Bible in 90 Days
Emitawaana Egiva mu Kukwana Omukazi Omwenzi
7 (A)Mutabani nyweeza ebigambo byange,
era okuumenga ebiragiro byange.
2 (B)Kwata ebiragiro byange obeere mulamu,
n’amateeka gange ogakuume ng’emmunye y’eriiso lyo;
3 (C)togalekanga kuva mu ngalo zo,
gawandiike ku mutima gwo.
4 Amagezi gatwalire ddala nga mwannyoko,
n’okutegeera, ng’owooluganda ow’omu kika kyo.
5 (D)Binaakuwonyanga omukazi omwenzi,
omukazi omutambuze awaanawaana n’ebigambo ebisendasenda.
6 Lumu nnali nnyimiridde
ku ddirisa ly’ennyumba yange.
7 (E)Ne ndaba mu bavubuka abatoototo,
omulenzi atalina magezi,
8 ng’ayita mu luguudo okumpi n’akafo k’omukazi omwenzi,
n’akwata ekkubo eridda ku nnyumba y’omukazi oyo,
9 (F)olw’eggulo ng’obudde buzibye,
ekizikiza nga kikutte.
10 Awo omukazi n’ajja okumusisinkana
ng’ayambadde nga malaaya, ng’ajjudde ebirowoozo eby’obukaba mu mutima gwe.
11 (G)Omukazi omukalukalu,
atambulatambula ennyo atabeerako waka,
12 (H)wuuyo mu luguudo, wuuyo mu bifo ebikuŋŋaanirwamu,
mu buli kafo konna ng’ateega!
13 (I)N’amuvumbagira, n’amunywegera
era ng’amutunuulidde nkaliriza n’amaaso agatatya n’amugamba nti:
14 (J)“Nnina ssaddaaka ez’ebiweebwayo olw’emirembe,
leero ntukiriza obweyamo bwange.
15 Noolwekyo nzize okukusisinkana,
mbadde njagala nnyo okukulaba, era kaakano nkusanze.
16 Obuliri bwange mbwaze bulungi
n’engoye eza linena ava mu Misiri.
17 (K)Mbukubye n’akaloosa,
n’omugavu, n’obubaane, ne kinamoni, ne kalifuuwa.
18 (L)Jjangu tuwoomerwe omukwano okutuusa obudde okukya;
leka twesanyuse ffembi mu mukwano.
19 Kubanga baze taliiyo eka;
yatambula olugendo luwanvu:
20 Yagenda n’ensawo y’ensimbi;
era alikomawo nga wayiseewo wiiki bbiri.”
21 (M)Yamusendasenda n’ebigambo ebisikiriza;
n’amuwabya n’ebigambo ebiwoomerera.
22 (N)Amangwago omuvubuka n’amugoberera
ng’ente etwalibwa okuttibwa
obanga empeewo egwa mu mutego,
23 (O)okutuusa akasaale lwe kafumita ekibumba kyayo,
ng’akanyonyi bwe kanguwa okugwa mu mutego,
so tamanyi ng’alifiirwa obulamu bwe.
24 (P)Kaakano nno batabani bange mumpulirize,
era musseeyo nnyo omwoyo eri ebigambo byange.
25 (Q)Temukkiriza mitima gyammwe kugoberera bigambo bye;
temukkiriza bigere byammwe kukyamira mu makubo ge.
26 Kubanga bangi bazikiridde,
ddala ab’amaanyi bangi bagudde.
27 (R)Ennyumba ye, lye kkubo eridda emagombe,
nga likka mu bisenge eby’okufa.
Amagezi Gakoowoola
8 (S)Amagezi tegakoowoolera waggulu,
n’okutegeera ne kuyimusa eddoboozi lyakwo?
2 Ku ntikko y’ebifo ebigulumivu okumpi n’ekkubo,
mu masaŋŋanzira, amagezi we gayimirira butengerera,
3 (T)ku mabbali g’enzigi eziyingira mu kibuga,
ku miryango, gakoowoolera waggulu nga gagamba nti,
4 Mmwe abantu, mmwe b’empita;
nnyimusa eddoboozi lyange eri buli omu ali ku nsi.
5 (U)Mmwe abatategeera mufune okutegeera;
nammwe abasirusiru mufune amagezi.
6 Muwulirize kubanga nnina ebintu ebikulu eby’okubagamba,
era mu kamwa kange muvaamu ebituufu.
7 (V)Akamwa kange koogera bituufu byereere;
kubanga emimwa gyange gikyawa ebitali bya butuukirivu.
8 Ebigambo by’emimwa gyange byonna bya bwenkanya
tewali na kimu kikyamu oba kya bukuusa.
9 Ebigambo byange byonna bitegeerekeka eri oyo ategeera,
era tebirina kabi eri oyo alina amagezi.
10 (W)Mu kifo kya ffeeza, londawo okuyigiriza kwange,
era n’okumanya mu kifo kya zaabu ennongoose obulungi,
11 (X)kubanga amagezi gasinga amayinja ag’omuwendo omungi,
era n’ebyo byonna bye weegomba tebiyinza kugeraageranyizibwa nago.
12 (Y)Nze Magezi, mbeera wamu n’okuteesa okulungi,
era mu nze mulimu okumanya n’okwawula ekirungi n’ekibi.
13 (Z)Okutya Mukama kwe kukyawa ekibi;
nkyawa amalala n’okwemanya,
n’obuteeyisa bulungi n’enjogera ey’obubambaavu.
14 (AA)Okuteesa okulungi n’okusalawo okw’amagezi bye byange;
ntegeera era ndi wa buyinza.
15 (AB)Ku bwange, Magezi, bakabaka bafuga,
abafuzi ne bakola amateeka ag’obwenkanya.
16 Abalangira bafuga ku bwange,
n’abakungu bonna abafuga ku nsi.
17 (AC)Njagala abo abanjagala,
n’abo abanyiikira okunnoonya bandaba.
18 (AD)Obugagga n’ekitiibwa biri mu nze,
obugagga obutakoma n’okukulaakulana.
19 (AE)Ekibala kyange kisinga zaabu ennongoose,
n’ebinvaamu bisinga ffeeza ey’omuwendo omungi.
20 Ntambulira mu kkubo ery’obutuukirivu,
mu kkubo ery’obwenkanya,
21 (AF)n’abo abanjagala mbagaggawaza
era nzijuza amawanika gaabwe.
22 Mukama nze gwe yasooka okwoleka
nga tannabaako kirala ky’akola.
23 Nateekebwawo dda nnyo,
ku lubereberye ng’ensi tennabaawo.
24 (AG)Nateekebwawo ng’obuziba bw’ennyanja tebunnateekebwawo,
nga n’emigga egireeta amazzi teginnabaawo,
25 (AH)ng’ensozi tezinnateekebwa mu bifo byazo,
nga n’obusozi tebunnabaawo;
26 (AI)nga tannakola nsi newaakubadde amalundiro gaakwo,
wadde enfuufu eyasooka ey’oku nsi.
27 (AJ)Naliwo ng’ateekawo eggulu mu kifo kyalyo,
ne bwe yakola enkulungo kungulu ku buziba,
28 ate ne bwe yawanika ebire n’abinywereza waggulu mu bbanga,
n’anywereza ddala ensulo z’amazzi,
29 (AK)bwe yawa ennyanja ensalo zaazo we zikoma,
amazzi galeme kusukka we yagalagira,
ne bwe yali ng’alamba emisingi gy’ensi.
30 (AL)Nnali naye ng’omukozi omukugu,
nga nzijudde essanyu lye erya buli lunaku,
nga nsanyukira mu maaso ge bulijjo,
31 (AM)nga nsanyukira mu nsi ye yonna,
era nga ne nesiima olw’abaana b’abantu.
32 (AN)Kale nno, batabani bange mumpulirize;
balina omukisa abo abakwata amakubo gange!
33 Muwulirizenga okuyigirizibwa, mubenga n’amagezi,
so temugalekanga.
34 (AO)Alina omukisa omuntu ampuliriza,
alindirira nga bw’akuuma ku nzigi zange
buli lunaku.
35 (AP)Kubanga buli andaba afuna obulamu,
era afuna okuganja eri Mukama.
36 (AQ)Oyo atannoonya yeerumya yekka,
era n’abo bonna abankyawa banoonya kufa.
Empagi z’Amagezi Omusanvu
9 (AR)Amagezi gazimbye ennyumba yaago,
gagizimbidde ku mpagi musanvu.
2 (AS)Gategese ennyama yaago ne wayini[a] waago;
gategese ekijjulo.
3 (AT)Gatumye abawala abaweereza bakoowoolere
mu bifo ebigulumivu nti,
4 (AU)“Buli atalina kutegeera akyameko wano!”
Eri abo abatalina magezi gabagamba nti,
5 (AV)“Mujje mulye ku mmere yange
era munywe ne ku nvinnyo gwe ntabudde.
6 (AW)Mulekeraawo obutaba na kutegeera mubeere balamu,
era mutambulire mu kkubo ly’okumanya.”
7 (AX)Oyo anenya omunyoomi ayolekera kuvumwa,
n’oyo abuulirira omukozi w’ebibi yeeretera kuvumibwa.
8 (AY)Tonenyanga munyoomi, aleme okukukyawa, naye
nenya ow’amagezi naye anaakwagalanga.
9 (AZ)Yigirizanga ow’amagezi naye aneeyongeranga okuba n’amagezi,
yigirizanga omutuukirivu, aneeyongerangako okuyiga.
10 (BA)“Mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera,
era n’okumanya oyo Omutukuvu Katonda, kwe kutegeera.
11 (BB)Ku lwange oliwangaala emyaka mingi nnyo,
era olyongerwako emyaka.
12 Bw’obeera omugezi, amagezi go gakuyamba,
naye bw’onyooma amagezi weerumya wekka.”
13 (BC)Omukazi omusirusiru aleekaana,
taba na mpisa era taba na magezi!
14 (BD)Era atuula mu mulyango gw’ennyumba ye,
ne ku ntebe mu bifo eby’ekibuga ebisinga obugulumivu,
15 ng’akoowoola abo abayitawo,
ababa batambula amakubo gaabwe abali ku byabwe.
16 Abagamba nti, “Buli alina okumanya okutono ajje muno.”
Era eri oyo atalina kutegeera agamba nti,
17 (BE)“Amazzi amabbe nga gawooma!
emmere eriibwa mu kyama ng’ewooma!”
18 (BF)Naye oyo agwa mu kitimba kye tamanya nti nnyumba yakuzikirira,
era nti abagenyi be bali mu buziba obw’emagombe.
Engero za Sulemaani
10 (BG)Engero za Sulemaani:
Omwana ow’amagezi asanyusa kitaawe;
naye omwana omusirusiru anakuwaza nnyina.
2 (BH)Eby’obugagga ebifuniddwa mu makubo amakyamu tebirina kye bigasa,
naye abatuukirivu banunulwa okuva mu kufa.
3 (BI)Mukama taalekenga mutuukirivu we kufa njala,
naye aziyiza abakozi b’ebibi okufuna bye beetaaga.
4 (BJ)Emikono emigayaavu gyavuwaza,
naye emikono eminyiikivu gireeta obugagga.
5 Omuvubuka ow’amagezi akungulira mu biseera ebituufu,
naye oyo eyeebakira mu biro eby’okukunguliramu mwana aswaza ennyo.
6 (BK)Omukisa gubeera ku mutwe gw’omutuukirivu,
naye akamwa k’omukozi w’ebibi kajjula obukambwe.
7 (BL)Omutuukirivu anajjukirwanga n’essanyu,
naye erinnya ly’omubi linaavundanga.
8 (BM)Alina omutima ogw’amagezi agondera ebiragiro,
naye omusirusiru ayogerayogera, azikirizibwa.
9 (BN)Atambulira mu bwesimbu y’atambula emirembe,
naye akwata amakubo amakyamu alitegeerebwa.
10 (BO)Oyo atta ku liiso ng’akweka amazima aleeta ennaku,
n’omusirusiru ayogerayogera alizikirizibwa.
11 (BP)Akamwa ak’omutuukirivu nsulo ya bulamu,
naye akamwa k’omukozi w’ebibi kajjula bulabe.
12 (BQ)Obukyayi buleeta enjawukana,
naye okwagala kubikka ku bibi bingi.
13 (BR)Amagezi gasangibwa ku mimwa gy’oyo alina okutegeera,
naye omuggo gukangavvula oyo atamanyi kusalawo bulungi.
14 (BS)Abantu ab’amagezi batereka okumanya,
naye akamwa k’omusirusiru kaaniriza kuzikirira.
15 (BT)Obugagga bw’omugagga kye kibuga kye ekiriko ebigo,
naye obwavu kwe kuzikirira kw’omwavu.
16 (BU)Empeera y’omutuukirivu bulamu,
naye empeera y’omukozi w’ebibi emuleetera kubonerezebwa.
17 (BV)Oyo assaayo omwoyo eri okubuulirirwa aba mu kkubo ery’obulamu,
naye oyo atassaayo mwoyo ku kunenyezebwa aleetera abalala okuwaba.
18 Oyo akisa obukyayi alina emimwa egirimba,
era omuntu akonjera, musirusiru.
19 (BW)Mu bigambo ebingi temubula kwonoona,
naye akuuma olulimi lwe aba wa magezi.
20 Olulimi lw’omutuukirivu ffeeza ya muwendo,
naye omutima gw’omukozi w’ebibi gugasa katono.
21 (BX)Ebigambo by’omutuukirivu biriisa abantu bangi,
naye abasirusiru bazikirira olw’okubulwa amagezi.
22 (BY)Omukisa gwa Mukama guleeta obugagga
era tagwongerako buyinike.
Okuwangaala Okuli mu Kutya Mukama
23 (BZ)Omusirusiru asanyukira okukola ebibi,
naye omuntu alina okutegeera asanyukira eby’amagezi.
24 (CA)Omukozi w’ebibi ky’atayagala kirimutuukako,
naye abatuukirivu bye baagala biribaweebwa.
25 (CB)Embuyaga bw’ejja, abakozi b’ebibi batwalibwa,
naye abatuukirivu banywera emirembe gyonna.
26 (CC)Ng’omususa bwe gunyeenyeza amannyo, n’omukka nga bwe gubalagala mu maaso,
n’omugayaavu bw’abeera bw’atyo eri abamutuma.
27 (CD)Okutya Mukama kuwangaaza omuntu,
naye emyaka gy’ababi girisalibwako.
28 (CE)Essuubi ly’abatuukirivu livaamu ssanyu,
naye okusuubira kw’abakozi b’ebibi tekulivaamu kantu.
29 (CF)Ekkubo lya Mukama kye kiddukiro ky’abatuukirivu, naye abakozi b’ebibi libasaanyaawo.
30 (CG)Abatuukirivu tebajjululwenga ennaku zonna,
naye abakozi b’ebibi tebalisigala mu nsi.
31 (CH)Akamwa k’omutuukirivu koogera eby’amagezi,
naye olulimi olwogera eby’obubambavu lulisalibwamu.
32 (CI)Emimwa gy’omutuukirivu gyogera ebisaanidde;
naye emimwa gy’omukozi w’ebibi gyogera eby’obubambavu.
11 (CJ)Minzaani eteri ya mazima ya muzizo eri Mukama,
naye ebipimo ebituufu bye bimusanyusa.
2 (CK)Amalala bwe gajja, ng’obuswavu butuuse,
naye obwetoowaze buleeta amagezi.
3 (CL)Obwesimbu bw’abatuukirivu bubaluŋŋamya,
naye enkwe z’abatali beesigwa zibazikirizisa.
4 (CM)Obugagga tebugasa ku lunaku olw’okusalirwako omusango,
naye obutuukirivu buwonya okufa.
5 (CN)Obutuukirivu bw’abalongoofu bubatambuliza mu kkubo eggolokofu
naye abakozi b’ebibi bagwa olw’ebikolwa byabwe ebibi.
6 Obutuukirivu bw’abagolokofu bubawonya,
naye abatali beesigwa bagwa mu mutego olw’okwegomba ebibi.
7 (CO)Omukozi w’ebibi bw’afa, essuubi lye libula,
ne byonna bye yasuubira mu maanyi bikoma.
8 (CP)Omutuukirivu aggyibwa mu mitawaana,
naye jjijjira omukozi w’ebibi.
9 Akamwa k’oyo atatya Katonda, kazikiriza muliraanwa,
naye olw’okumanya, abatuukirivu bawona.
10 (CQ)Abatuukirivu bwe bakulaakulana ekibuga kijaguza;
abakozi b’ebibi bwe bazikirira wawulirwawo amaloboozi ag’essanyu.
11 (CR)Omukisa gw’abatuukirivu gukulaakulanya ekibuga:
naye olw’akamwa k’abakozi b’ebibi, ekibuga kizikirizibwa.
Abeesigwa n’Abatambuza Eŋŋambo
12 (CS)Omuntu atalina magezi anyooma muliraanwa we,
naye omuntu ategeera akuuma olulimi lwe.
13 (CT)Aseetula olugambo atta obwesigwa,
naye omuntu omwesigwa akuuma ekyama.
14 (CU)Awatali kuluŋŋamizibwa eggwanga lidobonkana,
naye abawi b’amagezi abangi baleeta obuwanguzi.
15 (CV)Eyeeyimirira omuntu gw’atamanyiko alibonaabona,
naye oyo akyawa okweyimirira aliba bulungi.
16 (CW)Omukazi ow’ekisa aweebwa ekitiibwa,
naye abasajja ab’amawaggali bakoma ku bugagga bwokka.
17 Omusajja alina ekisa aganyulwa,
naye alina ettima yeereetako akabi.
18 (CX)Omukozi w’ebibi afuna empeera ey’obukuusa,
naye oyo asiga eby’obutuukirivu akungula empeera eya nnama ddala.
19 Omuntu omutuukirivu ddala alifuna obulamu,
naye oyo akola ebitali bya butuukirivu alifa.
20 (CY)Mukama akyawa abantu abalina emitima emikyamu,
naye ab’amakubo amagolokofu be bamusanyusa.
21 (CZ)Mutegeerere ddala ng’abakozi b’ebibi tebalirema kubonerezebwa,
naye bazzukulu b’abatuukirivu tebalibaako musango.
22 Ng’empeta ya zaabu mu nnyindo y’embizzi,
bw’atyo bw’abeera omukazi omulungi atalaba njawulo wakati w’ekirungi n’ekibi.
23 Abatuukirivu bye beegomba bivaamu birungi byereere,
naye abakozi b’ebibi bye bakola bisunguwaza.
Omuntu Omugabi
24 Omuntu agaba obuteerekereza, yeeyongera bweyongezi kugaggawala;
naye akwatirira kye yandigabye, yeeyongera kwavuwala.
25 (DA)Omuntu agaba anagaggawalanga,
n’oyo ayamba talibulako amuyamba.
26 Abantu bakolimira oyo akweka eŋŋaano mu kiseera eky’obwetaavu,
naye oyo agitunda mu kiseera ekyo afuna emikisa.
27 (DB)Oyo anyiikira okukola obulungi afuna okuganja,
naye oyo anoonya ekibi, kimujjira.
28 (DC)Oyo eyeesiga obugagga bwe aligwa,
naye abatuukirivu banaakulaakulananga ne baba ng’amalagala amalamu.
29 (DD)Omuntu aleeta emitawaana mu maka g’ewaabwe, alisikira mpewo;
era n’omusirusiru aliba muddu w’oyo alina omutima ogw’amagezi.
30 (DE)Ekibala ky’omutuukirivu muti gwa bulamu,
era n’oyo asikiriza emyoyo gy’abantu ne balokoka wa magezi.
31 (DF)Obanga omutuukirivu alifuna ekimusaanidde ku nsi kuno,
oyo atatya Katonda n’omwonoonyi balirema obutafuna ekibasaanidde?
12 (DG)Buli asanyukira okukangavvulwa ayagala amagezi;
naye oyo akyawa okunenyezebwa musirusiru.
2 Omuntu omulungi aganja mu maaso ga Mukama,
naye Mukama asalira omusango omuntu ow’enkwe.
3 (DH)Omuntu tanywezebwa lwa kukola bitali bya butuukirivu,
naye omulandira gw’omutuukirivu tegulisigulwa.
4 (DI)Omukyala ow’empisa ennungi ssanyu era ngule ya mwami we,
naye omukazi eyeeyisa obubi ali nga kookolo mu magumba ga bba.
5 Enteekateeka z’omutuukirivu ziba za mazima,
naye amagezi g’abakozi b’ebibi ge bawa gaba ga bulimba.
6 (DJ)Ebiteeso by’abakozi b’ebibi kuyiwa musaayi,
naye ebigambo by’abatuukirivu bye bibawonya.
7 (DK)Abakozi b’ebibi bagwa ne basaanirawo ddala,
naye ennyumba y’omutuukirivu teesagaasaganenga emirembe gyonna.
8 Ebigambo by’omugezi bimuleetera okusiimibwa,
naye eby’omusirusiru bimunyoomesa.
9 Omuntu eyeetoowaza ne yeekolera,
asinga oyo eyeegulumiza n’abulwa ky’alya.
10 Omutuukirivu afaayo ku bisolo bye,
naye omukozi w’ebibi abiraga bukambwe bwereere.
11 (DL)Oyo eyeerimira aliba n’emmere nnyingi,
naye oyo anoonya ebitaliimu talina magezi.
12 Abakozi b’ebibi baagala okubba omunyago gwa babbi bannaabwe,
naye omulandira gw’abatuukirivu gunywera.
13 (DM)Ebigambo by’omukozi w’ebibi bimusuula mu mitawaana,
naye omutuukirivu awona akabi.
14 (DN)Omuntu ajjuzibwa ebirungi okuva mu bibala bye bigambo by’akamwa ke,
n’emirimu gy’emikono gye gimusasula bulungi.
15 (DO)Ekkubo ly’omusirusiru ddungi mu kulaba kwe ye,
naye omugezi assaayo omwoyo ku magezi agamuweebwa.
16 (DP)Omusirusiru alaga mangu obusungu bwe,
naye omutegeevu tassa mwoyo ku kivume.
17 (DQ)Omujulizi ow’amazima awa obujulizi obutuufu,
naye omujulizi ow’obulimba ayogera bya bulimba.
18 (DR)Ebigambo ebyanguyirize bisala ng’ekitala ekyogi,
naye olulimi lw’omuntu omugezi luwonya.
19 Emimwa egyogera amazima gibeerera emirembe gyonna,
naye olulimi olulimba lwa kiseera buseera.
20 Obulimba buli mu mitima gyabo abategeka okukola ebibi,
naye essanyu liri n’abo abakolerera emirembe.
21 (DS)Tewali kabi konna kagwa ku batuukirivu,
naye abakozi b’ebibi tebaggwaako mitawaana.
22 (DT)Mukama akyawa emimwa egirimba,
naye asanyukira ab’amazima.
23 (DU)Omuntu omutegeevu talaga nnyo by’amanyi,
naye abasirusiru balaga obutamanya bwabwe.
24 (DV)Omukono gw’omunyiikivu gulimufuula omufuzi,
naye obugayaavu bufuula omuntu omuddu.
25 (DW)Omutima ogweraliikirira guleetera omuntu okwennyika,
naye ekigambo eky’ekisa kimusanyusa.
26 Omutuukirivu yeegendereza mu mikwano gye,
naye ekkubo ly’ababi libabuza.
27 Omuntu omugayaavu tayokya muyiggo gwe,
naye omunyiikivu kyayizze, kiba kya muwendo gyali.
28 (DX)Mu kkubo ery’obutuukirivu mulimu obulamu,
era mu kkubo eryo temuli kufa.
Ensibuko y’Obugagga Obungi
13 (DY)Omwana omugezi assaayo omwoyo eri ebiragiro bya kitaawe,
naye omunyoomi tafaayo ku kunenyezebwa.
2 (DZ)Omuntu asanyuka olw’ebirungi ebiva mu bibala bya kamwa ke,
naye atali mwesigwa yeegomba kuleeta ntalo.
3 (EA)Oyo eyeegendereza by’ayogera akuuma obulamu bwe,
naye oyo amala googera, alizikirira.
4 Omuntu omugayaavu yeegomba kyokka n’atabaako ky’afuna,
naye omunyiikivu byayagala byonna abifuna.
5 Omuntu omutuukirivu akyawa obulimba,
naye omukozi w’ebibi yeereetera kunyoomebwa.
6 (EB)Obutuukirivu bukuuma omuntu omwesimbu,
naye okukola ebibi kuzikiriza omwonoonyi.
7 (EC)Omuntu omu ayinza okwefuula omugagga ate nga taliiko ky’alina,
ate omulala ne yeefuula okuba omwavu so nga mugagga nnyo.
8 Obugagga bw’omuntu buyinza okumununula,
naye omwavu talina ky’atya.
9 (ED)Ekitangaala ky’abatuukirivu kyaka nnyo,
naye ettaala y’abakozi b’ebibi ezikira.
10 Amalala gazaala buzaazi nnyombo,
naye amagezi gasangibwa mu abo abakkiriza okulabulwa.
11 (EE)Ensimbi enkumpanye ziggwaawo,
naye ezijja empolampola zeeyongera obungi.
12 Essuubi erirwawo okutuukirira lirwaza omutima,
naye ekyegombebwa bwe kituukirira kiba muti gwa bulamu.
13 (EF)Omuntu anyooma ebiragiro aligwa mu mitawaana,
naye oyo awuliriza ebimulagirwa aliweebwa empeera.
14 (EG)Okuyigiriza kw’omuntu alina amagezi nsulo ya bulamu,
era kuggya omuntu mu mitego gy’okufa.
15 Okutegeera okulungi kuleeta okuganja,
naye ekkubo ly’abateesigibwa liba zzibu.
16 (EH)Omuntu omwegendereza akola amaze kulowooza,
naye omusirusiru alaga obutamanya bwe.
17 (EI)Omubaka omubi yeesuula mu mitawaana,
naye omubaka omwesigwa aleeta kuwonyezebwa.
18 (EJ)Anyooma okukangavvulwa yeereetako obwavu n’obuswavu,
naye oyo assaayo omwoyo ku kunenyezebwa aweebwa ekitiibwa.
19 Ekyegombebwa bwe kituukirira kisanyusa omutima,
naye okulekayo okukola ebibi kya muzizo eri abasirusiru.
20 (EK)Oyo atambula n’abantu abagezi ageziwala,
naye oyo atambula n’abasirusiru alaba ennaku.
21 (EL)Emitawaana gigoberera aboonoonyi,
naye okukulaakulana y’empeera y’abatuukirivu.
22 (EM)Omuntu omulungi alekera bazzukulu be ebyobusika,
naye obugagga bw’omwonoonyi buterekerwa omutuukirivu.
23 Ennimiro z’abaavu ziyinza okuvaamu emmere nnyingi,
naye obutali bwenkanya ne bugyera yonna.
24 (EN)Atakozesa kaggo akyawa omwana we,
naye oyo amwagala afaayo okumukangavvula.
25 (EO)Omutuukirivu alya emmere ye n’akkuta,
naye abakozi b’ebibi basigala nga bayala.
14 (EP)Omukazi ow’amagezi yeezimbira ennyumba ye,
naye omusirusiru eyiye agyemenyera n’emikono gye.
2 Omuntu atambulira mu bugolokofu atya Mukama,
naye ow’amakubo amakyamu anyooma Mukama.
3 (EQ)Ebigambo by’omusirusiru bye bimuviirako okukubwa,
naye eby’abatuukirivu binaabakuumanga.
4 Awataba nte nnume ezirima ebyagi biba bikalu,
naye emmere ennyingi eva mu maanyi gaazo.
5 (ER)Omujulizi ow’amazima talimba,
naye ow’obulimba ayogera bya bulimba.
6 Omukudaazi anoonya amagezi n’atagalaba,
naye okumanya kwanguyira omuntu ategeera.
7 Teweeretereza muntu musirusiru,
kubanga tewali by’amagezi biva mu kamwa ke.
8 (ES)Omutegeevu mugezi kubanga afaayo okutegeera by’akola,
naye atalina magezi musirusiru kubanga yeerimba nti amanyi.
9 Abasirusiru banyooma okugololwa nga bakoze ensobi,
naye abalongoofu baagala emirembe.
10 Buli mutima gumanya okulumwa kwagwo,
tewali ayinza kugusanyukirako.
11 (ET)Ennyumba y’abakozi b’ebibi erizikirizibwa,
naye eweema y’abatuukirivu erikulaakulana.
12 (EU)Waliwo ekkubo erirabika nga ttuufu eri omuntu,
naye ng’enkomerero yaalyo kufa.
13 (EV)Enseko zandibaawo naye ng’omutima gujjudde ennaku,
era n’enkomerero y’essanyu eyinza okufuuka obuyinike.
14 (EW)Omuntu atalina kukkiriza alisasulwa empeera emusaanira olw’ebikolwa bye,
n’omuntu omulungi naye alisasulwa eyiye.
15 Ow’amagezi amatono amala gakkiriza buli kigambo ky’awulira,
naye omuntu omutegeevu yeegendereza amakubo ge.
16 (EX)Omuntu ow’amagezi atya Mukama n’aleka okukola ebibi,
naye omusirusiru yeepankapanka era teyeegendereza.
17 (EY)Omuntu asunguwala amangu akola eby’obusirusiru,
n’omukalabakalaba akyayibwa.
18 Abatalina magezi basikira butaliimu,
naye abategeevu batikkirwa engule ey’okumanya.
19 (EZ)Abakozi b’ebibi balivuunamira abatuukirivu,
n’aboonoonyi ne bavuunama mu miryango gy’abatuukirivu.
Omugagga n’Omwavu
20 (FA)Omwavu alagajjalirwa abantu nga ne muliraanwa we omutwaliddemu,
naye abagagga baba n’emikwano mingi.
21 (FB)Anyooma muliraanwa we akola kibi,
naye alina omukisa oyo asaasira abaavu.
22 Abateekateeka okukola ebibi, tebawaba?
Naye okwagala n’amazima binaabeeranga n’abo abateesa okukola obulungi.
23 Buli mulimu ogukolebwa n’amaanyi gubaako amagoba,
naye okwogera obwogezi kireeta bwavu bwokka.
24 Abagezi bafuna engule ey’obugagga,
naye obusirusiru bw’abatalina magezi buzaala busirusiru.
25 (FC)Omujulizi ow’amazima awonya obulamu bw’abantu,
naye omujulizi ow’obulimba aba mulimba.
26 (FD)Atya Mukama alina ekiddukiro eky’amaanyi,
era n’abaana be balibeera n’obuddukiro.
27 (FE)Okutya Mukama ye nsulo y’obulamu,
kuleetera omuntu okwewala emitego gy’okufa.
28 Ekitiibwa kya kabaka kiri mu kuba n’abantu bangi,
naye omukulembeze ataba n’abantu abeera mu kabi.
29 (FF)Omuntu omugumiikiriza aba n’okutegeera kungi,
naye oyo asunguwala amangu ayolesa obusirusiru.
30 (FG)Omutima ogulina emirembe guwangaaza omuntu,
naye obuggya buvunza amagumba ge.
31 (FH)Omuntu atulugunya abaavu anyooma oyo eyabatonda,
naye buli abakwatirwa ekisa, agulumiza Katonda.
32 (FI)Akacwano bwe kajja, omukozi w’ebibi agwa,
naye omutuukirivu ne mu kufa aba n’obuddukiro.
33 (FJ)Amagezi gabeera mu mutima gw’omuntu alina okutegeera,
era yeeyoleka ne mu basirusiru.
34 (FK)Obutuukirivu buzimba eggwanga,
naye ekibi kiswaza abantu ab’engeri zonna.
35 (FL)Kabaka asanyukira omuddu akola eby’amagezi,
naye obusungu bwa kabaka bunaabuubuukiranga ku oyo akola ebiswaza.
15 (FM)Okuddamu n’eggonjebwa kumalawo ekiruyi,
naye ekigambo eky’obukambwe kisaanuula obusungu.
2 (FN)Olulimi lw’omugezi lwogera by’amagezi,
naye akamwa k’abasirusiru kafukumula busirusiru bwereere.
3 (FO)Amaaso ga Mukama galaba buli wantu,
alaba abatuukirivu n’abakozi b’ebibi.
4 Olulimi oluzimba muti gwa bulamu,
naye olulimi olulimba lubetenta omutima.
5 (FP)Omusirusiru anyooma okubuulirirwa kwa kitaawe,
naye omutegeevu assaayo omwoyo eri okunenyezebwa.
6 (FQ)Mu nnyumba y’omutuukirivu mubaamu obugagga bungi,
naye omukozi w’ebibi by’afuna, bimuleetera emitawaana.
7 Akamwa k’amagezi kabunyisa okumanya,
naye omutima gw’abasirusiru si bwe gukola.
8 (FR)Ssaddaaka y’aboonoonyi ya muzizo eri Mukama,
naye okusaba kw’abalongoofu lye ssanyu lye.
9 (FS)Ekkubo ly’omwonoonyi lya muzizo eri Mukama,
naye Mukama ayagala oyo anoonya obutuukirivu.
10 (FT)Oyo aleka ekkubo ettuufu alikangavvulwa n’amaanyi,
n’oyo akyawa okunenyezebwa alifa.
11 (FU)Okufa n’okuzikirira biri mu maaso ga Mukama,
n’okulaba alaba nnyo emitima gy’abaana b’abantu!
12 (FV)Omunyoomi tayagala kunenyezebwa,
era teeyeebuuza ku b’amagezi.
13 (FW)Omutima omusanyufu guleeta essanyu ku maaso,
naye omutima omunyiikaavu gunafuya emmeeme.
14 (FX)Omutima omutegeevu gunoonya okumanya,
naye akamwa k’abasirusiru kalya busirusiru.
15 (FY)Omuntu bw’aba omunyiikaavu, buli kimu kimwononekera,
naye omutima omusanyufu gujaguza buli kaseera.
16 (FZ)Okuba n’akatono ng’otya Mukama,
kusinga okuba n’ebingi naye ng’oli mu mitawaana.
17 (GA)Okulya emmere ng’eriko enva endiirwa awali okwagalana,
kisinga okuliirako ebyassava awali obukyayi.
18 (GB)Omuntu asunguwala amangu asaanuula oluyombo,
naye omugumiikiriza akakkanya embeera.
19 (GC)Ekkubo ly’omugayaavu lijjula amaggwa,
naye ekkubo ly’omutuukirivu golokofu.
20 (GD)Omwana omugezi asanyusa kitaawe,
naye omuntu omusirusiru anyooma nnyina.
21 (GE)Obusirusiru ssanyu eri oyo atalina magezi,
naye omuntu ategeera atambulira mu kkubo eggolokofu.
22 (GF)Awatali kuluŋŋamizibwa entegeka zifa,
naye awali abawi b’amagezi abangi ziyitamu.
23 (GG)Okuddamu obulungi kisanyusa,
era kirungi ekigambo ekirungi okujjira mu kiseera ekituufu.
24 Ekkubo ery’obulamu liyimusa omugezi,
ne limuziyiza okukka emagombe.
25 (GH)Mukama azikiriza ennyumba y’ab’amalala,
kyokka akuuma ensalo za nnamwandu.
26 (GI)Enkwe za muzizo eri Mukama,
naye ebigambo ebisaanidde, bimusanyusa.
27 (GJ)Oyo anoonya okugaggawalira mu bukyamu aleetera ennyumba ye emitawaana,
naye oyo akyawa enguzi aliba mulamu.
28 (GK)Omutima gw’omutuukirivu gufumiitiriza bye gunaayanukula,
naye akamwa k’omwonoonyi kafubutula ebitasaana.
29 (GL)Mukama ali wala n’aboonoonyi,
naye awulira okusaba kw’abatuukirivu.
30 Amaaso agajjudde essanyu gasanyusa omutima,
n’amawulire amalungi galeetera amagumba obulamu.
31 (GM)Oyo assaayo omwoyo eri okunenyezebwa okuleeta obulamu,
alituula wamu n’abagezi.
32 (GN)Agayaalirira okubuulirirwa yeerumya yekka,
naye oyo assaayo omwoyo eri okunenyezebwa afuna okutegeera.
33 (GO)Okutya Mukama kuyigiriza omuntu amagezi,
n’obwetoowaze kye kitiibwa ky’omuntu oyo.
Mukama Agera Ekkubo ly’Omuntu
16 (GP)Omuntu ateekateeka by’ayagala okukola mu mutima gwe,
Naye okuddamu kuva eri Mukama.
2 (GQ)Amakubo g’omuntu gonna gaba matuufu mu maaso ge ye,
naye Mukama y’apima ebigendererwa.
3 (GR)Emirimu gyo gyonna gikwasenga Mukama,
naye anaatuukirizanga entegeka zo.
4 (GS)Mukama buli kimu akikola ng’alina ekigendererwa,
n’abakozi b’ebibi y’abakolera olunaku lwe batuukibwako ebizibu.
5 (GT)Buli muntu alina omutima ogw’amalala wa muzizo eri Mukama;
weewaawo talirema kubonerezebwa.
6 (GU)Olw’okwagala n’olw’obwesigwa, ekibi kisasulibwa,
n’okutya Mukama kuleetera omuntu okwewala okukola ebibi.
7 Amakubo g’omuntu bwe gaba gasanyusa Mukama,
aleetera abalabe b’omuntu oyo okubeera naye mu mirembe.
8 (GV)Akatono akafune mu butuukirivu,
kasinga obugagga obungi obufune mu bukyamu.
9 (GW)Omutima gw’omuntu guteekateeka ekkubo lye,
naye Mukama y’aluŋŋamya bw’anaatambula.
10 Kabaka ky’ayogera kiba ng’ekiva eri Katonda,
n’akamwa ke tekasaanye kwogera bitali bya bwenkanya.
11 (GX)Ebipimo ne minzaani ebituufu bya Mukama,
ebipimo byonna ebikozesebwa y’abikola.
12 (GY)Kya muzizo bakabaka okukola ebibi,
kubanga entebe ye ey’obwakabaka enywezebwa butuukirivu.
13 (GZ)Akamwa akogera eby’amazima bakabaka ke basanyukira,
era baagala oyo ayogera amazima.
14 (HA)Obusungu bwa kabaka buli ng’ababaka abaleese okufa,
omusajja ow’amagezi alibukkakkanya.
15 (HB)Kabaka bw’asanyuka kireeta obulamu;
n’okuganza kwe, kuli nga ekire eky’enkuba[b] mu biseera ebya ttoggo.
16 (HC)Okufuna amagezi nga kusinga nnyo okufuna zaabu,
era n’okufuna okutegeera kikira ffeeza!
17 Ekkubo ly’abagolokofu kwe kwewala ebibi,
n’oyo eyeekuuma mu kutambula kwe, awonya emmeeme ye.
18 (HD)Amalala gakulembera okuzikirira,
n’omwoyo ogwegulumiza gukulembera ekigwo.
19 Okubeera n’omwoyo ogwetoowaza era n’okubeera n’abaavu,
kisinga okugabana omunyago n’ab’amalala.
20 (HE)Oyo assaayo omwoyo ku kuyigirizibwa alikulaakulana,
era alina omukisa oyo eyeesiga Mukama.
21 (HF)Abalina emitima egy’amagezi baliyitibwa bategeevu,
n’enjogera ennungi eyongera okuyamba okutegeera.
22 (HG)Amagezi nsulo ya bulamu eri oyo agalina,
naye obusirusiru buleetera abasirusiru okubonerezebwa.
23 Omutima gw’omuntu ow’amagezi gumuwa enjogera ennungi,
era akamwa ke kayigiriza abalala.
24 (HH)Ebigambo ebirungi biri ng’ebisenge by’omubisi gw’enjuki,
biwoomera emmeeme, ne biwonya n’amagumba.
25 (HI)Wabaawo ekkubo erirabika ng’ettuufu eri omuntu,
naye ku nkomerero limutuusa mu kufa.
26 Okwagala okulya kuleetera omuntu okukola n’amaanyi,
kubanga enjala emukubiriza okweyongera okukola.
27 (HJ)Omuntu omusirusiru ategeka okukola ebitali bya butuukirivu,
era n’ebigambo bye, biri ng’omuliro ogwokya ennyo.
28 (HK)Omuntu omubambaavu asiikuula entalo,
n’ow’olugambo ayawukanya ab’omukwano enfirabulago.
29 (HL)Omuntu omukyamu asendasenda muliraanwa we
n’amutwala mu kkubo eritali ttuufu.
30 Omuntu atemya ku liiso ateekateeka kwonoona,
n’oyo asongoza emimwa ategeka kukola bitali birungi.
31 (HM)Omutwe ogw’envi ngule ya kitiibwa,
gufunibwa abo abatambulira mu bulamu obutuukirivu.
32 Omuntu omugumiikiriza asinga omutabaazi,
n’oyo afuga obusungu bwe akira awamba ekibuga.
33 (HN)Akalulu kayinza okukubibwa,
naye okusalawo kwa byonna kuva eri Mukama.
17 (HO)Okulya akamere akaluma awali emirembe,
kisinga okuba mu nnyumba ejjudde ebyassava nga mulimu entalo.
2 Omuddu omugezi alifuga omwana wa bowo akwasa ensonyi,
era alifuna ebyobusika ng’omu ku baana b’awaka.
3 (HP)Entamu erongoosa yakolebwa lwa ffeeza, n’ekikoomi ky’okulongoosa lwa zaabu,
naye Mukama agezesa emitima.
4 Omubi assaayo omwoyo eri eby’obulimba,
era n’omulimba awuliriza olulimi olukuusa.
5 (HQ)Oyo akudaalira omwavu avvoola eyamutonda,
n’oyo asanyukira obuyinike bw’abalala talirema kubonerezebwa.
6 (HR)Abazzukulu ngule ya bajjajjaabwe,
era n’abaana beenyumiririza mu bakadde baabwe.
7 Enjogerannungi teba ya musirusiru,
ng’oweekitiibwa bw’atasaana kwogera bya bulimba.
8 Enguzi eri ng’ejjinja ery’omufuusa mu maaso g’oyo agigaba,
alowooza nti buli gy’akyukira eneemuyamba.
9 (HS)Okwagala tekulondoola nsobi,
naye oyo atasonyiwa nsobi akyawaganya ab’omukwano enfirabulago.
10 Okunenya kuyamba nnyo omuntu ategeera,
okusinga okukuba omusirusiru embooko ekikumi.
11 Omukozi w’ebibi anoonya bujeemu bwereere,
era kyaliva asindikirwa omubaka omukambwe.
12 Okusisinkana eddubu enyagiddwako abaana baayo,
kisinga okusisinkana omusirusiru mu busirusiru bwe.
Ebbeeyi y’Amagezi
13 (HT)Omuntu bw’asasula ekibi olw’obulungi,
ekibi tekiriva mu nnyumba ye.
14 (HU)Okutandika oluyombo kuli ng’omuntu bw’asumulula omudumu gw’amazzi,
noolwekyo vvaawo ng’oluyombo terunnatandika.
15 (HV)Eyejjeereza omukozi w’ebibi n’oyo avumirira omutuukirivu,
bombi ba muzizo eri Mukama.
16 (HW)Omusirusiru agasibwa ki okuba ne ssente ezisasulibwa amagezi,
ng’ate ye talina mutima gwegomba magezi?
17 Omukwano ogw’amagezi guba gwa lubeerera,
era owooluganda yeesigibwa mu biro eby’ennaku.
18 (HX)Omuntu atalina magezi awa obweyamo
ne yeetema okusasula amabanja ga muliraanwa we.
19 Oyo ayagala ekibi anyumirwa ennyombo,
n’oyo akola omulyango omunene ogw’omu maaso gwa bbugwe ye nga guyitiridde obunene gulimuteganya nnyo.
20 Omuntu ow’omutima omubambaavu takulaakulana,
n’oyo ow’olulimi olulimba agwa mu katyabaga.
21 (HY)Omwana omusirusiru aleetera kitaawe obuyinike,
kitaawe w’omusirusiru taba na ssanyu.
22 (HZ)Omutima ogw’essanyu ddagala ddungi,
naye omwoyo omunyiikaavu gukozza omubiri.
23 (IA)Omuntu omubi alya enguzi mu kyama,
alyoke aziyize amazima okweyoleka.
24 (IB)Omuntu omutegeevu, ebirowoozo abissa eri amagezi,
naye amaaso g’omusirusiru gasamaalirira ensi gy’ekoma.
25 (IC)Omwana omusirusiru buyinike eri kitaawe,
era aleeta ennaku eri nnyina eyamuzaala.
26 (ID)Si kirungi okuweesa omutuukirivu engassi ey’obwereere
wadde okukuba ab’ekitiibwa embooko olw’obwesimbu bwabwe.
27 (IE)Omuntu omwegendereza mu bigambo bye abeera n’okutegeera,
n’oyo alina omwoyo omuteefu aba muntu wa magezi.
28 (IF)Omusirusiru bw’asirika alowoozebwa okuba n’amugezi,
era aba mutegeevu bw’afuga akamwa ke.
Ebigambo by’Abagezi n’Abasirusiru
18 Eyeggya ku banne aba yeerowoozako yekka,
era tawuliriza magezi gamuweebwa.
2 (IG)Omusirusiru tasanyukira kutegeera,
ky’asanyukira kyokka kwe kwogera by’alowooza.
3 Okukola ekibi bwe kujja n’okunyooma kujjirako,
era awali okuyisaamu omuntu amaaso wabaawo okunyoomoola.
4 Ebigambo by’omu kamwa k’omuntu mazzi ga buziba,
naye ensulo ey’amagezi mugga ogukulukuta.
5 (IH)Si kirungi kuttira mubi ku liiso,
oba okusaliriza omutuukirivu.
6 Akamwa k’omusirusiru kamuleetera entalo
era akamwa ke kamuleetera okukubwa emiggo.
7 (II)Akamwa k’omusirusiru ke kamuleetera okuzikirira,
era n’emimwa gye mutego eri emmeeme ye.
8 (IJ)Ebigambo by’omuntu ageya biri ng’emmere ewoomerera,
bigenda mu bitundu by’omubiri eby’ewala.
9 (IK)Omuntu omugayaavu mu mirimu gy’akola,
waluganda n’oyo azikiriza.
10 (IL)Erinnya lya Mukama kigo ky’amaanyi,
omutuukirivu addukira omwo n’afuna emirembe.
11 (IM)Obugagga bw’omugagga, kye kibuga kye ekiriko bbugwe ow’amaanyi,
era mu kulaba kwe, kigo kye ekigumu ekitarinnyika.
12 (IN)Omuntu nga tannagwa, omutima gwe gwegulumiza, naye okwetoowaza kumuweesa ekitiibwa.
13 (IO)Oyo addamu amangu mu nsonga gy’ateetegerezza,
buba busirusiru bwe era buswavu.
14 (IP)Omwoyo gw’omuntu gumuwanirira mu bulwadde,
naye emmeeme eyennyise ani ayinza okugigumiikiriza?
15 (IQ)Omutima gw’omwegendereza guyiga okumanya,
amatu g’omuntu omugezi gawuliriza.
16 (IR)Ekirabo ky’omuntu kimuseguliza,
era kimutuusa ne mu maaso g’abeekitiibwa.
17 Asooka okweyogerako y’afaanana ng’omutuufu,
okutuusa omulala lw’amubuuza ebibuuzo.
18 (IS)Okukuba akalulu kimalawo empaka,
era kisalawo eggoye wakati w’abawakana ab’amaanyi.
19 Kyangu okuwamba ekibuga ekiriko bbugwe ow’amaanyi, okusinga okukomyawo owooluganda anyiize,
era ennyombo ziba ng’empagi z’ekigo.
20 (IT)Omuntu anakkutanga ebigambo ebiva mu kamwa ke;
ebibala ebijjula akamwa ke bye binamukkusanga.
21 (IU)Olulimi lulina obuyinza okuwa obulamu oba okutta,
era n’abo abalwagala balirya ebibala byalwo.
22 (IV)Azuula omukazi omulungi ow’okuwasa aba azudde ekirungi,
era aganja eri Mukama.
23 Omwavu yeegayirira,
naye omugagga addamu na bbogo.
24 (IW)Akwana emikwano emingi yeereetera okuzikirira,
naye wabaawo ow’omukwano akwagala ennyo okusinga owooluganda.
19 (IX)Omuntu omwavu atambulira mu butuukirivu,
asinga akamwa ak’omusirusiru akaweebuula.
2 (IY)Si kirungi okuba omujjumbize naye nga tolina kumanya,
n’okwanguyiriza okukola ekintu kuleetera omuntu okukwata ekkubo ekyamu.
3 Obusirusiru bw’omuntu bwe bwonoona obulamu bwe,
kyokka omutima gwe ne gunenya Mukama.
4 (IZ)Obugagga buleeta emikwano mingi,
naye emikwano gy’omwavu gimuddukako.
5 (JA)Omujulizi ow’obulimba talirema kubonerezebwa,
era oyo ayogera eby’obulimba taliba na buddukiro.
6 (JB)Bangi banoonya okuganja mu maaso g’omufuzi,
era buli muntu aba mukwano gw’oyo agaba ebirabo.
7 (JC)Baganda b’omwavu bonna bamwewala,
mikwano gye tebaasingewo nnyo okumwewala?
Wadde abagoberera ng’abeegayirira,
naye tabalaba.
8 (JD)Oyo afuna amagezi ayagala emmeeme ye,
n’oyo asanyukira okutegeera, akulaakulana.
9 (JE)Omujulizi ow’obulimba talirema kubonerezebwa,
n’oyo ayogera eby’obulimba alizikirira.
10 (JF)Omusirusiru tasaana kubeera mu bulamu bwa kwejalabya,
kale kiwulikika kitya ng’omuddu afuga abalangira?
11 (JG)Omuntu omutegeevu alwawo okusunguwala,
era kiba kya kitiibwa obutafa ku bye bamusobezza.
12 (JH)Obusungu bwa kabaka buli ng’okuwuluguma kw’empologoma,
naye ekisa kye kiri ng’omusulo ku ssubi.
13 (JI)Omwana omusirusiru aleetera kitaawe okuzikirira,
n’omukazi omuyombi ali ng’enkuba etonnya olutata.
14 (JJ)Ennyumba n’obugagga bisikirwa okuva ku bazadde,
naye omukazi omutegeevu ava eri Mukama.
15 (JK)Obugayaavu buleeta otulo tungi,
n’omuntu atakola mirimu alirumwa enjala.
16 (JL)Oyo akwata ebiragiro akuuma obulamu bwe,
naye oyo eyeeyisa mu ngeri embi alifa.
17 (JM)Oyo akwatirwa omwavu ekisa awola Mukama,
era Mukama alimusasula olw’ekikolwa kye ekyo.
18 (JN)Kangavvulanga omwana wo kubanga mu ekyo mulimu essuubi,
oleme kumuwaayo mu kuzikirira.
19 Omuntu omukambwe ennyo alisasula ebiriva mu bukambwe bwe,
kubanga ne bw’omununula ogusooka era oteekwa okukiddiŋŋaana.
20 (JO)Ssangayo omwoyo ku magezi agakuweebwa ne ku kuyigirizibwa,
oluvannyuma lwa byonna oliba n’amagezi.
21 (JP)Enteekateeka z’omuntu ziba nnyingi mu mutima gwe;
byo ebigendererwa bya Mukama bituukirira.
22 Ekintu omuntu kye yeegomba kwe kwagala okutaggwaawo,
okuba omwavu kisinga okuba omulimba.
23 (JQ)Okutya Mukama kutuusa mu bulamu;
olwo omuntu n’awummula nga mumativu nga tatuukiddwako kabi.
24 (JR)Omugayaavu annyika omukono gwe mu kibya,
n’atagukomyawo nate ku mumwa gwe.
25 (JS)Kangavvula omunyoomi, abatamanyi bayigire ku ye,
buulirira ategeera, ajja kweyongera okutegeera.
26 (JT)Omwana abba ebya kitaawe n’agobaganya ne nnyina,
aleeta obuswavu n’obuyinike.
27 Mwana wange konoolekayo okuyigirizibwa,
onoowaba okuva ku bigambo by’okumanya.
28 (JU)Omujulizi omulimba atyoboola ensala ey’amazima,
n’akamwa k’ababi, kavaabira ebitali bya butuukirivu.
29 (JV)Ebibonerezo bitekebwawo kukangavvula banyoomi,
n’embooko zaakolebwa lwa migongo gy’abasirusiru.
20 (JW)Omwenge mukudaazi, ekitamiiza muleekaanyi,
era buli alaga mu kkubo ekyamu olw’ebyo talina magezi.
2 (JX)Obusungu bwa kabaka buli ng’okuwuluguma kw’empologoma,
n’oyo amusunguwaza yeefiiriza bulamu bwe.
3 (JY)Kya kitiibwa omuntu okwewala entalo,
naye buli musirusiru ayagala okuyomba.
4 Omugayaavu talima mu budde butuufu,
kyanaavanga anoonya eby’amakungula nga talina kantu.
5 Ebigendererwa ebiba mu mutima gw’omuntu biba ng’amazzi ag’ebuziba,
naye omuntu alina okutegeera alibiggyayo.
6 (JZ)Abantu bangi bagamba nti balina okwagala okutaggwaawo,
naye ani ayinza okuzuula omuntu omwesigwa?
7 (KA)Omuntu omutuukirivu, atambulira mu bulamu obutaliiko kyakunenyezebwa;
ba mukisa abaana be abalimuddira mu bigere.
8 (KB)Kabaka bw’atuula ku ntebe ye ey’obwakabaka ng’asala emisango,
amaaso ge gasunsulamu ne gaggyamu ebibi byonna.
9 (KC)Ani ayinza okugamba nti, “Ntukuzza omutima gwange,
ndi mulongoofu era sirina kibi?”
10 (KD)Ebipima obuzito ebitatuuka n’ebigera ebikyamu,
byombi bya muzizo eri Mukama.
11 (KE)Omuvubuka naye amanyibwa olw’ebikolwa bye,
obanga birongoofu era nga birungi.
12 (KF)Okutu okuwulira n’eriiso eriraba
byombi Mukama ye y’abikola.
13 (KG)Toyagalanga kwebaka oleme kwavuwala,
tunula, obeerenga n’ebyokulya bingi.
14 “Si kirungi, si kirungi,” bw’ayogera agula;
naye bw’agenda n’alyoka yeenyumiririza mu ky’aguze.
15 Zaabu n’amayinja ag’omuwendo weebiri,
naye emimwa egyogera eby’amagezi kye ky’omuwendo ekisingako.
16 (KH)Omuntu bw’aleeta ekyambalo kye ne yeeyimiririra gw’atamanyi,
kitwalire ddala, na ddala bw’abanga yeeyimiririra omukazi omubambaavu.
17 (KI)Emmere enfune mu bukyamu ewooma mu kulya,
naye emufuukira amayinja mu kamwa.
18 (KJ)Kola entegeka nga weebuuza ku magezi,
bw’oba onoolangirira olutalo sooka weebuuze.
19 (KK)Oyo agenda ng’asaasaanya olugambo abotola ebyama,
noolwekyo weewale omuntu ayogerayogera ennyo ebitaliimu.
20 (KL)Omuntu akolimira kitaawe oba nnyina,
ettabaaza ye erizikizibwa n’asigala mu kizikiza ekikutte ennyo.
21 Eby’obusika ebifune ng’ekiseera kyabyo tekinnatuuka,
ku nkomerero tebiba na mukisa.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.