Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Old/New Testament

Each day includes a passage from both the Old Testament and New Testament.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 54-56

Ya Mukulu wa Bayimbi. Eyimbibwa n’ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Dawudi, Abazifu bwe bajja ne babuulira Sawulo nti, “Dawudi yeekwese mu ffe.”

54 (A)Olw’erinnya lyo ondokole, Ayi Katonda,
    n’amaanyi go amangi onzigyeko omusango.
(B)Wulira okusaba kwange, Ayi Katonda,
    owulirize ebigambo by’omu kamwa kange.

(C)Abantu be simanyi bannumba;
    abantu abalina ettima abatatya Katonda;
    bannoonya okunzita.

(D)Laba, Katonda ye mubeezi wange,
    Mukama ye mukuumi wange.

(E)Leka ebintu ebibi byonna bye bantegekera, bibeekyusize,
    obazikirize olw’obwesigwa bwo.

(F)Nnaakuleeteranga ssaddaaka ey’ekyeyagalire;
    ne ntendereza erinnya lyo, Ayi Mukama,
    kubanga ddungi.
(G)Kubanga Katonda amponyezza ebizibu byange byonna;
    era amaaso gange galabye ng’awangula abalabe bange.

Ya Mukulu wa Bayimbi. Eyimbibwa n’ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Dawudi.

55 (H)Owulirize okusaba kwange, Ayi Katonda,
    togaya kwegayirira kwange.
    (I)Ompulire era onziremu,
kubanga ndi mu buzibu, nga nsinda olw’okweraliikirira okunene.
    (J)Mpulira amaloboozi g’abalabe bange;
    ababi bankanulidde amaaso
ne banvuma nga bajjudde obusungu.

(K)Omutima gwange gulumwa nnyo munda yange;
    entiisa y’okufa entuukiridde.
(L)Okutya n’okukankana binnumbye;
    entiisa empitiridde.
Ne njogera nti, Singa nnina ebiwaawaatiro ng’ejjiba,
    nandibuuse ne ŋŋenda mpummulako.
“Nandiraze wala nnyo,
    ne mbeera eyo mu ddungu;
(M)nandiyanguye ne ntuuka mu kifo kyange eky’okuwummuliramu,
    eteri kibuyaga na mpewo ekunta n’amaanyi.”

(N)Mukama tabulatabula ennimi z’ababi, ozikirize enkwe zaabwe;
    kubanga ndaba obukambwe n’okulwanagana mu kibuga.
10 Beetooloola bbugwe waakyo emisana n’ekiro,
    ne munda mu kyo mujjudde ettima n’ebikolwa ebibi.
11 (O)Obutemu n’obussi obwa buli ngeri biri mu kibuga omwo.
    Buli lw’oyita mu nguudo zaakyo osanga bulimba bwereere na kutiisibwatiisibwa.

12 Singa omulabe wange y’abadde anvuma,
    nandikigumiikirizza;
singa oyo atakkiriziganya nange y’annumbaganye n’anduulira,
    nandimwekwese.
13 (P)Naye ggwe munnange,
    bwe tuyita, era mukwano gwange ddala!
14 (Q)Gwe twabanga naye mu ssanyu ng’abooluganda,
    nga tutambulira mu kibiina ekinene mu nnyumba ya Katonda.

15 (R)Okufa kubatuukirire,
    bakke emagombe nga bakyali balamu;
    kubanga bajjudde okukola ebibi.

16 Naye nze nkoowoola Mukama Katonda,
    n’andokola.
17 (S)Ekiro, ne mu makya ne mu ttuntu,
    ndaajana nga bwe nsinda;
    n’awulira eddoboozi lyange.
18 Amponyezza mu lutalo
    nga siriiko kintuseeko
    newaakubadde ng’abannwanyisizza babadde bangi.
19 (T)Katonda oyo atudde ku ntebe ye ebbanga lyonna,
    aliwulira n’ababonereza
abo abatakyusa makubo gaabwe
    era abatatya Katonda.

20 (U)Agololera emikono gye ku mikwano gye;
    n’amenya endagaano ye.
21 (V)By’ayogera bigonvu okusinga omuzigo,
    so nga mu mutima gwe alowooza lutalo;
ebigambo bye biweweera okusinga amafuta,
    so nga munda mu mutima gwe asowodde bitala byennyini.

22 (W)Ebizibu byo byonna bireete eri Mukama,
    ajja kukuwanirira;
    kubanga talireka mutuukirivu kugwa.
23 (X)Naye ggwe, Ayi Katonda,
    olisuula abakola ebibi mu kinnya eky’okuzikirira;
era abatemu n’abalimba bonna
    tebagenda kuwangaala kimu kyakubiri eky’obulamu bwabwe.

Naye nze, neesiga ggwe.

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi. Abafirisuuti bwe baamukwatira mu Gaasi.

56 (Y)Onsaasire, Ayi Katonda, kubanga abalabe bange banjigganya;
    buli lunaku bannumba n’amaanyi.
(Z)Abalabe bange bannondoola,
    bangi bannwanyisa nga bajjudde amalala.

(AA)Buli lwe ntya,
    neesiga ggwe.
(AB)Nditendereza Katonda ne nyweerera mu kigambo kye,
    ye Katonda gwe neesiga; siityenga.
    Abantu obuntu bagenda kunkolako ki?

(AC)Olunaku lwonna bye njogera babifuulafuula;
    ebbanga lyonna baba basala nkwe kunkola kabi.
(AD)Beekobaana ne bateesa,
    banneekwekerera ne bawuliriza enswagiro zange;
    nga bannindirira banzite.
(AE)Tobakkiriza kudduka ne bawona;
    mu busungu bwo, Ayi Katonda, osuule amawanga.

(AF)Emirundi gye ntawaanyizibwa nga njaziirana ogimanyi;
    amaziga gange gateeke mu ccupa yo!
    Wagawandiika.
(AG)Bwe nkukoowoola,
    abalabe bange nga badduka.
    Kino nkimanyi kubanga Katonda ali ku ludda lwange.

10 Katonda gwe ntendereza olw’ekisuubizo kye;
    Mukama gwe ntendereza olw’ekisuubizo kye;
11 Katonda oyo gwe neesiga, siityenga.
    Abantu bayinza kunkolako ki?

12 (AH)Ndituukiriza obweyamo bwange gy’oli, Ayi Katonda;
    ndikuleetera ebirabo eby’okukwebaza.
13 (AI)Kubanga emmeeme yange ogiwonyezza okufa.
    Ebigere byange tobiwonyezza okwesittala;
ne ndyoka ntambulira mu maaso ga Katonda
    mu musana nga ndi mulamu?

Abaruumi 3

Obwesigwa bwa Katonda

Kaakano olwo Omuyudaaya alina nkizo ki? Oba okukomolebwa kugasa ki? (A)Kugasa nnyo mu ngeri nnyingi. Okusookera ddala, Abayudaaya be baateresebwa ebigambo bya Katonda.

(B)Kituufu nti abamu ku bo tebakkiriza bigambo ebyo. Obutakkiriza bwabwe buliggyawo obwesigwa bwa Katonda, olw’okuba nga bo tebaalina kukkiriza? (C)Tekisoboka. Katonda ye wa mazima, newaakubadde nga buli muntu yenna mulimba. Ebyawandiikibwa bigamba nti,

“Olyoke otuukirire mu bigambo byo,
    era osinge bw’osala omusango.”

(D)Naye obanga obutali butuukirivu bwaffe bulagira ddala obutuukirivu bwa Katonda, tunaayogera ki? Kikyamu Katonda okutunyiigira era n’atubonereza? Mu kino njogera ng’omuntu. (E)Nedda, sikikyamu. Katonda alisalira atya ensi omusango? (F)Naye obanga obulimba bwammwe bweyongera okugulumiza Katonda, nga kiraga Katonda bw’ali ow’amazima, oyinza okwebuuza lwaki okyasalirwa omusango ng’omwonoonyi? (G)Era okyayinza okwongerako na kino nti tukolenga ebibi mulyoke muveemu ebirungi, ng’abamu bwe batuwaayiriza nti, bwe tugamba. Kyokka Katonda mwenkanya, era alibasalira nga bwe kibagwanira.

Tewali mutuukirivu n’omu

(H)Bino byonna bitegeeza ki? Kitegeeza nti ffe Abayudaaya tuli bulungi nnyo okusinga abantu abalala bonna? Nedda, n’akatono. Ffenna tufugibwa kibi, ne bwe baba Abayudaaya oba Abaamawanga. 10 Ng’ebyawandiikibwa bwe bigamba nti:

“Tewali mutuukirivu n’omu.
11     Tewali ategeera
    wadde anoonya Katonda.
12 (I)Bonna baakyama,
    bonna awamu baafuuka kitagasa;
tewali n’omu akola obulungi,
    tewali n’omu.”
13 (J)“Emimiro gyabwe giringa entaana ezaasaamiridde,
    n’emimwa gyabwe gijjudde obulimba.”
“Buli kigambo ekibavaamu kiri ng’obusagwa bw’omusota.”
14     (K)“Emimwa gyabwe gijjudde okukolima n’obukyayi.”
15 “Ebigere byabwe byanguwa okuyiwa omusaayi,
16     buli gye balaga baleka abantu baayo mu kuzikirira na mu nnaku njereere.
17 Tebamanyi kkubo lya mirembe.”
18     (L)“N’okutya tebatya Katonda.”

19 (M)Tumanyi nga buli kyawandiikibwa mu mateeka, kyawandiikibwa ku lw’abo abafugibwa amateeka. Amateeka malambulukufu ku nsonga ezo, omuntu yenna aleme okwekwasa ensonga yonna, ate era ne Katonda okwongera okulaga ng’ensi yonna bwe yasobya. 20 (N)Kubanga tewali n’omu aliweebwa obutuukirivu mu maaso ga Katonda olw’ebikolwa by’amateeka. Mu mateeka mwe tutegeerera ddala ekibi.

Obutuukirivu buva mu Kukkiriza

21 (O)Kale kaakano tutegeere ng’obutuukirivu bwa Katonda tebutuweebwa lwa kugondera Mateeka. Ekyo kikakasibwa Amateeka ne bannabbi. 22 (P)Obutuukirivu bwa Katonda butuweebwa olw’okukkiriza Yesu Kristo. Katonda tasosola. 23 Ffenna twayonoona era tetusaanira kitiibwa kya Katonda. 24 (Q)Kyokka twaweebwa obutuukirivu bwa buwa olw’ekisa kye ekiri mu kununulibwa okuli mu Yesu Kristo; 25 (R)Katonda yaweereza Kristo okuba omutango, bwe tukkiriza Kristo olw’omusaayi gwe yayiwa. Alaga obutuukirivu bwe mu kugumiikiriza ebibi ebyakolebwa edda, be bantu abaayonoona mu biseera biri eby’edda. 26 Kino kiraga Katonda bw’alaga okwaniriza kw’alina eri abantu mu biro bino, bwe baba n’okukkiriza mu Yesu.

27 (S)Kale lwaki twenyumiriza? Tewali nsonga etwenyumirizisa. Lwa kuba nga twagoberera amateeka? Nedda, lwa kukkiriza. 28 (T)Noolwekyo omuntu aweebwa obutuukirivu lwa kukkiriza so si lwa kugoberera mateeka. 29 (U)Oba Katonda wa Bayudaaya bokka? Si ye Katonda w’amawanga amalala gonna? Weewaawo nabo Katonda waabwe. 30 (V)Kubanga ye Katonda omu awa obutuukirivu abaakomolebwa, n’abo abataakomolebwa olw’okukkiriza kwabwe. 31 Kale amateeka tugaggyewo olw’okukkiriza? Kikafuuwe. Tunyweza manyweze.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.