Read the Gospels in 40 Days
Yesu Awonya Omuzibe w’Amaaso
9 Awo Yesu bwe yali ng’atambula, n’alaba omusajja eyazaalibwa nga muzibe w’amaaso. 2 (A)Abayigirizwa be ne bamubuuza nti, “Labbi, ani eyayonoona, ono oba bazadde be alyoke azaalibwe nga muzibe w’amaaso?”
3 (B)Yesu n’addamu nti, “Ku bonna omusajja ono newaakubadde bazadde be tekuliiko yayonoona, wabula kino kyabaawo emirimu gya Katonda girabikire ku ye. 4 (C)Kale kitugwanidde okukola emirimu gy’oyo eyantuma, obudde nga bukyali misana. Ekiro kijja omuntu mw’atasobolera kukola. 5 (D)Kyokka Nze bwe mbeera mu nsi mba musana gwa nsi.”
6 (E)Yesu bwe yamala okwogera bw’atyo, n’awanda amalusu ku ttaka n’atabula, n’alisiiga ku maaso g’omusajja oyo. 7 (F)N’amugamba nti, “Genda onaabe mu kidiba kya Sirowamu,” amakulu nti, “Eyatumibwa”. Awo omusajja n’agenda, n’anaaba, n’adda ng’alaba.
8 (G)Baliraanwa b’oyo eyawonyezebwa era n’abalala abaali bamumanyi nga muzibe w’amaaso, asabiriza, ne beebuuzaganya nti, “Ono si ye musajja oli eyatuulanga wali ng’asabiriza?” 9 Abamu ne bagamba nti, “Ye ye,” abalala ne bagamba nti, “Nedda, anaamufaanana bufaananyi.” Kyokka ye n’abagamba nti, “Ye nze ddala.” 10 Bo kwe ku mubuuza nti, “Kale amaaso go gaazibuse gatya?” 11 (H)N’abategeeza nti, “Omuntu ayitibwa Yesu, yatabula ettaka n’alinsiiga ku maaso, n’andagira nti, ‘Genda e Sirowamu onaabe.’ Ne ŋŋenda ne naaba, ne nsobola okulaba.”
12 Ne bamubuuza nti, “Ali ludda wa?” N’addamu nti, “Simanyi.”
Abafalisaayo Bakemekkereza Eyawonyezebwa
13 Awo ne batwala omusajja eyali omuzibe w’amaaso eri Abafalisaayo. 14 (I)Olunaku olwo Yesu lwe yatabulirako ettaka n’azibula omusajja oyo amaaso, lwali lwa Ssabbiiti. 15 (J)Abafalisaayo nabo ne babuuza omuntu oyo engeri gye yazibuka amaaso. Awo n’ababuulira ng’agamba nti, “Yesu yatabula ettaka n’alinsiiga ku maaso, ne naaba, kaakano ndaba.”
16 (K)Abamu ku bo ne bagamba nti, “Omusajja oyo Yesu teyava wa Katonda kubanga takwata Ssabbiiti.” Kyokka abalala ne bagamba nti, “Omuntu omwonoonyi ayinza atya okukola eby’amagero ebifaanana bwe bityo?” Ne wabaawo okwawukana kunene mu bo.
17 (L)Awo Abafalisaayo ne bakyukira omusajja eyali omuzibe w’amaaso ne bamubuuza nti, “Omuntu oyo eyakuzibula amaaso olowooza wa ngeri ki?”
Omusajja n’addamu nti, “Ndowooza nnabbi.”
18 (M)Ne batakkiriza nti omusajja oyo yali muzibe, okutuusa lwe baayita abazadde be, 19 ne bababuuza nti, “Ono mutabani wammwe? Era yazaalibwa nga muzibe wa maaso? Kale obanga bwe kiri kaakano asobola atya okulaba?”
20 Bakadde be ne baddamu nti, “Tumanyi ng’oyo ye mutabani waffe era nga yazaalibwa muzibe wa maaso. 21 Naye engeri gye yazibukamu amaaso tetugimanyi, era n’eyamuzibula amaaso tetumumanyi. Wuuyo musajja mukulu mumwebuulize ajja kweyogerera.” 22 (N)Ekyaboogeza batyo lwa kutya Bayudaaya. Kubanga Abayudaaya baali bamaze okuteesa nti buli ayatula nti Yesu ye Kristo agobebwe mu kuŋŋaaniro. 23 (O)Ekyo kye kyaboogeza nti, “Wuuyo musajja mukulu mumwebuulize.”
24 (P)Awo ate ne bongera okuyita omusajja eyali omuzibe w’amaaso ne bamugamba nti, “Gulumiza Katonda, kubanga tumanyi omusajja oyo mwonoonyi.”
25 Omusajja n’addamu nti, “Oba mwonoonyi oba si mwonoonyi simanyi, wabula kye mmanyi kiri kimu nti nnali muzibe w’amaaso, naye kaakano ndaba.”
26 Kyebaava bamubuuza nti, “Kiki kye yakola? Amaaso yagazibula atya?”
27 (Q)Omusajja n’addamu nti, “Nabategeezezza dda ne mutawuliriza. Lwaki ate mwagala mbaddiremu? Nammwe mwagala kufuuka bayigirizwa be?” 28 (R)Ne bamuvuma ne bamugamba nti, “Ggwe oli muyigirizwa we. Naye ffe tuli bayigirizwa ba Musa. 29 (S)Ffe tumanyi nga Katonda yayogera ne Musa, naye oyo tetumanyi gy’ava.”
30 Ye n’addamu nti, “Kino kitalo, mmwe obutamanya gye yava ate nga nze yanzibula amaaso. 31 (T)Tumanyi nti Katonda tawulira balina bibi, naye awulira abo abamutya era abakola by’ayagala. 32 Ensi kasookedde ebaawo tewalabikangawo yali azibudde maaso ga muntu eyazaalibwa nga muzibe wa maaso. 33 (U)Kale omuntu ono eyanzibula amaaso singa teyava wa Katonda ekyo teyandikisobodde.”
34 (V)Awo ne bamuboggolera nga bagamba nti, “Ggwe eyazaalirwa mu bibi, ggw’oyigiriza ffe?” Ne bamusindika ebweru.
Obuzibe bw’Amaaso ag’Omwoyo
35 Yesu n’ategeera nga bamusindise ebweru. Bwe yamusanga n’amugamba nti, “Ggwe okkiriza Omwana w’Omuntu?”
36 (W)Omusajja n’amubuuza nti, “Ssebo, y’aluwa mmukkirize?”
37 (X)Yesu n’amugamba nti, “Omulabye, ye wuuyo ayogera naawe.”
38 (Y)Omusajja n’agamba nti, “Mukama wange, nzikiriza!” N’amusinza.
39 (Z)Awo Yesu n’agamba nti, “Najja mu nsi okusala omusango, abatalaba balabe, ate naabo abalaba babe bazibe ba maaso.”
40 (AA)Abamu ku Bafalisaayo abaali bayimiridde awo bwe baawulira ebigambo ebyo ne bamubuuza nti, “Ky’ogamba nti naffe tuli bazibe ba maaso?”
41 (AB)Yesu n’abaddamu nti, “Singa mubadde bazibe ba maaso, temwandibadde na kibi. Naye kubanga mugamba nti tulaba, ekibi kyammwe kyekiva kibasigalako.”
Omusumba Omulungi
10 “Ddala ddala mbagamba nti atayita mu mulyango ng’ayingira mu kisibo ky’endiga, naye n’alinnyira awalala, oyo aba mubbi era munyazi. 2 (AC)Naye ayingirira mu mulyango, ye musumba w’endiga. 3 (AD)Era oyo omuggazi amuggulirawo, n’endiga ziwulira eddoboozi lye, aziyita amannya gaazo n’azifulumya ebweru. 4 Azikulembera ne zimugoberera, kubanga zimanyi eddoboozi lye. 5 Omulala gwe zitamanyi, tezimugoberera, zimudduka buddusi kubanga tezimanyi ddoboozi lye.” 6 (AE)Yesu n’abagerera olugero olwo, kyokka bo, ebyo tebaabitegeera.
7 Awo Yesu kyeyava ayongera n’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti nze mulyango gw’endiga. 8 (AF)Abalala bonna abansooka baali babbi era banyazi, n’endiga tezaabawuliriza. 9 Nze mulyango; buli ayingirira mu Nze alirokoka. Aliyingira, n’afuluma n’aliisibwa mu ddundiro. 10 Omubbi ky’ajjirira kwe kubba n’okutta n’okuzikiriza. Nze najja, zibe n’obulamu, era zibe nabwo mu bujjuvu.
11 (AG)“Nze musumba omulungi. Omusumba omulungi awaayo obulamu bwe olw’endiga. 12 (AH)Omupakasi, atali musumba, endiga nga si zize, bw’alaba omusege nga gujja adduka n’aleka awo endiga, omusege ne guzirumba ne guzisaasaanya. 13 Akola atyo kubanga mupakasi, so n’endiga tazifaako.
14 (AI)“Nze ndi musumba mulungi, n’endiga zange nzimanyi era nazo zimmanyi. 15 (AJ)Nga Kitange bw’ammanyi, era nga nange bwe mmumanyi, bwe ntyo bwe mpaayo obulamu bwange olw’endiga. 16 (AK)Nnina n’endiga endala ezitali za mu kisibo kino, nazo kiŋŋwanidde okuzireeta, era nazo ziriwulira eddoboozi lyange, endiga zonna ne ziba ekisibo kimu era ne ziba n’omusumba omu. 17 (AL)Kitange kyava anjagala, kubanga mpaayo obulamu bwange ndyoke mbweddize. 18 (AM)Tewali n’omu abunzigyako, wabula mbuwaayo lwa kwagala kwange. Nnina obuyinza okubuwaayo, era nnina obuyinza okubweddizza. Ekyo Kitange ye yakindagira.”
19 (AN)Yesu bwe yayogera bw’atyo, empaka mu Bayudaaya, ne zisituka buto. 20 (AO)Bangi ku bo ne bagamba nti, “Aliko dayimooni oba si kyo alaluse. Lwaki mumuwuliriza?”
21 (AP)Abalala ne bagamba nti, “Ebigambo bino si bya muntu aliko dayimooni. Dayimooni asobola okuzibula amaaso ga bamuzibe?”
Obutakkiriza bw’Abayudaaya
22 Mu Yerusaalemi mwalimu embaga ey’Okutukuza, era bwali budde bwa butiti. 23 (AQ)Yesu yali mu Yeekaalu ng’atambula mu kifo ekiyitibwa Ekisasi kya Sulemaani. 24 (AR)Awo Abayudaaya ne bamwetooloola ne bamugamba nti, “Olituusa ddi okutubuusisabuusisa? Obanga ggwe Kristo kale tubuulirire ddala.”
25 (AS)Yesu n’addamu nti, “Nababuulira dda naye temukkiriza. Ekikakasa ebyo gy’emirimu gye nkola mu linnya lya Kitange. 26 (AT)Naye mmwe temunzikiriza kubanga temuli ba mu ndiga zange. 27 (AU)Endiga zange zitegeera eddoboozi lyange, era nzimanyi era zingoberera. 28 (AV)Nziwa obulamu obutaggwaawo, era tezigenda kuzikirira. Tewali n’omu ayinza kuzisikula mu mikono gyange, 29 (AW)kubanga Kitange yazimpa, era ye tewali amusinga maanyi, noolwekyo tewali asobola kuzisikula kuva mu mukono gwa kitange. 30 (AX)Nze ne Kitange tuli omu.”
31 (AY)Awo Abayudaaya ne bakwata amayinja okumukuba. 32 Yesu n’abagamba nti, “Mwalaba ebyamagero bingi Kitange bye yankozesa, kiruwa ku ebyo kye musinziirako okunkuba amayinja?”
33 (AZ)Ne bamuddamu nti, “Tetukuvunaana lwa birungi by’okola wabula lwa kubanga ovvoola; ggwe oli muntu buntu naye weeyita Katonda.”
34 (BA)Yesu n’abaddamu nti, “Tekyawandiikibwa mu mateeka gammwe nti, Katonda yagamba nti, ‘Muli bakatonda’? 35 Obanga abo abaweebwa ekigambo kya Katonda, yabayita bakatonda, ate ng’Ebyawandiikibwa tebidiba, 36 (BB)ate Nze, Kitange gwe yatukuza n’antuma mu nsi, lwaki mugamba nti avvoola kubanga ŋŋambye nti, Ndi Mwana wa Katonda? 37 (BC)Obanga sikola ebyo Kitange by’ayagala nkole, kale temunzikiriza; 38 (BD)naye obanga nkola by’ayagala, newaakubadde Nze temunzikiriza waakiri mukkirize ebyo bye nkola mulyoke mutegeere nti Kitange ali mu Nze, era nange ndi mu Kitange.” 39 (BE)Awo ne bagezaako nate okumukwata, kyokka ne yeemulula.
40 (BF)N’addayo emitala wa Yoludaani mu kifo Yokaana gye yasooka okubatiriza, n’abeera eyo. 41 (BG)Abantu bangi ne bajja gy’ali nga bagamba nti, “Yokaana teyakola byamagero, naye buli kimu kye yayogera ku muntu ono kyali kya mazima.” 42 (BH)Bangi ne bamukkiririza eyo.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.