Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 78

Oluyimba lwa Asafu.

78 (A)Muwulire okuyigiriza kwange mmwe abantu bange,
    musseeyo omwoyo ku bye njogera.
(B)Ndyogerera mu ngero,
    njogere ebintu eby’ekyama ebyaliwo edda,
(C)ebintu bye twawulira ne tumanya;
    ebintu bajjajjaffe bye baatutegeeza.
(D)Tetuubikisenga baana baabwe,
    naye tunaabuuliranga buli mulembe ogunnaddangawo
ebikolwa bya Mukama eby’ekitalo,
    n’amaanyi ge n’ebyamagero bye yakola.
(E)Yawa Yakobo ebiragiro,
    n’ateeka amateeka mu Isirayiri;
n’alagira bajjajjaffe
    babiyigirizenga abaana baabwe,
(F)ab’omu mulembe oguliddirira nabo babimanye,
    n’abaana abalizaalibwa,
    nabo babiyigirize abaana baabwe,
(G)balyoke beesigenga Katonda,
    era balemenga okwerabira ebyo byonna Katonda bye yakola;
    naye bagonderenga ebiragiro bye.
(H)Baleme okuba nga bajjajjaabwe,
    omulembe ogw’abakakanyavu
era abajeemu abatali bawulize,
    ab’emyoyo egitali myesigwa eri Katonda.

(I)Abaana ba Efulayimu abaalina obusaale obw’okulwanyisa,
    naye ne badduka mu lutalo,
10 (J)tebaatuukiriza ndagaano ya Katonda;
    ne bagaana okugondera amateeka ga Mukama.
11 (K)Beerabira ebyo bye yakola,
    n’ebyamagero bye yabalaga.
12 (L)Yakola ebyamagero mu maaso ga bajjajjaabwe nga bali
    mu nsi y’e Misiri, mu kitundu kya Zowani.
13 (M)Ennyanja yajaawulamu,
    amazzi ne geetuuma ebbali n’ebbali ng’ebisenge.
14 (N)Emisana yabakulemberanga n’ekire,
    n’ekiro n’abakulemberanga n’empagi ey’omuliro.
15 (O)Yayasa enjazi mu ddungu,
    n’abawa amazzi amangi agaali ng’agava mu buziba bw’ennyanja.
16 Yaggya ensulo mu lwazi,
    n’akulukusa amazzi ng’emigga.

17 (P)Naye bo ne beeyongera bweyongezi okwonoona,
    ne bajeemera Oyo Ali Waggulu Ennyo nga bali mu ddungu.
18 (Q)Ne bagezesa Katonda mu bugenderevu,
    nga bamusaba emmere gye baalulunkanira.
19 (R)Era ne boogera ku Katonda; nga bagamba nti,
    “Katonda asobola okutuliisiza mu ddungu?
20 (S)Weewaawo yakuba olwazi,
    amazzi ne gakulukuta ng’emigga;
naye anaatuwa emmere?
    Anaawa abantu be ennyama?”
21 (T)Awo Mukama bwe yawulira ebyo n’asunguwala nnyo;
    omuliro gwe ne gwaka ku Yakobo,
    n’obusungu bwe ne bubuubuukira ku Isirayiri.
22 (U)Kubanga tebakkiriza Katonda,
    era tebeesiga maanyi ge agalokola.
23 (V)Naye era n’alagira eggulu;
    n’aggulawo enzigi z’omu ggulu.
24 (W)N’abaweereza maanu okuva mu ggulu balye.
    Yabawa emmere eyava mu ggulu.
25 Abantu ne balya emmere ya bamalayika;
    Mukama n’abawanga emmere nnyingi eyabamaliranga ddala.
26 (X)N’akunsa empewo ey’Ebuvanjuba okuva mu ggulu,
    era n’aweereza empewo okuva obukiika obwaddyo n’amaanyi ge.
27 Yatonnyesa ennyama okuva mu ggulu ennyingi ennyo ng’enfuufu;
    n’abaweereza n’obunyonyi enkumu ennyo ng’omusenyu gw’okulubalama lw’ennyanja.
28 Ebyokulya ebyo n’abisuula wakati mu lusiisira lwabwe;
    okwetooloola eweema zaabwe.
29 (Y)Awo ne balya ne bakkuta nnyo;
    kubanga yabawa kye baali bayaayaanira.
30 (Z)Naye bwe baali nga bakyalulunkana,
    nga n’emmere ekyali mu kamwa kaabwe,
31 (AA)obusungu bwa Mukama ne bubabuubuukirako,
    n’abattamu abasajja abasinga amaanyi;
    abavubuka ba Isirayiri ne bazikirizibwa.

32 (AB)Naye newaakubadde ebyo byonna byabatuukako, kyokka beeyongera okwonoona;
    newaakubadde nga yabakolera ebyamagero, naye tebakkiriza.
33 (AC)Mukama kyeyava asala ku myaka gyabwe,
    n’abaleetako okuzikirizibwa okw’amangu era okw’entiisa.
34 (AD)Bwe yattanga abamu ku bo, ne balyoka bamunoonya,
    ne beenenya ne badda gy’ali.
35 (AE)Ne bajjukira nti Katonda lwe Lwazi lwabwe;
    era nti Katonda Ali Waggulu Ennyo ye Mununuzi waabwe.
36 (AF)Kyokka baamuwaananga n’emimwa gyabwe,
    nga bwe bamulimba n’ennimi zaabwe,
37 (AG)so tebaali beesigwa mu mitima gyabwe,
    era nga tebatuukiriza ndagaano ye.
38 (AH)Naye ye n’abakwatirwanga ekisa
    n’abasonyiwanga,
    n’atabazikiriza;
emirundi n’emirundi ng’akoma ku busungu bwe,
    n’atabamalirako kiruyi kye okubazikiririza ddala.
39 (AI)Yajjukira nga baali mubiri bubiri;
    ng’empewo egenda n’etedda!

40 (AJ)Baamujeemeranga nnyo bwe baali mu ddungu;
    ne banakuwaza nnyo omutima gwe.
41 (AK)Ne baddamu ne bakema Katonda,
    ne banyiiza Omutukuvu wa Isirayiri.
42 Tebajjukira buyinza bwe;
    wadde olunaku lwe yabanunulirako mu mikono gy’omulabe;
43 bwe yalaga obubonero bwe mu Misiri,
    n’ebyamagero bye mu kitundu kya Zowani,
44 (AL)yafuula amazzi g’emigga gyabwe omusaayi,
    ne batanywa mazzi gaagyo.
45 (AM)Yabaweereza agabinja g’ensowera ne zibaluma,
    n’abaweereza n’ebikere ne bibadaaza.
46 (AN)Ebirime n’ebibala byabwe yabiwa enzige
    ne bulusejjera.
47 (AO)Yazikiriza emizabbibu gyabwe n’omuzira,
    era ne gukuba n’emisukomooli gyabwe.
48 (AP)Yatta ente zaabwe n’amayinja g’omuzira;
    n’ebisibo byabwe ne bittibwa eraddu.
49 (AQ)Obusungu bwe obungi bwababuubuukirako,
    n’ekiruyi kye n’obukambwe ne bibamalamu ensa.
    N’alyoka abasindikira ekibinja kya bamalayika okubazikiriza.
50 Yabalaga obusungu bwe,
    n’atabasonyiwa kufa,
    n’abasindikira kawumpuli.
51 (AR)Yatta ababereberye bonna ab’omu Misiri,
    nga be bavubuka ab’ebibala ebibereberye eby’omu nnyumba ya Kaamu.
52 (AS)N’alyoka afulumya abantu be ng’endiga,
    n’abatambuza mu ddungu ng’ekisibo.
53 (AT)N’abaluŋŋamya mu mirembe nga tebatya,
    ennyanja n’esaanyaawo abalabe baabwe.
54 (AU)N’abatuusa ku nsalo y’ensi entukuvu;
    ku lusozi lwe yeewangulira, n’omukono gwe ogwa ddyo.
55 (AV)Yagobamu amawanga nga balaba,
    n’abagabanyiza ebitundu by’ensi eyo;
    n’atuuza bulungi ebika bya Isirayiri mu maka gaabyo.
56 Naye era ne bakema Katonda;
    ne bamujeemera oyo Ali Waggulu Ennyo,
    ne bagaana okugondera ebiragiro bye.
57 (AW)Ne bamuvaako ne baba bakuusa nga bajjajjaabwe bwe baali,
    ne baggwaamu obwesigwa ng’omutego gw’obusaale omukyamu.
58 (AX)Kubanga baasunguwaza Katonda olw’ebifo ebigulumivu bo bye beegunjira okusinzizangamu,
    ne bamukwasa obuggya olwa bakatonda baabwe abalala.
59 (AY)Katonda bwe yabiraba n’asunguwala nnyo, n’aviira ddala ku Isirayiri.
60 (AZ)N’ava mu weema ey’omu Siiro[a],
    eweema mwe yabeeranga ng’ali mu bantu be.
61 (BA)N’awaayo amaanyi ge mu busibe,
    n’ekitiibwa kye n’akiwaayo eri omulabe.
62 Abantu be yabaleka ne battibwa n’ekitala,
    n’asunguwalira omugabo gwe.
63 (BB)Omuliro ne gusaanyaawo abavubuka baabwe abalenzi,
    ne bawala baabwe ne babulwa ow’okubawasa.
64 (BC)Bakabona baabwe battibwa n’ekitala, ne bannamwandu baabwe tebaasobola kubakungubagira.

65 (BD)Awo Mukama n’alyoka agolokoka ng’ali nga ava mu tulo,
    ng’omusajja omuzira azuukuka mu tulo ng’atamidde.
66 (BE)N’akuba abalabe be ne badduka;
    n’abaswaza emirembe gyonna.
67 Mukama yaleka ennyumba ya Yusufu,
    n’ekika kya Efulayimu n’atakironda;
68 (BF)naye n’alonda ekika kya Yuda,
    lwe lusozi Sayuuni lwe yayagala.
69 N’azimba awatukuvu we ne wagulumira ng’ensozi empanvu;
    ne waba ng’ensi gye yanyweza emirembe gyonna.
70 (BG)Yalonda Dawudi omuweereza we;
    n’amuggya mu kulunda endiga.
71 (BH)Ave mu kuliisa endiga,
    naye alundenga Yakobo, be bantu be,
    era alabirirenga Isirayiri omugabo gwe, gwe yeerondera.
72 (BI)N’abalabirira n’omutima ogutaliimu bukuusa,
    n’abakulembera n’amagezi g’emikono gye.

Olubereberye 45:1-15

Yusufu Yeeraga Baganda be

45 (A)Awo Yusufu n’atasobola kwefuga n’alemererwa okwongera okwekuuma mu maaso gaabo bonna abaaliwo; kwe kulagira nti, “Muggyeewo abantu bonna mu maaso gange.” Bwe kityo ne wataba muntu mulala yenna Yusufu bwe yali yeeraga eri baganda be. (B)Awo n’akaaba mu ddoboozi ery’omwanguka, n’Abamisiri ne bamuwulira era n’ennyumba yonna eya Falaawo nabo ne bamuwulira.

(C)Yusufu n’agamba baganda be nti, “Nze Yusufu, kitange akyali mulamu?” Naye baganda be ne batayinza kumuddamu, kubanga okweraliikirira kwabayinga mu maaso ge.

(D)Awo Yusufu n’agamba baganda be nti, “Mbasaba munsemberere.” Ne basembera gy’ali. N’abagamba nti, “Nze muganda wammwe Yusufu gwe mwatunda e Misiri. (E)Naye kaakano temuggwaamu mwoyo, oba temwekubagiza olw’okuntunda wano, kubanga Katonda yantuma mbasookeyo nsobole okuwonya obulamu. Kubanga enjala ebadde mu nsi okumala emyaka gino ebiri; era wakyaliyo emirala etaano egitalibaamu kulima wadde okukungula. (F)Era Katonda yantuma mbasookeyo mbakuumire abalisigalawo ku nsi; ndyoke mbawonyezeewo abantu abangi ennyo mu ngeri ey’ekitalo.

(G)“Noolwekyo si mmwe mwansindika wano, wabula Katonda; era anfudde kitaawe wa Falaawo, era mukama w’ennyumba ye era omufuzi w’ensi yonna ey’e Misiri. (H)Kale mwanguwe, mwambuke eri kitange mumugambe nti, ‘Bw’ati mutabani wo Yusufu bw’agamba nti, Katonda anfudde mufuzi wa Misiri yenna; serengeta gye ndi, tolwa; 10 (I)ojja kubeera mu Goseni[a], olibeera kumpi nange. Ggwe n’abaana bo, n’abaana b’abaana bo, ebisibo byammwe, amagana gammwe ne byonna bye mulina; 11 (J)eyo gye nnaabagabiririranga; si kulwa nga mmwe n’ennyumba zammwe ne byonna bye mulina biggwaawo.’ 

12 “Era kaakano mwerabiddeko n’amaaso gammwe era ne muganda wange Benyamini akyerabiddeko nti nze njogera nammwe. 13 (K)Muteekwa okutegeeza kitange ekitiibwa kye nnina mu Misiri, ne byonna bye mulabye. Temulwa, muserengese kitange wano.”

14 Awo Yusufu n’agwa Benyamini mu kifuba n’akaaba ne Benyamini n’akaabira ku kibegabega kye. 15 (L)N’agwa baganda be mu kifuba, n’akaabira buli omu ku bo; n’oluvannyuma baganda be ne boogera naye.

1 Abakkolinso 7:32-40

32 (A)Naye kye mbagaliza mmwe bwe buteraliikirira. Omusajja atali mufumbo yeemalira ku bya Mukama, engeri gy’asanyusa Mukama. 33 Naye omufumbo yeeraliikirira bya nsi, nga bw’anaasanyusa mukazi we; 34 (B)aba yeesazeemu, ng’atta aga n’aga. N’omukazi atali mufumbo n’embeerera bafaayo ku bintu bya Mukama, babeerenga batukuvu mu mubiri ne mu mwoyo. Naye omukazi omufumbo yeeraliikirira bya mu nsi, engeri gy’anaasanyusaamu bba. 35 (C)Bino mbyogera olw’okubagasa, so si kubaziyiza kuwasa na kufumbirwa. Kubanga njagala musobole okuweereza Mukama nga tewali birala bibaziyiza okweweerayo ddala.

36 (D)Omusajja bw’alowooza nti aba teyeeyisizza bulungi eri omuwala oyo gw’ayogereza bw’atamuwasa, bwe bafumbiriganwa, aba tayonoonye. 37 Naye oyo asobola okwefuga ng’alina omutima omunywevu, n’asalawo awatali kuwalirizibwa nti omuwala tajja kumuwasa, aba asazeewo bulungi. 38 (E)Kale oyo awasa omuwala gw’ayogereza aba akoze bulungi, naye oyo atamuwasa y’aba asinze okukola obulungi.

39 (F)Omukazi omufumbo abeera kitundu kya bba, bba bw’aba akyali mulamu. Naye bba bw’afa olwo ayinza okufumbirwa omusajja omulala gw’ayagala, kyokka omusajja oyo ateekwa kuba mu Mukama waffe yekka. 40 (G)Naye nze ndowooza nti alina omukisa oyo singa taddayo kufumbirwa. Era ndowooza nga nange nnina Omwoyo wa Katonda.

Makko 6:1-13

Nnabbi Tabulwa Kitiibwa Okuggyako Ewaabwe

(A)Yesu n’ava mu kitundu ekyo n’abayigirizwa be n’addayo mu kibuga ky’ewaabwe.[a] (B)Olunaku lwa Ssabbiiti bwe lwatuuka n’agenda mu kkuŋŋaaniro okuyigiriza, abantu bangi abaaliwo ne beewuunya nnyo bwe baawulira bw’ayigiriza, ne bawuniikirira ne beebuuza nti, “Bino byonna yabiyigira wa era magezi ga ngeri ki ono ge yaweebwa n’eby’amagero ebyenkanidde wano by’akola?” (C)Ne beebuuza nti, “Ono si ye mwana w’omubazzi? Maliyamu si ye nnyina, ne baganda be si be ba Yakobo, ne Yose, ne Yuda ne Simooni? Ne bannyina tetubeera nabo kuno?” Ekyo ne kibatawanya mu mutima.

(D)Yesu n’abagamba nti, “Nnabbi aweebwa ekitiibwa buli wantu okuggyako mu nsi y’ewaabwe ne mu bantu be ne mu maka ge waabwe.” (E)Naye teyakolerayo byamagero bingi okuggyako abalwadde abatonotono be yakwatako n’abawonya. (F)N’awuniikirira nnyo okulaba nga tebamukkirizza. Awo n’agenda ng’ayigiriza mu byalo ebiriraanyeewo.

Yesu Atuma Ekkumi n’Ababiri

(G)Awo Yesu n’ayita abayigirizwa be ekkumi n’ababiri n’abatuma babiri babiri era n’abawa obuyinza okugoba emyoyo emibi ku bantu.

N’abakuutira obutatwala kantu konna okuggyako omuggo ogw’okutambuza gwokka nti, “Temutwala mmere wadde akagugu newaakubadde ensimbi mu lukoba. Mwambale engatto naye temutwala kkanzu yakubiri.” 10 N’abagamba nti, “Era buli nnyumba gye munaayingirangamu musulanga omwo okutuusa lwe muliva mu kibuga ekyo. 11 (H)Era bwe mutuukanga mu kifo ne batabaaniriza yadde okubawuliriza, bwe mubanga muvaayo mukunkumuliranga mu kifo omwo enfuufu ey’omu bigere byammwe, okuba akabonero gye bali.”

12 (I)Awo abayigirizwa ne bagenda nga babuulira buli muntu nti, “Mwenenye.” 13 (J)Ne bagoba baddayimooni bangi ku bantu, ne basiiga abalwadde amafuta ne babawonya.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.