Old/New Testament
Samwiri Anenya Sawulo
13 Sawulo yalina emyaka amakumi asatu we yaliira obwakabaka, n’afuga Isirayiri okumala emyaka amakumi ana. 2 (A)Sawulo yalonda abasajja enkumi ssatu okuva mu Isirayiri, enkumi ebbiri ku bo ne babeera naye e Mikumasi ku lusozi olw’e Beseri, n’abalala lukumi ne babeera ne Yonasaani e Gibea ekya Benyamini. Abasajja abalala bonna n’abasindika baddeyo ewaabwe. 3 (B)Yonasaani n’alumba olusiisira lw’Abafirisuuti eyali e Geba, Abafirisuuti ne bakiwulira. Awo Sawulo n’alagira, bafuuwe ekkondeere mu nsi yonna, ng’agamba nti, “Abaebbulaniya bawulire!” 4 (C)Awo Isirayiri yenna bwe baawulira nga Sawulo awambye olusiisira lw’Abafirisuuti, ate nga Isirayiri yali efuuse ekyenyinyalwa eri Abafirisuuti, abantu ne balagirwa okwegatta ku Sawulo e Girugaali.
5 (D)Abafirisuuti ne beekuŋŋaanya okulwana n’Abayisirayiri. Abafirisuuti baalina amagaali emitwalo esatu, n’abeebagala embalaasi kakaaga, n’abaserikale abeebigere ng’omuwendo gwabwe gwenkana ng’omusenyu ogw’oku nnyanja obungi. Ne bayambuka ne basiisira e Mikumasi, ku luuyi olw’ebuvanjuba olw’e Besaveni. 6 (E)Abasajja Abayisirayiri bwe baalaba ng’embeera yaabwe mbi nnyo, n’eggye lyabwe nga linnyigirizibwa omulabe, ne beekweka mu mpuku, ne mu bisaka ne mu njazi, ne mu binnya. 7 (F)Ne wabaawo n’abamu ku Baebbulaniya abaasomoka Yoludaani ne bagenda mu nsi ya Gaadi ne Gireyaadi.
Sawulo ye n’asigala e Girugaali, n’abaserikale bonna be yali nabo, naye nga bajjudde okutya. 8 (G)N’alinda okumala ennaku musanvu, ebbanga Samwiri lye yali amulaze, naye Samwiri n’atajjirawo e Girugaali, n’abasajja ba Sawulo ne batandika okumuvaako. 9 (H)Sawulo kyeyava ayogera nti, “Mundeetere wano ekiweebwayo ekyokebwa n’ekiweebwayo olw’emirembe.” N’awaayo ekiweebwayo ekyokebwa. 10 (I)Naye bwe yali yakamala okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa, Samwiri n’atuuka. Sawulo n’agenda okumwaniriza.
11 (J)Samwiri n’amubuuza nti, “Kiki kino ky’okoze?” Sawulo n’addamu nti, “Bwe nnalabye ng’abasajja batandise okusaasaana, ate nga tozze mu kiseera kye walaga, ate nga n’Abafirisuuti bakuŋŋaanira e Mikumasi, 12 (K)ne ndowooza nti, ‘Kaakano Abafirisuuti bagenda kukkirira okunnumba e Girugaali, nga sinnaba kwegayirira kufuna mukisa gwa Mukama, kyenvudde mpalirizibwa okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa.’ ”
13 (L)Samwiri n’agamba Sawulo nti, “Okoze kya busirusiru, obutakuuma kiragiro kya Mukama Katonda wo kye yakulagira. Singa wakikuumye, Mukama yandinywezezza obwakabaka bwo okufuga Isirayiri emirembe gyonna. 14 (M)Naye kaakano obwakabaka bwo tebuliba bwa lubeerera. Mukama anoonyezzaayo omusajja alina omutima ogumunoonya era amulonze okuba omukulembeze w’abantu be, kubanga tokuumye kiragiro kya Mukama.” 15 (N)Awo Samwiri n’ava e Girugaali n’ayambuka e Gibea mu Benyamini, Sawulo n’abala abasajja abaali naye, nga baawera nga lukaaga.
Ebbula ly’Ebyokulwanyisa mu Isirayiri
16 Sawulo ne mutabani we Yonasaani, n’abasajja abaali nabo baali basiisidde e Gebea ekya Benyamini, ate ng’Abafirisuuti bo basiisidde Mikumasi. 17 (O)Abalabe ne bava mu nkambi y’Abafirisuuti mu bibinja bisatu, ekimu ne kyolekera Yofula, mu nsi ya Suwaali, 18 (P)n’ekibinja ekirala ne kyolekera Besukolooni, n’ekyokusatu ne kyolekera ensalo etunuulidde ekiwonvu Zeboyimu okwolekera eddungu.
19 (Q)Mu nsi yonna eya Isirayiri temwali muweesi n’omu, kubanga Abafirisuuti baali baasalawo nti, “Si kulwa ng’Abaebbulaniya beeweeseza ebitala oba amafumu!” 20 Noolwekyo Abayisirayiri bonna baaserengetanga eri Abafirisuuti, okuwagala enkumbi zaabwe, n’ebiwabyo byabwe, n’embazzi zaabwe, ne najjolo zaabwe. 21 Baalinanga omuwendo gwe baasasulanga olw’okuwagala enkumbi ey’amannyo abiri n’ebiwabyo, nga gwa njawulo ku ogwo gwe baawangayo olw’okuwagala embazzi n’emiwunda.
22 (R)Era ku lunaku olw’olutalo tewaali muserikale n’omu ku baali ne Sawulo ne Yonasaani, eyalina ekitala wadde effumu, okuggyako Sawulo ne mutabani we Yonasaani[a]. 23 (S)Waaliwo ekibinja eky’Abafirisuuti ekyali kigenze mu kifo ekyayitibwanga Mikumasi.
Yonasaani Alumba Abafirisuuti
14 Lumu Yonasaani mutabani wa Sawulo n’agamba omuvubuka eyasitulanga ebyokulwanyisa bye nti, “Jjangu tugende ku ludda luli mu nkambi ey’Abafirisuuti.” Kyokka n’atabuulira kitaawe.
2 (T)Sawulo yali asiisidde ku njegoyego za Gibea wansi w’omukomamawanga mu Migulooni. Yalina abaserikale nga lukaaga; 3 (U)ku bo kwe kwali Akiya eyali ayambadde ekkanzu ey’obwakabona[b] nga ye mutabani wa Akitubu, muganda wa Ikabodi, mutabani wa Finekaasi, mutabani wa Eri, kabona wa Mukama mu Siiro. Tewali yamanya nti Yonasaani agenze.
4 (V)Ku buli ludda lw’ekkubo Yonasaani mwe yali ayagala okuyita okutuuka ku nkambi y’Abafirisuuti waaliyo enkonko empanvu, olumu nga luyitibwa Bozezi, n’olulala nga luyitibwa Sene. 5 Olukonko olumu lwali ku luuyi olw’obukiikakkono okwolekera Mikumasi, n’olulala nga luli ku luuyi olw’obukiikaddyo okwolekera Geba. 6 (W)Yonasaani n’agamba omuvubuka eyasitulanga ebyokulwanyisa bye nti, Jjangu tugende mu nkambi y’abasajja abo abatali bakomole, oboolyawo Mukama anaatukolera ekyamagero. Kubanga tewali kiyinza kuziyiza Mukama kulokola, ng’akozesa abangi oba abatono.
7 Omuvubuka n’amuddamu nti, “Kola nga bw’osiima. Genda mu maaso, nzisa kimu naawe, omutima gwange n’omwoyo gwange biri wamu naawe.” 8 Yonasaani n’alyoka ayogera nti, “Kale, tusomoke tugende eri abasajja, tubeerage. 9 Bwe banaatugamba nti, ‘Mutulindirire okutuusa lwe tunajja,’ kale tunaasigala we tuli, ne tutagenda gye bali. 10 (X)Naye bwe banaatugamba nti, ‘Mujje gye tuli,’ tunaayambuka, kubanga ako ke kanaaba akabonero gye tuli nti Mukama abagabudde mu mukono gwaffe.”
11 (Y)Awo bombi ne beeraga eri olusiisira lw’Abafirisuuti. Abafirisuuti ne boogera nti, “Mulabe, Abaebbulaniya batandise okuva mu binnya mwe baali beekwese.” 12 (Z)Abasajja ab’omu nkambi ne bakoowoola Yonasaani n’omuvubuka eyasitulanga ebyokulwanyisa bye nga boogera nti, “Mwambuke gye tuli, tubalage enkola.”
Awo Yonasaani n’agamba omuvubuka eyasitulanga ebyokulwanyisa bye nti, “Ngoberera twambuke kubanga Mukama abawaddeyo mu mukono gwa Isirayiri.”
13 Yonasaani n’alinnyalinnya, ng’ayavula nga n’omuvubuka eyasitulanga ebyokulwanyisa bye bw’amuvaako emabega. Yonasaani n’atta Abafirisuuti, n’omuvubuka eyasitulanga ebyokulwanyisa bye ng’amuvaako emabega naye n’atta abo abaali bawonyeewo. 14 Mu lulumba olwo olwasooka, Yonasaani n’omuvubuka eyasitulanga ebyokulwanyisa bye, batta abasajja amakumi abiri mu kibangirizi ekyenkana ekitundu kya eka.
Isirayiri Atta Abafirisuuti bangi
15 (AA)Awo ne waba okutya kungi nnyo mu ggye lyonna ery’Abafirisuuti abo abaali mu nkambi n’abaali ku ttale; era n’ab’omu bibinja ebirala n’ebibondo ebirumba n’ettaka ne likankana. Okukankana okwo kwava eri Katonda.
16 (AB)Abakuumi ba Sawulo abaali e Gibea mu Benyamini ne balaba ng’ekibinja kisaasaana okuddukira mu njuyi zonna. 17 Awo Sawulo n’alagira abasajja abaali naye nti, “Mubale abasajja bonna, mulabe ataliiwo.” Bwe baabala, ne bazuula nga Yonasaani n’eyasitulanga ebyokulyanyisa bye tebaliiwo.
18 (AC)Sawulo n’agamba Akiya nti, “Leeta essanduuko ya Katonda,” kubanga mu biro ebyo yali mu mikono gy’Abayisirayiri. 19 (AD)Awo Sawulo bwe yali ng’akyayogera ne kabona, akeegugungo ne keeyongera mu nkambi y’Abafirisuuti, n’agamba kabona nti, “Zaayo omukono gwo, ogira olindako.” 20 (AE)Awo Sawulo n’abasajja be ne beekuŋŋaanya ne bagenda mu lutalo, ne basanga ng’Abafirisuuti balwanagana bokka ne bokka, nga bafumitagana ebitala. 21 (AF)Abaebbulaniya abaabeeranga n’Abafirisuuti, abaali bagenze nabo mu nkambi, ne beegatta ku Bayisirayiri abaali ne Sawulo ne Yonasaani. 22 (AG)Awo Abayisirayiri bonna abaali beekwese mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu bwe baawulira ng’Abafirisuuti badduse, amangwago nabo ne beenyigira mu lutalo ne bannaabwe. 23 (AH)Mukama n’alokola Isirayiri ku lunaku olwo, olutalo ne lutuukira ddala e Besaveni.
Yonasaani Alya Omubisi gw’Enjuki
24 (AI)Ku lunaku olwo abasajja Abayisirayiri baali bajjudde ennaku nnyingi nnyo kubanga Sawulo yali abalayizza ng’agamba nti, “Akolimirwe oyo yenna anaalya akantu konna ng’obudde tebunnawungeera, nga sinnaba kwesasuza ku balabe bange.” Awo ne wataba n’omu ku baserikale akomba ku kantu.
25 Awo abantu bonna bwe baatuuka mu kibira ne balaba omubisi gw’enjuki ku ttaka. 26 Bwe beeyongerayo munda mu kibira ne basanga nga gutonnya, naye ne wataba n’omu agukombako kubanga baali batya ekirayiro kye baakola. 27 (AJ)Naye Yonasaani yali tawulidde nga kitaawe alayiza abantu, kyeyava addira omuggo gwe yalina n’annyika omusa gwagwo mu bisenge by’enjuki, n’agukombako, amaaso ge ne ganyirira n’addamu amaanyi. 28 Awo omu ku baserikale n’amugamba nti, “Kitaawo yatukuutidde n’atulayiza nti, ‘Omuntu yenna anaalya ku mmere leero akolimirwe.’ Era ekyo kye kireetedde abaserikale okuggwaamu amaanyi.” 29 (AK)Yonasaani n’ayogera nti, “Kitange aleetedde ensi yaffe emitawaana. Laba amaaso gange bwe ganyirira n’amaanyi gange bwe gakomyewo bwe nkombyeko ku mubisi guno ogw’enjuki. 30 Tekyandisinze nnyo leero singa abasajja baalidde ku munyago gw’abalabe baabwe? Era tebandisse Abafirisuuti abasinga awo obungi?”
31 (AL)Abayisirayiri we baamalira okutta Abafirisuuti okuva e Mikumasi okutuuka e Ayalooni nga bakooye nnyo. 32 (AM)Ne badda ku munyago, ne baddira endiga n’ente n’ennyana ne bazisalira wansi ku ttaka ne balya ennyama n’omusaayi gwayo. 33 Awo omuntu omu n’ategeeza Sawulo nti, “Abantu basobya ku Mukama kubanga balya ennyama erimu omusaayi.”
N’ayogera nti, “Musobezza nnyo. Munjiringisirize wano ejjinja eddene kaakano.” 34 Sawulo n’agamba nti, “Muyiteeyite mu bantu mubategeeze nti, ‘Buli omu ku mmwe aleete ente ye n’endiga ye muzittire wano era mu zirye. Temuddangayo okusobya ku Mukama nga mulya ennyama erimu omusaayi.’ ” Awo buli omu ku bo n’aleeta ente ye ekiro ekyo n’agisalira awo. 35 (AN)Sawulo n’azimbira Mukama ekyoto, era ekyo kye kyoto kye yasooka okuzimbira Mukama.
36 Awo Sawulo n’ayogera nti, “Tuserengete tugoberere Abafirisuuti ekiro kino tubanyage okutuusa emmambya lw’eneesala, era tuleme okulekawo wadde omu ku bo nga mulamu.” Ne bamuddamu nti, “Kola nga bw’osiima.”
Naye kabona n’ayogera nti, “Twebuuze ku Katonda wano.” 37 (AO)Awo Sawulo ne yeebuuza ku Katonda ng’agamba nti, “Ŋŋende nnumbe Abafirisuuti? Onoobagabula mu mukono gwa Isirayiri?” Naye Katonda n’atamuddamu ku olwo.
38 (AP)Sawulo kyeyava ayogera nti, “Mujje wano mmwe mwenna abakulembeze b’abantu, tunoonyereze tulabe ekibi ekikoleddwa leero. 39 (AQ)Nga Mukama alokola Isirayiri bw’ali omulamu, ne bwe kinaaba ku mutabani wange Yonasaani, ateekwa kufa.” Naye ne wataba n’omu amwanukula.
40 Awo Sawulo n’agamba Abayisirayiri bonna nti, “Muyimirire ku ludda olwo, nze ne mutabani wange Yonasaani tunaayimirira ku ludda luno.” Abantu ne bamuddamu nti, “Kola nga bw’onoosiima.”
41 Sawulo n’asaba Mukama Katonda wa Isirayiri nti, “Kiki ekikugaanye okuddamu omuweereza wo leero? Omusango bwe guba nga guli ku nze oba ku mutabani wange Yonasaani ddamu ne Wumimu, naye bwe guba nga guli ku bantu bo Isirayiri, onaddamu ne Sumimu.” Awo akalulu ne kakubibwa era ne kagwa ku Sawulo ne Yonasaani mutabani we. 42 Awo Sawulo n’ayogera nti, “Mutukubire akalulu nze ne mutabani wange Yonasaani.” Yonasaani n’alondebwa.
43 (AR)Sawulo n’abuuza Yonasaani nti, “Mbulira ky’okoze.” Yonasaani n’amutegeeza nti, “Nakombyeko katono ku mubisi gw’enjuki nga nkozesa omusa gw’omuggo gwange. Kaakano ekyo kinsanyiza okufa?” 44 (AS)Sawulo n’amuddamu nti, “Katonda ankole bw’atyo n’okukirawo bw’otoofe, Yonasaani!” 45 (AT)Naye abantu ne bagamba Sawulo nti, “Lwaki, Yonasaani akoze eby’amagero ebyo byonna mu Isirayiri afa? Ddala Yonasaani attibwe? Oyo aleetedde Isirayiri obununuzi obw’ekitalo? Nedda tekisoboka! Nga Mukama bw’ali omulamu, tewali luviiri na lumu lunaava ku mutwe gwe ne lugwa wansi, kubanga ebyo by’akoze leero Katonda y’amuyambye okubikola.” Abantu ne banunula Yonasaani bwe batyo, n’atattibwa. 46 Ne Sawulo n’alekeraawo okugoberera Abafirisuuti, nabo ne beddirayo mu nsi yaabwe.
47 (AU)Awo Sawulo bwe yalya obwakabaka bwa Isirayiri n’alwana n’abalabe be ku njuyi zonna: Mowaabu, n’Abamoni, ab’e Edomu, ne bakabaka ba Zoba, n’Abafirisuuti, na buli we yaddanga n’abawangula. 48 (AV)N’alwana n’obuzira bungi n’awangula Abamaleki, n’anunula Isirayiri okuva mu mukono gw’abo abaabanyaganga.
Enju ya Sawulo
49 (AW)Batabani ba Sawulo baali Yonasaani, ne Isuvi, ne Malukisuwa. Amannya ga bawala be ababiri gaali Merabu nga ye mukulu, ate omuto nga ye Mikali. 50 Omukyala we ye yali Akinoamu muwala wa Akimaazi. Omuduumizi w’eggye lye omukulu ye yali Abuneeri mutabani wa Neeri, taata wa Sawulo omuto. 51 (AX)Kiisi kitaawe wa Sawulo ne Neeri kitaawe wa Abuneeri baali batabani ba Abiyeeri. 52 (AY)Mu biro byonna ebya Sawulo, waaliwo okulwanagana okw’amaanyi n’Abafirisuuti, era buli Sawulo bwe yalabanga omusajja ow’amaanyi oba omuzira n’amuyingiza mu magye.
Yesu Atuma Abayigirizwa Ensanvu
10 (A)Awo oluvannyuma lw’ebyo Yesu n’alonda abayigirizwa abalala nsanvu mu babiri[a], n’abatuma babiri babiri bamukulembere bagende mu buli kibuga ekinene, na buli kifo mwe yali anaatera okutuuka. 2 (B)N’abagamba nti, “Eby’okukungula bingi, naye abakozi abakungula batono. Noolwekyo musabe nannyini nnimiro, aweereze abakozi mu nnimiro ye. 3 (C)Kale, mugende. Kyokka mbatuma ng’abaana b’endiga mu misege. 4 Temugenda na nsimbi era temutwala nsawo ya kusabiriza wadde omugogo gw’engatto, ate temubaako gwe mulamusa mu kkubo.
5 “Buli nnyumba gye muyingirangamu musookanga kugamba nti, ‘Emirembe gibeere mu nnyumba eno.’ 6 Ennyumba eyo bw’eneebangamu omuntu ow’emirembe, emirembe gyammwe ginaabeeranga ku ye, bwe kitaabenga bwe kityo, emirembe gyammwe ginaabaddiranga. 7 (D)Mu nnyumba omwo, mwe musookedde, munaalyanga era ne munywa nabo, kubanga omukozi asaanira empeera ye. Temuvanga mu nnyumba emu ne mudda mu ndala.
8 (E)“Buli kibuga kye mutuukangamu ne babaaniriza, mulyenga ebyo bye babawadde okulya. 9 (F)Muwonyenga abalwadde abalimu, era mugambenga abantu abo nti, ‘Obwakabaka bwa Katonda bubasemberedde.’ 10 Naye bwe muyingiranga mu kibuga kyonna ne batabaaniriza, mulaganga mu nguudo zaakyo ne mugamba nti, 11 (G)‘N’enfuufu ekwatidde ku bigere byaffe tugibakunkumulira. Naye mumanye kino nti obwakabaka bwa Katonda busembedde.’ 12 (H)Mbategeeza nti ku lunaku luli, Sodomu kigenda kugumiikirizika okusinga ekibuga ekyo.
13 (I)“Zikusanze, ggwe Kolaziini! Naawe zikusanze, Besusayida! Kubanga ebyamagero ekyakolerwa mu mmwe, singa byakolerwa mu Ttuulo ne mu Sidoni, abantu baamu bandibadde beenenya dda, nga bambadde n’ebibukutu nga batudde mu vvu okulaga nti beenenyezza. 14 Naye Ttuulo ne Sidoni birisaasirwa okusinga mmwe ku lunaku olw’okusalirako omusango. 15 (J)Ate ggwe Kaperunawumu, oligulumizibwa okutuuka mu ggulu? Nedda, ogenda kuserengesebwa wansi emagombe.
16 (K)“Buli abawuliriza mmwe aba awulirizza Nze, na buli abanyooma aba anyoomye Nze, n’oyo anyooma Nze aba anyoomye eyantuma.”
17 (L)Awo abayigirizwa ensavu mu ababiri bwe baakomawo, nga basanyuka ne bategeeza Yesu nti, “Mukama waffe, ne baddayimooni baatugondera mu linnya lyo.”
18 (M)Yesu n’abagamba nti, “Nalaba Setaani ng’agwa okuva mu ggulu ng’okumyansa kw’eraddu! 19 (N)Laba mbawadde obuyinza okulinnya ku misota ne ku njaba ez’obusagwa n’okuwangula amaanyi gonna ag’omulabe. Era tewali kigenda kubakola kabi. 20 (O)Naye temusanyuka nnyo kubanga baddayimooni babagondera, wabula mujaguze nti amannya gammwe gawandiikiddwa mu ggulu.”
21 (P)Mu kiseera ekyo Yesu n’ajjula essanyu ku bwa Mwoyo Mutukuvu n’agamba nti, “Nkutendereza Kitange, Mukama w’eggulu n’ensi, kubanga wakweka ebintu bino abagezi n’abayivu, naye n’obibikkulira abaana abato. Weewaawo Kitange, bw’otyo bwe wasiima.
22 (Q)“Kitange yankwasa ebintu byonna. Tewali amanyi Mwana wabula Kitange, era tewali amanyi Kitange wabula Omwana awamu n’abo Omwana b’asiima okubamubikkulira.”
23 Awo n’akyukira abayigirizwa be n’abagamba mu kyama nti, “Mulina omukisa mmwe okulaba bino bye mulaba. 24 (R)Kubanga mbagamba nti, bannabbi bangi ne bakabaka bangi abaayagala okulaba bye mulaba n’okuwulira bye muwulira naye tekyasoboka.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.