Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Old/New Testament

Each day includes a passage from both the Old Testament and New Testament.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Okuva 16-18

Maanu n’Obukwale

16 (A)Awo abaana ba Isirayiri, nga kibiina kinene, ne basitula okuva mu Erimu; ne batuuka mu ddungu lya Sini, eriri wakati wa Erimu ne Sinaayi, nga baakamala emyezi ebiri n’ennaku kkumi na ttaano kasookedde bava mu nsi y’e Misiri. (B)Nga bali mu ddungu eryo, ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri ne kyemulugunyiza Musa ne Alooni. (C)Abaana ba Isirayiri ne babagamba nti, “Singa twasigala mu nsi y’e Misiri, Mukama n’atuttira eyo n’omukono gwe! Kubanga eyo twalyanga sefuliya z’ennyama, n’emmere nnyingi nga bwe twayagalanga, ne tukkuta; naye kaakano mutuleese mu ddungu lino, ekibiina kino kyonna kife enjala.”

(D)Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Nzija kubatonnyeseza emmere ng’eva mu ggulu. Abantu banaakuŋŋaanyanga buli lunaku ekitundu eky’olunaku olwo; ndyoke mbagezese ndabe obanga banaakwatanga amateeka gange, oba tebaagakwatenga. (E)Ku lunaku olw’omukaaga bwe banaabanga bakuŋŋaanya emmere ey’olunaku olwo, bakuŋŋaanyanga eyenkanaankana n’ey’ennaku bbiri.”

(F)Awo Musa ne Alooni ne bagamba abaana ba Isirayiri bonna nti, “Obudde nga buwungeera, we munaategeerera nga Mukama ye yabaggya mu nsi y’e Misiri: (G)ate enkya lwe munaalaba ekitiibwa kya Mukama, kubanga awulidde nga mumwemulugunyiza. Kubanga naffe ffe b’ani mmwe okutwemulugunyiza?” (H)Musa n’ayongera okubagamba nti, “Mujja kwongera okutegeera Mukama, olweggulo nga buwungeera bw’anaabawa ennyama ne mulya, ate enkya n’abawa emmere ebamala: kubanga Mukama awulidde nga mumwemulugunyiza. Naffe ffe b’ani? Temwemulugunyiza ffe, wabula Mukama.”

Awo Musa n’agamba Alooni nti, “Tegeeza ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri nti, ‘Musembere awali Mukama, kubanga awulidde okwemulungunya kwammwe!’ ”

10 (I)Awo olwatuuka, Alooni bwe yali ng’akyategeeza ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri, ne batunula mu ddungu; era, laba, ekitiibwa kya Mukama ne kirabikira mu kire. 11 Mukama n’ayogera ne Musa, ng’agamba nti, 12 (J)“Mpulidde okwemulugunya kw’abaana ba Isirayiri. Bagambe nti, ‘Obudde nga buwungeera munaalya ennyama, n’enkya munakkusibwa emmere. Bwe mutyo munaategeera nga nze Mukama Katonda wammwe.’ ”

13 (K)Obudde nga buwungeera enkwale ne zijja ne zijjula olusiisira; ne mu makya ne wabaawo omusulo ku ttaka mu lusiisira. 14 (L)Omusulo nga gwamuse ng’obudde bukaze, laba, ku ttaka ne kulabikako obuntu obutono obwekulungirivu obufaanana ng’omusulo ogukutte olw’obunnyogovu obungi. 15 (M)Abaana ba Isirayiri bwe baabulaba ne beebuzaganya nti, “Kiki kino?” Kubanga baali tebakimanyi. Musa n’abategeeza nti, “Eno ye mmere Mukama gy’abawadde okulya. 16 (N)Mukama alagidde bw’ati nti, ‘Buli muntu akuŋŋaanye gy’anaamalawo. Buli muntu ali mu weema zammwe mumukuŋŋaanyize kilo bbiri.’ ”

17 Abaana ba Isirayiri ne bakola nga bwe baalagirwa; abamu ne bakuŋŋaanya nnyingi, n’abalala ntono. 18 (O)Bwe baagipimiranga mu kabakuli aka oma, ze lita ebbiri, oyo eyali akuŋŋaanyizza ennyingi teyasukkirizanga, n’oyo ow’entono nga teyeeseera. Buli muntu yakuŋŋaanyanga ng’okwetaaga kwe bwe kwabanga.

19 (P)Musa n’abagamba nti, “Tewabaawo omuntu n’omu agifissaako okutuusa enkeera.” 20 Kyokka abamu Musa tebaamufaako; ne beeterekerako okutuusa enkeera; n’ezaala envunyu, era n’ewunya. Musa n’abasunguwalira.

21 Buli nkya ne bakuŋŋaanyanga buli omu gye yayinzanga okulya nga anaagimalawo; naye akasana bwe kaayakanga nga kakazizza, n’esaanuuka.

Emmere y’oku Ssabbiiti

22 (Q)Awo ku lunaku olw’omukaaga ne bakuŋŋaanya emmere ya mirundi ebiri, ze kilo nnya buli muntu; abakulembeze bonna mu kibiina ne bajja ne bategeeza Musa. 23 (R)N’abagamba nti, “Mukama yalagidde bw’ati nti, ‘Enkya lunaaba lunaku lwa kuwummula, ye Ssabbiiti ya Mukama Entukuvu. Leero mwokye emmere yammwe gye mwetaaga okwokya, era mufumbe gye mwagala okufumba; eneeba esigaddewo mugyeterekere okutuusa enkya.’ ”

24 Bwe batyo ne bagyeterekera okutuusa enkeera, nga Musa bwe yabalagira; n’etewunya wadde okuzaala envunyu. 25 Musa n’abagamba nti, “Eyo mugirye leero, kubanga leero ye Ssabbiiti ya Mukama, ku ttaka temujja kusangako mmere. 26 (S)Mu nnaku omukaaga mujjanga kugikuŋŋaanya, naye ku lunaku olw’omusanvu, olwa Ssabbiiti, emmere teebeerengawo.”

27 Naye era abamu ku bantu baafuluma ku lunaku olw’omusanvu bagikuŋŋaanye, naye tebaasangayo kantu. 28 (T)Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Mulituusa ddi nga mukyajeemera ebiragiro byange? 29 Mutegeere nga Mukama abawadde Ssabbiiti; ku lunaku olw’omukaaga kyava abawa emmere ya nnaku bbiri. Buli muntu abeerenga mu maka ge nga tafulumye n’akatono ku lunaku olw’omusanvu.” 30 Abantu bwe batyo ne bawummula ku lunaku olw’omusanvu.

31 (U)Ab’omu nnyumba ya Isirayiri, emmere eyo ne bagiyitanga maanu. Yali efaanana ng’akasigo ka koliyanda, nga njeru; ng’ewoomerera ng’obusukuuti obufumbiddwa n’omubisi gw’enjuki. 32 Musa n’agamba nti, “Mukama alagidde bw’ati nti, ‘Muddire akabakuli aka kilo bbiri mukajjuze maanu mugiterekere ab’emirembe egigenda okujja; balyoke balabe ku mmere gye nabaliisanga mu ddungu, bwe nabaggya mu nsi y’e Misiri.’ ”

33 (V)Musa n’agamba Alooni nti, “Ddira akabakuli osseemu maanu ejjuza oma, ze lita bbiri, obungi, ogisse awali Mukama, eterekerwe ab’emirembe egigenda okujja.”

34 (W)Bw’atyo Alooni n’ateeka maanu awali Endagaano, ekuumirwe awo, nga Mukama bwe yalagira Musa. 35 (X)Abaana ba Isirayiri ne balya maanu okumala emyaka amakumi ana, okutuusa lwe baatuuka mu nsi omuli abantu. Baalya maanu[a] okutuusa lwe baatuuka ku nsalo ya Kanani.

36 Oma[b] emu yenkana kimu kya kkumi ekya efa.[c]

Amazzi Agaava mu Lwazi

17 (Y)Awo ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri ne kisitula okuva mu ddungu lya Sini, ne batambula ng’ekiragiro kya Mukama bwe kyali. Ne bakuba eweema zaabwe mu Lefidimu, naye nga tewaliiwo mazzi bantu ge banaanywa. (Z)Abantu ne bayombesa Musa nga bagamba nti, “Tuwe amazzi tunywe.” Musa n’abaddamu nti, “Lwaki munnyombesa? Lwaki mugezesa Mukama?”

(AA)Naye abantu ennyonta y’amazzi n’ebaluma, ne beemulugunyiza Musa. Ne bagamba nti, “Lwaki watuggya mu Misiri, ennyonta okututtira wano, ffe n’abaana baffe n’ebisibo byaffe?”

(AB)Musa n’akaabira Mukama nti, “Abantu bano mbakole ntya? Baabano baagala kunkuba mayinja.”

(AC)Mukama n’addamu Musa nti, “Abantu abo bakulembere, otwale ne ku bakulembeze ba Isirayiri; n’omuggo gwo gwe wakubisa ku mugga genda nagwo ng’ogukutte mu mukono gwo, mutambule. (AD)Nange nzija kukwesooka mu maaso nyimirire ku lwazi e Kolebu, onookuba olwazi ne muvaamu amazzi abantu banywe.” Musa n’akola bw’atyo nga n’abakulembeze ba Isirayiri balaba. (AE)Ekifo ekyo n’akituuma erinnya Masa ne Meriba, olw’okuyomba kw’abaana ba Isirayiri, n’olw’okugezesa Mukama nga bagamba nti, “Mukama waali mu ffe oba taliiwo?”

Olutalo Abayisirayiri lwe Baasooka Okulwana

(AF)Awo Abamaleki[d] ne bajja balwane ne Isirayiri mu Lefidimu. (AG)Musa n’agamba Yoswa nti, “Tuyunguliremu abasajja bagende balwanyise Abamaleki. Enkya nzija kuyimirira ku ntikko y’olusozi nga nkutte omuggo gwa Katonda mu mukono gwange.”

10 (AH)Yoswa n’akola nga Musa bwe yamulagira, n’alwana n’Abamaleki. Musa ne Alooni ne Kuli ne bambuka ku ntikko y’olusozi. 11 (AI)Musa bwe yawanikanga emikono gye, Abayisirayiri nga bagoba, naye bwe yagissanga, nga Abamaleki bagoba. 12 Emikono gya Musa ne gitandika okumufuuyirira. Alooni ne Kuli ne bamuleetera ejjinja, n’atuula okwo; ne bawanirira emikono gye, omu ng’ali ku ludda olumu, ne munne ku ludda olulala, emikono gye olwo ne ginywerera waggulu okutuusa enjuba lwe yagwa. 13 Yoswa n’awangula Abamaleki ng’akozesa obwogi bw’ekitala.

14 (AJ)Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Kino kiwandiike mu kitabo kiryoke kijjukirwenga ennaku zonna, era Yoswa asaana akimanye, kubanga Abamaleki ŋŋenda kubasangulirawo ddala ku nsi.”

15 Musa n’azimbawo ekyoto n’akituuma erinnya Mukama ye Bendera Yange. 16 N’agamba nti, “Kubanga Mukama alayidde okulwanyisa Abamaleki emirembe gyonna.”

Yesero Akyalira Musa

18 (AK)Yesero, kabona w’e Midiyaani, era kitaawe wa mukyala wa Musa, n’awulira byonna Katonda bye yakolera Musa n’abantu be, Abayisirayiri; era nga Mukama yaggya Isirayiri mu Misiri. (AL)Ye yalabiriranga Zipola, mukyala wa Musa; kubanga Musa yali amuzzizza ewaabwe ng’amumulekedde, (AM)ne batabani be babiri. Mutabani we omu yamutuuma Gerusomu, kubanga Musa yagamba nti, “Mbadde mugwira mu nsi etali yange;” (AN)n’erinnya ly’omulala lyali Eryeza, kubanga yagamba nti, “Katonda wa kitange ye yali omubeezi wange, era n’amponya ekitala kya Falaawo.”

(AO)Yesero, mukoddomi wa Musa, n’ajja ne batabani ba Musa ne mukyala we eri Musa mu ddungu, we yali asiisidde okuliraana olusozi lwa Katonda. Yesero yali amutumidde nti, “Nze Yesero mukoddomi wo, nzija okukulabako. Ndi ne mukyala wo ne batabani be bombi.” (AP)Awo Musa n’afuluma n’agenda okwaniriza mukoddomi we; n’akutamako ng’amulamusa, n’amugwa mu kifuba. Ne balamusaganya, n’oluvannyuma ne bayingira mu weema. (AQ)Musa n’anyumiza mukoddomi we ebyo byonna Mukama bye yakola Falaawo n’Abamisiri ng’abalanga Isirayiri; n’ebizibu ebyabatuukako mu lugendo lwabe, ne Mukama nga bwe yabibawonya.

Yesero n’asanyuka nnyo okuwulira ebirungi ebyo byonna Mukama bye yakolera Isirayiri, ng’abanunula ku Bamisiri. 10 (AR)Yesero n’agamba nti, “Mukama atenderezebwe eyabanunula mu mikono gy’Abamisiri ne mu mukono gwa Falaawo, n’aggya abantu be mu mikono gy’Abamisiri. 11 (AS)Kaakano ntegedde nga Mukama mukulu wa kitiibwa okukira bakatonda bonna, kubanga yanunula abantu be mu mikono gyabo abaali babeeragirako.” 12 (AT)Awo Yesero, mukoddomi wa Musa, n’awaayo eri Katonda ekiweebwayo ekyokye ne ssaddaaka endala; Alooni n’abakulembeze ba Isirayiri bonna ne balya ne mukoddomi wa Musa emmere mu maaso ga Katonda.

Okulonda Abalamuzi

13 Awo bwe bwakya enkya, Musa n’atuula ku ntebe ye okulamula abantu. Abantu ne bamwetooloola okuva enkya okutuusa akawungeezi. 14 Mukoddomi we bwe yalaba Musa bye yali akolera abantu, n’amugamba nti, “Kiki kino ky’okola? Lwaki olamula bw’omu, abantu bano bonna ne bayimirira okukwetooloola okuva ku nkya okutuusa akawungeezi?” 15 (AU)Musa n’addamu mukoddomi we nti, “Kubanga abantu bajja gye ndi bategeere Katonda by’ayagala. 16 (AV)Buli lwe babeera n’obutakkiriziganya, bajja gye ndi, ne mbasalirawo, era ne mbategeeza amateeka ga Katonda n’ebiragiro bye.”

17 Mukoddomi wa Musa n’amugamba nti, “Ky’okola si kirungi. 18 (AW)Ggwe, n’abantu bano bonna abajja gy’oli, mujja kukoowa nnyo. Kubanga omulimu guno munene nnyo; tosobola kugukola bw’omu. 19 (AX)Nkusaba ompulirize nkusalire ku magezi, ne Katonda ng’ali naawe. Osaana obeere omubaka w’abantu ewa Katonda, era omutuusengako ensonga zaabwe. 20 (AY)Bayigirize amateeka n’ebiragiro, era obalage nga bwe basaana okweyisanga, awamu n’emirimu gye basaanidde okukola. 21 (AZ)Londayo abasajja abalina ebisaanyizo, ng’obaggya mu bantu bonna, abasajja abatya Katonda, ab’amazima era abatalya nguzi; obawe obukulembeze, ng’abamu bavunaanyizibwa abantu enkumi, n’abalala abantu ebikumi, n’abamu ebibiina eby’ataano n’abalala eby’ekkumi kkumi. 22 (BA)Bawe obuyinza okulamulanga abantu ebbanga lyonna, naye ng’emisango emizibu bagikuleetera, emisango emyangu bo bagisalenga. Ekyo kinaawewulanga ku buzito bw’omugugu gwo, kubanga banaabanga bagukukwatirako. 23 Singa okola bw’otyo, nga ne Katonda bw’akulagidde, ojja kusobola okugumira emirimu egyo, era n’abantu bano bonna balyoke baddeyo ewaabwe nga basanyuse.”

24 Musa bw’atyo n’awuliriza amagezi gonna mukoddomi we ge yamuwa, n’akolera ku ebyo byonna bye yamubuulirira. 25 (BB)Musa n’alonda mu Isirayiri yonna abasajja abasobola, n’abafuula abakulembeze b’abantu; nga bavunaanyizibwa enkumi, n’abalala ebikumi, n’abamu amakumi ataano ataano, n’abalala kkumi kkumi. 26 (BC)Ne balamula abantu ebbanga lyonna. Emisango emizibu nga bagireetera Musa, naye emyangu nga bagisala.

27 (BD)Awo Musa n’asiibula mukoddomi we, mukoddomi we n’akwata ekkubo ne yeddirayo mu nsi y’ewaabwe.

Matayo 18:1-20

Omukulu mu Bwakabaka obw’Omu Ggulu

18 Mu kiseera ekyo abayigirizwa ba Yesu ne bajja gy’ali nga bagamba nti, “Ani asinga obukulu mu bwakabaka obw’omu ggulu?”

Yesu n’ayita omwana omuto n’amussa mu makkati gaabwe. (A)N’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti bwe mutakyuke kufaanana ng’abaana abato temugenda kuyingira mu bwakabaka obw’omu ggulu. (B)Noolwekyo buli eyeetoowaza ng’omwana ono omuto y’aliba asinga obukulu mu bwakabaka obw’omu ggulu.

(C)“Na buli asembeza omwana omuto ng’ono mu linnya lyange ng’asembeza Nze. (D)Naye alyesittaza omu ku baana abato anzikiririzaamu, asaanidde okusibibwa olubengo mu bulago asuulibwe mu nnyanja.”

(E)“Ensi zigisanze! Kubanga ejjudde ebibi bingi. Okukemebwa okukola ebibi tekulema kubaawo, naye zimusanze oyo akuleeta. (F)Obanga omukono gwo gukuleetera okwonoona gutemeko ogusuule. Kisinga okuyingira mu bulamu ng’ogongobadde oba ng’olemadde, okusinga okugenda mu muliro ogutazikira ng’olina emikono ebiri n’ebigere bibiri. (G)Obanga eriiso lyo nga likuleetera okwonoona, liggyeemu olisuule. Kisinga okuyingira mu ggulu ng’olina eriiso limu okusinga okusuulibwa mu muliro gwa ggeyeena ng’olina amaaso go gombi.”

Olugero lw’Endiga Eyabula

10 (H)“Mwekuume obutanyoomanga n’omu ku baana bano abato. Kubanga mbagamba nti bamalayika baabwe ennaku zonna babeera mu maaso ga Kitange ali mu ggulu. 11 Kubanga Omwana w’Omuntu yajja okulokola ekyabula[a].

12 “Mulowooza kiki ekituufu? Omuntu bw’aba n’endiga ze ekikumi, emu n’emubulako, taleka ziri ekyenda mu omwenda ku lusozi n’agenda anoonya eri emu ebuze? 13 Ddala ddala mbagamba nti, bw’agiraba agisanyukira nnyo okusinga ziri ekyenda mu omwenda ezitaabuze. 14 Kale bwe kityo ne Kitammwe ali mu ggulu tasiima kulaba ng’omu ku bato bano ng’azikirira.”

Owooluganda Okusonyiwa Muganda we

15 (I)“Muganda wo bw’akusobyanga ogendanga gy’ali n’omutegeeza ekisobyo kye nga muli babiri. Bw’akkirizanga n’akwetondera olwo ng’oggyeemu omuntu mu muganda wo. 16 (J)Naye bw’agaananga okukuwuliriza, ofunangayo omuntu omulala omu oba babiri obujulirwa bw’abantu ababiri oba abasatu bukakase buli kigambo. 17 (K)Naye bw’agaananga okubawuliriza ng’ensonga ozitwala eri Ekkanisa. Singa agaana okuwuliriza Ekkanisa, abeere nga munnaggwanga, era omuwooza w’omusolo.

18 (L)“Ddala ddala mbagamba nti byonna bye mulisiba ku nsi, ne mu ggulu birisibwa ne bye mulisumulula ku nsi, ne mu ggulu bigenda kusumululwa.

19 (M)“Era ddala ddala mbagamba nti bwe munaabanga babiri mu nsi ne mukkiriziganya ku ekyo kye mwagala okusaba, Kitange ali mu ggulu alikibakolera. 20 Kubanga abantu ababiri oba abasatu bwe banaakuŋŋaananga mu linnya lyange, nange nnaabeeranga awo wakati waabwe.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.