Bible in 90 Days
Entandikwa
1 (A)Ku lubereberye Katonda yatonda eggulu n’ensi. 2 (B)Ensi yali njereere nga yeetabuddetabudde, ekizikiza nga kibisse kungulu ku buziba, n’Omwoyo wa Katonda ng’atambulira ku mazzi.
3 (C)Awo Katonda n’agamba nti, “Wabeerewo obutangaavu,” ne waba obutangaavu. 4 Katonda n’alaba obutangaavu nga bulungi; n’ayawula obutangaavu n’ekizikiza. 5 (D)Katonda obutangaavu n’abuyita emisana, n’ekizikiza n’akiyita ekiro. Ne wabaawo akawungeezi ate ne buba enkya. Olwo lwe lunaku olw’olubereberye.
6 (E)Era Katonda n’agamba nti, “Wabeewo ebbanga lyawule olufu n’amazzi.” 7 (F)Bw’atyo Katonda n’akola ebbanga okwawula wansi n’amazzi agali waggulu. Ne kiba bwe kityo. 8 Katonda ebbanga n’aliyita eggulu. Ne buba akawungeezi, ate ne buba enkya, olwo lwe lunaku olwokubiri.
9 (G)Awo Katonda n’ayogera nti, “Amazzi agali wansi w’eggulu gakuŋŋaanire mu kifo kimu, wabeewo olukalu.” Ne kiba bwe kityo. 10 Katonda olukalu n’aluyita ensi, amazzi agakuŋŋaanye go n’agayita ennyanja. Katonda n’alaba nga ky’akoze kirungi.
11 (H)Awo Katonda n’agamba nti, “Ensi ereete ebimera: emiti egizaala ensigo mu ngeri yaagyo, emiti egy’ebibala ebibaamu ensigo mu ngeri yaagyo, gibeere ku nsi.” Ne kiba bwe kityo. 12 Ensi n’ereeta ebimera: ebimera eby’ensigo ebya buli ngeri, n’emiti egy’ebibala ebya buli ngeri n’ebijja ku nsi. Katonda n’alaba nga ky’akoze kirungi. 13 Ne buba akawungeezi ate ne buba enkya. Olwo lwe lunaku olwokusatu.
14 (I)Awo Katonda n’agamba nti, “Wabeewo ebyaka mu bbanga ly’eggulu, okwawula emisana n’ekiro; bibeerenga obubonero okwawulanga ebiro, n’ennaku, n’emyaka. 15 Bibeere ebyaka ku ggulu, bireetere ensi obutangaavu.” Ne kiba bwe kityo. 16 (J)Katonda n’akola ebyaka ebinene bibiri, ekyaka ekisinga obunene kifugenga emisana, n’ekitono kifugenga ekiro, n’akola n’emmunyeenye. 17 Awo Katonda n’abiteeka mu bbanga ly’eggulu byakenga ku nsi, 18 (K)enjuba efugenga emisana, omwezi gufugenga ekiro, era byawulenga obutangaavu n’ekizikiza. Katonda n’alaba ng’ekyo kirungi. 19 Ne buba akawungeezi, ate ne buba enkya. Olwo lwe lunaku olwokuna.
20 Katonda n’ayogera nti, “Amazzi galeete ebibinja by’ebiramu, n’ebinyonyi bibuukenga waggulu mu bbanga.” 21 (L)Bw’atyo Katonda n’akola ebitonde eby’omu nnyanja ebinene ennyo, na buli kiramu ekya buli ngeri eky’omu nnyanja, na buli kinyonyi ekibuuka. Katonda n’alaba nga ky’akoze kirungi. 22 (M)Bw’atyo Katonda n’abiwa omukisa n’agamba nti, “Muzaale mwale, mujjuze amazzi g’ennyanja, n’ebinyonyi byale ku nsi.” 23 Ne buba akawungeezi, ate ne buba enkya; olwo lwe lunaku olwokutaano.
24 Katonda n’ayogera nti, “Ensi ereete ebiramu ebya buli ngeri: ente, n’ebyewalula, n’ensolo ez’omu nsiko eza buli ngeri.” Bwe kityo bwe kyali. 25 (N)Katonda n’atonda ensolo ez’oku nsi eza buli ngeri, n’ente eza buli ngeri, na buli ekyewalula ku ttaka ekya buli ngeri. Katonda n’alaba nga ky’akoze kirungi.
26 (O)Awo Katonda n’agamba nti, “Tukole omuntu mu kifaananyi kyaffe mu ngeri yaffe. Bafugenga ebyennyanja eby’omu nnyanja, n’ebinyonyi eby’omu bbanga, n’ensolo zonna, n’ensi yonna, era bafugenga na buli ekyewalulira ku nsi kyonna.”
27 (P)Bw’atyo Katonda n’atonda omuntu mu kifaananyi kye,
mu kifaananyi kya Katonda mwe yamutondera;
n’abatonda omusajja n’omukazi.
28 (Q)Katonda n’abawa omukisa, n’abagamba nti, “Mwale mujjuze ensi, mugifugenga. Mufugenga ebyennyanja ebiri mu nnyanja, n’ebinyonyi eby’omu bbanga na buli kiramu ekitambula ku nsi.”
29 (R)Awo Katonda n’agamba nti, “Laba mbawadde buli kimera eky’ensigo ekiri ku nsi na buli muti ogw’ensigo mu kibala kyagwo. Munaabiryanga. 30 (S)Mbawadde na buli nsolo ey’oku nsi, na buli kinyonyi eky’omu bbanga na buli ekyewalula, na buli ekissa omukka mbiwa buli kimera, okuba emmere yaabyo.” Bwe kityo bwe kyali.
31 (T)Awo Katonda n’alaba byonna by’akoze nga birungi nnyo. Ne buba akawungeezi, ate ne buba enkya, olwo lwe lunaku olwomukaaga.
2 Bwe bityo eggulu n’ensi awamu ne byonna ebigirimu ne biggwa okukolwa.
2 (U)Ku lunaku olw’omusanvu Katonda yali amaze ebyo byonna bye yali akola; n’awummulira ku lunaku olwo ng’ava ku mirimu gye gyonna gye yakola. 3 (V)Bw’atyo Katonda olunaku olw’omusanvu n’aluwa omukisa n’alutukuza; kubanga ku olwo Katonda kwe yawummulira emirimu gye yakola mu kutonda.
Adamu ne Kaawa
4 Ebyo bye bifa ku ggulu n’ensi nga bwe byatondebwa, Mukama Katonda we yamalira okutonda eggulu n’ensi.
5 (W)Tewaaliwo muddo gwonna ku nsi wadde ekimera kyonna, kubanga Mukama Katonda yali tannatonnyesa nkuba ku nsi era nga tewali muntu ow’okulima ettaka. 6 Naye ensulo n’eva mu ttaka n’efukirira ensi yonna. 7 (X)Mukama Katonda n’akola omuntu okuva mu nfuufu ey’oku nsi n’amufuuwa mu nnyindo omukka ogw’obulamu. Omuntu n’aba omulamu. 8 (Y)Mukama Katonda yali asimbye ennimiro Adeni ku luuyi olw’ebuvanjuba, omuntu gwe yabumba n’amuteeka omwo. 9 (Z)Mukama Katonda n’ameza mu ttaka buli muti ogusanyusa amaaso era omulungi okulya. N’ateeka omuti ogw’obulamu, n’omuti ogw’okumanya ekirungi n’ekibi wakati mu nnimiro.
10 Omugga ne gusibuka mu nnimiro Adeni ne gukulukuta okulufukirira, ne gwanjaalira omwo ne guvaamu emigga ena. 11 Erinnya ly’ogusooka Pisoni, gwe gwo ogukulukuta okwetooloola ensi ya Kavira, awali zaabu; 12 ne zaabu y’ensi eyo nnungi; mulimu bideriamu n’amayinja onuku. 13 Omugga ogwokubiri ye Gikoni, gwe gukulukuta okwetooloola ensi ya Kuusi.[a] 14 (AA)N’erinnya ly’ogwokusatu ye Tigiriisi ogukulukutira ku buvanjuba bwa Bwasuli. Ogwokuna ye Fulaati.
15 Mukama Katonda n’ateeka omuntu mu nnimiro Adeni agirimenga era agikuumenga. 16 Mukama Katonda n’alagira omuntu nti, “Emiti gyonna egy’omu nnimiro olyangako, 17 (AB)naye omuti ogw’okumanya ekirungi n’ekibi ogwo togulyangako, kubanga lw’oligulyako tolirema kufa.”
18 (AC)Mukama Katonda n’ayogera nti, “Si kirungi omuntu okuba yekka, nnaamukolera omubeezi amusaanira.” 19 (AD)Naye olwo Mukama Katonda yali amaze okukola ensolo zonna ez’omu nsiko n’ebinyonyi eby’omu bbanga. N’abireeta eri omuntu abituume amannya. Buli kiramu omuntu nga bwe yakiyita, lye lyabeera erinnya lyakyo. 20 Bw’atyo omuntu n’atuuma buli nsolo ey’awaka, n’ebinyonyi eby’omu bbanga n’ensolo ez’omu nsiko amannya.
Adamu yali tannaba kufunirwa mubeezi. 21 Mukama Katonda n’aleetera omusajja otulo tungi nnyo ne yeebaka; bwe yali nga yeebase n’amuggyamu olubirizi lumu, n’azzaawo ennyama. 22 (AE)Mukama Katonda n’atonda omukazi okuva mu lubiriizi lwe yaggya mu musajja n’amumuleetera.
23 (AF)Omusajja n’agamba nti,
“Lino lye ggumba ery’omu magumba gange,
ye nnyama ey’omu nnyama yange,
anaayitibwanga mukazi;
kubanga aggyibbwa mu musajja.”
24 (AG)Noolwekyo omusajja ky’anaavanga aleka kitaawe ne nnyina ne yeegatta ne mukazi we, ne bafuuka omubiri gumu.
25 (AH)Omusajja n’omukazi baali tebambadde, naye nga tewali akwatirwa munne nsonyi.
Okujeema kw’Omuntu
3 (AI)Kale nno omusota gwali mukalabakalaba okukira ensolo zonna ez’omu nsiko, Mukama Katonda ze yatonda. Ne gugamba omukazi nti, “Kazzi Katonda yagamba nti, ‘Temulyanga ku muti gwonna ogw’omu nnimiro!’ ”
2 Omukazi n’addamu omusota nti, “Tulya ku buli muti ogw’omu nnimiro, 3 kyokka Katonda yatulagira nti, ‘Temulyanga ku kibala ky’omuti oguli wakati mu nnimiro, wadde okugukwatako, muleme okufa.’ ”
4 (AJ)Naye omusota ne gugamba omukazi nti, “Temugenda kufa. 5 (AK)Kubanga Katonda amanyi nga lwe muligulyako amaaso gammwe lwe galizibuka, era mulifaanana nga ye, okumanyanga ekirungi n’ekibi.”
6 (AL)Awo omukazi bwe yalaba ng’omuti mulungi nga gusanyusa okutunulako era gwegombebwa okuleeta amagezi, n’anoga ekibala kyagwo n’alya; n’awaako ne bba naye n’alya. 7 Awo amaaso gaabwe bombi ne gazibuka, ne bategeera nga baali bwereere; ne baluka amalagala g’emiti ne beekolera ebyokwambala.
8 (AM)Awo ne bawulira eddoboozi lya Mukama Katonda ng’atambula mu nnimiro, mu budde obuweeweevu. Omusajja n’omukazi ne beekweka mu miti Mukama Katonda aleme okubalaba. 9 Naye Mukama Katonda n’ayita omusajja nti, “Oli ludda wa?”
10 N’addamu nti, “Mpulidde eddoboozi lyo mu nnimiro, ne ntya, kubanga mbadde bwereere; ne nneekweka.”
11 N’amubuuza nti, “Ani akubuulidde nti oli bwereere? Olidde ku muti gwe nakulagira obutagulyangako?”
12 Omusajja n’addamu nti, “Omukazi gwe wampa okubeeranga nange y’ampadde ekibala ne ndya.”
13 (AN)Mukama Katonda kwe kubuuza omukazi nti, “Kiki kino ky’okoze?”
Omukazi n’addamu nti, “Omusota gwe gunsenzesenze ne ndya.”
14 (AO)Mukama Katonda n’agamba omusota nti, Kubanga okoze kino
okolimiddwa okukira ensolo zonna ez’awaka
n’ez’omu nsiko,
oneekululiranga ku lubuto lwo
era onoolyanga nfuufu
ennaku zonna ez’obulamu bwo.
15 (AP)Nteeka obulabe
wakati wo n’omukazi,
ne wakati w’ezzadde lyo n’ezzadde ly’omukazi;
ezzadde lye linaakubetentanga omutwe,
naawe onoolibojjanga ekisinziiro.
16 (AQ)N’agamba omukazi nti,
“Nnaayongeranga nnyo ku bulumi bwo ng’oli lubuto,
onoozaaliranga mu bulumi;
musajja wo anaakukoleranga bye weetaaga
kyokka anaakufuganga.”
17 (AR)N’agamba Adamu nti, “Kubanga owulidde eddoboozi lya mukazi wo, n’olya ku muti gwe nakulagira obutagulyangako,
“ensi ekolimiddwa ku lulwo;
mu ntuuyo zo mw’onoofuniranga ekyokulya
ennaku zonna ez’obulamu bwo.
18 (AS)Ensi eneekumerezanga amaggwa n’amatovu,
onoolyanga ebibala eby’omu nnimiro.
19 (AT)Mu ntuuyo zo
mw’onoggyanga ekyokulya,
okutuusa lw’olidda mu ttaka mwe wava,
kubanga oli nfuufu ne mu nfuufu mw’olidda.”
20 Omusajja n’atuuma omukazi erinnya Kaawa, oyo ye nnyina w’abalamu bonna.
21 Mukama Katonda n’akolera Adamu ne mukazi we ebyambalo eby’amaliba n’abambaza. 22 (AU)Awo Mukama Katonda n’agamba nti, “Laba omuntu afuuse ng’omu ku ffe okumanyanga ekirungi n’ekibi; kale kaakano talwa kugolola mukono gwe n’anoga ku muti ogw’obulamu n’alya, n’awangaala emirembe gyonna.” 23 (AV)Bw’atyo Mukama Katonda n’agoba omuntu mu nnimiro Adeni agende alimenga ettaka mwe yaggyibwa. 24 (AW)Bwe yamala okugobamu omuntu, n’ateekamu Bakerubi n’ekitala ekimyansa eky’obwogi ku buli ludda okukuuma ekkubo erigenda ku muti ogw’obulamu.
Kayini ne Aberi
4 Adamu n’amanya Kaawa, mukazi we, n’aba olubuto n’azaala Kayini n’agamba nti, “Mukama annyambye nzadde omuntu.” 2 (AX)Oluvannyuma n’azaala muganda we Aberi.
Aberi n’aba mulunzi, ye Kayini n’abeera mulimi. 3 (AY)Awo ennaku bwe zaayitawo Kayini n’alyoka aleeta ebibala by’ebimera ebyava mu ttaka okubiwaayo eri Mukama. 4 (AZ)Aberi naye n’aleeta ku baana b’endiga ze ababereberye n’amasavu gaazo. Mukama n’asiima Aberi n’ekiweebwayo kye. 5 Naye teyasiima Kayini wadde ekiweebwayo kye. Awo Kayini n’asunguwala nnyo, n’endabika y’amaaso ge n’ewaanyisibwa.
6 Mukama n’abuuza Kayini nti, “Osunguwalidde ki? Era n’endabika y’amaaso go lwaki ewaanyisiddwa? 7 (BA)Bw’onookolanga obulungi tokkirizibwenga? Naye bw’otokole bulungi ekibi, kiri kumpi naawe, nga kikulindiridde, naye oteekwa okukiwangula.”
Kayini atta Aberi
8 (BB)Kayini n’agamba Aberi muganda we nti, “Tulageko mu nnimiro.” Bwe baali nga bali mu nnimiro Kayini n’agolokokera ku muganda we Aberi, n’amutta.
9 Awo Mukama n’abuuza Kayini nti, “Muganda wo Aberi ali ludda wa?”
N’amuddamu nti, “Ssimanyi; nze mukuumi wa muganda wange?”
10 (BC)Mukama n’amugamba nti, “Okoze ki? Eddoboozi ly’omusaayi gwa muganda wo oguyiyiddwa ku ttaka linkaabirira. 11 Ne kaakano okolimiddwa, era ettaka lyasamye okumira omusaayi gwa muganda wo gwe wasse. 12 Bw’onoolimanga ettaka teriikuwenga bibala byalyo; onoobanga momboze ku nsi.”
13 Kayini n’agamba Mukama nti, “Ekibonerezo kyange kinzitooweredde sikisobola. 14 (BD)Laba, ongobye okuva ku nsi ne mu maaso go; era nnaabanga momboze ne buli anandaba ananzita.”
15 (BE)Awo Mukama n’amugamba nti, “Nedda si bwe kiri. Buli alitta Kayini ndimuwalana emirundi musanvu.” 16 (BF)Kayini n’alyoka ava mu maaso ga Mukama, n’abeera mu nsi ya Enodi ku luuyi olw’ebuvanjuba olwa Adeni.
Abaana ba Kayini
17 (BG)Kayini n’amanya mukazi we, n’aba olubuto n’azaala Enoka. Kayini n’azimba ekibuga n’akituuma erinnya lyerimu erya mutabani we Enoka. 18 Enoka n’azaalirwa Iradi ne Iradi n’azaala Mekujeeri, ne Mekujeeri n’azaala Mesuseera, ne Mesuseera n’azaala Lameka.
19 Lameka n’awasa abakazi babiri: omu yali Ada n’omulala nga ye Zira. 20 Ada n’azaala Yabali. Ono ye yali kitaawe w’abo ababeera mu weema nga balunda. 21 Muganda we Yubali, ye yazaala abo abakuba ennanga n’okufuuwa omulere. 22 Zira n’azaala Tubalukayini omuweesi w’eby’ekikomo n’eby’ekyuma. Ne mwannyina wa Tubalukayini nga ye Naama.
23 (BH)Lameka n’agamba bakazi be nti,
“Ada ne Zira, muwulire eddoboozi lyange;
mwe bakazi ba Lameka, muwulirize kye ŋŋamba;
nzise omusajja olw’okunfumita,
nga muvubuka, olw’okunkuba.
24 (BI)Obanga Kayini yawalanirwa emirundi musanvu,
mazima Lameka wa kuwalanirwa emirundi nsanvu mu musanvu.”
Okuzaalibwa kwa Seezi
25 (BJ)Awo Adamu n’amanya mukazi we, n’azaala omwana wabulenzi n’amutuuma Seezi, kubanga yayogera nti, “Katonda ampadde omwana omulala mu kifo kya Aberi, Kayini gwe yatta.” 26 (BK)Seezi n’azaala omwana owoobulenzi n’amutuuma Enosi.
Mu kiseera ekyo abantu ne batandika okukoowoola erinnya lya Mukama.
Okuva ku Adamu okutuuka ku Nuuwa
5 (BL)Luno lwe lulyo lwa Adamu.
Katonda bwe yatonda omuntu, yamukola mu kifaananyi kya Katonda. 2 (BM)Yabatonda omusajja n’omukazi, n’abawa omukisa n’abatuuma, “abantu.”
3 (BN)Adamu bwe yaweza emyaka kikumi mu asatu, n’azaala omwana owoobulenzi amufaanana, mu kifaananyi kye, n’amutuuma Seezi. 4 Seezi bwe yamala okuzaalibwa, Adamu n’amala emyaka lunaana, n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala. 5 (BO)Emyaka gyonna Adamu gye yamala gyali lwenda mu asatu, n’afa.
6 Seezi bwe yaweza emyaka kikumi mu etaano n’azaala Enosi. 7 Seezi bwe yamala okuzaala Enosi n’awangaala emyaka emirala lunaana mu musanvu n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala. 8 Bwe gityo emyaka gyonna egya Seezi ne giba lwenda mu kkumi n’ebiri n’alyoka afa.
9 Enosi bwe yaweza emyaka kyenda n’azaala Kenani. 10 Enosi bwe yamala okuzaala Kenani n’awangaala emyaka emirala lunaana mu kkumi n’etaano, omwo n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala. 11 Bwe gityo emyaka gyonna Enosi gye yamala ne giba lwenda mu etaano; n’alyoka afa.
12 Kenani bwe yaweza emyaka nsanvu n’azaala Makalaleri. 13 Kenani n’awangaala emyaka emirala lunaana mu ana, n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala. 14 Emyaka gyonna Kenani gye yamala ne giba lwenda mu kkumi.
15 Makalaleri bwe yaweza emyaka nkaaga mu etaano n’azaala Yaredi. 16 Bwe yamala okuzaala Yaredi n’awangaala emyaka emirala lunaana mu asatu n’azaaliramu abaana abalala aboobulenzi n’aboobuwala. 17 Ennaku zonna eza Makalaleri ne ziba emyaka lunaana mu kyenda mu etaano, n’afa.
18 (BP)Yaredi bwe yaweza emyaka kikumi mu nkaaga mu ebiri n’azaala Enoka. 19 Yaredi bwe yamala okuzaala Enoka n’awangaala emyaka emirala lunaana, omwo n’azaaliramu abaana abalala aboobulenzi n’aboobuwala. 20 Bwe gityo emyaka gyonna Yaredi gye yamala ne giba lwenda mu nkaaga mu ebiri, n’afa.
21 Enoka bwe yaweza emyaka nkaaga mu etaano n’azaala Mesuseera. 22 (BQ)Enoka n’atambulira wamu ne Katonda, okumala emyaka ebikumi bisatu nga Mesuseera amaze okuzaalibwa, n’azaala abaana abalala aboobulenzi n’aboobuwala. 23 Bwe gityo emyaka gyonna egya Enoka ne giba ebikumi bisatu mu nkaaga mu etaano. 24 (BR)Enoka yatambula ne Katonda, n’ataddamu kulabika, kubanga Katonda yamutwala.
Mesuseera ne Nuuwa
25 Mesuseera bwe yali nga yaakamala emyaka kikumi mu kinaana mu musanvu n’azaala Lameka. 26 Bwe yamala okuzaala Lameka n’awangaala emyaka emirala lusanvu mu kinaana mu ebiri, n’azaala abaana abalala aboobulenzi n’aboobuwala. 27 Bwe gityo emyaka gyonna Mesuseera gye yamala ne giba lwenda mu nkaaga mu mwenda; n’afa.
28 Lameka bwe yali nga wa myaka kikumi mu kinaana mu ebiri n’azaala omwana owoobulenzi 29 (BS)n’amutuuma Nuuwa, ng’agamba nti, “Okuva mu ttaka Mukama lye yakolimira, ono yalituweezaweeza mu mulimu gwaffe, ne mu kutegana kw’emikono gyaffe.” 30 Lameka n’awangaala emyaka emirala bitaano mu kyenda mu etaano ng’amaze okuzaala Nuuwa, mu gyo n’azaaliramu abaana abalala aboobulenzi n’aboobuwala. 31 Bwe gityo emyaka gyonna Lameka gye yawangaala ne giba lusanvu mu nsanvu mu musanvu.
32 Nuuwa bwe yaweza emyaka ebikumi bitaano n’azaala Seemu, ne Kaamu ne Yafeesi.
Amataba
6 (BT)Abantu bwe beeyongera obungi ku nsi ne bazaalirwa abaana aboobuwala. 2 Abaana ba Katonda ne balaba ng’abawala abo balungi ne bawasa buli gwe beerondera. 3 (BU)Awo Mukama n’agamba nti, “Omwoyo wange taawakanenga na muntu emirembe gyonna, kubanga muntu buntu; n’ennaku ze ziriba emyaka kikumi mu abiri.”
4 (BV)Mu nnaku ezo, abaana ba Katonda bwe beegatta n’abawala b’abantu abo, ne babazaalamu abaana; be Banefuli abaali abatutumufu ennyo era abalwanyi abeekitalo mu biseera ebyo era ne mu biro ebyaddirira.
Katonda asalira abantu omusango
5 (BW)Mukama n’alaba ng’ekibi ky’omuntu kiyinze nnyo ku nsi; nga buli ndowooza y’omutima gw’omuntu mbi njereere ebbanga lyonna. 6 (BX)Mukama n’anakuwala nnyo kubanga yatonda omuntu ku nsi, n’alumwa nnyo mu mutima gwe. 7 Awo Mukama n’agamba nti, “Ndiggya ku nsi omuntu gwe natonda, ndisaanyaawo omuntu, n’ensolo n’ebinyonyi, kubanga nejjusizza olw’okubitonda.” 8 (BY)Kyokka ye Nuuwa n’alaba ekisa mu maaso ga Mukama.
Ekiragiro ky’okuzimba Eryato
9 (BZ)Bino bye bifa ku Nuuwa n’ab’omu nju ye:
Nuuwa yali muntu mutuukirivu, nga taliiko kya kunenyezebwa mu bantu b’ekiseera kye, n’atambula ne Katonda. 10 (CA)Nuuwa yalina batabani be basatu: Seemu ne Kaamu ne Yafeesi.
11 (CB)Ensi yali nnyonoonefu mu maaso ga Katonda era ng’ejjudde eddalu. 12 (CC)Katonda n’alaba ensi, era laba, ng’eyonoonese mu kweyisa kwayo kubanga buli muntu yenna yali kyetwala nga tewakyali mutuukirivu. 13 (CD)Katonda kwe kugamba Nuuwa nti, “Mmaliridde okuzikiriza buli muntu, kubanga ensi ejjudde eddalu; laba, nzija kubazikiriza mbamalewo ku nsi. 14 (CE)Naye ggwe Nuuwa weekolere eryato mu muti gofeeri, okolemu ebisenge, olibikke n’envumbo munda ne kungulu. 15 Bw’oti bw’oba olikola: obuwanvu bwalyo mita kikumi mu ana, n’obugazi mita amakumi abiri mu ssatu, n’obugulumivu mita kkumi na ssatu n’ekitundu. 16 Bw’oliba olizimba, waggulu oteekangayo akasolya nga kabika kimu kyakubiri ekya mita. Omulyango gwalyo oguteekanga mu mbiriizi zaalyo. Okolanga eryato lya kalinassatu, ery’emyaliiro: ogwa wansi n’ogwokubiri, n’ogwokusatu. 17 (CF)Ndireeta amataba ku nsi, okuzikiriza buli kiramu, ekissa omukka, ekiri wansi w’eggulu; buli ekiri ku nsi kya kufa. 18 (CG)Naye ndikola endagaano naawe. Oliyingira mu lyato, ggwe, ne mukazi wo, ne batabani bo, ne baka batabani bo wamu naawe. 19 Oliyingira mu lyato na buli kiramu ekirina omubiri; oliyingiza bibiri bibiri ekisajja n’ekikazi bibeere biramu naawe. 20 (CH)Ku binyonyi ebya buli ngeri, ne ku nsolo eza buli ngeri, na buli ekyewalula ekya buli ngeri, bibiri bibiri ebya buli ngeri birijja gy’oli, bibeere biramu. 21 Era twala buli ngeri ya mmere eriibwa, ogitereke; eriba mmere yo n’ebiramu byo.”
22 (CI)Nuuwa n’akola byonna nga Katonda bwe yamulagira.
7 (CJ)Awo Mukama n’agamba Nuuwa nti, “Yingira mu lyato, ggwe n’abantu bo bonna, kubanga nkulabye ng’oli mutuukirivu mu mulembe guno. 2 (CK)Twala ku buli nsolo ennongoofu musanvu musanvu ensajja n’enkazi, 3 era ne ku binyonyi eby’omu bbanga musanvu musanvu ekisajja n’ekikazi, okukuuma olulyo lwabyo ku nsi. 4 Bwe waliyitawo ennaku musanvu nditonnyesa enkuba ku nsi emisana n’ekiro okumalira ddala ennaku amakumi ana, era ndizikiriza buli kintu ekiramu kye natonda ku nsi.”
5 (CL)Bw’atyo Nuuwa n’akola buli kintu nga Mukama bwe yakimulagira.
6 Nuuwa yali aweza emyaka lukaaga amataba bwe gajja ku nsi. 7 Nuuwa n’ayingira mu lyato n’abaana be ne mukazi we n’abakazi b’abaana be bawone amataba. 8 Era ensolo ennongoofu, n’ensolo ezitali nnongoofu n’ebibuuka mu bbanga na buli ekyewalula, 9 ne biyingira bibiri bibiri ekisajja n’ekikazi eri Nuuwa mu lyato, nga Katonda bwe yamulagira. 10 Awo olwatuuka oluvannyuma lw’ennaku ziri omusanvu, amataba ne gatandika ku nsi.
11 (CM)Mu mwaka ogw’olukaaga ogw’obulamu bwa Nuuwa, mu mwezi ogwokubiri, ku lunaku olw’ekkumi n’omusanvu olw’omwezi, ku lunaku olwo ensulo zonna ez’omu nnyanja ennene, ne ziggulwa lumu n’ebituli byonna eby’eggulu. 12 (CN)Enkuba n’etonnya ku nsi okumala ennaku amakumi ana, emisana n’ekiro. 13 Ku lunaku olwo lwennyini Nuuwa ne mukazi ne batabani be, Seemu, ne Kaamu ne Yafeesi, ne bakazi baabwe bonsatule, ne bayingira mu lyato. 14 Buli nsolo mu ngeri yaayo na buli nte, na buli ekyewalula, era na buli kinyonyi mu ngeri yaakyo na buli nkula ya kinyonyi, nabyo ne biyingira mu lyato. 15 (CO)Ne biyingira mu lyato lya Nuuwa bibiri bibiri byonna ebyalimu omukka ogw’obulamu. 16 Byonna ne biyingira mu lyato, ekisajja n’ekikazi; byayingira nga Katonda bwe yalagira Nuuwa, Mukama n’aggalawo eryato.
17 (CP)Amataba ne gabuna ensi okumala ennaku amakumi ana. Amazzi ne geeyongeranga, n’eryato nalyo ne lyeyongeranga okutumbiira ku nsi. 18 Amazzi ne gatumbiira ne geeyongera okwala ku nsi, n’eryato ne liseeyeeya kungulu ku mazzi. 19 (CQ)Amazzi ne gatumbiira nnyo nnyini ku nsi, n’ensozi zonna empanvu wansi w’eggulu lyonna amazzi ne gazibikka. 20 Amazzi ne gatumbiira ne gabikka ensozi ne zibulira wansi mu mazzi mita nga musanvu. 21 (CR)Buli kiramu ekyali ku nsi ne kifa: ebinyonyi n’ensolo ez’awaka n’ez’omu nsiko, n’ebitonde byonna ebyali ku nsi n’abantu bonna. 22 (CS)Buli kintu kyonna ekyali ku lukalu ekissa omukka ne kifa. 23 (CT)Buli kiramu kyonna ekyali ku nsi ne kimalibwawo: abantu, n’ensolo, na buli kitonde ekitambula ku nsi, n’ebinyonyi eby’omu bbanga ne bimalibwawo ku nsi. Nuuwa yekka n’abo be yali nabo mu lyato be baasigalawo.
24 (CU)Amataba gaamala ku nsi ennaku kikumi mu ataano.
Okukendeera kw’Amataba
8 (CV)Katonda n’ajjukira Nuuwa n’ensolo zonna ez’awaka n’ez’omu nsiko ezaali naye mu lyato, n’asindika empewo ku nsi, amazzi ne gakendeera; 2 (CW)ensulo eza wansi w’ensi n’ebituli eby’eggulu ne biggalibwa, n’enkuba eva mu ggulu n’eziyizibwa, 3 n’amazzi ne geeyongera okukendeera ku nsi. Ku nkomerero y’ennaku kikumi mu ataano amazzi gaali gakalidde; 4 ne mu mwezi ogw’omusanvu, ku lunaku lwagwo olw’ekkumi n’omusanvu, eryato ne litereera ku nsozi eza Alalaati. 5 Bwe gatyo amazzi ne geeyongera okukalira okutuusa mu mwezi ogw’ekkumi, ku lunaku olusooka olw’omwezi ogwo entikko z’ensozi ne zirabika.
6 Oluvannyuma lw’ennaku amakumi ana Nuuwa n’aggula eddirisa lye yakola ku lyato 7 n’atuma namuŋŋoona n’agenda nga bw’akomawo okutuusa amazzi lwe gaakalira. 8 Oluvannyuma n’atuma ejjuba ne liva w’ali okulaba ng’amazzi gakalidde ku nsi; 9 naye ejjuba ne litalaba we lissa kigere kyalyo, ne likomawo gy’ali mu lyato, kubanga amazzi gaali gakyali ku nsi yonna. N’agolola omukono gwe n’alikwata n’aliyingiza mu lyato. 10 N’alinda ennaku endala musanvu n’atuma ate ejjuba okuva mu lyato; 11 ne likomawo akawungeezi, era laba, nga lirina mu kamwa kaalyo akakoola akabisi ke liggye ku muti omuzeyituuni. Awo Nuuwa n’ategeera nti amazzi gakendedde ku nsi. 12 Ate n’alinda ennaku endala musanvu, n’asindika ejjuba, naye ku mulundi guno teryadda.
13 Ku lunaku olw’olubereberye, olw’omwezi ogw’olubereberye nga Nuuwa aweza emyaka lukaaga mu gumu, amazzi gaali gakalidde ku nsi. Awo Nuuwa n’aggyako ekibikka ku lyato n’alaba ng’ensi ekalidde. 14 Ku lunaku olw’amakumi abiri mu omusanvu olw’omwezi ogwokubiri ensi yali ekalidde.
15 Awo Katonda n’agamba Nuuwa nti, 16 (CX)“Vva mu lyato, ggwe, ne mukazi wo, ne batabani bo ne bakazi baabwe. 17 (CY)Fulumya buli kiramu ekiri naawe: ebinyonyi, n’ensolo, na buli kiramu ekitambula ku ttaka, biryoke bizaale byale ku nsi, byeyongerenga obungi.”
18 Awo Nuuwa n’afuluma ne batabani be, ne mukazi we wamu ne bakazi ba batabani be. 19 N’ensolo n’ebitonde byonna ebitambula ku ttaka, n’ebinyonyi byonna, byonna ne biva mu lyato bibiri bibiri mu bibinja.
20 (CZ)Awo Nuuwa n’azimbira Mukama ekyoto, n’addira ku zimu ku nsolo ennongoofu ne ku binyonyi ebirongoofu n’awaayo ekiweebwayo ekyokebwa ku kyoto. 21 (DA)Mukama n’awulira akawoowo akalungi akamusanyusa, n’ayogera mu mutima gwe nti, “Sikyaddayo kukolimira nsi olw’omuntu, newaakubadde ng’endowooza y’omutima gwe mbi okuva mu buto bwe. Sikyaddayo na kuzikiriza bitonde byonna ebiramu, nga bwe nkoze.
22 (DB)“Ensi ng’ekyaliwo,
okusiga n’amakungula,
obunnyogovu n’ebbugumu,
ebiseera eby’omusana n’eby’obutiti,
emisana n’ekiro,
tebiggwengawo.”
Endagaano ya Katonda ne Nuuwa
9 (DC)Awo Katonda n’awa Nuuwa ne batabani be omukisa n’agamba nti, “Muzaale mwale mweyongerenga nnyo mujjuze ensi. 2 Ensolo zonna ez’omu nsiko, n’ebinyonyi eby’omu bbanga, na buli ekitambula ku nsi, buli ekiri mu nnyanja, byonna binaakutyanga, mbikuwadde mu mikono gyo. 3 (DD)Buli kintu ekiramu, ekitambula onookiryanga. Nga bwe nakuwa ebimera, kaakano nkuwa buli kintu.
4 (DE)“Naye toolyenga nnyama ng’ekyalimu omusaayi gwayo. 5 (DF)Era ndivunaana ayiwa omusaayi gwammwe ne nvunaana n’omuntu olw’omusaayi gw’ensolo ne muvunaana n’olw’omusaayi gwa muntu munne.
6 (DG)“Buli anaayiwanga omusaayi gw’omuntu,
n’ogugwe gunaayiibwanga,
kubanga mu kifaananyi kya Katonda,
Katonda mwe yakolera omuntu.
7 (DH)Naye ggwe onoozaalanga ne weeyongera obungi. Oneeyongeranga ku nsi.”
Endagaano ne Nuuwa
8 Awo Katonda n’agamba Nuuwa ne batabani bwe baali 9 (DI)nti, “Laba nkola endagaano yange nammwe ne bonna abaliva mu mmwe oluvannyuma lwammwe, 10 era na buli kitonde ekiramu ekiri naawe: ebinyonyi, n’ensolo ez’awaka n’ez’omu nsiko zonna, ne byonna bye muvudde nabyo mu lyato, ne buli kitonde kyonna ku nsi. 11 (DJ)Nkola endagaano yange eno nammwe: tewaabengawo mataba gazikiriza bulamu bwonna, tewakyaddayo kubaawo mataba gasaanyaawo nsi.”
12 (DK)Katonda n’agamba nti, “Kano ke kabonero ke nteeka wakati wange nammwe, na buli kitonde ekiramu ekiri nammwe, era n’ab’emirembe egiriddawo. 13 Nteeka musoke wange mu kire, nga ke kabonero ak’endagaano wakati wange n’ensi.
14 “Kale olunaatuukanga, bwe nnaaleetaanga ekire ku nsi, musoke anaalabikiranga ku bire, 15 (DL)ne nzijukira endagaano yange nammwe na buli kiramu; era amazzi tegakyaddayo kuzikiriza biramu. 16 (DM)Musoke bw’anaabanga ku bire, nnaamutunuuliranga ne nzijukira endagaano eteriggwaawo eriwo wakati wa Katonda na buli kitonde ekiramu ekiri ku nsi.”
17 (DN)Katonda n’agamba Nuuwa nti, “Kano ke kabonero ak’endagaano gye ntaddewo wakati wange ne buli kiramu ekiri ku nsi.”
Batabani ba Nuuwa
18 (DO)Batabani ba Nuuwa abaava mu lyato ye Seemu, ne Kaamu ne Yafeesi. Kaamu ye yali kitaawe wa Kanani. 19 (DP)Bonna abasatu be baali batabani ba Nuuwa; era okuva mu bano ensi yonna yajjula abantu.
Kanani Akolimirwa, Seemu ye Aweebwa Omukisa
20 Nuuwa n’atandika okulima n’asimba emizabbibu; 21 n’anywa omwenge n’atamiira, ne yeebaka mu weema ng’ali bwereere. 22 Kaamu kitaawe wa Kanani n’alaba obwereere bwa kitaawe, n’abuulirako baganda be ababiri abaali ebweru. 23 Awo ne bateeka olugoye ku bibegabega byabwe ne batambula ekyennyumannyuma, ne babikka ku bwereere bwa kitaabwe.
24 Omwenge bwe gwamwamukako, Nuuwa n’azuukuka n’ategeera mutabani we omuto ky’amukoze. 25 (DQ)N’akolimira ezzadde lya Kaamu n’agamba nti,
“Kanani akolimirwe,
abeere muddu wa baddu eri baganda be.”
26 Era n’agamba nti,
“Mukama Katonda wange, awe Seemu omukisa,
Kanani abeere muddu we.”
27 Katonda yaza Yafeesi,
abeere mu weema za Seemu,
Kanani abeere muddu we.
28 Oluvannyuma lw’amataba Nuuwa yawangaala emyaka emirala ebikumi bisatu mu ataano. 29 Emyaka gyonna Nuuwa, gye yamala ku nsi ne giba lwenda mu amakumi ataano, n’afa.
Bazzukulu ba Nuuwa
10 (DR)Bano be bazzukulu ba Nuuwa, Seemu ne Kaamu, ne Yafeesi be baazaala oluvannyuma lw’amataba.
Bazzukulu ba Kuusi
2 (DS)Batabani ba Yafeesi:
Gomeri, ne Magogi, ne Madayi, ne Yivani, ne Tubali ne Meseki ne Tirasi.
3 (DT)Batabani ba Gomeri be bano:
Asukenaazi, ne Lifasi, ne Togaluma.
4 (DU)Batabani ba Yivani baali:
Erisa, ne Talusiisi, ne Kittimu ne Dodanimu. 5 (Mu bano mwe mwava abo abaabuna olubalama lw’ennyanja. Bano be batabani ba Yafeesi mu bitundu byabwe, buli bamu mu nnimi zaabwe ng’ennyumba zaabwe n’amawanga gaabwe bwe biri.)
Bazzukulu ba Kaamu
6 (DV)Batabani ba Kaamu be bano:
Kuusi, ne Misiri, ne Puuti,[b] ne Kanani.
7 Batabani ba Kuusi be bano:
Seeba, ne Kavira, ne Sabuta, ne Laama ne Sebuteka.
Batabani ba Laama baali:
Seeba ne Dedani.
8 Kuusi ye yazaala Nimuloodi; ye yasooka okuba omuntu ow’amaanyi ennyo ku nsi. 9 Yali muyizzi kkungwa, mu maaso ga Mukama, kyekyava kigambibwa nti, “Afaanana Nimuloodi omuyizzi kkungwa mu maaso ga Mukama.” 10 (DW)Obwakabaka bwe bwatandikira Baberi, ne Eneki ne Akudi ne Kalune, nga byonna bya mu nsi Sinali.[c] 11 (DX)Bwe yava mu nsi eyo n’agenda mu Bwasuli, n’azimba Nineeve, ne Lekobosiyira, ne Kala ne 12 Leseni, wakati wa Nineeve ne Kala; Leseni kye kyali ekibuga ekikulu.
13 Mizulayimu oba Misiri ye kitaawe wa
Ludimu, ne Anamimu, ne Lekabimu, ne Nafutukimu, 14 (DY)ne Pasulusimu, ne Kasulukimu (omwava Abafirisuuti) ne Kafutorimu.
15 (DZ)Kanani ye yazaala
Sidoni, omwana we omubereberye, ne Keesi, 16 (EA)n’Abayebusi, n’Abamoli, n’Abagirugaasi, 17 n’Abakiivi, n’Abaluki, n’Abasiini, 18 (EB)n’Abaluvada, n’Abazemali, n’Abakamasi n’ebika eby’omu Kanani ne babuna wonna. 19 (EC)Ekitundu kya Kanani kyava ku Sidoni, okwolekera Gerali n’okutuukira ddala e Gaza okwolekera Sodomu, ne Ggomola, ne Adima, ne Zeboyimu okutuukira ddala e Lasa.
20 Abo be bazzukulu ba Kaamu, mu nda zaabwe ne nnimi zaabwe, mu bitundu byabwe ne mu mawanga gaabwe.
Bazzukulu ba Seemu
21 (ED)Seemu kitaawe w’abo bonna abaava mu Eberi, mukulu wa Yafeesi naye yazaalirwa abaana.
22 (EE)Abaana ba Seemu be bano:
Eramu, ne Asuli,[d] ne Alupakusaadi, ne Ludi ne Alamu.
23 (EF)Batabani ba Alamu:
Uzi, ne Kuuli, ne Ggeseri ne Masi.
24 (EG)Alupakusaadi ye kitaawe wa[e] Seera.
Seera ye kitaawe wa Eberi.
25 Omu ku batabani ba Eberi yali Peregi,
kubanga we yazaalirwa ensi yali yeesazeemu, muganda we ye yali Yokutaani.
26 Yokutaani ye yali kitaawe wa
Alumodaadi, ne Serefu, ne Kazalumaveesi, ne Yera, 27 ne Kadolaamu, ne Uzali, ne Dikula, 28 ne Obali, ne Abimayeeri, ne Seeba, 29 ne Ofiri, ne Kavira ne Yobabu; bano bonna baali batabani ba Yokutaani.
30 Ekitundu mwe baali kyava ku Mesa okwolekera Serali, okutuukira ddala ku kitundu eky’ensozi ku luuyi olw’ebuvanjuba.
31 Abo be bazzukulu ba Seemu, mu nnyumba zaabwe, ne mu nnimi zaabwe, ne mu bitundu byabwe ne mu mawanga gaabwe.
32 (EH)Abo ze nnyumba za batabani ba Nuuwa ng’okuzaalibwa kwabwe bwe kwali, n’amawanga gaabwe; era okuva mu bano amawanga gonna mwe gaayalira ne gabuna ensi yonna oluvannyuma lw’amataba.
Omunaala gwa Babiri
11 Ensi yonna yalina olulimi lumu, nga bakozesa ebigambo bye bimu. 2 (EI)Abantu bwe baava oluuyi olw’ebuvanjuba ne batuuka mu lusenyi nsi ya Sinaali ne babeera omwo.
3 (EJ)Ne bateesa nti, “Mujje tukole amatoffaali, tugookye bulungi.” Ne baba n’amatoffaali mu kifo ky’amayinja, ne kolaasi mu kifo ky’ettosi. 4 (EK)Awo ne bagamba nti, “Mujje twezimbire ekibuga, tutuuse omunaala gwakyo ku ggulu; twekolere erinnya, tuleme okusaasaanyizibwa okubuna ensi yonna.”
5 (EL)Naye Mukama nakka okulaba ekibuga n’omunaala, abaana b’abantu kye baali bazimba. 6 Mukama n’ayogera nti, “Laba, bali omuntu omu, era boogera olulimi lumu! Era eno ntandikwa butandikwa ey’ebyo bye banaakola; era tewali kye banaateesa kukola ekinaabalemerera. 7 (EM)Mujje, tukke wansi tutabuletabule olulimi lwabwe, baleme kutegeeragana.”
8 (EN)Bw’atyo Mukama n’abasaasaanya ne babuna ensi yonna, n’ekibuga kyabwe ne batakimaliriza. 9 (EO)Ekibuga ekyo erinnya lyakyo kye lyava liyitibwa Babiri, kubanga eyo Mukama gye yatabuliratabulira olulimi lw’ensi yonna. Eyo Mukama gye yabasaasaanyiza okubuna ensi yonna.
Abaana n’abazzukulu ba Seemu
10 Bino bye bifa ku b’olulyo lwa Seemu:
Seemu bwe yali ng’aweza emyaka kikumi, n’azaala[f] Alupakusaadi nga wakayita emyaka ebiri okuva ku mataba. 11 Seemu n’amala emyaka ebikumi bitaano nga Alupakusaadi amaze okusaalibwa. N’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala.
12 (EP)Alupakusaadi bwe yaweza emyaka asatu mu etaano n’azaala Seera, 13 Alupakusaadi bwe yamala okuzaala Seera n’awangaala emyaka emirala ebikumi bina mu esatu, omwo n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala.
14 Seera bwe yaweza emyaka amakumi asatu n’azaala Eberi, 15 ate Seera n’aweza emyaka emirala ebikumi bina mu asatu ng’amaze okuzaala Eberi, era omwo n’azaaliramu abaana abalala aboobulenzi n’aboobuwala.
16 Eberi bwe yaweza emyaka amakumi asatu mu ena n’azaala Peregi. 17 Eberi bwe yamala okuzaala Peregi n’awangaala emyaka ebikumi bina mu amakumi asatu, omwo n’azaaliramu abaana abalala aboobulenzi n’aboobuwala.
18 Peregi bwe yaweza emyaka amakumi asatu n’azaala Leewo, 19 bwe yamala okuzaala Leewo n’awangaala emyaka emirala ebikumi bibiri mu mwenda, n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala.
20 (EQ)Leewo bwe yaweza emyaka amakumi asatu mu ebiri n’azaala Serugi. 21 N’awangaala emyaka emirala ebikumi bibiri mu musanvu. Omwo n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala.
22 Serugi bwe yaweza emyaka amakumi asatu n’azaala Nakoli, 23 bwe yamala okuzaala Nakoli n’awangaala emyaka emirala ebikumi bibiri. Omwo n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala.
24 (ER)Nakoli bwe yaweza emyaka amakumi abiri mu mwenda n’azaala Teera. 25 Bwe yamala okuzaala Teera n’awangaala emyaka emirala kikumi mu kkumi na mwenda, era omwo n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala.
26 (ES)Teera bwe yaweza emyaka nsanvu, n’azaala Ibulaamu, ne Nakoli ne Kalani.
Obuzaale bwa Ibulaamu
27 (ET)Bino bye bifa ku b’olulyo lwa Teera:
Teera ye kitaawe wa Ibulaamu, ne Nakoli ne Kalani; Kalani ye yali kitaawe wa Lutti. 28 (EU)Kalani yafa nga kitaawe Teera tannafa. Yafiira mu Uli ey’Abakaludaaya mwe yazaalirwa. 29 (EV)Ibulaamu ne Nakoli ne bawasa; erinnya lya mukazi wa Ibulaamu lyali Salaayi, ate mukazi wa Nakoli nga ye Mirika, muwala wa Kalani, kitaawe wa Mirika ne Isika. 30 (EW)Salaayi yali mugumba, teyalina mwana.
31 (EX)Teera n’atwala Ibulaamu mutabani we Lutti muzzukulu we mutabani wa Kalani, ne Salaayi muka mutabani we Ibulaamu, ne bagenda bonna okuva mu Uli eky’Abakaludaaya okugenda mu nsi ya Kalani; bwe baatuuka mu Kalani,[g] ne babeera omwo.
32 Emyaka gya Teera gyali ebikumi bibiri mu etaano; Teera n’afiira mu Kalani.
Okuyitibwa kwa Ibulaamu
12 (EY)Awo Mukama n’agamba Ibulaamu nti, “Vva mu nsi yannyo ne mu bantu bo ne mu nnyumba ya kitaawo ogende mu nsi gye ndikulaga.
2 (EZ)“Nange ndikufuula eggwanga eddene,
era ndikuwa omukisa,
n’erinnya lyo ne ndifuula kkulu,
olyoke obeere mukisa.
3 (FA)Ndiwa omukisa abo abakusabira omukisa,
era buli alikukolimira nange namukolimiranga;
era mu ggwe amawanga gonna ag’omu nsi
mwe galiweerwa omukisa.”
4 (FB)Bw’atyo Ibulaamu n’agenda nga Mukama bwe yamugamba, ne Lutti n’agenda wamu naye. Ibulaamu we yaviira mu Kalani yali aweza emyaka nsanvu mu etaano. 5 (FC)Ibulaamu n’atwala Salaayi mukazi we, ne Lutti mutabani wa muganda we ne byonna bye baalina bye baali bafunye, n’abantu baabwe be baafunira mu Kalani, ne basitula okugenda mu Kanani. Ne batuuka mu nsi ya Kanani.
6 (FD)Ibulaamu n’ayita mu nsi n’atuuka mu kifo ekiyitibwa Sekemu awali emivule gya Mole. Mu biro ebyo Abakanani be baali mu nsi omwo. 7 (FE)Awo Mukama n’alabikira Ibulaamu n’agamba nti, “Ensi eno ndigiwa abo abaliva mu ggwe.” Awo Ibulaamu n’azimbira eyo Mukama ekyoto eyamulabikira.
8 (FF)Bw’atyo n’alaga ku lusozi ku luuyi olw’ebuvanjuba obwa Beseri, n’asimba eweema ye nga Beseri ali ku luuyi olw’ebugwanjuba, ne Ayi ngali ku luuyi olw’ebuvanjuba, n’azimbira eyo Mukama ekyoto, n’akoowoola erinnya lya Mukama. 9 (FG)Ibulaamu ne yeeyongera okutambula ng’ayolekera Negevu[h].
Ibulaamu Agenda e Misiri
10 Ne wagwa enjala mu nsi. Bw’atyo Ibulaamu n’aserengeta e Misiri[i] asengukireko eyo, kubanga enjala nnyingi eyali mu nsi. 11 Bwe yali anaatera okuyingira mu Misiri, n’agamba Salaayi mukazi we nti, “Mmanyi ng’oli mukazi mulungi era mubalagavu, 12 era Abamisiri bwe balikulabako baligamba nti, ‘Ono ye mukazi we,’ kale balinzita, naye ggwe ne bakuleka. 13 (FH)Ogambanga nti, Oli mwannyinaze ndyoke mbeere bulungi ku lulwo, n’obulamu bwange buleme kubaako kabi, buwone ku lulwo.”
14 Ibulaamu bwe yayingira mu Misiri, Abamisiri ne balaba Salaayi nga mukazi mulungi nnyo. 15 N’abakungu ba Falaawo bwe baamulaba ne bamutendera Falaawo ne bamutwala mu lubiri lwa Falaawo. 16 Ku lwa Salaayi, Falaawo n’ayisa bulungi Ibulaamu. Ibulaamu n’aweebwa endiga, n’ente, n’endogoyi, n’abaweereza abasajja, n’abaweereza abakazi, n’endogoyi enkazi, n’eŋŋamira.
17 (FI)Naye Mukama n’aleetera Falaawo n’ennyumba ye endwadde enkambwe olwa Salaayi mukazi wa Ibulaamu. 18 (FJ)Awo Falaawo n’ayita Ibulaamu n’amugamba nti, “Kiki kino ky’onkoze? Lwaki tewantegeeza nti mukazi wo? 19 Lwaki wagamba nti mwannyoko, ne mmutwala okuba mukazi wange? Kale kaakano mukazi wo wuuno mmutwale mugende.” 20 Falaawo n’alagira basajja be ebikwata ku Ibulaamu, ne bamusindiikiriza n’ava mu nsi ne mukazi we ne byonna bye yalina.
13 (FK)Bw’atyo Ibulaamu n’ayambuka okuva mu Misiri ye ne mukazi we, ne byonna bye yalina, ne Lutti ne bayingira mu Negevu.
Ibulaamu ne Lutti Baawukana
2 Mu kiseera ekyo Ibulaamu yalina ente nnyingi, ne ffeeza ne zaabu nnyingi nnyo. 3 (FL)N’atambula okuva e Negevu n’atuuka e Beseri, mu kifo eweema ye we yali olubereberye, wakati wa Beseri ne Ayi, 4 (FM)mu kifo we yasooka okuzimbira Mukama ekyoto, Ibulaamu n’akoowoolera eyo erinnya lya Mukama.
5 Ne Lutti eyagenda ne Ibulaamu naye yalina ebisibo by’endiga n’amagana g’ente n’ab’enju ye nga bangi, 6 (FN)ekitundu mwe baali nga tekibamala bombi. Obugagga bwabwe bwali bungi nnyo, 7 (FO)ate nga n’abasumba baabwe bayombagana. Mu kiseera ekyo Abakanani n’Abaperezi nabo baabanga mu nsi omwo.
8 (FP)Awo Ibulaamu n’agamba Lutti nti, “Tewasaana kubaawo kuyombagana wakati wange naawe, wadde wakati w’abalunzi bo n’abange, kubanga tuli baaluganda. 9 Ensi yonna teri mu maaso go? Leka twawukane. Bwonoolonda oluuyi olwa kkono, nze n’alaga ku luuyi olwa ddyo, bw’onoolaga ku luuyi olwa ddyo nze n’alaga ku luuyi olwa kkono.”
10 (FQ)Lutti n’ayimusa amaaso ge, n’alaba ekiwonvu kya Yoludaani nga kirungi, nga kirimu amazzi buli wantu nga kifaanana ng’ennimiro ya Mukama; nga kiri ng’ensi ya Misiri ku luuyi olwa Zowaali. Kino kyaliwo nga Mukama tannazikkiriza Sodomu ne Ggomola. 11 Bw’atyo Lutti ne yeeronderawo olusenyi lwa Yoludaani n’agenda ku luuyi olw’ebuvanjuba; bwe batyo ne baawukana. 12 (FR)Ibulaamu n’abeera mu nsi ya Kanani, ye Lutti n’abeera mu bibuga eby’omu lusenyi n’atwala eweema ye n’agisimba okumpi ne Sodomu. 13 (FS)Abasajja aba Sodomu baali babi era nga boonoonyi nnyo eri Mukama.
14 (FT)Mukama n’agamba Ibulaamu ng’amaze okwawukana ne Lutti nti, “Yimusa amaaso go ng’osinziira mu kifo mw’oli, otunule ku bukiikakkono, ne ku bukiikaddyo, n’ebuvanjuba n’ebugwanjuba; 15 (FU)kubanga ensi gy’olaba ndigikuwa ggwe n’ezzadde lyo emirembe gyonna. 16 Ndyaza ezzadde lyo ng’enfuufu ey’oku nsi; omuntu bw’alisobola okubala enfuufu ey’oku nsi, n’ezzadde lyo aliribala. 17 (FV)Situka, tambula obuwanvu n’obukiika obw’ensi kubanga ngikuwadde.”
18 (FW)Awo Ibulaamu n’asimbula eweema ye n’agenda n’abeera okumpi n’emivule gya Mamule, ekiri e Kebbulooni, n’azimbira eyo Mukama ekyoto.
Olutalo ne Bakabaka
14 (FX)Mu biro bya Amulafeeri kabaka wa Sinaali,[j] ne Aliyooki kabaka wa Erasali, ne Kedolawomeeri kabaka wa Eramu ne Tidali kabaka wa Goyiyimu, 2 (FY)bakabaka bano ne balumba ne balwana ne Bbeera kabaka wa Sodomu, ne Bbiruusa kabaka wa Ggomola, ne Sinaabu kabaka wa Aduma, ne Semebeeri kabaka wa Zeboyiyimu ne kabaka wa Bera, ye Zowaali. 3 (FZ)Bano bonna abooluvannyuma ne beegatta wamu mu kiwonvu kya Sidimu (y’Ennyanja ey’Omunnyo). 4 Baamala emyaka kkumi n’ebiri nga baweereza Kedolawomeeri kabaka we Eramu, naye mu mwaka ogw’ekkumi n’esatu ne bamujeemera.
5 (GA)Mu mwaka ogw’ekkumi n’ena Kedolawomeeri ne bakabaka abaali naye ne balumba Abaleefa[k] mu Asuterosikalumayimu ne babawangula, n’Abazuuzi mu Kaamu, n’Abemi mu Savekiriyasayimu, 6 (GB)n’Abakooli mu nsi ey’ensozi eya Seyiri n’okutuukira ddala Erupalaani okumpi n’eddungu. 7 (GC)Ate ne bakyuka ne bajja e Nuumisupaati, ye Kadesi ne bawangula ensi yonna ey’Abamaleki n’Abamoli abaabeeranga mu Kazazonutamali.
8 (GD)Awo kabaka wa Sodomu ne kabaka wa Ggomola, ne kabaka wa Aduma, ne kabaka wa Zeboyiyimu ne kabaka wa Bera, ye Zowaali ne beegatta mu lutalo mu kiwonvu ky’e Sidimu 9 okulwanyisa Kedolawomeeri kabaka wa Eramu, ne Tidali kabaka wa Goyiyimu ne Amulafeeri kabaka wa Sinaali awamu ne Aliyooki kabaka wa Erasali, bakabaka bana nga balwanyisa bakabaka bataano. 10 (GE)Ekiwonvu ky’e Sidimu kyali kijjudde ebinnya ebirimu kolaasi; bakabaka b’e Sodomu ne Ggomola bwe baddukanga ng’abamu babigwamu, n’abalala ne baddukira ku nsozi. 11 Awo bakabaka abana ne batwala ebintu byonna ebyali mu Sodomu ne Ggomola, n’emmere yaabwe yonna gye baalina ne bagenda. 12 Era ne batwala ne Lutti, mutabani wa muganda wa Ibulaamu eyali mu Sodomu, n’ebintu bye ne bagenda nabyo kubanga naye yali abeera mu Sodomu.
Ibulaamu Awonya Lutti
13 (GF)Awo Omwamoli omu eyali abadduseeko n’ajja n’ategeeza Ibulaamu Omwebbulaniya, eyali abeera okumpi n’emivule gya Mamule, muganda wa Esukoli ne Aneri abaalina endagaano ne Ibulaamu. 14 (GG)Ibulaamu bwe yawulira nti muganda we atwalibbwa nga munyage, n’akulembera basajja be abatendeke, abazaalirwa mu nnyumba ye, ebikumi bisatu mu kkumi na munaana, ne bawondera abaatwala Lutti okutuuka e Ddaani. 15 Mu kiro n’ayawulamu eggye lye, n’abalumba, ye n’abaddu be ne bagoberera abantu bali okutuuka e Kkoba, ku luuyi olw’obukiikakkono obwa Damasiko. 16 Awo n’akomyawo ebintu byonna, era n’akomyawo ne muganda we Lutti n’ebintu bye n’abakazi n’abantu bonna.
Merukizeddeeki Asabira Ibulaamu Omukisa
17 (GH)Ibulaamu bwe yakomawo ng’amaze okuwangula Kedolawomeeri ne bakabaka abaali naye, kabaka wa Sodomu n’afuluma okumusisinkana mu kiwonvu ky’e Save (kye kiwonvu kya kabaka). 18 (GI)Ne Merukizeddeeki kabaka wa Ssaalemi[l] eyali kabona wa Katonda Ali Waggulu Ennyo n’aleeta omugaati n’envinnyo. 19 (GJ)N’asabira Ibulaamu omukisa ng’agamba nti,
“Katonda Ali Waggulu Ennyo
Omutonzi w’eggulu n’ensi awe Ibulaamu omukisa.
20 (GK)Era Katonda Ali Waggulu Ennyo agulumizibwe
agabudde abalabe bo mu mikono gyo.”
Awo Ibulaamu n’amuwa ekitundu eky’ekkumi ekya buli kimu.
21 Ne kabaka wa Sodomu n’agamba Ibulaamu nti, “Mpa abantu, gwe otwale ebintu.”
22 (GL)Naye Ibulaamu n’addamu kabaka wa Sodomu nti, “Ndayira Mukama Katonda Ali Waggulu Ennyo, Omutonzi w’eggulu n’ensi, 23 (GM)sijja kutwala wadde akawuzi oba akakoba akasiba engatto, oba ekintu kyonna ekikyo, oleme okugamba nti, ‘Ngaggawazza Ibulaamu.’ 24 Sijja kubaako kye ntwala; okuggyako ebyo abavubuka bye balidde, n’omugabo gw’abasajja abaagenda nange; leka Aneri ne Esukoli ne Mamule bo batwale omugabo gwabwe.”
Endagaano ya Mukama ne Ibulaamu
15 (GN)Ebyo nga biwedde, ekigambo kya Mukama ne kijjira Ibulaamu mu kwolesebwa nti,
“Totya Ibulaamu,
Nze ngabo yo
era empeera yo ennene ennyo.”
2 (GO)Naye Ibulaamu n’addamu nti, “Kiki ky’olimpa Ayi Mukama Katonda, kubanga sirina mwana, n’omusika w’ennyumba yange ye Eryeza ow’omu Ddamasiko?” 3 (GP)Ibulaamu ne yeeyongera n’agamba nti, “Laba tompadde mwana; omuddu eyazaalibwa mu nnyumba yange ye musika wange.”
4 (GQ)Laba ekigambo kya Mukama ne kimujjira nti, “Omusajja oyo tagenda kuba musika wo; mutabani wo, y’aliba omusika wo.” 5 (GR)N’amufulumya ebweru n’amugamba nti, “Tunuulira eggulu, obale emunyeenye, obanga osobola okuzibala.” Awo n’amugamba nti, “N’ezzadde lyo bwe liriba bwe lityo.”
6 (GS)Ibulaamu n’akkiriza Mukama, n’akimubalira okuba obutuukirivu. 7 N’amugamba nti, “Nze Mukama eyakuggya mu Uli ensi ey’Abakaludaaya, nkuwe ensi eno ebeere yiyo.” 8 (GT)Ibulaamu n’addamu nti, “Ayi Mukama nnaamanya ntya nti eriba yange?” 9 Mukama n’amuddamu nti, “Ndeetera ennyana eyaakamala emyaka esatu, embuzi ey’emyaka esatu, endiga ensajja ey’emyaka esatu, kaamukuukulu n’ejjiba.”
10 (GU)Ibulaamu n’abireeta byonna n’abisalamu wakati n’ateeka buli kitundu kungulu ku kinnaakyo, naye ebinyonyi byo teyabisalamu bitundu nga biri. 11 Ensega bwe zajja okubirya, Ibulaamu n’azigoba.
12 (GV)Enjuba yali egwa, Ibulaamu ne yeebaka otulo tungi; era laba, ekizikiza ekingi eky’amaanyi ne kimubuutikira. 13 (GW)Awo Mukama n’agamba Ibulaamu nti, “Manyira ddala nti ezzadde lyo baliba batambuze mu nsi eteri yaabwe, era baliba baddu eyo, balibonyaabonyezebwa eyo okumala emyaka ebikumi bina. 14 (GX)Naye ndibonereza eggwanga lye balikolera n’oluvannyuma balivaayo n’obugagga bungi. 15 (GY)Naye ggwe oligenda mirembe eri bajjajjaabo; oliziikibwa ng’owangaalidde ddala nnyo. 16 (GZ)Era balikomawo wano mu mulembe ogwokuna; kubanga obutali butuukirivu bw’Omwamoli tebunnayitirira.”
17 (HA)Enjuba bwe yagwa ng’ekizikiza kikutte, laba, ensuwa eyaka omuliro era enyooka omukka n’ekimulisa ne biyita wakati w’ebitundu bino. 18 (HB)Ku lunaku olwo Mukama n’akola endagaano ne Ibulaamu ng’agamba nti, “Ezadde lyo ndiwa ensi eno, okuva ku mugga ogw’e Misiri okutuuka ku mugga omunene, omugga Fulaati: 19 Omukeeni, n’Omukenizi, n’Omukadumoni, 20 n’Omukiiti, n’Omuperizi, n’Abaleefa, 21 n’Omwamoli, n’Omukanani, n’Omugirugaasi n’Omuyebusi, mbagabula mu mukono gwo.”
Ibulaamu ne Agali
16 (HC)Salaayi mukyala wa Ibulaamu yali teyamuzaalira mwana; 2 (HD)Salaayi n’agamba Ibulaamu nti, “Laba Mukama tampadde mwana; weebake n’omuweereza wange, oboolyawo nnyinza okufuna abaana mu ye.”
Awo Ibulaamu n’awulira eddoboozi lya Salaayi.[m] 3 (HE)Bw’atyo Ibulaamu bwe yali yaakamala emyaka kkumi mu nsi ya Kanani, Salaayi mukazi we n’addira Agali Omumisiri, omuweereza we n’amuwa Ibulaamu abeere mukazi we. 4 Ibulaamu ne yeegatta ne Agali, Agali n’aba olubuto.
Agali bwe yalaba ng’ali lubuto, n’anyooma Salaayi, mugole we. 5 (HF)Salaayi n’agamba Ibulaamu nti, “Ekibi ekinkoleddwako kibeere ku ggwe. Nakuwa omuweereza wange mu kifuba kyo naye bw’alabye ng’ali lubuto n’annyooma. Mukama atulamule nze naawe!” 6 Naye Ibulaamu n’agamba Salaayi nti, “Laba, omuweereza wo ali mu buyinza bwo; mukole nga bw’oyagala.” Awo Salaayi natandika okubonyaabonya Agali; Agali n’adduka okuva w’ali.
Agali ne Isimayiri
7 (HG)Malayika wa Mukama n’amusanga ku nsulo y’amazzi mu ddungu, ensulo y’amazzi eri ku kkubo eriraga e Ssuuli. 8 N’agamba nti, “Agali, omuweereza wa Salaayi, ovudde wa era ogenda wa?” N’amuddamu nti, “Nziruka mugole wange Salaayi.”
9 Malayika wa Mukama n’amugamba nti, “Ddayo eri mugole wo omugondere.” 10 (HH)Era Malayika wa Mukama n’amugamba nti, “Ezadde lyo ndiryaza waleme kubeerawo asobola kulibala.”
11 (HI)Ate malayika wa Mukama n’amugamba nti,
“Laba, olina omwana mu nda yo,
aliba wabulenzi,
olimutuuma Isimayiri,
kubanga Mukama ategedde okubonaabona kwo.
12 (HJ)Aliba ng’entulege,
anaalwananga na buli muntu
era na buli muntu anaalwananga naye,
era anaabanga mu bulabe
ne baganda be.”
13 (HK)Awo n’akoowoola erinnya lya Mukama eyayogera naye, n’agamba nti, “Oli Katonda alaba”, kubanga yagamba nti, “Ndabidde ddala Katonda ne nsigala nga ndi mulamu nga maze okumulaba.” 14 Oluzzi kye lwava luyitibwa Beerirakayiro, luli wakati wa Kadesi ne Beredi.
15 (HL)Awo Agali n’azaalira Ibulaamu omwana owoobulenzi, Ibulaamu n’atuuma mutabani wa Agali gwe yamuzaalira, erinnya Isimayiri. 16 Ibulaamu yali wa myaka kinaana mu mukaaga Agali bwe yamuzaalira Isimayiri.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.