Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Read the Gospels in 40 Days

Read through the four Gospels--Matthew, Mark, Luke, and John--in 40 days.
Duration: 40 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Lukka 19-20

Zaakayo Omusolooza w’Omusolo

19 (A)Awo Yesu n’atuuka mu kibuga Yeriko, n’ayitamu. Mu kibuga omwo mwalimu omusajja erinnya lye Zaakayo; yali mukulu wa bawooza, era yali mugagga nnyo. N’afuba okulaba Yesu, naye n’atasobola ng’ali mu kibiina ky’abantu kubanga yali mumpi. (B)Kyeyava adduka ne yeesooka ekibiina mu maaso, n’alinnya omuti omusukamooli asobole okulaba Yesu ng’ayitawo.

Yesu bwe yatuuka awo n’atunula waggulu, n’amuyita nti, “Zaakayo! Yanguwa okke wansi! Kubanga olwa leero ŋŋenda kuba mugenyi wo mu maka go.” Awo Zaakayo n’akka mangu okuva ku muti n’atwala Yesu mu nnyumba ye ng’ajjudde essanyu.

(C)Abantu bonna abaakiraba ne batandika okwemulugunya nga bagamba nti, “Agenze okukyalira omuntu alina ebibi.”

(D)Awo Zaakayo n’ayimirira n’agamba Mukama waffe nti, “Mukama wange! Mpuliriza! Ebintu byange nnaabigabanyaamu wakati, ekitundu ne nkiwa abaavu; era obanga waliwo omuntu gwe nnali ndyazaamaanyizza, nnaamuliyira emirundi ena.”

(E)Yesu n’amugamba nti, “Olwa leero obulokozi buzze mu nnyumba muno, kubanga omusajja ono naye muzzukulu wa Ibulayimu. 10 (F)Kubanga Omwana w’Omuntu, yajjirira kunoonya n’okulokola abaabula.”

Olugero lw’Ensimbi

11 (G)Awo nga bakyawuliriza ebyo, Yesu n’abagerera olugero olulala. Mu kiseera ebyo yali asemberedde nnyo Yerusaalemi, era abantu ne balowooza nti obwakabaka bwa Katonda bugenda kutandika mu kiseera ekyo. 12 N’abagamba nti, “Waaliwo omukungu omu eyalaga mu nsi ey’ewala alye obwakabaka alyoke akomewo. 13 (H)Bwe yali asitula n’ayita abaddu be kkumi n’abalekera mina[a] kkumi n’abagamba nti, ‘Muzisuubuzise okutuusa lwe ndidda.’

14 “Naye abantu be baali tebamwagala ne batuma ababaka baabwe mu nsi gye yalaga, nga bagamba nti, ‘Ffe tetwagala musajja ono kubeera kabaka waffe.’

15 “Naye n’afuulibwa kabaka, n’addayo mu kitundu ky’ewaabwe. Bwe yatuuka n’ayita abaddu be, be yali alekedde ensimbi, bamutegeeze amagoba ge baggyamu.

16 “Eyasooka n’ajja n’agamba nti, ‘Ssebo, mina gye wandekera navisaamu mina kkumi.’

17 (I)“Mukama we n’amwebaza, n’amugamba nti, ‘Oli muddu mulungi nnyo. Kubanga obadde mwesigwa mu kintu ekitono ennyo, nkuwadde okufuga ebibuga kkumi.’

18 “Omuddu owookubiri n’ajja, n’agamba mukama we nti, ‘Ssebo, mina gye wandekera navisaamu mina ttaano.’

19 “Oyo naye n’amugamba nti, ‘Onoofuga ebibuga bitaano.’

20 “Awo omuddu omulala n’ajja, n’agamba mukama we nti, ‘Mina gye wandekera yiino, nagitereka bulungi. 21 (J)Nakutya, kuba, nga bw’oli omuntu omukakanyavu, otwala ebitali bibyo, n’okungula n’ebibala by’otaasiga.’

22 (K)“Mukama we n’amuddamu nti, ‘Oli musajja mubi nnyo! Nzija kukusalira omusango ng’ebigambo byo by’oyogedde bwe biri. Wamanya nga ndi muntu mukalubo, nga ntwala ebitali byange, era nga nkungula bye saasiga, 23 kale, lwaki ensimbi zange tewazissa mu banka, bwe nandikomyewo nandizisanzeeyo nga zizadde n’amagoba?’

24 “N’alyoka agamba abaali bayimiridde awo nti, ‘Mumuggyeeko mina eyo mugiwe oli alina ekkumi.’

25 “Ne bamugamba nti, ‘Naye ssebo, oli alina mina kkumi!’

26 (L)“N’abaddamu nti, ‘Mbagamba nti oyo yenna alina, alyongerwako; ate oyo atalina, n’akatono k’alina kalimuggibwako. 27 Kaakano njagala abo bonna abalabe bange, abaajeema nga tebaagala mbeere kabaka waabwe, mubandeetere wano, mubattire mu maaso gange.’ ”

Yesu Ayingira mu Yerusaalemi n’Ekitiibwa

28 (M)Awo Yesu bwe yamala okwogera ebigambo ebyo, n’atambula ng’akulembedde abayigirizwa be okwolekera Yerusaalemi. 29 (N)Bwe yali asemberera ebibuga Besufaage ne Besaniya ng’ali ku lusozi oluyitibwa olwa Zeyituuni, n’atuma abayigirizwa be babiri n’abagamba nti, 30 “Mugende mu kabuga akatuli mu maaso bwe munaaba mwakakayingira, munaalaba omwana gw’endogoyi, oguteebagalwangako, nga gusibiddwa awo. Mugusumulule, muguleete wano. 31 Singa wabaawo ababuuza nti, ‘Lwaki mugusumulula?’ Mumuddamu nti, ‘Mukama waffe agwetaaga.’ ”

32 (O)Awo abaatumibwa ne bagenda ne basanga omwana gw’endogoyi nga Yesu bwe yabagamba. 33 Era bwe baali nga bagusumulula bannannyini gwo ne bababuuza nti, “Lwaki musumulula omwana gw’endogoyi ogwo?”

34 Ne baddamu nti, “Mukama waffe agwetaaga.”

35 Omwana gw’endogoyi ne baguleeta eri Yesu, ne bagwaliirako eminagiro gyabwe, Yesu n’agwebagala. 36 (P)Bwe yali ng’agenda, abantu ne baaliira ebyambalo byabwe mu luguudo.

37 (Q)Awo bwe yatuuka oluguudo we luserengetera olusozi olwa Zeyituuni, ekibiina kyonna eky’abayigirizwa, ne batandika okutendereza Katonda, mu ddoboozi ery’omwanguka olw’ebyamagero bye yali akoze nga boogera nti,

38 (R)“Aweereddwa omukisa Kabaka ajja mu linnya lya Mukama!”

“Emirembe gibe mu ggulu, n’ekitiibwa kibeere waggulu ennyo!”

39 (S)Naye abamu ku Bafalisaayo abaali mu kibiina ne bagamba Yesu nti, “Omuyigiriza, lagira abayigirizwa bo basirike!”

40 (T)Yesu n’abaddamu nti, “Mbategeeza nti ssinga bo basirika, amayinja gano ganaaleekaana!”

Yesu Akaabira Yerusaalemi

41 (U)Awo Yesu bwe yali ng’asemberera ekibuga Yerusaalemi, bwe yakirengera, n’akikaabira. 42 N’agamba nti, “Singa otegedde leero ebireeta emirembe ebyakulagirwa! Naye kaakano bikukwekeddwa, amaaso go tegayinza kubiraba. 43 (V)Ekiseera kigenda kutuuka abalabe bo lwe balikuzimbako ekigo okukwetooloola ne bakuzinda, 44 (W)ne bakumerengulira ku ttaka munda mu bisenge byo ggwe n’abaana bo. Abalabe bo tebalirekawo jjinja na limu nga litudde ku linnaalyo, kubanga omukisa Katonda gwe yakuwa ogw’okulokolebwa wagaana okugukozesa.”

Yesu mu Yeekaalu

45 Awo Yesu n’ayingira mu Yeekaalu n’agobamu abaali batundiramu. 46 (X)N’abagamba nti, “Kyawandiikibwa nti, ‘Ennyumba yange eneebanga ya kusinzizangamu,’ naye mmwe mugifudde ‘empuku y’abanyazi.’ ”

47 (Y)Okuva mu kiseera ekyo Yesu n’ayigirizanga mu Yeekaalu buli lunaku. Naye bakabona abakulu n’abannyonnyozi b’amateeka, n’abakulembeze b’Abayudaaya ne bagezaako okufuna akaagaanya we banaamuttira. 48 Naye ne balemwa kubanga abantu bonna baamussaako nnyo omwoyo nga bamuwuliriza.

Yesu Bamubuuza Obuyinza gy’Abuggya

20 (Z)Awo Yesu bwe yali ng’ayigiriza era ng’abuulira Enjiri mu luggya lwa Yeekaalu, bakabona abakulu, n’abannyonnyozi b’amateeka n’abakulembeze b’Abayudaaya ne bajja gy’ali. (AA)Ne bamubuuza nti, “Tubuulire, buyinza ki obukukozesa bino? Era ani eyakuwa obuyinza obwo?”

Yesu n’addamu nti, “Nange ka mbabuuze ekibuuzo kino. (AB)Okubatiza kwa Yokaana kwava eri Katonda nandiki kwava mu bantu?”

Ne basooka okwogeraganyaamu bokka ne bokka nga bagamba nti, “Bwe tunaagamba nti, ‘Kwava mu ggulu,’ ajja kutubuuza nti, ‘Kale, lwaki temwamukkiriza?’ (AC)Naye ate bwe tunaddamu nti, ‘Kwava mu bantu,’ abantu bonna bajja kutukuba amayinja, kubanga bamatizibwa nti Yokaana yali nnabbi.”

Kyebaava baddamu nti, “Tetumanyi gye kwava.”

Yesu n’abagamba nti, “Nange sijja kubabuulira gye nzigya obuyinza obunkozesa bino.”

Olugero lw’Abalimi

(AD)Awo Yesu n’akyukira abantu n’abagerera olugero luno nti, “Waaliwo omusajja eyalina ennimiro ey’emizabbibu, n’agipangisa abalimi, n’agenda olugendo, n’amalayo ebbanga ddene. 10 Awo ekiseera eky’amakungula bwe kyatuuka, n’atuma omu ku baddu be eri abalimi bamuwe ku bibala eby’emizabbibu gye. Naye abalimi abapangisa ne bamukuba ne bamugoba n’addayo ngalo nsa eri mukama we. 11 N’abatumira omuddu we omulala, n’oyo ne bamukuba ne bamuswaza nnyo, n’addayo ngalo nsa. 12 N’abatumira omuddu owookusatu, naye ne bamukuba ne bamussaako n’ebiwundu ne bamugoba mu nnimiro.

13 (AE)“Nannyini nnimiro ne yeebuuza nti, ‘Nkole ntya? Ka mbatumire omwana wange gwe njagala ennyo, oboolyawo banaamussaamu ekitiibwa.’

14 “Omwana oyo bwe baamulengera ne bateesa nti, ‘Ono y’agenda okusikira ennimiro eno nga kitaawe afudde. Ka tumutte, ebyobusika tubyesigalize.’ 15 Ne bamuggya mu nnimiro nga bamukulula ne bamutta.

“Mulowooza nannyini nnimiro abalimi abo alibakola atya? 16 (AF)Agenda kujja abazikirize bonna, n’ennimiro agiwe abalala.”

Awo bwe baabiwulira ebyo ne bagamba nti, “Ekintu ng’ekyo kireme kubaawo!”

17 (AG)Yesu n’abatunuulira n’abagamba nti, “Kale ekyawandiikibwa kino kitegeeza ki? Ekigamba nti,

“ ‘Ejjinja abazimbi lye baagaana,
    lye lifuuse ejjinja ekkulu ery’oku nsonda.’

18 (AH)Omuntu yenna agwa ku jjinja eryo alibetentebwa, na buli gwe lirigwako lirimubetenta.”

19 (AI)Awo abannyonnyozi b’amateeka ne bakabona abakulu bwe baawulira ebigambo ebyo, ne baagala bamukwatirewo mangwago, kubanga baamanya ng’olugero lwali lukwata ku bo. Naye ne batya abantu.

Okuwa Omusolo

20 (AJ)Ne balinda okutuusa lwe banaafuna akaagaanya babeeko kye bakola. Ne batuma abakessi eri Yesu nga beefudde ng’abantu abalungi abaagala okumanya. Baasuubira nti mu ebyo by’anaddamu, nga bamubuuzizza ebibuuzo ebirimu emitego, munaabaamu kwe banaasinziira okumukwata ne bamuwaayo ewa gavana. 21 (AK)Abakessi ne babuuza Yesu nti, “Omuyigiriza, tumanyi nga By’oyogera n’ebyo by’oyigiriza bya mazima, era nga tofaayo ku bigambo eby’abantu obuntu wabula oyigiriza ebyo Katonda by’ayagala. 22 Kyetuva tukubuuza nti kituufu okuwa Kayisaali omusolo oba si kituufu?”

23 Yesu n’ategeera mangu obukuusa bwabwe, n’abagamba nti, 24 “Mundage ensimbi eya ffeeza. Ekifaananyi kino ekiriko ky’ani? N’erinnya lino ly’ani?” Ne baddamu nti, “Bya Kayisaali.” 25 (AL)N’abagamba nti, “Kale ebya Kayisaali mubiwenga Kayisaali, n’ebya Katonda mubiwenga Katonda.” 26 Ne balemwa okumukwasa mu ebyo bye yaddamu ng’abantu bonna bali awo. Bye yaddamu ne bibeewuunyisa nnyo, ne basirika busirisi.

Okuzuukira n’Okuwasa

27 (AM)Awo abamu ku Basaddukaayo abatakkiririza mu kuzuukira, ne bajja eri Yesu, ne bamubuuza nti, 28 (AN)“Omuyigiriza, amateeka ga Musa gagamba nti ssinga omusajja omufumbo afa nga tazadde baana, muganda we awasenga nnamwandu alyoke afunire muganda we omufu ezzadde. 29 Waaliwo abooluganda musanvu, asinga obukulu n’awasa, kyokka n’afa nga talese mwana. 30 Adda ku mufu n’awasa nnamwandu; kyokka naye n’afa nga tazadde mwana. 31 Okutuusa abooluganda bonna lwe baafa ne baggwaawo nga buli omu awasizza ku nnamwandu oyo, kyokka nga tewali alese mwana. 32 Oluvannyuma n’omukazi naye n’afa. 33 Kale mu kuzuukira omukazi oyo aliba muka ani? Kubanga abooluganda bonna omusanvu yabafumbirwako!”

34 Yesu n’addamu nti, “Obufumbo buli kuno ku nsi, abantu kwe bawasiza era ne bafumbirwa. 35 (AO)Naye abo abasaanyizibwa okuzuukira mu bafu bwe batuuka mu ggulu tebawasa wadde okufumbirwa, 36 (AP)era tebaddayo kufa nate, kubanga baba nga bamalayika. Era baba baana ba Katonda kubanga baba bazuukizibbwa mu bulamu obuggya, 37 (AQ)Naye nti abafu bazuukizibwa, ne Musa yannyonnyola bye yalaba ku kisaka, bwe yayita Mukama Katonda wa Ibulayimu, Katonda wa Isaaka, era Katonda wa Yakobo. 38 Kino kitegeeza nti ssi Katonda wa bafu wabula Katonda wa balamu, kubanga bonna balamu gy’ali.” 39 Abamu ku bannyonnyozi b’amateeka ne bagamba nti, “Omuyigiriza, ozzeemu bulungi!” 40 (AR)Ne watabaawo ayaŋŋanga kwongera kumubuuza bibuuzo birala.

Kristo Mwana w’ani?

41 (AS)Awo Yesu n’ababuuza nti, “Lwaki Kristo ayitibwa Omwana wa Dawudi? 42 Songa Dawudi amwogerako mu Zabbuli nti,

“ ‘Katonda yagamba Mukama wange nti,
    Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo
43 (AT)okutuusa lwe ndifuula abalabe bo
    entebe y’ebigere byo.’

44 Noolwekyo obanga Dawudi amuyita Mukama we, kale ayinza atya okuba omwana we?”

45 Awo abantu bonna nga bawulira, Yesu n’akyukira abayigirizwa be n’abagamba nti, 46 (AU)“Mwekuume abannyonnyozi b’amateeka. Baagala nnyo okutambula nga bambadde amaganduula agagenda gakweya, n’abantu okugenda nga babalamusa mu butale, era baagala nnyo okutuula mu bifo eby’ekitiibwa mu makuŋŋaaniro ne ku mbaga! 47 Balimbalimba nga basaba essaala empanvu, ng’eno bwe basala enkwe okunyaga ebintu bya bannamwandu. Noolwekyo bagenda kufuna ekibonerezo ekisingira ddala obunene.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.