye linnya lye.
16 (GY)Ntadde ebigambo byange mu kamwa ko,
era nkubisse mu kisiikirize ky’omukono gwange.
Nze nakola eggulu ne nteekawo emisingi gy’ensi;
era nze wuuyo agamba Sayuuni nti,
‘Muli bantu bange!’ ”
Ekikopo ky’Obusungu bwa Mukama
17 (GZ)Zuukuka, zuukuka, oyimirire ggwe Yerusaalemi
eyanywa okuva eri Mukama ekikompe eky’obusungu bwe,
eyanywa n’omaliramu ddala
ekibya ekitagaza.
18 (HA)Ku baana aboobulenzi bonna be yazaala
tewali n’omu wa kumukulembera.
Ku baana bonna aboobulenzi be yakuza
tewali n’omu wa kumukwata ku mukono.
19 (HB)Ebintu bino ebibiri bikuguddeko
ani anaakunakuwalirako?
Okuzika n’okuzikirira, enjala, n’ekitala,
ani anaakubeesabeesa?
20 (HC)Batabani bo bazirise,
bagudde ku buli nsonda y’oluguudo
ng’engabi egudde mu kitimba.
Babuutikiddwa ekiruyi kya Mukama,
n’okunenyezebwa kwa Katonda wo.
21 (HD)Noolwekyo wulira kino ggwe, atamidde naye si lwa mwenge.
22 (HE)Bw’atyo bw’ayogera Mukama Ayinzabyonna,
Katonda wo alwanirira abantu be.
“Laba mbaggyeeko ekikompe kye nabawa
olw’ekiruyi kye nalina, ekyabatagaza.
Temuliddayo
kukinywa nate.
23 (HF)Ndikiteeka mu mikono gy’abo abaababonyaabonya abaabagamba nti,
‘Mugwe wansi mwegolole tubatambulireko.’
Emigongo gyammwe gibe ng’ettaka,
ng’oluguudo olw’okulinnyirira.”
Katonda Alizzaawo Yerusaalemi
52 (HG)Zuukuka, zuukuka,
oyambale amaanyi go, ggwe Sayuuni.
Ggwe Yerusaalemi ekibuga ekitukuvu,
teekako ebyambalo byo ebitemagana.
Kubanga okuva leero mu miryango gyo
temukyayingira mu atali mukomole n’atali mulongoofu.
2 (HH)Weekunkumuleko enfuufu,
yimuka otuule ku ntebe ey’obwakabaka ggwe Yerusaalemi.
Weesumulule enjegere mu bulago bwo,
ggwe Omuwala wa Sayuuni eyanyagibwa.
3 (HI)Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“Mwatundibwa bwereere
era mujja kununulibwa awatali kusasula nsimbi.”
4 (HJ)Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama Ayinzabyonna nti,
“Omulundi ogwasooka abantu bange baagenda e Misiri okusengayo,
oluvannyuma, Omwasuli n’abajooga.
5 (HK)“Kaakano kiki ate kye ndaba wano?
“Kubanga abantu bange baatwalirwa bwereere
era abo ababafuga babasekerera,”
bw’ayogera Mukama.
“Erinnya lyange
livvoolebwa olunaku lwonna.
6 (HL)Mu biseera ebijja abantu bange balimmanya.
Olunaku lujja lwe balitegeera nga nze nakyogera.
Weewaawo, Nze.”
7 (HM)Nga birungi ku nsozi ebigere by’oyo aleeta amawulire amalungi,
alangirira emirembe,
aleeta ebigambo ebirungi,
alangirira obulokozi,
agamba Sayuuni nti, “Katonda wo afuga.”
8 (HN)Wuliriza!
Amaloboozi g’abakuumi bo gawulikika, gayimusiddwa.
Bonna awamu bajaguza olw’essanyu.
Kubanga okudda kwa Mukama mu Sayuuni balikulaba n’amaaso gaabwe.
9 (HO)Mubaguke okuyimba ennyimba ez’essanyu mwenna,
mmwe ebifo bya Yerusaalemi ebyazika.
Kubanga Mukama asanyusizza abantu be,
anunudde Yerusaalemi.
10 (HP)Mukama aliraga omukono gwe omutukuvu eri amawanga gonna,
bagulabe.
Enkomerero z’ensi zonna
ziriraba obulokozi bwa Katonda waffe.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.