The Daily Audio Bible
Today's audio is from the EHV. Switch to the EHV to read along with the audio.
10 (A)Isirayiri yali muzabbibu ogwagaagadde,
ogwabala ebibala byagwo.
Ebibala bye gye byeyongera obungi,
naye gye yeeyongera okuzimba ebyoto;
n’ensi ye gye yeeyongera okuba engagga,
gye yeeyongera okulungiya empagi ze.
2 (B)Omutima gwabwe mulimba,
era ekiseera kituuse omusango gubasinge.
Mukama alimenya ebyoto byabwe,
era alizikiriza empagi zaabwe.
3 Olwo balyogera nti, “Tetulina kabaka
kubanga tetwatya Mukama.
Naye ne bwe twandibadde ne kabaka,
yanditukoleddeyo ki?”
4 (C)Basuubiza bingi,
ne balayirira obwereere
nga bakola endagaano;
emisango kyegiva givaayo
ng’omuddo ogw’obutwa mu nnimiro ennime.
5 (D)Abatuuze b’e Samaliya bali mu ntiisa
olw’ennyana ensaanuuse ey’e Besaveni.
Abantu baayo baligikungubagira,
ne bakabona baayo abaweereza bakatonda abalala,
abaasanyukanga olw’ekitiibwa kyayo baligikungubagira,
kubanga ekitiibwa kyayo kigivuddeko.
6 (E)Erisutulibwa n’etwalibwa e Bwasuli
n’eweebwa kabaka omukulu ng’ekirabo.
Efulayimu aliswazibwa
ne Isirayiri alikwatibwa ensonyi olw’ekiteeso kye.
7 (F)Samaliya ne kabaka we balitwalibwa
ng’ekibajjo eky’omuti ku mazzi n’azikirizibwa.
8 (G)Ebifo ebigulumivu eby’obutali butuukirivu birisaanyizibwawo,
kye kibi kya Isirayiri.
Amaggwa n’amatovu galimera ku byoto byabwe,
ne gabibikka.
Olwo ne bagamba ensozi nti, “Mutubuutikire,”
n’obusozi nti, “Mutugweko.”
9 (H)Okuva mu nnaku za Gibea, wayonoona, ggwe Isirayiri
era eyo gye wagugubira.
Entalo tezakwatira abakozi b’ebibi mu Gibea?
10 (I)Bwe ndiba nga njagadde, ndibabonereza;
amawanga galikuŋŋaana okulwana nabo,
ne basibibwa mu masanga olw’ebibi byabwe eby’emirundi ebiri.
11 Efulayimu nnyana ntendeke
eyagala okuwuula;
kyendiva nteeka ekikoligo
mu nsingo ye ennungi.
Ndigoba Efulayimu
ne Yuda ateekwa okulima
ne Yakobo ateekwa okukabala.
12 (J)Musige ensigo ez’obutuukirivu,
mukungule ebibala eby’okwagala okutaggwaawo;
mukabale ettaka lyammwe eritali ddime,
kubanga ekiseera kituuse okunoonya Mukama,
okutuusa lw’alidda
n’abafukako obutuukirivu.
13 (K)Naye mwasimba obutali butuukirivu
ne mukungula ebibi,
era mulidde ebibala eby’obulimba.
Olw’okwesiga amaanyi go,
n’abalwanyi bo abangi,
14 (L)olutalo kyeluliva lubawuumira mu matu,
n’ebigo byammwe byonna ne bizikirizibwa,
nga Sulemaani bwe yazikiriza Beswaluberi ku lunaku olw’olutalo,
abakyala ba nnakazadde lwe baggundwa ku ttaka n’abaana baabwe.
15 (M)Bwe kityo bwe kiribeera, ggwe Besweri
kubanga ekibi kyo kinene nnyo.
Olunaku olwo bwe lulituuka,
kabaka wa Isirayiri alizikiririzibwa ddala.
Okwagala kwa Katonda eri Isirayiri
11 (N)“Isirayiri bwe yali omwana omuto, namwagala,
era namuyita okuva mu Misiri.
2 (O)Naye buli lwe nayongeranga okuyita Isirayiri,
nabo gye beeyongeranga okusemberayo
ne bawaayo ssaddaaka eri Babaali,
ne bootereza ebifaananyi ebyole obubaane.
3 (P)Nze nayigiriza Efulayimu okutambula,
nga mbakwata ku mukono;
naye tebategeera
nga nze nabawonya.
4 (Q)Nabakulembera n’emiguwa egy’okusaasira okw’obuntu,
n’ebisiba eby’okwagala.
Naggya ekikoligo mu bulago bwabwe
ne neetoowaza ne mbaliisa.
5 (R)“Tebaliddayo mu nsi ya Misiri,
era Obwasuli tebulibafuga
kubanga baagaana okwenenya?
6 (S)Ekitala kirimyansiza mu bibuga byabwe
ne kizikiriza ebisiba ebya wankaaki waabwe,
ne kikomya enteekateeka zaabwe.
7 (T)Abantu bange bamaliridde okunvaako.
Ne bwe banaakoowoola oyo Ali Waggulu Ennyo,
taabagulumize.
8 (U)“Nnyinza ntya okukuleka ggwe Efulayimu?
Nnyinza ntya okukuwaayo ggwe Isirayiri?
Nnyinza ntya okukufuula nga Aduma?
Nnyinza ntya okukukola nga Zeboyimu?
Omutima gwange gwekyusiza munda yange,
Mpulira nkukwatiddwa ekisa kingi.
9 (V)Siikole ng’obusungu bwange obungi bwe buli,
so siridda kuzikiriza Efulayimu;
kubanga siri muntu wabula ndi Katonda,
Omutukuvu wakati mu mmwe:
sirijja na busungu.
10 (W)Baligoberera Mukama;
era aliwuluguma ng’empologoma.
Bw’aliwuluguma,
abaana be balijja nga bakankana okuva ebugwanjuba.
11 (X)Balijja nga bakankana
ng’ebinyonyi ebiva e Misiri,
era ng’enjiibwa eziva mu Bwasuli.
Ndibafuula abatuuze mu maka gaabwe,”
bw’ayogera Mukama.
Ekibi kya Isirayiri
12 (Y)Efulayimu aneebunguluzza obulimba,
n’ennyumba ya Isirayiri eneebunguluzza obukuusa,
ne Yuda ajeemedde Katonda,
ajeemedde omwesigwa Omutukuvu.
12 (Z)Efulayimu alya mpewo;
agoba empewo ez’ebuvanjuba olunaku lwonna,
era bongera ku bulimba ne ku ttemu.
Bakola endagaano n’Obwasuli,
n’aweereza n’amafuta e Misiri.
2 (AA)Mukama alina ensonga ne Yuda,
era alibonereza Yakobo ng’engeri ze bwe ziri.
Amusasule ng’ebikolwa bye bwe biri.
3 (AB)Bwe yali mu lubuto lwa nnyina yakwata muganda we ku kisinziiro,
ne mu bukulu bwe n’ameggana ne Katonda.
4 (AC)Yameggana ne malayika n’amuwangula,
n’akaaba n’amwegayirira.
Yamusisinkana e Beseri,
n’ayogera naye.
5 (AD)Mukama Katonda ow’Eggye,
Mukama ly’erinnya lye erijjukirwa.
6 (AE)Naye oteekwa okudda eri Katonda wo;
kuuma okwagala n’obwenkanya,
olindirirenga Katonda wo ennaku zonna.
7 (AF)Omusuubuzi akozesa ebipimo eby’obulimba,
era anyumirwa okukumpanya.
8 (AG)Efulayimu yeewaana ng’ayogera nti,
“Ndi mugagga nnyo, nfunye ebintu bingi.
Mu bugagga bwange bwonna, tebayinza kundabamu kibi
wadde okwonoona kwonna.”
9 (AH)Nze Mukama Katonda wo,
eyakuggya mu Misiri;
ndikuzzaayo n’obeera mu weema nate,
nga mu nnaku ez’embaga ezaalagirwa.
10 (AI)Nayogera eri bannabbi,
ne mbawa okwolesebwa kungi,
ne mbagerera engero nga mpita mu bo.
11 (AJ)Gireyaadi butali butuukirivu
era n’abantu baamu butaliimu.
Mu Gireyaadi basalirayo ente ennume ne baziwaayo nga ssaddaaka,
era ebyoto byabwe binaaba ng’entuumo ey’amayinja mu nnimiro ennime.
12 (AK)Yakobo yaddukira mu nsi ya Alamu;[a]
Isirayiri yaweereza okufuna omukazi,
era okumufuna yalundanga ndiga.
13 (AL)Mukama yakozesa nnabbi okuggya Isirayiri mu Misiri,
era n’akozesa nnabbi okumukuuma.
14 (AM)Naye Efulayimu amusoomoozezza era amusunguwazizza,
Mukama we kyaliva amutekako omusango olw’omusaayi gwe yayiwa,
n’amusasula olw’obunyoomi bwe.
Mukama Asunguwalira Isirayiri
13 (AN)Efulayimu buli lwe yayogeranga, abantu baakankananga.
Yagulumizibwanga mu Isirayiri.
Naye bwe yayonoona olw’okusinza Baali, n’afa.
2 (AO)Ne kaakano bongera okwonoona;
ne beekolera ebifaananyi ebisaanuuse mu ffeeza yaabwe,
ng’okutegeera kwabwe bwe kuli,
nga byonna mulimu gw’abaweesi.
Kigambibwa nti,
“Bawaayo ssaddaaka ez’abantu,
ne banywegera ebifaananyi eby’ennyana.”
3 (AP)Kyebaliva babeera ng’olufu olw’oku makya,
oba ng’omusulo oguvaawo amangu,
ng’ebisusunku embuyaga ze bifumuula okubiggya mu gguuliro,
oba ng’omukka ogufulumira mu ddirisa.
4 (AQ)“Nze Mukama Katonda wo
eyakuggya mu nsi ya Misiri;
so tolimanya Katonda mulala wabula nze,
so tewali mulokozi wabula nze.
5 Nakulabirira mu ddungu,
mu nsi ey’ekyeya ekingi.
6 (AR)Bwe nabaliisa, bakkuta;
bwe bakkuta ne beegulumiza,
bwe batyo ne banneerabira.
7 Kyendiva mbalumba ng’empologoma,
era ndibateegera ku kkubo ng’engo.
8 (AS)Ng’eddubu erinyagiddwako abaana baalyo,
ndibalumba ne mbataagulataagula.
Era okufaananako ng’empologoma bw’ekola ndibaliira eyo,
ensolo ey’omu nsiko eribataagulataagula.
9 (AT)Ndibazikiriza mmwe Isirayiri,
kubanga munnwanyisa.
10 (AU)Kabaka wammwe ali wa, abalokole?
Abafuzi ab’omu bibuga byo byonna bali ludda wa,
be wayogerako nti,
‘Tuwe kabaka n’abafuzi?’
11 (AV)Nabawa kabaka nga nsunguwadde,
ate ne mmubaggyako nga ndiko ekiruyi.
12 (AW)Omusango gwa Efulayimu guterekeddwa,
era n’ekibi kye kimanyiddwa.
13 (AX)Obubalagaze ng’obw’omukyala alumwa okuzaala bumujjira,
naye omwana olw’obutaba n’amagezi,
ekiseera bwe kituuka,
tavaayo mu lubuto.
14 (AY)“Ndibanunulayo mu maanyi g’emagombe,
era ndibalokola mu kufa.
Ggwe kufa, endwadde zo ziri ludda wa?
Ggwe Magombe, okuzikiriza kwo kuli ludda wa?
“Sirimusaasira,
15 (AZ)ne bw’anaakulaakulana mu baganda be.
Empewo ey’ebuvanjuba erijja okuva eri Mukama,
ng’eva mu ddungu,
n’ensulo ze ne zikalira,
n’oluzzi lwe ne lukalira.
Eggwanika lye lirinyagibwa,
eby’omuwendo byonna ne bitwalibwa.
16 (BA)Abantu b’e Samaliya balivunaanibwa omusango gwabwe
kubanga bajeemedde Katonda waabwe.
Balittibwa n’ekitala, n’abaana baabwe abato balibetentebwa,
n’abakyala baabwe abali embuto balibaagibwa.”
Okwenenya Kuleeta Omukisa
14 (BB)Mudde eri Mukama Katonda wammwe, ggwe Isirayiri.
Ebibi byammwe bye bibaleetedde okugwa.
2 (BC)Mudde eri Mukama
nga mwogera ebigambo bino nti,
“Tusonyiwe ebibi byaffe byonna,
otwanirize n’ekisa,
bwe tutyo tunaawaayo ebibala by’akamwa kaffe, ng’ebiweebwayo eby’ente ennume.
3 (BD)Obwasuli tebusobola kutulokola;
Tetujja kwebagala mbalaasi ez’omu ntalo.
Tetuliddayo kwogera nate nti, ‘Bakatonda baffe,’
nga twogera ku bintu bye twekoledde n’emikono gyaffe,
kubanga mu ggwe, bamulekwa mwe bajja okusaasirwa.”
4 (BE)Ndibalekesaayo empisa zaabwe embi,
ne mbaagala awatali kye mbasalidde kya kusasula.
Kubanga obusungu bwange butanudde okubavaako.
5 (BF)Ndifaanana ng’omusulo eri Isirayiri:
alimulisa ng’eddanga,
era alisimba emirandira ng’emivule gy’e Lebanooni.
6 (BG)Amatabi ge amato galikula;
n’obulungi bwe buliba ng’omuzeyituuni,
n’akaloosa ke kaliba ng’akaloosa k’omuvule gw’e Lebanooni.
7 (BH)Abantu balibeera nate wansi w’ekisiikirize kye,
era alibala ng’emmere ey’empeke.
Alimulisa ng’omuzabbibu,
era alyatiikirira nga wayini ow’e Lebanooni.
8 (BI)Ggwe Efulayimu mugabo ki gwe nnina mu bakatonda bo?
Ndimwanukula ne mulabirira.
Nninga omuberosi omugimu, era n’ebibala byo biva mu nze.
9 (BJ)Abalina amagezi bategeera ensonga zino,
era abakabakaba balibimanya.
Amakuba ga Mukama matuufu,
n’abatuukirivu bagatambuliramu,
naye abajeemu bageesittaliramu.
1 (A)Nze, Yuda, omuddu wa Yesu Kristo, era muganda wa Yakobo, mpandiikira abaagalwa bonna abaayitibwa mu Katonda Kitaffe, era abakuumibwa Yesu Kristo.
2 (B)Ekisa kya Katonda, n’emirembe, n’okwagala byeyongerenga mu mmwe.
Abayigiriza ab’Obulimba
3 (C)Abaagalwa, nnali neesunga nnyo okubawandiikira ku bulokozi bwaffe bwe ntyo nawalirizibwa okubawandiikira nga mbazzaamu amaanyi nga mbegayirira mulwanirire okukkiriza abatukuvu kwe baaweebwa omulundi ogumu. 4 (D)Waliwo abantu abajja mu bubba, abaawandiikwako edda nga baasalirwa omusango, abatatya Katonda abajerega ekisa kya Katonda waffe, ne bakiyisaamu amaaso, ne beegaana Yesu Kristo Mukama waffe, omu yekka.
5 (E)Naye njagala okubajjukiza nti newaakubadde nga byonna mubimanyi, nga olunaku lumu Mukama yalokola eggwanga n’aliggya mu nsi y’e Misiri, oluvannyuma n’azikiriza abatakkiriza, 6 (F)ne bamalayika abataakuuma kitiibwa kyabwe ne badda mu kukola bye baayagala ne balekulira n’ebifo byabwe, abo Katonda yabasiba mu njegere n’abassa mu kkomera ery’ekizikiza ekikutte gye balindiririra okusalirwa omusango. 7 (G)Temusaanye kwerabira bibuga ebya Sodomu ne Ggomola n’ebibuga ebyali bibiriraanye. Byonna byali bijjudde kwegomba okubi n’obwenzi, nga n’abasajja bakolaganako eby’ensonyi. Ebibuga ebyo byazikirizibwa n’omuliro, era byabonerezebwa n’omuliro ogutaggwaawo bibeere ekyokulabirako gye tuli.
Okukozesa Olulimi Oluvvoola
8 (H)Mu ngeri y’emu abo abaloota bagwagwawaza omubiri, ate oludda ne banyooma obuyinza, ne bavvoola ne bamalayika. 9 (I)Kale newaakubadde nga Mikayiri, ye malayika asinga obukulu, naye bwe yali akaayana ne Setaani ku mulambo gwa Musa, teyamuvuma wabula yagamba bugambi nti, “Mukama akunenye!” 10 (J)Naye kale abantu bano bavvoola kye batategeera, era okufaanana ng’ensolo obusolo bakola buli kye baagala, era ebyo bibaleetedde okuzikirira.
11 (K)Zibasanze abo! Kubanga bagoberera ekkubo lya Kayini, era bakola buli kye basobola okufunamu ensimbi okufaanana nga Balamu, era ne bajeemera Katonda nga Koola bwe yakola, noolwekyo balizikirizibwa.
12 (L)Abantu bano bwe bajja ne babeegattamu nga muli ku mbaga zammwe ez’okumanyagana, baba ng’amabala amabi, nga tebatya, nga beefaako bokka, nga bali ng’ebire ebitaliimu mazzi ebitwalibwa empewo; oba ng’emiti egiwaatudde, egitaliiko bibala, egyafa emirundi ebiri, egyakuulibwa n’emirandira; 13 (M)oba ng’amayengo ag’oku nnyanja agasiikuuse, ebikolwa byabwe ne bibaswaza; oba ng’emmunyeenye eziva mu kkubo lyazo, eziterekeddwa ekizikiza ekikutte ennyo eky’olubeerera.
14 (N)Enoka eyaliwo nga wayiseewo emirembe musanvu okuva ku Adamu, abantu bano yaboogerako eby’obunnabbi nti, “Mulabe Mukama ajja n’abatukuvu be abangi ennyo. 15 (O)Alireeta abantu bonna mu maaso ge basalirwe omusango mu bwenkanya olw’ebikolwa byabwe bonna abatatya Katonda, bye baakola mu bugenderevu, n’olw’ebigambo byonna ebizibu abakozi b’ebibi bye bamwogeddeko eby’obutatya Katonda.” 16 (P)Beemulugunya, era bakola buli kye beegomba, era nga boogerera waggulu ebigambo eby’okweraga; era olaba bassizzaamu omuntu ekitiibwa ng’omanya nti balina kye bamwagalako.
Okugumiikiriza
17 (Q)Naye mmwe, abaagalwa, mujjukire abatume ba Mukama waffe Yesu Kristo ebigambo bye baayogera edda 18 (R)bwe baabagamba nti, “Mu nnaku ez’oluvannyuma walijjawo abantu abalibasekerera, nga beegomba nga bwe baagala, nga batambulira mu bitasiimibwa Katonda.” 19 (S)Abo be bo abaleeta enjawukana, ab’omubiri obubiri era abatalina Mwoyo Mutukuvu.
20 (T)Naye mmwe, abaagalwa, musaana okuzimba obulamu bwammwe nga bweyongera okuba obw’amaanyi, nga mubuzimbira ku musingi ogw’okukkiriza kwammwe okutukuvu, era nga musaba mu Mwoyo Mutukuvu, 21 (U)nga mwekuumira mu kwagala kwa Katonda, nga mwesunga okusaasira kwa Mukama waffe Yesu Kristo olw’obulamu obutaggwaawo.
22 Mubeerenga ba kisa eri abo ababuusabuusa mu kukkiriza, 23 (V)n’abalala mufubenga okubawonya nga mubakwakkula mu nnimi z’omuliro, n’abalala mubatuuse eri Mukama nga muyita mu kubalaga ekisa ng’aboonoonyi, wabula mukyawe ekyambalo, ekijjudde amabala agakiteekeddwako omubiri gwabwe.
Okusaba okw’Okutendereza
24 (W)Katonda asobola okubawanirira muleme okuva mu kkubo lye, era n’okubatuusa mu maaso ge ag’ekitiibwa nga temuliiko kamogo era nga mujjudde essanyu; 25 (X)Katonda oyo omu yekka atulokola okuyita mu Yesu Kristo Mukama waffe, agulumizibwe era atenderezebwenga olw’amaanyi ge n’obuyinza bwe, okuva ku mirembe gyonna egyayita, ne kaakano era ne mu mirembe egitaliggwaawo! Amiina.
Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Sulemaani.
127 (A)Mukama bw’atazimba nnyumba,
abo abagizimba bazimbira bwereere.
Mukama bw’atakuuma kibuga,
abakuumi bateganira bwereere.
2 (B)Oteganira bwereere bw’okeera mu makya n’okola,
ate n’olwawo n’okwebaka
ng’okolerera ekyokulya;
kubanga Mukama abaagalwa be abawa otulo.
3 (C)Abaana aboobulenzi kya bugagga okuva eri Mukama;
era abaana mpeera gy’agaba okuva gy’ali.
4 Ng’obusaale bwe bubeera mu mukono gw’omulwanyi,
n’abaana abazaalibwa mu buvubuka bw’omuntu bwe bali bwe batyo.
5 (D)Alina omukisa omuntu oyo
ajjuzza ensawo ye n’obusaale,
kubanga tebaliswazibwa;
balyolekera abalabe baabwe mu mulyango omunene.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.