Print Page Options Listen to Reading
Previous Prev Day Next DayNext

The Daily Audio Bible

This reading plan is provided by Brian Hardin from Daily Audio Bible.
Duration: 731 days

Today's audio is from the GW. Switch to the GW to read along with the audio.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Okubala 10:1-11:23

Amakondeere Aga Ffeeza

10 Mukama n’agamba Musa nti, (A)“Weesa mu ffeeza amakondeere abiri ogakozesenga okuyitanga abantu bonna okukuŋŋaana, era n’okubalagira okuggyawo ensiisira zaabwe. Amakondeere gombi bwe ganaafuuyibwanga, ekibiina ky’abantu bonna banaakuŋŋaaniranga w’oli ku mulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. (B)Naye bwe banaafuuwangako erimu, olwo abakulembeze, be bakulu b’ebika bya Isirayiri, be banaakuŋŋaaniranga w’oli. (C)Amakondeere ag’omwanguka bwe ganaafuuyibwanga, ebika ebinaabanga bisiisidde ku luuyi olw’ebuvanjuba binaasitulanga okutambula. (D)Ate bwe banaafuuwanga ag’omwanguka omulundi ogwokubiri, ensiisira ezinaabanga mu bukiikaddyo, zinaasitulanga okutambula. Amakondeere ag’omwanguka ke kanaabanga akabonero akanaabategeezanga nti basitule batambule. (E)Naye bwe kineetaagisanga okukuba olukuŋŋaana, onoofuuwanga amakondeere naye tegaabenga ga mwanguka.

(F)“Abaana ba Alooni, bakabona, be banaafuuwanga amakondeere. Lino linaabanga tteeka ery’enkalakkalira mu mmwe ne mu mirembe egigenda okujja. (G)Bwe munaagendanga okutabaala omulabe abajoogerereza mu nsi yammwe, mufuuwanga amakondeere ag’omwanguka. Bwe mutyo munajjukirwanga Mukama Katonda, era anaabawonyanga abalabe bammwe. 10 (H)Mu biseera eby’essanyu, ne ku mbaga zammwe entongole ne ku mbaga z’omwezi ogwakaboneka, munaafuuwanga amakondeere nga bwe muwaayo ebiweebwayo byammwe ebyokebwa n’ebiweebwayo byammwe olw’emirembe, era binaabanga bijjukizo byammwe awali Mukama Katonda wammwe. Nze Mukama Katonda wammwe.”

Okuva mu Sinaayi

11 (I)Awo olwatuuka ku lunaku olw’amakumi abiri mu mwezi ogwokubiri mu mwaka ogwokubiri, ekire ne kisitulibwa okuva waggulu wa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. 12 Abaana ba Isirayiri ne basitula ne batambula okuva mu Ddungu lya Sinaayi, oluvannyuma ekire ne kiyimirira mu Ddungu lya Palani. 13 (J)Ogwo gwe gwali omulundi omubereberye okusitula okutambula nga bagendera ku kiragiro kya Mukama Katonda kye yayisa mu Musa.

14 (K)Olusiisira lw’abaana ba Yuda lwe lwasooka okusitula okutambula, nga bakulemberwa ebendera yaabwe; Nakusoni mutabani wa Amminadaabu nga ye muduumizi waabwe. 15 Nesaneri mutabani wa Zuwaali ye yaduumira ekibinja ky’ekika kya Isakaali, 16 ne Eriyaabu mutabani wa Keroni n’aduumira ekibinja ky’ekika kya Zebbulooni. 17 (L)Eweema ya Mukama n’esimbulwa, batabani ba Gerusoni ne batabani ba Merali abaagyetikkanga ne basitula ne batambula.

18 (M)Ebibinja by’omu lusiisira lwa Lewubeeni bye byaddako okusitula okutambula awamu n’ebendera yaabyo, nga biduumirwa Erizuuli mutabani wa Sedewuli. 19 Serumiyeeri mutabani wa Zulisadaayi ye yaduumira ekibinja ky’ekika kya Simyoni, 20 ne Eriyasaafu mutabani wa Deweri n’aduumira ekibinja ky’ekika kya Gaadi. 21 (N)Abakokasi ne basitula okutambula nga beetisse ebintu ebitukuvu. Eweema ya Mukama ng’emala kusimbibwa, nabo ne balyoka batuuka.

22 (O)Ebibinja by’omu lusiisira lwa Efulayimu bye byaddirira okusitula okutambula awamu n’ebendera yaabyo; Erisaama mutabani wa Ammikudi nga ye muduumizi waabyo. 23 Gamalyeri mutabani wa Pidazuuli ye yaduumira ekibinja ky’ekika kya Manase; 24 ne Abidaani mutabani wa Gidyoni n’aduumira ekibinja ky’ekika kya Benyamini.

25 (P)Ku nkomerero ya byonna, ebibinja by’omu lusiisira lwa Ddaani, nga bye bikuuma emabega, ne bisitula okutambula n’ebendera yaabyo nga bikoobedde ensiisira zonna; Akiyezeeri mutabani wa Amisadaayi nga ye muduumizi waabyo. 26 Pagiyeeri mutabani wa Okulaani ye yaduumira ekibinja ky’ekika kya Aseri; 27 ne Akira mutabani wa Enani n’aduumira ekibinja ky’ekika kya Nafutaali. 28 Eyo ye yali entegeka ey’abaana ba Isirayiri ng’ebibinja byabwe bwe byali nga basitula okutambula.

29 (Q)Awo Musa n’agamba mukoddomi we Kobabu mutabani wa Leweri Omumidiyaani nti, “Tusitula okutambula okugenda mu kifo Mukama kye yatugamba nti, ‘Ndikibawa.’ Kale nno, jjangu tugende ffenna tulikuyisa bulungi, kubanga Mukama yasuubiza Isirayiri ebintu ebirungi.”

30 (R)Naye n’addamu nti, “Nedda, sijja kugenda nammwe, nzirayo mu nsi ye waffe era mu bantu bange.”

31 (S)Naye Musa n’amugamba nti, “Nkwegayiridde totuleka. Ggwe omanyi obulungi eddungu gye tusaanye okukuba olusiisira lwaffe, ggwe ojja okubeera amaaso gaffe. 32 (T)Singa ojja ne tugenda ffenna, tunaagabaniranga wamu buli kirungi kyonna Mukama ky’anaatuwanga.”

Essanduuko ey’Endagaano, n’Ekire Ekikulemberamu

33 (U)Awo ne basitula okuva ku lusozi lwa Mukama Katonda ne batambulira ennaku ssatu. Essanduuko ya Mukama ey’Endagaano n’ebakulemberanga okumala ennaku ezo essatu ng’ebanoonyeza ekifo eky’okuwummuliramu. 34 (V)Buli lwe baasitulanga okutambula nga bava mu lusiisira, ekire kya Mukama Katonda kyabeeranga waggulu waabwe buli budde bwa misana.

35 (W)Buli abeetissi b’Essanduuko ya Mukama Katonda lwe baasitulanga okutambula, Musa n’agamba nti,

“Golokoka, Ayi Mukama!
    Abalabe bo basaasaane;
    amaggye agakulwanyisa gakudduke.”

36 (X)Buli Ssanduuko ya Mukama Katonda lwe yawummuzibwanga, Musa n’agamba nti,

“Komawo, Ayi Mukama,
    eri enkumi n’enkumi eza Isirayiri.”

Abantu Beemulugunya

11 (Y)Awo abantu ne beemulugunya olw’ebizibu byabwe nga ne Mukama awulira; bwe yabawulira obusungu bwe ne bubuubuuka. Omuliro ne guva eri Mukama ne gwakira mu bo, ne gwokya ebitundu ebimu ebyali bikomererayo eby’olusiisira lwabwe. (Z)Abantu ne bakaabirira Musa; Musa n’asaba Mukama, omuliro ne guzikira. (AA)Ekifo ekyo ne kituumibwa erinnya Tabera, kubanga omuliro ogwava eri Mukama gwabaakiramu.

Emmaanu

(AB)Abagwira abaali beetabudde mu baana ba Isirayiri ne baluluunkanira ebyokulya; n’abaana ba Isirayiri nabo ne bongera okukaaba nga bwe bagamba nti, “Singa nno tufuna ku nnyama ne tulyako! (AC)Tukyajjukira ebyennyanja bye twalyanga mu Misiri nga tewali na kye tubisasulidde, ne wujju n’ensujju, n’enderema n’obutungulu ne katungulukyumu n’ebyokuliira. Naye kaakano n’okwoya emmere kutuweddemu, buli we tukuba eriiso tulaba mmaanu eno!”

(AD)Emmaanu yafaanananga ng’ensigo za koliyanda, nga n’ekifaananyi kyayo kiri ng’ekya bideriamu. Abantu baagendanga ne bagikuŋŋaanya ne bagiseera ku lubengo oba ne bagisekulira mu binu, ne bagifumba mu ntamu oba ne bakolamu bukeeke. Nga mu kamwa ebanga ekoleddwa n’amafuta ga zeyituuni. (AE)Omusulo bwe gwagwanga mu lusiisira ekiro n’emmaanu nayo n’egwa nagwo.

Musa Asaba Ennyama

10 Musa n’awulira abantu aba buli luggya nga bakaaba, buli omu ng’akaabira mu muzigo gw’eweema ye; obusungu bwa Mukama Katonda ne bubuubuuka nnyo, ne Musa n’asoberwa n’anyiikaala. 11 (AF)Musa n’agamba Mukama Katonda nti, “Lwaki oleetedde omuddu wo obuzibu buno? Nkoze ki ekitakusanyusizza ne kikuleetera okwetikka omugugu gw’abantu bano bonna? 12 (AG)Nze nali olubuto omwali abantu bano bonna? Nze nabazaala? Lwaki oŋŋamba okubasitula mu mikono gyange ng’omulezi w’abaana bw’asitula omwana omuwere mbatwale mu nsi gye wabasuubiza ng’ogirayirira bajjajjaabwe? 13 (AH)Ennyama abantu bano bonna gye banaalya nnaagiggya wa? Kubanga baneetayirira nga bankaabirira nti, ‘Tuwe ennyama tulye!’ 14 (AI)Sisobola kusitula bantu bano bonna bw’omu kubanga obuzito bwabwe buyinza okummenya nga ndi nzekka. 15 (AJ)Obanga bw’otyo bw’ojja okumpisa, ate nga bulijjo ondaga ekisa kyo, kale nno nzitiraawo kaakano oleme kundeka ne neereetera okwezikiriza.”

Mukama Ayanukula Musa

16 Mukama n’agamba Musa nti, “Nfunira abasajja nsanvu mu bakulu ba Isirayiri b’omanyi nga be bakulu b’abantu era nga be bakulembeze baabwe obaleete ku Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, bayimirire awo naawe. 17 (AK)Nzija kukka awo njogere naawe; era nzija kutoola ku mwoyo oguli mu ggwe ngubateekemu, balyokenga bakusitulireko omugugu gw’abantu oleme kugwetikkanga wekka.

18 (AL)“Abantu bagambe nti, ‘Mwetukuze nga mwetegekera olunaku lw’enkya, lwe mujja okulya ennyama. Kubanga Mukama Katonda yabawulira nga mumukaabirira bwe muti nti, “Singa tufunye ku nnyama ne tulyako! Bwe twali mu Misiri twali bulungi!” Noolwekyo Mukama ajja kubawa ennyama mugirye. 19 Temugenda kugirya mu lunaku lumu, oba mu nnaku bbiri, oba mu nnaku ttaano, oba mu nnaku kkumi, oba nnaku abiri; 20 (AM)naye kumala mwezi mulambirira, okutuusa lw’erifulumira mu nnyindo zammwe n’ebanyiwa, kubanga mwesamudde Mukama Katonda abeera mu mmwe, ne mumukaabirira nga mugamba nti, “Mu Misiri twaviirayo ki?” ’ ”

21 (AN)Musa n’agamba nti, “Abantu bano mwe ndi bawera omuwendo gwa mitwalo nkaaga abatambuza ebigere, naawe ogamba nti, ‘Nzija kubawa ennyama gye banaalya okumala omwezi mulamba!’ 22 (AO)Ebisolo ebiri mu biraalo ne mu bisibo bwe binattibwa binaabamala? Nantiki ebyennyanja byonna eby’omu nnyanja bwe binaavubibwa ne bibaweebwa, binaabamala?”

23 (AP)Mukama n’agamba Musa nti, “Omukono gwa Mukama Katonda guyimpawadde? Kaakano ojja kulaba obanga ekigambo kyange kye nkugambye kinaatuukirira oba tekiituukirire.”

Makko 14:1-21

Omukazi Asiiga Yesu Amafuta ag’Omuwendo

14 (A)Embaga ey’Okuyitako[a], kwe baliira emigaati egitali mizimbulukuse, yali ebuzaayo ennaku bbiri etuuke. Bakabona abakulu n’abannyonnyozi b’amateeka ne basala olukwe engeri gye banaakwata Yesu bamutte. Ne bagamba nti, “Si mu kiseera ky’embaga y’Okuyitako, kubanga abantu bayinza okuleetawo akeegugungo.”

(B)Mu kiseera ekyo Yesu ng’ali Besaniya mu nnyumba y’omusajja eyali amanyiddwa nga Simooni Omugenge, ng’atudde, omukazi n’ayingira ng’alina eccupa, eyalimu amafuta ag’akaloosa ag’omuwendo omungi. N’ayasa eccupa n’asiiga amafuta ku mutwe gwa Yesu. Abamu ku abo abaaliwo ne basunguwalira nnyo ekikolwa ekyo, nga beebuuza nti, “Amafuta ago gafudde ki? Wakiri singa gatundiddwa dinaali ezisukka mu bikumi ebisatu, ne ziweebwa abaavu!” Ne bamwemulugunyiza.

Naye Yesu n’abagamba nti, “Omukazi mumuleke. Lwaki mumuteganya? Ankoledde ekikolwa kirungi. (C)Abaavu muli nabo bulijjo, era muyinza okubakolera obulungi buli we mwagalidde, naye Nze sijja kubeera nammwe bulijjo. (D)Akoze ky’asobola, omubiri gwange agusiigiddewo amafuta ag’akaloosa nga bukyali, ng’aguteekateeka okuziikibwa. (E)Ddala ddala mbagamba nti buli kifo kyonna Enjiri gy’eneebuulirwanga mu nsi yonna, ekikolwa ky’omukazi ono kinajjukirwanga era kinaayongerwangako okumujjukiranga.”

Yuda Alya mu Yesu Olukwe

10 (F)Awo Yuda Isukalyoti, omu ku bayigirizwa ba Yesu ekkumi n’ababiri, n’agenda eri bakabona abakulu alabe bw’anaalyamu Yesu olukwe amubawe. 11 Bakabona abakulu bwe baakiwulira ne basanyuka nnyo, ne bamusuubiza okumuwa ensimbi. Bw’atyo Yuda n’atandika okunoonyereza engeri entuufu w’anaaweerayo Yesu.

Ekyekiro kya Mukama Waffe

12 (G)Awo ku lunaku olusooka olw’embaga y’Abayudaaya kwe baliira emigaati egitali mizimbulukuse, nga bawaayo omwana gw’endiga ogw’Okuyitako nga ssaddaaka, abayigirizwa be ne bamubuuza nti, “Oyagala tukutegekere wa gy’onooliira Embaga ey’Okuyitako.”

13 N’atuma babiri ku bayigirizwa be, n’abagamba nti, “Mugende mu kibuga munaasanga omusajja eyeetisse ensuwa y’amazzi, mumugoberere. 14 Muyingire mu nnyumba mw’anaayingira, mubuuze nnyinimu nti, ‘Ekisenge nze n’abayigirizwa bange mwe tunaalira Embaga ey’Okuyitako kiri ludda wa?’ 15 (H)Ajja kubalaga ekisenge ekinene ekya waggulu, ekiwedde okulongoosa n’okutegeka. Muteekereteekere omwo ekijjulo kyaffe.”

16 Awo abayigirizwa ababiri ne bagenda mu kibuga, ne basanga byonna nga Yesu bwe yabibagamba, ne bateekateeka Okuyitako.

17 Obudde bwe bwawungeera n’atuuka n’abayigirizwa be ekkumi n’ababiri. 18 Bwe baali batudde nga balya, Yesu n’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti omu ku mmwe alya nange anandyamu olukwe.”

19 Ennaku n’ebakwata nnyo, ne batandika okumubuuza kinnoomu nti, “Ddala ye nze?”

20 (I)N’abagamba nti, “Omu ku mmwe ekkumi n’ababiri, akoza nange mu kibya. 21 (J)Omwana w’Omuntu agenda ng’Ebyawandiikibwa bwe biri. Naye zimusanze alya mu Mwana w’Omuntu olukwe. Kyandibadde kirungi singa omuntu oyo teyazaalibwa.”

Zabbuli 51

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi. Nnabbi Nasani bwe yajja eri Dawudi, Dawudi ng’amaze okutwala Basuseba n’okutemula bba, Uliya.

51 (A)Onsaasire, Ayi Mukama,
    ggwe alina okwagala okutaggwaawo.
Olw’okusaasira kwo okungi
    nziggyaako ebyonoono byange byonna.
(B)Nnaazaako obutali butuukirivu bwange,
    ontukulize ddala okuva mu kibi kyange.

(C)Ebyonoono byange mbikkiriza,
    era ebibi byange mbimanyi bulijjo.
(D)Ggwe wennyini ggwe nnyonoonye,
    ne nkola ebitali bya butuukirivu mu maaso go ng’olaba;
noolwekyo by’oyogera bituufu,
    era n’ensala yo ey’omusango ya bwenkanya.
(E)Ddala, nazaalibwa mu kibi;
    kasookedde ntondebwa mu lubuto lwa mmange ndi mwonoonyi.
(F)Oyagala amazima agaviira ddala mu mutima gwange.
    Ompe amagezi munda ddala mu nze.

(G)Onnaaze n’ezobu[a] ntukule
    onnaaze ntukule n’okusinga omuzira.
(H)Onzirize essanyu n’okwesiima,
    amagumba gange ge wamenyaamenya gasanyuke.
(I)Totunuulira bibi byange,
    era osangule ebyonoono byange byonna.

10 (J)Ontondemu omutima omulongoofu, Ayi Katonda,
    era onteekemu omwoyo omulungi munda yange.
11 (K)Tongoba w’oli,
    era tonzigyako Mwoyo wo Omutukuvu.
12 (L)Onkomezeewo essanyu ery’obulokozi bwo,
    era ompe omutima ogugondera by’oyagala,
13 (M)ndyoke njigirizenga aboonoonyi amakubo go,
    n’abakola ebibi bakukyukirenga bakomewo gy’oli.
14 (N)Ondokole mu kibi eky’okuyiwa omusaayi, Ayi Katonda,
    ggwe Katonda ow’obulokozi bwange;
    olulimi lwange lunaatenderezanga obutuukirivu bwo.
15 (O)Ayi Mukama, yasamya emimwa gyange,
    n’akamwa kange kanaakutenderezanga.
16 (P)Tosanyukira ssaddaaka, nandigikuleetedde;
    n’ebiweebwayo ebyokebwa tobisanyukira.
17 (Q)Ssaddaaka Katonda gy’ayagala gwe mwoyo ogutegedde okusobya kwagwo.
    Omutima ogumenyese era oguboneredde,
    Ayi Katonda, toogugayenga.

18 (R)Okulaakulanye Sayuuni nga bw’osiima.
    Yerusaalemi okizzeeko bbugwe waakyo.
19 (S)Olyoke osanyukire ssaddaaka ey’obutuukirivu,
    ebiweebwayo ebyokebwa ebikusanyusa;
    n’ente ziweebweyo ku kyoto kyo.

Engero 10:31-32

31 (A)Akamwa k’omutuukirivu koogera eby’amagezi,
    naye olulimi olwogera eby’obubambavu lulisalibwamu.

32 (B)Emimwa gy’omutuukirivu gyogera ebisaanidde;
    naye emimwa gy’omukozi w’ebibi gyogera eby’obubambavu.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.