Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 146-147

146 (A)Tendereza Mukama!

Tendereza Mukama ggwe emmeeme yange!

(B)Nnaatenderezanga Mukama ennaku zonna ez’obulamu bwange;
    nnaayimbanga okutendereza Katonda wange nga nkyali mulamu.
(C)Teweesiganga bafuzi,
    wadde abantu obuntu omutali buyambi.
(D)Kubanga bafa ne bakka emagombe;
    ne ku lunaku olwo lwennyini, byonna bye baba bateeseteese ne bifa.
(E)Yeesiimye oyo ayambibwa Katonda wa Yakobo;
    ng’essuubi lye liri mu Mukama Katonda we,
(F)eyakola eggulu n’ensi
    n’ennyanja ne byonna ebirimu,
    era omwesigwa emirembe gyonna.
(G)Atereeza ensonga z’abajoogebwa mu bwenkanya,
    n’abalumwa enjala abawa ebyokulya.
Mukama asumulula abasibe.
    (H)Mukama azibula amaaso ga bamuzibe,
era awanirira abazitoowereddwa.
    Mukama ayagala abatuukirivu.
(I)Mukama alabirira bannamawanga,
    era ayamba bamulekwa ne bannamwandu;
    naye ekkubo ly’abakola ebibi alifaafaaganya.

10 (J)Mukama anaafuganga emirembe gyonna,
    Katonda wo, Ayi Sayuuni, anaabanga Katonda wa buli mulembe.

Mutendereze Mukama!
147 (K)Mutendereze Mukama!

Kubanga kirungi okutenderezanga Katonda waffe;
    kubanga ajjudde ekisa, n’oluyimba olw’okumutenderezanga lumusaanira.

(L)Mukama azimba Yerusaalemi;
    era akuŋŋaanya Abayisirayiri abaali mu buwaŋŋanguse.
Azzaamu amaanyi abo abalina emitima egimenyese,
    era ajjanjaba ebiwundu byabwe.
(M)Mukama ategeka omuwendo gw’emmunyeenye;
    era buli emu n’agituuma erinnya.
(N)Mukama waffe mukulu era wa kitiibwa; amaanyi g’obuyinza bwe tegatendeka,
    n’okutegeera kwe tekuliiko kkomo.
(O)Mukama awanirira abawombeefu,
    naye abakola ebibi abasuulira ddala wansi.

(P)Muyimbire Mukama ennyimba ez’okumwebaza;
    mumukubire entongooli ezivuga obulungi.

(Q)Mukama abikka eggulu n’ebire,
    ensi agitonnyeseza enkuba,
    n’ameza omuddo ne gukula ku nsozi.
(R)Ente aziwa emmere, ne bannamuŋŋoona abato abakaaba abaliisa.

10 (S)Essanyu lya Mukama teriri mu maanyi ga mbalaasi,
    wadde mu magulu g’omuntu,
11 wabula Mukama asanyukira abo abamussaamu ekitiibwa,
    era abalina essuubi mu kwagala kwe okutaggwaawo.

12 Tendereza Mukama ggwe Yerusaalemi,
    tendereza Katonda wo ggwe Sayuuni,
13 kubanga ebisiba enzigi zo, ye abinyweza,
    n’abantu bo abasulamu n’abawa omukisa.
14 (T)Aleeta emirembe ku nsalo zo;
    n’akukkusa eŋŋaano esinga obulungi.

15 (U)Aweereza ekiragiro kye ku nsi;
    ekigambo kye ne kibuna mangu.
16 (V)Ayaliira omuzira ku ttaka ne gutukula ng’ebyoya by’endiga enjeru,
    n’omusulo ogukutte n’agusaasaanya ng’evvu.
17 Omuzira agukanyuga ng’obuyinjayinja;
    bw’aleeta obutiti ani ayinza okubusobola?
18 (W)Mukama aweereza ekigambo kye, omuzira ne gusaanuuka;
    n’akunsa empewo, amazzi ne gakulukuta.
19 (X)Yategeeza Yakobo ekigambo kye;
    Isirayiri n’amanya amateeka ga Mukama n’ebiragiro bye.
20 (Y)Tewali ggwanga na limu lye yali akolaganye nalyo bw’atyo;
    amawanga amalala tegamanyi mateeka ge.

Mutendereze Mukama!

Zabbuli 111-113

111 Mutendereze Mukama!

Nneebazanga Mukama n’omutima gwange gwonna,
    mu lukiiko lw’abalongoofu, era ne mu lukuŋŋaana.

(A)Mukama by’akola bikulu;
    bifumiitirizibwako abo bonna ababisanyukira.
Emirimu gye mikulu nnyo era gya kitiibwa,
    n’obutuukirivu bwe tebuggwaawo emirembe gyonna.
(B)Ayamba abantu okujjukira ebyamagero bye,
    Mukama wa kisa era ajjudde okusaasira.
(C)Agabira abamutya emmere;
    era ajjukira endagaano ye buli kiseera.

Abantu be abalaze ng’ebikolwa bye bwe biri eby’amaanyi;
    n’abagabira ensi eyali ey’abannaggwanga.
(D)By’akola byonna bya bwesigwa era bya bwenkanya;
    n’amateeka ge gonna ga bwesigwa,
(E)manywevu emirembe gyonna;
    era yagassaawo nga ga bwesigwa era nga ga mazima.
(F)Yanunula abantu be;
    n’alagira endagaano ye ebeerewo emirembe gyonna.
    Erinnya lye ttukuvu era lya ntiisa!

10 (G)Mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera
    era abo abagondera ebigambo ebyo bajjudde obutegeevu.
    Mukama atenderezebwenga emirembe gyonna.
112 (H)Mutendereze Mukama![a]

Alina omukisa omuntu atya Katonda,
    era asanyukira ennyo mu mateeka ge.

Abaana be baliba ba kitiibwa mu nsi;
    omulembe gw’abalongoofu guliweebwa omukisa.
Ennyumba ye enejjulanga ebintu n’obugagga obungi;
    era anaabanga mutuukirivu ennaku zonna.
(I)Ne mu kizikiza, ekitangaala kyakira omulongoofu,
    alina ekisa, n’oyo alina okusaasira, era omutuukirivu.
(J)Omuntu oyo agabira abeetaaga, era tawolera magoba,
    era akola emirimu gye gyonna n’obwenkanya, alifuna ebirungi.
(K)Omutuukirivu talinyeenyezebwa,
    era anajjukirwanga ennaku zonna.
(L)Amawulire amabi tegaamutiisenga,
    kubanga omutima gwe munywevu gwesiga Mukama.
(M)Omutima gwe guteredde, tewali ky’anaatyanga,
    era oluvannyuma alitunuulira abalabe be n’amaaso ag’obuwanguzi.
(N)Agabidde abaavu bye beetaaga;
    mutuukirivu ebbanga lyonna;
    era bonna banaamussangamu ekitiibwa.

10 (O)Omubi anaabirabanga ebyo, n’asunguwala,
    n’aluma abugigi, naye nga talina kya kukola.
    Okwegomba kw’ababi tekuubengako kye kubagasa.
113 (P)Mutendereze Mukama!

Mumutendereze, mmwe abaweereza be,
    mutendereze erinnya lya Mukama.
(Q)Erinnya lya Mukama litenderezebwe
    okuva leero n’okutuusa emirembe gyonna.
(R)Enjuba weeviirayo okutuusa bw’egwa,
    erinnya lya Mukama litenderezebwenga.

(S)Mukama agulumizibwa okusinga amawanga gonna,
    era n’ekitiibwa kye kisinga eggulu.
(T)Ani afaanana nga Mukama Katonda waffe,
    atuula ku ntebe ye ey’obwakabaka eri waggulu ennyo,
(U)ne yeetoowaza
    okutunuulira eggulu n’ensi?

(V)Abaavu abayimusa n’abaggya mu nfuufu;
    n’abali mu kwetaaga n’abasitula ng’abaggya mu vvu,
(W)n’abatuuza wamu n’abalangira,
    awamu n’abalangira abo abafuga abantu be.
(X)Omukazi omugumba amuwa abaana,
    n’abeera mu maka ge n’ezzadde lye ng’ajjudde essanyu.

Mutendereze Mukama!

Okuva 14:5-22

Falaawo Awondera Isirayiri

Kabaka w’e Misiri bwe yategeera ng’Abayisirayiri baddukidde ddala, Falaawo n’abakungu be ne bejjusa, ne bagamba nti, “Kiki kino kye tukoze, okuleka Abayisirayiri ababadde batukolera ne bagenda?” Bw’atyo n’ateekateeka eggaali lye erisikibwa embalaasi, n’eggye ly’anaagenda nalyo. Yatwala amagaali lukaaga agasingira ddala obulungi, n’agattako n’amagaali amalala gonna agaali mu Misiri, n’abalwanyi abaduumizi nga be bagavuga. (A)Mukama n’akakanyaza omutima gwa Falaawo Kabaka w’e Misiri, n’agoberera abaana ba Isirayiri. Abaana ba Isirayiri ne bakwata olugendo lwabwe nga tebaliiko gwe batya. (B)Abamisiri ne babawondera: embalaasi zonna, n’amagaali gonna aga Falaawo agasikibwa embalaasi, n’abeebagadde embalaasi, n’eggye lye, ne babasanga nga basiisidde ku lubalama lw’ennyanja okumpi ne Pikakirosi, nga boolekedde Baali Zefoni.

10 (C)Falaawo bwe yasembera, abaana ba Isirayiri ne balengera Abamisiri nga babagoberera, ne batya nnyo. Abaana ba Isirayiri ne balaajaanira Mukama. 11 (D)Ne bagamba Musa nti, “Mu Misiri entaana tezaaliyo, kyewava otuleeta tufiire wano mu ddungu? Lwaki watuggya mu Misiri n’ojja otuyisa bw’oti? 12 Bwe twali mu Misiri tetwakugamba nti, ‘Tuveeko, tuleke tukolere Abamisiri?’ Kubanga okukolera Abamisiri kyandibadde waddeko okusinga okufiira mu ddungu.”

13 (E)Musa n’addamu abantu nti, “Temutya, munywere, mujja kulaba obulokozi Mukama bw’anaabaleetera olwa leero. Kubanga Abamisiri abo be mulaba kaakano, temuliddayo nate kubalaba emirembe gyonna. 14 (F)Mukama ajja kubalwanirira. Mmwe musirike busirisi.”

15 Mukama n’agamba Musa nti, “Lwaki okaabirira nze? Lagira abaana ba Isirayiri bakwate olugendo lwabwe. 16 (G)Wanika omuggo gwo, ogolole n’omukono gwo ku nnyanja, amazzi ogaawulemu, abaana ba Isirayiri bayite wakati mu nnyanja kyokka nga batambulira ku ttaka kkalu. 17 (H)Nange nzija kukakanyaza emitima gy’Abamisiri, bayingirire ennyanja nga babagoberera. Ndyoke nefunire ekitiibwa okusinziira ku bye nnaakola Falaawo, n’amaggye ge, n’amagaali ge, n’abeebagadde embalaasi. 18 Abamisiri nabo banaategeera nga nze Mukama, nga nefunidde ekitiibwa: okusinziira ku bye nnaakola Falaawo n’amagaali ge, n’abasajja be abeebagadde embalaasi.”

19 (I)Awo malayika wa Katonda eyali akulembera abaana ba Isirayiri n’akyuka n’abadda emabega; n’empagi ey’ekire ne yejjulula okuva mu maaso gaabwe, n’eyimirira emabega waabwe: 20 Bw’etyo n’ebeera wakati w’abaana ba Isirayiri n’eggye ly’Abamisiri. Ekiro, ekire ne kireeta ekizikiza ku ludda lw’Abamisiri, naye ne kireeta omuliro okumulisa oludda lw’Abayisirayiri; ekiro kyonna ne wataba ggye lisemberera linnaalyo.

Okuyita mu Nnyanja Emyufu

21 (J)Awo Musa n’agolola omukono gwe ku nnyanja; Mukama n’asindika ku nnyanja embuyaga ez’amaanyi ezaava ebuvanjuba, ne zigobawo amazzi ekiro kyonna, ne lufuuka lukalu, ng’amazzi gayawuddwamu. 22 (K)Abaana ba Isirayiri ne bayita wakati mu nnyanja nga batambulira ku ttaka ekkalu, ng’amazzi gakoze ekisenge ku ludda lwabwe olwa ddyo n’olwa kkono.

1 Yokaana 1:1-7

Kigambo Aleeta Obulamu

(A)Tubawandiikira ku Kigambo ow’obulamu, eyaliwo okuva ku lubereberye, gwe twawulira, gwe twalaba n’amaaso gaffe, era gwe twakwatako n’engalo zaffe. (B)Obulamu bwalabisibwa, era tubulabye, tubuweerako obujulirwa, era tubategeeza obulamu obutaggwaawo obwali ne Kitaffe, era ne bulabisibwa gye tuli. (C)Tubategeeza ekyo kye twawulira era kye twalaba, mulyoke mutwegatteko, mubeere bumu naffe, era mussekimu ne Kitaffe awamu n’Omwana we Yesu Kristo. (D)Era tubawandiikira ebintu bino essanyu lyaffe liryoke lituukirire.

Okutambulira mu Musana

(E)Buno bwe bubaka bwe twafuna okuva gy’ali: tubategeeza nti, Katonda musana; mu ye temuliimu kizikiza n’akatono. (F)Noolwekyo bwe twogera nti tussakimu naye, ate ne tutambulira mu kizikiza, tuba balimba era tetuba ba mazima. (G)Naye bwe tutambulira mu musana nga ye bw’ali omusana, olwo tussakimu buli muntu ne munne, n’omusaayi gwa Yesu Omwana we, gutunaazaako buli kibi kyonna.

Yokaana 14:1-7

Yesu Agumya Abayigirizwa be

14 (A)“Omutima gwammwe tegweraliikiriranga. Mukkiriza Katonda, era nange munzikirize. (B)Mu nnyumba ya Kitange mulimu ebisenge bingi, era ŋŋenda okubateekerateekera ekifo. Singa tekiri bwe kityo nandibagambye. (C)Bwe ndimala okubateekerateekera ekifo ndikomawo, ne mbatwala gye ndi, Nze gye ndi nammwe gye muba mubeera. Era gye ŋŋenda ekkubo mulimanyi.”

Yesu ly’Ekkubo Erituusa Abantu eri Kitaawe

(D)Tomasi n’amugamba nti, “Mukama waffe, tetumanyi gy’olaga, kale tuyinza tutya okumanya ekkubo?”

(E)Yesu n’addamu nti, “Nze kkubo, n’amazima n’obulamu. Tewali n’omu ajja eri Kitange wabula ng’ayita mu Nze. (F)Singa muntegedde ne Kitange mwandimutegedde. Era okuva kaakano mumulabye era mumutegedde.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.