Book of Common Prayer
95 (A)Mujje tuyimbire Mukama;
tuyimbire waggulu n’essanyu nga tutendereza Mukama Olwazi olw’obulokozi bwaffe.
2 (B)Tujje mu maaso ge n’okwebaza;
tumuyimbire ennyimba ez’okumutendereza.
3 (C)Kubanga Mukama ye Katonda Omukulu;
era Kabaka Omukulu asinga bakatonda bonna.
4 Enkonko ez’ensi ziri mu mukono gwe;
n’entikko z’ensozi nazo zize.
5 (D)Ennyanja yiye, kubanga ye yagikola;
n’emikono gye, gye gyabumba olukalu.
6 (E)Mujje tusinze tuvuuname mu maaso ge;
tufukamire mu maaso ga Mukama, Omutonzi waffe.
7 (F)Kubanga ye Katonda waffe,
naffe tuli bantu ab’omu ddundiro lye,
era tuli ndiga ze z’alabirira.
Olwa leero bwe muwulira eddoboozi lye,
8 (G)“Temukakanyaza mitima gyammwe nga bwe kyali e Meriba[a],
ne ku lunaku luli e Maasa[b] mu ddungu;
9 (H)bajjajjammwe gye bangezesa;
newaakubadde baali baalaba dda ebyamagero bye nakola.
10 (I)Abantu b’omulembe ogwo ne mbasunguwalira okumala emyaka amakumi ana;
ne ŋŋamba nti, ‘Be bantu abakyama mu mutima gwabwe,
era tebamanyi makubo gange.’
11 (J)Kyennava ndayira nga nsunguwadde nti,
‘Tebaliyingira mu kiwummulo kyange.’ ”
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
22 (A)Katonda wange, Katonda wange, lwaki onjabulidde?
Lwaki ogaana okunnyamba
wadde okuwuliriza okwaziirana kwange?
2 (B)Ayi Katonda wange, emisana nkukoowoola, naye tonnyanukula;
n’ekiro bwe ntyo, naye siweerako.
3 (C)Songa ggwe Mutukuvu atudde ku Ntebe,
era ettendo lya Isirayiri yonna.
4 Bajjajjaffe baakwesiganga;
baakwesiga naawe n’obawonya.
5 (D)Baakukoowoolanga n’obalokola;
era baakwesiganga ne batajulirira.
6 (E)Naye nze ndi lusiriŋŋanyi, siri muntu;
abantu bampisaamu amaaso, n’abalala bannyooma.
7 (F)Bonna abandaba banduulira,
era banvuma nga bwe banyeenyeza omutwe nga bagamba nti,
8 (G)“Yeesiga Mukama;
kale amuwonye.
Obanga Mukama amwagala,
kale nno amulokole!”
9 (H)Naye ggwe wanziggya mu lubuto lwa mmange,
era wampa okukwesiga
ne mu buto bwange bwonna nga nkyayonka.
10 (I)Olwazaalibwa ne nteekebwa mu mikono gyo;
olwava mu lubuto lwa mmange n’obeera Katonda wange.
11 (J)Tobeera wala nange,
kubanga emitawaana ginsemberedde,
ate nga tewali mulala n’omu asobola kunnyamba.
12 (K)Zisseddume nnyingi zinneetoolodde,
zisseddume enkambwe ez’e Basani[a] zinzingizizza.
13 (L)Banjasamiza akamwa kaabwe
ng’empologoma bw’ewuluguma ng’etaagulataagula omuyiggo gwayo.
14 (M)Ngiyiddwa ng’amazzi,
n’amagumba gange gasowose mu nnyingo zaago.
Omutima gwange guli ng’obubaane,
era gusaanuukidde mu mubiri gwange.
15 (N)Amaanyi gampweddemu, gakaze ng’oluggyo;
n’olulimi lwange lukutte waggulu mu kibuno kyange.
Ondese awo mu nfuufu ng’omufu.
16 (O)Abantu ababi banneetoolodde;
banneebunguludde ng’embwa ennyingi;
banfumise ne bawummula ebibatu byange n’ebigere byange.
17 (P)Amagumba gansowose nnyinza n’okugabala.
Abalabe bange bantunuulira nga bannyoomoola.
18 (Q)Bagabana engoye zange;
era ekyambalo kyange bakikubira akalulu.
19 (R)Naye ggwe, Ayi Mukama, tobeera wala nange.
Ggwe, Amaanyi gange, yanguwa okunnyamba!
20 (S)Omponye okuttibwa n’ekitala;
obulamu bwange obw’omuwendo butaase mu maanyi g’embwa!
21 Nzigya mu kamwa k’empologoma,
omponye amayembe g’embogo enkambwe.
22 (T)Nnaategezanga ku linnya lyo mu booluganda;
nnaakutenderezanga mu kibiina ky’abantu.
23 (U)Mmwe abatya Mukama, mumutenderezenga.
Abaana ba Yakobo mwenna mumugulumizenga;
era mumussengamu ekitiibwa nga mumutya, mmwe abaana ba Isirayiri mwenna.
24 (V)Kubanga tanyooma kwaziirana
kw’abo abali mu nnaku,
era tabeekweka,
wabula abaanukula bwe bamukoowoola.
25 (W)Mu ggwe mwe muva ettendo lyange mu kibiina ekinene, ne nkutendereza olw’ebyo by’onkoledde.
Obweyamo bwange nnaabutuukirizanga mu maaso gaabo abakutya.
26 (X)Abaavu banaalyanga ne bakkuta,
abo abanoonya Mukama banaamutenderezanga.
Emitima gyabwe ginaajaguzanga emirembe gyonna.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
40 (A)Nalindirira Mukama n’obugumiikiriza,
n’antegera okutu, n’awulira okukoowoola kwange,
2 (B)n’anziggya mu kinnya eky’entiisa,
n’annyinyulula mu bitosi,
n’anteeka ku lwazi olugumu
kwe nyimiridde.
3 (C)Anjigirizza oluyimba oluggya,
oluyimba olw’okutenderezanga Katonda waffe.
Bangi bino balibiraba ne batandika okutya Mukama
n’okumwesiganga.
4 (D)Balina omukisa
abo abeesiga Mukama,
abatagoberera ba malala
abasinza bakatonda ab’obulimba.
5 (E)Ayi Mukama Katonda wange,
otukoledde eby’ewunyisa bingi.
Ebintu by’otuteekeddeteekedde
tewali ayinza kubikutegeeza.
Singa ngezaako okubittottola,
sisobola kubimalayo byonna olw’obungi bwabyo.
6 (F)Ssaddaaka n’ebiweebwayo tewabyagala.
Ebiweebwayo ebyokebwa olw’okutangirira ebibi,
tobyetaaga.
Naye onzigudde amatu.
7 Kyenava njogera nti, “Nzuuno,
nzize nga bwe kyampandiikibwako mu muzingo gw’ekitabo.”
8 (G)Nsanyukira okukola ky’oyagala, Ayi Katonda wange,
kubanga amateeka go gali mu mutima gwange.
9 (H)Ntegeeza obutuukirivu mu lukuŋŋaana olunene.
Sisirika busirisi,
nga naawe bw’omanyi, Ayi Mukama.
10 (I)Bye mmanyi ku butuukirivu bwo sisirika nabyo mu mutima gwange,
naye ntegeeza ku bwesigwa bwo n’obulokozi bwo.
Abantu nga bakuŋŋaanye,
sirema kubategeeza ku mazima go n’okwagala kwo okungi.
11 (J)Onsasirenga bulijjo, Ayi Mukama,
amazima n’okwagala kwo byeyongerenga okunkuuma.
12 (K)Kubanga ebizibu bye siyinza na kubala binneetoolodde;
ebibi byange binsukiridde, sikyasobola na kulaba;
bisinga enviiri ez’oku mutwe gwange obungi,
mpweddemu amaanyi.
13 (L)Onsasire ayi Mukama ondokole;
Ayi Mukama, oyanguwe okumbeera.
14 (M)Abo abaagala okunzita batabuketabuke baswale;
n’abo bonna abagenderera okummalawo bagobebwe nga baswadde.
15 Abo abankubira akasonso baswazibwe nnyo.
16 (N)Naye abo abakunoonya basanyuke
era bajaguze;
abo abaagala obulokozi bwo boogerenga bulijjo nti,
“Mukama agulumizibwenga.”
17 (O)Ndi mwavu, eyeetaaga ennyo.
Mukama ondowoozeeko.
Tolwawo, Ayi Katonda wange.
Ggwe mubeezi wange era Omulokozi wange.
3 (A)Nze muntu eyakangavvulwa
n’omuggo ogw’obusungu bwe.
2 (B)Angobye mu maaso ge n’antambuliza
mu kizikiza, awatali kitangaala;
3 (C)ddala, omukono gwe gunnwanyisizza
emirundi egiddiriŋŋanwa olunaku lwonna.
19 Nzijukira okubonaabona kwange n’okuwankawanka kwange,
n’obulumi n’obubalagaze.
20 (A)Mbijjukira bulungi
era bwe mbirowoozaako omutima gwange gulumwa.
21 Ebyo byonna mbijjukira,
kyenvudde mbeera n’essuubi.
22 (B)Olw’okwagala kwa Mukama okutaggwaawo,
tetulimalibwawo, kubanga ekisa kye tekiggwaawo.
23 (C)Buli lukya ekisa kyo kiba kiggya;
n’obwesigwa bwo bwa lubeerera.
24 (D)Njogera mu mutima gwange nti, “Mukama gwe mugabo gwange,
kyenaava mbeera n’essuubi mu ye.”
25 (E)Mukama mulungi eri abo abamulinamu essuubi,
eri oyo amunoonya.
26 (F)Kirungi omuntu okulindirira
obulokozi bwa Mukama n’obukkakkamu.
27 Kirungi omuntu okwetikka ekikoligo kye
mu buvubuka bwe.
10 (A)Bannabbi baafuba nga bwe baasobola okuvumbula era n’okutegeera okulokolebwa kuno, ne bategeeza eby’omu maaso ku kisa kya Katonda ky’agenda okubawa. 11 (B)Omwoyo wa Kristo ng’ali mu bo, yategeeza eby’omu maaso ku kubonaabona kwa Kristo era n’ekitiibwa ekiriddirira, ne bafuba okuvumbula omuntu gwe kirituukako n’ekiseera we kirituukira. 12 (C)Bannabbi bano Katonda yabalaga nti ebyo tebabikola ku lwabwe, wabula ku lwammwe. Era kaakano Enjiri ebuuliddwa gye tuli ffenna. Yatubuulirwa mu maanyi ga Mwoyo Mutukuvu eyava mu ggulu. Bino by’ebintu ne bamalayika bye bayaayaanira okutegeera.
Twayitibwa kuba Batukuvu
13 Noolwekyo mwetegeke nga muli bateefu, nga mutadde emitima gyammwe ku kisa kya Katonda ekiribaweebwa, Yesu Kristo bw’alirabika. 14 (D)Mugonderenga Katonda, kubanga muli baana be, muleme kufugibwa okwegomba kwammwe okubi okw’edda, kwe mwatambulirangamu mu butamanya. 15 (E)Kale, nga Katonda eyabayita bw’ali omutukuvu, nammwe mubeerenga batukuvu mu byonna bye mukola. 16 (F)Nga bwe kyawandiikibwa nti, “Mubenga batukuvu, kubanga nze ndi mutukuvu.”
17 (G)Mujjukire nti Kitammwe gwe musaba, asalira omusango buli muntu awatali kusaliriza, musaana mumusseemu ekitiibwa, nga mwetwala ng’abagenyi ku nsi kuno. 18 (H)Kubanga mumanyi nti mwanunulibwa mu mpisa zammwe embi ezaava ku bajjajjammwe. Temwanunulibwa na bintu ebiggwaawo nga ffeeza oba zaabu. 19 (I)Wabula mwanunulibwa n’omusaayi gwa Kristo ogw’omuwendo omungi ennyo, ogw’omwana gw’endiga ogutaliiko kamogo oba ebbala. 20 (J)Kristo yategekebwa dda nga n’ensi tennatondebwa, kyokka mu nnaku zino ezaakayita n’alabisibwa ku lwammwe.
36 (A)Awo Simooni Peetero n’amubuuza nti, “Mukama waffe olaga wa?”
Yesu n’amuddamu nti, “Tosobola kugenda nange kaakano, wabula olingoberera oluvannyuma.”
37 Peetero n’amubuuza nti, “Mukama wange, lwaki siyinza kukugoberera kaakano? Nnaawaayo obulamu bwange ku lulwo.”
38 (B)Yesu n’amuddamu nti, “Onoowaayo obulamu bwo ku lwange? Ddala ddala nkugamba nti, Enkoko eneeba tennakookolima, ononneegaana emirundi esatu.”
Okuziikibwa kwa Yesu
38 Ebyo bwe byaggwa, Yusufu ow’e Alimasaya, eyali omuyigirizwa wa Yesu mu kyama olw’okutya Abayudaaya, n’asaba Piraato olukusa okuwanulayo omulambo gwa Yesu, Piraato n’amukkiriza. Yusufu n’aguwanulayo n’agutwala. 39 (A)Nikodemo, eddako eyagenda eri Yesu ekiro, naye n’ajja ng’aleese kilo ng’amakumi ataano ez’ebyakoloosa ebitabule n’envumbo. 40 (B)Ne batwala omulambo gwa Yesu, ne baguzinga mu ngoye eza linena wamu n’ebyakaloosa ng’empisa y’Abayudaaya ey’okuziika bwe yali. 41 Mu kifo Yesu we yakomererwa waaliwo ennimiro omwali entaana empya ey’empuku, eyali teziikibwangamu muntu. 42 (C)Nga bwe lwali olunaku lw’Abayudaaya olw’okweteekerateekera Ssabbiiti ate ng’entaana eno eri kumpi, Yesu ne bamussa omwo.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.