Book of Common Prayer
Zabbuli n’Oluyimba. Okuwaayo Yeekaalu. Zabbuli ya Dawudi.
30 (A)Nnaakugulumizanga, Ayi Mukama,
kubanga wannyimusa;
n’otoganya balabe bange kunneeyagalirako.
2 (B)Ayi Mukama, nakukaabirira onnyambe,
n’omponya.
3 (C)Ayi Mukama, omwoyo gwange waguggya emagombe,
n’omponya ekinnya.
4 (D)Muyimbire Mukama nga mumutendereza, mmwe abatukuvu be;
mutendereze erinnya lye ettukuvu.
5 (E)Kubanga obusungu bwe bwa kiseera buseera,
naye obulungi bwe bwa mirembe gyonna.
Amaziga gayinza okubaawo ekiro kyokka
essanyu ne lijja nga bukedde.
6 Bwe namala okunywera
ne njogera nti, “Sigenda kusiguukululwa.”
7 (F)Ayi Mukama, bwe wanjagala,
wanyweza olusozi lwange;
naye bwe wankweka amaaso go
ne neeraliikirira.
8 Ggwe gwe nakoowoola, Ayi Mukama;
ne nkukaabirira Mukama, onsaasire.
9 (G)“Kingasa ki bwe nzika mu kinnya
ne nzikirira?
Enfuufu eneekutenderezanga
n’etegeeza abantu obwesigwa bwo?
10 Mpuliriza, Ayi Mukama, onsaasire;
Ayi Mukama, onnyambe.”
Zabbuli ya Dawudi.
32 (A)Alina omukisa oyo
asonyiyiddwa ebyonoono bye
ekibi ne kiggyibwawo.
2 (B)Alina omukisa omuntu oyo
Mukama gw’atakyabalira kibi kye,
ne mu mutima gwe nga temuli bukuusa.
3 (C)Bwe nasirikiranga ekibi kyange,
ne nkogga,
kubanga nasindanga olunaku lwonna.
4 (D)Wambonerezanga
emisana n’ekiro,
amaanyi ne ganzigwamu
ng’amazzi bwe gakalira mu kyeya.
5 (E)Awo ne nkwatulira ekibi kyange,
ne sibikkirira kwonoona kwange.
Ne njogera nti,
“Leka neenenyeze Mukama ebibi byange.”
Bw’otyo n’onsonyiwa,
n’onziggyako omusango gw’ebibi byange.
6 (F)Noolwekyo abaweereza bo bonna abeesigwa
bakwegayirire ng’okyalabika;
oluvannyuma ebizibu bwe birijja,
ng’amazzi ag’amaanyi amangi tebiribatuukako.
7 (G)Oli kifo kyange mwe nneekweka,
ononkuumanga ne situukwako kabi
era ononneetooloozanga ennyimba ez’obulokozi.
8 (H)Nnaakulagiranga era ne nkuyigiriza ekkubo mw’onootambuliranga;
nnaakuwanga amagezi nga bwe nkulabirira.
9 (I)Temubeeranga ng’embalaasi
oba ennyumbu ezitategeera,
ze bateekwa okussa ekyuma mu kamwa ekisibwa ku lukoba,
ziryoke zifugibwe zijje gy’oli.
10 (J)Ababi balaba ennaku nnyingi;
naye abeesiga Mukama bakuumirwa
mu kwagala kwe okutaggwaawo.
11 (K)Musanyukire mu Mukama era mujaguze mmwe abatuukirivu,
era muyimbire waggulu n’essanyu mmwe abalina omutima omulongoofu.
EKITABO II
Zabbuli 42–72
Ya Mukulu wa Bayimbi: Zabbuli ya Batabani ba Koola.
42 (A)Ng’empeewo bw’ewejjawejja olw’amazzi,
n’emmeeme yange bw’etyo bwe wejjawejja ku lulwo, Ayi Katonda.
2 (B)Emmeeme yange eyaayaanira Katonda, Katonda omulamu.
Ndigenda ddi ne nsisinkana Katonda?
3 (C)Nkaabirira Mukama
emisana n’ekiro.
Amaziga gange gabadde emmere yange emisana n’ekiro,
abantu ne baŋŋamba nti, “Katonda wo ali ludda wa?”
4 (D)Bino mbijjukira nga nfuka emmeeme yange
nga bwe nagendanga n’ekibiina ekinene,
ne nkulembera ennyiriri z’abantu empanvu,
nga tugenda mu nnyumba ya Katonda,
nga tuyimba mu ddoboozi ery’omwanguka
n’okwebaza mu kibiina ekijaguza.
5 (E)Lwaki oweddemu amaanyi ggwe emmeeme yange?
Lwaki otabusetabuse mu nda yange?
Essuubi lyo liteeke mu Katonda,
kubanga natenderezanga omulokozi wange era Katonda wange;
ye mubeezi wange.
6 Ayi Katonda wange, emmeeme yange yennyise,
yeeraliikiridde;
naye nkujjukira olw’ebyo bye wakola mu nsi ya Yoludaani
ne ku nsozi engulumivu eza Kalumooni[a] ne ku Lusozi Mizali.
7 (F)Obuziba bukoowoola obuziba,
olw’okuwuluguma kw’ebiyiriro
amayengo n’amasingisira go
bimpiseeko.
8 (G)Mukama alaga okwagala kwe emisana n’ekiro
ne muyimbira oluyimba lwe;
y’essaala eri Katonda w’obulamu bwange.
9 (H)Ŋŋamba Katonda, olwazi lwange nti,
“Lwaki onneerabidde?
Lwaki ŋŋenda nkungubaga
olw’okujoogebwa abalabe bange?”
10 Mbonyaabonyezebwa ng’abalabe bange
bancocca,
nga bwe bagamba buli kiseera nti,
“Katonda wo ali ludda wa?”
11 (I)Lwaki wennyise Ayi ggwe emmeeme yange?
Lwaki otabusetabuse mu nda yange?
Weesigenga Katonda,
kubanga nnaamutenderezanga,
Omulokozi wange era ye Katonda wange.
43 (J)Ayi Katonda, onnejjeereze
omponye eggwanga eritatya Katonda
ondokole mu mikono gy’abantu abalimba, abakola ebibi.
2 (K)Ddala ddala ggwe Katonda, ekigo kyange eky’amaanyi.
Lwaki ondese?
Lwaki ŋŋenda nkaaba
nga nnyigirizibwa omulabe?
3 (L)Kale tuma omusana gwo n’amazima
binnuŋŋamye;
bindeete ku lusozi lwo olutukuvu,
mu kifo mw’obeera.
4 (M)Ne ndyoka ndaga ku kyoto kya Katonda,
eri Katonda wange era essanyu lyange eritasingika.
Weewaawo nnaakutenderezanga n’ennanga,
Ayi Katonda, Katonda wange.
5 (N)Lwaki wennyise ggwe emmeeme yange?
Lwaki otabusetabuse munda yange?
Weesige Katonda; kubanga nnaamutenderezanga,
Omulokozi wange era Katonda wange.
Ebiweebwayo mu Weema Entukuvu
25 Mukama n’ayogera ne Musa nti, 2 (A)“Gamba abaana ba Isirayiri bandeetere ekiweebwayo. Buli muntu aleete ekiweebwayo ng’okuteesa kw’omutima gwe bwe kuli, okimunzijireko.
3 “Bino bye biweebwayo bye banaakukwasa:
“zaabu, ne ffeeza, n’ekikomo;
4 n’olugoye olwa bbululu, n’olwa kakobe, n’olumyufu, n’olugoye olwa linena erangiddwa mu wuzi ennungi;
n’obwoya bw’embuzi,
5 n’amaliba g’endiga ennume amakunye amannyike mu langi emyufu, n’ekika ky’eddiba ekirala ekiwangaazi;
n’embaawo z’omuti gwa akasiya;
6 (B)n’amafuta g’ettaala;
n’ebyakaloosa eby’okukozesa mu mafuta ag’okwawula, ne mu bubaane obw’okunyookeza;
7 (C)n’amayinja aga onuku n’amayinja amalala ag’omuwendo, ag’okutona ku kkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi, era ne ku kyomukifuba.
8 (D)“Bankolere ekifo ekitukuvu ndyoke mbeerenga wakati mu bo. 9 (E)Mukole Eweema ya Mukama eyo entukuvu n’ebigibeeramu byonna nga bwe nnaabalagirira.
Essanduuko
10 (F)“Bakole essanduuko mu muti gwa akasiya, obuwanvu mita emu ne sentimita kkumi na ssatu, obugazi sentimita nkaaga mu musanvu n’obugulumivu sentimita nkaaga mu musanvu. 11 Ogiteekeko zaabu omuka ennyo munda ne kungulu, era ogyetoolooze omuge ogwa zaabu. 12 Ogiweeseze empeta nnya eza zaabu ozisibe ku magulu gaayo ana, ng’empeta ebbiri ziri ku ludda olumu, n’endala ebbiri ku ludda lwayo olulala. 13 Obajje emisituliro mu muti ogwa akasiya, ogibikkeko zaabu. 14 Ogisonseke mu mpeta eziri ku ssanduuko, okusituzanga essanduuko. 15 (G)Emisituliro egyo ginaalekebwanga mu mpeta ze ssanduuko, si zaakuggyangamu. 16 (H)Mu ssanduuko omwo mw’onossa Amateeka ge nnaakuwa.
17 (I)“Okolereko ekisaanikira, ye ntebe ey’okusaasira, nga kya zaabu omuka ennyo; obuwanvu bwakyo sentimita nkaaga mu musanvu, n’obugazi sentimita nkaaga mu musanvu. 18 Era okolereko ebifaananyi bya bakerubi babiri mu zaabu empeese, ku njuyi ebbiri ez’ekisaanikira. 19 Oteeke ekifaananyi kya kerubi omu ku ludda lumu olw’ekisaanikira, n’ekifaananyi kya kerubi omulala ku ludda olwokubiri, nga ebifaananyi bya bakerubi byombi byekutte wamu n’ekisaanikira. 20 (J)Ebiwaawaatiro bya bakerubi bibe bibikkule nga bisonze waggulu, era nga bisiikiriza ekisaanikira. Bakerubi batunulagane nga boolekedde ekisaanikira. 21 (K)Ekisaanikira onookissa kungulu ku Ssanduuko; ekiwandiiko eky’Endagaano ey’Amateeka kye nnaakuwa, okisse munda mu Ssanduuko. 22 (L)Awo waggulu w’ekisaanikira, mu bakerubi bombi abali ku Ssanduuko ey’Endagaano, we nzija okukusisinkana ndyoke nkuwe ebiragiro byange byonna bye nkoledde abaana ba Isirayiri.
Ebiragiro ku Butukuvu
3 Nga bwe mwazuukirira awamu ne Kristo, munoonyenga ebintu ebiri mu ggulu, Kristo gy’atudde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda. 2 (A)Mulowoozenga ku ebyo ebiri mu ggulu, so si ebiri ku nsi, 3 (B)kubanga mwafa era n’obulamu bwammwe bukwekeddwa mu Kristo mu Katonda. 4 (C)Kristo atuwa obulamu, bw’alirabisibwa, nammwe ne mulyoka mulabisibwa wamu naye mu kitiibwa.
Obulamu obw’Edda n’Obulamu Obuggya
5 (D)Noolwekyo temufugibwa bikolwa byammwe eby’omubiri, byonna mubitte. Gamba nga: obwenzi, n’obutali bulongoofu, n’obukaba, n’okwegomba okw’ensonyi, n’okuyaayaana; kye kimu n’okusinza bakatonda abalala. 6 (E)Kubanga obusungu bwa Katonda bubuubuukira ku baana ab’obujeemu abakola ebintu ebyo, 7 (F)ate nga nammwe edda mwe mwatambuliranga, bwe mwabikolanga. 8 (G)Naye kaakano mweyambulemu ebintu ebyo byonna; obusungu, n’ekiruyi, n’ettima, n’okuvvoola, n’okunyumya emboozi ey’ensonyi. 9 (H)Temulimbagananga kubanga mweyambulako omuntu ow’edda n’ebikolwa bye, 10 (I)ne mwambazibwa omuntu omuggya, nga mufuulibwa abaggya mu kifaananyi ky’oyo eyamutonda, ate ne mu kweyongera okumutegeera. 11 Olwo tewaba kwawulamu, Muyonaani na Muyudaaya, eyakomolebwa n’ataakomolebwa, Omunnaggwanga, n’Omusukusi, omuddu n’ow’eddembe, wabula Kristo ye byonna, era abeera mu ffe ffenna.
12 Ng’abalonde ba Katonda abatukuvu era abaagalwa, mwambalenga omwoyo ogusaasira, n’ekisa, n’obuwombeefu, n’obuteefu, n’obugumiikiriza. 13 (J)Bwe wabangawo omuntu yenna alina ensonga ku munne, muzibiikirizaganenga, era musonyiwaganenga. Nga Mukama waffe bwe yabasonyiwa era nammwe musonyiwaganenga. 14 (K)Okwagala kwe kusinga ebintu ebirala byonna, kubanga kwe kunyweza ebintu byonna.
15 (L)N’emirembe gya Kristo gifugenga emitima gyammwe, kubanga emirembe egyo gye mwayitirwa mu mubiri ogumu; era mwebazenga.
Amateeka g’omu Nnyumba z’Abakristaayo
16 (M)Ekigambo kya Kristo mu bugagga bwakyo kibeerenga mu mmwe, mu magezi gonna nga muyigirizagananga era nga mubuuliragananga mwekka na mwekka mu Zabbuli, ne mu nnyimba, ne mu biyiiye eby’omwoyo nga muyimbira Katonda nga mujjudde ekisa mu mitima gyammwe. 17 (N)Na buli kye munaakolanga mu kigambo oba mu kikolwa, byonna mubikolenga mu linnya lya Mukama waffe Yesu nga muyita mu ye okwebaza Katonda Kitaffe.
Okuyitibwa kw’Abayigirizwa Abaasooka
18 (A)Yesu bwe yali ng’atambula ku lubalama lw’ennyanja y’e Ggaliraaya n’alaba abooluganda babiri: Simooni, gwe bayita Peetero, ne Andereya, nga basuula obutimba bwabwe mu nnyanja, kubanga baali bavubi. 19 (B)Awo Yesu, n’abagamba nti, “Mujje mungoberere, nange ndibafuula abavubi b’abantu.” 20 Amangwago ne baleka awo obutimba bwabwe, ne bamugoberera.
21 (C)Bwe yeeyongerayo katono, n’asanga abooluganda abalala babiri: Yakobo, ne Yokaana, nga batudde ne kitaabwe Zebbedaayo mu lyato nga baddaabiriza obutimba bwabwe, nabo n’abayita bamugoberere. 22 Amangwago, ne baleka awo kitaabwe mu lyato ne bagenda naye.
Yesu Awonya Abalwadde
23 (D)Yesu n’abuna wonna mu Ggaliraaya ng’ayigiriza mu makuŋŋaaniro g’Abayudaaya ng’abuulira Enjiri ey’obwakabaka obw’omu ggulu, era ng’awonya buli ndwadde yonna n’obuyongobevu bwonna mu bantu. 24 (E)Amawulire ag’ebyamagero bye yakolanga ne gatuuka mu Siriya yonna. Ne bamuleetera abayongobevu, n’abalina ebibabonyaabonya, n’ab’ensimbu n’abo abaaliko baddayimooni, abakoozimbye n’ab’endwadde endala ezitali zimu, bonna n’abawonya. 25 (F)Ebibiina binene ne bimugoberera, abantu nga bava mu Ggaliraaya ne mu Dekapoli,[a] ne mu Yerusaalemi ne mu Buyudaaya yonna, n’emitala w’omugga Yoludaani.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.