Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Old/New Testament

Each day includes a passage from both the Old Testament and New Testament.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Yobu 32-33

Eriku Ayogera

32 (A)Awo abasajja abo abasatu ne balekeraawo okwogera ne Yobu, kubanga yali yeeraba nga mutuukirivu. (B)Naye Eriku, mutabani wa Balakeri Omubuzi, ow’omu kika kya Laamu, n’anyiigira nnyo Yobu olw’okweraba ng’atalina musango, naye n’anenya Katonda. Yanyiigira ne mikwano gye abasatu, kubanga baalemwa okulumiriza Yobu kyokka nga baali bamusingisizza omusango. Eriku yali alinzeeko okwogera ne Yobu kubanga banne baali bakulu okumusinga. Naye bwe yalaba ng’abasajja bano abasatu tebakyalina kirala kya kwogera, n’anyiiga.

(C)Awo Eriku mutabani wa Balakeri Omubuzi n’addamu n’ayogera nti,

“Nze ndi muto mu myaka,
    mmwe muli bakulu,
kyenavudde ntya
    okubabuulira kye ndowooza.
Nalowoozezza nti, Emyaka gye gisaanye okwogera,
    n’emyaka emingi gye gisaanye okuyigiriza amagezi.
(D)Kyokka omwoyo oguli mu muntu,
    nga gwe mukka gw’oyo Ayinzabyonna, gwe guwa omuntu okutegeera.
(E)Abakadde si be bokka abalina amagezi,
    wadde abakulu bokka okuba nga be bategeera ekituufu.

10 “Kyenva ŋŋamba nti, Mumpulirize,
    nange mbabuulire kye mmanyi.
11 Nassizzaayo omwoyo nga mwogera,
    nawulirizza ensonga ze mwawadde nga munoonya eby’okwogera.
12 Nabawulirizza bulungi.
Kyokka tewali n’omu ku mmwe yalaze Yobu bw’ali omukyamu;
    tewali n’omu ku mmwe eyayanukudde ebigambo bye.
13 (F)Mwegendereze temugamba nti, ‘Tusanze omuntu ow’amagezi;
    muleke Katonda amuwangule so si bantu.’
14 Kyokka Yobu ebigambo bye tabyolekezza nze,
    era sijja kumuddamu na bigambo byammwe.

15 “Basobeddwa, tebalina kya kwogera,
    ebigambo bibaweddeko.
16 Kaakano nsirike busirisi,
    nga bayimiridde buyimirizi, nga tebalina kye boogera?
17 Nange nnina eky’okwogera,
    era nnaayogera kye mmanyi,
18 kubanga nzijjudde ebigambo,
    era omwoyo ogwange gumpaliriza okwogera.
19 Munda mu nze omutima guli nga wayini, asaanikiddwa mu ccupa,
    ng’amaliba amaggya agalindiridde okwabika.
20 Nteekwa okwogera, nsobole okufuna eddembe,
    nteekwa okwasamya akamwa kange mbeeko kye njogera.
21 (G)Sijja kubaako gwe nkwatirwa nsonyi,
    era sijja na kuwaana muntu yenna.
22 Kubanga singa mpaaniriza,
    Omutonzi wange yandyanguye okunziggyawo.”
33 (H)“Kaakano ggwe Yobu, wuliriza ebigambo byange:
    ssaayo omwoyo ku byonna bye njogera.
Laba nnaatera okwasamya akamwa kange,
    ebigambo byange bindi ku lulimi.
(I)Ebigambo byange biva mu mutima omulongoofu;
    olulimi lwange, mu bwesimbu, lwogera bye mmanyi.
(J)Omwoyo wa Katonda ye yankola,
    era omukka gw’oyo Ayinzabyonna gumpa obulamu.
(K)Onnyanukule nno bw’oba osobola,
    teekateeka ebigambo byo onjolekere.
(L)Laba, nange ndi ggwe mu maaso ga Katonda.
    Nange nava mu bbumba.
(M)Tobaako ky’otya,
    sijja kukunyigiriza.
Ddala ddala oyogedde mpulira,
    ebigambo byennyini mbiwulidde ng’ogamba nti,
(N)Ndi mulongoofu sirina kibi,
    siriiko musango so mu nze temuli butali butuukirivu.
10 (O)Kyokka Katonda anteekako omusango,
    anfudde omulabe we.
11 (P)Asiba ebigere byange mu nvuba,
    antwala okuba omulabe we.

12 (Q)“Naye leka nkubuulire, mu kino toli mutuufu.
    Katonda asinga omuntu.
13 (R)Lwaki omwemulugunyiza nti,
    taddamu bigambo bya muntu yenna?
14 (S)Kubanga Katonda ayogerera mu ngeri emu, n’awalala n’ayogerera mu ngeri endala,
    wadde ng’omuntu tassaayo mwoyo.
15 (T)Mu kirooto mu kwolesebwa ekiro
    ng’otulo tungi tukutte abantu
    nga beebase ku bitanda byabwe,
16 (U)aggula amatu g’abantu,
    n’abalabula n’ebyekango,
17 alyoke akyuse omuntu okumuggya mu bikolwa ebibi
    n’amalala,
18 (V)aziyize emmeeme ye okukka mu bunnya,
    n’obulamu bwe buleme okuzikirira n’ekitala.

19 (W)“Omuntu ayinza okubonerezebwa, olumbe ne lumulumira ku kitanda kye,
    n’alumwa olutatadde mu magumba ge,
20 (X)obulamu bwe ne bwetamira ddala emmere,
    emmeeme ye n’ekyayira ddala ebyassava.
21 (Y)Omubiri gwe gugwako ku magumba,
    n’amagumba ge ne gafubutukayo gye gaali geekwese,
22 (Z)emmeeme ye n’esembera kumpi n’obunnya;
    obulamu bwe ne bulaga eri abo abaleeta okufa.
23 (AA)Singa wabaawo malayika ku ludda lwe,
    amuwolereza, omu ku lukumi,
    okubuulira omuntu ekigwanidde;
24 (AB)yandimukwatiddwa ekisa n’amugamba nti,
    ‘Muwonye aleme kusuulibwa magombe,
    mmusasulidde omutango,’
25 (AC)omubiri gwe guzzibwa buggya ng’ogw’omwana omuwere,
    era guddayo ne gubeera nga bwe gwali mu nnaku ze ez’obuvubuka.
26 (AD)Omuntu asaba Katonda, Katonda n’amukwatirwa ekisa.
    Alaba amaaso ga Katonda n’ajaguza n’essanyu,
    Katonda n’amuddiza nate ekifo kye eky’obutuukirivu.
27 (AE)Awo omuntu n’akomawo eri abantu n’abagamba nti,
    Nayonoona, ne nkola ekyo ekitaali kirungi,
    naye ne sibonerezebwa nga bwe kyali kiŋŋwanidde.
28 (AF)Yanunula emmeeme yange n’amponya okukka mu bunnya;
    kyenaava mbeera omulamu ne nsigala nga mpoomerwa ekitangaala.

29 (AG)“Bw’atyo Katonda bw’akola omuntu
    emirundi ebiri oba esatu,
30 (AH)okuzza emmeeme ye ng’agiggya emagombe,
    ekitangaala eky’obulamu kimwakire.

31 “Yobu, weetegereze nnyo, ompulirize;
    siriikirira nkubuulire.
32 Bw’oba ng’olina eky’okwogera kyonna, nziraamu;
    yogera kubanga njagala wejjeerere.
33 (AI)Bwe kitaba kityo, mpuliriza;
    sirika nange nnaakuyigiriza amagezi.”

Ebikolwa by’Abatume 14

14 (A)Awo Pawulo ne Balunabba bwe baatuuka mu Ikoniya ne bayingira mu kkuŋŋaaniro ly’Abayudaaya. Ne babuulira n’amaanyi mangi era abantu bangi Abayudaaya n’Abayonaani ne bakkiriza. Naye Abayudaaya abaagaana okukkiriza ne bassa omutima omubi mu baamawanga okukyawa abooluganda. (B)Ne baabeerayo ebbanga gwanvu nga babuulira n’obuvumu, era Mukama n’akakasanga ekigambo ky’ekisa kye ng’abawa okukola obubonero n’ebyamagero. (C)Naye ekibiina ky’abantu mu kibuga ne kyawukanamu abamu ne bagoberera Abayudaaya n’abalala ne bakkiriza abatume. (D)Abayudaaya n’abakulembeze baabwe awamu n’Abamawanga, ne basala olukwe okubonyaabonya abatume, n’okubakuba amayinja. (E)Naye Pawulo ne Balunabba olukwe ne baluggukamu ne baddukira mu bibuga ebya Lukawoniya ne Lusitula ne Derube, ne mu bitundu ebiriraanyeewo, (F)era n’eyo ne babuulirirayo Enjiri.

Pawulo ne Balunabba mu Lusitula ne Derube

(G)Mu Lusitula mwalimu omusajja eyazaalibwa nga mulema, ng’ebigere bye bigongobavu, nga tatambulangako. (H)N’atuula awo ng’awuliriza Pawulo bye yali ayogera. Pawulo n’amwekaliriza amaaso n’alaba ng’alina okukkiriza okuwonyezebwa. 10 (I)Pawulo n’amugamba mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Yimirira ku bigere byo, weegolole!” Amangwago omusajja n’ayimirira, n’atandika okutambula! 11 (J)Awo ekibiina ky’abantu bwe baalaba Pawulo ky’akoze, ne baleekaanira waggulu mu lulimi lwabwe Olulikaoniya nti, “Bakatonda basse wansi gye tuli nga bali mu kifaananyi ky’abantu!” 12 Balunabba ne bamuyita Zewu, Pawulo ne bamuyita Kerume kubanga ye yali omwogezi omukulu. 13 Awo kabona wa Zewu, eyali ebweru w’ekibuga, n’agenda n’aleeta ente ennume n’ebimuli ku wankaaki, ye n’ekibiina ky’abantu ne baagala okuwaayo ssaddaaka.

14 (K)Naye abatume, Balunabba ne Pawulo, bwe baabiwulira, ne bayuza engoye zaabwe, ne bafubutuka ne bayingira mu kibiina ky’abantu nga baleekaana nga bagamba nti, 15 (L)“Abasajja! Kiki ekibakozesa ebintu bino? Naffe tuli bantu buntu nga mmwe! Twazze tubabuulire mukyuke okuva ku bintu bino ebitaliimu mudde eri Katonda omulamu eyakola eggulu n’ensi, n’ennyanja n’ebintu byonna ebirimu. 16 (M)Mu mirembe egyayita yaleka amawanga gonna okukwata amakubo ge baayagalanga. 17 (N)Kyokka tasigalirangako awo nga talina bujulirwa ng’abakolera ebirungi okuva mu ggulu, ng’aweereza enkuba, n’okubawa ebiro eby’okubalizangamu ebibala n’okubakkusa emmere, era n’okubajjuza essanyu mu mitima gyabwe.” 18 Newaakubadde baabategeeza bwe batyo, naye era katono balemwe okuziyiza ebibiina okubawa ssaddaaka.

19 (O)Awo Abayudaaya ne batuuka nga bava mu Antiyokiya ne mu Ikoniya, ne basasamaza ebibiina, ne bakuba Pawulo amayinja ne bamukulula ne bamutwala ebweru w’ekibuga nga balowooza nti afudde. 20 (P)Naye abayigirizwa ne bajja ne bayimirira okumwetooloola, n’asituka n’addayo mu kibuga! Enkeera ne basitula ne Balunabba ne balaga mu Derube.

Balunabba ne Pawulo badda mu Antiyokiya eky’omu Siriya

21 (Q)Ne babuulira Enjiri mu kibuga ekyo, era abantu bangi ne bakkiriza. Ne baddayo mu Lusitula, ne mu Ikoniya, ne mu Antiyokiya, 22 (R)ne babuulirira abakkiriza, nga babakubiriza banywerere mu kukkiriza, era ne babagamba nti, “Kitugwanidde okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda nga tuyita mu bibonoobono ebingi.” 23 (S)Pawulo ne Balunabba buli kkanisa baagironderamu abakadde. Ne basaba ne basiiba, ne babakwasa Mukama, oyo gwe bakkiriza. 24 Awo ne batambula ne bayita mu Pisidiya ne batuuka e Panfuliya, 25 bwe baamala okubuulira ebigambo mu Peruga, ne beeyongerayo mu Ataliya.

26 (T)Oluvannyuma ne basaabala ku nnyanja okuddayo mu Antiyokiya, gye baali baasigirwa ekisa kya Katonda olw’omulimu gwe baakola. 27 (U)Bwe baatuuka, ne bakuŋŋaanya ekkanisa ne babategeeza ebyafa mu lugendo lwabwe, ne byonna Katonda bye yabakozesa, n’Abamawanga nga bwe yabaggulirawo oluggi olw’okukkiriza. 28 Ne babeera eyo ne bamalayo ebbanga ggwanvu nga bali n’abayigirizwa.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.