Old/New Testament
16 (A)Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Yeeku mutabani wa Kanani nga kyogera ku Baasa nti, 2 (B)“Nakugulumiza nga nkuggya mu nfuufu ne nkufuula mukulembeze w’abantu bange Isirayiri, naye watambulira mu ngeri za Yerobowaamu era n’oyonoonyesa abantu bange Isirayiri, ne bansunguwaza n’ebibi byabwe. 3 (C)Laba, ndisaanyizaawo ddala Baasa n’ennyumba ye, era ndifuula ennyumba ye okuba ng’eya Yerobowaamu mutabani wa Nebati. 4 (D)Omuntu yenna owa Baasa bw’alifiira mu kibuga, omulambo gwe guliriibwa embwa, n’abo abalifiira ku ttale, ennyonyi ez’omu bbanga zirirya emirambo gyabwe.”
5 (E)Ebyafaayo ebirala eby’omu mirembe gya Baasa, bye yakola, awamu n’ebintu ebirungi bye yakola, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri? 6 (F)Awo Baasa ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe n’aziikibwa e Tiruza, mutabani we Era n’amusikira, n’alya obwakabaka.
7 (G)Ekigambo kya Mukama ne kituukirira, ekyajjira Yeeku mutabani wa Kanani ekikwata ku Baasa n’ennyumba ye olw’ebibi bye yakola mu maaso ga Mukama, ng’amusunguwaza olw’ebyo bye yakola, n’olw’okwonoona ng’afaanana ennyumba ya Yerobowaamu, ate era n’olw’okuba nga yagisaanyaawo.
Era Kabaka wa Isirayiri
8 Mu mwaka ogw’amakumi abiri mu omukaaga ogw’obufuzi bwa Asa kabaka wa Yuda, Era mutabani wa Baasa n’afuuka kabaka wa Isirayiri; n’afugira mu Tiruza emyaka ebiri. 9 (H)Awo Zimuli, omu ku bakungu be, eyakuliranga ekitundu ky’amagaali ge, n’amukolera olukwe. Mu kiseera ekyo Era yali Tiruza, ng’atamiirira mu maka ga Aluza, omusajja eyavunaanyizibwanga olubiri lw’e Tiruza. 10 Mu kiseera ekyo, Zimuli n’ayingira n’amukuba n’amutta, n’oluvannyuma n’alya obwakabaka. Gwali mwaka ogw’amakumi abiri mu omusanvu ogw’obufuzi bwa Asa kabaka wa Yuda.
11 (I)Awo olwatuuka nga kyajje atuule ku ntebe ey’obwakabaka n’atta abantu b’ennyumba ya Baasa bonna, obutalekaawo musajja n’omu wa luganda lwa Baasa wadde mikwano gye. 12 Bw’atyo Zimuli n’asaanyaawo ennyumba ya Baasa yonna, ng’ekigambo kya Mukama bwe kyali kye yayogera ku Baasa ng’ayita mu nnabbi Yeeku, 13 (J)olw’ebibi bya Baasa ne mutabani we Era bye baakola n’okwonoonyesa Isirayiri, nga basunguwaza Mukama Katonda wa Isirayiri olwa bakatonda beebeekolera abatagasa. 14 Eby’afaayo ebirala eby’omu mirembe gya Era, ne bye yakola byonna, tebyawandiikibwa mu kitabo ky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri?
Zimuli Kabaka wa Isirayiri
15 (K)Mu mwaka ogw’amakumi abiri mu omusanvu ogw’obufuzi bwa Asa kabaka wa Yuda, Zimuli n’afugira e Tiruza ennaku musanvu. Eggye lyali lisiisidde okumpi ne Gibbesoni ekibuga ky’Abafirisuuti. 16 Ku lunaku olwo Abayisirayiri abaali mu nkambi bwe baawulira nti Zimuli yasala olukwe, n’atta kabaka, Isirayiri yonna ne balangirira Omuli omuduumizi w’eggye okuba kabaka wa Isirayiri. 17 Omuli n’Abayisirayiri bonna abaali awamu naye ne bava e Gibbesoni ne bambuka okuzingiza Tiruza. 18 Zimuli bwe yalaba ng’ekibuga kiwambiddwa, n’addukira mu lubiri olw’omunda, olubiri lwonna n’alukumako omuliro. N’afiira omwo. 19 Ekyo kyamutuukako olw’ebibi bye yakola mu maaso ga Mukama, n’okutambulira mu ngeri za Yerobowaamu, ne mu kibi kye yakola, ne bye yayonoonyesa Isirayiri.
20 Eby’afaayo ebirala eby’omu mirembe gya Zimuli, n’obujeemu bwe, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri?
Omuli Kabaka wa Isirayiri
21 Abantu ba Isirayiri ne baawukanamu ebibiina bibiri, ekitundu ekimu nga kiwagira Tibuni mutabani wa Ginasi okuba kabaka, nga n’ekitundu ekirala kiwagira Omuli. 22 Naye abagoberezi ba Omuli ne basinza aba Tibuni mutabani wa Ginasi amaanyi; Tibuni n’afa, Omuli n’afuuka kabaka.
23 (L)Mu mwaka ogw’amakumi asatu mu ogumu ogw’obufuzi bwa Asa kabaka wa Yuda, Omuli n’alya obwakabaka obwa Isirayiri era n’afugira emyaka kkumi n’ebiri, mukaaga ku gyo ng’ali mu Tiruza. 24 (M)Yagula olusozi lw’e Samaliya ku Semeri, ekilo nsanvu eza ffeeza, n’aluzimbako ekibuga, n’akituuma Samaliya, okukibbulamu Semeri eyali nannyini lusozi.
25 (N)Naye Omuli n’akola ebyali ebibi mu maaso ga Mukama, era n’ayonoona nnyo okusinga n’abo abaamusooka. 26 (O)N’atambulira mu ngeri zonna eza Yerobowaamu mutabani wa Nebati, ne mu kibi kye, kye yayonoonyesa Isirayiri era n’asunguwaza Mukama Katonda wa Isirayiri olwa bakatonda beebeekolera abatagasa. 27 Ebyafaayo ebirala eby’omu mirembe gya Omuli, ne bye yakola, n’ebyobuzira bye, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri? 28 Omuli ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe n’aziikibwa mu Samaliya; Akabu n’amusikira, n’alya obwakabaka.
Akabu alya Obwakabaka bwa Isirayiri
29 Mu mwaka ogw’amakumi asatu mu omunaana ogw’obufuzi bwa Asa Kabaka wa Yuda, Akabu mutabani wa Omuli n’alya obwakabaka bwa Isirayiri, n’afugira Isirayiri mu Samaliya emyaka amakumi abiri mu ebiri. 30 (P)Akabu mutabani wa Omuli n’akola ebibi mu maaso ga Mukama okusinga bonna abaamusooka. 31 (Q)Teyakoma ku kukola bibi bya Yerobowaamu mutabani wa Nebati, naye era n’awasa ne Yezeberi muwala wa Esubaali kabaka w’Abasidoni, era n’atandika okuweereza n’okusinza Baali. 32 (R)Yazimbira Baali ekyoto mu ssabo lya Baali lye yazimba mu Samaliya. 33 (S)Akabu n’akola n’empagi ya Baaseri, ne yeeyongera nnyo okusunguwaza Mukama Katonda wa Isirayiri, okusinga bakabaka abalala bonna aba Isirayiri abaamusooka.
34 (T)Ku mirembe gya Akabu, Kyeri Omubeseri n’addaabiriza era n’azimba Yeriko. Era olw’ekigambo kya Mukama kye yayogerera mu Yoswa mutabani wa Nuuni, Kyeri bwe yassaawo emisingi gyakyo, n’afiirwa Abiraamu mutabani we omukulu; bwe yazimba wankaaki waakyo, Segubi mutabani we asembayo obuto naye n’afa.
Bannamuŋŋoona Baliisa Eriya
17 (U)Awo Eriya Omutisubi ow’e Tisubi mu Gireyaadi, n’agamba Akabu nti, “Mukama Katonda wa Isirayiri gwe mpeereza nga bw’ali omulamu, tewaabe musulo newaakubadde enkuba mu myaka egijja wabula olw’ekigambo kyange.”
2 Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Eriya nga kigamba nti, 3 “Vva wano ogende ebuvanjuba weekweke ku kagga Kerisi akoolekera Yoludaani. 4 (V)Ojja kunywanga mu kagga, era ndagidde bannamuŋŋoona okukuliisiza eyo.”
5 N’akola nga Mukama bwe yamulagira, n’alaga ku kagga Kerisi, akoolekera Yoludaani, n’abeera eyo. 6 (W)Bannamuŋŋoona ne bamuleeteranga emmere n’ennyama buli nkya na buli kawungeezi, era n’anywanga mu kagga.
Nnamwandu ow’e Zalefaasi
7 Bwe waayitawo ebbanga, akagga ne kakalira olw’obutabaawo nkuba mu nsi. 8 Awo ekigambo kya Mukama ne kimujjira nga kigamba nti, 9 (X)“Situkiramu ogende e Zalefaasi ekya Sidoni obeere eyo. Ndagidde nnamwandu ali eyo okukuwanga emmere.” 10 (Y)Awo n’agolokoka n’alaga e Zalefaasi. Bwe yatuuka ku wankaaki w’ekibuga, waliwo nnamwandu eyali alondalonda obuku. Eriya n’amusaba ng’agamba nti, “Nkwegayiridde, ndeetera ku mazzi matono mu kibya nnyweko.” 11 Bwe yali ng’agenda okugakima, Eriya n’amukoowoola ng’agamba nti, “Nkwegayiridde, ndeeteraayo n’omugaati.” 12 (Z)N’addamu nti, “Mukama nga bw’ali omulamu, sirina mugaati okuggyako olubatu lw’obutta mu kibya n’otufuta mu kasumbi, era kaakano nkuŋŋaanya buku mbutwale eka neefumbire nze n’omwana wange tubulye tufe.”
13 Eriya n’amugamba nti, “Totya. Genda eka okole nga bw’ogambye. Naye sooka onfumbire akagaati, okuva mu by’olina okandeteere, oluvannyuma weefumbire ggwe n’omwana wo. 14 Kubanga kino Mukama Katonda wa Isirayiri ky’agamba nti, ‘Ekibya ky’obutta tekiriggwaamu, so n’akasumbi k’amafuta tekalikalira okutuusa olunaku Mukama lw’alitonyesa enkuba ku nsi.’ ”
15 N’agenda n’akola nga Eriya bwe yamugamba, era ne waba emmere bulijjo eya Eriya ne nnamwandu n’amaka ge. 16 Ekibya ky’obutta tekyakendeera wadde akasumbi k’amafuta okukalira, ng’ekigambo kya Mukama kye yayogerera mu Eriya bwe kyali.
17 Bwe waayitawo ebbanga, omwana wa nnamwandu n’alwala nnyo, obulwadde ne bweyongera okutuusa lwe yafa. 18 (AA)Nnamwandu n’agamba Eriya nti, “Kiki ky’onnanga, omusajja wa Katonda? Wajja okunzijukiza ekibi kyange n’okutta omwana wange?”
19 Eriya n’amuddamu nti, “Mpa omwana wo.” N’amuggya mu kifuba kye, n’amusitula n’amutwala mu kisenge ekya waggulu[a] gye yabeeranga, n’amugalamiza ku kitanda kye. 20 N’akoowoola Mukama ng’agamba nti, “Ayi Mukama Katonda wange, ne nnamwandu ono gwe mbeera naye omuleeseko ekikangabwa kino, n’otta omwana we?” 21 (AB)Eriya ne yeegololera ku mulenzi emirundi esatu, n’akaabira Mukama ng’agamba nti, “Ayi Mukama Katonda wange, obulamu bw’omulenzi ono bukomewo nate!”
22 Mukama n’awulira okukaaba kwa Eriya, obulamu bw’omulenzi ne bumuddamu, era n’alama. 23 Awo Eriya n’asitula omwana n’amuserengesa okuva mu kisenge n’amuleeta mu nnyumba, n’amuwa nnyina, n’amugamba nti, “Laba mutabani wo mulamu!”
24 (AC)Awo nnamwandu n’agamba Eriya nti, “Kaakano ntegedde ng’oli musajja wa Katonda, era n’ekigambo kya Mukama ekiva mu kamwa ko kiba kya mazima.”
Eriya ne Obadiya Basisinkana
18 (AD)Awo nga wayiseewo ebbanga lya myaka essatu kasookedde enkuba ebula, ekigambo kya Mukama ne kijjira Eriya nti, “Genda weerage eri Akabu, omutegeeze nti nditonnyesa enkuba ku nsi.” 2 Awo Eriya n’agenda okweyanjula eri Akabu. 3 (AE)Mu biro ebyo enjala ng’ennyinnyitidde nnyo mu Samaliya, Akabu n’ayita Obadiya omukulu w’olubiri eyali assaamu ennyo Mukama ekitiibwa. 4 (AF)Olwali olwo nga Yezeberi atandika okutta bannabbi bonna aba Mukama, Obadiya n’addira bannabbi kikumi n’abakweka mu mpuku bbiri buli emu ng’erimu amakumi ataano ataano, n’abaweeranga omwo emmere n’amazzi. 5 Akabu n’amugamba nti, “Tuuka buli wantu awali enzizi ez’amazzi n’awali obugga bwonna, oboolyawo tunaafuna omuddo ne tuwonya embalaasi zaffe n’ennyumbu okufa, tuleme okufiirwa ensolo zonna.” 6 Ne beeyawulamu bombi okubuna ensi, Akabu n’akwata ekkubo lye ne Obadiya n’akwata erirye.
7 (AG)Awo Obadiya bwe yali ng’ali ku lugendo lwe, Eriya n’amusisinkana. Obadiya bwe yamutegeera n’avuunama wansi n’agamba nti, “Ddala ggwe wuuyo, mukama wange Eriya?” 8 N’addamu nti, “Ye nze. Genda ogambe mukama wo nti, ‘Eriya ali wano.’ ” 9 Obadiya n’amugamba nti, “Kiki kye nkusobezza, okutuma omuddu wo eri Akabu ajja okunzita? 10 (AH)Mukama Katonda wo nga bw’ali omulamu, tewali ggwanga oba bwakabaka mukama wange gy’atatumye mubaka kukunoonya. Era buli ggwanga, oba bwakabaka obwagambanga nti toliiyo, yabalayizanga okukakasa nti tobangayo. 11 Kaakano oŋŋamba ŋŋende ewa mukama wange njogere nti, ‘Eriya ali wano.’ 12 (AI)Simanyi Mwoyo wa Mukama gy’anaakutwala nga kyenzije nveewo. Bwe nnaagenda ne ntegeeza Akabu n’atakusangawo, ajja kunzita, ate nga nze omuddu wo okuva mu buto bwange, nsinza Mukama. 13 Mukama wange totegeezebwanga, kye nakola nga Yezeberi atta bannabbi ba Mukama? Nakweka kikumi ku bannabbi ba Mukama mu mpuku bbiri, ataano ataano mu buli mpuku, era ne mbawa emigaati okulya n’amazzi okunywa. 14 Kaakano, oŋŋamba ŋŋende ewa mukama wange mugambe nti, ‘Eriya ali wano.’ Ajja kunzita!”
15 (AJ)Eriya n’amugamba, “Nga Mukama ow’Eggye bw’ali omulamu, gwe mpeereza, siireme kweraga eri Akabu leero.”
Eriya ku Lusozi Kalumeeri
16 Awo Obadiya n’agenda okusisinkana Akabu, n’amutegeeza; Akabu n’ajja okusisinkana Eriya. 17 (AK)Akabu bwe yalaba Eriya, n’amubuuza nti, “Ggwe wuuyo, gwe ateganya Isirayiri?”
18 (AL)Eriya n’addamu nti, “Sinnateganya Isirayiri, naye ggwe n’ennyumba ya kitaawo, muvudde ku biragiro bya Mukama ne mugoberera ba Baali. 19 (AM)Kaakano kuŋŋaanya abantu bonna okuva mu Isirayiri yonna bajje ku lusozi Kalumeeri era oleete ne bannabbi ba Baali ebikumi ebina mu ataano wamu ne bannabbi ba Baaseri ebikumi ebina, abaliira ku mmeeza ya Yezeberi.” 20 Awo Akabu n’atumira abantu ba Isirayiri bonna, era n’akuŋŋaanya ne bannabbi bonna ku lusozi Kalumeeri. 21 (AN)Awo Eriya n’ayimirira mu maaso g’abantu n’ayogera nti, “Mulituusa wa okutta aganaaga? Obanga Mukama ye Katonda mumugoberere, naye obanga Baali ye Katonda mugoberere oyo.”
Naye abantu ne batamuddamu kigambo na kimu.
22 (AO)Eriya n’abagamba nti, “Nze nsigaddewo nzekka ku bannabbi ba Mukama, naye Baali alina bannabbi ebikumi bina mu ataano. 23 Kale mutuwe ente ennume bbiri, bo beerobozeeko emu, bagitemeeteme, bagiteeke ku nku, naye tebagikumamu. Nange naalongoosa eyookubiri, ne ngiteeka ku nku naye sijja kuzikumamu muliro. 24 (AP)Kale oluvannyuma mukoowoole erinnya lya katonda wammwe, nange nnaakowoola erinnya lya Mukama; anaddamu n’omuliro nga ye Katonda.”
Abantu bonna ne baddamu nti, “Ky’oyogedde kirungi.”
25 Eriya n’agamba bannabbi ba Baali[b] nti, “Mmwe musooke okweroboza ente emu ennume nga bwe muli abangi, mugiteeketeeke. Mukoowoole erinnya lya katonda wammwe, naye temukoleeza muliro.” 26 (AQ)Ne batwala ente ebaweereddwa ne bagiteekateeka.
Oluvannyuma ne bakoowoola erinnya lya Baali okuva ku makya okutuusa mu ttuntu. Ne baleekaanira waggulu nti, “Ayi Baali, otuwulire!” Naye ne wataba kuddibwamu, newaakubadde eddoboozi lyonna. Ne bazina nga beetooloola ekyoto kye baali bakoze.
27 (AR)Mu ssaawa ez’omu ttuntu Eriya n’atandika okubaduulira, ng’ayogera nti, “Muleekaane nnyo! Katonda ddala! Osanga ali mu birowoozo bingi, oba aliko ebimutawaanya, oba ali ku lugendo. Ayinza okuba nga yeebase, nga yeetaaga kumuzuukusa.” 28 (AS)Ne baleekaana nnyo nga bwe beesala n’obwambe ne beefumita n’amafumu ng’empisa yaabwe bwe yali, okutuusa omusaayi lwe gwabakulukuta. 29 (AT)Obudde bwali buyise nnyo, naye ne beeyongera okulagula kwabwe okutuusa ekiseera eky’ekiweebwayo eky’akawungeezi. Ne wataba kuddibwamu, newaakubadde eddoboozi lyonna, wadde assaayo omwoyo.
30 (AU)Awo Eriya n’alyoka agamba abantu bonna nti, “Musembere kumpi nange.” Bonna ne bamusemberera, n’addaabiriza ekyoto kya Mukama ekyali kisuuliddwa. 31 (AV)N’addira amayinja kkumi n’abiri, buli limu n’aliteeka ku linnaalyo ng’ebika bya Yakobo bwe byali, Mukama gwe yayogerako nti, “Erinnya lye linaabanga Isirayiri.” 32 (AW)N’azimba ekyoto mu linnya lya Mukama n’amayinja ago, n’asima olusalosalo okwetooloola ekyoto, ng’alugyamu lita kkumi na ttaano ez’amazzi. 33 (AX)N’atindikira enku, n’atemaatema ente, n’agiteekako. N’alyoka abagamba nti, “Mujjuze ebibya bina amazzi, mugafuke ku kiweebwayo ne ku nku.” 34 N’abagamba baddemu bakole bwe batyo omulundi ogwokubiri, ne bakiddamu, ate era n’abagamba okuddamu omulundi ogwokusatu ne baddamu ogwokusatu nga bwe yalagira. 35 Amazzi ne gakulukuta okwetooloola ekyoto, n’okujjula ne gajjula olusalosalo.
36 (AY)Mu kiseera eky’ekiweebwayo eky’akawungeezi, nnabbi Eriya n’asembera mu maaso n’asaba nti, “Ayi Mukama, Katonda wa Ibulayimu, owa Isaaka ne Isirayiri, olwa leero kimanyibwe nti ggwe Katonda mu Isirayiri, era nti nze muddu wo, era nkoze ebintu bino byonna olw’ekigambo kyo. 37 Onziremu, Ayi Mukama, onziremu, abantu bano bamanye, Ayi Mukama nti ggwe Katonda, era nti ggwe okyusa emitima gyabwe okudda gy’oli.”
38 (AZ)Omuliro gwa Mukama ne gulyoka gugwa ne gwokya ekiweebwayo, n’enku, n’amayinja, n’ettaka, ne gumalirawo ddala n’amazzi mu lusalosalo. 39 (BA)Awo abantu bonna bwe baakiraba, ne bavuunama ne bakaaba nnyo nga bagamba nti, “Mukama, ye Katonda! Mukama, ye Katonda!” 40 (BB)Eriya n’alyoka abalagira nti, “Mukwate bannabbi ba Baali, waleme okuba n’omu abaddukako.” Ne babakwata, Eriya n’abaserengesa ku kagga Kisoni, n’abattira eyo.
Ekyeya Kikoma
41 Eriya n’agamba Akabu nti, “Genda olye, n’okunywa onywe; kubanga waliwo okubwatuka kw’enkuba ey’amaanyi.” 42 (BC)Awo Akabu n’agenda okulya n’okunywa, naye Eriya n’alinnya ku ntikko y’olusozi Kalumeeri, n’akutama, n’ateeka omutwe gwe wakati w’amaviivi ge.
43 N’agamba omuweereza we nti, “Yambuka, olengere okwolekera ennyanja.”
Omuweereza n’agenda n’alaba n’akomawo n’amugamba nti, “Teri kye ndabyewo.”
Eriya n’amugamba addeyo emirundi musanvu.
44 (BD)Ku mulundi ogw’omusanvu omuweereza n’akomawo n’agamba nti, “Laba, ekire ekitono ekyenkana ng’omukono gw’omuntu kyambuka okuva mu nnyanja.”
Eriya n’amugamba nti, “Genda ogambe Akabu nti, ‘Teekateeka eggaali lyo, oserengete, enkuba nga tennakuziyiza.’ ”
45 Mu kiseera kyekimu, eggulu ne libindabinda, kibuyaga ne yeeyongera, enkuba ey’amaanyi n’ejja, Akabu n’ayolekera e Yezuleeri. 46 (BE)Amaanyi ga Mukama ne gakka ku Eriya ne yeesiba ekimyu, n’adduka ng’akulembedde Akabu okutuuka e Yezuleeri.
Yesu Akwatibwa
47 Awo Yesu bwe yali ng’akyayogera, ekibiina ky’abantu ne batuuka nga Yuda, omu ku bayigirizwa be ekkumi n’ababiri, y’abakulembedde. Yuda n’ajja butereevu awali Yesu, n’amunywegera. 48 Naye Yesu n’amugamba nti, “Yuda, Omwana w’Omuntu omulyamu olukwe ng’omugwa mu kifuba?”
49 (A)Abayigirizwa abalala bwe baalaba ekyali kigenda okubaawo ne babuuza Yesu nti, “Mukama waffe, tubateme n’ebitala byaffe?” 50 Era omu ku bo n’atemako n’ekitala okutu kw’omuweereza wa Kabona Asinga Obukulu. 51 Naye Yesu n’abagamba nti, “Temwongera kubalwanyisa.” N’akwata ku kutu kw’omusajja, n’amuwonya!
52 (B)Yesu kwe kukyukira bakabona abakulu, n’abakulu b’abakuumi ba Yeekaalu, n’abakulembeze b’Abayudaaya abaali bakulembedde ekibiina ky’abantu, n’abagamba nti, “Ndi munyazi, n’okujja ne mujja gye ndi nga mwambalidde ebitala n’emiggo? 53 (C)Lwaki temwankwatira mu Yeekaalu? Nabeeranga omwo buli lunaku. Naye nammwe eno ye ssaawa yammwe, n’ekizikiza we kiragira obuyinza bwakyo.”
Peetero Yeegaana Yesu
54 (D)Awo ne bakwata Yesu ne bamutwala mu nnyumba ya Kabona Asinga Obukulu. Peetero n’agoberera nga yeesuddeko akabanga. 55 Bwe baamala okukuma omuliro wakati mu luggya ne batuula okwota; Peetero naye n’atuula wakati mu bo, n’ayota omuliro. 56 Omuwala omuweereza n’amulengera ng’omuliro gumumulisizza, n’amutunuulira enkaliriza, okutuusa lwe yagamba nti, “Omusajja ono yali ne Yesu!”
57 Peetero ne yeegaana nti, “Omukazi, oyo gw’oyogerako nze simumanyi.”
58 Bwe waayitawo akabanga omuntu omulala n’alaba Peetero n’amugamba nti, “Naawe oli omu ku bo.” Peetero ne yeegaana nti, “Nedda, ssebo, si bwe kiri.” 59 (E)Bwe waali wayiseewo ng’essaawa nnamba, omuntu omu n’ayogera ng’akakasa nti, “Ddala n’ono yali wamu ne Yesu kubanga naye Mugaliraaya.” 60 Peetero n’addamu nti, “Omusajja, by’oyogerako sibimanyi!” Peetero bwe yali akyayogera enkoko n’ekookolima. 61 (F)Mu kaseera ako Mukama waffe n’akyuka n’atunuulira Peetero. Peetero n’ajjukira Yesu kye yagamba nti, “Enkoko eneeba tennakookolima ononneegaana emirundi esatu.” 62 Awo Peetero n’afuluma okuva mu luggya n’akaaba nnyo amaziga!
Abaserikale Baduulira Yesu
63 Awo abasajja abaali bakuuma Yesu ne batandika okumuduulira n’okumukuba. 64 Ne bamusiba ekitambaala ku maaso ne bamukuba ebikonde, oluvannyuma ne bamubuuza nti, “Nnabbi! yogera ani akukubye?” 65 (G)Ne bamuvuma n’ebigambo ebirala bingi.
Yesu mu Maaso g’Olukiiko Olukulu
66 (H)Enkeera mu makya Olukiiko Olukulu olw’Abayudaaya, nga lulimu bakabona abakulu, n’abannyonnyozi b’amateeka, n’abakulembeze b’Abayudaaya, ne lutuula. Yesu n’aleetebwa mu maaso g’Olukiiko olwo.
67 Ne bamubuuza nti, “Obanga ggwe Kristo, tubuulire.”
Yesu n’abaddamu nti, “Bwe nnaababuulira temujja kunzikiriza, 68 (I)ne bwe nnaababuuza ebibuuzo temujja kunnyanukula. 69 (J)Naye ekiseera kituuse, Nze, Omwana w’Omuntu, okutuula ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda Ayinzabyonna.”
70 (K)Bonna ne baleekaana nti, “Kwe kugamba nti ggwe Mwana wa Katonda?”
Yesu n’abaddamu nti, “Nga bwe mugambye bwe ntyo bwe ndi.”
71 Ne bagamba nti, “Ate twetaagira ki obujulizi obulala? Kubanga ffe ffennyini twewuliridde ng’ebigambo bino biva mu kamwa ke.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.