Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Old/New Testament

Each day includes a passage from both the Old Testament and New Testament.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
1 Bassekabaka 10-11

Okukyala kwa Kabaka Omukazi ow’e Seeba

10 (A)Awo kabaka omukazi ow’e Seeba bwe yawulira ettutumo lya Sulemaani n’okwagala kwe yalina eri Mukama, n’ajja amugezese n’ebibuuzo ebizibu. Yatuuka mu Yerusaalemi, n’ekibiina ky’abantu ekinene ennyo, n’eŋŋamira ezaali zeetisse ebyakaloosa, ne zaabu ennyingi ennyo, n’amayinja ag’omuwendo. Yanyumya ne Sulemaani ku ebyo byonna ebyali ku mutima gwe. Awo Sulemaani n’addamu ebibuuzo byonna, era tewaali na kimu ku byo ekyamuzibuwalira. Kabaka omukazi ow’e Seeba bwe yalaba amagezi ga Sulemaani ago gonna, n’olubiri lwe yazimba, (B)n’emmere eyagabulwanga ku mmeeza ye, n’engeri abakungu be gye baatuuzibwangamu, n’ennyambala y’abaddu be, n’abasenero be, n’ebiweebwayo ebyokebwa bye yawangayo mu yeekaalu ya Mukama, ne yeewunya nnyo.

N’amugamba nti, “Bye nawulira nga ndi mu nsi yange, ku ebyo by’okoze n’amagezi go, bya mazima. (C)Ssakkiriza bigambo ebyo okutuusa lwe neesitukira ne nzija neerabireko n’agange. Kya mazima ddala nabulirwako kitundu butundu kyokka; kubanga amagezi go, n’obugagga bwo bisinga ku ebyo bye nawulira. (D)Abasajja bo nga beesiimye! N’abakungu abayimirira mu maaso go ne bawulira ebigambo eby’amagezi nga beesiimye! (E)Yeebazibwe Mukama Katonda wo akusanyukira era akutadde ku ntebe ey’obwakabaka bwa Isirayiri. Olw’okwagala kwa Mukama okutaggwaawo, akufudde kabaka, okukuuma obwenkanya n’obutuukirivu.”

10 (F)N’agabira kabaka ttani nnya eza zaabu, n’ebyakaloosa bingi nnyo nnyini, n’amayinja ag’omuwendo. Tewaaleetebwa nate byakaloosa byenkana awo obungi ng’ebyo kabaka omukazi ow’e Seeba bye yawa Sulemaani.

11 (G)(Emmeeri za Kiramu zaaleetanga zaabu okuva e Ofiri, n’emitoogo mingi, era n’amayinja ag’omuwendo. 12 Kabaka yakozesa emitoogo okukola empagi za yeekaalu ya Mukama Katonda n’ez’olubiri lw’obwakabaka, n’okukola ennanga, n’entongooli z’abayimbi. Tewalabikanga mitoogo mingi bwe gityo n’okutuusa ku lunaku lwa leero.)

13 Awo kabaka Sulemaani n’awa kabaka omukazi ow’e Seeba byonna bye yayagala ne bye yasaba, obutassaako ebyo Sulemaani bye yamuwa okuva ku byobugagga bw’obwakabaka bwe. Oluvannyuma kabaka omukazi ow’e Seeba n’addayo mu nsi ye n’ekibiina ky’abantu be, be yajja nabo.

Obugagga bwa Sulemaani

14 (H)Obuzito obwa zaabu obwaleetebwanga eri Sulemaani buli mwaka bwali ttani amakumi abiri mu ssatu, 15 nga tobaliddeeko musolo ogwawebwangayo abasuubuzi n’ab’ebyamaguzi, ate era n’ogwasoloozebwanga okuva ku bakabaka Abawalabu bonna ne bagavana.

16 (I)Kabaka Sulemaani yaweesa engabo ennene ebikumi bibiri mu zaabu, buli ngabo ng’erimu kilo ssatu n’ekitundu eza zaabu. 17 (J)Yakola n’engabo entono ebikumi bisatu, nga nazo za zaabu, buli ngabo nga ya kilo emu n’ekitundu eza zaabu. Ezo zonna kabaka yaziterekanga mu lubiri olwazimbibwa mu miti egyava mu kibira kya Lebanooni.

18 Awo kabaka n’akola entebe ey’obwakabaka ennene ddala nga ya masanga n’agibikkako zaabu ennongoose. 19 Entebe ey’obwakabaka yalina amadaala mukaaga, waggulu waayo aweesigamwa nga weekulungirivu. Eruuyi n’eruuyi w’entebe waaliyo empologoma nga ziyimiridde ku mabbali g’emikono. 20 Empologoma kkumi na bbiri zaali ku madaala mukaaga, eruuyi mukaaga n’eruuyi mukaaga. Tewaali ntebe ndala yonna ey’obwakabaka eyali ekoleddwa eri ng’eyo mu bwakabaka obulala bwonna mu biseera ebyo. 21 Ebikompe byonna ebya kabaka Sulemaani byali bya zaabu, ne byonna ebyali mu lubiri lwe olwakolebwa mu kibira kya Lebanooni. Tewali kyakolebwa mu ffeeza, kubanga ffeeza teyali ya muwendo nnyo mu biro ebyo. 22 (K)Kabaka yalina ebyombo ebya maguzi ku nnyanja ebyakozesebwanga awamu n’ebya Kiramu, ebyaleetanga zaabu, ne ffeeza, n’amasanga, n’enkobe n’enkima eza buli ngeri omulundi gumu mu buli myaka esatu.

23 (L)Kabaka Sulemaani yalina obugagga bungi nnyo nnyini, n’amagezi mangi nnyo okusinga bakabaka abalala bonna ku nsi. 24 (M)Ensi yonna yanoonyanga era yeesunganga okulaba ku Sulemaani n’okuwuliriza amagezi, Katonda ge yamuwa. 25 Buli mwaka, buli omu eyajjanga okumukyalira, yamuleeteranga ekirabo, oluusi yabeeranga zaabu ne ffeeza, oluusi ngoye, oluusi byakulwanyisa, oluusi byakaloosa, oluusi mbalaasi n’ennyumbu.

26 (N)Sulemaani yakuŋŋaanya embalaasi n’amagaali, era yalina amagaali lukumi mu bina, n’abeebagazi b’embalaasi omutwalo gumu mu enkumi bbiri, be yakuumiranga mu bibuga omwakuumirwanga amagaali, ne mu Yerusaalemi okumpi naye. 27 (O)Kabaka n’afuula ffeeza okuba ng’amayinja aga bulijjo mu Yerusaalemi, n’emivule n’agifuula okuba ng’emisukamooli egiri mu biwonvu olw’obungi bwagyo. 28 Embalaasi za Sulemaani zaagulibwanga mu Misiri. 29 (P)Eggaali zaagulibwanga kilo musanvu eza ffeeza, na buli mbalaasi ng’egulibwa kilo emu n’ekitundu eza ffeeza mu Misiri. Ate era baazitunzanga ne bakabaka ab’Abakiiti ne bakabaka ab’e Busuuli.

Abakazi ba Sulemaani

11 (Q)Kabaka Sulemaani yayagala abakazi bannaggwanga bangi: Abamowaabu, n’Abamoni, n’Abayedomu, n’Abasidoni, n’Abakiiti, ng’okwo kw’ogasse muwala wa Falaawo, (R)nga bava mu mawanga Mukama ge yayogerako ng’alabula Abayisirayiri nti, “Temufumbiriganwanga nabo kubanga tebalirema kukyusa mitima gyammwe okugoberera bakatonda baabwe.” Naye omutima gwa Sulemaani ne guwugulwa, era naabagala. Sulemaani yalina abakyala lusanvu abambejja, n’abakazi abalala ebikumi bisatu, era abo bonna ne bamuwabya. (S)Mu bisera bya Sulemaani eby’obukadde, bakyala be ne basendasenda omutima gwe okugoberera bakatonda abalala. (T)N’atanula okusinza Asutoleesi katonda omukazi ow’Abasidoni, ne Mirukomu katonda ow’omuzizo ow’Abamoni. Sulemaani n’akola ebitaali bya butuukirivu mu maaso ga Mukama n’atagobererera ddala Mukama, n’atakola nga Dawudi kitaawe bwe yakola.

(U)Sulemaani n’azimba ebifo ebigulumivu ku kasozi[a] akali ebuvanjuba w’e Yerusaalemi, ng’abizimbira Kemosi katonda ow’omuzizo ow’Abamowaabu, ne Moleki katonda ow’omuzizo ow’Abamoni. Bakyala be bonna bannamawanga, abaayoterezanga obubaane eri bakatonda baabwe, nabo n’abakolera bw’atyo. (V)Mukama n’asunguwalira Sulemaani kubanga omutima gwe gwava ku Mukama Katonda wa Isirayiri, eyamulabikira emirundi ebiri. 10 (W)Newaakubadde nga Mukama yali alabudde Sulemaani obutagoberera bakatonda abalala, Sulemaani teyagondera kiragiro kya Mukama. 11 (X)Mukama kyeyava agamba Sulemaani nti, “Olw’empisa zo, n’obutakuuma ndagaano yange newaakubadde okugondera amateeka gange ge nakulagira, ndikuggyako obwakabaka, ne mbuwa omu ku baddu bo. 12 Naye olwa Dawudi kitaawo, ekyo sirikikola mu biro byo, ndikikola, mutabani wo atandise okufuga. 13 (Y)Ate era sirimuggyako bwakabaka bwonna, naye ndimuwa ekika kimu ku lwa Dawudi omuddu wange, n’olwa Yerusaalemi, kye neerondera.”

Abalabe ba Sulemaani

14 Awo Mukama n’ayimusiza Sulemaani omulabe erinnya lye Kadadi Omwedomu, ow’olulyo olulangira mu Edomu. 15 (Z)Emabegako Dawudi bwe yali alwana ne Edomu, Yowaabu omuduumizi w’eggye eyali agenze okuziika Abayisirayiri abaali battiddwa, yasigalayo n’atta abasajja bonna mu Edomu. 16 Yowaabu n’Abayisirayiri bonna be yagenda nabo ne babeera eyo okumala emyezi mukaaga, okutuusa lwe baasaanyaawo abasajja bonna mu Edomu. 17 Naye Kadadi, ng’akyali mulenzi, yaddukira e Misiri n’abakungu abamu Abayedomu abaweerezanga kitaawe. 18 (AA)Ne bagolokoka okuva mu Midiyaani okugenda e Palani. Ne bafuna abasajja okuva mu Palani, ne bagenda e Misiri, ewa Falaawo, ye kabaka w’e Misiri, eyamuwa ennyumba ne ttaka, era n’amuwanga n’emmere ey’okulya.

19 Awo Kadadi n’alaba ekisa mu maaso ga Falaawo n’okumuwa n’amuwa mulamu we, muganda wa Tapenesi kaddulubaale, okumufumbirwa. 20 Muganda wa Tapenesi n’azaalira Kadadi omwana wabulenzi n’amutuuma Genubasi, era Tapenesi n’amutwala mu lubiri okumulabirira. Genubasi n’akulira eyo wamu n’abaana ba Falaawo.

21 Kadadi bwe yali mu Misiri, n’awulira nti Dawudi yeebakira wamu ne bajjajjaabe era nga ne Yowaabu omuduumizi w’eggye yafa, n’agamba Falaawo nti, “Ka nzireyo ewaffe mu nsi yange.”

22 Falaawo n’amubuuza nti, “Kiki ky’otofunye wano, ekikwagaza okuddayo mu nsi yo?” Kadadi n’amuddamu nti, “Tewali, naye nzikiriza ŋŋende.”

23 (AB)Katonda n’ayimusiza Sulemaani, omulabe omulala, erinnya lye Lezoni mutabani wa Eriyada, eyali adduse ku mukama we Kadadezeri kabaka w’e Zoba. 24 (AC)Dawudi bwe yatta eggye ly’e Zoba, Lezoni n’akuŋŋaanya abasajja abajeemu n’afuuka mukulu waabwe, n’addukira e Ddamasiko, n’akiwamba, n’abeera eyo nga gy’afugira. 25 (AD)Yali mulabe wa Isirayiri ennaku zonna ez’obulamu bwa Sulemaani, ng’okwo kw’otadde emitawaana Kadadi gye yaleetera Isirayiri. Lezoni n’addukira mu Alamu, era n’abeera mulabe wa Isirayiri omuzibu ennyo.

Yerobowaamu Ajeemera Sulemaani

26 (AE)Yerobowaamu mutabani wa Nebati, Omwefulayimu ow’e Zereda, nnyina nga ye nnamwandu wa Zeruwa, ate nga y’omu ku bakungu ba Sulemaani, n’ajeemera kabaka. 27 (AF)Eno y’engeri gye yajeemeramu kabaka: Sulemaani yali azimbye obusenge obuwagika, ng’azibye ebituli ebyali mu bbugwe ow’ekibuga kya Dawudi kitaawe. 28 (AG)Yerobowaamu yali musajja mwesimbu, era Sulemaani bwe yalaba omulimu gwe omulungi, n’amusiima n’amufuula omukulu w’emirimu gyonna egy’amaanyi mu nnyumba ya Yusufu. 29 (AH)Awo mu biro ebyo Yerobowaamu bwe yali ng’ava mu Yerusaalemi, n’asisinkana Akiya nnabbi w’e Siiro ng’ayambadde ekyambalo ekiggya, baali bokka ku ttale. 30 (AI)Akiya n’addira ekyambalo kye n’akiyuzaamu ebitundu kkumi na bibiri. 31 (AJ)N’agamba Yerobowaamu nti, “Weetwalire ebitundu kkumi, kubanga bw’atyo bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Laba, ŋŋenda kuggya ku Sulemaani obwakabaka, nkuweeko ebika kkumi. 32 Naye olw’omuddu wange Dawudi n’ekibuga Yerusaalemi, kye neerondera mu bika byonna ebya Isirayiri, alisigazaako ekika kimu. 33 (AK)Kino ndikikola kubanga banvuddeko ne basinza Asutoleesi katonda omukazi ow’Abamoni, ne batatambulira mu kkubo lyange, wadde okukola ebituufu mu maaso gange newaakubadde okugondera ebiragiro byange oba amateeka gange, nga Dawudi kitaawe wa Sulemaani bwe yakola.

34 “ ‘Naye Sulemaani sirimuggyako bwakabaka bwonna, wabula ndimuleka nga y’afuga ennaku zonna ez’obulamu bwe olw’omuddu wange Dawudi, gwe nalonda era eyagondera amateeka n’ebiragiro byange. 35 Ndiggya obwakabaka ku mutabani wa Sulemaani, ne nkuwa ebika kkumi. 36 (AL)Ekika ekimu ndikiwa mutabani we, omuddu wange Dawudi abeerenga n’ettabaaza mu maaso gange mu Yerusaalemi, ekibuga kye neeroboza olw’erinnya lyange. 37 (AM)Wabula, ggwe ndikutwala, era olifuga wonna omutima gwo gye gulisiima, era olibeera kabaka wa Isirayiri. 38 (AN)Bw’onoogonderanga byonna bye nkulagira n’otambuliranga mu makubo gange, era n’okolanga ebituufu mu maaso gange ng’okugonderanga ebiragiro n’amateeka gange, nga Dawudi omuddu wange bwe yakola, nnaabeeranga naawe. Ndikukolera ekika eky’enkalakkalira, nga kye nakolera Dawudi, era ndikuwa ne Isirayiri. 39 Kyendiva nzikakkanya ezzadde lya Dawudi, naye si bbanga lyonna.’ ”

40 (AO)Sulemaani n’agezaako okutta Yerobowaamu, naye Yerobowaamu n’addukira e Misiri, ewa Sisaki[b] kabaka waayo, n’abeera eyo okutuusa Sulemaani bwe yafa.

Okufa kwa Sulemaani

41 Ebyo byonna ebyabaawo ku mulembe gwa Sulemaani, ne byonna bye yakola, n’amagezi ge yalaga, byawandiikibwa mu bitabo eby’ebyafaayo ebya Sulemaani. 42 Sulemaani yafuga Isirayiri yonna ng’ali mu Yerusaalemi okumala emyaka amakumi ana. 43 (AP)N’afa n’aziikibwa mu kibuga kya Dawudi kitaawe. Awo Lekobowaamu mutabani we n’amusikira.

Lukka 21:20-38

Okuzikirizibwa kwa Yerusaalemi

20 (A)“Bwe mulabanga nga Yerusaalemi kyetooloddwa amaggye, nga mutegeera nga Okuzikirizibwa kw’ekibuga ekyo kutuuse. 21 (B)Abo abalibeera mu Buyudaaya baddukiranga ku nsozi, abaliba mu Yerusaalemi bakivangamu ne badduka, n’abo abalibeera mu nnimiro tebakomangawo mu kibuga. 22 (C)Kubanga ebyo bye biriba ebiseera Katonda mwaliwolera eggwanga, n’ebigambo ebiri mu Byawandiikibwa birituukirizibwa. 23 Nga ziribasanga abakazi abaliba embuto n’abayonsa! Kubanga eggwanga liribonaabona, n’abantu baalyo balisunguwalirwa. 24 (D)Abamu balittibwa n’ekitala ky’omulabe, abalala balikwatibwa ne bawaŋŋangusibwa mu mawanga gonna amalala ag’oku nsi. Yerusaalemi kiriwangulwa bannaggwanga ne bakirinnyirira okutuusa ekiseera kyabwe eky’obuwanguzi lwe kirikoma mu kiseera Katonda ky’aliba ateesezza.”

Okujja kw’Omwana w’Omuntu

25 (E)“Walibaawo obubonero ku njuba, ne ku mwezi, ne ku mmunyeenye. Wano ku nsi amawanga galibeera mu kunyolwa, olw’ab’amawanga, ng’abantu basamaaliridde olw’ennyanja eziyira n’amayengo ageesiikuula. 26 (F)Abantu baliggwaamu amaanyi ne bazirika nga batidde nnyo olw’ebirijja ku nsi; kubanga amaanyi g’eggulu galinyeenyezebwa. 27 (G)Mu kiseera ekyo muliraba Omwana w’Omuntu ng’ajjira mu kire n’obuyinza n’ekitiibwa kingi. 28 (H)Kale ebintu ebyo bwe bitandikanga muyimiriranga butereevu ne muyimusa amaaso gammwe waggulu! Kubanga okulokolebwa kwammwe nga kusembedde.”

Eky’okuyiga ku muti omutiini

29 Awo Yesu n’abagerera olugero luno nti, “Mutunuulire omuti omutiini n’emiti emirala gyonna. 30 Bwe mulaba nga gitandise okutojjera, mumanya ng’ebiseera eby’ebbugumu bituuse. 31 (I)Mu ngeri y’emu bwe muliraba ebintu nga bibaawo, nga mumanya nti obwakabaka bwa Katonda buli kumpi okutuuka.

32 (J)“Ddala ddala mbagamba nti omulembe guno teguliggwaawo okutuusa ng’ebintu ebyo byonna bituukiridde. 33 (K)Eggulu n’ensi biriggwaawo, naye ebigambo byange tebigenda kuggwaawo.

34 (L)“Mwekuume muleme okwemalira mu binyumu n’okutamiira, n’okweraliikirira eby’obulamu, okujja kwange okw’amangu kuleme kubakwasa nga temugenderedde ng’abagudde mu mutego. 35 Kubanga olunaku olwo lulituuka ku buli muntu mu nsi yonna. 36 (M)Mutunule nga musaba Katonda buli kiseera, abawe amaanyi okubasobozesa okuwona ebintu ebyo byonna, Omwana w’Omuntu bw’alijja mulyoke musobole okuyimirira mu maaso ge.”

37 (N)Buli lunaku Yesu yayigirizanga mu Yeekaalu, bwe bwawungeeranga n’ava mu kibuga n’asula ku lusozi oluyitibwa olwa Zeyituuni. 38 (O)Mu makya abantu bonna ne bajjanga mu Yeekaalu okumuwuliriza.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.