M’Cheyne Bible Reading Plan
11 (A)Awo Lekobowaamu bwe yatuuka mu Yerusaalemi, n’akuŋŋaanya ennyumba ya Yuda n’eya Benyamini, bonna nga bawera abasajja abalwanyi emitwalo kkumi na munaana, bagende balwanyise Isirayiri, obwakabaka babuddize Lekobowaamu.
2 (B)Naye ekigambo kya Mukama ne kijjira Semaaya omusajja wa Katonda nti, 3 “Gamba Lekobowaamu mutabani wa Sulemaani kabaka wa Yuda, n’Abayisirayiri bonna abali mu Yuda ne Benyamini nti, 4 (C)Bw’ati bw’ayogera Mukama, ‘Temulumba baganda bammwe. Buli omu ku mmwe addeyo ewuwe, kubanga kino kivudde gye ndi.’ ” Awo ne bagondera ekigambo kya Mukama, ne baddayo, ne batagenda kulumba Yerobowaamu.
Lekobowaamu Anyweza Yuda
5 Lekobowaamu n’abeera mu Yerusaalemi, n’azimba ebibuga eby’okwerinda mu Yuda: 6 n’azimba Besirekemu, ne Etamu, ne Tekowa, 7 ne Besuzuli, ne Soko, ne Adulamu, 8 ne Gaasi, ne Malesa, ne Zifu, 9 ne Adorayimu, ne Lakisi, ne Azeka, 10 ne Zola, ne Ayalooni, ne Kebbulooni nga bye bibuga ebiriko bbugwe ebyali mu Yuda ne Benyamini. 11 N’anyweza bbugwe waabyo, n’ateekayo abaduumizi, n’emmere ey’okwerinzisa n’amafuta ag’omuzeeyituuni ne wayini. 12 N’ateekayo engabo n’amafumu mu bibuga byonna, n’abinywereza ddala, Yuda ne Benyamini ne biba bibye.
13 Bakabona n’Abaleevi okuva mu Isirayiri yonna ne bakkiriziganya naye. 14 (D)Abaleevi ne bava mu butaka bwabwe ne baleka n’eby’obugagga bwabwe ne bajja mu Yuda ne Yerusaalemi, kubanga Yerobowaamu ne batabani be babagobaganya era ne babagaana okuweereza Mukama mu bwakabaka bwabwe, 15 (E)nga balonda bakabona abaabwe okuweerezanga ku bifo ebigulumivu, ne bakatonda baabwe ab’ebifaananyi eby’embuzi n’ente, bye yali abumbye. 16 (F)N’abo bonna abaali beewaddeyo mu mitima gyabwe okunoonya Mukama Katonda wa Isirayiri ne bagenda n’Abaleevi e Yerusaalemi okuwaayo ssaddaaka eri Mukama Katonda wa bajjajjaabwe. 17 (G)Ne banyweza obwakabaka bwa Yuda, era ne bawagira Lekobowaamu mutabani wa Sulemaani okumala emyaka esatu, nga batambulira mu kkubo lya Dawudi ne Sulemaani.
Ennyumba ya Lekobowaamu
18 Lekobowaamu n’awasa Makalasi muwala wa Yerimosi mutabani wa Dawudi, ne Abikayiri muwala wa Eriyaabu mutabani wa Yese, 19 Makalasi n’azaalira Lekobowaamu abaana aboobulenzi: Yewusi, ne Semaliya ne Zakamu. 20 (H)Oluvannyuma Lekobowaamu n’awasa Maaka muwala wa Abusaalomu, n’amuzaalira Abiya, ne Attayi, ne Ziza ne Seromisi. 21 (I)Lekobowaamu n’ayagala nnyo Maaka muwala wa Abusaalomu okusinga bakazi be abalala. Bonna awamu n’awasa abakazi kkumi na munaana n’afunayo n’abalala nkaaga, abaamuzaalira abaana aboobulenzi amakumi abiri mu munaana n’abaana aboobuwala nkaaga.
22 (J)Lekobowaamu n’alonda Abiya mutabani wa Maaka okuba omukulu wa baganda be, ng’agenderera okumufuula kabaka. 23 N’akola eky’amagezi, n’asaasaanya batabani be abamu mu masaza ag’enjawulo aga Yuda ne Benyamini, ne mu bibuga byonna ebyaliko bbugwe, n’abawa eby’obugagga bingi, n’abafunira n’abakazi bangi.
Sisaki Alumba Yerusaalemi
12 (K)Awo Lekobowaamu bwe yanywera ku bwakabaka, n’aba mugumu, ye ne Isirayiri yonna ne bava ku mateeka ga Mukama. 2 (L)Mu mwaka ogwokutaano ogw’obufuzi bwa kabaka Lekobowaamu, Sisaki kabaka w’e Misiri n’alumba Yerusaalemi kubanga tebaali beesigwa eri Mukama. 3 (M)N’ajja n’amagaali lukumi mu bibiri, n’abeebagala embalaasi emitwalo mukaaga, ate n’abaserikale ab’ebigere bangi nnyo: Abalubimu, n’Abasukkiyimu, n’Abaesiyopiya okuva e Misiri. 4 (N)N’awamba ebibuga ebiriko bbugwe ebya Yuda n’atuuka n’e Yerusaalemi.
5 (O)Awo Semaaya nnabbi n’agenda eri Lekobowaamu n’eri abakulembeze ba Yuda abaali bakuŋŋaanidde mu Yerusaalemi olw’okutya Sisaki, n’abagamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Mwanvaako, nange kyenvudde mbawaayo mu mukono gwa Sisaki.’ ”
6 (P)Awo abakulembeze ba Isirayiri, nga bali wamu ne kabaka ne beetoowaza ne boogera nti, “Mukama asala bulungi emisango.”
7 (Q)Awo Mukama bwe yalaba okwetoowaza kwabwe, ekigambo kya Mukama ne kijjira Semaaya nti, “Beetoowazizza noolwekyo siribazikiriza. Ndibalokola, era n’obusungu bwange tebulifukibwa ku Yerusaalemi nga buyita mu mukono gwa Sisaki. 8 (R)Wabula baliba baddu be, balyoke bategeere enjawulo eriwo wakati w’okumpeereza n’okuweereza bakabaka baamawanga amalala.”
9 (S)Awo Sisaki kabaka w’e Misiri n’alumba Yerusaalemi n’atwala obugagga obw’omu yeekaalu ya Mukama, n’obugagga obw’omu lubiri lwa kabaka, n’atwala buli kintu kyonna, era n’atwala n’engabo eza zaabu Sulemaani ze yali akoze. 10 Awo kabaka Lekobowaamu n’akola engabo ez’ekikomo okudda mu kifo kyaziri eza zaabu, n’azikwasa abaduumizi b’abambowa abaakuumanga wankaaki ow’olubiri lwa kabaka. 11 Buli kabaka bwe yalaganga mu yeekaalu ya Mukama, abakuumi baazeetikkanga nga bamuwerekera, n’oluvannyuma ne bazizaayo mu kisenge ky’abakuumi.
12 (T)Lekobowaamu bwe yeetoowaza, Mukama n’alekeraawo okumusunguwalira n’atasaanyizibwawo ddala, ne mu Yuda ne mubaamu emirembe.
13 (U)Kabaka Lekobowaamu ne yeenyweza mu Yerusaalemi, n’afuga nga ye kabaka. Yalina emyaka amakumi ana mu gumu we yafuukira kabaka, era n’afugira emyaka kkumi na musanvu mu Yerusaalemi, ekibuga Mukama kye yalonda mu bika byonna ebya Isirayiri n’ateekamu Erinnya lye. Nnyina erinnya lye ye yali Naama Omwamoni. 14 Lekobowaamu n’akola ebibi, n’atamalirira kunoonya Mukama mu mutima gwe.
15 (V)Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Lekobowaamu okuva ku ntandikwa ye okutuusa ku nkomerero ye, tebyawandiikibwa mu byafaayo bya Semaaya nnabbi n’ebya Iddo omulabi? Ne wabangawo entalo wakati wa Lekobowaamu ne Yerobowaamu. 16 (W)Awo Lekobowaamu ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe, n’aziikibwa mu kibuga kya Dawudi, Abiya mutabani we n’amusikira.
Ebbaluwa Eyawandiikirwa ab’omu Kkanisa ya Efeso
2 (A)“Eri malayika ow’Ekkanisa ey’omu Efeso wandiika nti:
Bw’ati bw’ayogera oyo akwata emmunyeenye omusanvu mu ngalo ze mu mukono gwe ogwa ddyo, oyo atambulira wakati w’ebikondo by’ettaala omusanvu ebya zaabu.
2 (B)Nti mmanyi ebikolwa byo n’okugumiikiriza kwo, era nga tosobola kugumiikiriza bakozi ba bibi era ng’ogezesezza abo abeeyita abatume n’obavumbula nga balimba. 3 (C)Era ogumiikirizza okubonaabona n’oguma olw’erinnya lyange, n’otokoowa.
4 (D)Naye nnina ensonga gye nkuvunaana: tokyanjagala nga bwe wanjagalanga edda. 5 (E)Noolwekyo jjukira we waseeseetuka. Weenenye, onjagale nga bwe wanjagalanga edda. Naye bw’otookole bw’otyo ndijja gy’oli ne nzigyawo ekikondo ky’ettaala yo mu kifo kyakyo, okuggyako nga weenenya. 6 (F)Wabula ekirungi ekikuliko kye kino: okyawa ebikolwa by’Abanikolayiti[a] nga nange bwe mbikyawa.
7 (G)Alina amatu, awulire Omwoyo ky’agamba Ekkanisa ezo. Oyo awangula ndimuwa okulya ku muti ogw’obulamu oguli mu nnimiro ya Katonda.
Ebbaluwa Eyawandiikirwa ab’omu Kkanisa ya Sumuna
8 (H)“Eri malayika ow’Ekkanisa ey’omu Sumuna wandiika nti:
Bw’ati bw’ayogera Owoolubereberye era Owenkomerero eyali afudde oluvannyuma n’azuukira n’aba mulamu, 9 (I)nti mmanyi okubonaabona kwo n’obwavu bwo, naye ng’oli mugagga, era n’okulimirira kw’abo abeeyita Abayudaaya songa ssi Bayudaaya, wabula kuŋŋaaniro lya Setaani. 10 (J)Temutya n’akatono ebyo bye mugenda okubonaabona. Laba Setaani anaatera okusiba abamu ku mmwe mu makomera okubagezesa. Muliyigganyizibwa okumala ennaku kumi ddamba. Mubeere beesigwa okutuusa okufa, nange ndibawa engule ey’obulamu.
11 (K)Alina amatu, awulire Omwoyo ky’agamba Ekkanisa ezo. Oyo awangula talifa mulundi gwakubiri.
Ebbaluwa Eyawandiikirwa ab’omu Kkanisa ya Perugamo
12 (L)“Eri malayika ow’Ekkanisa ey’e Perugamo wandiika nti:
Bw’ati bw’ayogera oyo alina ekitala ekyogi eky’obwogi obubiri 13 (M)nti, Mmanyi gy’obeera awo awali entebe y’obwakabaka bwa Setaani, kyokka ng’onywezezza erinnya lyange era wasigala n’okukkiriza kwo, ne mu biseera Antipa omujulirwa wange omwesigwa mwe yattirwa wakati mu mmwe, eyo Setaani gy’abeera.
14 (N)Naye nkulinako ensonga ntono: eyo olinayo ab’enjigiriza eya Balamu eyayigiriza Balaki okutega abaana ba Isirayiri omutego n’abaliisa ennyama ey’omuzizo eyassaddaakirwa eri bakatonda abalala, era n’okwenda. 15 (O)Ate era olinayo n’abakkiririza mu njigiriza y’Abanikolayiti. 16 (P)Noolwekyo weenenye, bw’otookikole ndijja mangu ne nnwanyisa abantu abo n’ekitala eky’omu kamwa kange.
17 (Q)Alina amatu, awulire Omwoyo ky’agamba Ekkanisa ezo. Oyo awangula ndimuwa ku maanu eyakwekebwa. Era ndimuwa ejjinja eryeru eriwandiikiddwako erinnya eriggya eritamanyiddwa muntu mulala yenna wabula oyo aliweereddwa.”
Ebbaluwa Eyawandiikirwa ab’omu Kkanisa ya Suwatira
18 (R)“Eri malayika ow’Ekkanisa ey’omu Suwatira wandiika nti:
Bw’ati bw’ayogera Omwana wa Katonda, oyo alina amaaso agali ng’ennimi ez’omuliro, n’ebigere ebimasamasa ng’ekikomo ekizigule 19 (S)nti, Mmanyi ebikolwa byo, n’okwagala kwo, n’okukkiriza kwo, n’obutuukirivu bwo, n’okugumiikiriza kwo, era n’ebikolwa byo eby’oluvannyuma bisinga ebyasooka.
20 (T)Kyokka nkulinako ensonga eno. Ogumiikiriza omukazi Yezeberi eyeeyita nnabbi omukazi akyamya abaweereza bange ng’abayigiriza obwenzi n’okulya emmere eweereddwayo eri bakatonda abalala. 21 (U)Namuwa ekiseera yeenenye, kyokka tayagala kwenenya bwenzi bwe. 22 (V)Laba, ndimulwaza obulwadde obulimusuula ku ndiri, era n’abo baayenda nabo mbatuuse ku bulumi obw’amaanyi, okuggyako nga beenenyezza ebikolwa byabwe. 23 (W)Era nditta abaana be. Olwo Ekkanisa zonna ziryoke zitegeere nti nkebera emitima n’ebirowoozo era ndibasasula ng’ebikolwa byabwe bwe biri.
24 (X)Kale mmwe abalala abali mu Suwatira abatagoberera kuyigiriza kuno abatamanyi bintu bya Setaani eby’obuziba ng’enjogera bw’egamba, sigenda kubassaako mugugu mulala. 25 (Y)Wabula munyweze nnyo kye mulina okutuusa lwe ndijja.
26 (Z)Oyo aliwangula era n’oyo alisigala ng’akola emirimu gyange okutuusa ku nkomerero, ndimuwa obuyinza okufuga amawanga. 27 (AA)‘Alibafuga n’omuggo ogw’ekyuma, n’abayasaayasa ng’ayasaayasa ebibya eby’ebbumba.’ 28 (AB)Era ndimuwa emmunyeenye ey’enkya nga nange bwe nagiweebwa Kitange. 29 (AC)Alina amatu awulire Omwoyo ky’agamba Ekkanisa ezo.
Obujeemu bwa Yerusaalemi
3 (A)Zikisanze ekibuga ekijooga,
ekijeemu era ekyonoonefu!
2 (B)Tekigondera ddoboozi lya Mukama,
wadde okukkiriza okubuulirirwa;
tekyesiga Mukama;
wadde okusemberera Katonda waakyo.
3 (C)Abakungu baakyo mpologoma eziwuluguma,
era n’abalamuzi baakyo misege gya kiro,
bakirimululu abatafissaawo kantu.
4 (D)Bannabbi baakyo si ba buvunaanyizibwa
era ba nkwe;
bakabona baakyo baweebuusizza ekifo ekitukuvu,
era bamenya amateeka.
5 (E)Mukama ali wakati mu kyo, mutuukirivu
era tasobya.
Buli nkya alamula mu bwenkanya,
era buli lukya talemwa;
naye atali mutuukirivu taswala.
6 (F)“Nsanyizzaawo amawanga,
era ebigo byabwe bifufuggaziddwa;
nzisizza enguudo zaabwe,
ne wataba ayitamu.
Ebibuga byabwe bizikiridde,
ne watabaawo muntu n’omu abeeramu.
7 (G)Nagamba eri ekibuga nti,
‘Ddala onontya,
era onokkiriza okubuulirirwa.’
Ennyumba zaakyo tezandimaliddwawo,
n’ebibonerezo byange byonna tebyandimutuuseeko.
Naye beesunganga nnyo
okukola ebitasaana mu byonna bye baakolanga.
8 (H)Noolwekyo munnindirire,” bw’ayogera Mukama.
Olunaku lwe ndiyimirira ne ntegeeza byonna
kubanga mmaliridde okukuŋŋaanya amawanga,
ndireeta obwakabaka wamu
okubayiwako obusungu bwange,
n’ekiruyi kyange kyonna.
Omuliro ogw’obuggya bwange
gulisaanyaawo ensi yonna.
Essuubi lya Isirayiri
9 (I)“Mu biro ebyo ndirongoosa enjogera ey’amawanga;
bonna balikoowoola erinnya lya Mukama,
okumuweereza n’omwoyo gumu.
10 (J)Okuva emitala w’emigga egy’Obuwesiyopya,
abo abansinza, abantu bange abasaasaana,
balindeetera ssaddaaka.
11 (K)Ku lunaku olwo toliswala
olw’ebyo byonna by’osobezza gye ndi:
kubanga ndiggya wakati mu ggwe
abo abeenyumiririza mu malala,
toliddayo nate kwegulumiza
ku lusozi lwange olutukuvu.
12 (L)Naye ndireka wakati mu ggwe
abantu abakakkamu era abeetoowaze,
abo abesiga erinnya lya Mukama.
13 (M)Ekitundu kya Isirayiri ekirisigalawo tebalikola bitali bya butuukirivu
so tebalyogera bya bulimba
wadde okuba abakuusa.
Balirya, baligalamira,
so tewaliba alibatiisa.”
Oluyimba olw’Essanyu
14 (N)Yimba, ggwe omuwala wa Sayuuni;
yogerera waggulu, ggwe Isirayiri;
sanyuka ojaguze n’omutima gwo gwonna,
ggwe omuwala wa Yerusaalemi.
15 (O)Mukama akuggyeeko ekibonerezo kyo,
agobyewo omulabe wo.
Kabaka wa Isirayiri, Mukama, ali naawe;
tokyaddayo kutya kabi konna.
16 (P)Ku lunaku olwo Yerusaalemi kirigambibwa nti,
“Totya, ggwe Sayuuni;
emikono gyo gireme okuddirira.
17 (Q)Mukama Katonda ali naawe,
ow’amaanyi alokola:
alikusanyukira,
alikukkakkanyiza mu kwagala kwe,
alikusanyukira n’okuyimba.”
18 “Ennaku eyabakwatanga olw’embaga ezabakuŋŋaanyanga
ndigibaggyako;
kubanga kibafuukidde omugugu.
19 (R)Laba, mu biro ebyo ndibonereza
abo bonna abaakubonyaabonya:
era ndinunula omulema,
ne nkuŋŋaanya n’abo abaasaasaanyizibwa;
era ndibafuula ettendo ne mbawa ekitiibwa
mu nsi zonna gye baaswazibwa.
20 (S)Mu biro ebyo ndibakuŋŋaanya;
mu kiseera ekyo ndibazza eka.
Weewaawo ndibawa ekitiibwa n’ettendo
mu mawanga gonna ag’omu nsi zonna,
bwe ndikomyawo obugagga bwammwe
nga mulaba,”
bw’ayogera Mukama.
Kigambo
1 (A)Kigambo yaliwo ng’ensi tennatondebwa. Kigambo[a] yali ne Katonda, era Kigambo yali Katonda. 2 (B)Oyo, okuva ku lubereberye yaliwo ne Katonda.
3 (C)Ebintu byonna byatondebwa ku lulwe, era tewaliiwo kintu na kimu ekyatondebwa nga taliiwo. 4 (D)Mu ye mwe mwali obulamu; era obulamu buno ne buba ekitangaala eri abantu. 5 (E)Omusana ne gwaka mu kizikiza, naye ekizikiza tekyaguyinza.
6 (F)Ne walabika omuntu ng’ayitibwa Yokaana, Katonda gwe yatuma, 7 (G)eyajja okutegeeza abantu ebifa ku musana, bonna bakkirize nga bayita mu ye. 8 Yokaana si ye yali Omusana, wabula ye yatumibwa ategeeze eby’Omusana.
9 (H)Kristo ye yali Omusana, omusana ogw’amazima, ogujja mu nsi, okwakira buli muntu. 10 (I)Kyokka newaakubadde Kigambo oyo ye yatonda ensi, bwe yajja mu nsi, ensi teyamutegeera. 11 Yajja eri abantu be, naye abantu be ne batamusembeza. 12 (J)Naye bonna abaamusembeza, yabawa obuyinza okufuuka abaana ba Katonda; be bo abakkiriza erinnya lye. 13 (K)Abataazaalibwa musaayi, oba okwagala kw’omubiri, wadde okwagala kw’omuntu, naye abaazaalibwa okwagala kwa Katonda. 14 (L)Kigambo n’afuuka omubiri, n’abeera mu ffe, ne tulaba ekitiibwa kye, ng’eky’oyo omu yekka eyava eri kitaffe ng’ajjudde ekisa n’amazima.
15 (M)Yokaana Omubatiza yamwogerako, ng’alangirira nti, “Ono ye oyo gwe nayogerako nti, ‘Waliwo ajja emabega wange, eyansoka okubaawo, kubanga yaliwo nga sinnabaawo.’ ” 16 (N)Ku kujjula kwe ffenna kwe twagabana ekisa ekisukiridde ekisa. 17 (O)Amateeka gaatuweebwa nga gayita mu Musa, naye Yesu Kristo ye yaaleeta ekisa n’amazima. 18 (P)Tewali n’omu eyali alabye ku Katonda, okuggyako Omwana we omu yekka, abeera mu kifuba kya kitaffe, oyo ye yatutegeeza byonna ebimufaako.
Yokaana Omubatiza ategeeza nga bw’atali Kristo
19 (Q)Bino bye bigambo Yokaana Omubatiza bye yategeeza abakulembeze b’Abayudaaya bwe baamutumira bakabona n’Abaleevi okuva mu Yerusaalemi ne bamubuuza nti, “Ggwe ani?” 20 (R)Teyagaana kubaddamu, wabula yayatulira ddala nti, “Si nze Kristo.”
21 (S)Ne bamubuuza nti, “Kale ggwe ani? Ggwe Eriya?”
Yokaana Omubatiza n’addamu nti, “Nedda, si nze ye.”
Ne bongera okumubuuza nti, “Ggwe Nnabbi ayogerwako?”
N’addamu nti, “Nedda.”
22 Awo ne bamugamba nti, “Abatutumye tunaabagamba nti, Ggwe ani? Weeyita otya?” 23 (T)N’abaddamu nti,
“Nze ndi ddoboozi ly’oyo ayogerera mu ddoboozi ery’omwanguka ng’asinziira mu ddungu nti,
‘Mutereeze ekkubo lya Mukama mweteekereteekere okujja kwe, nga nnabbi Isaaya bwe yayogera.’ ”
24 Abaatumibwa baava eri Abafalisaayo. 25 Awo ne babuuza Yokaana nti, “Kale lwaki obatiza, obanga si ggwe Kristo oba Eriya oba nnabbi oli?”
26 Yokaana n’addamu nti, “Nze mbatiza na mazzi, naye waliwo ayimiridde wakati mu mmwe gwe mutamanyi, 27 (U)anvaako emabega, nze sisaanira na kusumulula buguwa bwa ngatto ze.” 28 (V)Ebyo byali Besaniya, emitala w’omugga Yoludaani, Yokaana Omubatiza gye yabatirizanga.
Yesu Omwana gw’Endiga owa Katonda
29 (W)Ku lunaku olwaddirira, Yokaana Omubatiza n’alaba Yesu ng’ajja, n’agamba nti, “Mulabe Omwana gw’Endiga owa Katonda aggyawo ebibi by’ensi. 30 (X)Ye wuuyo gwe nayogerako, bwe nagamba nti, ‘Waliwo omuntu anvaako emabega ye ansinga obuyinza, kubanga ye yaliwo nga nze sinnabaawo.’ 31 Nange nnali simumanyi, wabula nze najja okubatiza n’amazzi, ndyoke mulage eri abantu ba Isirayiri.”
32 (Y)Awo Yokaana Omubatiza n’abategeeza nga bwe yalaba Mwoyo Mutukuvu ng’akka okuva mu ggulu ng’ali ng’ejjiba n’abeera ku Yesu, 33 (Z)n’abagamba nti, “Nze saamutegeera, kyokka Katonda bwe yantuma okubatiza yaŋŋamba nti, ‘Bw’olabanga Mwoyo Mutukuvu ng’akka n’abeera ku muntu, nga oyo, ye Kristo abatiza ne Mwoyo Mutukuvu.’ 34 (AA)Ekyo nkirabye era nkiweerako obujulirwa nti Ye Mwana wa Katonda.”
Abayigirizwa ba Yesu Abaasooka
35 (AB)Awo ku lunaku olwaddirira nate Yokaana bwe yali ayimiridde n’abayigirizwa be babiri, 36 (AC)Yesu n’ayitawo ng’atambula. Yokaana n’amutunuulira enkaliriza n’agamba nti, “Mulabe Omwana gw’Endiga wa Katonda.”
37 Awo abayigirizwa abo ababiri bwe baawulira ekyo ne bagoberera Yesu. 38 (AD)Yesu bwe yakyuka n’abalaba nga bamugoberera n’ababuuza nti, “Mwagala ki?”
Ne bamuddamu nti, “Labbi” (ekitegeeza nti: “Omuyigiriza”), “obeera wa?”
39 N’abaddamu nti, “Mujje mulabeyo.”
Awo ne bagenda naye gye yali abeera, olunaku olwo ne baluzibiza eyo nga bali naye, obudde bwali ng’essaawa kkumi ez’olweggulo okutuusa akawungeezi.
40 Omu ku abo ababiri abaawulira Yokaana ng’ayogera ne bagoberera Yesu, yali Andereya, muganda wa Simooni Peetero. 41 (AE)Awo Andereya n’agenda anoonya muganda we Simooni n’amugamba nti, “Tulabye Masiya” (amakulu nti Kristo). 42 (AF)Andereya n’atwala Simooni eri Yesu.
Yesu bwe yeetegereza Simooni, n’amugamba nti, “Ggwe Simooni omwana wa Yokaana, kale onooyitibwanga Keefa,” amakulu nti Peetero.
Yesu Ayita Firipo ne Nassanayiri
43 (AG)Ku lunaku olwaddirira, Yesu n’agenda e Ggaliraaya, bwe yasanga Firipo n’amugamba nti, “Ngoberera.”
44 (AH)Firipo yali wa mu kibuga Besusayida ewaabwe wa Andereya ne Peetero. 45 (AI)Firipo bwe yalaba Nassanayiri, n’amugamba nti, “Tulabye Yesu mutabani wa Yusufu ow’e Nazaaleesi, Musa ne bannabbi gwe baawandiikako.”
46 (AJ)Nassanayiri n’amuddamu nti, “Mu Nazaaleesi musobola okuvaamu ekintu ekirungi?”
Firipo kwe kumuddamu nti, “Jjangu weerabireko.”
47 (AK)Nassanayiri bwe yali asemberera Yesu, Yesu n’agamba nti, “Laba, Omuyisirayiri wawu ataliimu bukuusa.”
48 Nassanayiri kwe kumuddamu nti, “Ontegedde otya?”
Yesu n’amugamba nti, “Firipo bw’abadde tannakutuukako, nkulabye ng’oli wansi w’omutiini.”
49 (AL)Nassanayiri n’amuddamu nti, “Labbi, oli Mwana wa Katonda, gwe Kabaka wa Isirayiri!”
50 Awo Yesu n’amugamba nti, “Okkiriza kubanga nkugambye nti nkulabye ng’oli wansi w’omutiini? Oliraba n’ebisinga awo obukulu. 51 (AM)Ddala ddala nkugamba nti oliraba eggulu nga libikkuse ne bamalayika ba Katonda nga balinnya era nga bakkira ku Mwana w’Omuntu.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.