Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Read the Gospels in 40 Days

Read through the four Gospels--Matthew, Mark, Luke, and John--in 40 days.
Duration: 40 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Lukka 21-22

Okugaba kwa Nnamwandu

21 (A)Awo Yesu bwe yayimusa amaaso n’alaba abantu abagagga nga bateeka ebirabo byabwe mu ggwanika mu Yeekaalu. N’alaba nnamwandu omwavu ng’awaayo busente bubiri. N’agamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti nnamwandu oyo omwavu agabye okusinga bali abagagga bonna. (B)Kubanga bagabye kitono nga bakiggya ku bugagga bwe bafisizzaawo, naye nnamwandu mu bwavu bwe awaddeyo kyonna ky’alina.”

Okuzikirizibwa kwa Yeekaalu

Ne wabaawo aboogera ku bulungi bw’amayinja agaweebwayo eri Katonda okuzimba Yeekaalu. (C)Naye Yesu n’agamba nti, “Ekiseera kijja ebirungi bino byonna bye mutunuulira lwe biribetentulwa ne watasigalawo jjinja na limu nga litudde ku linnaalyo, eritalisuulibwa wansi.”

Ne bamubuuza nti, “Omuyigiriza, ebyo biribaawo ddi? Ye walibaawo akabonero akaliraga nti biri kumpi okubaawo?”

(D)Yesu n’addamu nti, “Mwekuume muleme kulimbibwalimbibwa. Kubanga bangi balikozesa erinnya lyange, nga bagamba nti, ‘Nze nzuuyo.’ Naye temubakkirizanga. Naye bwe muwuliranga entalo n’obwegugungo, temutyanga. Kubanga entalo ziteekwa okusooka okujja, naye enkomerero terituuka mangwago.”

10 (E)N’ayongera n’abagamba nti, “Amawanga galirwanagana, n’obwakabaka ne bulwanagana ne bunaabwo. 11 (F)Wagenda kubeerawo musisi ow’amaanyi ennyo, n’enjala ennyingi mu bitundu eby’enjawulo, ne kawumpuli. Walibaawo n’ebyentiisa ate n’obubonero okuva mu ggulu.

12 “Naye bino byonna nga tebinnabaawo balibayigganya, balibakwata. Balibawaayo mu makuŋŋaaniro, ne mu maaso ga bakabaka ne bagavana, ku lw’erinnya lyange, ne musibibwa ne mu makomera. 13 (G)Kiribaviiramu okufuna omukisa okuba abajulirwa bange. 14 (H)Naye temweraliikiriranga gye muliggya ebigambo eby’okuwoza, 15 (I)Kubanga ŋŋenda kubawa ebigambo n’amagezi ebiriremesa n’abalabe bammwe okubaako n’eky’okuddamu! 16 (J)Muliweebwayo bakadde bammwe, ne baganda bammwe ne mikwano gyammwe, balibawaayo mukwatibwe, era abamu ku mmwe muttibwe. 17 (K)Abantu bonna balibakyawa nga babalanga erinnya lyange. 18 (L)Naye n’oluviiri olumu bwe luti olw’oku mitwe gyammwe terulizikirira. 19 (M)Kubanga bwe muligumiikiriza muliwonya obulamu bwammwe.”

Okuzikirizibwa kwa Yerusaalemi

20 (N)“Bwe mulabanga nga Yerusaalemi kyetooloddwa amaggye, nga mutegeera nga Okuzikirizibwa kw’ekibuga ekyo kutuuse. 21 (O)Abo abalibeera mu Buyudaaya baddukiranga ku nsozi, abaliba mu Yerusaalemi bakivangamu ne badduka, n’abo abalibeera mu nnimiro tebakomangawo mu kibuga. 22 (P)Kubanga ebyo bye biriba ebiseera Katonda mwaliwolera eggwanga, n’ebigambo ebiri mu Byawandiikibwa birituukirizibwa. 23 Nga ziribasanga abakazi abaliba embuto n’abayonsa! Kubanga eggwanga liribonaabona, n’abantu baalyo balisunguwalirwa. 24 (Q)Abamu balittibwa n’ekitala ky’omulabe, abalala balikwatibwa ne bawaŋŋangusibwa mu mawanga gonna amalala ag’oku nsi. Yerusaalemi kiriwangulwa bannaggwanga ne bakirinnyirira okutuusa ekiseera kyabwe eky’obuwanguzi lwe kirikoma mu kiseera Katonda ky’aliba ateesezza.”

Okujja kw’Omwana w’Omuntu

25 (R)“Walibaawo obubonero ku njuba, ne ku mwezi, ne ku mmunyeenye. Wano ku nsi amawanga galibeera mu kunyolwa, olw’ab’amawanga, ng’abantu basamaaliridde olw’ennyanja eziyira n’amayengo ageesiikuula. 26 (S)Abantu baliggwaamu amaanyi ne bazirika nga batidde nnyo olw’ebirijja ku nsi; kubanga amaanyi g’eggulu galinyeenyezebwa. 27 (T)Mu kiseera ekyo muliraba Omwana w’Omuntu ng’ajjira mu kire n’obuyinza n’ekitiibwa kingi. 28 (U)Kale ebintu ebyo bwe bitandikanga muyimiriranga butereevu ne muyimusa amaaso gammwe waggulu! Kubanga okulokolebwa kwammwe nga kusembedde.”

Eky’okuyiga ku muti omutiini

29 Awo Yesu n’abagerera olugero luno nti, “Mutunuulire omuti omutiini n’emiti emirala gyonna. 30 Bwe mulaba nga gitandise okutojjera, mumanya ng’ebiseera eby’ebbugumu bituuse. 31 (V)Mu ngeri y’emu bwe muliraba ebintu nga bibaawo, nga mumanya nti obwakabaka bwa Katonda buli kumpi okutuuka.

32 (W)“Ddala ddala mbagamba nti omulembe guno teguliggwaawo okutuusa ng’ebintu ebyo byonna bituukiridde. 33 (X)Eggulu n’ensi biriggwaawo, naye ebigambo byange tebigenda kuggwaawo.

34 (Y)“Mwekuume muleme okwemalira mu binyumu n’okutamiira, n’okweraliikirira eby’obulamu, okujja kwange okw’amangu kuleme kubakwasa nga temugenderedde ng’abagudde mu mutego. 35 Kubanga olunaku olwo lulituuka ku buli muntu mu nsi yonna. 36 (Z)Mutunule nga musaba Katonda buli kiseera, abawe amaanyi okubasobozesa okuwona ebintu ebyo byonna, Omwana w’Omuntu bw’alijja mulyoke musobole okuyimirira mu maaso ge.”

37 (AA)Buli lunaku Yesu yayigirizanga mu Yeekaalu, bwe bwawungeeranga n’ava mu kibuga n’asula ku lusozi oluyitibwa olwa Zeyituuni. 38 (AB)Mu makya abantu bonna ne bajjanga mu Yeekaalu okumuwuliriza.

Yuda Alya mu Yesu Olukwe

22 (AC)Embaga ey’Emigaati Egitazimbulukuswa eyitibwa Okuyitako yali esembedde. (AD)Bakabona abakulu n’abannyonnyozi b’amateeka baali bakola kaweefube okusala amagezi okutta Yesu, naye nga batya abantu okusasamala. (AE)Awo Setaani n’ayingira mu Yuda Isukalyoti eyali omu ku bayigirizwa ekkumi n’ababiri, (AF)n’agenda eri bakabona abakulu n’abakuumi ba Yeekaalu abakulu, n’ateesa nabo nga bw’anaamuwaayo gye bali. (AG)Ne basanyuka nnyo, era ne bakkiriza okumusasula. Yuda n’akkiriza okuwaayo Yesu, n’anoonya akakisa konna mw’anaamuweerayo gye bali nga tewali kibiina.

Ekyekiro eky’Enkomerero

(AH)Awo olunaku olw’Emigaati Egitazimbulukuswa, okuttirwa omwana gw’endiga ogw’embaga y’Okuyitako, ne lutuuka. (AI)Yesu n’atuma Peetero ne Yokaana n’abagamba nti, “Mugende mututegekere ekyekiro kyaffe eky’okuyitako, tujje tukirye.”

Ne bamubuuza nti, “Oyagala tukitegekere wa?”

10 Yesu n’abaddamu nti, “Munaaba mwakayingira mu kibuga, mujja kulaba omusajja eyeetisse ensuwa y’amazzi ng’atambula. Mumugoberere okutuuka mu nnyumba mw’anaayingira, 11 mugambe nnyinimu nti, ‘Omuyigiriza atutumye gy’oli ng’agamba nti: Ekisenge ky’abagenyi kiruwa mwe nnaaliira Okuyitako n’abayigirizwa bange?’ 12 Ajja kubalaga ekisenge ekinene ekya waggulu nga kitegekeddwa bulungi. Omwo mwe muba mutegekera.”

13 (AJ)Ne balaga mu kibuga, ne basanga buli kimu nga Yesu bwe yabagamba. Ne bateekateeka Okuyitako.

14 (AK)Awo ekiseera ky’okulya bwe kyatuuka, Yesu n’atuula n’abayigirizwa be okulya. 15 (AL)Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, “Ebbanga eryo lyonna mbadde ndowooza nnyo ku Kyekiro kino eky’Okuyitako, nga njagala nkirye nammwe nga sinnaba kubonyaabonyezebwa. 16 (AM)Kubanga mbagamba nti sigenda kuddayo kulya nammwe Okuyitako okutuusa lwe kulituukirizibwa mu bwakabaka bwa Katonda.”

17 Awo Yesu n’addira ekikompe ky’envinnyo, bwe yamala okwebaza Katonda, n’agamba nti, “Mukwate, munyweko mwenna. 18 Kubanga mbagamba nti, Sigenda kuddayo kunywa ku kibala kya muzabbibu okutuusa ng’obwakabaka bwa Katonda buzze.”

19 (AN)Ate n’atoola omugaati, bwe yamala okwebaza Katonda, n’agumenyaamenyamu, n’abagabira ng’agamba nti, “Guno gwe mubiri gwange oguweebwayo ku lwammwe. Mukolenga bwe muti nga munzijukira.”

20 (AO)Bwe baamala okulya ekyekiro, n’addira nate ekikompe era mu ngeri y’emu n’akibakwasa ng’agamba nti, “Ekikompe kino ke kabonero ak’endagaano ya Katonda empya ekakasibwa mu musaayi gwange oguyiyibwa ku lwammwe. 21 (AP)Naye muwulire kino. Omuntu agenda okundyamu olukwe atudde wano nange ku mmere. 22 (AQ)Kigwanira Omwana w’Omuntu, okufa nga Katonda bwe yateekateeka. Naye zimusanze omuntu oyo amulyamu olukwe.” 23 Awo abayigirizwa ne batandika okwebuuzaganya bokka na bokka nti ani ku bo ayinza okukola ekintu ng’ekyo!

Empaka ku Bukulu

24 (AR)Era ne batandika okuwakana bokka ne bokka, ani asinga ekitiibwa mu bo? 25 Naye Yesu n’abagamba nti, “Bakabaka b’abamawanga bafuga abantu baabwe, n’ab’obuyinza ne babazunza mu kino na kiri, naye abafugibwa tebalina kya kukola wabula okubayita abayambi baabwe. 26 (AS)Naye mu mmwe tekisaanira kuba bwe kityo. Oyo asinga ekitiibwa mu mmwe asaana yeeyisenga ng’asembayo, n’omukulembeze mu mmwe asaana abeere ng’omuweereza wammwe. 27 (AT)Mu nsi muno omukungu y’atula ku mmeeza abaddu be ne bamuweereza. Naye wano mu ffe nze muweereza wammwe. 28 Naye mmwe mubadde wamu nange mu biseera bino eby’okugezesebwa kwange, 29 (AU)era kubanga Kitange ampadde obwakabaka, noolwekyo mbaatulira kati nti mbawadde ekifo 30 (AV)okutuula n’okulya era n’okunywera ku mmeeza yange mu bwakabaka bwange obwo, era mulituula ku ntebe ne mulamula ebika bya Isirayiri ekkumi n’ebibiri.

31 (AW)“Simooni, Simooni, Setaani asabye okukuwewa ng’eŋŋaano, 32 (AX)naye ggwe nkusabidde okukkiriza kwo kuleme kukuggwaamu. Era bw’olimala okwenenya, yamba mu kuzimba n’okunyweza okukkiriza kwa baganda bo.”

33 (AY)Awo Peetero n’addamu nti, “Mukama wange, neeteeseteese okusibirwa awamu naawe mu kkomera, era n’okufiira awamu naawe.”

34 Yesu n’amuddamu nti, “Peetero, nkutegeeza nti leero ononneegaana emirundi esatu enkoko nga tennakookolima.”

35 (AZ)Awo Yesu n’ababuuza nti, “Bwe nabatuma okubuulira Enjiri, ne mutatwala nsimbi wadde ensawo, oba omugogo omulala ogw’engatto, mwalina okwetaaga ekintu kyonna?” Ne baddamu nti, “Nedda.”

36 Yesu n’abagamba nti, “Naye kaakano alina ensawo eterekebwamu ensimbi agitwale, n’ensawo ng’ey’omusabiriza bwe mutyo. Atalina kitala, atunde ku ngoye ze akyegulire! 37 (BA)Kubanga mbagamba nti kyetaagisa okutuukirizibwa mu nze ekyawandiikibwa nti, ‘Yabalirwa wamu n’abamenyi b’amateeka,’ ebinkwatako biteekwa okutuukirira.”

38 Abayigirizwa ne bamugamba nti, “Mukama waffe, wano tulinawo ebitala bibiri!” N’abaddamu nti, “Bimala!”

Yesu asaba ku lusozi olwa Zeyituuni

39 (BB)Awo Yesu n’afuluma mu kibuga awamu n’abayigirizwa be n’akwata ekkubo erigenda ku lusozi olwa Zeyituuni nga bwe yali empisa ye. 40 (BC)Bwe yatuuka eyo n’agamba abayigirizwa be nti, “Musabe Katonda, muleme kuwangulwa kukemebwa.” 41 (BD)Ye n’abavaako akabanga ng’awakasukwa ejjinja, n’afukamira n’asaba nti, 42 (BE)“Kitange, obanga kwe kusiima kwo ekikompe kino kinzigyeko. Naye si nga Nze bwe njagala, wabula ky’oyagala kye kiba kikolebwa.” 43 (BF)Awo malayika eyava mu ggulu n’ajja n’amugumya. 44 Yali mu kunyolwa kunene nnyo okw’omwoyo, ne yeeyongera okusaba ennyo n’atuuyana n’entuuyo ezamuvaamu ne ziba ng’amatondo g’omusaayi, era ne gatonnya wansi.

45 Bwe yayimuka ng’amaze okusaba n’addayo eri abayigirizwa be, naye n’abasanga nga beebase, olw’ennaku eyali ebakutte. 46 (BG)N’abagamba nti, “Lwaki mwebase? Muzuukuke, musabe, muleme kuwangulwa kukemebwa.”

Yesu Akwatibwa

47 Awo Yesu bwe yali ng’akyayogera, ekibiina ky’abantu ne batuuka nga Yuda, omu ku bayigirizwa be ekkumi n’ababiri, y’abakulembedde. Yuda n’ajja butereevu awali Yesu, n’amunywegera. 48 Naye Yesu n’amugamba nti, “Yuda, Omwana w’Omuntu omulyamu olukwe ng’omugwa mu kifuba?”

49 (BH)Abayigirizwa abalala bwe baalaba ekyali kigenda okubaawo ne babuuza Yesu nti, “Mukama waffe, tubateme n’ebitala byaffe?” 50 Era omu ku bo n’atemako n’ekitala okutu kw’omuweereza wa Kabona Asinga Obukulu. 51 Naye Yesu n’abagamba nti, “Temwongera kubalwanyisa.” N’akwata ku kutu kw’omusajja, n’amuwonya!

52 (BI)Yesu kwe kukyukira bakabona abakulu, n’abakulu b’abakuumi ba Yeekaalu, n’abakulembeze b’Abayudaaya abaali bakulembedde ekibiina ky’abantu, n’abagamba nti, “Ndi munyazi, n’okujja ne mujja gye ndi nga mwambalidde ebitala n’emiggo? 53 (BJ)Lwaki temwankwatira mu Yeekaalu? Nabeeranga omwo buli lunaku. Naye nammwe eno ye ssaawa yammwe, n’ekizikiza we kiragira obuyinza bwakyo.”

Peetero Yeegaana Yesu

54 (BK)Awo ne bakwata Yesu ne bamutwala mu nnyumba ya Kabona Asinga Obukulu. Peetero n’agoberera nga yeesuddeko akabanga. 55 Bwe baamala okukuma omuliro wakati mu luggya ne batuula okwota; Peetero naye n’atuula wakati mu bo, n’ayota omuliro. 56 Omuwala omuweereza n’amulengera ng’omuliro gumumulisizza, n’amutunuulira enkaliriza, okutuusa lwe yagamba nti, “Omusajja ono yali ne Yesu!”

57 Peetero ne yeegaana nti, “Omukazi, oyo gw’oyogerako nze simumanyi.”

58 Bwe waayitawo akabanga omuntu omulala n’alaba Peetero n’amugamba nti, “Naawe oli omu ku bo.” Peetero ne yeegaana nti, “Nedda, ssebo, si bwe kiri.” 59 (BL)Bwe waali wayiseewo ng’essaawa nnamba, omuntu omu n’ayogera ng’akakasa nti, “Ddala n’ono yali wamu ne Yesu kubanga naye Mugaliraaya.” 60 Peetero n’addamu nti, “Omusajja, by’oyogerako sibimanyi!” Peetero bwe yali akyayogera enkoko n’ekookolima. 61 (BM)Mu kaseera ako Mukama waffe n’akyuka n’atunuulira Peetero. Peetero n’ajjukira Yesu kye yagamba nti, “Enkoko eneeba tennakookolima ononneegaana emirundi esatu.” 62 Awo Peetero n’afuluma okuva mu luggya n’akaaba nnyo amaziga!

Abaserikale Baduulira Yesu

63 Awo abasajja abaali bakuuma Yesu ne batandika okumuduulira n’okumukuba. 64 Ne bamusiba ekitambaala ku maaso ne bamukuba ebikonde, oluvannyuma ne bamubuuza nti, “Nnabbi! yogera ani akukubye?” 65 (BN)Ne bamuvuma n’ebigambo ebirala bingi.

Yesu mu Maaso g’Olukiiko Olukulu

66 (BO)Enkeera mu makya Olukiiko Olukulu olw’Abayudaaya, nga lulimu bakabona abakulu, n’abannyonnyozi b’amateeka, n’abakulembeze b’Abayudaaya, ne lutuula. Yesu n’aleetebwa mu maaso g’Olukiiko olwo.

67 Ne bamubuuza nti, “Obanga ggwe Kristo, tubuulire.”

Yesu n’abaddamu nti, “Bwe nnaababuulira temujja kunzikiriza, 68 (BP)ne bwe nnaababuuza ebibuuzo temujja kunnyanukula. 69 (BQ)Naye ekiseera kituuse, Nze, Omwana w’Omuntu, okutuula ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda Ayinzabyonna.”

70 (BR)Bonna ne baleekaana nti, “Kwe kugamba nti ggwe Mwana wa Katonda?”

Yesu n’abaddamu nti, “Nga bwe mugambye bwe ntyo bwe ndi.”

71 Ne bagamba nti, “Ate twetaagira ki obujulizi obulala? Kubanga ffe ffennyini twewuliridde ng’ebigambo bino biva mu kamwa ke.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.