M’Cheyne Bible Reading Plan
Entandikwa
1 (A)Ku lubereberye Katonda yatonda eggulu n’ensi. 2 (B)Ensi yali njereere nga yeetabuddetabudde, ekizikiza nga kibisse kungulu ku buziba, n’Omwoyo wa Katonda ng’atambulira ku mazzi.
3 (C)Awo Katonda n’agamba nti, “Wabeerewo obutangaavu,” ne waba obutangaavu. 4 Katonda n’alaba obutangaavu nga bulungi; n’ayawula obutangaavu n’ekizikiza. 5 (D)Katonda obutangaavu n’abuyita emisana, n’ekizikiza n’akiyita ekiro. Ne wabaawo akawungeezi ate ne buba enkya. Olwo lwe lunaku olw’olubereberye.
6 (E)Era Katonda n’agamba nti, “Wabeewo ebbanga lyawule olufu n’amazzi.” 7 (F)Bw’atyo Katonda n’akola ebbanga okwawula wansi n’amazzi agali waggulu. Ne kiba bwe kityo. 8 Katonda ebbanga n’aliyita eggulu. Ne buba akawungeezi, ate ne buba enkya, olwo lwe lunaku olwokubiri.
9 (G)Awo Katonda n’ayogera nti, “Amazzi agali wansi w’eggulu gakuŋŋaanire mu kifo kimu, wabeewo olukalu.” Ne kiba bwe kityo. 10 Katonda olukalu n’aluyita ensi, amazzi agakuŋŋaanye go n’agayita ennyanja. Katonda n’alaba nga ky’akoze kirungi.
11 (H)Awo Katonda n’agamba nti, “Ensi ereete ebimera: emiti egizaala ensigo mu ngeri yaagyo, emiti egy’ebibala ebibaamu ensigo mu ngeri yaagyo, gibeere ku nsi.” Ne kiba bwe kityo. 12 Ensi n’ereeta ebimera: ebimera eby’ensigo ebya buli ngeri, n’emiti egy’ebibala ebya buli ngeri n’ebijja ku nsi. Katonda n’alaba nga ky’akoze kirungi. 13 Ne buba akawungeezi ate ne buba enkya. Olwo lwe lunaku olwokusatu.
14 (I)Awo Katonda n’agamba nti, “Wabeewo ebyaka mu bbanga ly’eggulu, okwawula emisana n’ekiro; bibeerenga obubonero okwawulanga ebiro, n’ennaku, n’emyaka. 15 Bibeere ebyaka ku ggulu, bireetere ensi obutangaavu.” Ne kiba bwe kityo. 16 (J)Katonda n’akola ebyaka ebinene bibiri, ekyaka ekisinga obunene kifugenga emisana, n’ekitono kifugenga ekiro, n’akola n’emmunyeenye. 17 Awo Katonda n’abiteeka mu bbanga ly’eggulu byakenga ku nsi, 18 (K)enjuba efugenga emisana, omwezi gufugenga ekiro, era byawulenga obutangaavu n’ekizikiza. Katonda n’alaba ng’ekyo kirungi. 19 Ne buba akawungeezi, ate ne buba enkya. Olwo lwe lunaku olwokuna.
20 Katonda n’ayogera nti, “Amazzi galeete ebibinja by’ebiramu, n’ebinyonyi bibuukenga waggulu mu bbanga.” 21 (L)Bw’atyo Katonda n’akola ebitonde eby’omu nnyanja ebinene ennyo, na buli kiramu ekya buli ngeri eky’omu nnyanja, na buli kinyonyi ekibuuka. Katonda n’alaba nga ky’akoze kirungi. 22 (M)Bw’atyo Katonda n’abiwa omukisa n’agamba nti, “Muzaale mwale, mujjuze amazzi g’ennyanja, n’ebinyonyi byale ku nsi.” 23 Ne buba akawungeezi, ate ne buba enkya; olwo lwe lunaku olwokutaano.
24 Katonda n’ayogera nti, “Ensi ereete ebiramu ebya buli ngeri: ente, n’ebyewalula, n’ensolo ez’omu nsiko eza buli ngeri.” Bwe kityo bwe kyali. 25 (N)Katonda n’atonda ensolo ez’oku nsi eza buli ngeri, n’ente eza buli ngeri, na buli ekyewalula ku ttaka ekya buli ngeri. Katonda n’alaba nga ky’akoze kirungi.
26 (O)Awo Katonda n’agamba nti, “Tukole omuntu mu kifaananyi kyaffe mu ngeri yaffe. Bafugenga ebyennyanja eby’omu nnyanja, n’ebinyonyi eby’omu bbanga, n’ensolo zonna, n’ensi yonna, era bafugenga na buli ekyewalulira ku nsi kyonna.”
27 (P)Bw’atyo Katonda n’atonda omuntu mu kifaananyi kye,
mu kifaananyi kya Katonda mwe yamutondera;
n’abatonda omusajja n’omukazi.
28 (Q)Katonda n’abawa omukisa, n’abagamba nti, “Mwale mujjuze ensi, mugifugenga. Mufugenga ebyennyanja ebiri mu nnyanja, n’ebinyonyi eby’omu bbanga na buli kiramu ekitambula ku nsi.”
29 (R)Awo Katonda n’agamba nti, “Laba mbawadde buli kimera eky’ensigo ekiri ku nsi na buli muti ogw’ensigo mu kibala kyagwo. Munaabiryanga. 30 (S)Mbawadde na buli nsolo ey’oku nsi, na buli kinyonyi eky’omu bbanga na buli ekyewalula, na buli ekissa omukka mbiwa buli kimera, okuba emmere yaabyo.” Bwe kityo bwe kyali.
31 (T)Awo Katonda n’alaba byonna by’akoze nga birungi nnyo. Ne buba akawungeezi, ate ne buba enkya, olwo lwe lunaku olwomukaaga.
Ekitabo ky’Olulyo lwa Yesu Kristo
1 (A)Luno lwe lulyo lwa Yesu Kristo, omwana wa Dawudi omwana wa Ibulayimu:
2 (B)Ibulayimu yazaala Isaaka,
Isaaka n’azaala Yakobo,
Yakobo n’azaala Yuda ne baganda be.
3 (C)Yuda n’azaala Pereezi ne Zeera mu Tamali,
Pereezi n’azaala Kezirooni,
Kezirooni n’azaala Laamu.
4 Laamu yazaala Aminadaabu,
Aminadaabu n’azaala Nasoni,
Nasoni n’azaala Salumooni.
5 Salumooni yazaala Bowaazi mu Lakabu,
Bowaazi n’azaala Obedi mu Luusi.
Obedi n’azaala Yese.
6 (D)Yese yazaala Kabaka Dawudi.
Dawudi n’azaala Sulemaani mu eyali muka Uliya.
7 Sulemaani yazaala Lekobowaamu,
Lekobowaamu n’azaala Abiya,
Abiya n’azaala Asa.
8 Asa n’azaala Yekosafaati,
Yekosafaati n’azaala Yolaamu,
Yolaamu n’azaala Uzziya.
9 Uzziya n’azaala Yosamu,
Yosamu n’azaala Akazi,
Akazi n’azaala Keezeekiya.
10 (E)Keezeekiya n’azaala Manaase,
Manaase n’azaala Amosi,
Amosi n’azaala Yosiya.
11 (F)Yosiya n’azaala Yekoniya ne baganda be mu kiseera eky’okutwalibwa e Babulooni.
12 (G)Nga bamaze okutwalibwa e Babulooni:
Yekoniya n’azaala Seyalutyeri,
Seyalutyeri n’azaala Zerubbaberi.
13 Zerubbaberi n’azaala Abiwuudi,
Abiwuudi n’azaala Eriyakimu,
Eriyakimu n’azaala Azoli.
14 Azoli n’azaala Zadooki,
Zadooki n’azaala Akimu,
Akimu n’azaala Eriwuudi.
15 Eriwuudi n’azaala Eriyazaali,
Eriyazaali n’azaala Mataani,
Mataani n’azaala Yakobo.
16 (H)Yakobo n’azaala Yusufu, oyo ye bba wa Maliyamu eyazaala Yesu ayitibwa Kristo.
17 Noolwekyo emirembe gyonna okuva ku Ibulayimu okutuuka ku Dawudi gyali kkumi n’ena, era okuva ku Dawudi okutuuka ku kuwaŋŋaangusibwa e Babulooni, emirembe kkumi n’ena, era okuva ku kuwaŋŋaangusibwa e Babulooni okutuuka ku Kristo, nagyo emirembe kkumi n’ena.
Okuzaalibwa kwa Yesu
18 (I)Okuzaalibwa kwa Yesu Kristo kwali bwe kuti: Maliyamu nnyina bwe yali ng’akyayogerezebwa Yusufu, era nga tebanaba kufumbiriganwa n’alabika ng’ali lubuto ku bwa Mwoyo Omutukuvu. 19 (J)Awo Yusufu eyali amwogereza, olwokubanga yali muntu mulungi n’asalawo mu mutima gwe okumuleka, naye ng’ayagala akikole mu kyama aleme kukwasa Maliyamu nsonyi.
20 Naye bwe yali ng’agalamidde ku kitanda kye ng’akyabirowoozaako, n’afuna ekirooto; n’alaba malayika wa Mukama ng’ayimiridde w’ali, n’amugamba nti, “Yusufu, omwana wa Dawudi, totya kutwala Maliyamu okuba mukazi wo! Kubanga olubuto lw’alina yalufuna ku bwa Mwoyo Mutukuvu. 21 (K)Era alizaala Omwana wabulenzi, olimutuuma erinnya Yesu, (amakulu nti, ‘Omulokozi’) kubanga y’alirokola abantu bonna mu bibi byabwe.”
22 Bino byonna byabaawo kisobole okutuukirira ekyayogerwa Mukama ng’ayita mu nnabbi we ng’agamba nti, 23 (L)“Laba omuwala atamanyi musajja aliba olubuto, alizaala omwana wabulenzi, era aliyitibwa Emmanweri.” Amakulu gaalyo nti, “Katonda ali naffe.”
24 Yusufu bwe yazuukuka, n’akola nga Malayika bwe yamulagira, n’atwala Maliyamu okuba mukazi we. 25 (M)Naye Yusufu n’atamumanya okutuusa lwe yamala okuzaala Omwana. Yusufu n’amutuuma erinnya Yesu.
Kuulo Ayamba Abawaŋŋanguse okuddayo
1 (A)Awo mu mwaka ogw’olubereberye ogw’obufuzi bwa Kuulo kabaka wa Buperusi, ekigambo Mukama kye yayogerera mu Yeremiya ne kituukirira, Mukama n’akoma ku mutima gwa Kuulo kabaka w’e Buperusi okulangirira mu bwakabaka bwe bwonna, n’okukiteeka mu buwandiike nti,
2 (B)“Bw’ati bw’ayogera Kuulo[a] kabaka w’e Buperusi nti,
“ ‘Obwakabaka bwonna obw’omu nsi Mukama Katonda w’eggulu abumpadde, era annonze okumuzimbira yeekaalu e Yerusaalemi mu Yuda. 3 Omuntu yenna mu mmwe abantu be, Katonda we abeere naye, agende e Yerusaalemi mu Yuda addaabirize yeekaalu ya Mukama, Katonda wa Isirayiri, Katonda ali mu Yerusaalemi. 4 (C)Na buli Muyisirayiri eyasigalawo gy’ali, abantu abo baabeeramu, banaamuwa ffeeza ne zaabu, n’ebintu n’ebisolo ebirundibwa, obutasaako ebiweebwayo bye bawaayo ku bwabwe ebya yeekaalu ya Katonda eri mu Yerusaalemi.’ ”
5 (D)Awo abakulu b’ennyumba za Yuda ne Benyamini, ne bakabona, n’Abaleevi, na buli muntu Katonda gwe yakubiriza, ne beeteekateeka okwambuka okugenda okuddaabiriza yeekaalu ya Mukama eri mu Yerusaalemi[b]. 6 Baliraanwa baabwe bonna ne babawa ebintu ebya ffeeza ne zaabu, n’ebintu ebirala n’ebisolo ebirundibwa, n’ebirabo eby’omuwendo omungi, okwo nga kwe kuli ebiweebwayo bye baawaayo nga beeyagalidde. 7 (E)Ebintu ebyali mu yeekaalu ya Mukama, Nebukadduneeza bye yanyaga mu Yerusaalemi n’abiteeka mu ssabo lya bakatonda be, Kabaka Kuulo, n’abiggyayo. 8 (F)Kuulo kabaka w’e Buperusi n’abikwasa Misuledasi omuwanika, eyabikwasa Sesubazzali omulangira wa Yuda.
9 Guno gwe gwali omuwendo gwabyo:
Esowaani eza zaabu amakumi asatu | 30, |
Esowaani eza ffeeza lukumi | 1,000, |
Ebiso ebya ffeeza amakumi abiri mu mwenda | 29, |
10 Ebibya ebya zaabu amakumi asatu | 30, |
n’ebibya ebya ffeeza ebigenderako ebikumi bina mu kumi | 410, |
n’ebintu ebirala lukumi | 1,000. |
11 Byonna awamu ebintu ebya zaabu ne ffeeza byali enkumi ttaano mu ebikumi bina (5,400).
Sesubazzali n’agenda nabyo byonna e Yerusaalemi okuva e Babulooni mu buwaŋŋanguse.
Yesu Atwalibwa mu Ggulu
1 (A)Mu kitabo ekyasooka, munnange Teefiro, nakutegeeza ebintu byonna okuva Yesu lwe yatandika okukola emirimu gye n’okuyigiriza, 2 (B)okutuusa ku lunaku lwe yatwalibwa mu ggulu ng’amaze okuwa abatume be, be yalonda, ebiragiro ku bwa Mwoyo Mutukuvu. 3 (C)Mu nnaku amakumi ana ezaddirira, Yesu yalabikira abatume nga mulamu era n’abakakasa mu ngeri nnyingi, era buli lwe yabalabikiranga ng’ayogera nabo ku bigambo by’obwakabaka bwa Katonda. 4 (D)Awo bwe yali ng’alya nabo ekijjulo n’abalagira baleme kuva mu Yerusaalemi naye balindirire ekisuubizo kya Kitaawe. Yagamba nti, “Ekyo kye mwawulira nga mbagamba nti, 5 ‘Yokaana yabatiza na mazzi, naye mmwe mujja kubatizibwa na Mwoyo Mutukuvu mu nnaku si nnyingi.’ ”
6 (E)Awo bwe baali bakuŋŋaanye ne bamubuuza nti, “Mukama waffe, mu kiseera kino mw’onooddizaawo obwakabaka bwa Isirayiri?”
7 (F)Naye Yesu n’abaddamu nti, “Okumanya entuuko oba ebiro si kyammwe, kitange kye yateekateeka mu buyinza bwe. 8 (G)Naye muliweebwa amaanyi, Mwoyo Mutukuvu bw’alimala okubakkako, era munaabanga bajulirwa bange mu Yerusaalemi, ne mu Buyudaaya yonna, ne mu Samaliya okutuukira ddala ku nkomerero z’ensi.”
9 (H)Bwe yamala okwogera ebigambo ebyo, ekire ne kimutwala waggulu nga balaba.
10 (I)Awo bwe baali nga batunula enkaliriza mu ggulu ng’agenda, amangwago abasajja babiri nga bambadde engoye enjeru ne balabika, 11 (J)ne boogera nti, “Abasajja Abagaliraaya, lwaki muyimiridde wano nga mutunula waggulu mu ggulu? Yesu oyo abaggiddwako n’atwalibwa mu ggulu, agenda kukomawo mu ngeri y’emu nga bwe mumulabye ng’agenda mu ggulu.”
12 (K)Ne bakomawo e Yerusaalemi okuva ku lusozi oluyitibwa olwa Zeyituuni, oluli okumpi ne Yerusaalemi, ng’olugendo olutambulwa ku Ssabbiiti. 13 (L)Ne balaga mu kisenge ekya waggulu mu nnyumba mwe baali basula, era be bano:
Peetero, ne Yokaana ne Yakobo, ne Andereya,
ne Firipo ne Tomasi,
ne Battolomaayo, ne Matayo,
ne Yakobo, omwana wa Alufaayo, ne Simooni eyayitibwanga “Omuzerote[a]”, ne Yuda, omwana wa Yakobo.
14 (M)Abo bonna ne beeweerayo ddala n’omutima gumu okusaba wamu n’abakazi ne Maliyamu nnyina Yesu ne baganda ba Yesu.
Matiya Asikira Yuda
15 Awo mu nnaku ezo, Peetero n’ayimirira wakati mu booluganda abaali bakuŋŋaanye nga bawera nga kikumi mu abiri, n’ayogera nti, 16 (N)“Abasajja abooluganda, ebyawandiikibwa ku Yuda eyakulembera ekibiina ekyakwata Yesu byali biteekwa okutuukirira; kubanga ekyo Mwoyo Mutukuvu yali yakitegeeza dda bwe yayogerera mu Dawudi. 17 (O)Yuda yali omu ku ffe, era n’aweebwa omugabo gw’obuweereza buno.”
18 (P)Empeera gye yafuna mu butali butuukirivu bwe, yagigulamu ennimiro, era omwo mwe yagwa n’ayabika n’ebyenda bye ne biyiika. 19 Amawulire ago ne gatuuka ku bantu ab’omu Yerusaalemi, era ennimiro eyo ne bagituuma Akerudama mu lulimi lwabwe, amakulu nti, Ennimiro y’Omusaayi!
20 (Q)“Kubanga kyawandiikibwa mu Zabbuli nti,
“ ‘Ekibanja kye kizike,
so kireme okubeerangamu omuntu.’
‘N’obuvunaanyizibwa bwe buweebwe omulala.’
21 Noolwekyo kigwanye okulonda omuntu mu bantu abaayitanga naffe mu biro byonna, eyayingiranga n’afuluma wamu naffe nga tuli ne Mukama waffe Yesu, 22 (R)okuviira ddala ku kubatiza kwa Yokaana okutuusa lwe yatwalibwa mu ggulu, alyoke abeere omujulirwa ow’okuzuukira kwe awamu naffe.”
23 Awo ne balonda abasajja babiri, omu nga ye Yusufu (eyayitibwanga Balusaba ate era nga ye Yusito), n’owokubiri nga ye Matiya. 24 (S)Ne balyoka basaba ne bagamba nti, “Ayi Mukama, gw’omanyi emitima gy’abantu bonna, tulage gw’olonze ku bantu bano ababiri, 25 okubeera mu baweereza buno n’okubeera omutume mu kifo kya Yuda eyatwawukanako n’alaga mu kifo kye ekimusaanira.” 26 (T)Oluvannyuma ne bakuba akalulu, ne kagwa ku Matiya, n’agattibwa ku batume ekkumi n’omu.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.