Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Read the Gospels in 40 Days

Read through the four Gospels--Matthew, Mark, Luke, and John--in 40 days.
Duration: 40 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Makko 13-14

Obubonero obw’Enkomerero

13 Awo Yesu bwe yali ng’ava mu Yeekaalu omu ku bayigirizwa be n’amugamba nti, “Omuyigiriza, laba, amayinja ago, n’ebizimbe ebyo.”

(A)Yesu n’amuddamu nti, “Ebizembe ebyo eby’ekitalo obiraba? Ne bwe kiriba ki tewaliba jjinja na limu wano eririsigala ku linnaalyo.”

(B)Awo Yesu bwe yali ng’atudde awo ku lusozi olwa Zeyituuni, okwolekera yeekaalu, Peetero ne Yakobo ne Yokaana ne Andereya ne bamubuuza mu kyama, ne bamubuuza nti, “Tutegeeze, ebintu byonna we birituukirira, era n’akabonero akalibaawo ng’ebyo byonna bigenda okutuukirira.”

(C)Yesu n’abagamba nti, “Mwekuume omuntu yenna tababuzaabuzanga. Bangi abalijja mu linnya lyange nga bagamba nti, ‘Nze nzuuyo,’ era balibuzaabuza bangi. Naye bwe muliwulira entalo, n’eŋŋambo ez’entalo, temutyanga. Kyetaaga ebyo byonna okubaawo naye enkomerero eriba tennatuuka. Kubanga amawanga galirwanagana, n’obwakabaka bulirwana n’obwakabaka, era musisi aliyita mu bifo bingi, n’enjala nnyingi erigwa. Okulumwa ng’okw’okuzaala kuliba kutandika butandisi.”

(D)“Mwekuume mmwe. Balibawaayo mu mbuga z’amateeka ne mu makuŋŋaaniro, mulikubibwa, muliyimirira mu maaso ga bakabaka ne bagavana. Muliyimirira ku lwange, okubeera abajulirwa gye bali. 10 Era Enjiri kigigwanira okumala okubuulirwa amawanga gonna. 11 (E)Bwe balibakwata ne babawaayo, temweraliikiriranga kya kuwoza. Kye munaaweebwanga okwogera mu kiseera ekyo kye munaayogeranga kubanga si mmwe muliba mwogera wabula Mwoyo Mutukuvu y’aliba ayogerera mu mmwe.”

12 (F)“Owooluganda aliwaayo muganda we okuttibwa, ne kitaawe w’omwana aliwaayo omwana we. Abaana balijeemera bazadde baabwe ne babatta. 13 (G)Mulikyayibwa abantu bonna, olw’erinnya lyange, naye oyo aligumiikiriza okutuusa ku nkomerero y’alirokolebwa.”

14 (H)“Bwe mulabanga ekintu eky’omuzizo ekizikiriza, nga kiyimiridde mu kifo we kitasaanira (asoma bino, weetegereze) abali mu Buyudaaya baddukiranga ku nsozi. 15 N’oyo alibeera waggulu ku nnyumba takkanga wadde okuyingira okubaako ky’atwala okuva mu nnyumba ye. 16 N’oyo alibeera mu nnimiro, taddanga kutwala bintu bye, wadde okukima yo olugoye lwe. 17 (I)Naye ziribasanga abaliba embuto n’abaliba bayonsa mu nnaku ezo. 18 Naye musabe ekiseera ekyo kireme kuba kya butiti. 19 (J)Kubanga ekiseera ekyo kiriba kya kubonyaabonyezebwa okutabeerangawo kasookedde Katonda atonda eggulu n’ensi, n’okutuusa kaakano n’emirembe egigenda okujja.

20 “Era singa Mukama teyakendeeza ku nnaku ezo, tewandiwonyeewo muntu yenna, naye olw’abalonde be, ennaku ezo yazikendeezaako. 21 (K)Era omuntu yenna singa abagamba nti, ‘Mulabe, Kristo wuuli,’ temumukkirizanga. 22 (L)Kubanga bakristo ab’obulimba balijja, ne bannabbi ab’obulimba nabo balijja ne bakola eby’amagero n’ebyewuunyo, nga bagenderera okulimba n’abalonde ba Katonda. 23 (M)Naye mwekuume! Kubanga mbalabudde ng’ebintu bino byonna tebinnabaawo.

24 “Ennaku ez’entiisa eyo nga ziweddeko,

“ ‘enjuba eriggyako ekizikiza,
    era n’omwezi teguliyaka,
25 (N)era, emmunyeenye zirikunkumuka,
    n’aboobuyinza ab’omu bbanga balikankana.’ ”

26 (O)“Olwo muliraba Omwana w’Omuntu ng’ajjira ku bire n’amaanyi mangi n’ekitiibwa kinene, 27 (P)Era alituma bamalayika okukuŋŋaanya abalonde be okuva eri empewo ennya, n’okuva ensalo z’ensi gye zikoma okutuuka ensalo z’eggulu gye zikoma.”

Omutiini kye Guyigiriza

28 “Muyigire ku lugero lw’omutiini. Amatabi gaagwo bwe gatandika okutojjera, nga mumanya nti ebiseera eby’ebbugumu binaatera okutuuka. 29 Noolwekyo nammwe bwe muliraba ebintu ebyo nga bibaawo, nga mumanya nti ekiseera kiri kumpi, era kisemberedde ddala ku luggi. 30 (Q)Ddala ddala mbagamba nti omulembe guno tegugenda kuggwaako okutuusa ng’ebintu byonna bimaze okubaawo. 31 (R)Eggulu n’ensi biriggwaawo, naye ebigambo byange biribeerera emirembe n’emirembe.”

Tewali Amanyi Lunaku wadde Ekiseera

32 (S)“Naye eby’olunaku olwo oba essaawa tewali n’omu abimanyi, newaakubadde bamalayika mu ggulu wadde Omwana, okuggyako Kitaffe. 33 (T)Mwekuume, mutunule[a] kubanga temumanyi kiseera we kirituukira. 34 (U)Ng’omusajja eyatambula olugendo n’ategekera abaddu be, buli omu n’amuwa obuyinza ng’omulimu gwe bwe guli, n’alagira omuggazi w’oluggi atunule alindirire.”

35 “Noolwekyo mubeere beetegefu kubanga temumanyi ssemaka wakomerawo oba kawungeezi, oba mu ttumbi, oba ng’enkoko zikookolima, oba ng’obudde bukya, 36 si kulwa ng’akomawo nga temumanyiridde, n’abasanga nga mwebase. 37 (V)Kye mbagamba mmwe, kye ŋŋamba buli muntu, mwekuume.”

Omukazi Asiiga Yesu Amafuta ag’Omuwendo

14 (W)Embaga ey’Okuyitako[b], kwe baliira emigaati egitali mizimbulukuse, yali ebuzaayo ennaku bbiri etuuke. Bakabona abakulu n’abannyonnyozi b’amateeka ne basala olukwe engeri gye banaakwata Yesu bamutte. Ne bagamba nti, “Si mu kiseera ky’embaga y’Okuyitako, kubanga abantu bayinza okuleetawo akeegugungo.”

(X)Mu kiseera ekyo Yesu ng’ali Besaniya mu nnyumba y’omusajja eyali amanyiddwa nga Simooni Omugenge, ng’atudde, omukazi n’ayingira ng’alina eccupa, eyalimu amafuta ag’akaloosa ag’omuwendo omungi. N’ayasa eccupa n’asiiga amafuta ku mutwe gwa Yesu. Abamu ku abo abaaliwo ne basunguwalira nnyo ekikolwa ekyo, nga beebuuza nti, “Amafuta ago gafudde ki? Wakiri singa gatundiddwa dinaali ezisukka mu bikumi ebisatu, ne ziweebwa abaavu!” Ne bamwemulugunyiza.

Naye Yesu n’abagamba nti, “Omukazi mumuleke. Lwaki mumuteganya? Ankoledde ekikolwa kirungi. (Y)Abaavu muli nabo bulijjo, era muyinza okubakolera obulungi buli we mwagalidde, naye Nze sijja kubeera nammwe bulijjo. (Z)Akoze ky’asobola, omubiri gwange agusiigiddewo amafuta ag’akaloosa nga bukyali, ng’aguteekateeka okuziikibwa. (AA)Ddala ddala mbagamba nti buli kifo kyonna Enjiri gy’eneebuulirwanga mu nsi yonna, ekikolwa ky’omukazi ono kinajjukirwanga era kinaayongerwangako okumujjukiranga.”

Yuda Alya mu Yesu Olukwe

10 (AB)Awo Yuda Isukalyoti, omu ku bayigirizwa ba Yesu ekkumi n’ababiri, n’agenda eri bakabona abakulu alabe bw’anaalyamu Yesu olukwe amubawe. 11 Bakabona abakulu bwe baakiwulira ne basanyuka nnyo, ne bamusuubiza okumuwa ensimbi. Bw’atyo Yuda n’atandika okunoonyereza engeri entuufu w’anaaweerayo Yesu.

Ekyekiro kya Mukama Waffe

12 (AC)Awo ku lunaku olusooka olw’embaga y’Abayudaaya kwe baliira emigaati egitali mizimbulukuse, nga bawaayo omwana gw’endiga ogw’Okuyitako nga ssaddaaka, abayigirizwa be ne bamubuuza nti, “Oyagala tukutegekere wa gy’onooliira Embaga ey’Okuyitako.”

13 N’atuma babiri ku bayigirizwa be, n’abagamba nti, “Mugende mu kibuga munaasanga omusajja eyeetisse ensuwa y’amazzi, mumugoberere. 14 Muyingire mu nnyumba mw’anaayingira, mubuuze nnyinimu nti, ‘Ekisenge nze n’abayigirizwa bange mwe tunaalira Embaga ey’Okuyitako kiri ludda wa?’ 15 (AD)Ajja kubalaga ekisenge ekinene ekya waggulu, ekiwedde okulongoosa n’okutegeka. Muteekereteekere omwo ekijjulo kyaffe.”

16 Awo abayigirizwa ababiri ne bagenda mu kibuga, ne basanga byonna nga Yesu bwe yabibagamba, ne bateekateeka Okuyitako.

17 Obudde bwe bwawungeera n’atuuka n’abayigirizwa be ekkumi n’ababiri. 18 Bwe baali batudde nga balya, Yesu n’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti omu ku mmwe alya nange anandyamu olukwe.”

19 Ennaku n’ebakwata nnyo, ne batandika okumubuuza kinnoomu nti, “Ddala ye nze?”

20 (AE)N’abagamba nti, “Omu ku mmwe ekkumi n’ababiri, akoza nange mu kibya. 21 (AF)Omwana w’Omuntu agenda ng’Ebyawandiikibwa bwe biri. Naye zimusanze alya mu Mwana w’Omuntu olukwe. Kyandibadde kirungi singa omuntu oyo teyazaalibwa.”

22 (AG)Awo bwe baali balya, Yesu n’addira omugaati, ne yeebaza, n’agumenyaamenyamu, n’agabira abayigirizwa be, n’abagamba nti, “Mutoole mulye, guno gwe mubiri gwange.”

23 (AH)Ate n’addira ekikompe ne yeebaza n’akibawa; bonna ne banywa.

24 (AI)N’abagamba nti, “Guno musaayi gwange ogw’endagaano, oguyiika ku lw’abangi. 25 (AJ)Ddala ddala mbagamba nti sigenda kuddayo kunywa ku kibala kya muzabbibu okutuusa ku lunaku luli lwe ndikinywa nga kisingawo obulungi mu bwakabaka bwa Katonda.”

26 (AK)Awo ne bayimbayo oluyimba, ne bafuluma ne bagenda ku lusozi olwa Zeyituuni.

Yesu Ategeeza Peetero nga bw’Anaamwegaana

27 (AL)Yesu n’abagamba nti, “Buli omu ku mmwe ajja kunjabulira, kubanga kyawandiikibwa nti,

“ ‘Ndikuba omusumba,
    endiga ne zisaasaana.’

28 (AM)Naye bwe ndimala okuzuukizibwa, ndibakulembera okugenda e Ggaliraaya.”

29 Peetero n’amugamba nti, “Abalala bonna ne bwe banaakwabulira, nze siikwabulire!”

30 (AN)Yesu n’amugamba nti, “Ddala ddala nkugamba nti ekiro kya leero, enkoko eneeba tennakookolima mirundi ebiri, onooneegaana emirundi esatu.”

31 (AO)Peetero n’akiggumiza nnyo ng’agamba nti, “Oba kufiira wamu naawe n’afa, naye sijja kukwegaana n’akamu kokka.” N’abalala bonna ne beerayirira bwe batyo.

Yesu mu Gesusemane

32 Awo Yesu n’abayigirizwa be ne batuuka mu kifo ekiyitibwa Gesusemane, n’agamba abayigirizwa be nti, “Mugira mutuula wano, ŋŋende nsabe.” 33 (AP)N’atwala Peetero, ne Yakobo ne Yokaana; n’atandika okweraliikirira n’okuteganyizibwa mu mutima. 34 (AQ)N’abagamba nti, “Omwoyo gwange guliko ennaku nnyingi nnyo zaagala na kunzita, kale mubeere wano mukuume.”

35 (AR)Ne yeeyongerako mu maaso katono, n’agwa wansi n’asaba obanga kisoboka, essaawa eyo, ereme kutuuka. 36 (AS)N’asaba nti, “Aba, Kitange, ebintu byonna bisoboka gy’oli. Nzigyako ekikompe kino. Naye si nga Nze bwe njagala, wabula nga ggwe bw’oyagala.”

37 N’akomawo gye bali, n’abasanga nga beebase. N’agamba Peetero nti, “Simooni! Weebase? Tosobodde kutunulako nange wadde essaawa emu? 38 (AT)Mutunule musabe, muleme kukemebwa. Omwoyo gwagala, naye omubiri munafu.”

39 Ate n’abaleka awo n’addayo, n’asaba ebigambo bye bimu na biri bye yasaba olubereberye. 40 N’akomawo we bali, n’abasanga nga beebase, kubanga amaaso gaabwe gaali gakambira. Ne batamanya kya kumuddamu.

41 (AU)Bwe yadda gye bali omulundi ogwokusatu n’abagamba nti, “Kale mwebakire ddala. Kinaamala, laba ekiseera kituuse Omwana w’Omuntu aweebweyo mu mikono gy’abalina ebibi. 42 Musituke! Tugende, laba andyamu olukwe anaatera okutuuka.”

43 (AV)Yesu yali akyayogera, amangwago Yuda (omu ku batume be ekkumi n’ababiri) n’ajja ng’ali n’ekibiina kinene, ekyava ewa bakabona abakulu, n’abakulembeze b’Abayudaaya, nga balina ebitala era nga bakutte emiggo.

44 Yuda yali abagambye nti, “Gwe nnanywegera, ye wuuyo mumukwate, mumutwale nga mumunywezezza.” 45 (AW)Awo baali baakatuuka Yuda n’alaga eri Yesu, bwe yamutuukako n’agamba nti, “Omuyigiriza!” N’amugwa mu kifuba. 46 Ne bavumbagira Yesu ne bamukwata, ne bamunyweza. 47 Naye omu ku baali bayimiridde awo n’asowolayo ekitala n’asalako okutu kw’omuddu wa Kabona Asinga Obukulu.

48 Yesu n’ababuuza nti, “Lwaki munzijjidde ng’omumenyi w’amateeka, n’ebitala n’emiggo okunkwata? 49 (AX)Mbadde nammwe ennaku nnyingi mu yeekaalu nga njigiriza, naye temwankwata. Naye kino kikoleddwa ebyawandiikibwa bituukirire.” 50 (AY)Bonna ne bamwabulira ne badduka.

51 Naye waaliwo omulenzi omuvubuka eyali agoberera ng’avaako ennyuma, nga yeebikkiridde olugoye, lumu lwokka, ne baagezaako okumukwata, 52 n’abeesumattulako, ne basigaza olugoye n’adduka bwereere.

Yesu mu Maaso g’Olukiiko

53 Awo Yesu n’atwalibwa eri Kabona Asinga Obukulu, bakabona abakulu n’abakulembeze b’Abayudaaya n’abannyonnyozi b’amateeka. 54 (AZ)Peetero n’agoberera nga yeesuddeko akabanga, n’ayita mu luggya lwa Kabona Asinga Obukulu, n’atuula ku kyoto n’abaweereza we baali bootera omuliro.

55 (BA)Bakabona abakulu, n’Abasaddukaayo bonna,[c] baali banoonya obujulizi kwe banaasinziira okutta Yesu, naye ne bubabula. 56 Bangi baayogera eby’obulimba ku ye, naye obujulizi bwabwe nga bukoonagana bukoonaganyi.

57 Abamu ku bo ne bamuwaayiriza nga bagamba nti, 58 (BB)“Twamuwulira ng’ayogera nti, ‘Ndizikiriza Yeekaalu eno eyazimbibwa n’emikono gy’abantu, naye oluvannyuma lw’ennaku ssatu ndizzaawo endala etazimbiddwa na mikono gy’abantu.’ ” 59 Naye era n’olwo ebigambo byabwe tebyatereera bulungi.

60 Awo Kabona Asinga Obukulu n’ayimirira, n’abuuza Yesu nti, “Tolina ky’oddamu ku bino bye bakwogerako?” 61 (BC)Yesu n’atamuddamu kintu. Ate Kabona Asinga Obukulu n’amubuuza nti, “Ggwe Kristo, Omwana w’oyo atenderezebwa?”

62 (BD)Yesu n’addamu nti, “Ye Nze, era mugenda kulaba Omwana w’Omuntu ng’atudde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda Ayinzabyonna, ng’akomawo mu bire eby’eggulu.”

63 (BE)Awo Kabona Asinga Obukulu n’ayuza ebyambalo bye, n’agamba nti, “Ate twetaagira ki abajulizi? 64 (BF)Muwulidde obuvvoozi. Musala mutya omusango guno?”

Bonna ne bamusalira gwa kufa. 65 (BG)Abamu ne batandika okumuwandulira amalusu, ne bamusiba kantuntunu ku maaso, ne bamukuba empi mu maaso, nga bwe bamuduulira nga bagamba nti, “Lagula.” N’abaserikale nabo ne bamukuba ebikonde nga bamufulumya.

Peetero Yeegaana Yesu

66 (BH)Peetero yali ali wabweru mu luggya, omu ku bawala abaweereza ba Kabona Asinga Obukulu n’ajja. 67 (BI)Bwe yalaba Peetero n’amwetegereza ng’ayota omuliro, n’amugamba nti, “Ggwe, wali ne Yesu, Omunnazaaleesi.”

68 (BJ)Peetero ne yeegaana ng’agamba nti, “Simanyi wadde okutegeera by’oyogerako!” N’afuluma n’alaga ebweru mu kisasi, enkoko n’ekookolima.

69 Omuwala oli n’alengera Peetero, n’ategeeza banne abaali bayimiridde awo nti, “Ono ali omu ku bo.” 70 (BK)Peetero n’ayongera okwegaana.[d]

Bwe waayitawo akabanga, abantu abalala abaali bayimiridde awo ne bagamba Peetero nti, “Ddala ddala oli omu ku bo, kubanga oli Mugaliraaya!”

71 (BL)Peetero n’atandika, okukolima n’okulayira nga bw’agamba nti, “Omusajja ono gwe mwogerako, simumanyi.”

72 (BM)Amangwago enkoko n’ekookolima omulundi ogwokubiri, Peetero n’ajjukira ebigambo Yesu bye yali amugambye nti, “Enkoko eneeba tennakookolima mirundi ebiri, onoonneegaana emirundi esatu.” Awo Peetero n’atulika n’akaaba amaziga.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.