Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Old/New Testament

Each day includes a passage from both the Old Testament and New Testament.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
2 Samwiri 23-24

Ebigambo ebya Dawudi eby’Enkomerero

23 (A)Bino bye bigambo ebya Dawudi, mutabani wa Yese, eby’enkomerero:

ebigambo eby’omusajja eyagulumizibwa,
    Ali Waggulu ennyo,
Katonda wa Yakobo gwe yafukako amafuta,
    omuyimbi wa Zabbuli za Isirayiri:

(B)“Omwoyo wa Mukama yayogerera mu nze,
    ekigambo kye kyali mu kamwa kange.
(C)Katonda wa Isirayiri yayogera,
    olwazi lwa Isirayiri yaŋŋamba nti,
‘Omuntu bw’afuga n’obutuukirivu,
    n’afugira mu kutya Katonda,
(D)ali ng’ekitangaala eky’oku makya,
    enjuba ng’evaayo ku ggulu nga tekuli bire,
obudde nga butangaala oluvannyuma lw’enkuba okukya
    ereetera omuddo okuvaayo mu ttaka.’
(E)Ennyumba yange tetuukiridde mu maaso ga Katonda?
    Teyalagaana nange endagaano ey’enkalakkalira,
    n’agiteekateeka era n’aginyweza mu buli nsonga?
Ekimulobera okumpa omukisa,
    n’okuddamu buli kye mmusaba, kiki?
(F)Naye abatatya Katonda baliba nga amaggwa agasuulibwa wa bbali,
    kizibu okugakwata n’engalo.
Buli agakwatako kimugwanira okukozesa ekyuma
    oba olunyago lw’effumu,
    era gookerwa awo omuliro we bagakuŋŋaanyirizza.”

Abasajja ba Dawudi ab’Amaanyi

Gano ge mannya ag’abasajja ba Dawudi abalwanyi ab’amaanyi be yalina: Yosebu-Basusebesi Omutakemoni eyali omukulu wa bazira abasatu ab’oku ntikko; yatta abasajja lunaana mu lulumbagana lumu.

(G)Eyamuddiriranga ye yali Eriyazaali mutabani wa Dodayi Omwakowa. Yali ne Dawudi bwe baasoomooza Abafirisuuti abaali bakuŋŋaanye okulwana. Abasajja ba Isirayiri baali bazze ennyuma, 10 naye ye nayimirira ku bubwe n’atta Abafirisuuti, n’omukono gwe ne gukoowa, ne gusanyalalira ku kitala. Mukama n’abawa obuwanguzi obw’amaanyi olunaku olwo, abaserikale ne baddayo eri Eriyazaali okunyaga ebintu byabo abattibwa.

11 Owookusatu ye yali Samma mutabani wa Agee Omukalali. Abafirisuuti bwe baakuŋŋaanira mu musiri ogw’ebijanjaalo, abasajja ba Isirayiri ne babadduka, 12 Samma yayimirira wakati mu musiri, n’agulwanirira, era n’atta Abafirisuuti. Mukama n’awa Abayisirayiri obuwanguzi obw’amaanyi.

13 (H)Mu kiseera eky’okukungula, basatu ku bakungu amakumi asatu ne bagenda eri Dawudi mu mpuku eya Adulamu, ekibinja ky’Abafirisuuti nga basiisidde mu kiwonvu Lefayimu. 14 (I)Mu kiseera ekyo Dawudi yali mu kigo, n’olusiisira lw’Abafirisuuti nga luli mu Besirekemu. 15 Dawudi n’alumwa ennyonta, n’ayogera nti, “Waliwo omuntu ayinza okunsenera amazzi okuva mu luzzi oluliraanye wankaaki wa Besirekemu?” 16 (J)Awo abasajja be abazira abasatu ne bawaguza mu nkambi ey’Abafirisuuti, ne basena amazzi okuva mu luzzi lwa Besirekemu olwali luliraanye wankaaki, ne bagatwalira Dawudi. 17 (K)Naye mu kifo eky’okuganywa n’agayiwayo eri Mukama. N’ayogera nti, “Kikafuuwe, Ayi Mukama Katonda, nze okukola ekyo. Nnyinza ntya okunywa omusaayi ogw’abasajja abawaddeyo obulamu bwabwe?” Bw’atyo n’ataganywa.

Ebyo bye bimu ku bintu abasajja abo abasatu abazira bye baakola.

18 (L)Waaliwo ne Abisaayi muganda wa Yowaabu, mutabani wa Zeruyiya, naye nga mukulu w’abasajja amakumi asatu. Yayimusiza effumu lye eri abasajja ebikumi bisatu n’abatta, ne yeekolera erinnya okwenkanankana abasatu. 19 N’aba wa kitiibwa nnyo mu bali amakumi asatu newaakubadde nga teyatuuka ku ssa ery’abali abasatu.

20 (M)Ne Benaya mutabani wa Yekoyaada ow’e Kabuzeeri yali musajja mulwanyi nnyo eyakola ebyobuzira ebikulu. Yatta babiri ku basajja abazira aba Mowaabu, ate n’aserengeta ne mu bunnya n’atta empologoma mu kiseera eky’obutiti. 21 N’atta Omumisiri omunene ennyo. Newaakubadde ng’Omumisiri yalina effumu mu mukono gwe, Benaya ye ng’alina muggo; yamunyagako effumu lye, n’alimuttisa. 22 Ebyo bye byobuzira Benaya mutabani wa Yekoyaada bye yakola, era naye n’ayatiikirira ng’abasajja bali abasatu abazira. 23 N’aweebwa ekitiibwa mu makumi asatu, newaakubadde nga teyatuuka ku ssa ery’abasatu. Dawudi n’amufuula omukulu w’abambowa.

24 (N)Mu makumi asatu mwe mwali:

Asakeri muganda wa Yowaabu,

Erukanani mutabani wa Dodo ow’e Besirekemu,

25 (O)Samma Omukalodi,

Erika Omukalodi,

26 (P)Kerezi Omupaluti,

Ira mutabani wa Ikkesi Omutekowa,

27 (Q)Abiyezeeri Omwanasosi,

Mebunnayi Omukusasi,

28 (R)Zalumoni Omwakowa,

Makalayi Omunetofa,

29 (S)Kerebu mutabani wa Baana Omunetofa,

Ittayi mutabani wa Libayi ow’e Gibea eky’e Benyamini,

30 (T)Benaya Omupirasoni,

Kiddayi ow’oku bugga obw’e Gaasi,

31 (U)Abi-Aluboni Omwalubasi,

ne Azumavesi Omubalukumi,

32 ne Eriyaba Omusaaluboni,

batabani ba Yaseni, Yonasaani,

33 ne Samma Omukalali,

Akiyamu mutabani wa Salali Omwalali,

34 (V)Erifereti mutabani wa Akasubayi Omumaakasi,

Eriyaamu mutabani wa Akisoferi Omugiro,

35 (W)Kezulo Omukalumeeri,

Paalayi Omwalubi,

36 (X)Igali mutabani wa Nasani ow’e Zoba,

Bani Omugaadi,

37 Zereki Omwamoni,

Nakalayi Omubeerosi, eyasitulanga ebyokulwanyisa bya Yowaabu mutabani wa Zeruyiya,

38 (Y)Ira Omuyisuli,

Galebu Omuyisuli,

39 (Z)ne Uliya Omukiiti.

Bonna awamu baali amakumi asatu mu musanvu.

Dawudi Abala Eggye

24 (AA)Awo Mukama n’asunguwalira Isirayiri nate, n’aleetera Dawudi okubabala. Dawudi n’alagira nti, “Genda obale Isirayiri ne Yuda.”

(AB)Kabaka n’alagira Yowaabu n’abaduumizi ab’eggye nti, “Mugende mu bika byonna ebya Isirayiri okuva e Ddaani okutuuka e Beeruseba mubale abantu, ntegeere omuwendo gwabwe.”

(AC)Naye Yowaabu n’addamu kabaka nti, “Mukama Katonda wo ayongere ku bantu bo emirundi kikumi n’okusingawo, nga mukama wange kabaka akyali mulamu. Naye kiki ekikukoza ekintu bwe kityo mukama wange kabaka?”

Naye ekigambo kya kabaka ne kisinga amaanyi ebigambo bya Yowaabu n’abaduumizi b’eggye, era ne bava mu maaso ga kabaka ne batanula okubala abantu ba Isirayiri.

(AD)Oluvannyuma olw’okusomoka Yoludaani, ne basiisira okumpi ne Aloweri ku luuyi olw’obukiikaddyo olw’ekibuga mu kiwonvu, ne bayitira mu Gaadi okutuuka e Yazeri. (AE)Ne bagenda e Gireyaadi ne mu kitundu kya Tatimukodusi, ne batuuka e Ddaani-Yaani ne beebungulula ne baggukira e Sidoni. (AF)Ne bagenda ku kigo eky’e Ttuulo ne mu bibuga byonna eby’Abakiivi[a] n’eby’Abakanani, ne bakomekkereza omulimu gwabwe e Beeruseba mu bukiikaddyo obwa Yuda.

Awo oluvannyuma olw’okuyitaayita mu nsi yonna omulimu nga bagukoledde emyezi mwenda n’ennaku amakumi abiri, ne baddayo e Yerusaalemi. (AG)Yowaabu n’awaayo omuwendo gw’abantu bonna eri kabaka. Mu Isirayiri mwaweramu abasajja abalwanyi emitwalo kinaana, ne mu Yuda ne muweramu abasajja abalwanyi emitwalo amakumi ataano. 10 (AH)Naye Dawudi n’akeŋŋeentererwa emmeeme olw’ekikolwa ekyo eky’okubala abantu. N’agamba Mukama nti, “Nnyonoonye nnyo olw’ekyo kye nkoze. Kaakano, Ayi Mukama Katonda nziggyako omusango guno omuddu wo gw’azizza, kubanga nkoze eky’obusirusiru.”

11 (AI)Awo mu kiro ekigambo kya Mukama Katonda ne kijjira nnabbi Gaadi, omulabi wa Dawudi nti, 12 “Genda otegeeze Dawudi nti, ‘Bw’atyo bw’ayogera Mukama Katonda nti: ku bino ebisatu londawo ekimu kye nnaakukola.’ ”

13 (AJ)Gaadi n’agenda eri Dawudi n’amugamba nti, “Ndireeta enjala mu nsi okumala emyaka musanvu? Oba, ndikuddusa mu maaso g’abalabe bo okumala emyezi esatu, nga bakugoba? Oba, walibaawo ennaku ssatu eza kawumpuli mu nsi yo? Kirowoozeeko, ontegeeze ky’onoosalawo, nzizeeyo obubaka eri oyo antumye.”

14 (AK)Awo Dawudi n’agamba Gaadi nti, “Nsobeddwa nnyo; wakiri tugwe mu mukono gwa Mukama Katonda, kubanga okusaasira kwe kungi; okusinga okugwa mu mikono gy’abantu.”

15 (AL)Awo Mukama Katonda n’aweereza kawumpuli ku Isirayiri okuva ku makya okwo okumala ekiseera Mukama kye yateekateeka, abantu emitwalo musanvu ne bafa okuva mu bitundu ebya Ddaani okutuuka e Beeruseba. 16 (AM)Malayika bwe yagolola omukono gwe eri Yerusaalemi okukizikiriza, Mukama ne yejjusa olw’ekikolwa ekyo, n’agamba malayika eyabonereza abantu nti, “Kinaamala, toyoongera nate.” Olwo malayika wa Mukama Katonda yali atuuse ku gguuliro lya Alawuna Omuyebusi.

17 (AN)Awo Dawudi bwe yalaba malayika wa Mukama Katonda eyabonereza abantu, n’ayogera nti, “Nze nnyonoonye era nze nkoze eby’ekyejo, naye endiga zino, tezirina kye zikoze. Nkwegayiridde, omukono gwo ka gubonereze nze n’ennyumba ya kitange.”

Dawudi Azimbira Mukama Ekyoto

18 Ku lunaku olwo Gaadi n’agenda eri Dawudi n’amugamba nti, “Yambuka ozimbire Mukama Katonda ekyoto ku gguuliro[b] lya Alawuna Omuyebusi.” 19 Awo Dawudi n’agondera ebiragiro bya Mukama Katonda bye yayisa mu Gaadi, n’ayambuka ku gguuliro. 20 Alawuna n’alengera kabaka n’abasajja be nga bajja gy’ali, n’afuluma n’avuunama mu maaso ga kabaka, ne yeeyala wansi.

21 (AO)Alawuna n’abuuza nti, “Kiki ekireese mukama wange kabaka eri omuddu we?” Dawudi n’addamu nti, “Nzize okugula egguuliro lyo, nzimbire Mukama ekyoto, kawumpuli aleke okubuna mu bantu.”

22 (AP)Alawuna n’agamba Dawudi nti, “Mukama wange kabaka atwale kyonna ky’anaasiima akiweeyo. Ente ziizo ez’ekiweebwayo ekyokebwa, n’ebintu ebiwuula n’ebikoligo by’ente byonna mbiwaddeyo okuba enku. 23 (AQ)Ebyo byonna, Alawuna abiwaddeyo eri kabaka.” Alawuna n’ayongerako nti, “Olabe ekisa mu maaso ga Mukama Katonda wo.”

24 (AR)Naye kabaka n’agamba Alawuna nti, “Nedda, nzija kulisasulira[c]. Sijja kuwaayo ssaddaaka ez’ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama Katonda wange, nga sisasulidde muwendo.”

Awo Dawudi n’asasulira egguuliro n’ente, omuwendo ogw’enkana effeeza, gulaamu lukaaga. 25 (AS)Dawudi n’azimbira Mukama ekyoto n’awaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’emirembe. Olwo Mukama Katonda n’ayanukula okusaba kwe ku lw’ensi, kawumpuli n’ava ku Isirayiri.

Lukka 19:1-27

Zaakayo Omusolooza w’Omusolo

19 (A)Awo Yesu n’atuuka mu kibuga Yeriko, n’ayitamu. Mu kibuga omwo mwalimu omusajja erinnya lye Zaakayo; yali mukulu wa bawooza, era yali mugagga nnyo. N’afuba okulaba Yesu, naye n’atasobola ng’ali mu kibiina ky’abantu kubanga yali mumpi. (B)Kyeyava adduka ne yeesooka ekibiina mu maaso, n’alinnya omuti omusukamooli asobole okulaba Yesu ng’ayitawo.

Yesu bwe yatuuka awo n’atunula waggulu, n’amuyita nti, “Zaakayo! Yanguwa okke wansi! Kubanga olwa leero ŋŋenda kuba mugenyi wo mu maka go.” Awo Zaakayo n’akka mangu okuva ku muti n’atwala Yesu mu nnyumba ye ng’ajjudde essanyu.

(C)Abantu bonna abaakiraba ne batandika okwemulugunya nga bagamba nti, “Agenze okukyalira omuntu alina ebibi.”

(D)Awo Zaakayo n’ayimirira n’agamba Mukama waffe nti, “Mukama wange! Mpuliriza! Ebintu byange nnaabigabanyaamu wakati, ekitundu ne nkiwa abaavu; era obanga waliwo omuntu gwe nnali ndyazaamaanyizza, nnaamuliyira emirundi ena.”

(E)Yesu n’amugamba nti, “Olwa leero obulokozi buzze mu nnyumba muno, kubanga omusajja ono naye muzzukulu wa Ibulayimu. 10 (F)Kubanga Omwana w’Omuntu, yajjirira kunoonya n’okulokola abaabula.”

Olugero lw’Ensimbi

11 (G)Awo nga bakyawuliriza ebyo, Yesu n’abagerera olugero olulala. Mu kiseera ebyo yali asemberedde nnyo Yerusaalemi, era abantu ne balowooza nti obwakabaka bwa Katonda bugenda kutandika mu kiseera ekyo. 12 N’abagamba nti, “Waaliwo omukungu omu eyalaga mu nsi ey’ewala alye obwakabaka alyoke akomewo. 13 (H)Bwe yali asitula n’ayita abaddu be kkumi n’abalekera mina[a] kkumi n’abagamba nti, ‘Muzisuubuzise okutuusa lwe ndidda.’

14 “Naye abantu be baali tebamwagala ne batuma ababaka baabwe mu nsi gye yalaga, nga bagamba nti, ‘Ffe tetwagala musajja ono kubeera kabaka waffe.’

15 “Naye n’afuulibwa kabaka, n’addayo mu kitundu ky’ewaabwe. Bwe yatuuka n’ayita abaddu be, be yali alekedde ensimbi, bamutegeeze amagoba ge baggyamu.

16 “Eyasooka n’ajja n’agamba nti, ‘Ssebo, mina gye wandekera navisaamu mina kkumi.’

17 (I)“Mukama we n’amwebaza, n’amugamba nti, ‘Oli muddu mulungi nnyo. Kubanga obadde mwesigwa mu kintu ekitono ennyo, nkuwadde okufuga ebibuga kkumi.’

18 “Omuddu owookubiri n’ajja, n’agamba mukama we nti, ‘Ssebo, mina gye wandekera navisaamu mina ttaano.’

19 “Oyo naye n’amugamba nti, ‘Onoofuga ebibuga bitaano.’

20 “Awo omuddu omulala n’ajja, n’agamba mukama we nti, ‘Mina gye wandekera yiino, nagitereka bulungi. 21 (J)Nakutya, kuba, nga bw’oli omuntu omukakanyavu, otwala ebitali bibyo, n’okungula n’ebibala by’otaasiga.’

22 (K)“Mukama we n’amuddamu nti, ‘Oli musajja mubi nnyo! Nzija kukusalira omusango ng’ebigambo byo by’oyogedde bwe biri. Wamanya nga ndi muntu mukalubo, nga ntwala ebitali byange, era nga nkungula bye saasiga, 23 kale, lwaki ensimbi zange tewazissa mu banka, bwe nandikomyewo nandizisanzeeyo nga zizadde n’amagoba?’

24 “N’alyoka agamba abaali bayimiridde awo nti, ‘Mumuggyeeko mina eyo mugiwe oli alina ekkumi.’

25 “Ne bamugamba nti, ‘Naye ssebo, oli alina mina kkumi!’

26 (L)“N’abaddamu nti, ‘Mbagamba nti oyo yenna alina, alyongerwako; ate oyo atalina, n’akatono k’alina kalimuggibwako. 27 Kaakano njagala abo bonna abalabe bange, abaajeema nga tebaagala mbeere kabaka waabwe, mubandeetere wano, mubattire mu maaso gange.’ ”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.