Bible in 90 Days
13 Ne bamuddamu nti, “Tukkiriziganyizza. Tujja kukusiba busibi, tukuweeyo mu mukono gwabwe, naye tetujja kukutta.” Ne bamusiba emiguwa ebiri emiggya ne bamuggyayo mu mpuku. 14 (A)Bwe yali asemberera Leki Abafirisuuti ne bajja gy’ali nga baleekaana. Awo Omwoyo wa Mukama Katonda n’amukkako, emiguwa egyali gimusibye emikono ne giba ng’obugoogwa obwokeddwa omuliro, ne gisumulukuka okuva ku mikono gye. 15 (B)N’alaba oluba lw’endogoyi olutannavunda, n’alukwata, n’akuba abasajja lukumi.
16 Samusooni n’alyoka ayogera nti,
“Nkozesezza oluba lw’endogoyi
okukola entuumu bbiri;
nkozesezza oluba lw’endogoyi
okutta abasajja lukumi.”
17 Bwe yamala okwogera ekyo, n’akanyuga oluba n’alusuula, ekifo ekyo n’akituuma Lamasuleki. 18 (C)N’alumwa nnyo ennyonta, n’akabira Mukama Katonda ng’agamba nti, “Omuddu wo omuwadde obuwanguzi olw’amaanyi; ne kaakano nfe, ngwe mu mukono gw’abatali bakomole?” 19 (D)Katonda n’akola ekinnya mu Leki, ne muvaamu amazzi, kwe yanywa n’addamu amaanyi, n’aba mulamu. Ekifo ekyo kyeyava akituuma Enkakkole, era kikyaliyo mu Leki n’okutuusa leero.
20 (E)Samusooni n’akulembera Isirayiri mu biro by’Abafirisuuti, okumala emyaka amakumi abiri.
Samusooni ne Derira
16 Samusooni n’alaga e Gaza n’alabayo omukazi malaaya, n’ayingira gy’ali. 2 (F)Awo abantu ab’e Gaza ne bategeezebwa nga Samusooni bw’ali mu kifo ekyo. Ne bamuzingiza ne bamuteegera ku wankaaki w’ekibuga ekiro kyonna. Ne basiriikirira ekiro kyonna nga bagamba nti, “Obudde bwe bunaaba nga bunaatera okukya tunaamutta.”
3 (G)Naye Samusooni ne yeebaka okutuusa ettumbi, n’agolokoka mu ttumbi, n’akwata enzigi ebbiri eza wankaaki w’ekibuga, n’emifuubeeto gyombi, n’abisimbula okuva mu bifo byabyo, n’agyawo n’ekisiba, n’abiteeka ku bibegaabega bye n’abitwala ku ntikko y’olusozi olutunuulidde Kebbulooni.
4 (H)Awo oluvannyuma lw’ebyo n’aganza omukazi mu kiwonvu ky’e Soleki, erinnya lye Derira. 5 (I)Abakulembeze b’Abafirisuuti[a] ne bagenda gy’ali ne bamugamba nti, “Musendesende olabe amaanyi ge amangi mwe gasibuka, tulyoke tusinziire okwo okumusobola, tumusibe tumujeeze. Naffe tulikuwa buli omu ku ffe, ebitundu bya ffeeza lukumi mu kikumi[b].”
6 Awo Derira n’agamba Samusooni nti, “Kaakano mbuulira amaanyi go amangi mwe gasibuka, era n’ekiyinza okukusiba okukujeeza.” 7 Samusooni n’amugamba nti, “Bwe bansiba enkolokolo embisi musanvu, ezitakaze, olwo nnaanafuwa ne mbeera ng’omuntu omulala yenna.”
8 Abakulembeze b’Abafirisuuti ne baleetera omukazi enkolokolo musanvu embisi ezitakaze, n’azimusibya. 9 (J)Waaliwo abasajja abaali beekwese mu kisenge omwo omukazi mwe yali. Awo omukazi n’akoowoola Samusooni ng’agamba nti, “Samusooni Abafirisuuti bakuguddeko.” N’akutula enkolokolo, ng’omuntu bwe yandikutudde omuguwa oguyise mu muliro. Bwe kityo ensibuko y’amaanyi ge n’etazuulibwa.
10 (K)Awo Derira n’agamba Samusooni nti, “Laba, onduulidde, era onnimbye. Kaakano mbuulira ekiyinza okukusiba.” 11 (L)N’amugamba nti, “Bwe bansibya emiguwa emiggya egitakozesebwangako, nnaanafuwa, ne mbeera ng’omuntu omulala yenna.” 12 Awo Derira n’addira emiguwa emiggya, n’amusiba, nga mu kisenge mulimu abasajja abeekwese. N’alyoka amukoowoola ng’agamba nti, “Samusooni, Abafirisuuti bakuguddeko.” N’agyekutulako ku mikono ng’ewuzi.
13 Awo Derira n’agamba Samusooni nti, “Okutuusa kaakano onduulidde era onnimbye. Mbuulira ekiyinza okukusiba.” N’amugamba nti, “Bw’onooluka emivumbo musanvu egiri ku mutwe gwange, n’engoye, n’obinyweza nzija kunafuwa, mbeere ng’omuntu omulala yenna.”
N’aluka emivumbo omusanvu egy’ali ku mutwe gwe, n’engoye, 14 (M)n’abinyweza n’olubambo. N’amukoowoola ng’agamba nti, “Samusooni Abafirisuuti bakuguddeko.” N’agolokoka okuva mu tulo, ne yeetakkuluza ku lubambo lw’omuti ogulukirwako n’engoye ezirukiddwa.
15 (N)Awo Derira n’amugamba nti, “Oyinza otya okugamba nti onjagala, ate ng’omutima gwo teguli nange? Gino emirundi esatu onduulidde, n’otontegeeza amaanyi go amangi mwe gasibuka.” 16 Bw’atyo omukazi n’amusendasendanga n’ebigambo bye ennaku zonna ng’amubuuza okutuusa lwe yamwetamwa.
17 (O)Awo Samusooni n’amubuulira ebyali ku mutima gwe byonna. N’amugamba nti, “Simwebwangako nviiri, kubanga ndi muwonge eri Katonda okuva mu lubuto lwa mmange. Bwe mwebwako enviiri, olwo amaanyi gange gananvaako, ne nnafuwa, ne mbeera ng’omuntu omulala yenna.”
18 (P)Awo Derira bwe yalaba ng’amutegeezezza byonna ebyali ku mutima gwe, n’atumira abakulembeze b’Abafirisuuti ng’agamba nti, “Mukomeewo omulundi guno gwokka, kubanga yantegeezezza ebiri mu mutima gwe byonna.” Awo Abafirisuuti ne bakomawo nga baleese ezaabu. 19 (Q)N’amwebasa ku maviivi ge, n’ayita omusajja n’amumwa emivumbo omusanvu egyali ku mutwe gwe, n’atandika okujeeza, amaanyi ge ne gamuvaako. 20 (R)N’amukoowoola ng’agamba nti, “Samusooni, Abafirisuuti bakuguddeko.” N’agolokoka okuva mu tulo ng’agamba nti, “Nzija kwetakkuluza ŋŋende nga bulijjo.” Naye teyamanya nga Mukama Katonda amulese.
21 (S)Awo Abafirisuuti ne bakwata Samusooni, ne bamuggyamu amaaso, ne bamuserengesa e Gaza nga musibe mu njegere ez’ekikomo, ne bamuteeka mu kkomera mu nnyumba omuseerebwa obuwunga. 22 Kyokka bwe yamala okumwebwa, enviiri ze ne zitandika okumera.
23 (T)Awo abakulembeze b’Abafirisuuti ne bakuŋŋaana okuwaayo ssaddaaka eri lubaale waabwe Dagoni[c], nga bwe basanyuka. Ne boogera nti, “Lubaale waffe agabudde Samusooni omulabe waffe mu mukono gwaffe.” 24 (U)Abantu bwe baalaba Samusooni, ne batendereza lubaale waabwe nga bwe boogera nti,
“Lubaale waffe agabudde omulabe waffe
mu mukono gwaffe,
oyo eyazikiriza ensi yaffe,
n’atta bangi ku ffe.”
25 (V)Awo bwe baasanyuka ennyo, ne bawowoggana nga bwe bagamba nti, “Mutuyitire Samusooni atusanyuseemu.”
Ne baleeta Samusooni abasanyuseemu, nga bamuggya mu kkomera. Ne bamuyimiriza wakati w’empagi. 26 Awo Samusooni n’agamba omuweereza eyali amukutte ku mukono nti, “Leka nkwate ku mpagi eziwaniridde essabo, nsobole okuzeesigama.” 27 (W)Mu ssabo mwalimu ekibiina kinene eky’abasajja n’abakazi nga mulimu n’abakulembeze bonna ab’Abafirisuuti. Ne waggulu ku kasolya kwaliko abantu ng’enkumi ssatu abaali batunuulira Samusooni ng’abasanyusaamu. 28 (X)Awo Samusooni n’asaba eri Mukama ng’agamba nti, “Mukama Katonda onzijukire kaakano, ompe amaanyi. Omulundi guno gwokka, ayi Katonda mpalane eggwanga ku Bafirisuuti olw’amaaso gange abiri.” 29 Samusooni n’akwata empagi zombi ezaali wakati mu ssabo we yali ayimiridde, n’azeesigamako, omukono gwe ogwa ddyo nga guli ku mpagi emu, n’omukono ogwa kkono nga guli ku ndala. 30 Samusooni n’ayogera nti, “Leka nfiire wamu n’Abafirisuuti.” N’asindika n’amaanyi ge gonna, essabo ne ligwa ku bakulembeze, n’abantu bonna abaalimu naye, era n’atta bangi mu kufa kwe okusinga ne be yatta nga mulamu.
31 (Y)Awo baganda be n’ennyumba yonna eya kitaawe ne bagenda ne baggyayo omulambo gwe, ne bagutwala ewaabwe, ne bamuziika mu ntaana ya kitaawe Manowa eyali wakati w’e Zola ne Esutaoli. Yali akulembedde Isirayiri okumala emyaka amakumi abiri.
Mikka n’Ebifaananyi bye Ebyole
17 (Z)Waaliwo omusajja eyabeeranga mu nsi ey’ensozi Efulayimu, erinnya lye Mikka. 2 (AA)N’agamba nnyina nti, “Ebitundu bya ffeeza olukumi mu ekikumi[d] ebyakubulako, n’okukolima n’okolima, nga mpulira, laba, effeeza eyo nze njirina. Nze nagitwala.”
Awo nnyina n’amugamba nti, “Mwana wange, Mukama Katonda akuwe omukisa.”
3 (AB)Awo bwe yakomyawo ebitundu bya ffeeza ebyo olukumi mu ekikumi, eri nnyina, nnyina n’amugamba nti, “Mpaayo effeeza eno eri Mukama Katonda, okuva mu mukono gwange ku lw’omwana wange, ekolebwemu ekifaananyi ekyole n’ekifaananyi ekisaanuuse, era ndimuzza gy’oli.”
4 (AC)Awo bwe yazza effeeza, nnyina n’addira ebitundu ebikumi bibiri ebya ffeeza[e], n’abiwa omuweesi wa ffeeza, n’abikolamu ekifaananyi ekyole n’ekifaananyi ekisaanuuse. Ne biteekebwa mu nnyumba ya Mikka.
5 (AD)Omusajja oyo Mikka yalina essabo. N’akola efodi, n’ebifaananyi ebyole n’ayawula omu ku batabani be okuba kabona we. 6 (AE)Mu biro ebyo tewaaliwo kabaka mu Isirayiri, era buli muntu yakolanga nga bw’alaba.
7 (AF)Ne wabaawo omuvubuka ow’omu kika kya Yuda nga Muleevi, eyabeeranga mu Besirekemuyuda. 8 N’ava mu kibuga kya Besirekemuyuda n’atandika okunoonya gy’anaabera, n’atuuka mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu mu nnyumba ya Mikka. Wabula yali akyali ku lugendo ng’akyanoonya aw’okubeera.
9 Mikka n’amubuuza nti, “Ova wa?”
Omuleevi n’amuddamu nti, “Nva mu Besirekemuyuda, era nnoonya we nnyinza okubeera.”
10 (AG)Mikka n’amugamba nti, “Beera nange, obeere kitange era kabona, nange ndikuwa ebitundu bya ffeeza kkumi[f] ng’empeera, era ne nkuwa n’engoye n’emmere.” Omuleevi n’abeera naye. 11 Awo Omuleevi n’akkiriza okubeera n’omusajja oyo, era omuvubuka n’aba gy’ali ng’omu ku batabani be. 12 (AH)Awo Mikka n’ayawula Omuleevi, era omuvubuka oyo n’abeera kabona we n’abeera mu nnyumba ya Mikka. 13 Mikka n’ayogera nti, “Kaakano mmanyi nga Mukama Katonda anankoleranga ebirungi, kubanga nnina Omuleevi nga kabona wange.”
Abadaani Bawamba ekibuga Layisi
18 (AI)Mu biro ebyo Isirayiri teyalina kabaka. Era mu biro ebyo ekika ky’Abadaani baali banoonya ekifo aw’okubeera kubanga mu bika bya Isirayiri baali tebafunanga kifo kya kubeeramu ng’omugabo gwabwe. 2 (AJ)Kyebaava batuma abaana ba Ddaani bataano, abasajja abalwanyi, okuva mu kika kyabwe kyonna, okuva mu Zola ne mu Esutaoli, bagende bakette ensi. Ne babagamba nti, “Mugende mukebere ensi.”
Ne batuuka mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu mu nnyumba ya Mikka ne basula eyo. 3 Bwe baali eyo okumpi n’ennyumba ya Mikka ne beetegereza eddoboozi ly’omuvubuka Omuleevi, ne bakyama ne bamubuuza nti, “Ani eyakuleeta wano? Era okola ki wano? Era lwaki oli wano?”
4 (AK)N’abategeeza Mikka bye yamukolera, n’abagamba nti, “Yampangisa era ndi kabona we.” 5 (AL)Ne bamugamba nti, “Tukwegayiridde, kaakano weebuuze ku Mukama, obanga olugendo lwe tugenda luliba n’omukisa.” 6 (AM)Awo kabona n’abaddamu nti, “Mugende mirembe, kubanga Mukama Katonda asiimye mugende ku lugendo lwammwe.”
7 (AN)Awo abasajja abataano ne bava awo, ne batuuka e Layisi, ne balaba ng’abantu baayo bali mirembe ng’Abasidoni bwe baali. Baali bakkakkamu, nga balina buli kye beetaaga mu nsi, era nga beesudde akabanga n’Abasidoni, nga tewali muntu n’omu gwe bakolagana naye.
8 Awo abakessi bwe baddayo eri baganda baabwe e Zola n’e Esutaoli, baganda baabwe ne bababuuza nti, “Bigenze bitya?”
9 (AO)Ne baddamu nti, “Mugolokoke, tubalumbe. Tulabye ensi, era laba, nga nnungi nnyo. Temuyinza butagenda. Temulwa, tugende tulye ensi. 10 (AP)Bwe mulituuka eyo muliraba abantu abakkakkamu ababeera mu nsi engazi, Katonda gy’atadde mu mukono gwammwe, era nsi erimu buli kintu omuntu kye yeetaaga.”
11 (AQ)Awo ekika ky’Abadaani ne basitula okuva e Zola n’e Esutaoli, abasajja lukaaga nga balina ebyokulwanyisa. 12 (AR)Ne bagenda ne basiisira okumpi ne Kiriyasuyalimu mu Yuda. Ekifo ekyo ne bakituuma Makanedani era kye kiyitibwa n’okutuusa leero. 13 Ne bava awo ne balaga mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu ne batuuka ku nnyumba ya Mikka.
14 (AS)Abasajja abataano abaagenda okuketta ensi ya Layisi ne bagamba baganda baabwe nti, “Mumanyi nga mu nnyumba zino mulimu Efodi n’ebifaananyi ebyole n’ekifaananyi ekisaanuuse? Kale nno mukole kye mugwanira okukola.” 15 Ne bakyama ne bagenda mu nnyumba y’omuvubuka Omuleevi eyali ewa Mikka ne bamulamusa. 16 (AT)Abasajja olukaaga nga balina ebyokulwanyisa byabwe ne bayimirira ku mulyango. 17 (AU)Awo abasajja abataano abaagenda okuketta ne bayingira ne baggyamu ekifaananyi ekyole, ne Efodi, ne balubaale abaali mu nnyumba n’ekifaananyi ekisaanuuse, nga kabona n’abasajja olukaaga nga balina ebyokulwanyisa byabwe bayimiridde ku mulyango.
18 (AV)Abasajja bwe bayingira mu nnyumba ya Mikka okuggyamu ekifaananyi ekyole, ne Efodi, ne balubaale abaali mu nnyumba n’ekifaananyi ekisaanuuse, kabona n’ababuuza nti, “Mukola ki?” 19 (AW)Ne bamuddamu nti, “Sirika tonyega. Jjangu naffe obeere kitaffe era kabona waffe. Kiki ekisinga, ggwe okuba kabona w’ennyumba y’omuntu omu, oba okuba kabona w’ekika kya Isirayiri?” 20 Kabona n’asanyuka, n’atwala Efodi ne balubaale abaali mu nnyumba n’ekifaananyi ekyole n’agenda nabo. 21 Ne babaako we bakyama ne balekayo abaana baabwe abato n’ebisolo byabwe n’ebintu byabwe. Ne bagenda mu maaso.
22 Bwe batambulako akabanga okuva ku nnyumba ya Mikka, abasajja abaabeeranga mu nnyumba eziriraanye ennyumba ya Mikka ne bakuŋŋaana ne bawondera abaana ba Ddaani. 23 Bwe baali babakoowoola, abaana ba Ddaani ne bakyuka ne batunuulira Mikka ne bamubuuza nti, “Mutukoowoolera ki?” 24 N’abaddamu nti, “Mututte balubaale bange be neekolera, ne kabona. Kiki kye nsigazza? Muyinza mutya okumbuuza kye mbadde?”
25 Abaana ba Ddaani ne bamuddamu nti, “Sitwagala kuwulira ddoboozi lyo, si kulwa ng’abasajja abakambwe abali mu ffe bakulumba n’ofiirwa obulamu bwo n’obw’abo ab’omu nnyumba yo.” 26 (AX)Awo abaana ba Ddaani ne beetambulira. Awo Mikka bwe yalaba nga bamuyinze amaanyi, n’akyuka n’addayo ewuwe.
27 (AY)Ne batwala ebintu Mikka bye yali akoze, ne kabona gwe yalina, ne batuuka e Layisi omwali abantu abakkakkamu abatamanyiridde, ne bakilumba ne batta abantu baamu n’ekitala, n’ekibuga ne bakikumako omuliro. 28 (AZ)Tewaaliwo eyajja okubataasa kubanga ne Sidoni kyali wala n’ekibuga ekyo, ate nga tebalina nkolagana na muntu yenna. Ekibuga kyali mu kiwonvu ekiriraanye Besulekobu.
Abaddaani ne bazimba buto ekibuga ne babeera omwo. 29 (BA)Ekibuga ne bakikyusa erinnya okuva ku Layisi lye kyayitibwanga olubereberye ne bakituuma Ddaani, ng’erinnya lya Ddaani jjajjaabwe eyazaalibwa Isirayiri bwe lyali. 30 (BB)Awo abaana ba Ddaani ne beeterawo ekifaananyi ekyole, ne balonda Yonasaani mutabani wa Gerusomu, muzzukulu wa Musa, ne batabani be okuba bakabona eri ekika ky’Abadaani okutuusa ensi lwe yawambibwa. 31 (BC)Ne bassaawo ebifaananyi ebyole Mikka bye yali yeekoledde, ebbanga lyonna ennyumba ya Katonda we yabeerera mu Siiro.
Omuleevi ne mukazi we
19 (BD)Awo mu biro ebyo tewaali kabaka mu Isirayiri.
Ne wabaawo Omuleevi eyabeeranga mu kyalo mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu eyawasa omukazi mu Besirekemu mu Yuda. 2 Naye mukazi we oyo n’ataba mwesigwa n’anoba ku bba, n’addayo mu nnyumba ya kitaawe e Besirekemu mu Yuda n’amalayo emyezi ena. 3 Bba n’agolokoka n’agenda n’omuweereza we n’endogoyi bbiri okwogera ne mukazi we amukomyewo. Omukazi n’amutwala mu nnyumba ya kitaawe era kitaawe w’omuwala bwe yamulaba n’asanyuka era n’amwaniriza. 4 (BE)Awo mukoddomi we, kitaawe w’omuwala n’amuwaliriza asigaleyo ennaku ssatu. Ne balya ne banywa ne basula eyo.
5 (BF)Awo ku lunaku olwokuna ne bagolokoka mu makya, Omuleevi ne yeeteekateeka okugenda. Kyokka kitaawe w’omuwala n’agamba mukoddomi we nti, “Mwesanyuse mumale okulya ku mmere, mulyoke mugende.” 6 (BG)Ne batuula ne balya era ne banywa bonna wamu. Kitaawe w’omuwala n’agamba omusajja nti, “Kaakano kkiriza osule, omutima gwo gusanyukeko.” 7 Omusajja bwe yagolokoka okugenda, mukoddomi we n’amuwaliriza okusigala era n’asula ekiro ekyo. 8 Ku lunaku olwokutaano, bwe yagolokoka mu makya okugenda, kitaawe w’omuwala n’amugamba nti, “Weesanyuse kaakano. Ojjira weesanyusa okutuusa obudde lwe bunaawungeera.” Ne balya bonna wamu.
9 Omusajja bwe yagolokoka okugenda ne mukazi we n’omugole we, mukoddomi we kitaawe w’omuwala n’amugamba nti, “Laba, kaakano obudde buzibye. Sula obudde buyise. Sigala wano weesanyuse, onoogolokoka enkya n’oddayo ewuwo.” 10 (BH)Naye omusajja n’atakkiriza. N’asitula n’agenda ne mukazi we, n’endogoyi ze zombi nga zeetisse, ku luuyi olw’e Yebusi, ye Yerusaalemi.
11 (BI)Bwe baali bali kumpi ne Yebusi, n’obudde nga buyise, omuweereza n’agamba mukama we nti, “Jjangu tukyame tuyingire mu kibuga kino eky’Abayebusi tusule omwo.” 12 Mukama we n’amuddamu nti, “Tetuukyame kuyingira mu kibuga ky’abatali baana ba Isirayiri, eky’abannaggwanga. Tujja kweyongerayo tulage e Gibea.” 13 (BJ)N’agamba omuweereza we nti, “Tusemberere ekimu ku bifo ebyo, tusule e Gibea oba mu Laama.” 14 (BK)Ne beeyongerayo. Enjuba n’egwa nga basemberera Gibea ekya Benyamini. 15 (BL)Ne bakyama eyo mu Gibea, gye baba basula. Ne balaga mu kifo ekigazi eky’ekibuga ne batuula eyo, kyokka ne wataba muntu n’omu eyajja okubatwala ewuwe.
16 (BM)Era laba, ne wajja omusajja omukadde eyali ava ku mirimu gye egy’omu nnimiro akawungeezi, ng’asibuka mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu, ng’abeera mu Gibea. Abantu b’e Gibea baayitibwanga Babenyamini. 17 (BN)N’ayimusa amaaso ge n’alaba omusajja omutambuze, ng’ali mu kifo ekigazi eky’ekibuga. Omusajja n’amubuuza nti, “Ova wa era olaga wa?” 18 (BO)N’amuddamu nti, “Nva mu Besirekemu mu Yuda, ndaga mu byalo eby’ensi ey’ensozi eya Efulayimu gye mbeera. Nva mu Besirekemu mu Yuda, nzirayo mu nnyumba ya Mukama, naye tewali anyannirizza mu nnyumba ye.” 19 (BP)Wabula nnina essubi n’emmere ey’endogoyi zange, ate naffe abaweereza bo tulina emmere ne wayini ebitumala nze, n’omuweereza wo omukazi, n’omuvubuka.
20 Omusajja omukadde n’abagamba nti, “Mbanirizza ewange mwenna. Temwetaaga kusula mu kifo ekigazi eky’ekibuga.” 21 (BQ)Awo n’abatwala mu nnyumba ye, n’aliisa endogoyi ze, ne banaaba ku bigere[g], ne balya, ne banywa.
22 (BR)Awo bwe baali nga beesanyusaamu, laba, abasajja ab’omu kibuga ekyo, abaana ab’obutali butuukirivu ne bazingiza ennyumba nga bwe bakoona oluggi. Ne bagamba nannyini nnyumba, omusajja omukadde nga bwe bawowoggana nti, “Fulumya omusajja oyo ayingidde mu nnyumba yo, tumusiyage.”
23 (BS)Nannyini nnyumba n’afuluma, n’abagamba nti, “Nedda mikwano gyange, temubeera bagwenyufu. Olw’okuba ng’omusajja ono azze mu nnyumba yange, temukola kintu kya buswavu bwe kityo. 24 (BT)Mulaba muwala wange wuuno, mbeerera, ate n’omukazi w’omusajja naye nzija kubamuwa. Baabo mubakole kye mwagala. Naye omusajja ono temumukola kintu kya buswavu bwe kityo.”
25 (BU)Naye abasajja ne bagaana okumuwuliriza. Omusajja kyeyava addira mukazi we, n’amufulumya, ne bamukwata ne bamusobyako ekiro kyonna, ne bamuta agende ng’emmambya esala. 26 Omukazi n’addayo n’atuuka obudde nga bukya, n’agwa ku luggi lw’ennyumba, mukama we gye yali asuze, n’abeera awo okutuusa obudde bwe bwakya.
27 Mukama we bwe yagolokoka mu makya, n’aggulawo enzigi z’ennyumba ye n’afuluma agende ku lugendo lwe, laba, mukazi we ng’agudde mu maaso g’ennyumba, ng’emikono gye gikunukkiriza omulyango. 28 N’agamba mukazi we nti, “Golokoka tugende.” Kyokka ne wataba kanyego. Omusajja n’amuteeka ku ndogoyi, n’agenda ewuwe.
29 (BV)Bwe yatuuka ewuwe, n’addira akambe, n’akwata mukazi we, n’amusalaasalamu ebifi kkumi na bibiri, n’abiweereza mu buli kitundu ekya Isirayiri. 30 (BW)Awo buli muntu eyabirabangako n’agamba nti, “Ekikolwa ekiri nga kino tekikolebwanga so tekirabibwanga okuva ku lunaku abaana ba Isirayiri lwe baayambukirako okuva mu nsi y’e Misiri n’okutuusa leero. Mukirowoozeeko, mukifumiitirizeeko era tulabe eky’okukola.”
Abayisirayiri Balwana n’Ababenyamini
20 (BX)Awo abaana ba Isirayiri bonna okuva ku Ddaani okutuuka ku Beeruseba wamu n’ensi ya Gireyaadi ne bakuŋŋaana mu maaso ga Mukama e Mizupa, nga bali omuntu omu. 2 (BY)Abakulembeze b’abantu bonna mu bika byonna ebya Isirayiri ne batuula mu bifo byabwe mu kuŋŋaaniro ly’abantu ba Katonda, nga bawera abaserikale abaalina ebitala, emitwalo amakumi ana. 3 Awo abaana ba Benyamini ne bawulira nti Abantu ba Isirayiri bambuse e Mizupa. Abaana ba Isirayiri ne boogera nti, “Ekintu kino eky’ekivve bwe kiti, kyabaawo kitya?”
4 (BZ)Omuleevi bba w’omukazi eyattibwa n’addamu nti, “Natuuka e Gibea ekya Benyamini, ne mukazi wange, tusule eyo. 5 (CA)Abasajja ab’e Gibea ne bangolokokerako mu kiro, ne bazingiza ennyumba gye twalimu, ne baagala okunzita. Kyokka ne bakwata mukazi wange ne bamusobyako n’afa. 6 (CB)Kyennava ntwala mukazi wange ne musalaasala, ne mpeereza ebitundu bye mu buli kifo eky’omugabo gwa Isirayiri, kubanga baakola ekikolwa eky’obugwenyufu era eky’ekivve. 7 (CC)Kaakano mmwe abaana ba Isirayiri mwenna, musaleewo eky’okukola.”
8 Awo abantu bonna ne bagolokoka nga bali omuntu omu, ne boogera nti, “Tewali muntu mu ffe aliddayo ewuwe. Tewali aliddayo mu nnyumba ye. 9 (CD)Naye kaakano ekintu kye tulikola Gibea okumulwanyisa, kwe kumukubira akalulu. 10 Abantu kkumi ku bantu kikumi okuva mu bika byonna ebya Isirayiri, n’abalala kikumi ku bantu olukumi, n’abalala lukumi ku bantu omutwalo ogumu bagende bafunire eggye ebyetaago. Eggye bwe lirituuka e Gibea eky’e Benyamini balyoke bababonereze ng’ekikolwa kyabwe eby’obugwenyufu bwe kiri, kye baakola mu Isirayiri.” 11 (CE)Awo abantu bonna aba Isirayiri ne bakuŋŋaana ne baba omuntu omu, ne balumba ekibuga.
12 Ebika bya Isirayiri ne bituma ababaka mu kika kyonna ekya Benyamini, nga babuuza nti, “Kikolwa ki eky’ekivve ekyakolebwa wakati mu mmwe? 13 (CF)Kale kaakano muweeyo abasajja abaana b’ebikolwa ebitali bya butuukirivu abali mu Gibea tubatte, tuggyewo ekibi mu Isirayiri.”
Naye abaana ba Benyamini ne bagaana okuwuliriza eddoboozi ly’abaana ba Isirayiri. 14 Awo abaana ba Benyamini ne bakuŋŋaanira mu Gibea nga bava mu bibuga byonna, bagende balwanyise abaana ba Isirayiri. 15 Ku lunaku olwo, abaana ba Benyamini ne bavaayo okuva mu bibuga abasajja abalina ebitala emitwalo ebiri mu kakaaga. 16 (CG)Mu bantu abo bonna mwalimu abasajja abalondemu lusanvu abakozesa kkono. Buli omu ku bo yayinzanga okuteeka ejjinja mu nvumuulo ekube oluviiri, n’atasubwa.
17 Abasajja ba Isirayiri, nga totaddeeko abava mu Benyamini, ne bakuŋŋaana abasajja abalwanyi abasitula ebitala, emitwalo amakumi ana. 18 (CH)Abaana ba Isirayiri ne bagolokoka ne bayambuka e Beseri ne beebuuza ku Katonda nga bagamba nti, “Ani ku ffe alisooka okugenda okulwanyisa abaana ba Benyamini?” Mukama n’abaddamu nti, “Yuda yalisooka.”
19 Abaana ba Isirayiri ne bagolokoka mu makya ne basiisira okumpi ne Gibea. 20 Abasajja ba Isirayiri ne bagenda okulwanyisa Benyamini, n’abasajja ba Benyamini ne basimba ennyiriri okulwanyisa abasajja ba Isirayiri e Gibea. 21 (CI)Abaana ba Benyamini ne bava mu Gibea ne batta abasajja ba Isirayiri emitwalo ebiri mu enkumi bbiri mu lutalo ku lunaku olwo. 22 Naye abantu bazzaamu abasajja ba Isirayiri amaanyi, ne baddayo ne basimba ennyiriri mu kifo mwe baali ku lunaku olwasooka. 23 (CJ)Awo abaana ba Isirayiri ne bambuka ne bakaabira Mukama okutuusa akawungeezi. Ne beebuuza ku Mukama nti, “Tuddeyo tulwanyise baganda baffe abaana ba Benyamini?” Mukama n’abaddamu nti, “Mugende mubalwanyise.”
24 Ku lunaku olwokubiri Abayisirayiri ne basembera okulwanyisa Ababenyamini. 25 (CK)Ababenyamini ne bavaayo ne balumba okuva e Gibea, ne batta abaana ba Isirayiri abalala omutwalo gumu mu kanaana mu lutalo ku lunaku olwo olwokubiri; Abayisirayiri abo bonna baalina ebitala.
26 (CL)Awo abaana ba Isirayiri bonna n’abantu bonna, ne bambuka okulaga e Beseri, ne bakaabira Mukama Katonda ne batuula eyo mu maaso ge ne basiiba olunaku olwo okutuusa akawungeezi, lwe baawaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’emirembe mu maaso ga Mukama. 27 (CM)Abaana ba Isirayiri ne beebuuza ku Mukama Katonda, kubanga essanduuko ey’endagaano ya Katonda yaliyo mu biro ebyo, 28 (CN)nga Finekaasi mutabani wa Eriyazaali, muzzukulu wa Alooni yaweereza mu maaso ga Mukama Katonda. Ne bamwebuuzaako nga bagamba nti, “Tuddeyo tulumbe baganda baffe abaana ba Benyamini oba tetuddayo?” Mukama n’abaddamu nti, “Mugende kubanga enkya nzija kubagabula mu mukono gwammwe.”
29 (CO)Awo Abayisirayiri ne bateegera ku njuyi zonna eza Gibea. 30 Ku lunaku olwokusatu abaana ba Isirayiri ne bambuka okulwanyisa abaana ba Benyamini ne basimba ennyiriri nga boolekedde Gibea ng’olulala. 31 (CP)Abaana ba Benyamini ne bavaayo okubalwanyisa ne basikirizibwa okuva mu kibuga, ne batandika okukuba n’okutta ng’olulala, nga bava ku luguudo olumu okudda e Beseri, ne ku lulala oludda e Gibea mu nnimiro. Ne batta abasajja Abayisirayiri ng’amakumi asatu.
32 (CQ)Abaana ba Benyamini bwe baagambanga nti, “Tubawangula nga luli bwe kyali ku mulundi ogwasooka,” Abayisirayiri bo ne beeteesa nti, “Tuddeyoko emabega, tubasikirize okubaggya mu kibuga badde mu nguudo.” 33 (CR)Abasajja bonna aba Isirayiri ne bava mu nnyiriri zaabwe mu bifo byabwe, ne badda e Baalutamali. Abayisirayiri abaateega ne bafubutuka okuva mu bifo byabwe mu ttale erya Gibea. 34 (CS)Awo abasajja omutwalo gumu abaalondebwa okuva mu Isirayiri yonna, ne balumba Gibea ne waba okulwana okw’amaanyi, Ababenyamini ne batamanya nti akabi kabajjidde. 35 (CT)Awo Mukama Katonda n’awangula Benyamini mu maaso ga Isirayiri, era ku lunaku olwo abaana ba Isirayiri ne batta Ababenyamini bonna abaalina ebitala, abasajja emitwalo ebiri mu enkumi ttaano mu kikumi. 36 (CU)Abaana ba Benyamini ne balaba nga bakubiddwa.
Abasajja ba Isirayiri ne bakolera Ababenyamini ekkubo, nga bo Abayisirayiri beesize abateezi be baali batadde okumpi ne Gibea. 37 (CV)Abaali bateeze ne badduka ne beesogga mu Gibea, ne basaasaana ne batta abaakirimu bonna. 38 (CW)Abasajja ba Isirayiri baali balagaanye n’abaateega nti abateezi bwe banaanyoosa omukka omungi mu kibuga, 39 (CX)abasajja ba Isirayiri abali mu ddwaniro banaakyuka. Mu kiseera ekyo Ababenyamini baali batanudde okukuba n’okutta abasajja ba Isirayiri ng’amakumi asatu, nga luli olwasooka.
Ne bagamba nti, “Ddala ddala tubawangudde nga mu lutalo luli olwasooka.” 40 (CY)Naye omukka bwe gwatandika okunyooka, ekibuga kyonna nga kigya, Ababenyamini ne bakyuka okutunula emabega, laba, ng’ekibuga kyonna kikutte omuliro. 41 Abasajja ba Isirayiri ne babakyukira. Abasajja ba Benyamini ne batya bwe baalaba ng’akabi kabajjidde. 42 Kyebaava badduka abasajja ba Isirayiri nga baddukira mu ddungu, kyokka olutalo ne lubayinza. Buli eyadduka okuva mu bibuga n’afiira wamu nabo. 43 Abayisirayiri ne bazingiza Ababenyamini, ne babagoba okutuukira ddala ku buvanjuba bw’e Gibea we butandikira. 44 (CZ)Abasajja abalwanyi abazira Ababenyamini abaafa baali omutwalo gumu mu kanaana. 45 (DA)Ababenyamini bwe baddukira mu ddungu nga boolekedde olwazi lwa Limoni, Abayisirayiri ne batta enkumi ttaano ku bo. Abayisirayiri ne bongera okubagobera ddala okutuuka e Gidomu, era n’eyo ne battirayo abasajja enkumi bbiri.
46 Bwe batyo Ababenyamini bonna abaafa ku lunaku olwo, baali emitwalo ebiri mu enkumi ttaano, bonna abo nga basajja bazira. 47 Naye abasajja lukaaga be baddukira mu ddungu okwolekera olwazi lwa Limoni, ne babeera eyo okumala emyezi ena. 48 (DB)Abasajja ba Isirayiri ne bakyuka ne baddayo eri abaana ba Benyamini ne batta buli kintu ekyali mu kibuga, ne batta ensolo, ne batta buli muntu gwe baasanga mu bibuga byonna bye baalaba, ne babikumako omuliro.
Ababenyamini bafuna Abakazi
21 (DC)Abasajja ba Isirayiri baali beerayiridde e Mizupa nti, “Tewabanga n’omu ku ffe awaayo muwala we okufumbirwa Benyamini.”
2 Awo abantu ne bagenda e Beseri ne batuula eyo okutuusa akawungeezi nga bakaabira Katonda, nga bayimusa eddoboozi lyabwe, nga bakuba ebiwoobe, 3 nga bakaaba nti, “Ayi Mukama Katonda wa Isirayiri, lwaki kino kituuse ku Isirayiri leero, ekika ekimu okubula ku Isirayiri?”
4 (DD)Awo ku lunaku olwaddirira, abantu ne bagolokoka ne bazimba ekyoto mu kifo ekyo, ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’emirembe. 5 (DE)Abaana ba Isirayiri ne beebuuza nti, “Ani ku bika byonna ebya Isirayiri atazze kukuŋŋaana mu maaso ga Mukama Katonda?” Kubanga baali beerayiridde, ng’omuntu yenna alemwa okukuŋŋaana mu maaso ga Mukama e Mizupa, ateekwa kuttibwa.
6 Abaana ba Isirayiri ne basaalirwa olwa Benyamini muganda waabwe nga bagamba nti, “Leero ekika ekimu ekya Isirayiri kisaliddwako. 7 (DF)Tunaabakolera ki okubafunira abakazi, obanga ffe ffennyini twerayiridde eri Mukama obutabawa bawala baffe okubafumbirwa?” 8 (DG)Ne beebuuza nti, “Kika ki ku bika bya Isirayiri ekitaayambuka Mizupa mu maaso ga Mukama Katonda?” Ne bazuula nga mu Yabesugireyaadi tewaavaayo muntu eyajja mu lukuŋŋaana. 9 Bwe baalaba abantu, laba nga tewaliiwo mutuuze w’e Yabesugireyaadi.
10 Awo ekibiina ne kitumayo abasajja abalwanyi omutwalo gumu mu enkumi bbiri, ne babalagira nti, “Mugende muzikirize n’ekitala abo bonna ababeera mu Yabesugireyaadi, obutalekaawo bakazi wadde abaana. 11 (DH)Kino kye muba mukola. Mutte buli musajja na buli mukazi atali mbeerera.” 12 (DI)Mu bantu abaabeeranga mu Yabesugireyaadi ne basangamu abawala ebikumi bina abaali embeerera, ne babatwala mu nkambi e Siiro mu nsi ya Kanani.
13 (DJ)Awo ekibiina kyonna ekyali kikuŋŋaanye ne kiweereza abaana ba Benyamini abaali ku lwazi lwa Limoni obubaka obw’emirembe. 14 Awo Ababenyamini ne bakomawo mu kiseera ekyo, era ne baweebwa abawala abaawonawo ku bawala ab’e Yabesugireyaadi, naye ne batabamala bonna.
15 (DK)Abantu ne basaalirwa olwa Benyamini kubanga Mukama Katonda yali abaawudde ku bika bya Isirayiri ebirala. 16 Awo abakadde b’olukuŋŋaana ne bagamba nti, “Abakazi b’Ababenyamini baazikirizibwa, kaakano abasajja abasigaddewo, tunabalabira wa abakazi? 17 Ababenyamini abaasigalawo bateekwa okufuna abasika, ekika kireme okusangulibwawo mu Isirayiri. 18 (DL)Ate tetuyinza kubawa ku bawala baffe kubawasa, kubanga ffe abaana ba Isirayiri tweyama nga tugamba nti, ‘Akolimirwe aliwa Omubenyamini muwala we okumuwasa.’ 19 (DM)Kyokka waliwo embaga ya Mukama Katonda eya buli mwaka e Siiro, ekiri mu bukiikakkono bwa Beseri, n’obuvanjuba bw’oluguudo oluva e Beseri okudda e Sekemu, n’obukiikaddyo bwa Lebona.”
20 Awo ne bagamba abaana ba Benyamini nti, “Mugende mwekweke mu nnimiro z’emizabbibu, 21 (DN)muteege. Laba abawala b’e Siiro bwe banaafuluma okwegatta ku mazina, mudduke okuva mu nnimiro z’emizabbibu, mwefunire buli muntu omukazi ku bawala b’e Siiro, muddeyo mu nsi ya Benyamini. 22 (DO)Awo bakitaabwe oba bannyinaabwe bwe balyemulugunya gye tuli, tulibagamba nti, ‘Mubatuwe lwa kisa, kubanga tetwabafunira bakazi mu lutalo, era olwokubanga temwababawa, temulina musango.’ ”
23 (DP)Awo Ababenyamini ne bakola bwe batyo. Ne beewambira abawala ku abo abaali bazina, ne beddirayo mu busika bwabwe, ne baddamu okuzimba ebibuga byabwe ne babeera omwo. 24 Mu kiseera ekyo n’abaana ba Isirayiri buli muntu mu kika kye ne yeddirayo mu busika bwe. 25 (DQ)Mu biro ebyo tewaali kabaka mu Isirayiri; buli muntu yakolanga nga bw’ayagala.
Nawomi ne Luusi
1 (DR)Awo olwatuuka mu nnaku ezo abalamuzi ze baafugiramu, enjala n’egwa mu nsi. Awo omusajja ow’e Besirekemu mu Yuda ne mukazi we, ne batabani be bombi, ne basengukira mu nsi ya Mowaabu. 2 (DS)Erinnya ly’omusajja yali Erimereki, erya mukazi we Nawomi, n’amannya ga batabani be bombi, Maloni ne Kiriyoni. Baali Bayefulaasi[h] ab’e Besirekemu mu Yuda, bwe baatuuka mu nsi ya Mowaabu, ne babeera omwo.
3 Naye Erimereki bba wa Nawomi n’afa; nnamwandu Nawomi n’asigalawo ne batabani be bombi. 4 (DT)Batabani be baawasa ku bakazi Abamowaabu, omu Olupa, n’omulala Luusi, ne babeera eyo okumala emyaka nga kkumi.
5 Oluvannyuma Maloni ne Kiriyoni ne bafa, Nawomi n’asigala nga talina baana wadde bba.
6 (DU)Bwe yawulira ng’ali mu nsi ya Mowaabu nti Mukama Katonda yajjira abantu be n’abawa emmere, n’agolokoka ne baka baana be okuddayo mu Isirayiri. 7 Ye ne baka baana be, ne bava mu kifo mwe baali, ne bakwata ekkubo okuddayo mu nsi ya Yuda.
8 (DV)Awo Nawomi n’agamba baka baana be nti, “Mugende muddeeyo buli muntu mu nnyumba ya nnyina[i], era Mukama Katonda abakolere ebyekisa, nga nammwe bwe mwakolera abaafa era ne bye mwakolera nze. 9 (DW)Mukama Katonda abawe omukisa era buli omu ku mmwe, amuwe omusajja omulala.” N’alyoka abanywegera, nabo ne bayimusa amaloboozi gaabwe, ne bakaaba amaziga, 10 nga bagamba nti, “Nedda, tuligenda naawe ng’oddayo eri abantu bo.” 11 (DX)Naye Nawomi n’abagamba nti, “Muddeeyo ewammwe bawala bange. Kiki ekibaagaza okugenda nange? Sikyasobola kuzaala baana balala bafuuke babba mmwe[j]. 12 Mweddireyo ewammwe, bawala bange, kubanga nze nkaddiye nnyo sikyafumbirwa. Ne bwe nnandifumbiddwa ne nzaala abaana aboobulenzi; 13 (DY)mwandibalindiridde okutuusa lwe bandikuze nga temunnafumbirwa? Nedda, bawala bange. Nnumwa nnyo okusinga mmwe, kubanga omukono gwa Mukama Katonda tegubadde nange.”
14 (DZ)Bwe baawulira ekyo, ne baddamu okukaaba. Awo Olupa n’anywegera nnyazaala we, n’amusiibula. Naye Luusi namunywererako ddala.
15 (EA)Awo Nawomi bwe yalaba ekyo, namugamba nti, “Laba, munno azzeeyo eri abantu be ne balubaale be, naawe kwata ekkubo omugoberere.” 16 (EB)Naye Luusi n’amwegayirira ng’agamba nti, “Tompaliriza kukuvaako, wadde obutakugoberera, kubanga gy’onoogendanga, nange gye nnaagendanga, gy’onooberanga, nange gye nnaaberanga, era abantu bo be banaabanga abantu bange, era ne Katonda wo y’anaaberanga Katonda wange. 17 (EC)Gy’olifiira nange gye ndifiira era eyo gye balinziika. Mukama Katonda ankangavvule nnyo bwe ndyawukana naawe wabula mpozi okufa.” 18 (ED)Awo Nawomi bwe yalaba nga Luusi amaliridde okugenda naye, n’atayongerako kigambo kirala.
19 (EE)Oluvannyuma bombi ne batambula okutuuka e Besirekemu. Bwe batuuka e Besirekemu, ekibuga kyonna ne kisasamala ku lwabwe, era abakazi ne beebuuza nti, “Ddala ono ye Nawomi?”
20 (EF)Bwe yawulira ekyo, n’abaddamu nti, “Temumpita Nawomi, naye mumpite Mala, kubanga Mukama Ayinzabyonna yalumya obulamu bwange n’okukaawa bunkayiridde. 21 (EG)Nagenda nnina ebintu bingi, naye Mukama Katonda ankomezzaawo nga sirina kantu, kale lwaki mumpita Nawomi? Katonda Ayinzabyonna yandeetera okubonaabona.”
22 (EH)Bw’atyo Nawomi n’akomawo e Besirekemu, okuva mu Mowaabu ne muka mwana we Luusi Omumowaabu, mu kiseera eky’okukungula sayiri[k] nga kyakatandika.
Luusi Asisinkana Bowaazi
2 (EI)Nawomi yalina mulamu we, ng’ava mu kika kya bba, Erimereki, nga mugagga, erinnya lye nga ye Bowaazi. 2 (EJ)Awo Luusi Omumowaabu n’agamba Nawomi nti, “Ka ŋŋende mu nnimiro okulonda ebirimba bya sayiri, ngoberere oyo anankwatirwa ekisa[l].” Nawomi n’amuddamu nti, “Genda, muwala wange.” 3 Amangwago, n’agenda, n’atandika okulonda mu nnimiro abakunguzi we bayise. Awo ne yesanga ng’atuuse mu nnimiro ya Bowaazi, ow’omu kika kya Erimereki.
4 (EK)Mu kiseera kye kimu Bowaazi n’atuuka okuva e Besirekemu, n’agamba abakunguzi be nti, “Mukama Katonda abeere nammwe.”
Nabo ne bamuddamu nti, “Naawe Mukama Katonda akuwe omukisa.”
5 Awo Bowaazi n’abuuza nampala wa bakunguzi be nti, “Omuwala ono w’ani?” 6 (EL)N’amuddamu nti, “Ono ye muwala Omumowaabu eyajja ne Nawomi okuva e Mowaabu. 7 Atwegayiridde alondelonde abakunguzi we bayise mu binywa, era asiibye akola okuva obw’enkya okutuusa essaawa eno, okuggyako akabanga akatono ke yawumuddemu.”
8 Awo Bowaazi n’agamba Luusi nti, “Wuliriza, muwala ggwe. Togendanga n’olondanga mu nnimiro endala yonna, tovanga mu eno, naye obeeranga wamu nabaweereza bange abawala. 9 Gendereranga ennimiro basajja bange mwe bamaze okukungula, era ogobererenga abawala. Abasajja mbalagidde obutakutawanya. Era ennyonta bw’ekulumanga, onywenga ku mazzi abasajja ge basenye.”
10 (EM)Awo Luusi bwe yawulira ebyo, n’avuunama ku ttaka, ng’agamba nti, “Ng’ondaze ekisa mu maaso go, n’onfaako nze, munnaggwanga.” 11 (EN)Naye Bowaazi n’addamu nti, “By’okoledde nnyazaala wo kasookedde balo afa, ne bwe waleka kitaawo ne nnyoko era n’abantu bo n’ojja mu nsi ey’abantu botomanyi, babintegezezza byonna. 12 (EO)Mukama Katonda wa Isirayiri gwe weeyuna wansi w’ebiwaawaatiro bye, akusasule olw’ebyo by’okoze, era akuwe empeera ennene ddala.”
13 Awo Luusi n’addamu nti, “Nneeyongere okulaba ekisa mu maaso go mukama wange, kubanga oyogedde ebigambo ebyekisa eri omuweereza wo era emmeeme yange ogizizza mu nteeko wadde nga sigwanira kuba omu ku baweereza bo.”
14 (EP)Ekiseera ekyokulya bwe kyatuuka, Bowaazi n’agamba Luusi nti, “Jjangu okoze omugaati gwo mu wayini akatuuse[m].”
Awo Luusi bwe yatuula wansi, Bowaazi n’amuwa sayiri ensiike, n’alya, n’akkuta, n’emulemera nawo. 15 Oluvannyuma ng’okulya kuwedde, n’agolokoka agende alonde, era Bowaazi n’alagira abaddu be nti, “Ne bw’anaalonda mu binywa temumugaana. 16 Wakiri, mumuleke yerondere mu miganda so temumuwuuna.”
17 Awo Luusi n’alonda mu nnimiro okutuuka akawungeezi, oluvannyuma n’awuula ne sayiri gye yali akuŋŋaanyizza, n’aweza nga kilo kkumi na ssatu. 18 (EQ)Yonna n’agyetikka, n’agitwala mu kibuga, ne nnyazaala we n’agiraba. Era yamuleetera ne ku mmere gye yali afissizzaawo.
19 (ER)Nnyazaala we yasanyuka nnyo, era n’amubuuza nti, “Wakoze mu nnimiro y’ani leero? Aweebwe omukisa oyo akukwatiddwa ekisa!” Awo Luusi n’abuulira nnyazaala we nannyini nnimiro mwe yakoze, n’erinnya ly’omwami nga ye Bowaazi.
20 (ES)Nawomi namugamba nti, “Mukama Katonda atalekanga kulaga kisa eri abalamu n’abafu, amuwe omukisa. Anti omusajja oyo muganda waffe ddala, era y’omu ku banunuzi[n] baffe ddala.”
21 Luusi Omumowaabu n’ayongerako nti, “N’okuŋŋamba yaŋŋambye nti nkolere wamu n’abakozi be okutuusa lwe balimala eby’okukungula bye.”
22 Awo Nawomi n’agamba Luusi muka mwana we nti, “Kijja kuba kirungi nnyo muwala wange, okubeeranga kumpi nabaweereza be abakazi, kubanga singa onoogenda mu nnimiro y’omulala akabi kayinza okukutuukako.”
23 (ET)Awo Luusi n’abeeranga kumpi n’abaweereza ba Bowaazi ng’alonda okutuusa amakungula ga sayiri n’eŋŋaano bwe gaggwa, n’abeeranga wamu ne nnyazaala we.
Luusi mu Gguuliro lya Bowaazi
3 (EU)Awo Nawomi nnyazaala wa Luusi n’amugamba nti, “Lwaki sikunoonyeza maka ag’okubeeramu, bakulabiririre eyo? 2 (EV)Ewa Bowaazi gy’obadde n’abaweereza be abawala, ye muganda waffe. Kale, ekiro kya leero ajja kuba ng’awewa sayiri mu gguuliro. 3 (EW)Kale naaba osaabe obuwoowo, era oyambale engoye zo ezisinga obulungi. Oluvannyuma oserengete mu gguuliro[o]; naye tomuganya kumanya nti wooli, okutuusa ng’amaze okulya n’okunywa. 4 Oluvannyuma ng’agalamiddeko wansi, weetegereze ekifo w’agalamidde, ogende obikkule ku bigere bye emirannamiro, naawe ogalamire awo; anaakubuulira eky’okukola.”
5 (EX)Awo Luusi n’amugamba nti, “Nzija kukola nga bw’ondagidde.” 6 N’aserengeta mu gguuliro, n’akola byonna nga nnyazaala we bwe yamulagira.
7 (EY)Awo Bowaazi bwe yamala okulya n’okunywa, era nga musanyufu, n’agenda n’agalamira ku mabbali g’entuumo ye ŋŋaano. Luusi naye n’asooba mpola mpola, n’abikkula ku bigere bye, n’agalamira awo kumpi naye. 8 Ekiro mu ttumbi, Bowaazi ne yeekanga, bwe yeekyusa n’alaba omukazi agalamidde kumpi n’ebigere bye.
9 (EZ)N’amubuuza nti, “Ggwe ani?” Luusi n’addamu nti, “Nze Luusi omuweereza wo. Mbikkaako ku lugoye lwo kubanga oli mununuzi wa kika[p].” 10 Bowaazi n’amuddamu nti, “Mukama Katonda akuwe omukisa muwala ggwe, olw’ekisa ekinene kyondaze okusinga eky’olubereberye, kubanga togenze wa bavubuka, abagagga oba abaavu. 11 (FA)Kaakano, muwala ggwe, totya. Nzija kukukolera buli kintu kyonna ky’onoosaba. Abantu bange bonna ab’omu kibuga, bamanyi ng’oli mukazi mwegendereza. 12 (FB)Kya mazima ddala ndi mununuzi wo, naye waliwo ansingako. 13 (FC)Beera wano okutuusa obudde lwe bunaakya. Kale bw’anaayagala okukutwala, kinaaba kirungi; naye bw’anaaba nga tasiimye, Mukama Katonda nga bw’ali omulamu, nnaakutwala.”
14 (FD)N’agalamira kumpi n’ebigere bye okutuusa enkeera, naye n’agolokoka nga tebunnalaba addeyo eka. Naye Bowaazi n’amukuutira nti, “Kireme okumanyibwa nti omukazi yazzeeko mu gguuliro.” 15 Era n’amugamba aleete omunagiro gw’ayambadde; n’agukwata, n’amugerera ebigero mukaaga ebya sayiri, n’abimutikka, oluvannyuma Luusi n’addayo mu kibuga.
16 Bwe yatuuka eri nnyazaala we, Nawomi n’amubuuza nti, “Byagenze bitya muwala wange?” N’amubuulira ebintu byonna Bowaazi bye yamukoledde, 17 era n’ayongerako nti, “Yampadde ebigero bino omukaaga ebya sayiri, n’aŋŋamba nti, ‘Toddayo wa nnyazaala wo ngalo nsa.’ ”
18 (FE)Nawomi n’amugamba nti, “Gumiikiriza, muwala wange, olabe ebigambo gye binakkira, kubanga leero omusajja oyo tajja kuwummula okutuusa ensonga eyo lw’anagimala.”
Bowaazi ne Luusi Bafumbiriganwa
4 (FF)Awo Bowaazi n’ayambuka ku wankaaki w’ekibuga n’atuula awo. Mu kiseera kye kimu, muganda we oli gwe yayogerako ngali ne Luusi, yali ayitawo. Bowaazi n’amuyita namugamba nti, “Jjangu otuuleko wano munnange.” Naye n’akkiriza, n’agenda n’atuula we yali. 2 (FG)Bowaazi n’ayita n’abasajja kkumi ku bakadde b’ekibuga ne bajja ne batuula awo. 3 N’alyoka agamba muganda we nti, “Nawomi, eyakomyewo okuva mu Mowaabu, atunda ekibanja ekyali ekya muganda waffe omugenzi Erimereki. 4 (FH)Ndowoozezza nti nkutegeeze ku nsonga eyo, ekibanja ekyo okigulire mu maaso g’abakadde baffe. Bw’oba ng’oyagala okukinunula kinunule. Naye bw’oba nga toyagala, ntegeeza nkimanye. Tewali mulala alina buyinza kukinunula wabula ggwe, ate nga nze nkuddirira mu lunyiriri lwaffe.”
Omusajja n’addamu nti, “Nzija kukinunula.”
5 (FI)Awo Bowaazi n’amugamba nti, “Olunaku lw’oligula ekibanja ekyo ku Nawomi, ne Luusi Omumowaabu, nnamwandu naye olimutwala, erinnya lye yafa n’olikuuma n’ebintu bye n’obirabirira.”
6 (FJ)Amangwago, omusajja n’addamu nti, “Nze sisobola kukinunula kubanga nnyinza okwonoona obusika bwange. Noolwekyo gwe kinunule.”
7 (FK)(Edda mu Isirayiri, empisa ey’okununula n’okuwaanyisa, yali nga bw’eti: omuntu omu yaggyangamu engatto[q] ye, n’agiwa munne. Eno ye yali ng’enkola entuufu mu Isirayiri).
8 Awo omusajja n’agamba nti, “Kyegulire.” Amangwago Bowaazi n’aggyamu engatto ye. 9 Bowaazi n’alangirira eri abakadde n’abantu bonna nti, “Olwa leero, nguze ku Nawomi ebintu byonna ebya Erimereki, n’ebya Kiriyoni n’ebya Maloni, era mmwe muli bajulirwa. 10 (FL)Era ne Luusi Omumowaabu, nnamwandu wa Maloni, naye mututte okuba mukazi wange, okusobola okukuuma erinnya ly’omugenzi Erimereki n’ebintu bye, erinnya lye lireme okufiira awo ate n’okugibwa ne ligibwa mu bitabo bye byafaayo eby’ekibuga. Mmwe bajulirwa!”
11 (FM)Awo abakadde n’abantu bonna abaali ku wankaaki ne boogera nti, “Tuli bajulirwa. Mukama Katonda amufaananye nga Laakeeri ne Leeya[r], abaazimbira awamu ennyumba ya Isirayiri. Naawe Bowaazi oyale mu Efulasi, era oyatiikirire mu Besirekemu, 12 (FN)era n’ezzadde Mukama Katonda ly’anaakuwa mu mukazi oyo, libeere ng’ennyumba ya Pereezi[s], Tamali gwe yazaalira Yuda.”
13 (FO)Awo Bowaazi n’awasa Luusi okuba mukazi we, n’ayingira gy’ali, n’aba olubuto, Mukama Katonda n’amusobozesa okuzaala omwana owoobulenzi. 14 (FP)Abakyala ne bagamba Nawomi nti, “Mukama Katonda yeebazibwe, oyo atakulese nga tolina mununuzi olunaku lwa leero. Era erinnya ly’omwana lyatiikirire mu Isirayiri yonna! 15 (FQ)Kubanga muka mwana wo akwagala, alizza obuggya obulamu bwo n’akuwanirira mu bukadde bwo; era akusingira abaana omusanvu, be yandizadde.”
16 Awo Nawomi n’atwala omwana, n’amuwambaatira mu kifuba kye, n’amulabirira. 17 (FR)Abakyala ab’oku muliraano ne bagamba nti, “Ewa Nawomi ezaaliddwayo omwana.” Ne bamutuuma erinnya Obedi, oyo ye kitaawe wa Yese, era jjajja wa Dawudi.
18 (FS)Luno lwe lunyiriri lwa Pereezi:
Pereezi yali kitaawe wa Kezulooni,
19 (FT)Kezulooni yali kitaawe wa Laamu,
Laamu n’aba kitaawe wa Amminadaabu.
20 Amminadaabu yali kitaawe wa Nakusoni,
Nakusoni nga ye kitaawe wa Salumooni;
21 (FU)Salumooni yali kitaawe wa Bowaazi,
Bowaazi n’aba kitaawe wa Obedi;
22 Obedi yali kitaawe wa Yese,
Yese n’aba kitaawe wa Dawudi.
Okuzaalibwa kwa Samwiri
1 (FV)Waaliwo omusajja Omwefulayimu eyabeeranga e Lamasayimuzofimu, mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu, ng’ayitibwa Erukaana, nga mutabani wa Yerokamu, muzzukulu wa Eriku, muzzukulu wa Toku, muzzukulu wa Zufu. 2 (FW)Yalina abakyala babiri, omu nga ye Kaana; n’omulala nga ye Penina. Penina yalina abaana, naye Kaana nga mugumba.
3 (FX)Buli mwaka omusajja oyo yayambukanga okuva mu kibuga ky’ewaabwe okugenda okusinza n’okuwaayo ssaddaaka eri Mukama ow’Eggye e Siiro[t]. Eyo Kofuni ne Finekaasi batabani ba Eri gye baawererezanga nga bakabona ba Mukama Katonda. 4 (FY)Awo olunaku olw’okuwaayo ssaddaaka bwe lwatuuka, Erukaana, n’awa Penina ne batabani be, ne bawala be emigabo egy’ennyama. 5 (FZ)Naye Kaana n’amuwa emigabo ebiri kubanga yamwagala nnyo, newaakubadde nga Mukama Katonda yali tamuwadde mwana. 6 (GA)Era kubanga Mukama Katonda yali tamuwadde mwana, muggya we n’amucoccanga. 7 Ebyo byabangawo buli mwaka, era bwe baayambukanga okugenda mu yeekaalu ya Mukama, muggya we n’amujoogerezanga okutuusa lwe yakaabanga, n’okulya n’atalya. 8 (GB)Bba Erukaana n’amubuuza nti, “Kaana, okaabiranga ki? Lwaki tolya? Kiki ekikweraliikiriza? Nze sikusingira abaana ekkumi?”
9 (GC)Lwali lumu bwe baali bamaze okulya n’okunywa e Siiro, Eri yali atudde ku ntebe okumpi n’omulyango gwa yeekaalu[u], Kaana n’asituka n’agenda mu maaso ga Mukama Katonda. 10 (GD)Mu kulumwa olw’ennaku ennyingi ennyo, n’akaaba nnyo amaziga ng’asaba Mukama Katonda. 11 (GE)Ne yeeyama ng’agamba nti, “Ayi Mukama Ayinzabyonna, bw’olitunuulira ennaku ey’omuweereza wo, n’onzijukira, n’ompa omwana owoobulenzi, ndimuwaayo eri Mukama Katonda ennaku zonna ez’obulamu bwe nga muwonge, era enviiri ze teziimwebwengako.”
12 Awo Kaana bwe yeeyongera okusaba ennyo eri Mukama Katonda, Eri ne yeekaliriza akamwa ke. 13 Kaana yali asaba mu kasirise, ng’emimwa gye ginyeenya, naye nga eddoboozi lye teriwulikika. Eri n’alowooza nti atamidde. 14 Eri kyeyava amugamba nti, “Olikomya ddi okujjanga wano ng’otamidde? Ggyawo ettamiiro lyo.”
15 (GF)Naye Kaana n’amuddamu nti, “Si bwe kiri mukama wange; nze ndi mukazi ajjudde ennaku. Sinnanywa ku wayini newaakubadde ekitamiiza ekirala; mbadde nkaabira Mukama Katonda mu mmeeme yange. 16 Omuweereza wo tomulowooza okuba omukazi ow’ekyejjo, kubanga mbadde nsindira Mukama ennaku n’obuyinike bwange.”
17 (GG)Awo Eri n’amuddamu nti, “Genda mirembe. Katonda wa Isirayiri akuwe ekyo ky’omusabye.” 18 (GH)N’ayogera nti, “Omuweereza wo alabe ekisa mu maaso go.” Oluvannyuma ne yeetambulira, n’alya ku mmere, n’atandika okutunula n’essanyu. 19 (GI)Awo Erukaana n’ab’ewuwe ne bagolokoka enkeera mu makya ne basinza Mukama, n’oluvannyuma ne baddayo ewaabwe e Laama. Ne yeetaba ne mukazi we Kaana, Mukama Katonda n’amujjukira. 20 (GJ)Kaana n’aba olubuto n’azaala omwana wabulenzi. N’amutuuma erinnya Samwiri, amakulu gaalyo, “Kubanga namusaba Mukama Katonda.”
Kaana Awonga Samwiri
21 (GK)Awo Erukaana n’ayambuka n’ab’ennyumba ye okugenda okuwaayo ssaddaaka eri Mukama Katonda n’okutuukiriza obweyamo bwe. 22 (GL)Naye Kaana teyagenda nabo. N’agamba bba nti, “Omwana bw’aliva ku mabeere[v], ndimutwala ne mulagayo eri Mukama Katonda, era alibeera eyo ennaku ze zonna.”
23 (GM)Erukaana n’amuddamu nti, “Kola nga bw’osiima. Linda okutuusa lw’olimala okumuggya ku mabeere; Mukama Katonda atuukirize ekigambo kye.” Awo omukyala n’asigala eka, n’alabirira omwana okutuusa lwe yava ku mabeere.
24 (GN)Bwe yava ku mabeere, n’amutwala mu yeekaalu ya Mukama Katonda e Siiro ng’akyali muto; ne batwala ente ssatu ennume, n’endebe ey’obutta, n’eccupa y’envinnyo. 25 Bwe baamala okusala emu ku nte, ne batwala omwana eri Eri. 26 Kaana n’ayogera nti, “Nga bw’oli omulamu mukama wange, nze mukyala oli eyayimirira okumpi naawe, ne nsaba Mukama Katonda. 27 (GO)Namusaba omwana ono, era Mukama Katonda ampadde kye namusaba. 28 (GP)Kaakano mmuwaayo eri Mukama, era obulamu bwe bwonna aweereddwayo eri Mukama Katonda.” Omwana n’asinzizanga Mukama Katonda eyo.
Okusaba kwa Kaana
2 (GQ)Awo Kaana n’asaba mu bigambo bino nti,
“Omutima gwange gusanyukira Mukama;
amaanyi gange geenyumiririza mu Mukama Katonda.
Akamwa kange kasekerera abalabe bange,
kubanga essanyu lyange liri mu bulokozi bwo.”
2 (GR)Tewali mutukuvu nga Mukama Katonda
tewali mulala wabula ggwe;
tewali Lwazi oluli nga Katonda waffe.
3 (GS)Toyogera nate nga weewaanawaana
wadde okuleka akamwa ko okwogera eby’amalala,
kubanga Mukama Katonda y’amanyi byonna,
era y’apima ebikolwa.
4 (GT)Emitego egy’ab’amaanyi gimenyebbwa
naye abanafu baweereddwa amaanyi.
5 (GU)Abo abakkutanga, be bapakasa okufuna emmere
naye abo abeetaaga, tebakyalumwa njala.
Eyali omugumba azadde abaana musanvu,
n’oyo alina abaana abangi, asobeddwa.
6 (GV)Mukama Katonda y’aleeta okufa, era y’awa obulamu;
atwala emagombe ate n’azuukiza.
7 (GW)Mukama Katonda y’ayavuwaza era y’agaggawaza;
atoowaza ate n’agulumiza.
8 (GX)Ayimusa abaavu okuva mu nfuufu;
asitula abali mu bwetaavu okuva mu ntuumu y’evvu;
n’abatuuza n’abalangira, era ne basikira entebe ey’ekitiibwa.
Kubanga emisingi gy’ensi gya Mukama Katonda, era okwo kw’atuuzizza ensi.
9 (GY)Anaakuumanga ebigere by’abatukuvu be,
naye ababi balisirisibwa mu kizikiza;
kubanga omuntu tawangula lw’amaanyi.
10 (GZ)Abalabe ba Mukama Katonda balisaasaanyizibwa;
alibabwatukira ng’asinziira mu ggulu.
Mukama alisalira ensonda ez’ensi omusango;
aliwa kabaka we amaanyi,
era n’agulumiza amaanyi g’oyo gwe yafukako amafuta.
11 (HA)Awo Erukaana n’addayo ewuwe e Lama, naye omwana n’asigala ng’aweereza Mukama Katonda, ng’alabirirwa Eri.
Batabani ba Eri
12 (HB)Batabani ba Eri baali basajja ba mpisa mbi, nga tebatya Mukama Katonda. 13 (HC)Omuntu yenna bwe yawangayo ssaddaaka, omuweereza wa kabona yajjanga, ng’akutte ewuuma ey’amannyo asatu ng’ennyama ekyatokosebwa, 14 n’asonseka ewuuma mu nsaka oba mu bbinika, oba mu ntamu, oba mu sefuliya, era ebyo byonna ewuuma bye yakwasanga, kabona bye yeetwaliranga. Bwe batyo bwe baakolanga Abayisirayiri bonna abajjanga okusinziza e Siiro. 15 Ate amasavu bwe gaabanga tegannayokebwa, omuweereza wa kabona yajjanga n’agamba omuntu awaayo ssaddaaka nti, “Kabona muwe ku nnyama ayokye, kubanga tajja kukkiriza kutwala nnyama nfumbe ayagala mbisi yokka[w].”
16 Omusajja bwe yamuddangamu nti, “Leka bamale okwokyako amasavu, olyoke otwale yonna gy’oyagala,” omuweereza yaddangamu nti, “Nedda, oteekwa okugimpa kaakano, bwe kitaba bwe kityo, nzija kugitwala lw’amaanyi.”
17 (HD)Ekibi ky’abavubuka abo ne kiba kinene nnyo mu maaso ga Mukama, kubanga baanyoomanga ekiweebwayo kya Mukama Katonda.
18 (HE)Samwiri n’aweerezanga mu maaso ga Mukama Katonda nga mulenzi muto, eyayambalanga ekkanzu ey’obwakabona eya bafuta. 19 (HF)Nnyina n’amukolelanga ekyambalo n’akimutwaliranga, bwe yabanga ayambuse ne bba okuwaayo ssaddaaka eya buli mwaka. 20 (HG)Eri n’awa Erukaana ne mukyala we omukisa, ng’ayogera nti, “Mukama Katonda abawe abaana okudda mu kifo ky’oyo mukazi wo ono gwe yasaba, n’amuwaayo ng’ekirabo eri Mukama.” N’oluvannyuma baddayo eka. 21 (HH)Mukama n’aba wa kisa eri Kaana, n’azaala abaana aboobulenzi basatu, n’aboobuwala babiri. Omuvubuka Samwiri n’akulira mu maaso ga Mukama.
22 (HI)Awo Eri eyali akaddiye ennyo, n’awulira ebyo byonna batabani be bye baakolanga Abayisirayiri bonna, ne bwe beetabanga n’abakyala abaweerezanga ku mulyango gw’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu. 23 N’abagamba nti, “Kiki ekibakoza ebifaanana bwe bityo? Bye mpulira okuva eri abantu bano bonna nga si birungi. 24 Nedda, baana bange; ebigambo bye mpulira ebisaasaana mu bantu ba Mukama si birungi n’akatono. 25 (HJ)Omuntu bw’ayonoona eri muntu munne, Katonda[x] ayinza okubatabaganya, naye omuntu bw’ayonoona eri Mukama, ani anaamwegayiririra?” Naye ne batawuliriza bigambo bya kitaabwe, kubanga Mukama yali asazeewo okubazikiriza.
26 (HK)Awo omuvubuka Samwiri ne yeeyongera okukula, n’aba muganzi eri Mukama n’eri abantu.
Ebyalangibwa ku Nnyumba ya Eri
27 (HL)Awo ne wabaawo omusajja wa Katonda eyajja eri Eri, n’amugamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Sseeraga bulungi eri ennyumba ya jjajjaawo mu Misiri bwe baali bafugibwa Falaawo? 28 (HM)Nalonda jjajjaawo okuva mu bika byonna ebya Isirayiri okuba kabona wange, okwambukanga ku kyoto kyange, okwoterezangako obubaane, n’okwambalanga ekkanzu ey’obwakabona eya bafuta mu maaso gange. Era ne mpa ennyumba ya jjajjaawo ebiweebwayo byonna ebyokebwa Abayisirayiri. 29 (HN)Lwaki munyooma ssaddaaka yange n’ekiweebwayo kyange bye nalagira, okuweebwangayo mu yeekaalu yange? Lwaki ossaamu batabani bo ekitiibwa okunsinga, nga mweddiza ebitundu ebisinga obusava ku buli kiweebwayo abantu bange, Isirayiri, kye bawaayo?’
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.