The Daily Audio Bible
Today's audio is from the NIV. Switch to the NIV to read along with the audio.
Isubosesi Attibwa
4 (A)Awo Isubosesi mutabani wa Sawulo bwe yawulira Abuneeri ng’afiiridde e Kebbulooni, n’aggwaamu essuubi, ne Isirayiri yenna ne beeraliikirira. 2 (B)Mutabani wa Sawulo oyo yalina abasajja be babiri, bombi nga baduumizi ba bibinja, omu nga ye Baana, n’owokubiri nga ye Lekabu. Baali batabani ba Limmoni Omubeerosi ng’ava mu kika kya Benyamini, kubanga Beerosi kyabalibwanga okuba ekimu ki bitundu bya Benyamini, 3 (C)engeri abantu ab’e Beerosi bwe baddukira e Gittayimu, ne babeera eyo na guno gujwa.
4 (D)Yonasaani mutabani wa Sawulo yalina omwana owoobulenzi eyalemala ebigere. Yalina emyaka etaano egy’obukulu, amawulire agakwata ku kufa kwa Sawulo ne Yonasaani bwe gaasaasaanyizibwa okuva mu Yezuleeri. Naye eyamulabiriranga bwe yamusitula, ng’adduka okumuwonya, omwana n’agwa n’alemala. N’erinnya lye ye yali Mefibosesi.
5 (E)Awo Lekabu ne Baana batabani ba Limmoni Omubeerosi, ne balaga Isubosesi gye yabeeranga, ne batuuka mu ssaawa ez’etuntu, ne bamusanga ng’awummuddeko. 6 (F)Ne bagenda mu kisenge eky’omunda ne baba ng’abajja okukima eŋŋaano, ne bamufumita mu lubuto, ne badduka.
7 Bwe bayingira mu nnyumba, baamusanga agalamidde ku kitanda mu kisenge kye, ne bamufumita ne bamutta, ne bamusalako n’omutwe. Ne batwala omutwe gwe, ne batambula ekiro kyonna mu kkubo erya Alaba. 8 (G)Omutwe gwa Isubosesi ne bagutwalira Dawudi e Kebbulooni, ne bamugamba nti, “Omutwe gwa Isubosesi mutabani wa Sawulo omulabe wo, eyayagala okukutta, guuguno. Leero Mukama awalanye eggwanga lya mukama waffe kabaka ku Sawulo n’ezzadde lye.”
9 (H)Naye Dawudi n’addamu Lekabu ne muganda we Baana, batabani ba Limmoni Omubeerosi nti, “Mukama nga bw’ali omulamu, alokodde obulamu bwange mu kibi kyonna, 10 (I)omuntu bwe yaŋŋamba nti, ‘Sawulo afudde,’ n’alowooza nti yali andetedde amawulire amalungi, namukwata ne muttira e Zikulagi, era eyo ye yali empeera ye olw’amawulire ge yaleeta. 11 (J)Mulowooza nga tekirisingawo eri abasajja ababi abattidde omusajja ataliiko musango mu nnyumba ye, ku kitanda kye, ne nvunaana omusaayi gwe ku mmwe era ne mbazikiriza okuva ku nsi?”
12 (K)Awo Dawudi n’alagira abavubuka be, okutta abasajja abo. Ne babasalako engalo n’ebigere ne bawanika ebiwuduwudu okumpi n’ekidiba e Kebbulooni. Naye ne baddira omutwe gwa Isubosesi, ne baguziika mu ntaana ya Abuneeri e Kebbulooni.
Dawudi Afuuka Kabaka wa Isirayiri
5 (L)Ebika byonna ebya Isirayiri ne bigenda eri Dawudi e Kebbulooni, ne boogera nti, “Laba, tuli mubiri gwo era musaayi gwo. 2 (M)Mu biro eby’edda, Sawulo nga ye kabaka waffe, gwe wakulemberanga Isirayiri mu ntalo. Era Mukama yakwogerako nti, ‘Olirunda abantu bange Isirayiri, era oliba mukulembeze waabwe.’ ” 3 (N)Awo abakadde bonna aba Isirayiri bwe bajja eri kabaka e Kebbulooni, n’akola nabo endagaano e Kebbulooni mu maaso ga Mukama Katonda, era ne bafuka amafuta ku Dawudi okuba kabaka wa Isirayiri[a].
4 (O)Dawudi we yatanulira okuba kabaka yalina emyaka amakumi asatu; n’afugira emyaka amakumi ana. 5 (P)Mu Kebbulooni n’afugirayo Yuda emyaka musanvu n’ekitundu, ate mu Yerusaalemi n’afugiramu Isirayiri yenna ne Yuda emyaka asatu mu esatu.
Dawudi Awamba Yerusaalemi
6 (Q)Kabaka n’abasajja be ne boolekera Yerusaalemi okulwana n’Abayebusi abaabeeranga eyo. Abayebusi ne bagamba Dawudi nti, “Toliyingira muno, kubanga abazibe b’amaaso n’abalema balikulwanyisa ne bakulemesa;” nga balowooza nti Dawudi tayinza kukiyingira. 7 (R)Naye Dawudi n’awamba ekigo kya Sayuuni, ky’ekibuga kya Dawudi.
8 Ku lunaku olwo Dawudi n’alagira nti, “Abanaagenda okutta Abayebusi, bayitire ku lusalosalo batte abazibe b’amaaso n’abalema, emmeeme ya Dawudi b’ekyawa.” Kyekyava kigambibwa nti, “Abazibe b’amaaso n’abalema tebaliyingira mu lubiri.” 9 (S)Dawudi n’abeera mu kigo, n’akituuma Ekibuga kya Dawudi. N’azimba ekibuga okukyetooloola, n’akiteekako ne bbugwe. 10 (T)Dawudi ne yeeyongeranga okuba ow’amaanyi kubanga Mukama Katonda ow’Eggye yali wamu naye.
11 (U)Awo kabaka Kiramu ow’e Ttuulo n’atuma ababaka ne batwala emivule, ne bagenda, n’abazimbi b’amayinja, n’ababazzi eri Dawudi okumuzimbira olubiri. 12 Dawudi n’ategeera nga Mukama yali amunywezezza okuba kabaka wa Isirayiri, era ng’agulumizizza obwakabaka bwe olw’abantu ba Mukama Isirayiri.
13 (V)Dawudi bwe yava e Kebbulooni n’awasa abakyala abalala mu Yerusaalemi, abaana aboobulenzi n’aboobuwala ne bamuzaalirwa. 14 (W)Amannya g’abo abaamuzaalirwa mu Yerusaalemi gaali Sammuwa, ne Sobabu, ne Nasani, ne Sulemaani, 15 ne Ibukali, ne Eriswa, ne Nefegi, ne Yafiya, 16 ne Erisaama, ne Eriyada ne Erifereti.
Dawudi Awangula Abafirisuuti
17 (X)Awo Abafirisuuti bwe baawulira nga Dawudi afukiddwako amafuta okuba kabaka wa Isirayiri, bonna ne bambuka okumunoonya, naye Dawudi n’akiwulira n’aserengeta mu kigo kye. 18 (Y)Abafirisuuti baali bazze nga basaasaanye mu kiwonvu Lefayimu. 19 (Z)Dawudi ne yeebuuza ku Mukama nti, “Ŋŋende nnumbe Abafirisuuti? Onoobagabula mu mukono gwange?” Mukama n’amuddamu nti, “Genda, kubanga nnaabagabula mu mukono gwo.”
20 (AA)Awo Dawudi n’agenda e Baaluperazimu, era n’abawangula. N’ayogera nti, “Mukama abonerezza abalabe bange mu maaso gange, ng’embuyaga ez’amazzi bwe zita ne zikulukuta n’amaanyi.” Era ekifo ekyo kyekyava kituumibwa Baaluperazimu. 21 (AB)Abafirisuuti ne baleka eyo balubaale baabwe be beekolera, Dawudi n’abasajja be ne babatwala.
22 Abafirisuuti ne badda, ne basaasaana mu kiwonvu kya Lefayimu. 23 Awo Dawudi bwe yeebuuza ku Mukama, n’amuddamu nti, “Tobatabaalirawo, naye beetooloole, obalumbe ng’obafuluma mu maaso g’emitugunda. 24 (AC)Awo olunaatuuka bw’onoowulira abakumba ku masanso g’emitugunda, oyanguwe okulumba, kubanga ekyo kinaategeeza nti Mukama akukulembedde okuzikiriza eggye ly’Abafirisuuti.” 25 (AD)Awo Dawudi n’akola nga Mukama bwe yamulagira, n’azikiriza Abafirisuuti okuva e Geba okutuuka e Gezeri.
Essanduuko Ereetebwa e Yerusaalemi
6 Dawudi n’akuŋŋaanya nate abasajja abaawera emitwalo esatu be yalonda mu Isirayiri. 2 (AE)N’agolokoka n’agenda n’abantu bonna abaali naye, okuva e Baale, Yuda, okuggyayo essanduuko ya Katonda eyitibwa Erinnya lya Mukama ow’Eggye atuula ku ntebe ye ey’obwakabaka wakati wa bakerubi. 3 (AF)Ne bateeka essanduuko ya Katonda ku ggaali empya ne bagiggya mu nnyumba ya Abinadaabu eyali ku lusozi, Uzza ne Akiyo batabani be ne bagikulembera 4 ng’essanduuko ya Katonda kweri, Akiyo ng’agikulembeddemu. 5 (AG)Dawudi n’ennyumba yonna eya Isirayiri ne bajaguliza mu maaso ga Mukama n’amaanyi gaabwe gonna, nga bayimba ennyimba nga bakuba ennanga, n’entongooli, n’ebitaasa, n’ensaasi, n’ebirala.
6 (AH)Awo bwe baatuuka mu gguuliro lya Nakoni, ente bwe zeesittala, Uzza n’agolola omukono gwe n’akwata ku ssanduuko ya Katonda. 7 (AI)Obusungu bwa Mukama ne bubuubuukira ku Uzza olw’ekikolwa ekyo, Katonda n’amuttira awo okumpi n’essanduuko ya Katonda. 8 (AJ)Awo Dawudi n’anyiiga kubanga obusungu bwa Mukama bwagwa ku Uzza, n’atuuma ekifo ekyo Peruzuzza, ne leero.
9 (AK)Olunaku olwo Dawudi n’atya Mukama, n’ayogera nti, “Essanduuko ya Mukama eyinza etya okuleetebwa gye ndi?” 10 (AL)Dawudi n’atayagala kutwala ssanduuko ya Mukama mu kibuga kya Dawudi, era n’asalawo okugitwala mu nnyumba ya Obededomu Omugitti. 11 (AM)Essanduuko ya Mukama n’ebeera mu nnyumba ya Obededomu Omugitti emyezi esatu, era Mukama n’amuwa omukisa ye n’ennyumba ye yonna.
12 (AN)Awo Dawudi n’ategeezebwa nti, “Ennyumba ya Obededomu n’ebintu bye byonna biweereddwa omukisa olw’essanduuko ya Katonda.” Dawudi n’agenda n’aggyayo essanduuko ya Katonda mu nnyumba ya Obededomu n’agireeta mu kibuga kya Dawudi ng’ajaguza. 13 (AO)Abaasitula essanduuko ya Mukama bwe baatambula ebigere mukaaga n’awaayo ente ennume n’ennyana ensava nga ssaddaaka. 14 (AP)Dawudi ng’ayambadde olugoye olwa linena, n’azinira mu maaso ga Mukama n’amaanyi ge gonna. 15 (AQ)Dawudi n’ennyumba ya Isirayiri yonna ne baleeta essanduuko ya Mukama nga boogerera waggulu, era nga bafuuwa n’amakondeere.
16 (AR)Awo essanduuko ya Mukama bwe yali ng’ereetebwa mu kibuga kya Dawudi, Mikali muwala wa Sawulo, ng’ali mu ddirisa, n’alengera kabaka Dawudi ng’abuuka, ng’azinira mu maaso ga Mukama, n’amunyooma. 17 (AS)Ne baleeta essanduuko ya Mukama ne bagiteeka mu kifo kyayo mu weema Dawudi gye yali agisimbidde, Dawudi n’awaayo ebiweebwayo ebyokebwa, n’ebiweebwayo olw’emirembe, mu maaso ga Mukama. 18 (AT)Awo Dawudi bwe yamala okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’emirembe, n’asabira abantu omukisa mu linnya lya Mukama ow’eggye, 19 (AU)buli muntu n’amugabula omugaati, n’ekiyungula ky’ennyama, n’ekitole eky’ezabbibu enkalu, abasajja n’abakyala. N’oluvannyuma abantu bonna ne baddayo ewaabwe.
20 (AV)Dawudi n’addayo ewuwe okusabira ab’omu nnyumba ye omukisa, Mikali muwala wa Sawulo n’agenda okumusisinkana n’ayogera nti, “Kabaka wa Isirayiri ayinza atya okweswaza bw’atyo, ne yeyambulira mu maaso g’abawala abaweereza n’abaddu ng’omuntu atalina nsonyi?”
21 (AW)Awo Dawudi n’agamba Mikali nti, “Nakikoledde mu maaso ga Mukama eyannonda okusinga kitaawo, n’ennyumba ye yonna okuba omukulembeze w’abantu ba Mukama, Isirayiri, era nzija kujagulizanga mu maaso ga Mukama. 22 Nzija kweyongerera ddala okweswaza, era sijja kuswala mu maaso gange, naye mu maaso g’abawala abaweereza b’oyogeddeko, nnaasibwangamu ekitiibwa.”
23 Awo muwala wa Sawulo Mikali, n’abeera mugumba okutuusa olunaku lwe yafa.
31 (A)Yuda olwafuluma, Yesu n’agamba nti, “Kaakano Omwana w’Omuntu agulumizibbwa ne Katonda agulumizibbwa mu ye. 32 (B)Era obanga Katonda agulumizibbwa mu ye, Katonda yeegulumiza ye yennyini, era amangwago ajja kumugulumiza.
33 (C)“Baana bange, akaseera katono ke nkyali nammwe. Mulinnoonya era nga bwe nagamba Abayudaaya nti, ‘Gye ŋŋenda mmwe temuyinza kujjayo,’ era nammwe bwe mbagamba kaakano.
34 (D)“Mbawa ekiragiro ekiggya: Mwagalanenga nga nze bwe mbaagala. 35 (E)Bwe munaayagalananga abantu bonna kwe banaategeereranga nti muli bayigirizwa bange.”
36 (F)Awo Simooni Peetero n’amubuuza nti, “Mukama waffe olaga wa?”
Yesu n’amuddamu nti, “Tosobola kugenda nange kaakano, wabula olingoberera oluvannyuma.”
37 Peetero n’amubuuza nti, “Mukama wange, lwaki siyinza kukugoberera kaakano? Nnaawaayo obulamu bwange ku lulwo.”
38 (G)Yesu n’amuddamu nti, “Onoowaayo obulamu bwo ku lwange? Ddala ddala nkugamba nti, Enkoko eneeba tennakookolima, ononneegaana emirundi esatu.”
Yesu Agumya Abayigirizwa be
14 (H)“Omutima gwammwe tegweraliikiriranga. Mukkiriza Katonda, era nange munzikirize. 2 (I)Mu nnyumba ya Kitange mulimu ebisenge bingi, era ŋŋenda okubateekerateekera ekifo. Singa tekiri bwe kityo nandibagambye. 3 (J)Bwe ndimala okubateekerateekera ekifo ndikomawo, ne mbatwala gye ndi, Nze gye ndi nammwe gye muba mubeera. 4 Era gye ŋŋenda ekkubo mulimanyi.”
Yesu ly’Ekkubo Erituusa Abantu eri Kitaawe
5 (K)Tomasi n’amugamba nti, “Mukama waffe, tetumanyi gy’olaga, kale tuyinza tutya okumanya ekkubo?”
6 (L)Yesu n’addamu nti, “Nze kkubo, n’amazima n’obulamu. Tewali n’omu ajja eri Kitange wabula ng’ayita mu Nze. 7 (M)Singa muntegedde ne Kitange mwandimutegedde. Era okuva kaakano mumulabye era mumutegedde.”
8 Firipo n’amugamba nti, “Mukama waffe, tulage Kitaffe, kinaatumala.”
9 (N)Yesu n’amugamba nti, “Firipo, kasookedde mbeera nammwe ebbanga lino lyonna era tontegeeranga? Buli alaba Nze aba alabye Kitange! Kale lwaki ate oyogera nti, ‘Tulage Kitaffe?’ 10 (O)Tokkiriza nga Nze ndi mu Kitange era ne Kitange ali mu Nze? Ebigambo bye mbategeeza si byange ku bwange, wabula biva eri Kitange abeera mu Nze, era akola emirimu ng’ayita mu Nze. 11 (P)Kale munzikirize nti ndi mu Kitange era nga ne Kitange ali mu Nze. Oba si ekyo munzikirize olw’emirimu gyokka.
12 (Q)“Ddala ddala mbagamba nti buli anzikiriza alikola emirimu egyo gye nkola, era alikola egisinga egyo, kubanga Nze ŋŋenda eri Kitange. 13 (R)Era buli kye munaasabanga mu linnya Lyange nnaakibakoleranga, Kitange alyoke agulumizibwe mu Mwana. 14 Bwe munaasabanga ekintu kyonna mu linnya lyange nnaakikolanga.”
ג Gimero
17 (A)Omuddu wo omukolere ebirungi, mbe omulamu,
ngobererenga ekigambo kyo.
18 Ozibule amaaso gange, nsobole okulaba
eby’ekitalo ebiri mu mateeka go.
19 (B)Nze ndi muyise ku nsi;
tonkisa bye walagira.
20 (C)Bulijjo emmeeme yange
eyaayaanira amateeka go.
21 (D)Onenya ab’amalala, abaakolimirwa,
abaleka amateeka go.
22 (E)Mponya okuduula kwabwe n’okunyooma kwabwe;
kubanga bye walagira mbigondera.
23 Newaakubadde ng’abalangira bansalira enkwe;
naye nze, omuweereza wo, nnaafumiitirizanga ku biragiro byo.
24 Amateeka go lye ssanyu lyange,
era ge gannuŋŋamya.
ד Daleeti
25 (F)Nzigweddemu amaanyi, ndi wansi mu nfuufu;
nkusaba onzizeemu endasi ng’ekigambo kyo bwe kiri.
26 (G)Nakutegeeza bye nteesezza okukola, n’onnyanukula;
onjigirize amateeka go.
27 (H)Njigiriza amateeka go bye gagamba,
nange nnaafumiitirizanga ku byamagero byo.
28 (I)Emmeeme empweddemu ensa olw’okunakuwala;
onzizeemu amaanyi ng’ekigambo kyo bwe kiri.
29 Nzigiraako ddala ebyo ebitali bya butuukirivu;
olw’ekisa kyo njigiriza amateeka go.
30 Nonzeewo okubeera omwesigwa;
ntambulire mu ebyo bye walagira.
31 (J)Nnyweredde ku biragiro byo, Ayi Mukama,
tondeka kuswazibwa.
32 Bw’onoosumulula omutima gwange,
nnaatambuliranga mu makubo go ng’ebiragiro byo bwe biri.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.