M’Cheyne Bible Reading Plan
Yakobo ne Esawu Basisinkana
33 (A)Awo Yakobo n’ayimusa amaaso ge n’alaba Esawu ng’ajja ng’ali n’abasajja ebikumi bina. Yakobo n’alyoka ayawulamu abaana abaali ne Leeya ne Laakeeri awamu n’abaweereza be abakazi ababiri. 2 Abaweereza n’abaana baabwe ne bakulembera, Leeya n’abaana be ne baddako, Laakeeri ne Yusufu ne basembayo. 3 (B)Ye Yakobo ng’abakulembedde, nga bw’avuunama ku ttaka emirundi musanvu, okutuusa lwe yatuuka okumpi ne muganda we.
4 (C)Naye Esawu n’adduka okumusisinkana, n’amulamusa ng’amugwa mu kifuba n’amunywegera; bombi ne bakaaba. 5 (D)Esawu bwe yayimusa amaaso ge n’alaba abakazi n’abaana, n’abuuza Yakobo nti, “Bano baani abali naawe?” Yakobo n’amuddamu nti, “Be baana Katonda baawadde omuddu wo mu kisa kye.”
6 Awo abaweereza be abakazi n’abaana baabwe ne basembera, ne bavuunama, mu ngeri y’emu. 7 Leeya n’abaana be nabo ne basembera ne bavuunama. Oluvannyuma Yusufu ne Laakeeri ne basembera nabo ne bavuunama. 8 (E)Esawu n’abuuza Yakobo nti, “Otegeezaaki olwa bino byonna bye nsanze?” Yakobo n’addamu nti, “Lwa kufuna kusaasirwa kwa mukama wange.”
9 Naye ye Esawu n’amugamba nti, “Bye nnina bimmala, muganda wange, by’olina beera nabyo.” 10 (F)Yakobo n’amuddamu nti, “Nedda nkwegayiridde, obanga nfunye okusaasirwa mu maaso go, kale kkiriza ekirabo kyange ekivudde mu ngalo zange. Kubanga ddala okulaba ku maaso go kiri ng’okulaba amaaso ga Katonda, olw’ekisa ekyo ky’onnyaniririzzaamu. 11 (G)Nkwegayiridde kkiriza ekirabo kyange ekikuleeteddwa, kubanga Katonda andaze ekisa kye, era siri mu bwetaavu.” Bw’atyo Esawu n’akikkiriza.
12 Awo Esawu n’agamba nti, “Kale tutambule, nze nzija okukukulemberamu.”
13 Naye Yakobo n’amuddamu nti, “Mukama wange amanyi nti abaana banafu, era n’ebisibo biyonsa, era singa bitambuzibwa awatali busaasizi bijja kufa. 14 (H)Mukama wange k’aleke omuddu we, nze nzija kujja mpola, okusinziira ku ntambula y’ebisolo ebikulembedde, era ne ku ntambula y’abaana, okutuusa lwe ndituuka mu Seyiri.”
Yakobo agenda e Sekemu
15 (I)Awo Esawu n’agamba Yakobo nti, “Kale ka ndeke abamu ku basajja abali nange.” Naye Yakobo n’amuddamu nti, “Tekyetaagisa. Kale nsaba ekisa mu maaso ga mukama wange.” 16 Bw’atyo Esawu n’addayo ku lunaku olwo mu Seyiri. 17 (J)Naye Yakobo n’alaga mu Sukkosi, ne yeezimbira ennyumba, n’azimbira n’ensolo ebisiisira; ekifo ekyo kyekiva kiyitibwa Sukkosi.
18 (K)Era Yakobo n’atuuka mirembe mu kibuga Sekemu, mu nsi ya Kanani, ng’ava e Padanalaamu, n’asiisira okwolekera ekibuga. 19 (L)Abaana ba Kamoli kitaawe wa Sekemu ne bamuguza ekitundu mwe yasiisira, n’abasasula ebitundu bya ffeeza kikumi. 20 N’azimbira eyo ekyoto n’akiyita Ekyoto kya Katonda wa Isirayiri.
Olugero lw’Omusizi
4 (A)Ate era n’atandika okuyigiriza ku lubalama lw’ennyanja. Ekibiina ky’abantu kinene nnyo ne bakuŋŋaana okumwetooloola. Kyeyava alinnya mu lyato n’ayigiriza ng’atudde omwo. 2 (B)Yabayigirizanga ebintu bingi mu ngero. N’abayigiriza ng’agamba nti, 3 (C)“Muwulirize. Waaliwo omulimi eyafuluma okusiga ensigo. 4 Bwe yali ng’azimansa ng’asiga mu nnimiro, ezimu ne zigwa ku mabbali g’ekkubo ennyonyi ne zijja ne zizirya. 5 N’endala ne zigwa ku ttaka ery’ekyaziyazi awatali ttaka lingi, ezo ne zimera mangu kubanga tezaali mu ttaka gwanvu. 6 Awo omusana bwe gwayaka ne zikalirawo, kubanga emirandira gyali kungulu. 7 Endala ne zigwa mu maggwa. Awo ensigo ne zikula kyokka amaggwa ne gazitta ne zitabala bibala. 8 (D)Endala ne zigwa ku ttaka eddungi, ezo ne zibala ebibala, ezimu emirundi amakumi asatu, endala emirundi nkaaga, n’endala kikumi.”
9 (E)N’abagamba nti, “Oyo alina amatu agawulira awulire.”
10 Awo bwe yasigala yekka, abayigirizwa be ekkumi n’ababiri n’abantu abalala, ne bamubuuza amakulu g’engero ezo ze yabagerera. 11 (F)Yesu n’abagamba nti, “Mmwe muweereddwa omukisa okumanya ekyama ekifa ku bwakabaka bwa Katonda ekyakisibwa abantu abalala abali ebweru waabwo.”
12 (G)“Balaba bulabi naye nga tebeetegereza,
era n’okuwulira bawulira naye tebategeera,
si kulwa nga bakyuka ne basonyiyibwa.”
13 “Kale obanga temutegedde makulu ga lugero luno olwangu bwe luti mulitegeera mutya endala ze ŋŋenda okweyambisa nga njigiriza? 14 (H)Omusizi asiga ekigambo y’asiga. 15 (I)Ate ensigo ezaagwa ku mabbali g’ekkubo, be bawulira ekigambo, amangwago Setaani n’ajja n’akibatwalako. 16 Ate ensigo ezaagwa ku byaziyazi, gy’emitima gy’abantu abawulira ekigambo amangwago ne bakyaniriza n’essanyu. 17 Naye tebalina mirandira, babeera bulungi okusooka, naye olutuukibwako ebizibu oba okuyigganyizibwa olw’ekigambo amangwago babivaako. 18 Ate endala ezaagwa mu maggwa, be bawulira ekigambo, 19 (J)naye okweraliikirira n’okusikirizibwa eby’obugagga n’okwegomba ebintu ebirala, bizikiriza ekigambo ne kitabala bibala. 20 Ettaka eddungi gy’emitima gy’abantu abawulira ekigambo ne bakkiririza ddala era ne bavaamu ebibala, emirundi amakumi asatu, abalala emirundi nkaaga, n’abalala kikumi.”
21 (K)Awo Yesu n’ababuuza nti, “Waliwo omuntu akoleeza ettaala n’agivuunikako ekibbo oba n’agiteeka wansi w’ekitanda? Naye omuntu bw’akoleeza ettaala tagiteeka ku kikondo waggulu? 22 (L)Kubanga buli kintu kyonna ekikolebwa mu kyama kaakano, ekiseera kirituuka ne kiragibwa mu lwatu. 23 (M)Alina amatu agawulira awulire. 24 (N)Naye mwegendereze ebyo bye mbayigiriza. 25 (O)Alina aliweebwa na buli atalina aliggyibwako n’ebyo by’alina.”
Olugero lw’Ensigo Ekula
26 (P)Awo Yesu n’abagamba nti, “Obwakabaka bwa Katonda bufaanaanyirizibwa n’omusizi asiga ensigo mu ttaka. 27 Ekiro yeebaka, n’emisana ne yeekolera by’ayagala, mu kiseera ekyo kyonna ensigo ziba zimera, naye ate nga takimanyi. 28 Ku bwalyo ettaka lireeta ekibala. Ensigo zisooka kusindika bulimi bwazo okuva mu ttaka, amatabi ne gajjako ebirimba by’eŋŋaano. 29 (Q)Eŋŋaano bw’eyengera omusizi ayanguwa mangu n’akwata akayuuyo, kubanga amakungula gatuuse.”
30 (R)Awo Yesu n’ayongera n’abagamba nti, “Obwakabaka bwa Katonda tunaabugeraageranya na ki? Oba tukozese lugero ki okubunnyonnyola? 31 Bufaananyizibwa n’akasigo aka kaladaali! Kubanga newaakubadde katono nnyo okusinga ensigo zonna ez’oku nsi, 32 naye kavaamu omuti omunene nga gulina amatabi amanene, ennyonyi ez’omu bbanga mwe ziyinza okuzimba ebisu byazo.”
33 (S)Yesu n’abuulira abantu ekigambo kya Katonda ng’akozesa engero nnyingi ezifaanana ng’ezo, nga bwe baasobolanga okuwulira. 34 (T)Yesu bwe yabanga ayigiriza ebibiina yakozesanga engero, naye bwe yaddanga ebbali n’abayigirizwa be n’abannyonnyola amakulu agali mu ngero ezo.
Yesu Akkakkanya Omuyaga
35 Ku lunaku olwo obudde nga buwungedde Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, “Tuwunguke tulage emitala.” 36 (U)N’aleka awo ekibiina, abayigirizwa be ne balinnya mu lyato Yesu mwe yali ne bagenda naye. Abantu abamu ne babagobera mu maato agaabwe. 37 Amangwago omuyaga mungi nnyo ne gukunta n’amayengo amagulumivu ne geeyiwa mu lyato ne libulako katono okujjula amazzi. 38 Yesu yali agalamidde emabega mu lyato nga yeezizise omutto yeebase. Awo abayigirizwa be ne bamuzuukusa nga bagamba nti, “Omuyigiriza, ggwe tofaayo nga ffenna tugenda okusaanawo?”
39 N’azuukuka n’aboggolera omuyaga n’agamba ennyanja nti, “Tteeka, sirika.” Omuyaga ne gusirika n’ennyanja n’eteekera ddala.
40 (V)N’ababuuza nti, “Lwaki mutidde? Temunnaba kubeera na kukkiriza?”
41 Ne batya nnyo, ne beebuuza nti, “Ono ye ani, embuyaga n’ennyanja gwe bigondera?”
9 (A)Ku lunaku olw’ekkumi n’ebiri gwe mwezi Adali, ekiragiro kya Kabaka lwe kyali kigenda okutuukirizibwa. Ku lunaku olwo abalabe b’Abayudaaya kwe baasuubirira okubafuga, naye ate Abayudaaya ne bafuga abo abaabakyawa. 2 (B)Abayudaaya ne bakuŋŋaana mu bibuga byabwe okubuna ebitundu byonna ebya Kabaka Akaswero, okukwata abo abaali baagala okubaleetako obulabe, so tewaali muntu eyayaŋŋanga okubayinza, kubanga entiisa yali egudde ku bantu bonna abamawanga gonna. 3 (C)Awo abakungu bonna ab’ebitundu, n’abaamasaza, ne bagavana n’abasigire ba kabaka abaafuganga ne bayamba Abayudaaya, kubanga entiisa yali ebakutte olwa Moluddekaayi. 4 (D)Moluddekaayi yali akulaakulanye mu lubiri, era n’ettutumu lye ne lyatiikirira okubuna ebitundu byonna, ate era ne yeeyongera amaanyi n’obuyinza.
5 (E)Awo Abayudaaya ne batta era ne bazikiriza abalabe baabwe bonna n’ekitala, era ne bakola nga bwe baayagala abo abaabakyawa. 6 Mu lubiri olw’e Susani, Abayudaaya batta ne bazikiriza abasajja ebikumi bitaano. 7 Ate era batta Palusandasa, ne Dalufoni, ne Asupasa, 8 Polasa, ne Adaliya, ne Alidasa, 9 Palumasuta, ne Alisayi, ne Alidayi, ne Vaizasa 10 (F)abatabani ekkumi aba Kamani mutabani wa Kammedasa omulabe w’Abayudaaya. Naye tebaakwata ku munyago.
11 Ku lunaku olwo, Kabaka n’ategeezebwa omuwendo gw’abo abattibwa mu lubiri e Susani. 12 (G)Awo Kabaka n’agamba Nnabagereka Eseza nti, “Abayudaaya basse era bazikirizza abasajja ebikumi bitaano, ate era ne batabani ba Kamani ekkumi nabo battiddwa. Kale kyenkana wa kye bakoze mu bitundu bya Kabaka ebirala? Kiki ky’osaba kaakano? Onookiweebwa. Era kiki kye weegayirira? Kale n’akyo kinaakolebwa.”
13 (H)Eseza n’addamu nti, “Kabaka bw’anaasiima, enkya Abayudaaya baweebwe olukusa okukola nga ekiragiro ekya leero bwe kibadde era emirambo gya batabani ba Kamani ekkumi giwanikibwe ku miti.”
14 (I)Amangwago Kabaka n’alagira kikolebwe. Ekiragiro ne kirangirirwa mu Susani, era emirambo gya batabani ba Kamani ekkumi ne giwanikibwa. 15 (J)Awo ku lunaku olw’ekkumi n’enya mu mwezi ogwa Adali, Abayudaaya mu Susani ne beekuŋŋaanya, era ne batta abasajja ebikumi bisatu mu Susani, naye ne batakwata ku munyago.
16 (K)Mu kiseera kyekimu Abayudaaya abalala abaali mu bitundu bya Kabaka nabo ne bakuŋŋaana okwerwanirira, n’okufuna ne bafuna okuwummula eri abalabe baabwe. Ne batta emitwalo nsanvu mu etaano ku bo naye ne batakwata ku munyago. 17 (L)Bino byabaawo ku lunaku olw’ekkumi n’essatu mu mwezi ogwa Adali, ku lunaku olw’ekkumi n’ennya ne bawummula era ne balufuula lunaku lwa kuliirangako mbaga n’olw’okusanyukirangako.
Entandikwa y’Embaga Eyitibwa Pulimu
18 Abayudaaya ab’omu Susani ne bakuŋŋaananga ku lunaku olw’ekkumi n’essatu ne ku lunaku olw’ekkumi n’ennya, ate ku lunaku olw’ekkumi n’ettaano ne bawummula, era ne balufuula olunaku olw’okuliirangako embaga n’okusanyukirangako.
19 (M)Abayudaaya ab’omu byalo abaabeeranga mu bibuga ebitaaliiko bbugwe kyebaava bafuula olunaku olw’ekkumi n’ennya olw’omwezi Adali okuba olunaku okuliirangako embaga n’olw’okusanyukirangako, era olunaku olw’okuweerazaganirako ebirabo.
20 Awo Moluddekaayi n’awandiika ebyabaawo byonna, era n’aweereza Abayudaaya bonna abaali mu bitundu byonna ebya Kabaka Akaswero ebbaluwa, mu matwale ag’okumpi n’agewala, 21 ng’abalagira okukuumanga olunaku olw’ekkumi n’ennya n’olw’ekkumi n’ettaano mu mwezi ogwa Adali nga lwa mbaga, 22 (N)era nga kye kiseera Abayudaaya kye baafunirako eddembe eri abalabe baabwe, ate era nga gwe mwezi obuyinike bwabwe lwe bwafuulibwa essanyu, n’okunakuwala kwabwe ne kukoma. Moluddekaayi n’abiwandiika okujjukira ennaku ezo ng’ennaku ez’okuliirangako embaga n’okusanyukirangako, ate era n’okuweerezaganya ebyokulya ebirungi, era n’okugabiranga abaavu ebirabo.
23 Awo Abayudaaya ne basuubiza okukola nga bwe baatandika, nga Moluddekaayi bwe yabawandiikira. 24 (O)Kamani mutabani wa Kammedasa Omwagaagi omulabe w’Abayudaaya bonna, yali asalidde Abayudaaya olukwe okubazikiriza, era ng’akubye akalulu Puli, okubasaanyaawo n’okubazikiriza. 25 (P)Naye Eseza bwe yakimanyisa Kabaka, Kabaka n’awa ekiragiro mu buwandiike nti olukwe olubi Kamani lwe yali asalidde Abayudaaya ludde ku mutwe gwe, era ye ne batabani be ne bawanikibwa ku kalabba. 26 (Q)Ennaku ezo kyebaava baziyita Pulimu ng’erinnya lya Puli bwe liri. Awo olw’ebigambo byonna ebyawandiikibwa mu bbaluwa, n’olw’ebyo bye baalaba, n’ebyabatuukako, 27 Abayudaaya kyebaava balagira ne basuubiza, era ne basuubiriza ezzadde lyabwe n’abo bonna abanaabeegattangako, nti awatali kwekwasa nsonga yonna, bateekwa okukwatanga ennaku ezo zombi buli mwaka ng’ekiwandiiko kyazo bwe kyali era ng’ebiro byazo bwe byali. 28 Ennaku ezo zijjukirwenga ku mirembe gyonna, na buli kika, na buli ssaza era na buli kibuga, era ennaku zino eza Pulimu, Abayudaaya tebalekangayo okuzijagulizaangako, wadde okuzeerabira.
29 (R)Awo Nnabagereka Eseza muwala wa Abikayiri ne Moluddekaayi Omuyudaaya ne bawandiika n’obuyinza bwonna okunyweza ebbaluwa eyo eyookubiri eya Pulimu. 30 (S)Ebbaluwa ne ziweerezebwa, mu bitundu ekikumi mu abiri mu omusanvu (127) eby’obwakabaka bwa Akaswero, 31 (T)n’okuwa ebiragiro nti ennaku ezo eza Pulimu zikuumibwenga mu biro byazo nga Omuyudaaya Moluddekaayi ne Nnabagereka Eseza bwe baabalagira, era nga bwe beeyama bo bennyini n’ezzadde lyabwe okusinziira ku biseera byabwe bye baayitamu eby’okusiiba n’okukungubaga. 32 Awo ekiragiro kya Eseza ne kinyweza ebigambo ebyo ebya Pulimu, era ne kiwandiikibwa mu byafaayo.
Obwatiikirivu bwa Moluddekaayi
10 (U)Kabaka Akaswero n’asalira abantu bonna ab’obwakabaka bwe omusolo, abaabeeranga ku lukalu n’abo abaabeeranga ku bizinga. 2 (V)Era ebikolwa bye byonna eby’obuyinza n’amaanyi ge, n’okutegeereza ddala obukulu bwa Moluddekaayi, Kabaka bwe yamukuza, byawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka b’e Bumeedi n’e Buperusi. 3 (W)Moluddekaayi Omuyudaaya ye yali addirira Kabaka Akaswero mu buyinza, era yali mukulu mu Bayudaaya ate nga bamussaamu nnyo ekitiibwa, kubanga yakolanga bulungi abantu be, ate era ng’ayagaliza ezzadde lye lyonna emirembe.
Ibulayimu Yaweebwa Obutuukirivu lwa Kukkiriza
4 Kale kiki kye tunaayogera ku jjajjaffe Ibulayimu ku bikwata ku by’omubiri? 2 (A)Singa Ibulayimu yaweebwa obutuukirivu lwa bikolwa, yandyenyumirizza, naye si eri Katonda. 3 (B)Ebyawandiikibwa bitugamba bitya? Ibulayimu yakkiriza Katonda ne kimubalirwa okuba obutuukirivu.
4 (C)Omuntu bw’akola omulimu, asasulwa empeera ye. Empeera gy’aweebwa, teba kirabo. 5 Katonda tayinza kukusembeza olw’ebikolwa byo. Katonda asembeza aboonoonyi olw’okukkiriza kwe balina mu ye. 6 Kabaka Dawudi naye yayogera kye kimu ku muntu ono Katonda gw’awa obutuukirivu obutavudde mu bikolwa bye ng’agamba nti:
7 “Baweereddwa omukisa,
abasonyiyiddwa ebyonoono byabwe,
ne baggyibwako ebibi byabwe.
8 (D)Aweereddwa omukisa omuntu,
Mukama gw’atalibalira kibi.”
9 (E)Kale omukisa guno, gw’abakomole bokka oba n’abatali bakomole? Ebyawandiikibwa bitugamba nti okukkiriza kwa Ibulayimu kwamubalirwa okuba obutuukirivu. 10 Kale, kwamubalirwa kutya? Ng’akomolebbwa oba nga tannakomolebwa? Nedda si ng’akomolebbwa naye nga tannakomolebwa. 11 (F)Akabonero ke yafuna ak’okukomolebwa, ye nvumbo ku butuukirivu olw’okukkiriza kwe, nga tannakomolebwa, alyoke abeere jjajja w’abo bonna abakkiriza nga si bakomole, nabo balyoke babalirwe obutuukirivu. 12 Ate era ye jjajja w’abantu bonna, abakomole, era abatambulira mu kkubo ery’okukkiriza, jjajjaffe Ibulayimu kwe yalina nga tannakomolebwa.
13 (G)Ibulayimu n’ezzadde lye tebaaweebwa kisuubizo eky’okulya ensi yonna, ng’omugabo gwe, lwa kukwata mateeka. Katonda, ensi yagimusuubiza lwa butuukirivu obwamuweebwa olw’okukkiriza. 14 (H)Kale obanga baweebwa obusika lw’amateeka, okukkiriza kuba tekugasa, era nga n’ekisuubizo tekirina makulu. 15 (I)Katonda anyiiga Amateeka ge bwe gatagonderwa. Naye bwe wataba mateeka, tewaba mateeka ga kujeemera.
16 (J)Noolwekyo ekisuubizo kijja lwa kukkiriza, kiryoke kiweebwe lwa kisa, eri ezzadde lyonna, so si ezzadde erigondera amateeka lyokka naye n’eri ezzadde erya Ibulayimu olw’okukkiriza; era oyo ye jjajjaffe ffenna. 17 (K)Kyawandiikibwa nti, “Nkufudde jjajja w’amawanga amangi.” Ye jjajjaffe mu maaso g’oyo gwe yakkiriza, Katonda azuukiza abafu, era alaba ebitaliiwo ng’ebiriwo, era atonda ebintu ebiggya.
18 (L)Katonda yasuubiza Ibulayimu abazzukulu bangi. Ne bwe kyalabika ng’ekitasoboka, Ibulayimu yalina okukkiriza mu Katonda, n’oluvannyuma n’abeera jjajja w’amawanga mangi, okusinziira ku ekyo ekyayogerwa nti, “Ezadde lyo bwe liriba.” 19 (M)Teyatendewererwa mu kukkiriza, newaakubadde nga yali wa myaka nga kikumi, nga n’omubiri gwe munafu nnyo, ate nga ne Saala mugumba. 20 (N)Teyabuusabuusa kisuubizo kya Katonda mu butakkiriza, naye yaweebwa amaanyi lwa kukkiriza; n’agulumiza Katonda. 21 (O)Yakakasiza ddala nti Katonda kye yasuubiza asobola okukituukiriza, 22 (P)era bwe kityo ne kimubalirwa okuba obutuukirivu. 23 Naye tekyawandiikibwa ku lulwe yekka nti, “Kyamubalirwa okuba obutuukirivu;” 24 (Q)naye era naffe, abakkiririza mu oyo eyazuukiza Yesu Mukama waffe mu bafu. 25 (R)Kristo yaweebwayo okuttibwa olw’ebibi byaffe, n’azuukizibwa tulyoke tuweebwe obutuukirivu.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.