Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Old/New Testament

Each day includes a passage from both the Old Testament and New Testament.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Ezeekyeri 40-41

Ekifo Ekiggya ekya Yeekaalu

40 (A)Ku ntandikwa ey’omwaka ogw’amakumi abiri mu etaano nga tuli mu buwaŋŋanguse, ku lunaku lw’omwezi ogw’ekkumi, oluvannyuma lw’emyaka kkumi n’ena ng’ekibuga kigudde, omukono gwa Mukama ne gunzikako ku lunaku olwo lwennyini, n’antwalayo. (B)Mu kwolesebwa, Katonda n’antwala mu nsi ya Isirayiri n’anteeka ku luuyi olw’Obukiikaddyo obw’olusozi oluwanvu ennyo okwali ebizimbe ebyali ng’ekibuga. (C)N’antwala eyo, ne ndaba omusajja, ng’alabika ng’ayakolebwa mu kikomo, ng’ayimiridde mu mulyango ng’akutte omuguwa ogwa linena n’oluti olupima. (D)Omusajja n’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, tunula n’amaaso go owulire n’amatu go osseeyo omwoyo ku buli kye nnaakulaga, kyovudde oleetebwa wano. Byonna by’onoolaba obitegeeze ennyumba ya Isirayiri.”

Omulyango ogw’Ebuvanjuba okutuuka mu Luggya Olwa wabweru

(E)Ne ndaba bbugwe okwetooloola ekifo kya yeekaalu. Obuwanvu bw’oluti olupima olwali mu mukono gw’omusajja lwali emikono mukaaga, nga mita ssatu. Buli mukono gwali nga kitundu kya mita. N’apima bbugwe ng’omubiri gwayo mita ssatu, n’obugulumivu bwayo mita ssatu.

(F)Oluvannyuma n’alaga ku mulyango ogutunuulira Ebuvanjuba, n’alinnya amadaala n’apima omuziziko ogusooka ogw’omu mulyango, nga guli oluti lumu, ze mita ssatu. (G)N’obusenge obw’abakuumi bwali mita ssatu obuwanvu, n’obugazi mita ssatu, ng’ebbanga eryawula obusenge obwo liri mita bbiri n’ekitundu. Waaliwo n’omuziziko ogwokubiri. N’omuziziko ogwo gwali mita ssatu mu bugulumivu. Mu maaso g’omuziziko ogwo waaliwo ekisasi okutunuulira yeekaalu.

Awo n’apima ekisasi eky’oku mulyango nga kiri mita nnya obugulumivu. Waaliwo empagi bbiri ku nsonda y’ekisasi, n’omubiri ogw’empagi ezo gwali mita emu. Ekisasi eky’oku mulyango kyayolekera yeekaalu.

10 Munda mu mulyango ogw’Ebuvanjuba mwalimu obusenge obw’abakuumi busatu ku njuyi zombi, bw’onsatule nga bwenkanankana obunene, nga n’ebbanga wakati waabwo lyenkanankana obunene. 11 N’apima obugazi obw’awayingirirwa mu mulyango nga buli mita ttaano n’obugulumivu bwawo nga buli mita mukaaga n’ekitundu. 12 Mu maaso ga buli kasenge waaliwo ekisenge obuwanvu kitundu kya mita, n’obusenge nga buli mita ssatu eruuyi ne mita ssatu eruuyi. 13 N’oluvannyuma n’apima obugazi bw’akasolya ak’ekibangirizi okuva ku kasenge akamu okutuuka ku kakoolekedde; okuva ku ntikko y’empagi okutuuka ku y’empagi eyookubiri waali mita kkumi na bbiri n’ekitundu. 14 (H)Waaliwo embu bbiri ez’obusenge. N’apima ekibangirizi okuva ku kasenge akasooka ak’olubu olumu okutuuka ku kasenge akasembayo ak’olubu olwo. N’oluvannyuma n’apima n’ekibangirizi okuva ku kasenge akasooka ak’olubu olulala okutuuka ku kasenge akasembayo ak’olubu olwo olulala, wonna awamu n’afuna mita kkumi na ttaano buli lubu. Ekipimo ekyo tekitwaliramu kisasi. 15 N’okuva ku bwenyi bw’omulyango awayingirirwa okutuuka ekisasi kyagwo we kikoma waali mita amakumi abiri mu ttaano. 16 (I)Era obusenge bwaliko amabanga amafunda okuva wansi okutuuka waggulu mu bisenge byabwo, okwetooloola obusenge bwonna; ate n’ekisasi nakyo kyalina amabanga agafaanagana nga gali ag’obusenge obw’abakuumi. Ku bisenge kwali kwoleddwako ebifaananyi eby’enkindu.

Oluggya olw’Ebweru

17 (J)Awo omusajja n’andeeta mu luggya olw’ebweru; ne ndaba ebisenge ebimu n’olubalaza ebyazimbibwa, ebisenge ebyo ebyazimbibwa ku lubalaza mu bbugwe okwetooloola oluggya lwonna, byali amakumi asatu. 18 Olubalaza lwakolebwa okwetooloola bbugwe. Obugazi bw’olubalaza lwali lwenkanankana n’obuwanvu bw’omulyango, era ng’olubalaza lwolekedde oluggya. Olubalaza olwo lwe luyitibwa olubalaza olwa wansi. 19 (K)N’oluvannyuma n’apima ekibangirizi okuva omulyango ogw’Ebuvanjuba we gukoma okutuuka ebweru ow’oluggya olw’omunda, ze mita amakumi ataano. Waaliwo n’omulyango ogw’Obukiikakkono. N’ekibangirizi okuva ku mulyango ogwo we gukoma okutuuka ebweru w’oluggya olw’omunda nakyo kyali mita amakumi ataano.

Omulyango ogw’Obukiikakkono

20 Awo n’apima obuwanvu n’obugazi obw’omulyango ogw’Obukiikakkono ogufuluma mu luggya olw’ebweru. 21 (L)Obusenge bwagwo obw’abakuumi, busatu oluuyi n’oluuyi, n’ebbanga wakati waabwo, n’ekisasi kyagwo, byalina ebipimo bye bimu ng’omulyango ogusooka. Omulyango ogwo gwali mita amakumi abiri mu ttaano obuwanvu, n’obugazi mita kkumi na bbiri n’ekitundu. 22 (M)Amabanga gaagwo amafunda, n’ekisasi kyagwo, n’ebifaananyi eby’enkindu ebyagwo byalina ebipimo bye bimu ng’eby’omulyango ogw’Ebuvanjuba. Amadaala musanvu ge galinnyibwanga okutuuka ku mulyango ogw’Obukiikakkono. Gwalina ekisasi ekyali ku nkomerero y’omulyango ogwo. 23 (N)Waaliwo omulyango ogw’oluggya olw’omunda ogwatunuulira omulyango ogw’Obukiikakkono, nga ogwali Ebuvanjuba. N’apima okuva ku mulyango ogw’oluggya olw’omunda okutuuka ku mulyango ogw’Obukiikakkono mita amakumi ataano.

Omulyango ogw’Obukiikaddyo

24 Awo n’ankulembera n’antwala ku luuyi olw’Obukiikaddyo ne ndaba omulyango ogw’Obukiikaddyo, n’apima empagi zaagwo n’ekisasi kyagwo, ng’ebigera byabyo byenkanankana n’ebirala. 25 (O)Omulyango n’ekisasi kyagwo byalina amabanga amafunda okwetooloola wonna, ng’amabanga ag’ebirala. Omulyango ogwo gwali mita amakumi abiri mu ttaano obuwanvu, ng’obugazi mita kkumi na bbiri n’ekitundu. 26 (P)Amadaala musanvu ge gaalinnyibwangako okugutuukako. Gwalina ekisasi ekyali ku nkomerero yaagwo. Gwaliko n’ebifaananyi eby’enkindu ebyayolebwa eruuyi n’eruuyi ku bisenge byagwo. 27 (Q)Waaliwo n’omulyango ogw’oluggya olw’omunda ogwatunuulira omulyango ogw’Obukiikaddyo. N’apima okuva ku mulyango ogwo okutuuka ku mulyango ogw’Obukiikaddyo; zaali mita amakumi ataano.

Emiryango egy’Oluggya olw’Omunda

28 (R)Awo n’antwala mu luggya olw’omunda nga tuyita mu mulyango ogw’Obukiikaddyo ogw’oluggya olw’omunda, n’apima, nga gulina ebipimo bye bimu ng’emirala gyonna. 29 Obusenge bwagwo obw’abakuumi, n’amabanga gaagwo, n’ekisasi kyagwo byalina ebipimo bye bimu ng’ebirala. Omulyango n’ekisasi kyagwo byalina amabanga amafunda okwetooloola, era gwali mita amakumi abiri mu ttaano obuwanvu, n’obugazi mita kkumi na bbiri n’ekitundu. 30 (S)Ebisasi eby’emiryango ebyetoolodde oluggya olw’omunda buli kimu kyali obugazi mita kkumi na bbiri n’ekitundu, n’obugulumivu mita bbiri n’ekitundu. 31 (T)Ekisasi kyagwo kyatunuulira oluggya olw’ebweru. Empagi zaakyo zaali zooleddwa n’ebifaananyi eby’enkindu. Amadaala munaana ge gaalinnyibwanga okutuuka ku kisasi eky’oku mulyango ogw’Obukiikaddyo ogw’oluggya olw’omunda.

32 Oluvannyuma n’antwala mu luggya olw’omunda ku mulyango ogw’Ebuvanjuba ogw’oluggya olw’omunda, n’apima omulyango ogwo, nga gulina ebipimo bye bimu ng’emirala. 33 Obusenge bwagwo n’amabanga gaagwo n’ekisasi kyagwo byalina ebipimo bye bimu ng’ebirala. Omulyango n’ekisasi byalina amabanga okwetooloola, era gwali mita amakumi abiri mu ttaano obuwanvu n’obugazi mita kkumi na bbiri n’ekitundu. 34 (U)Ekisasi kyagwo kyatunuulira oluggya olw’ebweru. Empagi zaakyo zaali zooleddwa n’ebifaananyi eby’enkindu. Amadaala munaana ge gaalinnyibwanga okutuuka ku kisasi eky’oku mulyango ogw’Ebuvanjuba ogw’oluggya olw’omunda.

35 (V)N’antwala ku mulyango ogw’Obukiikakkono ogw’oluggya olw’omunda n’alupima ng’ebipimo bye bimu ng’emiryango emirala. 36 (W)Obusenge bwagwo obw’abakuumi n’amabanga gaagwo, n’ekisasi kyagwo byalina ebipimo bye bimu ng’ebirala. Omulyango n’ekisasi byalina amabanga okwetooloola, era gwali mita amakumi abiri mu ttaano obuwanvu, n’obugazi mita kkumi na bbiri n’ekitundu. 37 Ekisasi kyagwo kyatunuulira oluggya olw’ebweru. Empagi zaakyo zaali zooleddwa n’ebifaananyi eby’enkindu. Amadaala munaana ge gaalinnyibwanga okutuuka ku kisasi eky’oku mulyango ogw’Obukiikakkono ogw’oluggya olw’omunda.

Ebisenge gye Bategekera Ssaddaaka

38 (X)Waaliwo ekisenge n’oluggi lwakyo ekyaliraana ekisasi ku buli mulyango ogw’oluggya olw’omunda. Omwo ebiweebwayo ebyokebwa mwe byayozebwanga. 39 (Y)Mu kisasi eky’emiryango mwalimu emmeeza bbiri oluuyi olumu n’endala bbiri oluuyi olulala kwe battiranga ebiweebwayo ebyokebwa, n’ebiweebwayo olw’ebibi, n’ebiweebwayo olw’omusango. 40 Era ebweru w’ekisasi ku mulyango, okumpi n’amadaala awayingirirwa ku mulyango oguli mu bukiikakkono waaliwo emmeeza bbiri ne ku luuyi olulala olw’amadaala waliwo emmeza bbiri. 41 Ne kitegeeza nga waaliwo emmeeza nnya ku luuyi olumu olw’omunda, n’emmeeza endala nnya ku luuyi olulala ng’oyimiridde mu mulyango, awamu z’emmeeza munaana, kwe battiranga ssaddaaka. 42 (Z)Era waaliwo n’emmeeza endala nnya ez’amayinja amateme ez’ebiweebwayo ebyokebwa, buli emu yali desimoolo nsanvu mu ttaano eza mita obuwanvu, obugazi desimoolo nsanvu mu ttaano eza mita n’obugulumivu kitundu kya mita. Okwo kwe baateekanga ebiso ebibaaga ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo ebirala. 43 Era waaliwo n’ewuuma ez’engalo bbiri, obuwanvu bwazo sentimita mwenda, ezaawanikibwa ku bisenge okwetooloola. Ku mmeeza kwe baatekanga ennyama ey’ebiweebwayo.

Ebisenge bya Bakabona

44 Mu luggya olw’omunda waaliyo ebisenge bibiri eby’abayimbi, ekimu ku luuyi olw’omulyango ogw’Obukiikakkono ekyolekera Obukiikaddyo, n’ekirala ku luuyi olw’omulyango ogw’Obukiikaddyo okutunuulira Obukiikakkono. 45 (AA)N’aŋŋamba nti, “Ekisenge ekyolekera Obukiikaddyo, kya bakabona abavunaanyizibwa yeekaalu, 46 (AB)n’ekisenge ekyolekera Obukiikakkono kya bakabona abavunaanyizibwa ekyoto. Abo be batabani ba Zadooki, era be Baleevi bokka abasobola okusemberera Mukama okumuweereza.”

47 N’apima oluggya, nga luli mita amakumi ataano obuwanvu, n’obugazi mita amakumi ataano, nga kya nsonda nnya ezenkanankana, n’ekyoto kyali mu maaso ga yeekaalu.

Eyeekaalu

48 (AC)N’antwala ku kisasi kya yeekaalu n’apima empagi ez’ekisasi ezaali eruuyi n’eruuyi olw’ekisasi. Ne ndaba nga ku mukono ogwa ddyo empagi emu epima mita bbiri n’ekitundu ku luuyi olw’ebweru ate ng’empagi eyookubiri ku mukono ogwa kkono erina ebipimo ebyenkanankana na luli. Oluuyi olw’omunda olw’empagi emu lwapima mita emu n’ekitundu, n’oluuyi olw’omunda olw’empagi eyookubiri nga nalwo lupima mita emu n’ekitundu. Okuva ku mpagi we zitandikira okutuuka ku mulyango gwa yeekaalu waali mita musanvu, ekitegeeza nti ekisasi kyali mita musanvu obuwanvu. 49 (AD)Obugazi bw’omulyango ng’otaddeko n’empagi ez’enjuuyi zombi bwali mita kkumi. Okuva ku mpagi okutuuka ku mulyango gwa yeekaalu waali mita ttaano n’ekitundu. Amadaala kkumi ge gaalinnyibwanga okutuuka ku kisasi. Waaliwo n’empagi endala bbiri eruuyi n’eruuyi ezaaliraana empagi eziwanirira ekisasi.

41 (AE)Awo omusajja n’antwala ebweru wa yeekaalu Awatukuvu n’apima empagi ez’awayingirirwa mu kifo ekitukuvu, obugazi mita ssatu buli luuyi. (AF)Awayingirirwa waali obugazi mita ttaano, n’obugazi bw’empagi ez’oku luuyi olw’omunda zaali mita bbiri n’ekitundu eruuyi n’eruuyi. N’apima ebweru wa yeekaalu Awatukuvu nga wali mita amakumi abiri obuwanvu, n’obugazi mita kkumi.

Oluvannyuma n’ayingira munda wa yeekaalu Awatukuvu w’Awatukuvu, n’apima empagi eziri awayingirirwa, buli emu obugazi mita emu. Omulyango gwali mita ssatu obugazi, n’ebisenge ebyayitangamu eruuyi n’eruuyi ku mulyango oguyingirirwamu mu Watukuvu w’Awatukuvu byali mita ssatu n’ekitundu obugazi. (AG)N’apima Awatukuvu w’Awatukuvu nga wali mita kkumi obuwanvu, n’obugazi mita kkumi. N’aŋŋamba nti, “Kino kye kifo ekiyitibwa Awatukuvu w’Awatukuvu.”

N’apima ekisenge ekya yeekaalu, ng’omubiri gwakyo guli mita ssatu, na buli kisenge eky’ebbali okwebungulula yeekaalu obugazi nga kiri mita bbiri. (AH)Ebisenge eby’ebbali byali emyaliiro esatu, buli kimu nga kiri waggulu wa kinnaakyo, ku buli mwaliiro kwaliko ebisenge amakumi asatu. Waaliwo empagi ezawaniriranga ebisenge ebyo naye ng’empagi ezo teziyingira mu kisenge ekya yeekaalu. (AI)Ebisenge eby’ebbali okwebungulula yeekaalu byagendanga nga byeyongera okugaziwa buli mwaliiro ogweyongerangayo waggulu, era amadaala gaazo agalinnyirwako gaava wansi okutuuka ku mwaliiro ogusembayo nga guyita ku mwaliiro ogwa wakati.

Ne ndaba nga yeekaalu eriko ekifo ekyagulumira okugyebungulula nga kye kikola omusingi ogw’ebisenge eby’ebbali. Obuwanvu kyali ng’obuwanvu obw’oluti, z’emita empanvu ssatu. Waaliwo ekisenge ekyebunguludde ebisenge eby’ebbali. Omubiri gw’ekisenge ekyo gwali mita bbiri n’ekitundu. Waaliwo ekibangirizi wakati w’ebisenge eby’ebbali ebya yeekaalu n’ekisenge ekyebunguludde ebisenge eby’ebbali ebya yeekaalu. Waaliwo n’ekibangirizi wakati wa bbugwe n’ekisenge ekyebunguludde ebisenge eby’ebbali ebya yeekaalu. 10 Ekibangirizi ekyo kyali mita kkumi obugazi. 11 Waaliwo emiryango egyayingiranga mu bisenge eby’ebbali okuva mu kibangirizi ekiri wakati w’ekisenge ekyebunguludde ebisenge eby’ebbali n’ebisenge ebyo. Emiryango egyo gyali ku luuyi olw’Obukiikakkono, ne ku luuyi olw’Obukiikaddyo. Ekibangirizi ekyo kyali mita bbiri n’ekitundu obugazi.

12 Ekizimbe ekyali mu luggya emanju wa yeekaalu, lwe luuyi olw’ebugwanjuba kyali obugazi mita amakumi asatu mu ttaano, n’omubiri gw’ekisenge eky’ekizimbe ekyo gwali mita bbiri n’ekitundu okwebungulula, n’obuwanvu bwakyo mita amakumi ana mu ttaano.

13 Oluvannyuma omusajja n’apima yeekaalu, ng’obuwanvu eri mita amakumi ataano, n’oluggya lwa yeekaalu n’ekizimbe n’ebisenge byakwo byali obuwanvu mita amakumi ataano. 14 (AJ)Obugazi bw’oluggya lwa yeekaalu ku luuyi olw’ebuvanjuba ng’ogasseeko emiryango wa yeekaalu waali mita amakumi ataano.

15 (AK)N’apima obuwanvu obw’ekizimbe ekyali mu maaso g’oluggya emanju wa yeekaalu, okwo nga kw’ogasse embalaza oluuyi n’oluuyi nga wali mita amakumi ataano.

Ekifo Awatukuvu ebweru, n’ekifo Awatukuvu munda n’ekisasi mu maaso g’oluggya 16 (AL)n’awayingirirwa, n’amadirisa amafunda n’embalaza okugeetooloola gonsatule, okwolekera omulyango byonna byabikkibwako embaawo, ne wansi, n’ekisenge okutuuka ku madirisa, n’amadirisa byabikkibwako. 17 Mu bbanga eryali waggulu w’omulyango okutuuka mu wakuŋŋaanirwa munda, ne ku bisenge mu bifo ebitali bimu okwetooloola Awatukuvu munda, ne ku bisenge mu bifo ebitali bimu okwetooloola Awatukuvu munda n’ebweru, 18 (AM)yakolebwa ne bakerubi n’enkindu, ng’olukindu luteekeddwa wakati wa bakerubi kinnababirye. Ne buli kerubi yalina ebyenyi bibiri 19 (AN)ekyenyi ky’omusajja nga kyolekedde olukindu ku luuyi olumu n’ekyenyi ky’empologoma ento nga kyolekedde olukindu oluuyi olulala. Ebyo byakolebwa okwetooloola eyeekaalu yonna. 20 Okuva wansi okutuuka mu kibangirizi ekiri waggulu w’omulyango waaliwo bakerubi n’enkindu ebyawoolebwa ebweru ku kisenge ky’Awatukuvu.

21 (AO)Omulyango ogw’Awatukuvu ebweru gwali gwa nsonda nnya era n’ogwo ogwali mu maaso g’Ekifo Ekitukuvu Ennyo gwali gugufaanana 22 (AP)Ekyoto kyabajjibwa mu muti ng’obugulumivu kiri mita emu n’ekitundu, obuwanvu n’obugazi mita emu, eruuyi n’eruuyi. Ensonda zaakyo n’obuwanvu bwakyo n’ebisenge byakyo byali bya miti. Omusajja n’aŋŋamba nti, “Eno ye mmeeza ebeera mu maaso ga Mukama.” 23 (AQ)Awatukuvu n’Awatukuvu w’Awatukuvu byalina enzigi za mpayi bbiri bbiri. 24 (AR)Buli luggi lwalina empayi bbiri, buli mwango nga gulina enzigi bbiri. 25 Era ku nzigi ezo ez’Awatukuvu kwali kwoleddwako ebifaananyi bya bakerubi n’eby’enkindu nga biri ebyayolebwa ku bisenge. Waaliwo n’akasasi akaakolebwa mu muti akali ku kisasi. 26 (AS)Ku bisenge eby’ebbali eby’ekisasi kwaliko amadirisa amawanvuyirivu nga mafunda agaali gooleddwako ebifaananyi eby’enkindu ku buli luuyi. N’ebisenge eby’ebbali ebya yeekaalu byalina obusasi.

2 Peetero 3

Olunaku lwa Mukama

(A)Abaagalwa, eno y’ebbaluwa eyookubiri gye mbawandiikira. Mu bbaluwa zombi ngezezzaako okubakubiriza mutegeerere ddala ebyo ebituufu era ebisaana. Mujjukire ebyo ebyayogerwa bannabbi abatukuvu n’ekiragiro kya Mukama waffe era Omulokozi waffe ekyaweebwa abatume bammwe.

(B)Ekisooka, mutegeerere ddala nga mu nnaku ez’oluvannyuma abantu abagoberera okwegomba kw’omubiri gwabwe balijja mu mmwe nga babasekerera, (C)nga bwe bagamba nti, “Eyasuubiza nti alijja, aluwa? Kubanga kasookedde bajjajjaffe bafa, ebintu byonna biri nga bwe byabanga okuva ensi lwe yatondebwa!” (D)Beefuula abatamanyi nti edda Katonda yalagira bulagizi, era olw’ekigambo eggulu n’ensi ne bitondebwa. Olw’ekigambo kya Katonda ensi yatondebwa ng’eggyibwa mu mazzi era n’ebeera wakati w’amazzi. (E)Era olw’ekigambo ekyo ensi eyo ey’edda, amazzi gaagisaanyaawo n’ezikirira. (F)Era olw’ekigambo ekyo, eggulu n’ensi ebiriwo kaakano bikuumibwa nga birindiridde okwokebwa omuliro ku lunaku olw’okusalirako omusango, n’okuzikirizibwa kw’abo abatatya Katonda.

(G)Naye, abooluganda, temusaana, kwerabira nti mu maaso ga Mukama emyaka olukumi giri ng’olunaku olumu, era n’olunaku olumu luli ng’emyaka olukumi.[a] (H)Mukama waffe taludde kutuukiriza ekyo kye yasuubiza ng’abamu bwe balowooza. Wabula ye akyabagumiikiriza, nga tayagala muntu yenna kubula, naye bonna beenenye.

10 (I)Naye olunaku lwa Mukama waffe lulijja ng’omubbi bw’ajja nga tewali n’omu amanyi; eggulu lirivaawo nga liwuuma nnyo, n’ebiririko birizikirizibwa n’omuliro, era ensi n’ebintu ebigirimu birisirikka.

11 Kale obanga ebintu byonna bya kuzikirizibwa, mugwanidde kubeeranga bantu ba mpisa ntukuvu era abatya Katonda, 12 (J)nga mulindirira era nga mwegomba nnyo olunaku lwa Katonda okutuuka, olunaku obwengula bwonna[b] bwe buryokebwa ne buzikirizirwa n’ebiburimu ne bisaanuuka ne bisirikka. 13 (K)Naye nga Katonda bwe yatusuubiza, tulindirira obwengula obuggya n’ensi empya omuli obutuukirivu.

14 (L)Kale, abaagalwa, nga bwe mulindirira ebintu ebyo okubaawo mufubenga nnyo okuba abalongoofu abataliiko kya kunenyezebwa nga mulina emirembe. 15 (M)Kyokka mulowoozenga ku kubonyaabonyezebwa okw’obulokozi bwa Mukama waffe, nga ne muganda waffe omwagalwa Pawulo kye yabategeeza mu bbaluwa ze yabawandiikira mu magezi Katonda ge yamuwa. 16 (N)Weewaawo ebbaluwa ze zirimu bingi ebizibu okutegeera, kyokka buli lw’awandiika aba ayogera ku nsonga ezo; wabula bo abatamanyi era abatali banywevu babinnyonnyola nga bwe bannyonnyola ebyawandiikibwa ebirala ne beereetako okuzikirira.

17 (O)Kale, mmwe abaagalwa, ebyo nga bwe mubitegedde, mwekuume muleme kukyamizibwa abantu abo abajeemu, si kulwa nga babaleetera okugwa ne muva we munyweredde. 18 (P)Mweyongere okukula mu kisa ne mu kutegeera Mukama waffe era Omulokozi waffe Yesu Kristo.

Oyo aweebwenga ekitiibwa kaakano n’emirembe gyonna. Amiina.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.