Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Old/New Testament

Each day includes a passage from both the Old Testament and New Testament.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Ebyabaleevi 8-10

Okwawulibwa kwa Alooni ne Batabani be

Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti, (A)“Leeta Alooni ne batabani be, n’ebyambalo, n’amafuta ag’omuzeeyituuni ag’okwawula, ne seddume y’ente ey’ekiweebwayo olw’ekibi, n’endiga ennume bbiri, n’ekibbo ky’emigaati egitali mizimbulukuse; (B)okuŋŋaanyize abantu bonna ku mulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu.” Musa n’akola nga Mukama Katonda bwe yamulagira; abantu ne bakuŋŋaanira mu kibiina kinene ku mulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu.

Awo Musa n’agamba ekibiina nti, “Kino Mukama Katonda ky’atulagidde okukola.” (C)Bw’atyo Musa n’aleeta Alooni ne batabani be n’abanaaza n’amazzi. (D)N’ayambaza Alooni ekkooti, n’amusiba olwesibyo, n’amwambaza omunagiro, n’amwambaza n’ekyambalo ekya efodi, n’amusibya olwesibyo lwa efodi olwalukibwa n’amagezi amangi, n’amunyweza. (E)N’amuteekako ekyomukifuba, era mu kyomukifuba n’ateekamu Ulimu ne Sumimu. (F)N’amusiba ekitambaala ku mutwe, ne mu maaso ku kitambaala n’assaako ekipande ekya zaabu, nga ye ngule entukuvu, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.

10 (G)Awo Musa n’addira amafuta ag’omuzeeyituuni ag’okwawula, n’agakozesa okwawula Weema ya Mukama, ne byonna ebibeeramu nabyo n’abyawula. 11 (H)N’amansira agamu ku mafuta ku kyoto emirundi musanvu, n’ayawula ekyoto ne byonna ebikozesebwako, n’ebbensani ne mw’etuula, okubitukuza. 12 (I)N’afuka agamu ku mafuta ag’okwawula ku mutwe gwa Alooni, n’amwawula, okumutukuza. 13 Awo Musa n’aleeta batabani ba Alooni n’abambaza amakooti, n’abasiba eneesibyo, n’abambaza enkuufiira, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.

Ebiweebwayo olw’ekibi n’Ebiweebwayo Ebyokebwa olwa Bakabona

14 (J)Awo n’aleeta seddume ey’ekiweebwayo olw’ekibi; Alooni ne batabani be ne bakwata ku mutwe gwayo. 15 (K)Musa n’agitta, n’addira omusaayi gwayo n’agusiiga n’olugalo lwe ku mayembe ag’oku kyoto okukyebungulula, n’atukuza ekyoto. Omusaayi ogwasigalawo n’aguyiwa wansi w’ekyoto, n’akitukuza, okukitangiririra. 16 Musa n’addira amasavu gonna agaali ku byenda, n’agaali gabisse ku kibumba, n’ensigo zombi n’amasavu gaazo, byonna n’abyokera ku kyoto. 17 (L)Naye seddume, n’eddiba lyayo, n’ennyama yaayo, n’obusa bwayo, n’abyokera mu muliro ebweru w’olusiisira, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.

18 (M)Awo n’aleeta endiga ennume ey’ekiweebwayo ekyokebwa; Alooni ne batabani be ne bakwata ku mutwe gwayo. 19 Musa n’agitta, n’amansira omusaayi gwayo buli wantu ku kyoto. 20 Awo endiga ng’ewedde okusalwasalwa mu bifi, Musa n’ayokya ebifi ebyo n’omutwe gwayo n’amasavu. 21 Ebyenda n’amagulu nga biwedde okunaazibwa n’amazzi, Musa n’alyoka ayokya endiga yonna ku kyoto. Ekyo nga kye kiweebwayo ekyokye eky’akawoowo akasanyusa, nga kiweerwayo ku muliro eri Mukama, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.

Ekiweebwayo olw’Okwawulibwa kwa Bakabona

22 (N)Awo Musa n’aleeta endiga ennume eyookubiri, nga y’endiga ey’ekiweebwayo olw’okwawulibwa; Alooni ne batabani be ne bagikwata ku mutwe gwayo. 23 Musa n’alyoka agitta, n’addira ku musaayi gwayo n’agusiiga ku kasongezo k’okutu kwa Alooni okwa ddyo, ne ku kinkumu eky’engalo ye ey’omukono ogwa ddyo, ne ku kigere ekisajja eky’okugulu okwa ddyo. 24 (O)Batabani ba Alooni nabo ne baleetebwa, Musa n’asiiga omusaayi ku busongezo bw’amatu gaabwe aga ddyo, ne ku binkumu eby’engalo zaabwe ez’emikono gyabwe egya ddyo, ne ku bigere ebisajja eby’amagulu gaabwe aga ddyo. Musa n’addira omusaayi n’agumansira buli wantu ku kyoto okukyebungulula. 25 N’addira amasavu n’omukira ogwo omusava, n’amasavu gonna agaali ku byenda, n’agaali gabisse ku kibumba, n’ensigo zombi n’amasavu gaazo, n’ekisambi ekya ddyo; 26 n’alaba mu kibbo omubeera emigaati egitali mizimbulukuse egibeera mu maaso ga Mukama Katonda, n’aggyamu akagaati kamu akatali kazimbulukuse, n’akagaati akaakolebwa n’amafuta ag’omuzeeyituuni, n’akasukuuti ak’oluwewere kamu, n’abiteeka ku masavu ne ku kisambi ekya ddyo; 27 ebyo byonna n’abikwasa Alooni ne batabani be mu ngalo zaabwe, ne babiwuubawuuba mu maaso ga Mukama Katonda, nga kye kiweebwayo ekiwuubibwa. 28 Awo Musa ebyo byonna n’abibaggyako, n’abyokera ku kyoto awamu n’ekiweebwayo ekyokebwa, nga kye kiweebwayo eri Mukama Katonda eky’okwawulibwa, ekyokebwa mu muliro ne muvaamu akawoowo akalungi akasanyusa. 29 (P)Era Musa n’addira ekifuba n’akiwuubawuuba, nga kye kiweebwayo eri Mukama ekiwuubibwa. Guno nga gwe mugabo gwa Musa ku ndiga ennume ey’okwawulibwa, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.

Ennaku ez’Okwawulibwa

30 (Q)Awo Musa n’addira ku mafuta ag’okwawula ne ku musaayi ogwali ku kyoto, n’amansira ku Alooni ne ku byambalo bye, ne ku batabani be awamu ne ku byambalo byabwe. Bw’atyo n’atukuza Alooni n’ebyambalo bye awamu ne batabani be n’ebyambalo byabwe.

31 Musa n’agamba Alooni ne batabani be nti, “Ennyama mugifumbire awo ku mulyango gw’Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, era awo we muba mugiriira awamu n’emigaati egiri mu kibbo omuli ebiweebwayo olw’okwawulibwa, nga bwe nabalagira nga ŋŋamba nti, ‘Alooni ne batabani be baligirya.’ 32 Ebifisseewo ku nnyama ne ku migaati mujja kubyokya mu muliro. 33 Era temufulumanga okuva ku mulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu okumala ennaku musanvu, okutuusa ng’ennaku zammwe ez’okwawulibwa zituukiridde, kubanga okubaawula kugenda kumala ennaku musanvu. 34 (R)Mukama Katonda alagidde nti nga bwe kikoleddwa leero bwe kinaakolebwanga bwe kityo okubatangiririra. 35 (S)Mujja kubeera ku mulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu emisana n’ekiro okumala ennaku musanvu, nga mukola ebyo Mukama by’abalagidde, si kulwa nga mufa; bwe ntyo bwe ndagiddwa.” 36 Bwe batyo Alooni ne batabani be ne bakola ebyo byonna Mukama Katonda bye yalagira ng’abiyisa mu Musa.

Ekiweebwayo olwa Bakabona

(T)Ku lunaku olw’omunaana Musa n’ayita Alooni ne batabani be n’abakulembeze ba Isirayiri. N’agamba Alooni nti, “Ddira ennyana eya sseddume eweebwayo olw’ekibi, n’endiga ennume olw’ekiweebwayo ekyokebwa, nga zombi teziriiko kamogo, oziweeyo ng’ekiweebwayo eri Mukama Katonda. Ogambe abaana ba Isirayiri nti, ‘Muddire embuzi ennume eweebwayo olw’ekibi, n’ennyana n’omwana gw’endiga, nga zino zombi zaakamala omwaka gumu obukulu era nga teziriiko kamogo, nga za kiweebwayo ekyokebwa; (U)era n’ente eya sseddume n’endiga ennume eby’ebiweebwayo olw’emirembe, n’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke nga mulimu amafuta ag’omuzeeyituuni, byonna mubiweeyo nga kye kiweebwayo eri Mukama Katonda; kubanga ku lunaku lwa leero Mukama Katonda ajja kubalabikira.’ ” Bwe batyo ne baleeta byonna Musa bye yabalagira okuleeta mu maaso ga Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. Abantu bonna, kye kibiina ekinene, ne basembera ne bayimirira awali Mukama Katonda. (V)Musa n’alyoka abagamba nti, “Kino kye kyo Mukama Katonda kye yabagambye okukola, era ekitiibwa kya Mukama kijja kubalabikira.” (W)Awo Musa n’agamba Alooni nti, “Sembera ku kyoto oweeyo ekiweebwayo kyo olw’ebyonoono byo, n’ekiweebwayo kyo ekyokebwa, olyoke weetangiririre awamu n’abantu era oleete ekiweebwayo eky’abantu; obatangiririre; nga Mukama Katonda bwe yalagidde.”

(X)Awo Alooni n’asembera ku kyoto, n’atta ennyana ey’ekiweebwayo kye olw’ebyonoono bye. (Y)Batabani ba Alooni ne bamuleetera omusaayi, n’annyika olunwe lwe mu musaayi n’agusiiga ku mayembe ag’oku kyoto, n’afuka omusaayi ku ntobo y’ekyoto. 10 N’addira amasavu n’ensigo n’ebibikka ku kibumba eby’omu kiweebwayo olw’ekibi, n’abyokera ku kyoto, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa. 11 (Z)Ennyama n’eddiba n’abyokera mu muliro ebweru w’olusiisira.

12 Alooni n’atta ekiweebwayo ekyokebwa; batabani be ne bamuleetera omusaayi, n’agumansira ku kyoto okukyebungulula. 13 (AA)Ne bamuleetera ebifi eby’ekiweebwayo ekyokebwa nga n’omutwe kweguli; byonna n’abyokera ku kyoto. 14 N’ayoza ebyenda n’amagulu, n’abyokera wamu n’ekiweebwayo ekyokebwa ku kyoto.

Ekiweebwayo olw’Abantu

15 (AB)Awo Alooni n’aleeta ekiweebwayo olw’abantu. Yaddira embuzi ey’ekiweebwayo olw’ebibi by’abantu n’agitta, n’agiwaayo ng’ekiweebwayo kye olw’ekibi, kye yasooka olw’ebibi bye. 16 (AC)N’aleeta ekiweebwayo ekyokebwa n’akiwaayo ng’etteeka bwe liragira. 17 (AD)N’aleeta ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke, n’ayoolamu olubatu, n’akyokya ku kyoto okuliraana n’ekiweebwayo ekyokebwa eky’omu makya.

18 (AE)Ente ya sseddume n’endiga ennume nazo n’azitta, nga bye biweebwayo olw’emirembe eby’abantu; batabani ba Alooni ne bamuleetera omusaayi, n’agumansira ku kyoto okukyebungulula enjuuyi zonna. 19 Naye amasavu ag’ente eya sseddume n’ago ag’endiga ennume, n’amasavu ag’oku mukira, n’ago agabikka ku byenda, n’ensigo, n’agabikka ku kibumba, 20 ne bateeka amasavu gaabyo ku bifuba by’ensolo ezo, n’ayokya amasavu ago ku kyoto; 21 (AF)naye ebifuba n’ekisambi ekya ddyo, Alooni n’abiwuubawuuba mu maaso ga Mukama Katonda nga kye kiweebwayo ekiwuubibwa eri Mukama Katonda, nga Musa bwe yalagira.

22 (AG)Awo Alooni n’awanikira abantu emikono gye, n’abasabira omukisa. Bw’atyo Alooni ng’amaze okuwaayo ekiweebwayo olw’ekibi, n’ekiweebwayo ekyokebwa, n’ekiweebwayo olw’emirembe, n’avaayo ku kyoto. 23 (AH)Musa ne Alooni ne bayingira mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. Bwe baafuluma ne basabira abantu omukisa, era ekitiibwa kya Mukama Katonda ne kirabikira abantu bonna. 24 (AI)Omuliro ne gujja nga guva eri Mukama Katonda ne gumalirawo ddala ekiweebwayo ekyokebwa n’amasavu ebyali ku kyoto. Awo abantu bonna bwe baakiraba ne baleekaana ne bagalamira wansi ng’amaaso gaabwe gali ku ttaka.

Okufa kwa Nadabu ne Abiku

10 (AJ)Awo olwatuuka, batabani ba Alooni, Nadabu ne Abiku ne beetwalira buli omu ekyoterezo kye, ne bateekamu omuliro, ne bassaako obubaane, ne bawaayo eri Mukama Katonda omuliro ogutali mutukuvu, ne basobya ekiragiro kye. (AK)Omuliro ne guva eri Mukama ne gubookya, ne bafiira awo mu maaso ga Mukama Katonda. (AL)Awo Musa n’agamba Alooni nti, Kino Mukama Katonda kye yayogerako bwe yagamba nti,

“ ‘Nzija kweyolekanga nga bwe ndi omutukuvu
    eri abo abansemberera,
era nassibwangamu ekitiibwa
    abantu bonna.’ ”

Alooni n’asirika busirisi.

(AM)Awo Musa n’ayita Misayeri ne Erizafani, abaana ba Wuziyeeri kitaawe omuto owa Alooni, n’abagamba nti, “Mujje wano musitule emirambo gya baganda bammwe mugiggye wano awatukuvu mugitwale ebweru w’olusiisira.” (AN)Bwe batyo ne bajja ne basitula baganda baabwe abo nga bwe baali bayambadde ne babatwala ebweru w’olusiisira nga Musa bwe yabagamba.

(AO)Awo Musa n’agamba Alooni, ne Eriyazaali ne Isamaali, batabani ba Alooni, nti, “Mmwe temusumulula nviiri zammwe okuzita ne zireebeeta era temuyuza byambalo byammwe nga mukungubaga, kubanga muyinza okufa, n’obusungu bwa Mukama Katonda buyinza okubuubuukira abantu bonna. Naye baganda bammwe, ye nnyumba yonna eya Isirayiri, babakaabire abo Mukama Katonda b’azikirizza n’omuliro. (AP)Era temuva ku mulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, temulwa kufa; kubanga muliko amafuta ag’omuzeeyituuni ga Mukama Katonda ag’okwawula.” Ne bakola nga Musa bwe yabalagira.

Bakabona bye Basaana Okwegendereza

Awo Mukama Katonda n’agamba Alooni nti, (AQ)“Ggwe ne batabani bo bwe muyingiranga mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu temunywanga envinnyo oba ekyokunywa ekirala kyonna ekitamiiza; bwe mulikikola temulirema kufa. Eryo linaabanga tteeka ery’enkalakkalira ne mu mirembe gyonna egigenda okujja. 10 (AR)Mwawulengamu ebitukuvu n’ebyabulijjo, ebirongoofu n’ebitali birongoofu; 11 (AS)era kibasaanidde okuyigirizanga abaana ba Isirayiri amateeka gonna Mukama Katonda g’abawadde ng’agayisa mu Musa.”

Etteeka ery’Okulya Emmere Entukuvu

12 (AT)Awo Musa n’agamba Alooni ne Eriyazaali ne Isamaali, batabani ba Alooni abaali basigaddewo, nti, “Mutwale ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke ekyasigaddewo ku biweebwayo ebyokebwa eri Mukama Katonda nga si kizimbulukuse, mukiriire okumpi n’ekyoto kubanga kitukuvu nnyo. 13 Mukiriire mu kifo ekitukuvu, kubanga gwe mugabo gwo, era gwe mugabo gw’abatabani bo, nga guva ku kiweebwayo eri Mukama Katonda ekyokebwa; bwe ntyo bwe ndagiddwa. 14 (AU)Naye ekifuba ekiwuubibwa n’ekisambi ekiweebwayo munaabiriira mu kifo kyonna kye munaalaba ekirongoofu; mubirye, ggwe ne batabani bo ne bawala bo b’oli nabo; kubanga bibaweereddwa ng’omugabo gwammwe, ggwe n’abaana bo, nga biva ku biweebwayo olw’emirembe ebiweereddwayo abaana ba Isirayiri. 15 (AV)Ekisambi ekiweereddwayo n’ekifuba ekiwuubibwa, binaaleetebwa awamu n’amasavu ag’oku biweebwayo ebyokebwa, ne biwuubibwawuubibwa nga kye kiweebwayo ekiwuubibwa awali Mukama, era kinaabeeranga mugabo gwo awamu ne batabani bo emirembe gyonna; nga Mukama Katonda bw’alagidde.”

16 (AW)Awo Musa n’abuuliriza ebyali bifudde ku mbuzi ey’ekiweebwayo olw’ekibi, n’avumbula nga baagyokezza dda, n’anyiigira batabani ba Alooni abaali basigaddewo, Eriyazaali ne Isamaali, n’ababuuza nti, 17 (AX)“Lwaki ekiweebwayo ekyo olw’ekibi temwakiriiridde, wali awatukuvu? Kitukuvu nnyo. Kyabaweereddwa kiryoke kiggyiseeko abantu bonna ebibi byabwe, nga mmwe mubatangiririra awali Mukama Katonda. 18 (AY)Ng’omusaayi gwayo bwe gutaatwaliddwa munda mu Kifo Ekitukuvu, embuzi eyo ddala mwandigiriiridde awo awatukuvu nga bwe nabalagira.”

19 (AZ)Awo Alooni n’addamu Musa nti, “Laba, olwa leero bawaddeyo eri Mukama Katonda ekiweebwayo olw’ebibi byabwe n’ekiweebwayo kyabwe ekyokebwa; naye era ebintu nga bino ne bingwako. Mukama Katonda yandisanyuse singa leero ndidde ekiweebwayo olw’ekibi?” 20 Awo Musa bwe yawulira ebigambo ebyo n’amatira.

Matayo 25:31-46

Endiga n’Embuzi

31 (A)“Omwana w’Omuntu bw’alijja mu kitiibwa kye ne bamalayika bonna nga bali naye, alituula ku ntebe ey’ekitiibwa kye. 32 (B)Awo amawanga gonna galikuŋŋaanyizibwa mu maaso ge era aligaawulamu ng’omusumba bw’ayawulamu endiga n’embuzi. 33 Endiga aliziteeka ku mukono gwe ogwa ddyo n’embuzi ku gwa kkono.

34 (C)“Awo Kabaka n’alyoka agamba abali ku mukono gwe ogwa ddyo nti, ‘Mujje mmwe Kitange be yawa omukisa, musikire obwakabaka obwabateekerwateekerwa okuva ku kutondebwa kw’ensi. 35 (D)Kubanga nnali muyala ne mundiisa, nnali muyonta ne mumpa ekyokunywa, nnali mugenyi ne munnyaniriza, 36 (E)nnali bwereere ne munnyambaza, nnali mulwadde ne munnambula, nnali mu kkomera ne mujja okundaba.’

37 “Abatuukirivu ne bamubuuza nti, ‘Mukama waffe, twakulaba ddi ng’oli muyala ne tukuliisa? Oba ng’olina ennyonta ne tukuwa ekyokunywa? 38 Oba ng’oli mugenyi ne tukwaniriza? Oba ng’oli bwereere, ne tukwambaza? 39 Twakulaba ddi ng’oli mulwadde oba ng’oli mu kkomera ne tukulambula?’

40 (F)“Kabaka, alibaddamu nti, ‘Ddala ddala mbagamba nti bwe mwabikolera baganda bange bano abasembayo wansi kye kimu mwabikolera nze!’

41 (G)“Bw’atyo aligamba abo abali ku mukono gwe ogwa kkono nti, ‘Muveewo, mmwe abakolimire, mulage mu muliro ogutazikira ogwateekerwateekerwa Setaani ne bamalayika be. 42 Kubanga nnali muyala ne mutampa kyakulya, nnali muyonta ne mutampa kyakunywa, 43 nnali mugenyi ne mutannyaniriza, nnali bwereere ne mutannyambaza, nnali mulwadde ne mu kkomera ne mutajja kunnambula.’

44 “Nabo baliddamu nti, ‘Mukama waffe, twakulaba ddi ng’oli muyala oba ng’oli muyonta, oba ng’oli mugenyi oba ng’oli bwereere oba mulwadde oba ng’oli mu kkomera, ne tutakuyamba?’

45 (H)“Naye alibaddamu nti, ‘ddala ddala mbagamba nti, nga bwe mutaakikola omu ku bano abasembayo wansi, nange temwakinkola.’

46 (I)“Abo baligenda ku kibonerezo eky’emirembe n’emirembe, naye abatuukirivu baliyingira mu bulamu obutaggwaawo.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.