Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Bible in 90 Days

An intensive Bible reading plan that walks through the entire Bible in 90 days.
Duration: 88 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
1 Bassekabaka 7:38-16:20

38 (A)N’alyoka akola amabensani kkumi, nga ga kikomo, buli emu ng’egyamu lita lunaana mu kinaana, era buli emu nga yenkana mita emu ne desimoolo munaana obugazi, ate buli bensani ng’etuula ku kitebe kyayo. 39 N’addira ebitebe bitaano ku byo n’abiteeka ku luuyi olw’obukiikaddyo obwa yeekaalu, n’ebitaano ebirala ku luuyi olw’obukiikakkono; n’ateeka Ennyanja ku luuyi olw’obukiikaddyo obw’ebuvanjuba obwa yeekaalu. 40 N’akola n’ensuwa, n’amabensani, n’ebijiiko, n’amabensani ag’okumansira.

Bw’atyo Kiramu n’amaliriza omulimu gwa yeekaalu ya Mukama gwonna gwe yakolera Kabaka Sulemaani.

41 Empagi ebbiri zombi;

ebitikkiro byombi eby’ebibya ebyayolebwa waggulu ku mpagi;

embu ebbiri ez’ebitimbe ebyali ku bitikkiro byombi eby’empagi;

42 (B)n’ebitone ebikumi ebina eby’amakomamawanga ebyali mu mbu ebbiri, ebyali bibikka ku nkufiira ez’empagi;

43 ebitebe ekkumi n’amabensani gaakwo agaabituulangako kkumi;

44 ettanka ennene n’ebifaananyi eby’ente ennume ekkumi n’ebbiri ebyali wansi w’ettanka ennene;

45 (C)n’ensuwa, n’ebisena, n’amabensani agamansira.

Ebintu byonna Kulamu bye yakolera Kabaka Sulemaani ku lwa yeekaalu ya Mukama byali bya bikomo bizigule. 46 (D)Kabaka yalagira babisaanuusize mu lusenyi lwa Yoludaani awali ettaka ery’ebbumba wakati w’e Sukkosi n’e Zalesani. 47 (E)Sulemaani teyapima bintu ebyo byonna, kubanga byali biyitiridde obungi; era tewali yapima buzito obw’ekikomo ebintu mwe byakolebwa.

48 (F)Awo Sulemaani n’akozesa n’ebintu ebirala byonna ebyateekebwa mu yeekaalu ya Mukama:

ekyoto ekya zaabu;

emmeeza eya zaabu okwaberanga emigaati egy’okulaga;

49 (G)ebikondo by’ettaala[a] ebya zaabu ennongoose, bitaano ku luuyi olwa ddyo n’ebitaano ku luuyi olwa kkono, byonna awamu kkumi, mu kifo awaayimirirwanga okwogera;

obusumbi bw’ebimuli; ettabaaza ne makansi nga bya zaabu;

50 (H)bbensani, ne makansi ezisala ebisirinza, ne bbakuli ezifukirira, n’ebibya ne fulampeni, nga bya zaabu ennongoose;

eminyolo gy’enzigi egy’ekisenge eky’omunda ddala, kye Kifo Ekitukuvu Ennyo nga gya zaabu, n’egy’enzigi ez’ekisenge ekinene ddala ekya yeekaalu nga gya zaabu.

51 (I)Omulimu gwonna Kabaka Sulemaani gwe yakola ku yeekaalu ya Mukama bwe gwaggwa, n’aleeta ebintu Dawudi kitaawe bye yayawulirako Mukama, effeeza ne zaabu n’ebintu ebirala byonna, n’abiteeka mu mawanika ga yeekaalu ya Mukama.

Essanduuko ya Mukama Ereetebwa mu Yeekaalu

(J)Awo Sulemaani n’ayita abakadde ba Isirayiri, n’abakulu b’ebika bonna, n’abaami b’ennyumba za Isirayiri bonna, okuggya essanduuko ey’endagaano ya Mukama mu Sayuuni ekibuga kya Dawudi, okugireeta e Yerusaalemi. (K)Bonna ne bakuŋŋaanira ewa Kabaka Sulemaani ku mbaga mu mwezi ogwa Esanimu[b] gwe mwezi ogw’omusanvu.

(L)Abakadde bonna aba Isirayiri bwe baatuuka, bakabona ne basitula essanduuko, (M)ne bagireeta, ne baleeterako n’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu n’ebintu byonna ebitukuvu ebyalimu. (N)Bakabona n’Abaleevi ne babisitula, Kabaka Sulemaani n’abo abaali awamu naye, n’eggwanga lyonna erya Isirayiri eryali liri naye mu maaso g’essanduuko, ne bawaayo ebiweebwayo ebya ssaddaaka eby’endiga, n’ente, ebitaamanyibwa muwendo.

(O)Bakabona ne bayingiza essanduuko ey’endagaano ya Mukama mu kifo kyayo, mu kisenge eky’omunda, mu Kifo Ekitukuvu Ennyo, wansi w’ebiwaawaatiro bya bakerubi. Ebiwaawaatiro bya bakerubi byali byanjuluze ku kifo essanduuko we yateekebwa, ne bibikka ku ssanduuko ne ku misituliro gyayo. (P)Emisituliro gino gyali miwanvu nnyo nga n’okulabika girabikira mu kifo ekitukuvu mu maaso g’ekisenge ekitukuvu ennyo, naye nga tegirabika okuva ebweru; era gikyaliyo ne leero. (Q)Temwali kintu mu ssanduuko okuggyako ebipande ebibiri eby’amayinja Musa bye yateekamu e Kolebu, Mukama bwe yalagaana endagaano n’abaana ba Isirayiri, nga bavudde mu nsi y’e Misiri.

10 (R)Awo bakabona bwe baava mu kifo ekitukuvu, ekire ne kibuna yeekaalu ya Mukama, 11 bakabona n’okuyinza ne batayinza kuweereza olw’ekire, kubanga ekitiibwa kya Mukama kyali kibunye mu yeekaalu.

12 (S)Awo Sulemaani n’agamba nti, “Mukama yayogera nti anaabeeranga mu kire ekikutte. 13 (T)Nkuzimbidde yeekaalu ey’ekitiibwa, ekifo ky’onoobeerangamu emirembe gyonna.”

14 (U)Ekibiina kyonna ekya Isirayiri bwe kyali kiyimiridde awo, kabaka n’abakyukira n’abasabira omukisa. 15 (V)N’ayogera nti,

Mukama yeebazibwe, Katonda wa Isirayiri, atuukirizza n’omukono gwe bye yasuubiza Dawudi kitange ne bye yayogerera mu ye. 16 (W)Yayogera nti, ‘Okuva ku lunaku lwe naggyirako abantu bange Isirayiri mu Misiri, seerobozanga kibuga na kimu mu bika byonna ebya Isirayiri okuzimbamu yeekaalu, naye neeroboza Dawudi okufuga abantu bange Isirayiri.’

17 (X)“Era kyali mu mutima gwa Dawudi kitange okuzimbira erinnya lya Mukama, Katonda wa Isirayiri yeekaalu. 18 Naye Mukama n’agamba Dawudi kitange nti, ‘Kubanga kyali mu mutima gwo okuzimbira erinnya lyange eyeekaalu, walowooza bulungi. 19 (Y)Naye si ggwe olinzimbira yeekaalu, mutabani wo alikuzaalirwa, ow’omusaayi gwo yennyini, y’alizimbira erinnya lyange eyeekaalu.’

20 (Z)Mukama atuukirizza kye yasuubiza, ne nsikira Dawudi kitange, n’okutuula ne ntuula ku ntebe ey’obwakabaka bwa Isirayiri, nga Mukama bwe yasuubiza, era nzimbidde erinnya lya Mukama Katonda wa Isirayiri eyeekaalu. 21 Ntaddewo ekifo ky’essanduuko, omuli endagaano ya Mukama gye yakola ne bajjajjaffe, ng’abaggya mu nsi y’e Misiri.”

Okusaba kwa Sulemaani okw’Okuwaayo Yeekaalu eri Mukama

22 (AA)Awo Sulemaani n’ayimirira mu maaso g’ekyoto kya Mukama ekibiina kyonna ekya Isirayiri nga kiraba, n’ayanjuluza emikono gye eri eggulu, 23 (AB)n’ayogera nti,

“Ayi Mukama Katonda wa Isirayiri, tewali Katonda akufaanana mu ggulu waggulu oba wansi ku nsi, gwe akuuma endagaano yo ey’okwagala n’okuuma n’abaddu bo abatambulira mu maaso go n’emitima gyabwe gyonna. 24 Okuumye ekisuubizo kyo eri omuddu wo Dawudi kitange; wasuubiza n’akamwa ko era okituukirizza n’omukono gwo, nga bwe kiri leero.

25 (AC)“Kaakano Mukama, Katonda wa Isirayiri, otuukirize bye wasuubiza omuddu wo Dawudi kitange, bwe wagamba nti, ‘Abaana bo bwe baneegenderezanga mu buli kye banaakolanga, ne batambuliranga mu maaso gange nga bw’okoze, wanaabangawo ow’omu lulyo lwo anaatuulanga ku ntebe ey’obwakabaka bwa Isirayiri mu maaso gange.’ 26 (AD)Era kaakano, Ayi Katonda wa Isirayiri, ekigambo kyo kye wasuubiza omuddu wo Dawudi kitange, okituukirize.

27 (AE)“Naye ddala Katonda anaabeeranga ku nsi? Laba, eggulu n’eggulu ly’eggulu terikumala, ne yeekaalu eno toyinza kugigyamu. 28 Kaakano osseeyo omwoyo eri okusaba kw’omuddu wo n’okwegayirira kwe, Ayi Mukama Katonda wange. Owulire okukaaba n’okusaba omuddu wo kw’asaba mu maaso go leero. 29 (AF)Amaaso go gatunuulirenga yeekaalu eno emisana n’ekiro, ekifo kino kye wayogerako nti, ‘Erinnya lyange linaabeeranga omwo,’ okuwulira okusaba kw’omuddu wo kw’asabira ekifo kino. 30 (AG)Owulire okwegayirira kw’omuddu wo, n’okw’abantu bo Isirayiri, bwe banasabanga nga batunuulidde ekifo kino. Owulire okuva mu ggulu, ekifo gy’obeera, era bw’otuwulira, tukwegayiridde otusonyiwe.

31 (AH)“Omuntu bw’anaasobyanga muliraanwa we, ne kimugwanira okulayira, n’ajja n’alayirira mu maaso g’ekyoto mu yeekaalu eno, 32 (AI)owulire okuva mu ggulu, era omukole nga bw’olaba. Osale omusango wakati wa baddu bo, era obonereze oyo omusango gwe gusinze nga bwe kimusaanidde. Olangirire nti atasobezza taliiko musango, ekyo kinaakakasa nti taliiko musango.

33 (AJ)“Abantu bo Isirayiri bwe banaawaangulibwanga omulabe olw’ebibi byabwe, ne bakyuka ne badda gy’oli, ne baatula erinnya lyo, ne basaba ne bakwegayirira mu yeekaalu muno, 34 kale owulirenga ng’oli mu ggulu, era osonyiwenga abantu bo Isirayiri olw’ebibi byabwe, era obakomyengawo mu nsi gye wawa bajjajjaabwe.

35 (AK)“Eggulu bwe linaggalwangawo ne wataba nkuba, olw’ebibi byabwe, era bwe banasabanga nga batunuulira ekifo kino ne baatula erinnya lyo ne bakyuka okuleka ekibi kyabwe, olw’okubabonereza, 36 (AL)kale owulirenga ng’oli mu ggulu, era obasonyiwenga ekibi ky’abaddu bo, abantu bo Isirayiri. Obayigirize ekkubo etuufu ery’okutambulirangamu, era otonnyese enkuba ku nsi gye wawa abantu bo ng’omugabo gwabwe.

37 (AM)“Bwe wanaabangawo enjala mu nsi, oba kawumpuli, oba okugengewala oba bukuku, oba enzige, oba omulabe ng’abazingizza mu bibuga byabwe, endwadde yonna ne bweneefaanananga etya, 38 omuntu yenna ku bantu bo bw’anaasabiranga ekintu kyonna, buli omu n’amanya endwadde ey’omu mutima gwe, era n’ayanjuluza emikono gye eri yeekaalu eno, kale owulirenga ng’oli mu ggulu, ekifo gy’obeera. 39 (AN)Osonyiwenga era okolenga buli muntu ng’ebikolwa bye bwe biri, kubanga ggwe wekka ggwe omanyi, emitima gy’abantu bonna, 40 (AO)balyoke bakutyenga ennaku zonna ze banaabeeranga mu nsi gye wawa bajjajjaffe.

41 “Ebikwata ku munnaggwanga atali wa mu bantu bo Isirayiri, naye ng’avudde mu nsi ey’ewala olw’erinnya lyo, 42 (AP)kubanga abantu baliwulira erinnya lyo ekkulu n’omukono gwo ogw’amaanyi, bw’anajjanga n’asaba ng’atunuulidde yeekaalu eno; 43 (AQ)owulirenga ng’oli mu ggulu, ekifo gy’obeera, era okolenga buli kintu kyonna omunaggwanga oyo ky’anaakusabanga, abantu bonna ab’omu nsi bamanye erinnya lyo era bakutyenga, ng’abantu bo Isirayiri bwe bakola, era bamanyenga nti Ennyumba eno gye nzimbye, etuumiddwa erinnya lyo.

44 “Abantu bo bwe banaatabaalanga abalabe baabwe gy’onoobasindikanga ne basaba Mukama nga batunuulidde ekibuga kye weeroboza ne yeekaalu gye nzimbidde erinnya lyo, 45 kale owulirenga okusaba kwabwe n’okwegayirira kwabwe ng’oli mu ggulu, otegeere ensonga zaabwe.

46 (AR)“Bwe banaayonoonanga mu maaso go, kubanga tewali muntu atasobyanga, n’obasunguwalira n’obagabula eri omulabe, ne batwalibwa mu nsi eyeewala oba eyokumpi; 47 (AS)era bwe banaakyusanga emitima gyabwe nga bali mu nsi gye baabatwala ne babasibira eyo, ne beenenya era ne bakwegayiririra mu nsi y’abo abaabatwala nga boogera nti, ‘Twayonoona, twakola ebikyamu era ne tukola ekyejo;’ 48 (AT)bwe banaakukyukiranga n’omutima gwabwe gwonna n’emmeeme yaabwe yonna mu nsi ey’abalabe baabwe abaabawamba, ne bakusaba nga batunuulidde ensi gye wawa bajjajjaabwe, ekibuga kye weeroboza ne yeekaalu gye nzimbidde erinnya lyo; 49 kale owulirenga okusaba kwabwe n’okwegayirira kwabwe ng’oli mu ggulu ekifo gy’obeera, era otegeerenga ensonga yaabwe. 50 (AU)Osonyiwenga abantu bo abakusobezza, era obasonyiwenga ebibi byabwe byonna, era abo abaabawangula babakwatirwe ekisa, 51 (AV)kubanga bantu bo era gwe mugabo gwo, be waggya mu Misiri, mu kyoto ekisaanuusa ekyuma.

52 “Ontunuulize amaaso ag’ekisa olabe okwegayirira kw’abantu bo Isirayiri, era obawulirenga buli lwe banaakukaabiriranga. 53 (AW)Ayi Mukama Ayinzabyonna gwe walonda abantu bo mu mawanga gonna ag’omu nsi okuba ababo, nga bwe wayogerera mu muddu wo Musa, bwe waggya bajjajjaffe mu Misiri.”

54 Awo Sulemaani bwe yamala okusaba n’okwegayiririra abantu eri Mukama, n’asituka okuva we yali afukamidde ng’emikono gye ajanjuluza eri eggulu, mu maaso g’ekyoto kya Mukama. 55 (AX)N’ayimirira n’asabira ekibiina kyonna ekya Isirayiri omukisa mu ddoboozi ery’omwanguka ng’agamba nti,

56 (AY)Mukama yeebazibwe awadde abantu be Isirayiri okuwummula nga bwe yasuubiza. Tewali kigambo na kimu ekitatuukiridde ku ebyo ebirungi bye yasuubiza omuddu we Musa. 57 (AZ)Mukama Katonda waffe abeere wamu naffe nga bwe yali ne bajjajjaffe, era aleme okutuleka wadde okutwabulira. 58 (BA)Akyuse emitima gyaffe tudde gyali, okutambuliranga mu makubo ge gonna, n’okukwatanga ebiragiro bye, n’amateeka ge, n’ebigambo bye n’emisango gye bye yawa bajjajjaffe. 59 N’ebigambo byange bino bye nsabye mu maaso ga Mukama, bibeerenga kumpi ne Mukama Katonda waffe emisana n’ekiro, alyoke awanirire ensonga y’abantu be Isirayiri, ng’ebyetaago ebya buli lunaku, 60 (BB)abantu bonna ab’oku nsi bategeere nga Mukama ye Katonda era tewali mulala. 61 (BC)Naye emitima gyammwe giteekwa okunywerera ku Mukama Katonda waffe, nga mutambulira mu mateeka ge, n’okugondera ebiragiro bye, nga bwe mukola leero.”

Okuwonga kwa Yeekaalu

62 Awo Kabaka ne Isirayiri yonna ne bawaayo ssaddaaka mu maaso ga Mukama. 63 Sulemaani yawaayo ssaddaaka ey’ebiweebwayo olw’emirembe eri Mukama, era bino bye yawaayo: ente emitwalo ebiri, n’endiga n’embuzi emitwalo kkumi n’ebiri. Bwe batyo Kabaka n’Abayisirayiri bonna ne bawonga yeekaalu ya Mukama.

64 (BD)Ku lunaku olwo Kabaka kwe yatukuliza oluggya olwa wakati mu maaso ga yeekaalu ya Mukama, era eyo n’aweerayo ebiweebwayo ebyokebwa, n’eby’obutta, n’amasavu g’ebiweebwayo olw’emirembe, kubanga ekyoto eky’ekikomo mu maaso ga Mukama kyali kitono nnyo okugyaako ebiweebwayo ebyokebwa, n’ebiweebwayo eby’obutta, n’amasavu g’ebiweebwayo olw’emirembe.

65 (BE)Sulemaani ne Isirayiri yonna wamu naye, ne batuukiriza embaga eyo mu biro ebyo, ekibiina ekinene ddala mu maaso ga Mukama Katonda waffe, nga beegatiddwako abantu abaava ku mulyango gwa Kamasi n’abaava ku mukutu gw’e Misiri, okumala ennaku kkumi na nnya. 66 Ku lunaku olwaddirira abantu ne basabira Kabaka omukisa, n’abasiibula ne baddayo ewaabwe nga basanyuka era nga bajaguza mu mutima olw’ebirungi byonna Mukama bye yali akoledde Dawudi omuddu we n’abantu be Isirayiri.

Mukama Alabikira Sulemaani

(BF)Awo Sulemaani bwe yamala okuzimba yeekaalu ya Mukama n’olubiri lwe, n’okuzimba ebyo byonna bye yasiima, (BG)Mukama n’amulabikira omulundi ogwokubiri, nga bwe yamulabikira e Gibyoni. (BH)Mukama n’amugamba nti,

“Mpulidde okusaba n’okwegayirira kw’owaddeyo gye ndi; ntukuzizza yeekaalu eno gy’ozimbye, n’erinnya lyange, emirembe gyonna. Amaaso gange n’omutima gwange binaabeeranga omwo.

(BI)“Naawe bw’onootambuliranga mu maaso gange n’omutima ogw’amazima n’obugolokofu, nga Dawudi kitaawo bwe yakola, era n’okolanga bye nkulagira byonna, n’okwatanga amateeka gange, (BJ)nnaanyweza entebe yo ey’obwakabaka mu Isirayiri emirembe gyonna, nga bwe nasuubiza Dawudi kitaawo bwe n’ayogera nti, ‘Tolirema kuba na musajja ow’omu lulyo lwo anaatuulanga ku ntebe ey’obwakabaka bwa Isirayiri.’

(BK)“Naye ggwe oba batabani bo bwe munanjeemeranga ne mutakwatanga biragiro byange n’amateeka ge mbawadde, ne mutanula okuweereza bakatonda abalala, (BL)kale ndiggya ku Isirayiri ensi gye mbawadde era ne yeekaalu gye ntukuzizza n’erinnya lyange ndigireka. Olwo Isirayiri erifuuka eky’okunyoomoolwa n’ekyokusekererwa mu mawanga gonna. (BM)Newaakubadde nga yeekaalu eno eyatiikirira kaakano, buli anaayitangawo aneewunyanga n’aŋŋoola ng’agamba nti, ‘Kiki ekireetedde Mukama okukola ekintu bwe kiti ku nsi eno ne ku yeekaalu eno?’ Abantu baliddamu nti, ‘Kubanga baava ku Mukama Katonda waabwe, eyaggya bajjajjaabwe mu Misiri, ne basembeza bakatonda abalala, n’okubasinza ne babasinza era n’okubaweereza ne babaweereza. Mukama kyavudde ababonereza mu ngeri eyo.’ ”

Ebintu Ebirala Sulemaani bye Yakola

10 Ku nkomerero y’emyaka amakumi abiri, mu kiseera Sulemaani mwe yazimbira ebizimbe byombi, eyeekaalu ya Mukama, n’olubiri lwe olw’obwakabaka, 11 (BN)Kabaka Sulemaani yagabira Kiramu kabaka w’e Ttuulo ebibuga amakumi abiri, olw’emivule, n’emiberosi ne zaabu bye yaweereza Sulemaani. 12 Naye Kiramu bwe yava e Ttuulo n’agenda okulambula ebibuga Sulemaani bye yamugabira, ne bitamusanyusa. 13 (BO)N’amubuuza nti, “Bino bibuga bya ngeri ki by’ompadde muganda wange?” N’abituuma erinnya Kabuli, era bwe biyitibwa n’okutuusa olunaku lwa leero. 14 Kiramu yali aweerezza kabaka ttani nnya eza zaabu.

15 (BP)Kabaka Sulemaani mu buyinza bwe n’amaanyi ge, yakuŋŋaanya abasajja ab’amaanyi bangi okuzimba yeekaalu ya Mukama, n’olubiri lwe, n’obusenge obuwagika bbugwe wa Yerusaalemi, n’ebibuga ebya Kazoli, ne Megiddo ne Gezeri. 16 Falaawo, ye kabaka w’e Misiri yali atabadde, n’okuwamba n’awamba Gezeri, n’akireka ng’akikumyeko omuliro, ng’asse Abakanani abaakibeerangamu. Ekifo ekyo n’akigabira muwala we, muka Sulemaani ng’ekirabo ku mbaga yaabwe. 17 (BQ)Awo Sulemaani n’akizimba buggya; n’azimba ne Besukolooni ekya wansi, 18 (BR)Baalasi ne Tamali mu ddungu, 19 (BS)n’ebibuga eby’amawanika, n’omwakuumirwanga amagaali, n’abeebagala embalaasi ze, ne byonna bye yayagala okuzimba mu Yerusaalemi, ne mu Lebanooni ne mu bitundu byonna bye yafuganga.

20 Abantu bonna abaasigalawo ku Bamoli, n’Abakiiti, n’Abaperezi, n’Abakiivi n’Abayebusi, abataali Bayisirayiri, 21 (BT)Abayisirayiri be bataayinza kuzikiririza ddala, Sulemaani n’abafuula baddu, n’okutuusa leero. 22 (BU)Naye teyafuula Muyisirayiri n’omu muddu, wabula bo baali nga balwanyi be, na bakungu be, na baami be, na baduumizi b’amagaali na beebagazi ba mbalaasi ze. 23 (BV)Era be baali nga abakungu abaavunaanyizibwanga emirimu gye gyonna, era abo bonna abaavunaanyizibwanga emirimu egyo, awamu nga bawera abakungu ebikumi bitaano mu ataano.

24 (BW)Awo muwala wa Falaawo bwe yava mu kibuga kya Dawudi n’agenda mu lubiri Sulemaani lwe yamuzimbira, Sulemaani n’azimba obusenge obuwagika bbugwe.

25 (BX)Sulemaani yawangayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo eby’emirembe ku kyoto kye yazimbira Mukama, emirundi esatu[c] mu mwaka, ng’ayotereza obubaane mu maaso ga Mukama, ng’atuukiriza obulombolombo bwa yeekaalu.

26 (BY)Kabaka Sulemaani yazimba n’ebyombo mu Eziyonigeba[d] okuliraana Erosi mu Edomu, ku lubalama lw’ennyanja Emyufu. 27 (BZ)Kiramu n’aweereza abasajja be abalunnyanja okukoleranga awamu n’aba Sulemaani. 28 (CA)Ne baseeyeeya okutuuka mu Ofiri[e], ne baleeta ttani kkumi na nnya eza zaabu eri Sulemaani.

Okukyala kwa Kabaka Omukazi ow’e Seeba

10 (CB)Awo kabaka omukazi ow’e Seeba bwe yawulira ettutumo lya Sulemaani n’okwagala kwe yalina eri Mukama, n’ajja amugezese n’ebibuuzo ebizibu. Yatuuka mu Yerusaalemi, n’ekibiina ky’abantu ekinene ennyo, n’eŋŋamira ezaali zeetisse ebyakaloosa, ne zaabu ennyingi ennyo, n’amayinja ag’omuwendo. Yanyumya ne Sulemaani ku ebyo byonna ebyali ku mutima gwe. Awo Sulemaani n’addamu ebibuuzo byonna, era tewaali na kimu ku byo ekyamuzibuwalira. Kabaka omukazi ow’e Seeba bwe yalaba amagezi ga Sulemaani ago gonna, n’olubiri lwe yazimba, (CC)n’emmere eyagabulwanga ku mmeeza ye, n’engeri abakungu be gye baatuuzibwangamu, n’ennyambala y’abaddu be, n’abasenero be, n’ebiweebwayo ebyokebwa bye yawangayo mu yeekaalu ya Mukama, ne yeewunya nnyo.

N’amugamba nti, “Bye nawulira nga ndi mu nsi yange, ku ebyo by’okoze n’amagezi go, bya mazima. (CD)Ssakkiriza bigambo ebyo okutuusa lwe neesitukira ne nzija neerabireko n’agange. Kya mazima ddala nabulirwako kitundu butundu kyokka; kubanga amagezi go, n’obugagga bwo bisinga ku ebyo bye nawulira. (CE)Abasajja bo nga beesiimye! N’abakungu abayimirira mu maaso go ne bawulira ebigambo eby’amagezi nga beesiimye! (CF)Yeebazibwe Mukama Katonda wo akusanyukira era akutadde ku ntebe ey’obwakabaka bwa Isirayiri. Olw’okwagala kwa Mukama okutaggwaawo, akufudde kabaka, okukuuma obwenkanya n’obutuukirivu.”

10 (CG)N’agabira kabaka ttani nnya eza zaabu, n’ebyakaloosa bingi nnyo nnyini, n’amayinja ag’omuwendo. Tewaaleetebwa nate byakaloosa byenkana awo obungi ng’ebyo kabaka omukazi ow’e Seeba bye yawa Sulemaani.

11 (CH)(Emmeeri za Kiramu zaaleetanga zaabu okuva e Ofiri, n’emitoogo mingi, era n’amayinja ag’omuwendo. 12 Kabaka yakozesa emitoogo okukola empagi za yeekaalu ya Mukama Katonda n’ez’olubiri lw’obwakabaka, n’okukola ennanga, n’entongooli z’abayimbi. Tewalabikanga mitoogo mingi bwe gityo n’okutuusa ku lunaku lwa leero.)

13 Awo kabaka Sulemaani n’awa kabaka omukazi ow’e Seeba byonna bye yayagala ne bye yasaba, obutassaako ebyo Sulemaani bye yamuwa okuva ku byobugagga bw’obwakabaka bwe. Oluvannyuma kabaka omukazi ow’e Seeba n’addayo mu nsi ye n’ekibiina ky’abantu be, be yajja nabo.

Obugagga bwa Sulemaani

14 (CI)Obuzito obwa zaabu obwaleetebwanga eri Sulemaani buli mwaka bwali ttani amakumi abiri mu ssatu, 15 nga tobaliddeeko musolo ogwawebwangayo abasuubuzi n’ab’ebyamaguzi, ate era n’ogwasoloozebwanga okuva ku bakabaka Abawalabu bonna ne bagavana.

16 (CJ)Kabaka Sulemaani yaweesa engabo ennene ebikumi bibiri mu zaabu, buli ngabo ng’erimu kilo ssatu n’ekitundu eza zaabu. 17 (CK)Yakola n’engabo entono ebikumi bisatu, nga nazo za zaabu, buli ngabo nga ya kilo emu n’ekitundu eza zaabu. Ezo zonna kabaka yaziterekanga mu lubiri olwazimbibwa mu miti egyava mu kibira kya Lebanooni.

18 Awo kabaka n’akola entebe ey’obwakabaka ennene ddala nga ya masanga n’agibikkako zaabu ennongoose. 19 Entebe ey’obwakabaka yalina amadaala mukaaga, waggulu waayo aweesigamwa nga weekulungirivu. Eruuyi n’eruuyi w’entebe waaliyo empologoma nga ziyimiridde ku mabbali g’emikono. 20 Empologoma kkumi na bbiri zaali ku madaala mukaaga, eruuyi mukaaga n’eruuyi mukaaga. Tewaali ntebe ndala yonna ey’obwakabaka eyali ekoleddwa eri ng’eyo mu bwakabaka obulala bwonna mu biseera ebyo. 21 Ebikompe byonna ebya kabaka Sulemaani byali bya zaabu, ne byonna ebyali mu lubiri lwe olwakolebwa mu kibira kya Lebanooni. Tewali kyakolebwa mu ffeeza, kubanga ffeeza teyali ya muwendo nnyo mu biro ebyo. 22 (CL)Kabaka yalina ebyombo ebya maguzi ku nnyanja ebyakozesebwanga awamu n’ebya Kiramu, ebyaleetanga zaabu, ne ffeeza, n’amasanga, n’enkobe n’enkima eza buli ngeri omulundi gumu mu buli myaka esatu.

23 (CM)Kabaka Sulemaani yalina obugagga bungi nnyo nnyini, n’amagezi mangi nnyo okusinga bakabaka abalala bonna ku nsi. 24 (CN)Ensi yonna yanoonyanga era yeesunganga okulaba ku Sulemaani n’okuwuliriza amagezi, Katonda ge yamuwa. 25 Buli mwaka, buli omu eyajjanga okumukyalira, yamuleeteranga ekirabo, oluusi yabeeranga zaabu ne ffeeza, oluusi ngoye, oluusi byakulwanyisa, oluusi byakaloosa, oluusi mbalaasi n’ennyumbu.

26 (CO)Sulemaani yakuŋŋaanya embalaasi n’amagaali, era yalina amagaali lukumi mu bina, n’abeebagazi b’embalaasi omutwalo gumu mu enkumi bbiri, be yakuumiranga mu bibuga omwakuumirwanga amagaali, ne mu Yerusaalemi okumpi naye. 27 (CP)Kabaka n’afuula ffeeza okuba ng’amayinja aga bulijjo mu Yerusaalemi, n’emivule n’agifuula okuba ng’emisukamooli egiri mu biwonvu olw’obungi bwagyo. 28 Embalaasi za Sulemaani zaagulibwanga mu Misiri. 29 (CQ)Eggaali zaagulibwanga kilo musanvu eza ffeeza, na buli mbalaasi ng’egulibwa kilo emu n’ekitundu eza ffeeza mu Misiri. Ate era baazitunzanga ne bakabaka ab’Abakiiti ne bakabaka ab’e Busuuli.

Abakazi ba Sulemaani

11 (CR)Kabaka Sulemaani yayagala abakazi bannaggwanga bangi: Abamowaabu, n’Abamoni, n’Abayedomu, n’Abasidoni, n’Abakiiti, ng’okwo kw’ogasse muwala wa Falaawo, (CS)nga bava mu mawanga Mukama ge yayogerako ng’alabula Abayisirayiri nti, “Temufumbiriganwanga nabo kubanga tebalirema kukyusa mitima gyammwe okugoberera bakatonda baabwe.” Naye omutima gwa Sulemaani ne guwugulwa, era naabagala. Sulemaani yalina abakyala lusanvu abambejja, n’abakazi abalala ebikumi bisatu, era abo bonna ne bamuwabya. (CT)Mu bisera bya Sulemaani eby’obukadde, bakyala be ne basendasenda omutima gwe okugoberera bakatonda abalala. (CU)N’atanula okusinza Asutoleesi katonda omukazi ow’Abasidoni, ne Mirukomu katonda ow’omuzizo ow’Abamoni. Sulemaani n’akola ebitaali bya butuukirivu mu maaso ga Mukama n’atagobererera ddala Mukama, n’atakola nga Dawudi kitaawe bwe yakola.

(CV)Sulemaani n’azimba ebifo ebigulumivu ku kasozi[f] akali ebuvanjuba w’e Yerusaalemi, ng’abizimbira Kemosi katonda ow’omuzizo ow’Abamowaabu, ne Moleki katonda ow’omuzizo ow’Abamoni. Bakyala be bonna bannamawanga, abaayoterezanga obubaane eri bakatonda baabwe, nabo n’abakolera bw’atyo. (CW)Mukama n’asunguwalira Sulemaani kubanga omutima gwe gwava ku Mukama Katonda wa Isirayiri, eyamulabikira emirundi ebiri. 10 (CX)Newaakubadde nga Mukama yali alabudde Sulemaani obutagoberera bakatonda abalala, Sulemaani teyagondera kiragiro kya Mukama. 11 (CY)Mukama kyeyava agamba Sulemaani nti, “Olw’empisa zo, n’obutakuuma ndagaano yange newaakubadde okugondera amateeka gange ge nakulagira, ndikuggyako obwakabaka, ne mbuwa omu ku baddu bo. 12 Naye olwa Dawudi kitaawo, ekyo sirikikola mu biro byo, ndikikola, mutabani wo atandise okufuga. 13 (CZ)Ate era sirimuggyako bwakabaka bwonna, naye ndimuwa ekika kimu ku lwa Dawudi omuddu wange, n’olwa Yerusaalemi, kye neerondera.”

Abalabe ba Sulemaani

14 Awo Mukama n’ayimusiza Sulemaani omulabe erinnya lye Kadadi Omwedomu, ow’olulyo olulangira mu Edomu. 15 (DA)Emabegako Dawudi bwe yali alwana ne Edomu, Yowaabu omuduumizi w’eggye eyali agenze okuziika Abayisirayiri abaali battiddwa, yasigalayo n’atta abasajja bonna mu Edomu. 16 Yowaabu n’Abayisirayiri bonna be yagenda nabo ne babeera eyo okumala emyezi mukaaga, okutuusa lwe baasaanyaawo abasajja bonna mu Edomu. 17 Naye Kadadi, ng’akyali mulenzi, yaddukira e Misiri n’abakungu abamu Abayedomu abaweerezanga kitaawe. 18 (DB)Ne bagolokoka okuva mu Midiyaani okugenda e Palani. Ne bafuna abasajja okuva mu Palani, ne bagenda e Misiri, ewa Falaawo, ye kabaka w’e Misiri, eyamuwa ennyumba ne ttaka, era n’amuwanga n’emmere ey’okulya.

19 Awo Kadadi n’alaba ekisa mu maaso ga Falaawo n’okumuwa n’amuwa mulamu we, muganda wa Tapenesi kaddulubaale, okumufumbirwa. 20 Muganda wa Tapenesi n’azaalira Kadadi omwana wabulenzi n’amutuuma Genubasi, era Tapenesi n’amutwala mu lubiri okumulabirira. Genubasi n’akulira eyo wamu n’abaana ba Falaawo.

21 Kadadi bwe yali mu Misiri, n’awulira nti Dawudi yeebakira wamu ne bajjajjaabe era nga ne Yowaabu omuduumizi w’eggye yafa, n’agamba Falaawo nti, “Ka nzireyo ewaffe mu nsi yange.”

22 Falaawo n’amubuuza nti, “Kiki ky’otofunye wano, ekikwagaza okuddayo mu nsi yo?” Kadadi n’amuddamu nti, “Tewali, naye nzikiriza ŋŋende.”

23 (DC)Katonda n’ayimusiza Sulemaani, omulabe omulala, erinnya lye Lezoni mutabani wa Eriyada, eyali adduse ku mukama we Kadadezeri kabaka w’e Zoba. 24 (DD)Dawudi bwe yatta eggye ly’e Zoba, Lezoni n’akuŋŋaanya abasajja abajeemu n’afuuka mukulu waabwe, n’addukira e Ddamasiko, n’akiwamba, n’abeera eyo nga gy’afugira. 25 (DE)Yali mulabe wa Isirayiri ennaku zonna ez’obulamu bwa Sulemaani, ng’okwo kw’otadde emitawaana Kadadi gye yaleetera Isirayiri. Lezoni n’addukira mu Alamu, era n’abeera mulabe wa Isirayiri omuzibu ennyo.

Yerobowaamu Ajeemera Sulemaani

26 (DF)Yerobowaamu mutabani wa Nebati, Omwefulayimu ow’e Zereda, nnyina nga ye nnamwandu wa Zeruwa, ate nga y’omu ku bakungu ba Sulemaani, n’ajeemera kabaka. 27 (DG)Eno y’engeri gye yajeemeramu kabaka: Sulemaani yali azimbye obusenge obuwagika, ng’azibye ebituli ebyali mu bbugwe ow’ekibuga kya Dawudi kitaawe. 28 (DH)Yerobowaamu yali musajja mwesimbu, era Sulemaani bwe yalaba omulimu gwe omulungi, n’amusiima n’amufuula omukulu w’emirimu gyonna egy’amaanyi mu nnyumba ya Yusufu. 29 (DI)Awo mu biro ebyo Yerobowaamu bwe yali ng’ava mu Yerusaalemi, n’asisinkana Akiya nnabbi w’e Siiro ng’ayambadde ekyambalo ekiggya, baali bokka ku ttale. 30 (DJ)Akiya n’addira ekyambalo kye n’akiyuzaamu ebitundu kkumi na bibiri. 31 (DK)N’agamba Yerobowaamu nti, “Weetwalire ebitundu kkumi, kubanga bw’atyo bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Laba, ŋŋenda kuggya ku Sulemaani obwakabaka, nkuweeko ebika kkumi. 32 Naye olw’omuddu wange Dawudi n’ekibuga Yerusaalemi, kye neerondera mu bika byonna ebya Isirayiri, alisigazaako ekika kimu. 33 (DL)Kino ndikikola kubanga banvuddeko ne basinza Asutoleesi katonda omukazi ow’Abamoni, ne batatambulira mu kkubo lyange, wadde okukola ebituufu mu maaso gange newaakubadde okugondera ebiragiro byange oba amateeka gange, nga Dawudi kitaawe wa Sulemaani bwe yakola.

34 “ ‘Naye Sulemaani sirimuggyako bwakabaka bwonna, wabula ndimuleka nga y’afuga ennaku zonna ez’obulamu bwe olw’omuddu wange Dawudi, gwe nalonda era eyagondera amateeka n’ebiragiro byange. 35 Ndiggya obwakabaka ku mutabani wa Sulemaani, ne nkuwa ebika kkumi. 36 (DM)Ekika ekimu ndikiwa mutabani we, omuddu wange Dawudi abeerenga n’ettabaaza mu maaso gange mu Yerusaalemi, ekibuga kye neeroboza olw’erinnya lyange. 37 (DN)Wabula, ggwe ndikutwala, era olifuga wonna omutima gwo gye gulisiima, era olibeera kabaka wa Isirayiri. 38 (DO)Bw’onoogonderanga byonna bye nkulagira n’otambuliranga mu makubo gange, era n’okolanga ebituufu mu maaso gange ng’okugonderanga ebiragiro n’amateeka gange, nga Dawudi omuddu wange bwe yakola, nnaabeeranga naawe. Ndikukolera ekika eky’enkalakkalira, nga kye nakolera Dawudi, era ndikuwa ne Isirayiri. 39 Kyendiva nzikakkanya ezzadde lya Dawudi, naye si bbanga lyonna.’ ”

40 (DP)Sulemaani n’agezaako okutta Yerobowaamu, naye Yerobowaamu n’addukira e Misiri, ewa Sisaki[g] kabaka waayo, n’abeera eyo okutuusa Sulemaani bwe yafa.

Okufa kwa Sulemaani

41 Ebyo byonna ebyabaawo ku mulembe gwa Sulemaani, ne byonna bye yakola, n’amagezi ge yalaga, byawandiikibwa mu bitabo eby’ebyafaayo ebya Sulemaani. 42 Sulemaani yafuga Isirayiri yonna ng’ali mu Yerusaalemi okumala emyaka amakumi ana. 43 (DQ)N’afa n’aziikibwa mu kibuga kya Dawudi kitaawe. Awo Lekobowaamu mutabani we n’amusikira.

Isirayiri Bajeemera Lekobowaamu

12 Lekobowaamu n’alaga e Sekemu, Abayisirayiri bonna gye baali bakuŋŋaanidde okumufuula kabaka. (DR)Yerobowaamu mutabani wa Nebati bwe yawulira ekyo, ng’ali e Misiri, gye yali yeewaŋŋangusirizza, n’akomawo. Abantu ne batumira Yerobowaamu, ye n’ekibiina kyonna ekya Isirayiri ne bagenda ewa Lekobowaamu, ne bamugamba nti, (DS)“Kitaawo yatuteekako ekikoligo ekizito, naye kaakano wewula ku mirimu emizibu ne ku kikoligo ekizito kye yatuteekako, naffe tunaakuweereza.”

Lekobowaamu n’abaddamu nti, “Mumpe ebbanga lya nnaku ssatu, n’oluvannyuma nnaabaddamu.” Abantu ne beetambulira.

(DT)Awo kabaka Lekobowaamu n’agenda ne yeebuuza ku bakadde abaaweerezanga kitaawe Sulemaani, mu biseera bwe yali ng’akyali mulamu. N’ababuuza nti, “Mumpa magezi ki, ku nsonga abantu bano gye bansabye?”

(DU)Ne bamuddamu nti, “Leero bw’onoobeera omuwulize eri abantu bano ne weetoowaza, n’obaweereza, era n’obaddamu n’eggonjebwa, kale banaabeeranga baweereza bo.”

Naye Lekobowaamu n’atawuliriza magezi abakadde ge baamuwa, n’agenda ne yeebuuza ku bavubuka be yali akuze nabo, era nga be bamuweereza. N’ababuuza nti, “Mumpa magezi ki okuddamu abantu abasabye okuwewula ku kikoligo kitange kye yabateekako?”

10 Abavubuka abaakulira awamu naye ne bamuddamu nti, “Gamba abantu abo abakusabye nti, ‘Okendeeze ku kikoligo kitaawo kye yabateekako nti, “Engalo yange eya nasswi esinga ekiwato kya kitange obunene. 11 Kitange yabateekako ekikoligo ekizito, naye nze ndyongera ku kikoligo kyammwe. Kitange yabakangavvulanga na nkoba, naye nze nnaabakangavvulanga n’enjaba ez’obusagwa.” ’ ”

12 Oluvannyuma lw’ennaku ssatu, Yerobowaamu n’abantu bonna, ne baddayo eri Lekobowaamu, nga bwe yali abagambye okudda oluvannyuma lw’ennaku essatu. 13 Awo kabaka n’addamu abantu n’ebboggo, n’agaana amagezi abakadde ge baamuwa, 14 (DV)n’agoberera ag’abavubuka, n’ayogera nti, “Kitange yafuula ekikoligo kyammwe okuba ekizito, naye nze nnaayongera ku kikoligo kyammwe. Kitange yabakangavvulanga na nkoba, naye nno nze nnaabakangavvula na njaba ez’obusagwa.” 15 (DW)Kabaka n’atawuliriza bantu. Bino byonna byabaawo Mukama atuukirize ekigambo kye yayogera eri Yerobowaamu mutabani wa Nebati ng’ayita mu Akiya Omusiiro.

16 (DX)Awo Isirayiri yenna bwe baalaba nga kabaka agaanye okubawuliriza, ne bamuddamu nti,

“Mugabo ki gwe tulina mu Dawudi,
    oba kitundu ki kye tulina mu mutabani wa Yese?
Mudde mu weema zammwe ayi Isirayiri!
    Weerabirire ggwe ennyumba ya Dawudi.”

Awo Abayisirayiri[h] ne beddirayo ewaabwe. 17 (DY)Naye abaana ba Isirayiri abaabeeranga mu bibuga bya Yuda, ne bafugibwa Lekobowaamu.

18 (DZ)Lekobowaamu yalagira Adolaamu eyakuliranga emirimu egy’obuwaze okugenda eri Abayisirayiri, okubalagira eby’okukola, naye ne bamukuba amayinja ne bamutta. Naye ye Kabaka Lekobowaamu n’awona, n’alinnya eggaali lye n’addukira e Yerusaalemi. 19 (EA)Bw’atyo Isirayiri n’ajeemera ennyumba ya Dawudi n’okutuusa leero.

20 (EB)Abayisirayiri bonna bwe baawulira nti Yerobowaamu akomyewo, ne bamutumira ajje eri ekibiina, ne bamutikkira okuba kabaka wa Isirayiri yonna. Ekika kya Yuda kyokka kye kyasigala nga kigoberera ennyumba ya Dawudi.

21 (EC)Awo Lekobowaamu bwe yatuuka mu Yerusaalemi n’akuŋŋaanya ennyumba ya Yuda yonna, n’ekika kya Benyamini, abasajja abalwanyi emitwalo kkumi na munaana, okulwanagana n’ennyumba ya Isirayiri, asobole okweddiza obwakabaka.

22 (ED)Naye ekigambo kya Katonda ne kijjira Semaaya omusajja wa Katonda nti, 23 “Gamba Lekobowaamu mutabani wa Sulemaani kabaka wa Yuda, n’ennyumba ya Yuda yonna n’eya Benyamini, era n’abantu bonna nti, 24 ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Temwambuka kulwana ne baganda bammwe, Abayisirayiri. Buli omu ku mmwe addeyo eka kubanga kino nze nkisazeewo.’ ” Awo ne bagondera ekigambo kya Mukama, ne baddayo ewaabwe, nga Mukama bwe yalagira.

Yerobowaamu Asinza Ennyana eza Zaabu e Beseri n’e Ddaani

25 (EE)Awo Yerobowaamu n’azimba Sekemu mu Efulayimu ensi ey’ensozi, era n’abeera eyo. Eyo gye yava n’agenda n’azimba Penieri.

26 Yerobowaamu ne yeerowooza munda ye nti, “Obwakabaka sikulwa nga budda mu nnyumba ya Dawudi! 27 (EF)Abantu bano bwe banayambukanga okuwaayo ebiweebwayo mu yeekaalu ya Mukama mu Yerusaalemi, olunaku olumu emitima gyabwe giyinza okukyukira mukama waabwe, Lekobowaamu, kabaka wa Yuda. Balinzita ne badda gy’ali.”

28 (EG)Awo Kabaka Yerobowaamu n’aweebwa amagezi okukola ennyana bbiri eza zaabu. N’agamba abantu nti, “Kijja kubazitoowerera nnyo okwambukanga e Yerusaalemi. Baabano bakatonda bammwe, Ayi Isirayiri, abaabaggya mu Misiri.” 29 (EH)Emu n’agiteeka mu Beseri n’endala mu Ddaani. 30 (EI)Ekintu ekyo ne kiba kibi nnyo, kubanga abantu baatuuka n’okugenda e Ddaani okusinza ekifaananyi ky’ennyana ekyali kiteekeddwa eyo.

31 (EJ)Yerobowaamu n’azimba amasabo mu bifo ebigulumivu n’alonda bakabona[i] ng’abaggya mu bantu abaabulijjo, newaakubadde nga tebaali ba kika kya Leevi. 32 (EK)N’akola embaga ku lunaku olw’ekkumi n’ettaano mu mwezi ogw’omunaana, okufaanana n’embaga ebeerawo mu Yuda, era n’awaayo ebyokebwa ku kyoto. Kino yakikola mu Beseri ng’awaayo ssaddaaka eri ennyana ze yakola. N’assa bakabona mu bifo ebigulumivu bye yali akoze e Beseri. 33 (EL)Ku lunaku olw’ekkumi n’ettaano mu mwezi ogw’omunaana gwe yeerondera, n’awaayo ebiweebwayo ebyokebwa ku kyoto kye yazimba e Beseri. Era n’assaawo embaga Abayisirayiri gye baakuumanga, n’ayambukanga ne ku kyoto okuwaayo ebyokebwa.

Omusajja wa Katonda Ava mu Yuda

13 Omusajja wa Katonda n’ajja e Beseri okuva mu Yuda olw’ekigambo kya Mukama, n’asanga Yerobowaamu ng’ayimiridde mu maaso g’ekyoto ng’ateekateeka okwotereza obubaane. (EM)N’ayogerera mu ddoboozi ery’omwanguka eri ekyoto olw’ekigambo kya Mukama ng’agamba nti, “Ayi ekyoto, ekyoto! Kino Mukama ky’agamba nti, ‘Omwana erinnya lye Yosiya alizaalibwa mu nnyumba ya Dawudi, ku ggwe kw’aliweerayo bakabona ab’ebifo ebigulumivu ng’ebiweebwayo era n’amagumba g’abantu galyokerwa ku ggwe.’ ” (EN)Ku lunaku olwo omusajja wa Katonda n’awa akabonero: “Kano ke kabonero Mukama kalangirira. Ekyoto kiryatika n’evvu lyakyo liriyiyibwa ebweru.”

Awo kabaka Yerobowaamu bwe yawulira omusajja wa Katonda bye yayogera, n’ayogera n’eddoboozi eddene ku kyoto e Beseri ng’awanise omukono gwe mu maaso g’ekyoto nti, “Mumukwate!” Omukono gwe yawanika eri omusajja wa Katonda ne gukala ne gukalambalirayo n’okuyinza n’atayinza kuguzza. N’ekyoto ne kyatikamu, n’evvu ne liyiika ng’akabonero omusajja wa Katonda ke yawa olw’ekigambo kya Mukama.

(EO)Awo Kabaka n’agamba omusajja wa Katonda nti, “Negayiririra Mukama Katonda wo, onsabire omukono gwange guwonyezebwe.” Omusajja wa Katonda n’amwegayiririra eri Mukama, omukono gwe ne guddawo nga bwe gwali olubereberye.

(EP)Kabaka n’agamba omusajja wa Katonda nti, “Jjangu eka ewange obeeko ky’olya, n’okukuwa nkuweeyo ekirabo.”

(EQ)Naye omusajja wa Katonda n’agamba kabaka nti, “Ne bw’onompa ekitundu ky’obugagga bwo, sijja kugenda naawe, wadde okulya omugaati oba okunywa amazzi wano. Kubanga nkuutiddwa ekigambo kya Mukama nti, ‘Tolya mugaati newaakubadde okunywa amazzi wadde okuddira mu kkubo ly’ojjiddemu.’ ” 10 Awo n’addirayo mu kkubo eddala, so si mu eryo lye yajjiramu e Beseri.

11 Awo mu biro ebyo waaliwo nnabbi omukadde eyabeeranga mu Beseri, eyategeezebwa batabani be ebyo byonna omusajja wa Katonda bye yali akoze ku lunaku olwo, ne bye yali agambye kabaka. 12 Kitaabwe n’ababuuza nti, “Akutte kkubo ki?” Awo batabani be ne bamulaga ekkubo omusajja wa Katonda ow’e Yuda ly’akutte. 13 Awo n’agamba batabani be nti, “Munteekereteekere endogoyi.” Bwe baamala okumutegekera endogoyi, n’agyebagala, 14 n’akwata ekkubo omusajja wa Katonda lye yali akutte. Yamusanga atudde wansi w’omwera, n’amubuuza nti, “Gwe musajja wa Katonda eyavudde e Yuda?” N’addamu nti, “Nze nzuuno.”

15 Awo nnabbi n’amugamba nti, “Tuddeyo eka olye ku mmere.”

16 (ER)Omusajja wa Katonda n’amuddamu nti, “Siyinza kuddayo newaakubadde okugenda naawe, wadde okulya omugaati oba okunywa amazzi naawe mu kifo kino. 17 Ndagiddwa ekigambo kya Mukama nti, ‘Toteekwa kulyayo ku mmere newaakubadde okunywayo amazzi, wadde okuddirayo mu kkubo lye wajjiddemu.’ ”

18 (ES)Awo nnabbi omukadde n’amuddamu nti, “Nze nange ndi nnabbi nga ggwe. Era malayika yaŋŋambye ekigambo kya Katonda nti, ‘Mukomyewo mu nnyumba yo alye ku mmere anywe ne ku mazzi.’ ” Naye yali amulimba. 19 Awo omusajja wa Katonda n’addayo naye mu nnyumba ye n’alya era n’anywa. 20 Bwe baali batudde nga balya, ekigambo kya Mukama ne kijjira nnabbi omukadde eyali amukomezzaawo. 21 (ET)N’ayogerera mu ddoboozi ery’omwanguka eri omusajja wa Katonda eyava mu Yuda nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Ojeemedde ekigambo kya Mukama era tokuumye kiragiro Mukama Katonda kye yakulagidde. 22 Wakomyewo n’olya emmere era n’onywa amazzi mu kifo kye yakugaanye okulyamu wadde okunywamu amazzi. Noolwekyo omulambo gwo teguliziikibwa mu ntaana ya bajjajjaabo.’ ”

23 Omusajja wa Katonda bwe yamala okulya n’okunywa, nnabbi oli eyali amukomezzaawo, n’ategeka endogoyi y’omusajja wa Katonda. 24 (EU)Awo bwe yali ng’ali ku lugendo lwe, empologoma n’emusangiriza n’emutta, era n’esuula omulambo gwe ku kkubo, empologoma n’endogoyi ne biyimirira okumpi nagwo. 25 Laba, abantu abamu abaalaba omulambo nga gusuuliddwa wansi, nga n’empologoma eyimiridde kumpi nagwo, ne bagenda mu kibuga nnabbi mwe yabeeranga ne bategeeza abaayo. 26 Nnabbi eyali amukomezzaawo bwe yakiwulira n’ayogera nti, “Ye musajja wa Katonda ataagondedde kigambo kya Mukama. Mukama amuwaddeyo eri empologoma emutaagudde n’emutta, ng’ekigambo kya Mukama bwe ky’amulabudde.”

27 Awo nnabbi n’agamba batabani be nti, “Muntegekere endogoyi.” Ne bagimutegekera. 28 Nagenda n’asanga omulambo gw’omusajja wa Katonda nga gusuuliddwa mu kkubo n’endogoyi n’empologoma nga ziyimiridde kumpi nagwo; empologoma nga teridde mulambo so nga tetaaguddetaagudde ndogoyi. 29 Nnabbi n’asitula omulambo gw’omusajja wa Katonda n’aguteeka ku ndogoyi, era n’aguzzaayo mu kibuga kye n’amukungubagira, omulambo n’aguziika. 30 (EV)N’ateeka omulambo gwe mu ntaana ye ye, ne bamukungubagira nga bakaaba nti, “Woowe, muganda wange!”

31 (EW)Awo bwe baamala okumuziika, n’agamba batabani be nti, “Bwe nfanga, munziikanga mu ntaana omusajja wa Katonda mw’aziikiddwa; muteekanga amagumba gange kumpi n’amagumba ge. 32 (EX)Ekigambo kya Mukama, omusajja wa Katonda kye yayogera n’eddoboozi ery’omwanguka ku kyoto ekiri mu Beseri ne ku masabo ag’ebifo ebigulumivu ebiri mu bibuga eby’e Samaliya, tekirirema kutuukirira.”

33 (EY)Oluvannyuma lw’ekigambo ekyo Yerobowaamu n’atakyuka kuleka amakubo ge amabi, naye ne yeeyongera nate okussaawo bakabona ab’ebifo ebigulumivu ng’abaggya mu bantu abaabulijjo. Buli eyayagalanga okubeera kabona, n’amwawulanga okubeera mu bifo ebigulumivu. 34 (EZ)Kino kye kyali ekibi ky’ennyumba ya Yerobowaamu ekyagireetera okugwa, okugimalawo n’okugizikiriza okuva ku nsi.

Akiya Alagula Yerobowaamu

14 Awo mu biro ebyo Abiya mutabani wa Yerobowaamu n’alwala, (FA)Yerobowaamu n’agamba mukyala we nti, “Golokoka ogende e Siiro, nga weefuddefudde baleme kumanya nga bw’oli mukazi wa Yerobowaamu. Akiya nnabbi, eyanjogerako nti ndiba kabaka w’abantu bano ali eyo. (FB)Twala emigaati kkumi, ne bukeeke, n’ensumbi ey’omubisi gw’enjuki, ogende gy’ali era ye alikubuulira omwana bw’aliba.” Awo muka Yerobowaamu n’akola bw’atyo, n’agenda ewa Akiya e Siiro.

Akiya yali muzibe, kubanga amaaso ge gaali gayimbadde olw’obukadde. Naye Mukama yali alabudde Akiya nga muka Yerobowaamu bw’anajja okumubuuza ebifa ku mutabani waabwe, eyali alwadde era nga bw’ajja okumuddamu, nga bw’anaatuuka ajja kwefuula okuba omuntu omulala.

Awo Akiya bwe yawulira enswagiro ku mulyango, n’amugamba nti, “Yingira muka Yerobowaamu. Lwaki weefuula okuba omuntu omulala? Ntumiddwa gy’oli n’amawulire amabi. (FC)Genda ogambe Yerobowaamu nti kino Mukama, Katonda wa Isirayiri ky’agamba nti, ‘Nakugulumiza nga nkuggya mu bantu, ne nkufuula omukulembeze wa bantu bange Isirayiri. (FD)Naggya obwakabaka mu nnyumba ya Dawudi, ne mbukuwa, naye tobadde ng’omuddu wange Dawudi, eyagondera ebiragiro byange era n’abigoberera n’omutima gwe gwonna, ng’akola ekyo ekyali ekirungi mu maaso gange. (FE)Oyonoonye nnyo okusinga bonna abaakusooka. Weekoledde bakatonda abalala, n’okola n’ebifaananyi ebisaanuuse n’onneerabira; onsunguwazizza nnyo.

10 (FF)“ ‘Kyendiva nsanyaawo ennyumba ya Yerobowaamu, era ndiggyawo ku Yerobowaamu buli mwana owoobulenzi yenna mu Isirayiri, omuddu n’atali muddu. Ndiyokya ennyumba ya Yerobowaamu, ng’omuntu bw’ayokya obusa, okutuusa lwe liggweerawo ddala. 11 (FG)Abo bonna aba Yerobowaamu abalifiira mu kibuga, embwa zirirya emirambo gyabwe, n’ennyonyi ez’omu bbanga zirirya egy’abo abalifiira ku ttale, kubanga Mukama y’akyogedde!’

12 “Wabula ggwe, ddayo eka. Bw’onooba wakalinnya ekigere mu kibuga kyo, omulenzi anaafa. 13 (FH)Isirayiri yonna banaamukaabira era ne bamuziika. Ye yekka ow’ennyumba ya Yerobowaamu aliziikibwa, kubanga ye yekka mu nnyumba ya Yerobowaamu Mukama Katonda wa Isirayiri, gw’alabyemu akalungi.

14 Mukama alyeyimusiza kabaka wa Isirayiri alisaanyaawo ennyumba ya Yerobowaamu mu kiseera ekitali ky’ewala nnyo. 15 (FI)Mukama aliva ku Isirayiri, abeere ng’ekitoogo bwe kinyeenyezebwa mu mazzi, era alisimbula Isirayiri okubaggya mu nsi eno ennungi eya bajjajjaabwe, n’abasaasaanyiza emitala w’Omugga,[j] kubanga baasunguwaza Mukama bwe baakola bakatonda Baaseri. 16 (FJ)Era aliva ku Isirayiri olw’ebibi bya Yerobowaamu n’ebyo by’ayonoonesezza Isirayiri.”

17 (FK)Awo muka Yerobowaamu n’agolokoka okugenda e Tiruza. Olwayingira mu nnyumba yaabwe, omulenzi n’afa. 18 Ne bamuziika, era Isirayiri yonna ne bamukungubagira ng’ekigambo kya Mukama kye yayogerera mu nnabbi Akiya bwe kyali.

19 N’ebirala byonna ebyabaawo mu mirembe gya Yerobowaamu, entalo ze, n’okufuga kwe, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’eby’omu mirembe gya bassekabaka ba Isirayiri? 20 Yafugira emyaka amakumi abiri mu ebiri, oluvannyuma ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe; Nadabu mutabani we n’amusikira, n’alya obwakabaka.

Lekobowaamu Kabaka wa Yuda

21 (FL)Lekobowaamu mutabani wa Sulemaani n’alya obwakabaka bwa Yuda, ng’alina emyaka amakumi ana mu gumu. Yafugira emyaka kkumi na musanvu mu Yerusaalemi, ekibuga Mukama kye yeeroboza mu bika byonna ebya Isirayiri olw’erinnya lye. Nnyina yayitibwanga Naama, Omwamoni.

22 (FM)Yuda ne bakola ebibi mu maaso ga Mukama, okusinga ne bajjajjaabwe bye baakola era ebibi byabwe ne bikwasa Mukama obuggya. 23 (FN)Beezimbira ebifo ebigulumivu n’empagi za Baaseri ku buli lusozi oluwanvu ne wansi wa buli muti omugazi. 24 (FO)Era waaliwo n’abaalyanga ebisiyaga mu nsi, ne bakolanga eby’emizizo byonna abamawanga Katonda be yagoba mu maaso g’Abayisirayiri bye baakolanga.

25 (FP)Mu mwaka ogwokutaano ogw’obufuzi bwa kabaka Lekobowaamu, Sisaki kabaka w’e Misiri n’alumba Yerusaalemi. 26 (FQ)N’atwala eby’obugagga eby’omu yeekaalu ya Mukama, n’ebyobugagga eby’omu lubiri lwa kabaka byonna, ng’okwo kw’otadde engabo eza zaabu Sulemaani ze yali akoze. 27 Awo kabaka Lekobowaamu n’akola engabo ez’ebikomo okuzzaawo ziri, era n’azikwasa abaduumizi b’abambowa abaakuumanga wankaaki w’olubiri lwa kabaka. 28 Buli Kabaka lwe yalaganga mu yeekaalu ya Mukama, abambowa ne bambalira engabo ezo, era Oluvannyuma ne bazizaayo mu kisenge ky’abambowa we zaaterekebwanga.

29 Ebyafaayo ebirala byonna eby’omulembe gwa Lekobowaamu, ne bye yakola byonna, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda? 30 (FR)Waabangawo entalo ez’olubeerera wakati wa Lekobowaamu ne Yerobowaamu. 31 (FS)Lekobowaamu ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe, era n’aziikibwa mu kibuga kya Dawudi. Nnyina yayitibwanga Naama Omwamoni. Abiyaamu mutabani we n’amusikira, n’alya obwakabaka.

Abiyaamu Kabaka wa Yuda

15 Awo mu mwaka ogw’ekkumi n’omunaana ogw’obufuzi bwa Yerobowaamu mutabani wa Nebati, Abiyaamu n’atandika okufuga Yuda. (FT)Yafugira mu Yerusaalemi emyaka esatu. Nnyina ye yali Maaka muwala wa Abusaalomu.

(FU)N’akola ebibi byonna kitaawe bye yakolanga, omutima gwe ne gutatuukirira mu maaso ga Mukama Katonda we ng’omutima gwa jjajjaawe Dawudi bwe gwali. (FV)Naye ku lwa Dawudi, Mukama Katonda we n’amuteerawo ettabaaza mu Yerusaalemi era n’ayimusa ne mutabani we okumusikira, era n’okunyweza Yerusaalemi. (FW)Dawudi yakola ebirungi mu maaso ga Mukama, n’agondera ebiragiro bya Mukama ennaku zonna ez’obulamu bwe, okuggyako ensonga ya Uliya Omukiiti.

(FX)Ne wabangawo entalo wakati w’ennyumba ya Lekobowaamu n’ennyumba ya Yerobowaamu ennaku zonna ez’obulamu bwa Abiyaamu. N’ebyafaayo ebirala byonna eby’okufuga kwa Abiyaamu, ne bye yakola, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda? Ne wabangawo entalo wakati wa Abiyaamu ne Yerobowaamu. Awo Abiyaamu ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe era n’aziikibwa mu kibuga kya Dawudi. Asa mutabani we n’amusikira, n’alya obwakabaka.

Asa Kabaka wa Yuda

Awo mu mwaka ogw’amakumi abiri ogw’obufuzi bwa Yerobowaamu kabaka wa Isirayiri, Asa n’alya obwakabaka bwa Yuda. 10 (FY)Yafugira mu Yerusaalemi emyaka amakumi ana mu gumu. Jjajjaawe omukazi nga ye Maaka muwala wa Abusaalomu.

11 Asa n’akola ebirungi mu maaso ga Mukama, nga jjajjaawe Dawudi bwe yakola. 12 (FZ)N’agoba mu nsi abaalyanga ebisiyaga, era n’aggyawo n’ebifaananyi ebyakolebwa n’emikono byonna bajjajjaabe bye baakola. 13 (GA)Era n’agoba ne jjajjaawe Maaka ku bwa namasole kubanga yali akoze empagi ya Asera. Asa n’agitema era n’agyokera ku kagga Kidulooni. 14 (GB)Newaakubadde nga teyaggyawo bifo bigulumivu, omutima gwe gwali ku Mukama ennaku ze zonna. 15 (GC)N’ayingiza mu yeekaalu ya Mukama effeeza, ne zaabu n’ebintu ebirala kitaawe bye yawaayo ne Asa yennyini bye yawaayo.

16 (GD)Ne wabangawo entalo wakati wa Asa ne Baasa kabaka wa Isirayiri ennaku zonna ez’okufuga kwabwe. 17 (GE)Baasa kabaka wa Isirayiri n’alumba Yuda n’azingiza Laama obutaganya muntu n’omu okufuluma wadde okuyingira mu kitundu kya Asa kabaka wa Yuda. 18 (GF)Awo Asa n’addira effeeza ne zaabu yonna eyali esigadde mu ggwanika lya yeekaalu ya Mukama n’ey’olubiri lwe, n’abikwasa abakungu be, n’abiweereza Benikadadi mutabani wa Tabulimmoni, muzzukulu wa Keziyoni, eyali kabaka wa Busuuli ng’afugira e Ddamasiko. 19 N’ayogera nti, “Wabeewo endagaano wakati wo nange, ng’eyaliwo wakati wa kitaawo ne kitange. Laba nkuweereza ekirabo ekya ffeeza ne zaabu, omenyewo kaakano endagaano yo ne Baasa kabaka wa Isirayiri, anveeko.”

20 (GG)Benikadadi n’akkiriziganya ne kabaka Asa era n’aweereza abaduumizi b’eggye lye okulumba ebibuga bya Isirayiri. N’akuba Iyoni, ne Ddaani, ne Aberubesumaaka ne Kinnerosi yonna ng’okwo kw’otadde Nafutaali. 21 Awo Baasa bwe yakiwulira n’alekeraawo okuzimba Laama, n’addukira e Tiruza. 22 (GH)Kabaka Asa n’awa ekiragiro mu Yuda yonna nga kikwata ku buli muntu. Ne batwala amayinja ag’e Laama n’embaawo Baasa bye yazimbisanga, kabaka Asa n’abizimbisa Geba ekya Benyamini, ne Mizupa.

23 Ebyafaayo ebirala byonna eby’omu mirembe gya Asa, n’obuwanguzi bwe era n’ebibuga bye yazimba, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda? Kyokka mu bukadde bwe, n’alwala ebigere. 24 (GI)Awo Asa ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe n’aziikibwa mu kibuga kya jjajjaawe Dawudi. Yekosafaati, mutabani we n’amusikira, n’alya obwakabaka.

Nadabu Kabaka wa Isirayiri

25 Nadabu mutabani wa Yerobowaamu n’alya obwakabaka bwa Isirayiri mu mwaka ogwokubiri ogw’obufuzi bwa Asa kabaka wa Yuda. Yafugira Isirayiri emyaka ebiri. 26 (GJ)N’akola ebibi mu maaso ga Mukama, ng’atambulira mu ngeri za kitaawe ne mu kibi kye, ebyaleetera Isirayiri okwonoona.

27 (GK)Awo Baasa mutabani wa Akiya ow’omu nnyumba ya Isakaali n’amukolera olukwe, n’amuttira e Gibbesoni ekibuga ky’Abafirisuuti, Nadabu ne Isirayiri yenna bwe baali bakitaayizza. 28 Baasa n’atta Nadabu mu mwaka ogwokusatu ogw’obufuzi bwa Asa kabaka wa Yuda, ye n’alya obwakabaka bwa Isirayiri.

29 (GL)Amangwago nga kyajje alye obwakabaka, n’atta ennyumba ya Yerobowaamu yonna n’atalekaawo muntu n’omu omulamu. Yabazikiriza bonna ng’ekigambo kya Mukama kye yayogerera mu muddu we Akiya Omusiiro, 30 (GM)olw’ebibi bya Yerobowaamu bye yakola, era bye yayonoonyesa Isirayiri, n’okusunguwaza ne bisunguwaza Mukama Katonda wa Isirayiri.

31 Ebyafaayo ebirala eby’omu mirembe gya Nadabu, ne bye yakola, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri? 32 (GN)Ne wabangawo entalo wakati wa Asa ne Baasa kabaka wa Isirayiri, ennaku zonna ez’okufuga kwabwe.

Baasa Kabaka wa Isirayiri

33 Awo mu mwaka ogwokusatu ogw’obufuzi bwa Asa kabaka wa Yuda, Baasa mutabani wa Akiya n’afuuka kabaka wa Isirayiri yonna e Tiruza, era n’afugira emyaka amakumi abiri mu ena. 34 (GO)N’akola ebibi mu maaso ga Mukama, ng’atambulira mu ngeri za Yerobowaamu, ne mu kibi kye, kye yayonoonyesa Isirayiri.

16 (GP)Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Yeeku mutabani wa Kanani nga kyogera ku Baasa nti, (GQ)“Nakugulumiza nga nkuggya mu nfuufu ne nkufuula mukulembeze w’abantu bange Isirayiri, naye watambulira mu ngeri za Yerobowaamu era n’oyonoonyesa abantu bange Isirayiri, ne bansunguwaza n’ebibi byabwe. (GR)Laba, ndisaanyizaawo ddala Baasa n’ennyumba ye, era ndifuula ennyumba ye okuba ng’eya Yerobowaamu mutabani wa Nebati. (GS)Omuntu yenna owa Baasa bw’alifiira mu kibuga, omulambo gwe guliriibwa embwa, n’abo abalifiira ku ttale, ennyonyi ez’omu bbanga zirirya emirambo gyabwe.”

(GT)Ebyafaayo ebirala eby’omu mirembe gya Baasa, bye yakola, awamu n’ebintu ebirungi bye yakola, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri? (GU)Awo Baasa ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe n’aziikibwa e Tiruza, mutabani we Era n’amusikira, n’alya obwakabaka.

(GV)Ekigambo kya Mukama ne kituukirira, ekyajjira Yeeku mutabani wa Kanani ekikwata ku Baasa n’ennyumba ye olw’ebibi bye yakola mu maaso ga Mukama, ng’amusunguwaza olw’ebyo bye yakola, n’olw’okwonoona ng’afaanana ennyumba ya Yerobowaamu, ate era n’olw’okuba nga yagisaanyaawo.

Era Kabaka wa Isirayiri

Mu mwaka ogw’amakumi abiri mu omukaaga ogw’obufuzi bwa Asa kabaka wa Yuda, Era mutabani wa Baasa n’afuuka kabaka wa Isirayiri; n’afugira mu Tiruza emyaka ebiri. (GW)Awo Zimuli, omu ku bakungu be, eyakuliranga ekitundu ky’amagaali ge, n’amukolera olukwe. Mu kiseera ekyo Era yali Tiruza, ng’atamiirira mu maka ga Aluza, omusajja eyavunaanyizibwanga olubiri lw’e Tiruza. 10 Mu kiseera ekyo, Zimuli n’ayingira n’amukuba n’amutta, n’oluvannyuma n’alya obwakabaka. Gwali mwaka ogw’amakumi abiri mu omusanvu ogw’obufuzi bwa Asa kabaka wa Yuda.

11 (GX)Awo olwatuuka nga kyajje atuule ku ntebe ey’obwakabaka n’atta abantu b’ennyumba ya Baasa bonna, obutalekaawo musajja n’omu wa luganda lwa Baasa wadde mikwano gye. 12 Bw’atyo Zimuli n’asaanyaawo ennyumba ya Baasa yonna, ng’ekigambo kya Mukama bwe kyali kye yayogera ku Baasa ng’ayita mu nnabbi Yeeku, 13 (GY)olw’ebibi bya Baasa ne mutabani we Era bye baakola n’okwonoonyesa Isirayiri, nga basunguwaza Mukama Katonda wa Isirayiri olwa bakatonda beebeekolera abatagasa. 14 Eby’afaayo ebirala eby’omu mirembe gya Era, ne bye yakola byonna, tebyawandiikibwa mu kitabo ky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri?

Zimuli Kabaka wa Isirayiri

15 (GZ)Mu mwaka ogw’amakumi abiri mu omusanvu ogw’obufuzi bwa Asa kabaka wa Yuda, Zimuli n’afugira e Tiruza ennaku musanvu. Eggye lyali lisiisidde okumpi ne Gibbesoni ekibuga ky’Abafirisuuti. 16 Ku lunaku olwo Abayisirayiri abaali mu nkambi bwe baawulira nti Zimuli yasala olukwe, n’atta kabaka, Isirayiri yonna ne balangirira Omuli omuduumizi w’eggye okuba kabaka wa Isirayiri. 17 Omuli n’Abayisirayiri bonna abaali awamu naye ne bava e Gibbesoni ne bambuka okuzingiza Tiruza. 18 Zimuli bwe yalaba ng’ekibuga kiwambiddwa, n’addukira mu lubiri olw’omunda, olubiri lwonna n’alukumako omuliro. N’afiira omwo. 19 Ekyo kyamutuukako olw’ebibi bye yakola mu maaso ga Mukama, n’okutambulira mu ngeri za Yerobowaamu, ne mu kibi kye yakola, ne bye yayonoonyesa Isirayiri.

20 Eby’afaayo ebirala eby’omu mirembe gya Zimuli, n’obujeemu bwe, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri?

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.