Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Old/New Testament

Each day includes a passage from both the Old Testament and New Testament.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Ezeekyeri 42-44

42 (A)Awo omusajja n’ankulemberamu n’antwala mu luggya ebweru ku luuyi olw’Obukiikakkono, n’antwala mu bisenge eby’ekizimbe ekyayolekera oluggya lwa yeekaalu era ekyayolekera bbugwe ku luuyi olw’Obukiikakkono. Ekizimbe ekyo ekyaliko omuzigo ogwolekedde Obukiikakkono, kyali mita amakumi ataano obuwanvu, n’obugazi mita amakumi abiri mu ttaano. (B)Ekizimbe ekyo kyalina ennyumba bbiri. Ennyumba emu yali eyolekera oluggya olw’omunda oluli mita kkumi obugazi. Ennyumba endala n’eyolekera oluggya olw’ebweru. Ennyumba zombi zazimbibwa nga za kalina ssatu, nga zoolekaganye. (C)Wakati w’ennyumba ezo ebbiri, waaliwo olukuubo mita ttaano obugazi, n’obuwanvu mita amakumi ataano. Enzigi ez’ennyumba eyolekera oluggya olw’omunda zaayolekera Obukiikakkono. Ebisenge ebya waggulu byali bifunda okusinga ebibiri wansi, kubanga olubalaza olwa waggulu lwatwala ekifo kinene okusinga ku myaliiro egya wansi n’egya wakati mu kizimbe. Oluggya lwalina empagi naye ebisenge ebyali ku mwaliiro ogwokusatu tebyalimu mpagi, noolwekyo byali bitono okusinga ebyali ku mwaliiro ogwa wansi ne ku mwaliiro ogwa wakati. Waaliwo ekisenge eky’ebweru ekyali kigatta ennyumba zombi ez’ekizimbe, obuwanvu mita amakumi abiri mu ttaano. Olubu lw’ebisenge olw’ennyumba eri ku luuyi oluliraanye oluggya olw’ebweru obuwanvu bwali mita amakumi abiri mu ttaano, ate n’olubu lw’ebisenge olw’ennyumba ku luuyi olusinga okuliraana yeekaalu obuwanvu bwali mita amakumi ataano. (D)Ebisenge ebya wansi byaliko omulyango ku luuyi olw’ebuvanjuba ogufuluma mu luggya olw’ebweru.

10 (E)Ku luuyi olw’Obukiikaddyo obwa yeekaalu, waliwo ekizimbe ekyalina ennyumba bbiri ezaali wakati w’oluggya olwa yeekaalu, ne bbugwe. 11 Waaliwo olukuubo wakati w’ennyumba zombi. Zaafaanana ng’ennyumba ez’oku luuyi olw’Obukiikakkono, ng’obuwanvu n’obugazi bwazo, n’emiryango nga bya bipimo ebyenkanankana n’eby’Obukiikakkono. 12 Emiryango gy’ebisenge eby’Obukiikaddyo gyali gifaanana n’emiryango gy’ebisenge eby’Obukiikakkono. Ekizimbe kyaliko omuzigo ogwolekedde Obukiikaddyo, nga bw’oguyingiriramu oyolekera emiryango gy’ennyumba ennene ey’ekizimbe. Waaliwo omulyango omulala ku luuyi olw’ebuvanjuba olukuubo lw’ekizimbe eky’ennyumba zombi we lukoma.

13 (F)Awo n’aŋŋamba nti, “Ebisenge eby’ennyumba eyolekedde yeekaalu eby’omu Bukiikakkono n’eby’ennyumba eyolekedde yeekaalu eby’omu Bukiikaddyo, by’ebisenge bya bakabona. Bakabona abaweereza mu maaso ga Mukama gye banaaliiranga ebintu ebitukuvu ennyo; era eyo gye banaatekanga ebiweebwayo ebitukuvu ennyo, n’ekiweebwayo eky’obutta n’ebiweebwayo olw’ekibi, n’ebiweebwayo olw’omusango, kubanga ekifo kitukuvu. 14 (G)Bakabona bwe bayingirangamu, tebaafulumenga kulaga mu luggya olw’ebweru, okuggyako nga baggyemu ebyambalo eby’obuweereza bwabwe, kubanga byambalo bitukuvu. Banaayambalanga ebyambalo ebirala, ne balyoka basemberera ebifo awali abantu.”

15 (H)Bwe yamala okupima munda wa yeekaalu, n’ankulembera n’ampisa mu mulyango ogw’Ebuvanjuba, n’apima ekitundu ekyetoolodde wonna. 16 N’apima oluuyi olw’ebuvanjuba n’oluti olugera, nga luli mita ebikumi bibiri mu ataano. 17 N’apima oluuyi olw’Obukiikakkono nga luli mita ebikumi bibiri mu ataano. 18 N’oluvannyuma n’apima oluuyi olw’Obukiikaddyo nga luli mita ebikumi bibiri mu ataano. 19 N’oluvannyuma n’akyuka n’apima oluuyi olw’ebugwanjuba, nga luli mita ebikumi bibiri mu ataano. 20 (I)N’apima enjuuyi ennya zonna. Yeekaalu yalina bbugwe okugyebungulula, mita ebikumi bibiri mu ataano obuwanvu, n’obugazi mita ebikumi bibiri mu ataano, nga kye kyawula awatukuvu n’awabulijjo.

Ekitiibwa kya Mukama kikomawo mu Yeekaalu

43 (J)Awo omusajja n’antwala ku mulyango ogwolekera Obuvanjuba, (K)ne ndaba ekitiibwa kya Katonda wa Isirayiri nga kiva Ebuvanjuba, n’eddoboozi lye lyali ng’okuwuuma okw’amazzi amangi, n’ensi n’emasamasa olw’ekitiibwa kye. Okwolesebwa kwe nalaba kwali nga kuli kwe nalaba bwe najja okuzikiriza ekibuga, era ng’okwolesebwa kwe nalaba ku lubalama lw’omugga Kebali; ne nvuunama. (L)Awo ekitiibwa kya Mukama ne kiyingira mu yeekaalu nga kiyita mu luggi olwolekera Obuvanjuba, (M)Omwoyo n’ansitula, n’andeeta mu luggya olw’omunda, n’ekitiibwa kya Mukama ne kijjula yeekaalu.

Awo omusajja ng’ayimiridde okunninaana, ne mpulira omuntu ayogera nange ng’asinziira munda mu yeekaalu; (N)n’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, kino kye kifo eky’entebe ey’obwakabaka bwange, era ekifo eky’ebigere byange mwe nnaabeeranga wakati mu bantu ba Isirayiri emirembe gyonna. Ennyumba ya Isirayiri tebaliddayo kuvvoola linnya lyange ettukuvu, bo newaakubadde bakabaka baabwe, nga basinza emirambo gya bakabaka baabwe mu bifo byabwe ebigulumivu. Bwe baliraanya omulyango gwabwe okumpi n’ogwange, era n’emifuubeeto gyabwe okumpi n’egyange, ekisenge ekyereere nga kye kyawula nze nabo, bavvoola erinnya lyange ettukuvu n’emizizo gyabwe. Kyennava mbazikiriza n’obusungu bwange. (O)Kaakano baggyewo eby’obugwagwa byabwe, n’okusinza emirambo gya bakabaka baabwe, era babiteeke wala nange, nange naabeeranga wakati mu bo emirembe gyonna.

10 (P)“Omwana w’omuntu, abantu ba Isirayiri bannyonnyole endabika ya yeekaalu, bakwatibwe ensonyi olw’ebibi byabwe. 11 (Q)Bwe balikwatirwa ensonyi olw’ebyo byonna bye baakola olibategeeza eyeekaalu bw’efaanana, okutegekebwa kwayo, awafulumirwa n’awayingirirwa, n’ekifaananyi kyayo yonna, era n’ebiragiro byamu n’amateeka gaamu. Obiwandiikire mu maaso gaabwe babeere beesigwa okukuuma ebiragiro byamu.

12 (R)“Etteeka lya yeekaalu lye lino: Ekifo kyonna ekyetoolodde ku ntikko ey’olusozi kinaabeeranga kitukuvu nnyo. Era eryo lye tteeka erya yeekaalu.

Ekyoto

13 (S)“Bino bye bipimo by’ekyoto: Entobo yaakyo eriba okukka sentimita amakumi ataano mu munaana n’obugazi sentimita amakumi ataano mu munaana, n’omugo gwakyo ku kamwa kaakyo okwetooloola guliba gwa sentimita amakumi abiri mu bbiri. Obugulumivu bw’ekyoto buliba: 14 okuva ku ntobo wansi okutuuka ku mugo ogwa wansi, waliba obugulumivu mita emu ne desimoolo kkumi na mukaaga, obugazi sentimita amakumi ataano mu munaana, ate okuva ku mugo omutono okutuuka ku mugo omunene, obugulumivu mita bbiri ne desimoolo asatu mu bbiri, obugazi sentimita amakumi ataano mu munaana. 15 (T)Entobo ey’ekyoto eriba obugulumivu mita bbiri ne desimoolo asatu mu bbiri, n’okuva ku ntobo ey’ekyoto okwambuka waliba amayembe ana. 16 Entobo ey’ekyoto eriba ya nsonda nnya, nga zenkanankana, obuwanvu mita mukaaga ne desimoolo kyenda mu mukaaga, n’obugazi mita mukaaga ne desimoolo kyenda mu mukaaga. 17 (U)Omugo ogwa waggulu guliba gwa nsonda nnya ezenkanankana obuwanvu mita munaana ne desimoolo kkumi na bbiri n’obugazi mita munaana ne desimoolo kkumi na bbiri, n’omugo ogugwetooloola guliba obugazi sentimita amakumi abiri mu mwenda, n’entobo yaagwo eriba sentimita ataano mu munaana okugwetooloola. Amadaala ag’ekyoto galitunuulira Ebuvanjuba.”

18 (V)N’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti; Bino bye biriba ebiragiro bye munaagobereranga nga muwaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’okumansira omusaayi ku Kyoto, nga kiwedde okuzimbibwa. 19 (W)Muliwaayo ente ennume ento ng’ekiweebwayo olw’ekibi eri bakabona Abaleevi ab’ennyumba ya Zadooki, abampeereza bw’ayogera Mukama Katonda. 20 (X)Oliddira omusaayi ogumu okuva mu nte eyo n’oguteeka ku mayembe ana ag’ekyoto, ne ku nsonda ennya ez’omugo ogwa waggulu ne ku mugo ogwa kamwa kaakyo okwetooloola, ne mutukuza ekyoto era ne mu kitangirira. 21 (Y)Muliddira ente ennume ey’ekiweebwayo olw’ekibi, ne mugyokera mu kifo ekyalondebwa ekya yeekaalu ebweru w’Awatukuvu.

22 “Ku lunaku olwokubiri muliwaayo embuzi ennume eteriiko kamogo okuba ekiweebwayo olw’ekibi, n’ekyoto kiritukuzibwa mu ngeri y’emu nga bwe kyatukuzibwa n’ente ennume. 23 (Z)Bwe mulimala okukitukuza, muliwaayo akalume k’ente akato, n’endiga ennume okuva mu kisibo nga teriiko kamogo. 24 (AA)Mulizireeta mu maaso ga Mukama, bakabona ne bamansira omunnyo ku nnyama yaazo, ne baziwaayo ng’ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama.

25 (AB)“Mulimala ennaku musanvu nga muwayo embuzi ennume emu buli lunaku ng’ekiweebwayo olw’ekibi. Era muliwaayo n’ente ennume n’endiga ennume, byombi nga tebiriiko kamogo. 26 Balimala ennaku musanvu nga batangirira ekyoto era nga bakitukuza; bwe batyo ne bakiwaayo eri Katonda. 27 (AC)Oluvannyuma lw’ennaku ezo, okutandika n’olunaku olw’omunaana, bakabona baliwaayo ebiweebwayo byammwe ebyokebwa, n’ebiweebwayo byammwe olw’emirembe ku kyoto. Kale ndibasembeza, bw’ayogera Mukama Katonda.”

Omulangira, Abaleevi Ne Bakabona

44 (AD)Awo omusajja n’ankomyawo ku mulyango ogw’ebweru ogw’Awatukuvu ogutunuulira obuvanjuba; gwali muggale. (AE)Mukama n’aŋŋamba nti, “Omulyango guno gwa kusigalanga nga muggale. Teguteekwa kugulwanga newaakubadde omuntu yenna okuguyitangamu. Gwa kusigalanga nga muggale kubanga Mukama, Katonda wa Isirayiri yaguyitamu. (AF)Omulangira yennyini, ye yekka anaatulanga mu mulyango n’aliira mu maaso ga Mukama, era nnaayingiranga ng’ayita mu kkubo ery’ekisasi eky’omulyango, ne mu kkubo eryo mw’anaafulumiranga.”

(AG)Awo omusajja n’ankulembera ne tuyita mu kkubo ery’omulyango ogw’Obukiikakkono n’antwala mu maaso ga yeekaalu. Ne ntunula ne ndaba ekitiibwa kya Mukama nga kijjudde yeekaalu ya Mukama, ne nvuunama.

(AH)Mukama n’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, tunula weetegereze, owulirize bulungi era osseeyo omwoyo eri buli kye n’akugamba ku biragiro ebikwata ku nzirukanya ya yeekaalu ya Mukama. Tunula weetegereze bulungi awayingirirwa mu yeekaalu n’awafulumirwa wonna aw’Awatukuvu. (AI)Tegeeza ennyumba ya Isirayiri enjeemu nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti; ebikolwa byammwe eby’emizizo bikome, mmwe ennyumba ya Isirayiri.’ (AJ)Ate n’okwogera ku ebyo ebikolwa byammwe eby’emizizo byonna, mukkiriza bannaggwanga, abatali bakomole mu mutima newaakubadde omubiri okuyingira Awatukuvu wange, ne boonoona eyeekaalu yange nga mmwe bwe mumpeerayo emmere, amasavu n’omusaayi ne mumenya endagaano yange. (AK)Mu kifo eky’okukola ebibagwanira ng’ebintu byange ebitukuvu bwe biri, abalala bannaggwanga be mwakwasa okuvunaanyizibwa empya zange. (AL)Kale Mukama Katonda kyava ayogera nti, Tewaliba munnaggwanga n’omu atali mukomole mu mutima newaakubadde omubiri aliyingira mu Watukuvu wange, newaakubadde bannaggwanga ababeera mu Bayisirayiri wakati.

10 (AM)“ ‘Naye Abaleevi abanvaako, Isirayiri bwe yakyama, ne bagoberera bakatonda abalala, balibonerezebwa. 11 (AN)Baliba baweereza mu watukuvu wange, nga balabirira emiryango gya yeekaalu, era ng’omwo mwe baweerereza; banattiranga abantu ebiweebwayo ebyokebwa ne ssaddaaka, era banabaweerezanga. 12 (AO)Naye kubanga baabaweerereza mu maaso ga bakatonda abalala, ne baleetera ennyumba ya Isirayiri okugwa mu kibi, kyendiva mbalayirira okubabonereza olw’ekibi kyabwe, bw’ayogera Mukama Katonda. 13 (AP)Tebalinsemberera kumpeereza nga bakabona newaakubadde okusemberera ekintu kyonna ku bintu byange ebitukuvu, oba ebiweebwayo byange ebitukuvu ennyo; kubanga baakola ebiswaza n’eby’ekivve. 14 (AQ)Naye ndibalonda okuvunaanyizibwa emirimu gya yeekaalu, n’eby’okukola byonna ebiteekwa okukolebwa mu yo.

15 (AR)“ ‘Naye bakabona Abaleevi ne bazzukulu ba Zadooki, abavunaanyizibwa emirimu mu watukuvu wange n’obwesigwa, ng’abaana ba Isirayiri banjeemedde, balisembera okumpi nange ne bampeereza, era be baliyimirira mu maaso gange okuwangayo gye ndi amasavu n’omusaayi, bw’ayogera Mukama Katonda. 16 (AS)Abo bokka be banaayingiranga mu watukuvu wange, era be banaasemberanga okumpi n’emmeeza yange okumpeerezanga, n’okukuumanga ebyo bye mbalagira.

17 (AT)“ ‘Bwe banaayingiranga mu miryango egy’oluggya olw’omunda banaayambalanga ebyambalo ebya linena; tebateekwa kwambalanga byambalo bya byoya by’endiga, nga baweerereza mu miryango egy’oluggya olw’omunda ne munda wa yeekaalu. 18 (AU)Baneesibanga ebitambala ku mutwe nga bya linena, n’engoye ez’omunda nga za linena. Tebateekwa kwambalanga kintu n’ekimu ekibatuuyanya. 19 (AV)Bwe banaabanga bafuluma nga balaga mu luggya olw’ebweru eri abantu, banaayambulangamu ebyambalo byabwe bye baweererezaamu, ne babitereka mu bisenge ebyatukuzibwa, ne bambala engoye endala balemenga okutukuza abantu n’ebyambalo byabwe.

20 (AW)“ ‘Tebateekwa kumwa mitwe gyabwe newaakubadde okuleka enviiri zaabwe okukula ennyo, naye banaazisalangako ne zisigala nga nto. 21 (AX)Tewabanga kabona n’omu anywa nvinnyo ng’ayingidde mu luggya olw’omunda. 22 (AY)Tebateekeddwa kuwasa bannamwandu newaakubadde eyanoba, naye banaawasanga abawala embeerera nga ba lulyo lwa Isirayiri oba nga bannamwandu ba bakabona. 23 (AZ)Banaayigirizanga abantu bange enjawulo wakati w’ekitukuvu n’ekitali kitukuvu, era nga babalaga enjawulo wakati w’ekirongoofu n’ekitali kirongoofu.

24 (BA)“ ‘Bwe wanaabangawo enkaayana, bakabona be banaabanga abalamuzi, okusalawo ng’ebiragiro byange bwe biri. Banaakumanga amateeka gange n’ebiragiro byange ku mbaga zange zonna ezaalagirwa, era banaakumanga Ssabbiiti zange nga ntukuvu.

25 (BB)“ ‘Kabona taasembererenga mulambo aleme okweyonoonyesa, naye kitaawe bw’anaabanga y’afudde, oba nnyina, oba mutabani we oba muwala we, oba muganda we, oba mwannyina atafumbirwangako, kale aneeyonoonesanga. 26 (BC)Oluvannyuma olw’okwetukuza, anaalindanga ennaku musanvu ziyite. 27 Awo ku lunaku lw’anaalaganga mu luggya olw’omunda olwa watukuvu okuweereza mu watukuvu, aneweerangayo ekiweebwayo olw’ekibi, bw’ayogera Mukama Katonda.

28 (BD)“ ‘Nze nnaabanga omugabo gwa bakabona. Temuubawenga mugabo na gumu mu Isirayiri; nze mugabo gwabwe. 29 (BE)Banaalyanga ebiweebwayo eby’obutta, n’ebiweebwayo olw’ekibi, n’ebiweebwayo olw’omusango, ne buli kintu mu Isirayiri ekiwonge eri Mukama kinaabanga kyabwe. 30 (BF)Ebisinga obulungi ku bibala byonna ebisooka ebya buli kika n’ebirabo byonna eby’omuwendo binaabanga bya bakabona. Munaabawanga obutta bwammwe obwasooka okugoyebwa, omukisa gubeerenga ku nnyumba zammwe. 31 (BG)Bakabona tebaalyenga kintu na kimu, oba nnyonyi oba nsolo, ebisangiddwa nga bifu olumbe lwabyo nga byataagulwa nsolo.

1 Yokaana 1

Kigambo Aleeta Obulamu

(A)Tubawandiikira ku Kigambo ow’obulamu, eyaliwo okuva ku lubereberye, gwe twawulira, gwe twalaba n’amaaso gaffe, era gwe twakwatako n’engalo zaffe. (B)Obulamu bwalabisibwa, era tubulabye, tubuweerako obujulirwa, era tubategeeza obulamu obutaggwaawo obwali ne Kitaffe, era ne bulabisibwa gye tuli. (C)Tubategeeza ekyo kye twawulira era kye twalaba, mulyoke mutwegatteko, mubeere bumu naffe, era mussekimu ne Kitaffe awamu n’Omwana we Yesu Kristo. (D)Era tubawandiikira ebintu bino essanyu lyaffe liryoke lituukirire.

Okutambulira mu Musana

(E)Buno bwe bubaka bwe twafuna okuva gy’ali: tubategeeza nti, Katonda musana; mu ye temuliimu kizikiza n’akatono. (F)Noolwekyo bwe twogera nti tussakimu naye, ate ne tutambulira mu kizikiza, tuba balimba era tetuba ba mazima. (G)Naye bwe tutambulira mu musana nga ye bw’ali omusana, olwo tussakimu buli muntu ne munne, n’omusaayi gwa Yesu Omwana we, gutunaazaako buli kibi kyonna. (H)Bwe twogera nti tetulina kibi, twerimba ffekka, era n’amazima tegaba mu ffe. (I)Naye bwe twatula ebibi byaffe, ye mwesigwa era mutuukirivu okutusonyiwa n’okutunaazaako obutali butuukirivu bwonna. 10 (J)Bwe tugamba nti tetulina kibi, tumufuula mulimba era nga n’ekigambo kye tekiri mu ffe.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.