Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Old/New Testament

Each day includes a passage from both the Old Testament and New Testament.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
1 Ebyomumirembe 16-18

16 (A)Awo ne baleeta essanduuko ya Mukama, ne bagiyingiza mu weema Dawudi gye yali agisimbidde, ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’emirembe eri Katonda. (B)Awo Dawudi bwe yamala okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’emirembe, n’asabira abantu omukisa mu linnya lya Mukama, era n’agabira buli Muyisirayiri omusajja n’omukazi, omugaati n’ekitole eky’ezabbibu enkalu, n’ekiyungula ky’ennyama.

(C)Yalonda abamu ku Baleevi okuweerezanga mu maaso g’essanduuko ya Mukama, okukoowoola nga basaba, nga beebaza, era nga batendereza Mukama, Katonda wa Isirayiri. Asafu ye yali omukulu waabwe, Zekkaliya n’amuddirira, Yeyeeri n’addako, n’oluvannyuma Semiramosi, ne Yekyeri, ne Mattisiya, ne Eriyaabu, ne Benaya, ne Obededomu, ne Yeyeri, abookukuba entongooli n’ennanga, Asafu ye ng’akuba ebitaasa. Benaya ne Yakaziyeeri bakabona be baafuuwanga amakondeere bulijjo mu maaso g’essanduuko ey’endagaano ya Katonda.

Zabbuli ya Dawudi ey’Okwebaza

(D)Awo ku lunaku olwo, Dawudi n’alagira Asafu n’abantu be yakolanga nabo, basooke okwebaza Mukama nga bagamba nti:

(E)Mwebaze Mukama, mukoowoole erinnya lye,
    mumanyise ebikolwa bye mu mawanga.
(F)Mumuyimbire, muyimbe okumutendereza
    mwogere ku byamagero bye byonna.
10 Erinnya lye ligulumizibwe,
    n’emitima gy’abo abanoonya Mukama gisanyuke.
11 (G)Mutunuulire Mukama n’amaanyi ge;
    munoonye amaaso ge ennaku zonna.

12 (H)Mujjukire ebyewuunyo by’akoze,
    n’ebyamagero bye, n’ensala ye ey’emisango gy’alangirira,
13 mmwe abazzukulu ba Isirayiri, abaweereza be,
    mmwe abaana ba Yakobo, abalonde be.
14 (I)Ye Mukama Katonda waffe;
    okusalawo kwe okw’emisango kubuna ensi yonna.

15 Ajjukira endagaano ye emirembe gyonna,
    n’ekigambo kye yalagira, okutuusa ku mirembe olukumi,
16 (J)gye yakola ne Ibulayimu,
    era n’agirayiza Isaaka.
17 (K)N’aginyweza ng’etteeka eri Yakobo,
    n’eri Isirayiri ng’endagaano ey’olubeerera,
18 (L)ng’agamba nti, “Ndikuwa ensi ya Kanani, ng’omugabo, ogw’obusika bwo.”

19 (M)Omuwendo gwabwe bwe gwali omutono,
    era omutono ddala, nga batambuze mu yo,
20 baatambulatambulanga okuva mu nsi emu okudda mu ndala,
    n’okuva mu bwakabaka obumu okudda mu bantu abalala.
21 (N)Teyaganya muntu n’omu kubanyigiriza;
    weewaawo, yanenya bakabaka ku lwabwe:
22 (O)ng’agamba nti, “Temukwatanga ku abo be nnafukako amafuta,
    so bannabbi bange temubakolanga akabi.”

23 Muyimbire Mukama, mmwe ensi zonna;
    mulangirire obulokozi bwe buli lunaku.
24 Mubuulire ekitiibwa kye mu mawanga,
    n’ebikolwa bye ebyamagero mu bantu bonna.

25 (P)Mukama mukulu era asaanira okutenderezebwa;
    era atiibwenga okusinga bakatonda abalala bonna.
26 (Q)Bakatonda bonna abamawanga bifaananyi,
    naye Mukama ye yakola eggulu.
27 Ekitiibwa n’obukulu biri mu maaso ge,
    amaanyi n’essanyu biri wamu naye.

28 (R)Mugulumize Mukama, mmwe ebika eby’amawanga byonna,
    mutende ekitiibwa kya Mukama awamu n’amaanyi ge.
29     (S)Muyimusize Mukama ekitiibwa ekigwanira erinnya lye;
muleete ekiweebwayo, mujje mu maaso ge;
    musinze Mukama mu kitiibwa ky’obutukuvu bwe.
30 (T)Mukankane mu maaso ge ensi yonna,
    weewaawo ensi nywevu, teyinza kusesetulwa.

31 (U)Eggulu lisanyuke, n’ensi ejaguze;
    boogere mu mawanga nti, “Mukama afuga!”
32 (V)Ennyanja ewuume, n’ebigirimu byonna,
    n’ennimiro zijaguze, n’okujjula kwazo!
33 (W)Awo emiti egy’omu kibira ginaayimba,
    ginaayimbira Mukama n’essanyu,
    kubanga akomawo okusalira ensi omusango.

34 (X)Weebaze Mukama kubanga mulungi;
    era okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
35 (Y)Mwogerere waggulu nti, “Tulokole, Ayi Katonda ow’obulokozi bwaffe;
    tukuŋŋaanye, otulokole eri amawanga,
twebaze erinnya lyo ettukuvu,
    era tujagulize mu ttendo lyo.”
36 (Z)Mukama yeebazibwe, Katonda wa Isirayiri
    ow’emirembe n’emirembe.

Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina, Mukama yeebazibwe.”

37 (AA)Awo Dawudi n’aleka Asafu n’ababeezi be, okuweereza Mukama mu maaso g’essanduuko ey’endagaano ya Mukama, nga bwe kyagwaniranga buli lunaku. 38 (AB)Obededomu n’ababeezi be enkaaga mu omunaana nabo yabaleka baweereze eyo. Obededomu mutabani wa Yedusuni, era ne Kosa be baali abaggazi.

39 (AC)Dawudi yaleka Zadooki, kabona ne bakabona banne mu maaso g’eweema ya Mukama mu kifo ekigulumivu e Gibyoni 40 (AD)okuwangayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama ku kyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa, buli nkya na buli kawungeezi, nga byonna bwe byawandiikibwa mu mateeka ga Mukama, ge yawa Isirayiri. 41 (AE)Kemani ne Yedusuni n’abalala abaalondebwa ne bayitibwa amannya gaabwe okwebaza Mukama, “kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna,” baali wamu nabo. 42 (AF)Era Kemani ne Yedusuni baavunaanyizibwanga okufuuwa amakondeere, n’okukuba ebitaasa, n’okukubira ebivuga ebirala ku luyimba lwa Katonda. Batabani ba Yedusuni baabeeranga ku wankaaki.

43 Awo abantu bonna ne baddayo ewaabwe, ne Dawudi n’addayo okusabira ennyumba ye omukisa.

Okusuubiza kwa Mukama eri Dawudi

17 (AG)Awo Dawudi ng’amaze okukkalira mu nnyumba ye mu lubiri, n’agamba nnabbi Nasani nti, “Teebereza, nze mbeera mu lubiri olwazimbibwa n’emivule, naye nga essanduuko ey’endagaano ya Mukama ebeera mu weema.”

(AH)Nasani n’addamu Dawudi nti, “Ky’olowooza kyonna mu mutima gwo kikole, kubanga Katonda ali wamu naawe.” Ekiro ekyo ekigambo kya Mukama ne kijjira Nasani nti,

(AI)“Genda otegeeze omuddu wange Dawudi nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti si gwe ojja okunzimbira ennyumba mwe nnaabeeranga. Sibeeranga mu nnyumba kasookedde nzija Isirayiri mu Misiri, okutuusa ku lunaku lwa leero. Nvudde mu weema emu ne nzira mu ndala, ne nva mu kifo ekimu ne nzira mu kirala. Mu bifo byonna bye ntambuddemu ne Isirayiri yenna, nnina kye nnali ŋŋambye omulamuzi wa Isirayiri, kw’abo be nalagira okukulembera abantu bange nti, “Kiki ekibalobedde, okunzimbira ennyumba ey’emivule?” ’ 

(AJ)“Kaakano nno tegeeza omuddu wange Dawudi nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’eggye nti, nakuggya ku ttale ng’olunda ndiga, ne nkufuula omukulembeze ow’abantu bange Isirayiri. Mbadde naawe buli gy’ogenze, era nzikiririzza abalabe bo bonna mu maaso go. Ndifuula erinnya lyo okuba ekkulu, ne liba ng’erimu ku g’abasajja abamanyiddwa mu nsi. Era abantu bange Isirayiri ndibawa ekifo, kibeere ekifo kyabwe eky’olubeerera, nga tebatawanyizibwa, n’abantu ababi tebalibacocca, nga bwe baakolanga olubereberye, 10 (AK)era nga bwe bakola kati kasookedde nnonda abalamuzi okufuga abantu bange Isirayiri. Ndikuwa obuwanguzi okuba omukulembeze w’abantu bange Isirayiri. Ndikuwa obuwanguzi eri abalabe bo bonna.

“ ‘Nkirangirira gy’oli kaakano nti Mukama alikuzimbira ennyumba: 11 Ennaku zo bwe zirituuka, era n’ogenda okubeera ne bajjajjaabo, ndiyimusa ezzadde lyo okuba obusika bwo, omu ku batabani bo ddala, era ndinyweza obwakabaka bwe. 12 (AL)Oyo y’alinzimbira ennyumba, era ndinyweza entebe ey’obwakabaka bwe emirembe gyonna. 13 (AM)Ndiba kitaawe, naye aliba mwana wange, era sirimukyawa, nga bwe nakyawa oyo eyakusooka. 14 (AN)Ye y’aliba omukulu mu nnyumba yange ne mu bwakabaka bwange emirembe gyonna, era entebe ye ey’obwakabaka eribeerera emirembe gyonna.’ ”

15 Awo Nasani n’ategeeza Dawudi ebigambo byonna eby’okubikkulirwa okwo.

Esaala ya Dawudi

16 Awo Kabaka Dawudi n’agenda n’atuula mu maaso ga Mukama n’ayogera nti,

“Nze ani, Ayi Mukama Katonda, era ennyumba yange kye ki, gwe okuntuusa wano? 17 Kino tekyali kitono mu maaso go, okwogera ku bigenda okuba ku nnyumba ey’omuddu wo, n’ontunuulira ng’omu ku basajja abasingirayo ddala ekitiibwa, Ayi Mukama Katonda.

18 “Dawudi ayinza kwongerako ki ku ebyo okumuwa ekitiibwa bwe kityo, kubanga ggwe omanyi omuddu wo. 19 (AO)Olw’omuddu wo Ayi Mukama Katonda, n’olw’okusiima kwo, okoze ebintu bino ebikulu, era n’osuubiza ebintu ebyo byonna ebikulu bwe bityo.

20 (AP)“Tewaliwo akufaanana, Ayi Mukama, era tewali Katonda mulala wabula ggwe, okusinziira ku bye twewuliridde n’amatu gaffe. 21 (AQ)Era ggwanga ki mu nsi erifaanana ng’abantu bo Isirayiri, eggwanga Katonda lye wanunula ggwe kennyini, ne weekolera erinnya, era n’okola ebikolwa eby’amaanyi, n’ebyewunyisa bwe wagoba amawanga okuva mu maaso g’abantu bo, be wanunula okuva mu Misiri? 22 (AR)Abantu bo Abayisirayiri wabafuulira ddala babo emirembe gyonna, era ggwe Ayi Mukama wafuuka Katonda waabwe.

23 (AS)“Kaakano, Ayi Mukama Katonda, kye wasuubiza omuddu wo n’ennyumba ye kinywezebwe emirembe gyonna. 24 Kola nga bwe wasuubiza, erinnya lyo ligulumizibwenga emirembe gyonna, n’abantu boogerenga nti, Mukama ow’Eggye, Katonda afuga Isirayiri, ye Katonda wa Isirayiri! Era ennyumba ey’omuddu wo Dawudi erinywezebwa mu maaso go.

25 “Ayi Katonda wange, wakibikulidde omuddu wo nti olimuzimbira ennyumba, era omuddu wo kyavudde ajja okukwebaza. 26 Ggwe Ayi Mukama oli Katonda, era osuubizza omuddu wo ebirungi ebyo. 27 (AT)Kaakano osiimye okuwa ennyumba ey’omuddu wo omukisa, ebeerewo emirembe gyonna mu maaso go kubanga, ggwe Ayi Mukama Katonda ogiwadde omukisa, era egya kuba ya mukisa emirembe gyonna.”

Obuwanguzi bwa Dawudi

18 Awo oluvannyuma lw’ebyo, Dawudi n’awangula Abafirisuuti, era n’awamba ne Gaasi n’ebyalo ebyali bikyetoolodde okuva mu mukono gw’Abafirisuuti. (AU)Dawudi n’awangula n’Abamowaabu, ne bafuuka baddu be, ne bamuwanga obusuulu. (AV)Ate era Dawudi yalwanagana ne Kadalezeri kabaka w’e Zoba okutuukira ddala e Kamasi, bwe yali ng’anyweza okufuga kwe ku nsalo ey’Omugga Fulaati. (AW)Dawudi n’amuwambako amagaali lukumi, n’abeebagala embalaasi abasajja kasanvu, n’abasajja abeebigere emitwalo ebiri. Embalaasi endala zonna ez’amagaali n’azitema enteega, ne yeerekerawo kikumi.

(AX)Awo Abasuuli ab’e Ddamasiko bwe bajja okudduukirira Kadalezeri kabaka w’e Zoba, Dawudi n’abattamu abantu emitwalo ebiri mu enkumi bbiri. N’ateeka olusiisira lw’eggye lye mu Busuuli e Ddamasiko, era Abasuuli baafuuka baweereza be, ne bamutonera ebirabo. Mukama n’awa Dawudi obuwanguzi buli gye yatabaalanga.

Dawudi n’atwala engabo eza zaabu abaserikale ba Kadalezeri ze baasitulanga, n’azireeta e Yerusaalemi. (AY)Mu Tibukasi ne mu Kuni, ebibuga ebyali ebya Kadadezeri n’aggyayo ebikomo bingi nnyo, era ebyo Sulemaani bye yakolamu ennyanja ey’ekikomo, n’empagi, n’ebintu eby’ebikomo ebirala. Awo kabaka Toowu ow’e Kamasi bwe yawulira nga Dawudi awangudde eggye lyonna erya Kadadezeri, kabaka w’e Zoba 10 n’atuma mutabani we Kadolaamu eri kabaka Dawudi okumulamusaako n’okumuyozaayoza okuwangula olutalo wakati we ne Kadadezeri, kubanga Kadadezeri yalwananga ne Toowu. Kadolaamu yaleeta zaabu, n’effeeza, n’ebikomo, nga bya ngeri za ngyawulo.

11 (AZ)Ebintu byonna ebyaleetebwa, kabaka Dawudi yabiwonga eri Mukama, nga bwe yakola effeeza ne zaabu gye yawamba ku mawanga amalala nga Edomu ne Mowaabu, n’Abamoni, n’Abafirisuuti, ne Amaleki. 12 (BA)Ye Abisaayi mutabani wa Zeruyiya yattira abasajja ba Edomu omutwalo gumu mu kanaana mu Kiwonvu eky’Omunnyo. 13 Era yateeka olusiisira lw’abaserikale mu Edomu, era aba Edomu bonna ne bafuuka baweereza ba Dawudi. Mukama n’awa Dawudi obuwanguzi mu bifo byonna gye yatabaalanga.

14 (BB)Dawudi n’afuga Isirayiri yenna, mu bwenkanya ne mu butuukirivu abantu be bonna.

15 (BC)Yowaabu mutabani wa Seruyiya ye yali omuduumizi w’eggye;

Yekosafaati mutabani wa Akirudi nga ye mujjukiza;

16 (BD)Zadooki mutabani wa Akitubu ne Abimereki mutabani wa Abiyasaali be baali bakabona;

Savusa ye yali muwandiisi;

17 (BE)Benaya mutabani wa Yekoyaada ye yakuliranga Abakeresi n’Abaperesi;

ate batabani ba Dawudi baali bakungu bakulu ddala era nga babeera ku lusegere lwa kabaka.

Yokaana 7:28-53

28 (A)Awo Yesu bwe yali ng’akyayigiriza mu Yeekaalu n’akangula ku ddoboozi n’agamba nti, “Ddala mummanyi ne gye nva mumanyiiyo. Sajja ku bwange wabula ekituufu nti oyo eyantuma gwe mutamanyi. 29 (B)Nze mmumanyi, kubanga nava gy’ali, era ye yantuma.”

30 (C)Awo ne basala amagezi okumukwata, kyokka tewaali amukwatako, kubanga ekiseera kye kyali tekinnaba kutuuka. 31 (D)Naye bangi mu bibiina by’abantu ne bamukkiriza, ne bagamba nti, “Kale Kristo bw’alijja, alikola eby’amagero ebisinga eby’ono byakoze?”

32 Awo Abafalisaayo ne bawulira abantu nga boogera ku Yesu mu bwama. Awo bakabona abakulu n’Abafalisaayo ne batuma abaweereza baabwe okumukwata. 33 (E)Awo Yesu n’agamba nti, “Nzija kumala nammwe ebbanga ttono, ndyoke nzireyo eri oyo eyantuma. 34 (F)Mulinnoonya, naye temugenda kundaba, nga gye ndi, mmwe temuyinza kutuukayo.”

35 (G)Awo Abayudaaya ne beebuuzaganya nti, “Omuntu ono alaga wa gye tutalimulabira? Ayagala kugenda eri abo abaasaasaanira mu Buyonaani, ayigirize Abayonaani? 36 Ategeeza ki bw’agamba nti, ‘Mulinnoonya, naye temulindaba?’ Era nti, ‘Gye ndaga temuyinza kutuukayo?’ ”

Ensulo z’Amazzi amalamu

37 (H)Awo ku lunaku olw’embaga olusembayo, olusingira ddala obukulu, Yesu n’ayimirira n’ayogera n’eddoboozi ery’omwanguka n’agamba nti, “Buli alina ennyonta, ajje gye ndi anywe! 38 (I)Ng’Ekyawandiikibwa bwe kigamba nti buli akkiriza Nze emigga egy’amazzi amalamu girikulukuta nga gifuluma mu mutima gwe!” 39 (J)Yesu yali ayogera ku Mwoyo Mutukuvu, abamukkiriza gwe baali bagenda okufuna, kubanga Mwoyo oyo yali tannagabibwa, kubanga Yesu yali tannaba kugulumizibwa.

40 (K)Abantu abamu mu kibiina bwe baawulira ng’ayogera bw’atyo, ne bagamba nti, “Ddala omuntu ono ye Nnabbi.” 41 (L)Abalala ne bagamba nti, “Omuntu ono ye Kristo.” Naye abalala ne bagamba nti, “Nedda, Kristo tayinza kuba ng’ava mu Ggaliraaya.” 42 (M)Kubanga Ekyawandiikibwa kigamba nti: Kristo wa kuva mu zzadde lya Dawudi, era nga wa kuzaalibwa mu Besirekemu, ekibuga kya Dawudi mwe yali. 43 (N)Awo ekibiina ne kyesalamu olwa Yesu. 44 (O)Abamu ne baagala okumukwata, kyokka ne wabulawo amukwatako.

Obutakkiriza bw’Abakulembeze b’Abayudaaya

45 Awo abaweereza b’abakabona abakulu n’Abafalisaayo ne baddayo eri bakabona abakulu n’Abafalisaayo. Abakulembeze Ne bababuuza nti, “Lwaki temumuleese?” 46 (P)Abaweereza ne baddamu nti, “Ebigambo by’ayogera bya kitalo, tetubiwulirangako.” 47 (Q)Abafalisaayo ne babagamba nti, “Era nammwe abakyamizza? 48 (R)Waliwo n’omu ku bakulembeze wadde ku Bafalisaayo eyali akkiririzza mu muntu oyo? 49 Naye ekibiina ky’abantu bano abatamanyi mateeka, bakolimiddwa!”

50 (S)Awo Nikodemo, omu ku bo eddako eyagenda eri Yesu, n’abuuza nti, 51 “Amateeka gaffe gakkiriza okusalira omuntu omusango nga tannaba kuwozesebwa okutegeera ky’akoze?” 52 (T)Ne bamuddamu nti, “Naawe wava Ggaliraaya? Nnoonyereza, ojja kulaba nti e Ggaliraaya teva nnabbi.”

53 Awo ne baabuka, buli omu n’addayo eka.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.