Old/New Testament
Dawudi ng’ali Adulamu n’e Mizupe
22 (A)Dawudi n’ava e Gaasi, n’addukira mu mpuku Adulamu. Baganda be n’ennyumba ya kitaawe bwe baakiwulira nti ali eyo, ne baserengeta okumusisinkana. 2 (B)N’abo bonna abaali abanaku, n’abaalina abababanja, n’abaali beetamiddwa, nga si bamativu, ne bakuŋŋaanira gy’ali, n’afuuka omukulembeze waabwe; abantu ng’ebikumi bina abaali naye.
3 Dawudi n’avaayo n’agenda e Mizupe mu Mowaabu, n’agamba kabaka wa Mowaabu[a] nti, “Nkusaba okkirize kitange ne mmange babeere naawe okutuusa bwe ndimanya Katonda ky’ayagala okunkolera.” 4 N’abaleka ne kabaka wa Mowaabu, ne babeera naye ebbanga lyonna Dawudi lye yabeera mu kifo ekyo.
5 (C)Naye nnabbi Gaadi n’alabula Dawudi nti, “Tobeera mu kifo ekyo, vaamu ogende mu nsi ya Yuda.” Awo Dawudi n’avaayo n’agenda mu kibira Keresi.
Sawulo Atta Bakabona b’e Nobu
6 (D)Sawulo n’awulira nti Dawudi n’abasajja be bazuuliddwa. Sawulo yali atudde wansi w’omumyulimu ku kasozi e Gibea ng’akutte effumu, nga n’abaserikale be bayimiridde okumwetooloola. 7 (E)Awo Sawulo n’abagamba nti, “Mumpulirize mmwe Ababenyamini. Mutabani wa Yese alibawa ennimiro n’ennimiro ez’emizabbibu? Mulowooza alibafuula abaduumizi b’enkumi n’abaduumizi b’ekikumi? 8 (F)Kyemuvudde mundyamu olukwe mwenna? Tewali n’omu ku mmwe eyantegeeza mutabani wange ng’akola endagaano ne mutabani wa Yese. Tewali n’omu ku mmwe afaayo okuntegeeza nga mutabani wange awagira omuweereza wange okunteega, nga bw’akoze leero.”
9 (G)Naye Dowegi Omwedomu eyali ayimiridde awamu n’abaserikale ba Sawulo n’ayogera nti, “Nalaba mutabani wa Yese ng’agenda eri Akimereki mutabani wa Akitubu e Nobu. 10 (H)Akimereki yamubuuliza eri Mukama, era n’amuwa n’ebikozesebwa n’ekitala kya Goliyaasi Omufirisuuti.”
11 Awo kabaka n’atumya kabona Akimereki mutabani wa Akitubu n’ennyumba ya kitaawe yonna, bakabona abaali e Nobu, bonna ne bajja eri kabaka. 12 Sawulo n’ayogera nti, “Wuliriza kaakano, mutabani wa Akitubu.”
N’addamu nti, “Mpuliriza mukama wange.”
13 (I)Sawulo n’amubuuza nti, “Lwaki weekobaana ne mutabani wa Yese, n’omuwa emigaati n’ekitala, n’omubuuliza n’eri Katonda, alyoke, anteege angolokokereko, nga bw’akoze leero?”
14 (J)Awo Akimereki n’addamu kabaka nti, “Ani ku baddu bo bonna eyenkana Dawudi, mukoddomi wa kabaka, omuduumizi wo ow’oku ntikko aduumira ekibinja ekikukuuma, era assibwamu ennyo ekitiibwa mu nnyumba yo? 15 Olowooza nti ku lunaku olwo gwe gwali omulundi ogusooka okumubuuliza eri Katonda? Nedda! Kabaka aleme okuvunaana omuweereza wo newaakubadde omuntu yenna ow’omu nnyumba ya kitange, kubanga omuweereza wo talina n’ekimu ky’amanyi ku nsonga eyo.”
16 Naye kabaka n’ayogera nti, “Mazima tooleme kufa, ggwe Akimereki, n’ennyumba ya kitaawo yonna.”
17 (K)Awo kabaka n’alagira abaserikale abaali bamuyimiridde okumpi, nti, “Mutte bakabona ba Mukama, kubanga nabo bassa kimu ne Dawudi. Baategeera ng’adduka, naye ne batantegeeza.”
Naye ne wataba n’omu ku baserikale ba kabaka eyayaŋŋanga okugolola omukono gwe okutta bakabona ba Mukama.
18 (L)Awo kabaka n’alyoka alagira Dowegi nti, “Ggwe bakkeeko obatte.” Awo Dowegi Omwedomu n’abakkako n’abatta, era olunaku olwo n’atta abasajja kinaana mu bataano abaayambalanga ekkanzu ey’obwakabona eza bafuta. 19 (M)N’atta n’ekitala abatuuze bonna ab’e Nobu, abasajja, n’abakazi, n’abaana abatoototo, n’abaana abawere, era n’ente, n’endogoyi, n’endiga ebyali mu kibuga kya bakabona.
20 (N)Naye Abiyasaali omu ku batabani ba Akimereki, muzzukulu wa Akitubu n’awona n’addukira eri Dawudi. 21 Abiyasaali n’ategeeza Dawudi nga Sawulo bwe yali asse bakabona ba Mukama. 22 (O)Awo Dawudi n’agamba Abiyasaali nti, “Namanya ku lunaku olwo, Dowegi Omwedomu bwe yaliiyo, nga ddala alibuulira Sawulo. Omusango gwange kubanga nze naleetera ennyumba ya kitaawo yonna okuttibwa. 23 (P)Sigala nange, totya, kubanga omusajja anoonya obulamu bwo anoonya n’obwange. Ojja kuba bulungi ng’oli wamu nange.”
Dawudi Awonya Keyira
23 (Q)Awo Dawudi bwe yategeezebwa nti, “Laba, Abafirisuuti balwana ne Keyira, era banyagulula amawuuliro,” 2 (R)ne yeebuuza ku Mukama nti, “Ŋŋende nnumbe Abafirisuuti abo?” Mukama n’amuddamu nti, “Genda olumbe Abafirisuuti owonye Keyira.” 3 Naye abasajja ba Dawudi ne bamugamba nti, “Wano mu Yuda tuli mu ntiisa. Naye ate bwe tuligenda e Keyira okulwanyisa Abafirisuuti, kiriba kitya?”
4 (S)Dawudi n’addayo nate okwebuuza ku Mukama. Mukama n’amuddamu nti, “Golokoka oserengete e Keyira, kubanga ŋŋenda kuwaayo Abafirisuuti mu mukono gwo.” 5 Awo Dawudi n’abasajja be ne balaga e Keyira, ne balwana n’Abafirisuuti, ne batwala ente zaabwe, era ne batta bangi ku bo. Dawudi n’awonya abatuuze b’e Keyira. 6 (T)Mu biro ebyo Abiyasaali mutabani wa Akimereki bwe yaddukira eri Dawudi e Keyira, yagenda ne kkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi.
Sawulo Ayigga Dawudi
7 Sawulo n’ategeezebwa nti Dawudi agenze e Keyira, n’ayogera nti, “Katonda awaddeyo Dawudi mu mukono gwange, kubanga Dawudi yesibiddeyo, bw’ayingidde mu kibuga ekiriko wankaaki ow’emitayimbwa.” 8 Awo Sawulo n’akuŋŋaanya amaggye ge gonna okweteekerateekera olutalo, n’aserengeta e Keyira okuzingiza Dawudi ne basajja be.
9 (U)Dawudi n’ategeera nga Sawulo ateekateeka okumukola akabi, n’agamba Abiyasaali kabona nti, “Leeta ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi wano.” 10 Awo Dawudi n’ayogera nti, “Ayi Mukama Katonda wa Isirayiri, omuweereza wo awuliridde ddala Sawulo bw’ateekateeka okujja okusaanyaawo ekibuga Keyira ku lwange. 11 Abatuuze b’e Keyira balimpaayo gy’ali? Era Sawulo anaaserengeta n’ajja, ng’omuweereza wo bw’awulidde? Ayi Mukama, Katonda wa Isirayiri, nkwegayiridde, tegeeza omuweereza wo.”
Mukama n’amugamba nti, “Aliserengeta.”
12 (V)Dawudi n’addamu n’abuuza nti, “Abasajja b’e Keyira balimpaayo nze n’abasajja bange eri Sawulo?”
Mukama n’amuddamu nti, “Balibawaayo gy’ali.” 13 (W)Awo Dawudi n’abasajja be, abawera nga lukaaga ne bava e Keyira, ne batambulatambulanga wano ne wali nga tebalina kifo kyankalakkalira. Sawulo bwe yategeezebwa nga Dawudi adduse okuva mu Keyira, n’atagendayo.
14 (X)Dawudi n’abeera mu bifo eby’eddungu, mu nsi ey’ensozi mu ddungu ery’e Zifu. Sawulo n’anoonyanga Dawudi buli lunaku, naye Katonda n’atamuwaayo mu mukono gwe. 15 Dawudi ng’ali mu ddungu ery’e Zifu mu kibira ky’e Kolesi, n’ategeera nga Sawulo amunoonya okumutta. 16 (Y)Awo Yonasaani mutabani wa Sawulo n’agenda eri Dawudi mu kibira, Kolesi, okumugumya mu Mukama. 17 (Z)N’amugamba nti, “Totya, kubanga kitange Sawulo talikukola kabi n’akamu. Gwe oliba kabaka wa Isirayiri, nze ne mbeera omumyuka wo, era n’ekyo kitange akimanyi.” 18 (AA)Awo bombi ne bakola endagaano mu maaso ga Mukama, n’oluvannyuma Yonasaani n’addayo ewuwe, Dawudi n’asigala mu kibira.
19 (AB)Awo ab’e Zifu ne bambuka eri Sawulo e Gibea ne bamutegeeza nti, “Okimanyi nga Dawudi yeekwese mu ffe mu kibira ky’e Kolesi, ku lusozi Kakira oluli ku luuyi olw’obukiikaddyo obwa Yesimoni? 20 (AC)Kaakano, ayi kabaka, serengeta mu bbanga lyonna ly’onoosiima, tujja kumuwaayo gy’oli.”
21 (AD)Sawulo n’abaddamu nti, “Mukama abawe omukisa, olw’okunkwatirwa ekisa. 22 Mugende mweyongere okwetegereza, mumanye, mulabe n’ebifo gy’atera okutambulira, n’abamulabayo, kubanga bantegeeza nti mujagujagu nnyo. 23 Noolwekyo munoonye mu bifo mwe yeekweka munkomezeewo amawulire amakakafu. Bw’anaabeera mu kitundu ekyo eky’ensi nnaagenda nammwe munoonye mu bika byonna ebya Yuda.”
24 (AE)Awo ne bagolokoka ne bakulemberamu Sawulo ne bagenda e Zifu. Mu biro ebyo Dawudi n’abasajja be baali mu ddungu ery’e Mawoni mu Alaba ku luuyi olw’obukiikaddyo obwa Yesimoni. 25 Awo Sawulo n’abasajja be ne bagenda okumunoonya. Dawudi n’akiwulira, kyeyava aserengeta awali olwazi mu ddungu ery’e Mawoni n’abeera eyo. Sawulo bwe yakiwulira n’agenda mu ddungu ery’e Mawoni okumunoonya.
26 (AF)Sawulo n’ayambukira ku luuyi olumu olw’olusozi, Dawudi ne basajja be ne bambukira ku luuyi olulala, nga banguwa okudduka Sawulo. Naye Sawulo ne basajja be bwe baali nga banaatera okuzingiza Dawudi n’abasajja be, 27 ne wajja omubaka eri Sawulo ng’agamba nti, “Yanguwako! Abafirisuuti balumbye ensi.” 28 Awo Sawulo n’alekayo okunoonya Dawudi, n’agenda okulwanyisa Abafirisuuti. Ekifo ekyo kyekyava kituumibwa Serakammalekosi. 29 (AG)Awo Dawudi n’avaayo n’agenda n’abeera mu bifo ebya Engedi.
Dawudi Asaasira Sawulo n’atamutta
24 (AH)Awo Sawulo bwe yakomawo ng’ava okugoba Abafirisuuti, ne bamutegeeza nti, “Dawudi ali mu ddungu erya Engedi.” 2 (AI)Sawulo n’alonda abasajja enkumi ssatu okuva mu Isirayiri yenna, n’agenda nabo okunoonya Dawudi n’abasajja be, ku luuyi olw’enjazi embulabuzi gye Zaabeeranga.
3 (AJ)Sawulo n’atuuka okumpi n’awaali ebisibo by’endiga ebyali ku mabbali g’ekkubo, n’alaba empuku, n’ayingira omwo okuwummulako. Dawudi n’abasajja be baali mu mpuku omwo mu bifo ebikomererayo. 4 (AK)Awo abasajja ba Dawudi ne bamugamba nti, “Luno lwe lunaku Mukama lwe yayogerako bwe yagamba nti, ‘Ndiwaayo omulabe wo mu mukono gwo, omukole nga bw’osiima.’ ” Dawudi n’asooba mpola n’asala ku kirenge ky’ekyambalo kya Sawulo.
5 (AL)Naye oluvannyuma Dawudi n’awulira okulumirizibwa mu mutima olw’okusala ku kirenge ky’ekyambalo kya Sawulo. 6 (AM)N’agamba abasajja be nti, “Kikafuuwe, nze okukola mukama wange ekintu ekifaanana bwe kityo, Mukama gwe yafukako amafuta, wadde okumugololerako omukono, kubanga Mukama yamufukako amafuta.” 7 N’ebigambo ebyo Dawudi n’aziyiza abasajja be n’atabakkiriza kulumba Sawulo. Awo Sawulo n’ava mu mpuku, n’agenda.
8 (AN)Oluvannyuma, Dawudi naye n’afuluma empuku, n’akoowoola Sawulo ng’ayogera nti, “Mukama wange kabaka!” Awo Sawulo n’akyuka n’atunula emabega, Dawudi n’avuunama n’akka wansi ne yeeyala ku ttaka. 9 Dawudi n’agamba Sawulo nti, “Lwaki owuliriza eŋŋambo z’abantu aboogera nti, ‘Dawudi amaliridde okukukola akabi?’ 10 Leero okirabye n’amaaso go, Mukama bw’akumpadde mu mukono gwange ng’oli mu mpuku. Wabaddewo ababadde banneegayirira nkutte, naye ne sibawuliriza. Nagambye nti, ‘Sijja kugolola mukono gwange ku mukama wange, kubanga Mukama yamufukako amafuta.’ 11 (AO)Kitange laba, akatundu ke naggye ku kirenge ky’ekyambalo kyo. Nasaze busazi ku kyambalo kyo naye ne sikutta. Kaakano kitegeere era okimanye nga sikusobyanga newaakubadde okukujeemera. Sinnakusobya newaakubadde ng’onjigganya okunzita. 12 (AP)Mukama alamule wakati wange naawe. Mukama akusasule ng’ebikolwa ebibi byonna by’onkoze bwe biri, naye nze siriyimusa mukono gwange ku ggwe. 13 (AQ)Ng’olugero olw’ab’edda bwe baalugera nti, ‘Mu babi mwe muva akabi,’ kyendiva sikuyimusiza mukono gwange. 14 (AR)Kabaka wa Isirayiri ajjiridde ani? Ani gw’oyigganya? Mbwa nfu oba nkukunyi? 15 (AS)Mukama atulamule, asalewo wakati wo nange. Mukama atunuulire ensonga yange andokole mu mukono gwo.”
16 (AT)Awo Dawudi bwe yamala okwogera ebigambo ebyo, Sawulo n’abuuza nti, “Eryo ddoboozi lyo, Dawudi mutabani wange?” Sawulo n’akuba ebiwoobe. 17 (AU)N’agamba Dawudi nti, “Ggwe oli mutuukirivu okunsinga, kubanga onsasudde bulungi, newaakubadde nga nze nkuyisizza bubi. 18 (AV)Leero ontegeezezza bw’onkoze obulungi, bw’otanzise ate nga Mukama yampaddeyo mu mukono gwo. 19 Omuntu bw’asiŋŋaana omulabe we, ayinza okumuganya okugenda nga tamutuusizzaako bisago? Kale Mukama akusasule bulungi olw’ekikolwa ky’onkoze leero. 20 (AW)Kaakano ntegeeredde ddala ng’onoobeera kabaka, era n’obwakabaka bwa Isirayiri bulinywezebwa mu mukono gwo. 21 (AX)Kale nno ndayirira eri Mukama, nga tolizikiriza bazzukulu bange newaakubadde okusaanyaawo erinnya lyange mu nnyumba ya kitange.”
22 (AY)Awo Dawudi n’alayirira Sawulo. Sawulo n’addayo ewuwe, naye Dawudi ne basajja be ne baddayo mu kifo gye baali beekwese.
Ebirabula n’Ebigumya
12 (A)Mu kiseera ekyo ekibiina ky’abantu bangi nnyo, ne bakuŋŋaana n’okulinnyaganako ne balinnyaganako. Awo Yesu n’akyukira abayigirizwa be, n’abalabula ng’agamba nti, “Mwekuume ekizimbulukusa bwe bannanfuusi bw’Abafalisaayo. 2 (B)Tewali ekyakisibwa ekitalimanyibwa, newaakubadde ekyakwekebwa ekitalizuulibwa. 3 Noolwekyo bye mwogeredde mu kizikiza biriwulirwa mu musana, n’ebyo bye mwogedde mu kaama, nga muli mu kisenge n’enzigi nga nzigale, bigenda kulangirirwa ku busolya bw’ennyumba.
4 (C)“Kaakano mikwano gyange, temubatyanga abo abatta omubiri, naye ne batabaako kirala kye bayinza kukola. 5 (D)Naye nzija kubalaga gwe musaanidde okutya. Mutyenga oyo alina obuyinza okutta ate n’okusuula mu ggeyeena. Weewaawo mbagamba nti oyo gwe musaanye okutyanga. 6 Enkazaluggya ettaano tezigula sente bbiri zokka? Naye Katonda tazeerabira wadde emu bw’eti. 7 (E)Era amanyi enviiri eziri ku mutwe gwo nga bwe zenkana obungi. Temutya kubanga mmwe muli ba muwendo nnyo okusinga enkazaluggya ennyingi.
8 (F)“Era mbategeeza nti buli anjatula mu maaso g’abantu, n’Omwana w’Omuntu, alimwatula mu maaso ga bamalayika ba Katonda. 9 (G)Naye oyo anneegaanira mu maaso g’abantu, n’Omwana w’Omuntu alimwegaanira mu maaso ga bamalayika ba Katonda. 10 (H)Na buli muntu alyogera ekigambo ku Mwana w’Omuntu alisonyiyibwa, naye oyo alivvoola Mwoyo Mutukuvu tagenda kusonyiyibwa.
11 (I)“Bwe banaabatwalanga mu makuŋŋaaniro, ne mu maaso g’abafuzi ne mu b’obuyinza temweraliikiriranga kye mulyogera mu kuwoza, 12 (J)kubanga Mwoyo Mutukuvu agenda kubawa eky’okwogera mu kiseera ekyo kyennyini.”
13 Awo omuntu omu mu kibiina n’avaayo n’agamba Yesu nti, “Omuyigiriza, gamba muganda wange angabanyize ku by’obusika bwaffe.”
14 Naye Yesu n’amuddamu nti, “Owange, ani eyanfuula omulamuzi wammwe oba ow’okubamaliranga empaka zammwe?” 15 (K)N’abagamba nti, “Mwekuume! Temululunkananga. Kubanga obulamu bw’omuntu tebugererwa ku bugagga bw’abeera nabwo.”
16 Awo n’abagerera olugero luno nti, “Waaliwo omusajja omugagga eyalina ennimiro n’abaza ebibala bingi. 17 N’alowooza munda mu ye ng’agamba nti, ‘Nnaakola ntya? Kubanga sirina we nnaakuŋŋaanyiza bibala byange?’
18 “Kwe kugamba nti, ‘Ntegedde kye nnaakola, nzija kumenyawo amawanika gange gano, nzimbewo agasingako obunene! Omwo mwe nnaakuŋŋaanyiza ebibala byange byonna n’ebintu byange. 19 Era nzija kugamba emmeeme yange nti, “Emmeeme, weeterekedde bingi mu mawanika go okukuyisa mu myaka mingi egijja. Wummula, olye, onywe era weesanyuse!” ’
20 (L)“Naye Katonda n’amugamba nti, ‘Musirusiru ggwe! Ekiro kino emmeeme yo eneekuggibwako. Kale ebyo bye weetegekedde binaaba by’ani?’
21 (M)“Bwe kityo bwe kiriba eri buli muntu eyeeterekera, so nga mwavu eri Katonda.”
Temweraliikiriranga
22 Awo Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, “Noolwekyo mbagamba nti, Temweraliikiriranga bya bulamu bwammwe oba mmere gye munaalya oba engoye ez’okwambala. 23 Kubanga omwoyo gusinga wala emmere n’omubiri gusinga ebyambalo. 24 (N)Mulowooze ku namuŋŋoona, tezisiga so tezikungula, era tezirina na mawanika mwe zitereka mmere yaazo, naye Katonda aziriisa. Naye mmwe muli ba muwendo nnyo okukira ennyonyi ezo! 25 Ani ku mmwe bwe yeeraliikirira, ayinza okwongerayo obulamu bwe akatundu n’akamu? 26 Obanga temusobola kukola kantu katono ng’ako, kale kikugasa ki okweraliikirira ebintu ebirala?
27 (O)“Mutunuulire amalanga bwe gakula! Tegategana wadde okulanga ewuzi z’engoye, naye mbategeeza nti ne Sulemaani mu kitiibwa kye kyonna teyagenkana mu kwambala. 28 (P)Kale, obanga Katonda ayambaza bw’atyo omuddo ogw’omu nsiko, ogw’ekiseera obuseera ogubaawo leero ate enkeera ne gwokebwa mu kyoto, naye ate talisingawo nnyo okwambaza mmwe ab’okukkiriza okutono! 29 Temunoonyanga kye munaalya oba kye munaanywa, era temweraliikiriranga n’akatono. 30 (Q)Kubanga ebintu ebyo byonna amawanga ge biyaayaanira, naye Kitammwe amanyi nga mubyetaaga. 31 (R)Naye munoonye obwakabaka bwe, n’ebintu ebyo mulibyongerwako.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.