Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Read the Gospels in 40 Days

Read through the four Gospels--Matthew, Mark, Luke, and John--in 40 days.
Duration: 40 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Matayo 7-9

Temunoonyanga Bisobyo ku Bannammwe

(A)“Temusalanga musango, nammwe muleme okusalirwa omusango. (B)Kubanga nga bwe musalira abalala nammwe bwe mujjanga okusalirwa. Ekigera kye mugereramu, nammwe kye muligererwamu.”

“Ofaayo ki ku kasasiro akali ku liiso lya muganda wo so nga ku liryo kuliko kisiki kiramba? Oyinza otya okugamba muganda wo nti, ‘Leka nkuggyeko akasasiro akakuli ku liiso,’ so nga ku liryo kuliko kisiki? Munnanfuusi ggwe! Sooka oggyeko ekisiki ekiri ku liiso lyo olyoke olabe bulungi nga bw’oggyako akasasiro akali ku liiso lya muganda wo.”

“Temuddiranga bintu bitukuvu ne mubiwa embwa. N’embizzi temuzisuuliranga mayinja ag’omuwendo omungi, kubanga zigenda kugalinnyirira, n’oluvannyuma zikyuke zibalume.”

Musabe, munoonye, mweyanjule

(C)“Musabe, munaaweebwa. Munoonye, munaazuula. Era mukonkone munaggulirwawo. (D)Kubanga buli asaba aweebwa, n’oyo anoonya, azuula, n’oyo akonkona aggulirwawo.”

“Oba muntu ki mu mmwe singa omwana we amusaba omugaati, ayinza okumuwa ejjinja? 10 Oba singa asabye ekyennyanja, kitaawe ayinza okumuwa omusota? 11 Obanga mmwe abantu ababi musobola okuwa abaana bammwe ebirabo ebirungi, Kitammwe ali mu ggulu talisingawo okubawa ebirungi bye mumusaba? 12 (E)Noolwekyo ebintu byonna bye mwagala abantu okubakoleranga, nammwe mubibakoleranga, kubanga ebyo bye biri mu mateeka ne mu bunnabbi.”

Omulyango omufunda n’omugazi

13 (F)“Muyingirire mu mulyango omufunda! Kubanga ekkubo erigenda mu kuzikirira ddene n’omulyango mugazi, n’abalonda ekkubo eryo bangi. 14 Kubanga omulyango mufunda, n’ekkubo eridda eri obulamu ffunda, era n’abaliraba batono.”

Omuti n’Ebibala

15 (G)“Mwekuume abayigiriza ab’obulimba, abajja nga bambadde amaliba g’endiga, songa munda gy’emisege egigenda okubataagulataagula. 16 (H)Mulibalabira ku bikolwa byabwe, ng’omuti bwe mugutegeerera ku bibala byagwo. Omuntu tayinza kunoga mizabbibu ku busaana oba okunoga ettiini ku mweramannyo. 17 Noolwekyo buli muti omulungi gubala ebibala ebirungi, naye omuti omuvundu gubala ebibala ebibi. 18 Omuti omulungi teguyinza kubala bibala bibi, n’omuti omuvundu teguyinza kubala bibala birungi. 19 (I)Omuti gwonna ogutabala bibala birungi gutemebwa ne gusuulibwa mu muliro. 20 Noolwekyo mulibategeerera ku bibala byabwe.”

21 (J)“Si bonna abampita nti, ‘Mukama waffe, Mukama waffe,’ be baliyingira obwakabaka obw’omu ggulu, wabula abo bokka abakola ebyo Kitange ali mu ggulu by’ayagala. 22 (K)Ku lunaku Iuli bangi baliŋŋamba nti, ‘Mukama waffe, Mukama waffe, twayogeranga eby’obunnabbi mu linnya lyo, era ne tugoba ne baddayimooni mu linnya lyo, ne tukola n’ebyamagero bingi mu linnya lyo.’ 23 (L)Ndibaddamu nti, ‘Sibamanyi, muve mu maaso gange, kubanga ebikolwa byammwe byali bibi.’ ”

Omuzimbi Omugezi n’atali Mugezi

24 (M)“Noolwekyo buli awulira ebigambo byange, n’abikola, alifaananyizibwa ng’omusajja ow’amagezi eyazimba enju ye ku lwazi. 25 Enkuba n’etonnya, emigga ne gikulukuta, omuyaga ne gujja, ne bikuba enju eyo naye n’etegwa kubanga yazimbibwa ku lwazi. 26 Naye buli awulira ebigambo byange n’atabikola, alifaananyizibwa ng’omusajja omusirusiru eyazimba ennyumba ye mu musenyu. 27 Enkuba n’etonnya, emigga ne gikulukuta, omuyaga ne gujja, ne bikuba ennyumba eyo, n’egwa, n’okugwa kwayo ne kuba kunene.”

28 (N)Awo Yesu n’amaliriza ebigambo bye ebyo. Abantu bonna ne beewuunya nnyo olw’okuyigiriza kwe. 29 Kubanga yabayigiriza nga nannyini buyinza, so si ng’abannyonnyozi b’amateeka baabwe bwe baayigirizanga.

Yesu Awonya Omugenge

Awo Yesu bwe yava ku lusozi ekibiina kinene ne kimugoberera. (O)Omusajja omugenge n’ajja gy’ali n’amuvuunamira ng’agamba nti, “Mukama wange, bw’obanga oyagala oyinza okunnongoosa.”

Yesu n’agolola omukono gwe n’amukwatako n’amugamba nti, “Njagala, longooka.” Amangwago omusajja n’awona ebigenge. (P)Yesu n’amugamba nti, “Laba, tobaako muntu n’omu gw’obuulira, wabula genda weerage eri kabona otwaleyo n’ekirabo nga Musa bwe yalagira, kibeere obujulirwa gye bali.”

Okukkiriza kw’Omuserikale Omuruumi

Awo Yesu bwe yayingira mu Kaperunawumu, omuserikale Omuruumi, omukulu w’ekitongole ky’abaserikale ekikumi, n’ajja n’amwegayirira, ng’agamba nti, “Mukama omulenzi wange mulwadde nnyo, amaze ebbanga ddene ng’akoozimbye ali ku kitanda era abonaabona nnyo.”

Yesu n’amuddamu nti, “Nnajja ne mmuwonya.”

(Q)Omukulu w’ekitongole n’agamba Yesu nti, “Mukama, sisaanira kukuyingiza mu nnyumba yange, yogera bwogezi ekigambo, omulenzi wange anaawona! Kubanga nange waliwo abakulu abantwala, ate nga nange nnina be nfuga. Bwe ndagira omu nti, ‘Genda,’ agenda, n’omulala nti, ‘Jjangu,’ era ajja, n’omuddu wange nti, ‘Kola kino,’ akikola.”

10 (R)Yesu bwe yawulira ekyo ne yeewunya nnyo, n’agamba abaali bamugoberera nti, “Ddala ddala mbagamba nti, Sinnalabayo muntu alina kukkiriza nga kuno wadde mu lsirayiri! 11 (S)Mbagamba nti bangi baliva ebuvanjuba n’ebugwanjuba ne batuula wamu ne Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo mu bwakabaka obw’omu ggulu. 12 (T)Naye abaana b’obwakabaka, baligoberwa ebweru mu kizikiza ekikutte, eriba okukuba ebiwoobe n’okuluma obujiji.”

13 (U)Awo Yesu n’agamba omukulu w’ekitongole Omuruumi nti, “Ggenda. Nga bw’okkirizza kikukolerwe.” Omulenzi we n’awonerawo mu kiseera ekyo.

Yesu Awonya Nnyina wa muka Peetero

14 Awo Yesu bwe yayingira mu maka ga Peetero yasanga nnyina wa muka Peetero alwadde omusujja mungi, ng’agalamidde ku kitanda. 15 Yesu n’amukwata ku mukono omusujja ne gumuwonako, n’agolokoka n’amuweereza.

16 (V)Obudde bwe bwawungeera, ne bamuleetera abalwadde bangi abaaliko baddayimooni. N’ayogera bwogezi kigambo baddayimooni n’abagoba, era n’awonya n’abalala bonna abaali balwadde. 17 (W)Bwe kityo ekigambo ekyayogerebwa mu nnabbi Isaaya ne kituukirira bwe yagamba nti:

“Yatuwonya endwadde zaffe,
    era n’atwala obunafu bwaffe.”

Okugoberera Yesu

18 (X)Awo Yesu bwe yalaba ng’ekibiina ekimwetoolodde kinene n’alagira bawunguke balage ku ludda olulala. 19 Omu ku bawandiisi b’amateeka n’amusemberera n’amugamba nti, “Omuyigiriza, nnaakugobereranga wonna w’onoogendanga!”

20 (Y)Yesu n’amuddamu nti, “Ebibe birina obunnya mwe bisula, n’ennyonyi ez’omu bbanga zirina ebisu, naye Omwana w’Omuntu talina kifo kya kuwumulizaamu mutwe gwe.”

21 Omuyigirizwa we omu n’amugamba nti, “Mukama wange, nzikiriza mmale okugenda okuziika kitange.” 22 (Z)Naye Yesu n’amuddamu nti, “Ngoberera! Leka abo abafu baziike abafu baabwe.”

23 Yesu n’ayingira mu lyato n’abayigirizwa be. 24 Awo omuyaga mungi ogw’amaanyi ne gujja ku nnyanja, amayengo amagulumivu ne gaba kumpi okubuutikira eryato. Naye yali yeebase. 25 Abayigirizwa be ne bajja gy’ali ne bamuzuukusa nga bagamba nti, “Mukama waffe, tulokole, tusaanawo!”

26 (AA)Yesu n’abaddamu nti, “Mmwe abalina okukkiriza okutono! Lwaki mutya bwe mutyo?” N’agolokoka n’aboggolera omuyaga. Omuyaga ne guggwaawo, ennyanja n’eteeka. 27 Naye abayigirizwa ne bawuniikirira nnyo! Ne beebuuza nti, “Muntu ki ono, omuyaga n’ennyanja gwe bigondera?” 28 (AB)Awo bwe yatuuka emitala w’eri mu nsi y’Abagadaleni, abasajja babiri abaaliko baddayimooni ne bava mu malaalo ne bajja gy’ali. Baali bakambwe nnyo, nga tewali na muntu ayinza kuyita mu kkubo eryo. 29 (AC)Ne bawowoggana nnyo nti, “Otwagaza ki, ggwe Omwana wa Katonda! Ojjidde ki okutubonyaabonya ng’ekiseera kyaffe tekinnaba kutuuka?”

30 Walako ne we baali waaliwo eggana ly’embizzi[a] nga zirya, 31 baddayimooni ne basaba Yesu nti, “Obanga ogenda kutogoba ku bantu bano, tusindike mu ggana ly’embizzi.”

32 Yesu n’agamba baddayimooni nti, “Kale, mugende.” Ne bava ku bantu, ne bayingira mu mbizzi, eggana lyonna ne lifubutuka ne liva ku bbangabanga ne lyeyiwa mu nnyanja embizzi zonna ne zisaanawo. 33 Naye abaali balunda embizzi ne badduka ne bagenda mu kibuga ne babuulira abantu byonna ebibaddewo, n’eby’abasajja abaaliko baddayimooni. 34 (AD)Abantu b’omu kibuga bonna ne bafuluma okujja okusisinkana Yesu. Bwe baamulaba ne bamwegayirira abaviire mu kitundu kyabwe.

Yesu Awonya eyali Akoozimbye

(AE)Awo Yesu n’asaabala mu lyato n’awunguka n’atuuka mu kibuga ky’ewaabwe, Kaperunawumu. (AF)Amangwago ne bamuleetera omuntu eyali akoozimbye nga bamusitulidde ku katanda. Bwe yalaba okukkiriza kwabwe n’agamba omulwadde nti, “Mwana wange, guma omwoyo, nkusonyiye ebibi byo!”

(AG)Naye waaliwo abamu ku bannyonnyozi b’amateeka ne boogeraganya bokka na bokka nti, “Omuntu ono avvoola! Alowooza nti Ye Katonda!”

(AH)Yesu n’amanya bye balowooza. N’abagamba nti, “Lwaki mubeera n’ebirowoozo ebibi mu mitima gyammwe? Ekyo buli muntu ayinza okukyogera, kubanga kwogera bwogezi. (AI)Naye mutegeere nga Omwana w’Omuntu alina obuyinza ku nsi okusonyiwa ebibi.” Awo n’agamba akoozimbye nti, “Yimirira weetikke akatanda ko, weddireyo ewammwe!” N’ayimirira ng’awonye, ne yeddirayo eka. (AJ)Naye abantu abaali mu bibiina bwe baalaba ekyamagero kino ne beewuunya nnyo! Ne bagulumiza Katonda eyawa abantu obuyinza obwenkaniddaawo!

Okuyitibwa kwa Matayo

Awo Yesu bwe yava mu kifo ekyo n’alaba omuntu, erinnya lye Matayo, ng’atudde mu kifo we basolooleza omusolo, n’amugamba nti, “Ngoberera.” Bw’atyo naye n’asitukiramu n’agoberera Yesu.

10 Awo Yesu bwe yali ng’atudde ku mmere mu nnyumba ya Matayo, abawooza bangi n’abantu abaali bamanyiddwa mu kitundu ekyo nti babi ne bajja ne batuula naye n’abayigirizwa be ku mmere ne balya. 11 (AK)Naye Abafalisaayo bwe baakiraba, ne bagamba abayigirizwa be nti, “Lwaki Mukama wammwe alya n’abawooza n’abantu abalina ebibi?”

12 Yesu bwe yawulira n’abaddamu nti, “Abalamu tebeetaaga musawo wabula abalwadde. 13 (AL)Mugende muyige amakulu g’Ekyawandiikibwa kino nti, ‘Ssaddaaka zammwe n’ebirabo byammwe si bye neetaaga, wabula neetaaga mubeerenga ba kisa.’ Najjirira kuyita boonoonyi, so sajjirira abo abeerowooza nti batuukirivu.”

14 (AM)Lwali lumu abayigirizwa ba Yokaana ne bajja eri Yesu ne bamubuuza nti, “Lwaki abayigirizwa bo tebasiiba nga ffe n’Abafalisaayo bwe tukola?”

15 (AN)Yesu n’ababuuza nti, “Mikwano gy’omugole bayinza okunakuwala ng’omugole akyali nabo? Naye ekiseera kirituuka omugole lwalibaggibwako. Olwo nno balisiiba.

16 “Tewali muntu atunga kiwero kiggya mu lugoye lukadde, kubanga, ekiwero bwe kyetugga kiyuza olugoye olukadde, n’ekituli ne kigaziwa. 17 Era tewali ateeka wayini musu mu nsawo ez’amaliba enkadde. Ensawo[b] enkadde zaabika wayini n’ayiika n’ensawo ne zoonooneka. Wayini omusu bamuteeka mu nsawo z’amaliba maggya, byombi ne bitayonooneka.”

18 (AO)Bwe yali ng’akyayogera nabo omufuzi n’ajja, n’amusinza n’amugamba nti, “Omwana wange omuwala anfuddeko, naye singa ojja n’omukwatako anaalamuka.” 19 Yesu bwe yasituka n’abayigirizwa be okugenda mu maka g’omukulu w’ekkuŋŋaaniro, 20 (AP)omukazi eyali alwadde ekikulukuto ky’omusaayi, okumala emyaka kkumi n’ebiri, n’ajja emabega we n’akoma ku lukugiro lw’ekyambalo kye. 21 Kubanga y’agamba mu mutima gwe nti, “Ne bwe nnaakoma obukomi ku kyambalo kye nnaawona.”

22 (AQ)Yesu n’akyuka n’alaba omukazi n’amugamba nti, “Muwala, guma omwoyo! Owonye olw’okukkiriza kwo.” Omukazi n’awonera mu kiseera ekyo.

23 (AR)Awo Yesu bwe yatuuka mu maka g’omufuzi n’asanga abafuuyi b’amakondeere n’ekibiina nga kijagaladde, 24 (AS)n’agamba nti, “Mufulume kubanga omuwala tafudde wabula yeebase bwebasi.” Bonna ne bamusekerera nga bwe beesooza. 25 Naye abantu bwe bamala okufuluma, Yesu n’ayingira, n’akwata omukono gw’omuwala, n’agolokosa omuwala. 26 (AT)Ebigambo ebyo ne bibuna mu kitundu ekyo kyonna.

Yesu Awonya Bamuzibe ne Bakiggala

27 (AU)Awo Yesu bwe yava eyo, abazibe b’amaaso babiri ne bamugoberera nga bwe baleekaana nti, “Ayi Omwana wa Dawudi, otusaasire!”

28 Bwe yatuuka mu nju, bamuzibe ne bajja w’ali. Yesu n’ababuuza nti, “Mukkiriza nga nnyinza okubazibula amaaso?” Ne bamuddamu nti, “Weewaawo, Mukama waffe.”

29 (AV)Awo n’akoma ku maaso gaabwe n’abagamba nti, “Kale, olw’okukkiriza kwammwe, kye musabye mukiweereddwa.” 30 (AW)Amangwago amaaso gaabwe ne gazibuka. Yesu n’abakuutira nnyo baleme kubuulirako muntu yenna ng’abagamba nti, “Mulabe nga tewaba n’omu ategeera bibaddewo.” 31 (AX)Naye bwe baava awo, ne bagenda nga basaasaanya ebigambo ebyo, nga babuulira buli muntu gwe baasisinkananga mu kitundu ekyo.

32 (AY)Awo Yesu ne be yali nabo, bwe baali bafuluma ne bamuleetera kiggala eyali tayogera kubanga yaliko dayimooni. 33 (AZ)Yesu n’amugobako dayimooni, era amangwago abadde kiggala n’ayogera. Ekibiina ky’abantu ne beewuunya nnyo nga bagamba nti, “Kino tekibangawo mu Isirayiri.”

34 (BA)Naye Abafalisaayo ne bagamba nti, “Agoba baddayimooni lwa kubanga ye mukulu wa baddayimooni!” 35 (BB)Yesu n’agenda ng’ayita mu bibuga byonna eby’omu kitundu ekyo, ne mu byalo ng’ayigiriza mu makuŋŋaaniro gaabwe, era ng’abuulira Enjiri ey’obwakabaka. Era buli we yatuukanga n’awonya abalwadde n’abakoozimbye bonna. 36 (BC)Awo bwe yatunuulira ekibiina ky’abantu nga bajja gy’ali, nga bakooye nnyo, era nga basaasaanye ng’endiga ezitalina musumba, n’abasaasira nnyo. 37 (BD)N’agamba abayigirizwa be nti, “Eby’okukungula bingi nnyo, naye abakozi abakungula batono. 38 Noolwekyo musabe nannyini nnimiro, aweereze abakozi mu nnimiro ye.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.