Bible in 90 Days
19 (A)Bannumba mu nnaku yange
naye Mukama n’ampanirira.
20 (B)Yandeeta mu kifo ekigazi;
yandokola kubanga yansanyukira.
21 (C)“Mukama yampa empeera yange ng’obutuukirivu bwange bwe bwali;
n’ansasula ng’obulongoofu bwe ngalo zange bwe buli.
22 (D)Ntambulidde mu kkubo lya Mukama,
era sivanga ku Katonda wange okukola ebitali bya butuukirivu.
23 (E)Amateeka ge gonna gaali mu maaso gange,
era ssaava ku biragiro bye.
24 (F)Sizzanga na musango mu maaso ge,
era neekuumye eri obutali butuukirivu.
25 (G)Mukama kyavudde ansasula ng’obutuukirivu bwange bwe buli,
era ng’obulongoofu bwange bwe buli mu maaso ge.
26 “Eri abeesigwa weeraga okuba omwesigwa;
n’eri abatalina musango ne weeraga obutaba na musango;
27 (H)eri omulongoofu weeraga okuba omulongoofu
n’eri omukujjukujju ne weeraga okuba omukujjukujju okumusinga.
28 (I)Olokola abantu abawombeefu,
naye amaaso go ganoonya ab’amalala n’obakkakkanya.
29 (J)Oli ttaala yange, Ayi Mukama
era Mukama wange yammulisiza mu nzikiza yange.
30 Ku lulwe mpangula eggye,
era ku lwa Katonda wange mbuuka bbugwe.
31 (K)Ekkubo lya Katonda golokofu,
n’ekigambo kye kituukirira;
era ngabo eri abo bonna
abaddukira gy’ali.
32 (L)Kubanga ani Katonda wabula Mukama,
era ani lwazi okuggyako Katonda waffe?
33 Katonda kye kiddukiro kyange,
era alongoosa ekkubo lyange.
34 (M)Ebigere byange abifuula okuba ng’eby’ennangaazi,
era ampanirira mu bifo ebya waggulu.
35 (N)Anteekateeka okulwana entalo,
era n’ansobozesa okulasa obusaale obw’ebikomo.
36 (O)Ompadde engabo ey’obulokozi bwo,
ne weefeebya ne wessa wansi olyoke onfuule ow’ekitiibwa.
37 (P)Ogaziyizza ekkubo mwe mpita,
n’obukongovvule bwange tebukoonagana.
38 “Nagoba abalabe bange ne mbazikiriza,
so saakyuka kudda mabega okutuusa lwe baamalibwawo.
39 (Q)Na babetentera ddala ne batayinza kuyimuka,
era bali wansi w’ebigere byange.
40 (R)Wampa amaanyi okulwana entalo,
n’oteeka abo abanjigganya wansi wange.
41 (S)Waleetera abalabe bange okunziruka,
ne nsanyaawo abo abankyawa.
42 (T)Baalindirira okuyambibwa naye ne wataba n’omu ababeera,
ne bakaabira Mukama, naye n’atabaanukula.
43 (U)Nabasekulasekula ne bafuuka ng’enfuufu ey’oku nsi,
ne mbabetenta, ne mbalinnyirira ne bafuuka ng’ebitosi eby’omu nguudo.
44 (V)“Ondokodde mu nnumbagana ez’abantu bange,
n’onfuula omukulu w’amawanga;
abantu be saamanya be bampeereza.
45 (W)Bannaggwanga bajja gye ndi nga beegayirira,
bwe bawulira eddoboozi lyange ne baŋŋondera.
46 (X)Bonna baggwaamu omwoyo,
ne bajja nga bakankana okuva gye beekwese.
47 (Y)“Mukama mulamu! Olwazi lwange yeebazibwe.
Agulumizibwe Katonda wange, olwazi lwange, era obulokozi bwange.
48 (Z)Oyo ye Katonda ampalanira eggwanga,
era ateeka amawanga wansi wange;
49 (AA)anziggya mu balabe bange.
Wangulumiza okusinga abalabe bange,
n’ondokola okuva mu basajja abakambwe.
50 (AB)Kyenaava nkutenderezanga, Ayi Mukama Katonda, mu mawanga gonna,
era nnaayimbanga nga ntendereza erinnya lyo.
51 (AC)Kabaka we amuwadde obuwanguzi obw’amaanyi,
era alaze okwagala okutayogerekeka eri oyo gwe yafukako amafuta,
eri Dawudi n’ezzadde lye emirembe gyonna.”
Ebigambo ebya Dawudi eby’Enkomerero
23 (AD)Bino bye bigambo ebya Dawudi, mutabani wa Yese, eby’enkomerero:
ebigambo eby’omusajja eyagulumizibwa,
Ali Waggulu ennyo,
Katonda wa Yakobo gwe yafukako amafuta,
omuyimbi wa Zabbuli za Isirayiri:
2 (AE)“Omwoyo wa Mukama yayogerera mu nze,
ekigambo kye kyali mu kamwa kange.
3 (AF)Katonda wa Isirayiri yayogera,
olwazi lwa Isirayiri yaŋŋamba nti,
‘Omuntu bw’afuga n’obutuukirivu,
n’afugira mu kutya Katonda,
4 (AG)ali ng’ekitangaala eky’oku makya,
enjuba ng’evaayo ku ggulu nga tekuli bire,
obudde nga butangaala oluvannyuma lw’enkuba okukya
ereetera omuddo okuvaayo mu ttaka.’
5 (AH)Ennyumba yange tetuukiridde mu maaso ga Katonda?
Teyalagaana nange endagaano ey’enkalakkalira,
n’agiteekateeka era n’aginyweza mu buli nsonga?
Ekimulobera okumpa omukisa,
n’okuddamu buli kye mmusaba, kiki?
6 (AI)Naye abatatya Katonda baliba nga amaggwa agasuulibwa wa bbali,
kizibu okugakwata n’engalo.
7 Buli agakwatako kimugwanira okukozesa ekyuma
oba olunyago lw’effumu,
era gookerwa awo omuliro we bagakuŋŋaanyirizza.”
Abasajja ba Dawudi ab’Amaanyi
8 Gano ge mannya ag’abasajja ba Dawudi abalwanyi ab’amaanyi be yalina: Yosebu-Basusebesi Omutakemoni eyali omukulu wa bazira abasatu ab’oku ntikko; yatta abasajja lunaana mu lulumbagana lumu.
9 (AJ)Eyamuddiriranga ye yali Eriyazaali mutabani wa Dodayi Omwakowa. Yali ne Dawudi bwe baasoomooza Abafirisuuti abaali bakuŋŋaanye okulwana. Abasajja ba Isirayiri baali bazze ennyuma, 10 naye ye nayimirira ku bubwe n’atta Abafirisuuti, n’omukono gwe ne gukoowa, ne gusanyalalira ku kitala. Mukama n’abawa obuwanguzi obw’amaanyi olunaku olwo, abaserikale ne baddayo eri Eriyazaali okunyaga ebintu byabo abattibwa.
11 Owookusatu ye yali Samma mutabani wa Agee Omukalali. Abafirisuuti bwe baakuŋŋaanira mu musiri ogw’ebijanjaalo, abasajja ba Isirayiri ne babadduka, 12 Samma yayimirira wakati mu musiri, n’agulwanirira, era n’atta Abafirisuuti. Mukama n’awa Abayisirayiri obuwanguzi obw’amaanyi.
13 (AK)Mu kiseera eky’okukungula, basatu ku bakungu amakumi asatu ne bagenda eri Dawudi mu mpuku eya Adulamu, ekibinja ky’Abafirisuuti nga basiisidde mu kiwonvu Lefayimu. 14 (AL)Mu kiseera ekyo Dawudi yali mu kigo, n’olusiisira lw’Abafirisuuti nga luli mu Besirekemu. 15 Dawudi n’alumwa ennyonta, n’ayogera nti, “Waliwo omuntu ayinza okunsenera amazzi okuva mu luzzi oluliraanye wankaaki wa Besirekemu?” 16 (AM)Awo abasajja be abazira abasatu ne bawaguza mu nkambi ey’Abafirisuuti, ne basena amazzi okuva mu luzzi lwa Besirekemu olwali luliraanye wankaaki, ne bagatwalira Dawudi. 17 (AN)Naye mu kifo eky’okuganywa n’agayiwayo eri Mukama. N’ayogera nti, “Kikafuuwe, Ayi Mukama Katonda, nze okukola ekyo. Nnyinza ntya okunywa omusaayi ogw’abasajja abawaddeyo obulamu bwabwe?” Bw’atyo n’ataganywa.
Ebyo bye bimu ku bintu abasajja abo abasatu abazira bye baakola.
18 (AO)Waaliwo ne Abisaayi muganda wa Yowaabu, mutabani wa Zeruyiya, naye nga mukulu w’abasajja amakumi asatu. Yayimusiza effumu lye eri abasajja ebikumi bisatu n’abatta, ne yeekolera erinnya okwenkanankana abasatu. 19 N’aba wa kitiibwa nnyo mu bali amakumi asatu newaakubadde nga teyatuuka ku ssa ery’abali abasatu.
20 (AP)Ne Benaya mutabani wa Yekoyaada ow’e Kabuzeeri yali musajja mulwanyi nnyo eyakola ebyobuzira ebikulu. Yatta babiri ku basajja abazira aba Mowaabu, ate n’aserengeta ne mu bunnya n’atta empologoma mu kiseera eky’obutiti. 21 N’atta Omumisiri omunene ennyo. Newaakubadde ng’Omumisiri yalina effumu mu mukono gwe, Benaya ye ng’alina muggo; yamunyagako effumu lye, n’alimuttisa. 22 Ebyo bye byobuzira Benaya mutabani wa Yekoyaada bye yakola, era naye n’ayatiikirira ng’abasajja bali abasatu abazira. 23 N’aweebwa ekitiibwa mu makumi asatu, newaakubadde nga teyatuuka ku ssa ery’abasatu. Dawudi n’amufuula omukulu w’abambowa.
24 (AQ)Mu makumi asatu mwe mwali:
Asakeri muganda wa Yowaabu,
Erukanani mutabani wa Dodo ow’e Besirekemu,
25 (AR)Samma Omukalodi,
Erika Omukalodi,
26 (AS)Kerezi Omupaluti,
Ira mutabani wa Ikkesi Omutekowa,
27 (AT)Abiyezeeri Omwanasosi,
Mebunnayi Omukusasi,
28 (AU)Zalumoni Omwakowa,
Makalayi Omunetofa,
29 (AV)Kerebu mutabani wa Baana Omunetofa,
Ittayi mutabani wa Libayi ow’e Gibea eky’e Benyamini,
30 (AW)Benaya Omupirasoni,
Kiddayi ow’oku bugga obw’e Gaasi,
31 (AX)Abi-Aluboni Omwalubasi,
ne Azumavesi Omubalukumi,
32 ne Eriyaba Omusaaluboni,
batabani ba Yaseni, Yonasaani,
33 ne Samma Omukalali,
Akiyamu mutabani wa Salali Omwalali,
34 (AY)Erifereti mutabani wa Akasubayi Omumaakasi,
Eriyaamu mutabani wa Akisoferi Omugiro,
35 (AZ)Kezulo Omukalumeeri,
Paalayi Omwalubi,
36 (BA)Igali mutabani wa Nasani ow’e Zoba,
Bani Omugaadi,
37 Zereki Omwamoni,
Nakalayi Omubeerosi, eyasitulanga ebyokulwanyisa bya Yowaabu mutabani wa Zeruyiya,
38 (BB)Ira Omuyisuli,
Galebu Omuyisuli,
39 (BC)ne Uliya Omukiiti.
Bonna awamu baali amakumi asatu mu musanvu.
Dawudi Abala Eggye
24 (BD)Awo Mukama n’asunguwalira Isirayiri nate, n’aleetera Dawudi okubabala. Dawudi n’alagira nti, “Genda obale Isirayiri ne Yuda.”
2 (BE)Kabaka n’alagira Yowaabu n’abaduumizi ab’eggye nti, “Mugende mu bika byonna ebya Isirayiri okuva e Ddaani okutuuka e Beeruseba mubale abantu, ntegeere omuwendo gwabwe.”
3 (BF)Naye Yowaabu n’addamu kabaka nti, “Mukama Katonda wo ayongere ku bantu bo emirundi kikumi n’okusingawo, nga mukama wange kabaka akyali mulamu. Naye kiki ekikukoza ekintu bwe kityo mukama wange kabaka?”
4 Naye ekigambo kya kabaka ne kisinga amaanyi ebigambo bya Yowaabu n’abaduumizi b’eggye, era ne bava mu maaso ga kabaka ne batanula okubala abantu ba Isirayiri.
5 (BG)Oluvannyuma olw’okusomoka Yoludaani, ne basiisira okumpi ne Aloweri ku luuyi olw’obukiikaddyo olw’ekibuga mu kiwonvu, ne bayitira mu Gaadi okutuuka e Yazeri. 6 (BH)Ne bagenda e Gireyaadi ne mu kitundu kya Tatimukodusi, ne batuuka e Ddaani-Yaani ne beebungulula ne baggukira e Sidoni. 7 (BI)Ne bagenda ku kigo eky’e Ttuulo ne mu bibuga byonna eby’Abakiivi[a] n’eby’Abakanani, ne bakomekkereza omulimu gwabwe e Beeruseba mu bukiikaddyo obwa Yuda.
8 Awo oluvannyuma olw’okuyitaayita mu nsi yonna omulimu nga bagukoledde emyezi mwenda n’ennaku amakumi abiri, ne baddayo e Yerusaalemi. 9 (BJ)Yowaabu n’awaayo omuwendo gw’abantu bonna eri kabaka. Mu Isirayiri mwaweramu abasajja abalwanyi emitwalo kinaana, ne mu Yuda ne muweramu abasajja abalwanyi emitwalo amakumi ataano. 10 (BK)Naye Dawudi n’akeŋŋeentererwa emmeeme olw’ekikolwa ekyo eky’okubala abantu. N’agamba Mukama nti, “Nnyonoonye nnyo olw’ekyo kye nkoze. Kaakano, Ayi Mukama Katonda nziggyako omusango guno omuddu wo gw’azizza, kubanga nkoze eky’obusirusiru.”
11 (BL)Awo mu kiro ekigambo kya Mukama Katonda ne kijjira nnabbi Gaadi, omulabi wa Dawudi nti, 12 “Genda otegeeze Dawudi nti, ‘Bw’atyo bw’ayogera Mukama Katonda nti: ku bino ebisatu londawo ekimu kye nnaakukola.’ ”
13 (BM)Gaadi n’agenda eri Dawudi n’amugamba nti, “Ndireeta enjala mu nsi okumala emyaka musanvu? Oba, ndikuddusa mu maaso g’abalabe bo okumala emyezi esatu, nga bakugoba? Oba, walibaawo ennaku ssatu eza kawumpuli mu nsi yo? Kirowoozeeko, ontegeeze ky’onoosalawo, nzizeeyo obubaka eri oyo antumye.”
14 (BN)Awo Dawudi n’agamba Gaadi nti, “Nsobeddwa nnyo; wakiri tugwe mu mukono gwa Mukama Katonda, kubanga okusaasira kwe kungi; okusinga okugwa mu mikono gy’abantu.”
15 (BO)Awo Mukama Katonda n’aweereza kawumpuli ku Isirayiri okuva ku makya okwo okumala ekiseera Mukama kye yateekateeka, abantu emitwalo musanvu ne bafa okuva mu bitundu ebya Ddaani okutuuka e Beeruseba. 16 (BP)Malayika bwe yagolola omukono gwe eri Yerusaalemi okukizikiriza, Mukama ne yejjusa olw’ekikolwa ekyo, n’agamba malayika eyabonereza abantu nti, “Kinaamala, toyoongera nate.” Olwo malayika wa Mukama Katonda yali atuuse ku gguuliro lya Alawuna Omuyebusi.
17 (BQ)Awo Dawudi bwe yalaba malayika wa Mukama Katonda eyabonereza abantu, n’ayogera nti, “Nze nnyonoonye era nze nkoze eby’ekyejo, naye endiga zino, tezirina kye zikoze. Nkwegayiridde, omukono gwo ka gubonereze nze n’ennyumba ya kitange.”
Dawudi Azimbira Mukama Ekyoto
18 Ku lunaku olwo Gaadi n’agenda eri Dawudi n’amugamba nti, “Yambuka ozimbire Mukama Katonda ekyoto ku gguuliro[b] lya Alawuna Omuyebusi.” 19 Awo Dawudi n’agondera ebiragiro bya Mukama Katonda bye yayisa mu Gaadi, n’ayambuka ku gguuliro. 20 Alawuna n’alengera kabaka n’abasajja be nga bajja gy’ali, n’afuluma n’avuunama mu maaso ga kabaka, ne yeeyala wansi.
21 (BR)Alawuna n’abuuza nti, “Kiki ekireese mukama wange kabaka eri omuddu we?” Dawudi n’addamu nti, “Nzize okugula egguuliro lyo, nzimbire Mukama ekyoto, kawumpuli aleke okubuna mu bantu.”
22 (BS)Alawuna n’agamba Dawudi nti, “Mukama wange kabaka atwale kyonna ky’anaasiima akiweeyo. Ente ziizo ez’ekiweebwayo ekyokebwa, n’ebintu ebiwuula n’ebikoligo by’ente byonna mbiwaddeyo okuba enku. 23 (BT)Ebyo byonna, Alawuna abiwaddeyo eri kabaka.” Alawuna n’ayongerako nti, “Olabe ekisa mu maaso ga Mukama Katonda wo.”
24 (BU)Naye kabaka n’agamba Alawuna nti, “Nedda, nzija kulisasulira[c]. Sijja kuwaayo ssaddaaka ez’ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama Katonda wange, nga sisasulidde muwendo.”
Awo Dawudi n’asasulira egguuliro n’ente, omuwendo ogw’enkana effeeza, gulaamu lukaaga. 25 (BV)Dawudi n’azimbira Mukama ekyoto n’awaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’emirembe. Olwo Mukama Katonda n’ayanukula okusaba kwe ku lw’ensi, kawumpuli n’ava ku Isirayiri.
Adoniya yeefuula Kabaka
1 Awo kabaka Dawudi bwe yali akaddiye nnyo, nga ne bwe bamubikka takyabuguma, 2 abaweereza be ne bamuwa ekirowoozo nti, “Banoonyeze mukama waffe kabaka, omuwala embeerera ayimirirenga mu maaso ga kabaka era amuweerezenga; era agalamirenga mu kifuba kya mukama waffe kabaka amubugumyenga.” 3 (BW)Awo ne banoonya okubuna ensalo zonna eza Isirayiri omuwala omulungi, ne bazuula Abisaagi Omusunammu, ne bamuleetera kabaka. 4 Omuwala oyo yali mulungi nnyo; n’ajjanjabanga kabaka era n’amuweerezanga, naye kabaka teyamumanya.
5 (BX)Awo Adoniya[d] mutabani wa Dawudi gwe yazaala mu Kaggisi ne yeegulumiza ng’ayogera nti, “Nze ndiba kabaka.” Ne yeetegekera amagaali n’abeebagala embalaasi, n’abasajja amakumi ataano ab’ebigere okuddukiranga mu maaso ge. 6 (BY)Kitaawe n’atamunenya ku mubuuza nti, “Lwaki weeyisa bw’otyo?” Adoniya yali alabika bulungi nnyo, nga y’adda ku Abusaalomu.
7 (BZ)Adoniya yateesa ne Yowaabu mutabani wa Zeruyiya[e] ne Abiyasaali kabona, ne baamuwagira. 8 (CA)Naye Zadooki kabona, ne Benaya mutabani wa Yekoyaada, ne Nasani nnabbi, ne Simeeyi, ne Leeyi, n’abasajja ba Dawudi ab’amaanyi abalala tebaali ku ludda lwa Adoniya.
9 (CB)Adoniya n’attira endiga n’ente n’ebyassava awali ejjinja Zokeresi eririraanye Enerogeri, n’ayita baganda be bonna, abaana ba kabaka, n’abakungu bonna aba Yuda, 10 (CC)naye n’atayita Sulemaani muganda we wadde Nasani nnabbi, newaakubadde Benaya, newaakubadde abasajja ba Dawudi ab’amaanyi abalala.
11 (CD)Awo Nasani n’agenda eri Basuseba nnyina Sulemaani n’amugamba nti, “Towulidde nga Adoniya mutabani wa Kaggisi alidde obwakabaka, Dawudi mukama waffe nga takimanyi? 12 (CE)Kale nno kankuwe amagezi, owonye obulamu bwo n’obwa mutabani wo Sulemaani. 13 (CF)Genda eri Kabaka Dawudi, omugambe nti, ‘Mukama wange Kabaka, tewalayirira muzaana wo nti, Sulemaani mutabani wo y’alirya obwakabaka oluvannyuma lwange, era y’alituula ku ntebe yange ey’obwakabaka? Kale lwaki Adoniya alidde obwakabaka?’ 14 Laba bw’onooba ng’okyayogera ne kabaka, nange nnaayingira ne nkakasa ebigambo byo.”
15 (CG)Awo Basuseba n’agenda eri Kabaka, mu kisenge kye, era Kabaka yali mukadde nnyo nga Abisaagi Omusunammu amuweereza. 16 Basuseba n’akka n’afukamirira kabaka.
Kabaka n’amubuuza nti, “Nkukolere ki?”
17 (CH)N’amuddamu nti, “Mukama wange, ggwe walayirira omuzaana wo eri Mukama Katonda wo nti, ‘Sulemaani mutabani wo y’alirya obwakabaka oluvannyuma lwange, era y’alituula ku ntebe yange ey’obwakabaka.’ 18 Naye kaakano Adoniya alidde obwakabaka, newaakubadde mukama wange kabaka, tokimanyi. 19 (CI)Asse ente, n’ebyassava n’endiga nnyingi, era ayise abaana ba kabaka bonna, ne Abiyasaali kabona, ne Yowaabu omukulu w’eggye, naye Sulemaani omuddu wo tamuyise. 20 Kaakano mukama wange kabaka, amaaso ga Isirayiri gatunuulidde gwe, okubategeeza anaatuula ku ntebe y’obwakabaka eya mukama wange kabaka, oluvannyuma lwe. 21 (CJ)Bw’otookole bw’otyo, awo olulituuka, mukama wange kabaka bw’olyebakira awamu ne bajjajjaabo, nze ne mutabani wange Sulemaani tuliyitibwa babi.”
22 Awo bwe yali akyayogera ne kabaka, Nasani nnabbi n’ayingira. 23 Ne babuulira kabaka nti, “Nasani nnabbi ali wano.” Awo n’ayingira mu maaso ga kabaka, era n’avuunama amaaso ge mu maaso ga kabaka.
24 Nasani n’ayogera nti, “Mukama wange, wagamba nti Adoniya y’alirya obwakabaka oluvannyuma lwo, era y’alituula ku ntebe yo? 25 Olwa leero aserengese, era asse ente, n’ebyassava n’endiga nnyingi, era ayise abaana ba kabaka bonna n’abakulu b’eggye ne Abiyasaali kabona. Mu kiseera kino balya era banywera wamu naye, nga boogera nti, ‘Kabaka Adoniya awangaale!’ 26 (CK)Naye nze omuddu wo, ne Zadooki kabona, ne Benaya mutabani wa Yekoyaada n’omuddu wo Sulemaani, tatuyise. 27 Kino mukama wange kabaka, okikoze n’ototegeeza baweereza bo alituula ku ntebe ya mukama wange kabaka ey’obwakabaka, oluvannyuma lwe?”
28 Awo Kabaka Dawudi n’addamu nti, “Muyite Basuseba.” Basuseba n’ajja awali kabaka n’ayimirira mu maaso ge.
29 (CL)Awo kabaka n’alayira ng’ayogera nti, “Nga Mukama bw’ali omulamu eyannunula mu buli kabi konna; 30 (CM)era nga bwe nakulayirira mu maaso ga Mukama, Katonda wa Isirayiri, Sulemaani mutabani wo y’alirya obwakabaka oluvannyuma lwange, era y’alituula ku ntebe yange ey’obwakabaka mu kifo kyange.”
31 Awo Basuseba n’avuunama ku ttaka mu maaso ga kabaka ng’agamba nti, “Mukama wange Kabaka Dawudi awangaale emirembe gyonna!” 32 Kabaka Dawudi n’ayogera nti, “Muyite Zadooki kabona, ne Nasani nnabbi ne Benaya mutabani wa Yekoyaada bayingire.” Bwe bajja mu maaso ga kabaka, 33 (CN)n’abagamba nti, “Mutwale abaweereza[f] ba mukama wammwe, mwebagaze Sulemaani mutabani wange ennyumbu yange, mumuserengese e Gikoni. 34 (CO)Zadooki kabona ne Nasani nnabbi bamufukireko eyo amafuta okuba kabaka wa Isirayiri. Mufuuwe ekkondeere era muleekaane nti, ‘Kabaka Sulemaani awangaale.’ 35 Mwambuke naye, atuule ku ntebe yange ey’obwakabaka era afuge mu kifo kyange. Mmufudde omukulembeze wa Isirayiri ne Yuda.”
36 Benaya mutabani wa Yekoyaada n’addamu kabaka nti, “Amiina! Mukama Katonda wa mukama wange kabaka akituukirize. 37 (CP)Mukama nga bwe yabeeranga ne mukama wange kabaka, abeere ne Sulemaani okufuula entebe ye ey’obwakabaka ey’ekitiibwa n’okusinga entebe ey’obwakabaka eya mukama wange Kabaka Dawudi!”
38 (CQ)Awo Zadooki kabona, ne Nasani nnabbi ne Benaya mutabani wa Yekoyaada, n’Abakeresi n’Abaperesi[g] ne beebagaza Sulemaani ennyumbu ya Kabaka Dawudi, ne baserengeta nga bamuwerekera okugenda e Gikoni. 39 (CR)Zadooki kabona n’aggya ejjembe ery’amafuta mu weema,[h] n’afuka amafuta ku Sulemaani. Awo ne bafuuwa ekkondeere, abantu bonna ne baleekaana mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Kabaka Sulemaani awangaale.” 40 Abantu bonna ne bambuka okumugoberera nga bafuuwa endere, era nga basanyuka essanyu lingi, ettaka n’okwatika ne lyatika olw’oluyoogaano olunene.
41 Adoniya n’abagenyi be bonna ne bawulira oluyoogaano bwe baali nga bamaliriza okulya. Yowaabu bwe yawulira eddoboozi ly’ekkondeere, n’abuuza nti, “Ekibuga nga kiyoogaana?” 42 (CS)Awo bwe yali ng’akyayogera laba, Yonasaani mutabani wa Abiyasaali kabona n’atuuka. Adoniya n’ayogera nti, “Yingira kubanga omusajja omulungi nga ggwe ateekwa kuba ng’aleese mawulire malungi.”
43 Yonasaani n’addamu nti, “Nedda. Mukama waffe Kabaka Dawudi, obwakabaka abuwadde Sulemaani, 44 era kabaka atumye Zadooki kabona, ne Nasani nnabbi, ne Benaya mutabani wa Yekoyaada, n’Abakeresi n’Abaperesi, okugenda naye nga bamwebagazza ennyumbu ya kabaka. 45 (CT)Zadooki kabona ne Nasani nnabbi bamufukiddeko amafuta e Gikoni, era bambuse okuvaayo nga bajaguza, n’ekibuga kiwuumira ddala. Okwo kwe kuleekaana kwe muwulira. 46 Kaakano Sulemaani atudde ku ntebe ey’obwakabaka. 47 (CU)N’abakungu ba kabaka bazze okusanyukirako mukama waffe Kabaka Dawudi, nga boogera nti, ‘Katonda wo afuule erinnya lya Sulemaani ekkulu n’okusinga eriryo era n’entebe ye ey’obwakabaka enkulu n’okusinga eyiyo!’ Era Kabaka akutamye ng’asinza ku kitanda kye, 48 (CV)n’agamba nti, ‘Yeebazibwe Mukama, Katonda wa Isirayiri, akkirizza amaaso gange okulaba omusika ku ntebe yange ey’obwakabaka leero.’ ”
49 Abagenyi ba Adoniya bonna olwawulira ebyo ne beekanga nnyo, ne basituka ne basaasaana. 50 (CW)Adoniya n’aggwaamu amaanyi olwa Sulemaani okulya obwakabaka, era n’agenda ne yeekwata ku mayembe g’ekyoto. 51 Awo ne babuulira Sulemaani nti, “Adoniya atidde kabaka Sulemaani era yeekutte ku mayembe g’ekyoto. Agambye nti, ‘Kabaka Sulemaani andayirire leero nti tajja kutta muddu we n’ekitala.’ ”
52 (CX)Sulemaani n’addamu nti, “Bw’alyeraga okuba omusajja omulungi, tewaliba luviiri lwe na lumu oluligwa wansi; naye bw’alirabikamu ekibi, alifa.” 53 Awo Kabaka Sulemaani n’atuma abasajja, ne baggya Adoniya ku kyoto. N’ajja n’avuunamira kabaka Sulemaani, Sulemaani n’amugamba nti, “Weddireyo ewuwo.”
Dawudi Abuulirira Sulemaani
2 (CY)Dawudi bwe yali anaatera okufa, n’abuulirira mutabani we Sulemaani ng’amukuutira nti, 2 (CZ)“Nze ŋŋenda bonna ab’omu nsi gye bagenda, kale beera n’amaanyi era n’obuvumu, 3 (DA)era tambuliranga mu makubo ga Mukama Katonda wo ng’okwatanga ebiragiro bye, era okwatenga amateeka ge, n’ebiragiro bye n’ebyo by’ayagala, nga bwe byawandiikibwa mu mateeka ga Musa, olyoke obeerenga n’omukisa mu byonna by’onookolanga na buli gy’onoogendanga yonna. 4 (DB)Mukama anyweze ekisuubizo kye gye ndi nti, ‘Abaana bo bwe baneegenderezanga mu kkubo lyabwe, era bwe banaatambuliranga mu maaso gange mu mazima n’omutima gwabwe gwonna n’emmeeme yaabwe yonna, tewalibaawo muntu ku ntebe ey’obwakabaka bwa Isirayiri atali wa mu zzadde lyo.’
5 (DC)“Ate ojjukiranga Yowaabu mutabani wa Zeruyiya kye yankola, bwe yatta abakulu ababiri ab’eggye lya Isirayiri, Abuneeri mutabani wa Neeri ne Amasa mutabani wa Yeseri n’ayiwa omusaayi gwabwe mu biseera eby’emirembe ng’eyali mu lutalo, era omusaayi gwabwe ne gumansukira olukoba lwe olwali mu kiwato n’engatto ze ezaali mu bigere bye. 6 (DD)Kale muyise ng’okutegeera kwo bwe kuli, so tomuganyanga kukka emagombe mirembe mu bukadde bwe.
7 (DE)“Naye batabani ba Baluzirayi Omugireyaadi obakoleranga ebyekisa, era babenga ku abo abanaatuulanga ku mmeeza yo, kubanga baali wamu nange bwe nadduka Abusaalomu muganda wo.
8 (DF)“Era jjukira Simeeyi mutabani wa Gera Omubenyamini ow’e Bakulimu ali naawe, kubanga yankolimira mu ngeri enzibu ennyo, ku lunaku lwe nagenderako e Makanayimu. Kyokka bwe yaserengeta okunsisinkana ku Yoludaani ne mulayirira Mukama nti, ‘Sijja kukutta na kitala.’ 9 (DG)Kaakano tomubala ng’ataliiko musango. Oli musajja w’amagezi, era olimanya ekirikugwanira okumukola; tomuganyanga okukka emagombe mu mirembe mu bukadde bwe.”
10 (DH)Awo Dawudi ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe, n’aziikibwa mu kibuga kya Dawudi. 11 (DI)Yafugira Isirayiri yonna emyaka amakumi ana, ng’afugira emyaka musanvu e Kebbulooni, n’emyaka amakumi asatu mu esatu e Yerusaalemi. 12 (DJ)Awo Sulemaani n’atuula ku ntebe ey’obwakabaka bwa Dawudi kitaawe, obwakabaka bwe ne bunywezebwa nnyo.
Obwakabaka bwa Sulemaani Bunywezebwa
13 (DK)Adoniya omwana wa Kaggisi, n’alaga eri Basuseba nnyina Sulemaani. Basuseba n’amubuuza nti, “Ojja mirembe?” N’addamu nti, “Weewaawo mirembe.” 14 N’ayogera nate nti, “Nnina kye njagala okukubuulira.” Basuseba n’amuddamu nti, “Kimbuulire.” 15 Adoniya n’amugamba nti, “Nga bw’omanyi, obwakabaka bwali bwange, era ne Isirayiri yenna baatunuulira nze nga kabaka waabwe. Naye ebintu byakyuka, era n’obwakabaka bugenze eri muganda wange, kubanga bumuweereddwa Mukama. 16 Kaakano nkusaba ekigambo kimu, era tokinnyima.” Basuseba n’amugamba nti, “Kyogere.”
17 (DL)Adoniya n’ayogera nti, “Nkwegayiridde gamba Sulemaani kabaka ampe Abisaagi Omusunammu okuba mukyala wange, kubanga kabaka anaakuwuliriza.”
18 Basuseba n’addamu nti, “Kale, nnaakwogererayo eri Kabaka.”
19 (DM)Awo Basuseba bwe yagenda eri Kabaka Sulemaani, okwogererayo Adoniya, Kabaka n’agolokoka okumusisinkana, n’akutama n’oluvannyuma n’atuula ku ntebe ye ey’obwakabaka. N’atumya entebe ey’obwakabaka endala nnyina atuuleko[i], n’atuula ku mukono gwa kabaka ogwa ddyo.
20 Basuseba n’amugamba nti, “Nkusaba ekigambo kimu ekitono, era tokinnyima.”
Kabaka n’amuddamu nti, “Kisabe, maama, nange siikikumme.” 21 (DN)N’ayogera nti, “Kkiriza Abisaagi Omusunammu afumbirwe muganda wo Adoniya.”
22 (DO)Kabaka Sulemaani n’addamu nnyina nti, “Lwaki osabira Adoniya, Abisaagi Omusunammu? Musabire n’obwakabaka, ate obanga ye mukulu wange; ky’ekyo, sabira ye, ne Abiyasaali kabona ne Yowaabu mutabani wa Zeruyiya!”
23 (DP)Awo Kabaka Sulemaani n’alayira ng’agamba nti, “Katonda ankole bw’atyo n’okusingawo, Adoniya bw’atasasule n’obulamu bwe olw’ekyo ky’asabye! 24 (DQ)Kale nga Mukama bw’ali omulamu, oyo annywezezza ku ntebe ey’obwakabaka eya kitange Dawudi, era ampadde olulyo nga bwe yasuubiza, Adoniya anattibwa leero!” 25 (DR)Awo Kabaka Sulemaani n’alagira Benaya mutabani wa Yekoyaada okutta Adoniya, era Adoniya n’attibwa.
26 (DS)Kabaka n’agamba Abiyasaali kabona nti, “Ggwe genda e Anasosi mu byalo byo. Osaanidde okufa, naye siikutte mu biro bino, kubanga wasitulanga essanduuko ya Mukama mu maaso ga kitange Dawudi, era n’obonyaabonyezebwa wamu naye mu bibonoobono bye.” 27 (DT)Awo Sulemaani n’agoba Abiyasaali[j] ku bwakabona bwa Mukama, okutuukiriza ekigambo Mukama kye yayogerera e Siiro ku nnyumba ya Eri.
28 (DU)Amawulire bwe gaatuuka eri Yowaabu, eyali akyuse okugoberera Adoniya, newaakubadde nga teyagoberera Abusaalomu, n’addukira mu weema ya Mukama, n’akwata ku mayembe g’ekyoto. 29 (DV)Bwe baategeeza kabaka Sulemaani nti Yowaabu addukidde mu weema ya Mukama, era nti ali ku kyoto, n’alagira Benaya mutabani wa Yekoyaada nti, “Genda omutte.”
30 (DW)Benaya n’agenda mu weema ya Mukama, n’agamba Yowaabu nti, “Kabaka akulagidde okufuluma.” Naye ye n’addamu nti, “Nedda, nzija kufiira wano.” Benaya n’azzaayo obubaka eri kabaka, nga Yowaabu bwe yamuddamu. 31 (DX)Awo kabaka n’alagira Benaya nti, “Kola nga bw’ayogedde, omutte era omuziike oggyewo omusango ku nze ne ku nnyumba ya kitange olw’omusaayi Yowaabu gwe yayiwa awatali nsonga. 32 (DY)Era Mukama alimusasula olw’omusaayi gwe yayiwa, kubanga yagwa ku basajja babiri n’abatta n’ekitala, Abuneeri mutabani wa Neeri, omukulu w’eggye lya Isirayiri, ne Amasa mutabani wa Yeseri, omukulu w’eggye lya Yuda, kitange Dawudi n’atakimanya, ate nga baali bamusinga obutuukirivu n’obulungi. 33 Bwe gutyo omusango gw’omusaayi gwabwe gubeere ku mutwe gwa Yowaabu ne ku zzadde lye emirembe gyonna. Naye ku Dawudi ne ku zzadde lye, era ne ku nnyumba ye ne ku ntebe ye ey’obwakabaka, wabeerewo emirembe gya Mukama emirembe gyonna.”
34 Awo Benaya mutabani wa Yekoyaada n’ayambuka n’atta Yowaabu, n’aziikibwa mu ttaka lye[k] mu ddungu. 35 (DZ)Awo kabaka n’afuula Benaya mutabani wa Yekoyaada omukulu w’eggye mu kifo kya Yowaabu, n’afuula ne Zadooki kabona mu kifo kya Abiyasaali. 36 (EA)Kabaka n’atumya Simeeyi n’amugamba nti, “Weezimbire ennyumba mu Yerusaalemi obeere omwo, so tovangamu okugenda awantu wonna. 37 (EB)Olunaku lw’olivaayo n’osomoka ekiwonvu Kiduloni, tegeerera ddala nga tolirema kufa, era omusaayi gwo guliba ku mutwe gwo ggwe.”
38 Simeeyi n’addamu Kabaka nti, “Ky’oyogedde kirungi. Omuddu wo ajja kukola nga mukama wange kabaka bw’ayogedde.” Awo Simeeyi n’amala ekiseera kiwanvu mu Yerusaalemi.
39 (EC)Naye bwe waayitawo emyaka esatu, babiri ku baddu ba Simeeyi ne baddukira eri Akisi mutabani wa Maaka kabaka w’e Gaasi[l]. Simeeyi n’ategeezebwa nti, “Abaddu bo bali Gaasi.” 40 Simeeyi olwawulira ebyo, ne yeebagala endogoyi ye n’agenda e Gaasi eri Akisi okunoonya abaddu be. Simeeyi n’agenda okuleeta abaddu be okuva e Gaasi.
41 Bwe baabuulira Sulemaani nti Simeeyi yava e Yerusaalemi n’agenda e Gaasi era n’akomawo, 42 kabaka n’amutumya, n’amubuuza nti, “Saakulayiza Mukama ne nkulabula nti, ‘Tegeerera ddala nga olunaku lw’olivaawo okugenda awantu wonna, olifa?’ N’oŋŋamba nti, ‘Kye njogedde kirungi era nzija kukigondera.’ 43 Kale kiki ekyakulobera okwekuuma ekirayiro kya Mukama n’ekiragiro kye nakulagira?”
44 (ED)Awo kabaka n’agamba Simeeyi nti, “Omanyi mu mutima gwo obubi bwonna bwe wakola Dawudi kitange. Kaakano Mukama alikusasula olw’obubi bwo. 45 (EE)Naye kabaka Sulemaani aliweebwa omukisa, ne ntebe ya Dawudi ey’obwakabaka erinywezebwa mu maaso ga Mukama emirembe gyonna.”
46 (EF)Kabaka n’alagira Benaya mutabani wa Yekoyaada, okutta Simeeyi.
Obwakabaka ne bunywezebwa mu mukono gwa Sulemaani.
Sulemaani Asaba Amagezi
3 (EG)Awo Sulemaani n’akola endagaano ne Falaawo, ye kabaka w’e Misiri era n’awasa muwala we. N’amuleeta mu kibuga kya Dawudi okutuusa lwe yamala okuzimba ennyumba ye n’ennyumba ya Mukama, era ne bbugwe okwetooloola Yerusaalemi. 2 (EH)Kyokka ennyumba ya Mukama yali tenazimbibwa, abantu nga baweerayo ssaddaaka mu bifo eby’enjawulo. 3 (EI)Sulemaani n’ayagala Mukama, ng’atambulira mu mateeka ga Dawudi kitaawe, newaakubadde nga yaweerangayo ssaddaaka era ng’ayotereza n’obubaane ku bifo ebigulumivu.
4 (EJ)Awo kabaka n’agenda e Gibyoni okuweerayo ssaddaaka, kubanga ekyo kye kyali ekifo ekikulu mu byonna, era Sulemaani n’aweerayo ku kyoto ekyo ssaddaaka ezookebwa lukumi. 5 (EK)Mukama n’alabikira Sulemaani ekiro mu kirooto e Gibyoni, Katonda n’amugamba nti, “Saba ky’oyagala kyonna kye mba nkuwa.”
6 (EL)Sulemaani n’addamu nti, “Olaze ekisa kingi eri omuddu wo, Dawudi kitange, kubanga yali mwesigwa gy’oli, era mutuukirivu ate nga mwesimbu gy’oli. Era oyongedde okulaga ekisa kino ekingi gy’ali n’omuwa omwana okutuula ku ntebe ye ey’obwakabaka leero. 7 (EM)Kaakano, Ayi Mukama Katonda wange, ofudde omuddu wo okuba kabaka mu kifo kya Dawudi kitange. Naye ndi mwana muto era simanyi ngeri ya kuddukanyaamu mirimu gyange. 8 (EN)Omuddu wo ali wakati mu bantu bo be walonda, eggwanga ekkulu, eritabalika. 9 (EO)Kale omuddu wo muwe amagezi okufuganga abantu bo, njawulenga ekirungi n’ekibi: kubanga ani ayinza okufuga eggwanga lyo lino ekkulu?”
10 Mukama n’asanyuka kubanga Sulemaani yasaba ekyo. 11 (EP)Katonda n’amugamba nti, “Kubanga osabye kino, so teweesabidde kuwangaala wadde bugagga, oba okufa kw’abalabe bo, naye weesabidde amagezi okwawulanga emisango, 12 (EQ)n’akola ky’osabye. Nzija kukuwa omutima omugezi era omutegeevu, so tewalibeerawo eyali akwenkanye oba alikwenkana. 13 (ER)Era ndikuwa, ne by’otosabye: obugagga n’ekitiibwa waleme kubeerawo kabaka akwenkana mu kiseera kyo. 14 (ES)Era bw’onootambuliranga mu makubo gange, n’okukwatanga amateeka gange n’ebiragiro byange, nga kitaawo Dawudi bwe yakola, ndyongera ku nnaku zo.” 15 (ET)Awo Sulemaani n’azuukuka n’amanya nga kibadde kirooto.
N’akomawo e Yerusaalemi, n’ayimirira mu maaso g’essanduuko ey’endagaano ya Mukama n’awaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’emirembe, era n’agabula abaweereza be ekijjulo.
Sulemaani Asala Omusango Omuzibu
16 Awo abakazi bamalaaya babiri ne bajja eri kabaka, ne bayimirira mu maaso ge. 17 Omu ku bo n’amugamba nti, “Mukama wange, omukazi ono nange tubeera mu nnyumba emu, era nazaala omwana nga naye waali. 18 Bwe waayitawo ennaku ssatu, naye n’azaala omwana we. Twali ffekka, so tewaali muntu n’omu eyali naffe mu nnyumba.
19 “Awo mu kiro omukazi ono, ne yeebakira omwana we n’amutta. 20 N’agolokoka ekiro mu ttumbi n’aggya omwana wange mu mbiriizi zange, nze omuweereza wo nga neebase, n’amuteeka mu kifuba kye, ate n’addira owuwe afudde n’amussa mu kifuba kyange. 21 Awo bwe nagolokoka enkya okuyoonsa omwana wange, nga mufu. Naye bwe n’amwekaliriza amaaso, ne ndaba nga si ye mwana gwe nazaala.”
22 Omukazi oli omulala n’agamba nti, “Nedda! Omulamu ye mwana wange, omufu ye wuwo.”
Naye ow’olubereberye n’aggumiza nti, “Nedda! Omufu ye wuwo, omulamu ye wange.” Ne bawakanira mu maaso ga kabaka.
23 Kabaka n’agamba nti, “Omu agamba nti, ‘Omwana wange ye mulamu, owuwo ye mufu,’ n’omulala agamba nti, ‘Omwana wange ye mulamu, owuwo ye mufu.’ ”
24 Awo kabaka n’agamba nti, “Mundeetere ekitala.” Ne baleetera kabaka ekitala. 25 N’alyoka alagira nti, “Musaleemu omwana omulamu, muwe omu ekitundu n’omulala ekitundu ekirala.”
26 (EU)Nnyina w’omwana omulamu n’ajjula ennaku olw’omwana we, n’agamba kabaka nti, “Nkwegayiridde mukama wange, omwana omulamu mumuwe! Tomutta!” Naye omukazi oli n’agamba nti, “Tajja kuba wange oba wuwo. Mumusalemu!”
27 Awo kabaka n’asalawo ng’agamba nti, “Omwana omulamu mumuwe omukazi ow’olubereberye, so temumutta, kubanga oyo ye nnyina.”
28 (EV)Isirayiri yonna bwe yawulira okusalawo kwa kabaka, ne beewuunya kabaka, kubanga baalaba ng’alina amagezi okuva eri Katonda okulamula ensonga.
Abakungu ba Sulemaani
4 Kabaka Sulemaani n’aba kabaka wa Isirayiri yonna.
2 (EW)Era bano be baali abakungu be:
Azaliya[m] muzzukulu wa Zadooki, yali kabona,
3 (EX)Erikolefu ne Akiya, batabani ba Sisa, baali bawandiisi,
Yekosafaati mutabani wa Akirudi, yali mujjukiza,
4 (EY)Benaya mutabani wa Yekoyaada, yali muduumizi w’eggye omukulu,
Zadooki ne Abiyasaali baali bakabona,
5 Azaliya mutabani wa Nasani, yali mukulu w’abaami,
Zabudi mutabani wa Nasani, yali kabona ate nga ye muwi wa magezi wa kabaka omukulu,
6 Akisaali, yali ssabakaaki wa kabaka;
ne Adoniraamu mutabani wa Abuda, yali mukulu w’abaddu.
7 Sulemaani yalina abakungu kkumi na babiri abaakuliranga Isirayiri yonna, era baavunaanyizibwanga ebyokulya bya kabaka n’ab’omu nnyumba ye. Buli omu kyamugwaniranga okusolooza ebyokulya okumala omwezi gumu buli mwaka.
8 (EZ)Era gano ge mannya gaabwe:
Benikuli, mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu;
9 (FA)Benidekeri, mu Makazi, mu Saalubimu, mu Besusemesi, ne mu Eroni Besukanani;
10 (FB)Benikesedi, mu Alubbosi, Soko n’ensi yonna ey’e Kefera yali yiye;
11 (FC)Beniyabinadabu eyali awasizza Tafasi muwala wa Sulemaani, mu kifo kyonna ekigulumivu eky’e Doli;
12 (FD)Baana mutabani wa Akirudi, mu Taanaki ne Megiddo, ne mu Besuseyani yonna ekiriraanye Zalesani wansi w’e Yezuleeri, okuva ku Besuseyani okutuuka ku Aberumekola okuyita ku Yokumyamu;
13 (FE)Benigeberi, mu Lamosugireyaadi, ebibuga bya Yayiri mutabani wa Manase mu Gireyaadi byali bibye, era n’essaza Alugobu eriri mu Basani n’ebibuga byayo enkaaga ebyalina bbugwe ne wankaaki ow’ekikomo;
14 (FF)Akinadaabu mutabani wa Iddo, mu Makanayimu;
15 (FG)Akimaazi eyali awasizza Basemesi muwala wa Sulemaani, mu Nafutaali,
16 (FH)Baana mutabani wa Kusaayi, mu Aseri ne mu Beyaloosi;
17 Yekosafaati mutabani wa Paluwa, mu Isakaali;
18 (FI)Simeeyi mutabani wa Era, mu Benyamini;
19 (FJ)Geberi mutabani wa Uli, mu Gireyaadi, ensi ya Sikoni kabaka w’Abamoli, n’ensi ya Ogi kabaka w’e Basani. Ye yali omwami yekka akulira essaza.
20 (FK)Abantu ba Yuda ne Isirayiri baali bangi nga bali ng’omusenyu ku lubalama lw’ennyanja, era baalyanga, ne banywanga nga basanyuka. 21 (FL)Sulemaani n’afuga obwakabaka bwonna okuva ku Mugga Fulaati okutuuka ku nsi ey’Abafirisuuti n’okutuuka ku nsalo ey’e Misiri, era baamuleeteranga ebirabo, era ne bamuweerezanga ennaku zonna ez’obulamu bwe[n].
22 Bye baasoloolezanga Sulemaani ebya buli lunaku byali ebigero by’obutta obulungi kilo mukaaga n’obutundu mukaaga, n’ebigero eby’obutta obutaali buse, kilo kumi na ssatu n’obutundu bubiri; 23 ente eza ssava kkumi, n’ente ezaavanga mu ddundiro amakumi abiri, wamu n’endiga kikumi, n’enjaza, n’empeewo, n’ennangaazi, n’enkoko ze baalondangamu. 24 (FM)Yafuganga ensi yonna eri emitala w’Omugga Fulaati, okuva e Tifusa[o] okutuuka e Gaaza, era yalina emirembe enjuuyi zonna okumwetooloola. 25 (FN)Mu mirembe gya Sulemaani, Yuda ne Isirayiri yonna, okuva e Ddaani okutuuka e Beeruseba buli muntu yalina emirembe, era ng’alina ennimiro ye ey’emizabbibu n’ey’emitiini.
26 (FO)Sulemaani yalina ebisibo by’embalaasi ezisika amagaali enkumi nnya, n’abasajja abeebagala embalaasi omutwalo gumu mu enkumi bbiri.
27 (FP)Abaami ba masaza, buli mwezi baalabiriranga Kabaka Sulemaani wamu n’abaatuulanga ku mmeeza ye, nga bamuweereza ebyokulya. 28 Era baaleetanga sayiri n’essubi olw’embalaasi ez’embiro n’embalaasi endala, buli muntu ng’omulimu gwe bwe gwali gwe yalagirwa.
Amagezi ga Sulemaani
29 (FQ)Katonda n’awa Sulemaani amagezi n’okutegeera kungi nnyo n’obugunjufu bungi, ng’omusenyu oguli ku mabbali g’ennyanja. 30 (FR)Amagezi ga Sulemaani gaali mangi nnyo okukira ag’abasajja bonna ab’ebuvanjuba[p], ate n’okusinga ago ag’e Misiri. 31 (FS)Yali mugezi okukira abantu bonna, era n’okukira Esani Omwezulaki, ne Kemani, ne Kalukoli ne Daluda batabani ba Makoli, era erinnya lye ne lyatiikirira mu mawanga gonna ageetoolodde. 32 (FT)Yagera engero enkumi ssatu, n’ennyimba ze zaali lukumi mu ttaano. 33 Yayogera ku bulamu bwe bimera, okuva ku muvule gwa Lebanooni okutuuka ku ezobu amera ku bbugwe. Ate era yayogera ne ku nsolo n’ennyonyi, n’ebyewalula n’ebyennyanja. 34 (FU)Era abantu bangi okuva mu mawanga gonna ne bajjanga okuwuliriza amagezi ga Sulemaani, nga batumiddwa bakabaka okuva mu nsi yonna, abaali bawulidde ku magezi ge.
Enteekateeka y’Okuzimba Yeekaalu
5 (FV)Awo Kiramu kabaka w’e Ttuulo bwe yawulira nga Sulemaani bamufuseeko amafuta okuba kabaka, ng’asikidde kitaawe Dawudi, n’atuma ababaka be eri Sulemaani, kubanga yali mukwano gwa Dawudi. 2 Sulemaani n’atumira Kiramu ng’ayogera nti,
3 (FW)“Omanyi nti, Olw’entalo ennyingi ezeetooloola Dawudi kitange, teyasobola kuzimbira linnya lya Mukama Katonda we yeekaalu, okutuusa Mukama lwe yamala okuteeka abalabe be wansi w’ebigere bye. 4 (FX)Naye kaakano Mukama Katonda wange awadde Isirayiri yonna emirembe ku njuyi zonna, era tewakyali mulabe wadde akabi ak’engeri yonna. 5 (FY)Era, laba, nsuubira okuzimbira Erinnya lya Mukama Katonda wange yeekaalu, nga Mukama bwe yagamba Dawudi kitange, bwe yayogera nti, ‘Mutabani wo gwe nditeeka ku ntebe ey’obwakabaka mu kifo kyo, yalizimbira Erinnya lyange yeekaalu.’
6 “Noolwekyo lagira basajja bo bantemere emivule gya Lebanooni. Abaddu bange banaakoleranga wamu n’abaddu bo, era nakuweerezanga empeera yonna, gy’olinsaba olw’abaddu bo. Omanyi nga ku ffe tekuli n’omu alina magezi kutema miti okwenkana ab’e Sidoni.”
7 Awo Kiramu bwe yawulira obubaka bwa Sulemaani, n’asanyuka nnyo era n’ayogera nti, “Mukama yeebazibwe, kubanga awadde Dawudi omwana ow’amagezi okufuga eggwanga lino eddene.”
8 Awo Kiramu n’atumira Sulemaani ng’ayogera nti,
“Obubaka bwe wampeereza mbufunye, era nnaakola by’oyagala byonna eby’emiti egy’emivule n’emiti egy’emiberosi. 9 (FZ)Basajja bange baligiggya mu Lebanooni ne bagiserengesa ku nnyanja, era ndigisengeka ng’ebitindiro okuyita ku nnyanja okugituusa mu kifo ky’olindaga. Nga gituuse eyo ndiragira ne bagisumulula, ne gikuweebwa. Kye njagala okolere ab’omu nnyumba yange, kwe kubawanga emmere.”
10 Awo Kiramu n’awa Sulemaani emiti gy’emivule n’emiti egy’emiberosi nga bwe yayagala, 11 ne Sulemaani n’amuwanga ebigero by’eŋŋaano kilo enkumi nnya mu bina eby’emmere ey’ennyumba ye, n’amafuta ag’omuzeeyituuni ebigero amakumi abiri, ze kilo nga bina mu ana buli mwaka. Kino Sulemaani yakikoleranga Kiramu buli mwaka. 12 (GA)Mukama n’awa Sulemaani amagezi, nga bwe yamusuubiza. Ne waba emirembe wakati wa Kiramu ne Sulemaani, n’okulagaana ne balagaana endagaano bombi.
13 (GB)Kabaka Sulemaani n’akuŋŋaanya abakozi mu Isirayiri yonna, ne bawera abasajja emitwalo esatu. 14 (GC)N’abaweerezanga e Lebanooni mu mpalo; buli luwalo nga lumala omwezi gumu e Lebanooni n’emyezi ebiri ewaabwe, era Adoniraamu ye yabavunaanyizibwanga. 15 Sulemaani yalina abantu emitwalo musanvu abaasitulanga emigugu, n’emitwalo munaana abaatemanga amayinja ku nsozi, 16 (GD)ate n’abaami be enkumi ssatu mu bisatu abaalabiriranga omulimu n’okulagirira abakozi. 17 (GE)Kabaka n’alagira bateme amayinja amanene ddala nga bagaggya mu kirombe ky’amayinja ag’omuwendo, okuzimba emisingi gya yeekaalu n’amayinja amateme obulungi. 18 (GF)Abaweesi ba Sulemaani n’aba Kiramu, wamu n’abasajja ba Gebali ne balongoosa n’okutegeka ne bategeka emiti n’amayinja eby’okuzimba yeekaalu.
Sulemaani Azimba Yeekaalu
6 (GG)Mu mwaka ogw’ebina mu kinaana, abaana ba Isirayiri kasookedde bava mu nsi y’e Misiri, mu mwaka ogwokuna ogw’obufuzi bwa Sulemaani, mu mwezi ogwokubiri ogwa Zivu[q], Sulemaani n’atandika okuzimba yeekaalu ya Mukama.
2 (GH)Eyeekaalu kabaka Sulemaani gye yazimbira Mukama yali obuwanvu mita amakumi abiri mu musanvu, n’obugazi mita mwenda, n’obuwanvu mita kkumi na ssatu n’ekitundu. 3 Awayingirirwa mu maaso g’ekisenge ekinene ekya yeekaalu, waali mita mwenda, ng’obugazi bwa yeekaalu bwe bwali, ate ng’obugazi bwakyo mu maaso kiri mita nnya n’ekitundu okuva mu maaso ga yeekaalu. 4 (GI)N’akola amadirisa amafunda mu kisenge kya yeekaalu. 5 (GJ)Wakati w’ebisenge eby’ekisenge ekinene, n’ekifo aw’okwogerera, n’azimba obusenge obw’okubbalibbali okwetooloola wo. 6 Ekisenge ekya wansi kyali mita bbiri ne desimoolo ssatu obugazi, n’ekisenge eky’essa erya wakati kyali mita bbiri ne desimoolo musanvu, n’ekisenge eky’essa eryokusatu kyali mita ssatu ne desimoolo bbiri. N’asalako emiti okwetooloola eyeekaalu gireme okukomererwa mu bisenge bya yeekaalu.
7 (GK)Bwe baali nga bazimba yeekaalu, baakozesanga amayinja agaali galongosereddwa gye bagatemeranga, era tewaawulirwa kuvuga okw’engeri yonna okw’ennyondo newaakubadde embazzi wadde ekyuma eky’engeri yonna mu kifo awaali wazimbirwa yeekaalu.
8 Omulyango ogw’ekisenge ekya wakati gwali ku luuyi olw’obukiikaddyo obwa yeekaalu; waabangawo amadaala agaakozesebwanga okugenda mu kisenge ekya wakati, n’okweyongerayo mu kisenge ekyokusatu ekya waggulu. 9 (GL)Awo n’azimba yeekaalu n’agimala, n’agisereka n’emiti n’embaawo ez’emivule. 10 N’azimba n’ebisenge ebitono okwetooloola yeekaalu, n’obugulumivu bwa buli kimu bwali mita emu n’ekitundu, nga byesigamizibbwa ku kisenge kya yeekaalu n’emiti gy’emivule.
11 Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Sulemaani nti, 12 (GM)“Bino bye bikwata ku yeekaalu eno gy’ozimba; bw’onootambuliranga mu mateeka gange, n’ogondera ebiragiro byange, n’okwatanga n’amateeka gange gonna ng’ogatambuliramu, kale ndituukiriza ekigambo kye nayogera eri Dawudi kitaawo. 13 (GN)Era nnaabeeranga wamu n’abaana ba Isirayiri, so siryabuulira bantu bange Isirayiri.”
14 (GO)Sulemaani n’azimba yeekaalu n’agimala. 15 (GP)Ku bisenge eby’omunda n’assaako embaawo ez’emivule n’azikomelera okuva wansi wa yeekaalu okutuukira ddala ku kasolya, era ne wansi wa yeekaalu n’ayaliirirawo embaawo ez’emiberosi. 16 (GQ)N’ayawuzaamu emabega wa yeekaalu, n’akolawo ekifo mu yeekaalu ekyenkana mita mwenda, nga ky’ekisenge awaayimirirwanga okwogera, eky’awatukuvu ennyo, ng’akozesa embaawo ez’emivule okuva wansi okutuuka ku kasolya. 17 Ekisenge ekinene ddala ekyali mu maaso g’ekisenge, awaayimirirwanga okwogera waali obuwanvu mita kkumi na munaana. 18 (GR)Ne munda wa yeekaalu mwali mwaliriddwamu emivule egyayolebwako entaabwa n’ebimuli ebyanjulukuse. Byonna byali bya mivule; tewaali jjinja eryalabika.
19 (GS)N’ateekateeka ekisenge eky’omunda ddala okumpi n’awaayimirirwanga okwogera mu yeekaalu, okuteekamu essanduuko ey’endagaano ya Mukama. 20 (GT)Era munda awaayimirirwanga okwogera mwalimu ebbanga erya mita mwenda obuwanvu, ne mita mwenda obugazi, ne mita mwenda obugulumivu[r]. Munda mwonna n’asiigamu zaabu ennongoose[s], era n’akola n’ekyoto n’akisabika n’emivule. 21 Sulemaani n’asabika munda wa yeekaalu ne zaabu ennongoose, n’ayongerako n’enjegere eza zaabu mu maaso g’omu kisenge eky’omunda ekyali kibikiddwako zaabu. 22 Munda wa yeekaalu mwonna, n’assaamu zaabu, ne ku kyoto eky’omu kisenge awaayimirirwanga okwogera[t] n’asiigako zaabu.
23 (GU)Mu kisenge awaayimirirwanga okwogera n’akolawo bakerubi babiri ab’emiti egy’emizeeyituuni, buli kerubi obugulumivu bwe mita nnya n’ekitundu. 24 Obuwanvu bw’ekiwaawaatiro ekimu ekya kerubi omu bwali mita bbiri n’obutundu busatu, n’ekiwaawaatiro ekyokubiri mita bbiri n’obutundu busatu, ze mita nnya n’ekitundu okuva ku luuyi olumu olw’ekiwaawaatiro ekimu okutuuka ku luuyi olw’ekiwaawaatiro ekyokubiri. 25 Kerubi owookubiri naye yali mita nnya n’ekitundu, era bakerubi bombi baali ekigero kye kimu n’endabika yaabwe nga y’emu. 26 Obugulumivu bwa buli kerubi bwali mita nnya n’ekitundu. 27 (GV)N’ateeka bakerubi mu kisenge eky’omunda ddala mu yeekaalu, ng’ebiwaawaatiro byabwe byanjuluzibbwa. Ekiwaawaatiro ekya kerubi omu ne kikwata ku kisenge eruuyi, n’ekiwaawaatiro ekya kerubi omulala ne kikwata ku kisenge ekirala eruuyi, ebiwaawaatiro byabwe ne bikwatagana wakati wa yeekaalu. 28 Bakerubi n’abasiigako zaabu.
29 (GW)Ku bisenge byonna ebya yeekaalu okwetooloola, mu bisenge eby’omunda, ne mu bisenge eby’ebweru, n’akola ebifaananyi ebyole ebya bakerubi, n’enkindu, n’ebimuli ebyanjulukuse. 30 Ne wansi mu bisenge eby’omunda n’eby’ebweru ebya yeekaalu n’assaamu zaabu.
31 Awayingirirwa mu kifo awaayimirirwanga okwogera, waali wawaniriddwa emifuubeeto n’empagi ez’enzigi, omulyango nga gwa nsonda ttaano. 32 Ku nzigi zombi ez’emiti egy’emizeeyituuni n’akubako ebifaananyi ebyole ebya bakerubi, n’enkindu, n’ebimuli ebyanjulukuse, bakerubi n’enkindu n’abisiiga zaabu. 33 Mu ngeri y’emu n’akola omulyango oguyingira mu kisenge ekinene ddala, n’ateekawo emifuubeeto egy’emizeeyituuni, omulyango nga gwa nsonda nnya. 34 N’akola n’enzigi bbiri za miberosi, buli luggi nga lulina embaawo bbiri ezakyukiranga mu myango. 35 Ku zo n’ayolako ebifaananyi ebya bakerubi, n’enkindu n’ebimuli ebyanjulukuse, n’abisiiga zaabu ensanuuse.
36 (GX)N’azimba oluggya olw’omunda n’embu ssatu ez’amayinja amateme obulungi, n’olubu olw’emiti egy’emivule.
37 Awo mu mwaka ogwokuna, mu mwezi Zivu omusingi gwa yeekaalu ya Mukama ne gumalirizibwa. 38 (GY)Mu mwaka ogw’ekkumi n’ogumu mu mwezi Buli[u], gwe mwezi ogw’omunaana, ebitundu byonna ebya yeekaalu ne bimalirizibwa ng’ebigero byabyo bwe byali. Yamala emyaka musanvu ng’agizimba.
Sulemaani Azimba Olubiri lwe
7 (GZ)Sulemaani kyamutwalira ebbanga lya myaka kkumi n’esatu okuzimba olubiri lwe. 2 (HA)N’azimba olubiri nga luli ng’Ekibira kya Lebanooni[v], obuwanvu mita amakumi ana mu mukaaga, n’obugazi mita amakumi abiri mu ssatu, n’obugulumivu mita kkumi na ssatu n’ekitundu, nga luwaniriddwa ku mpagi nnya ez’emivule. 3 Ne luserekebwa n’emivule ku mikiikiro amakumi ana mu etaano, buli lunyiriri nga lulimu kkumi na ttaano. 4 Waaliwo amadirisa agaateekebwa mu nnyiriri ssatu, buli limu nga litunuulidde linnaalyo. 5 Buli mulyango gwalina omwango nga gwa nsonda nnya, era nga gitunuuliraganye mu nnyiriri ssatu.
6 N’azimba ekisenge ekinene eky’empagi obuwanvu mita amakumi abiri mu ssatu n’obugazi mita kkumi na ssatu n’ekitundu. Mu maaso gaakyo waaliwo ekisasi, ekyali kiwaniriddwa empagi ez’emiti.
7 (HB)Yazimba n’ekisenge ekinene omwali entebe ey’obwakabaka, nga kye kisenge mwe yasaliranga emisango, era nga kyonna ky’ateekebwamu emivule okuva wansi okutuuka waggulu. 8 (HC)Olubiri lwe yali agenda okubeeramu olwali emanju w’ekisenge ekinene lwali lukifaanana. N’azimbira ne muwala wa Falaawo, gwe yali awasizza, olulufaanana.
9 Okuva ku musingi okutuuka waggulu, ebizimbe ebyo byonna n’oluggya olunene, byazimbibwa n’amayinja agaagerebwa ne gasalibwa n’emisumeeno, mu bigera byago. 10 Omusingi gw’azimbibwa n’amayinja amanene amalungi, agamu ng’obuwanvu genkana mita nnya n’ekitundu n’amalala ng’obuwanvu genkana mita ssatu n’obutundu mukaaga. 11 Waggulu okumpi n’akasolya waaliyo amayinja ag’omuwendo omungi, agatemebwa nga bwe gaagerebwa, n’emiti egy’emivule. 12 (HD)Oluggya olunene lwali lwetooloddwa bbugwe ow’embu ssatu ez’amayinja amateme, n’olubu olumu nga lwa miti egy’emivule, ng’ekisasi eky’omu maaso n’oluggya olw’omunda olwa yeekaalu bwe byali bizimbiddwa.
Ebintu bya Yeekaalu
13 (HE)Kabaka Sulemaani n’atumya Kiramu ow’e Ttuulo, eyali mutabani wa nnamwandu ow’omu kika kya Nafutaali. 14 (HF)Kitaawe yali musajja w’e Ttuulo nga muweesi wa bikomo. Kiramu yali musajja mugezi, mumanyirivu nnyo era ng’ategeera emirimu egy’ebyebikomo egya buli ngeri. N’agenda eri Kabaka Sulemaani, n’akola emirimu gyonna egya muweebwa. 15 (HG)Kiramu n’akola empagi bbiri ez’ekikomo, buli emu obuwanvu mita munaana n’akatundu kamu, n’okwetooloola buli emu mita ttaano n’obutundu buna. 16 (HH)Waggulu wa buli mpagi n’assaako ebitikkiro ebyalina ebitimba eby’omulimu ogw’ekikomo, n’emigo egy’omulimu ogw’emikuufu egyalukibwa. 17 N’akola empagi zombi n’ebitikkiro byakwo nga zitimbiddwa buli emu ng’erina ebiruke ng’amalanga ag’amakomamawanga, musanvu. 18 Ebitikkiro ebyali ku mpagi ez’olubalaza zakolebwa ng’amalanga ag’ebimuli eby’amakomamawanga. 19 Ebitikkiro eby’empagi byali ng’amalanga nga ziri mita emu n’obutundu munaana obugulumivu. 20 (HI)Ku buli nkufiira ey’empagi kwaliko ekifaanana ng’ebakuli okuliraana n’omulimu ogufaanana ng’ekintu ekiruke, era waaliwo amakomamawanga ebikumi bibiri mu mbu okwetooloola ebitikkiro ebyo. 21 (HJ)N’akola empagi bbiri ku lubalaza lwa yeekaalu, emu n’agizimba ku luuyi olw’obukiikaddyo n’agituuma Yakini, n’eyokubiri n’agizimba ku luuyi olw’obukiikakkono n’agituuma Bowaazi. 22 Ebitikkiro byabyo byakolebwako ebimuli eby’amalanga, era bwe gutyo omulimu ogw’okuzimba empagi ne guggwa.
23 (HK)N’akola ttanka[w] ennene ey’ekikomo ekisaanuuse, nga neekulungirivu ng’eri mita nnya n’ekitundu okuva ku mugo okutuuka ku mugo, ne mita bbiri n’obutundu busatu obugulumivu. Obwekulungirivu bwali mita kkumi na ssatu n’ekitundu. 24 Wansi w’omugo gwayo kwaliko entaabwa okugyetooloola, kkumi buli butundu busatu obwa mita, era nga ziri embu bbiri, ezasaanuusibwa nayo.
25 (HL)Ettanka ennene yatuulanga ku bifaananyi by’ente ennume kkumi na bbiri, esatu nga zitunudde mu bukiikakkono, n’endala essatu nga zitunudde ebugwanjuba, n’endala essatu nga zitunudde mu bukiikaddyo, n’endala essatu nga zitunudde ebuvanjuba, era ng’ebitundu byabyo eby’emabega nga bitunuuliraganye mu masekkati gaayo. 26 Obugazi bwayo yali oluta lumu, n’omugo gwayo gwakolebwa ng’omugo gw’ekibya, ng’ekimuli ky’amalanga. Yajjulanga lita emitwalo ena mu enkumi nnya.
27 (HM)N’akola n’ebitebe ebiseetulwa, mu bikomo buli kimu obuwanvu bwakyo mita emu n’obutundu munaana, n’obugazi bwe bumu, ate obugulumivu mita emu n’obutundu busatu. 28 Ebitebe ebyo by’akolebwa bwe biti: byalina enkulukumbi mu myango gyabyo. 29 Ku nkulukumbi wakati mu myango mwalimu ebifaananyi bya bakerubi n’eby’empologoma, n’eby’ente ennume; kwaliko n’ebintu ebireebeeta ebyakolebwa n’emikono. 30 (HN)Buli kitebe ky’alina nnamuziga nnya ez’ebikomo, n’entobo za nnamuziga nga za bikomo, era nga buli kimu kirina ebensani ewaniriddwa mu nsonda nnya n’emisituliro egyasaanuusibwa, nga ku buli musituliro kuliko ebireebeeta. 31 Ekitebe ekimu kyalina akamwa akalina omwango omwekulungirivu ogwali kitundu kya mita mu kukka. Akamwa kaagwo kaali keekulungirivu n’omulimu ogwa wansi kwe kyaterezebwanga, nga gwa butundu musanvu obwa mita mu kukka. Ku kamwa kaagwo kwaliko enjola, n’enkulumbi zaakyo nga si nnekulungirivu naye ng’enjuyi zonna zenkanankana. 32 Nnamuziga ennya zaali wansi w’enkulumbi; n’emisingi gya nnamuziga gyali gikomereddwa ku kitebe. Okusala mu bukiika bwa nnamuziga emu bwali obutundu musanvu obwa mita. 33 Nnamuziga zaakolebwa nga nnamuziga ez’amagaali, era kwaliko emisingi, n’empanka, n’empagi, n’emisumaali nga byonna by’akolebwa mu kyuma ekisaanuuse.
34 Kwaliko emisituliro ena ku nsonda ennya eza buli kitebe era gyonna nga gya kika kyekimu n’ekitebe. 35 Ku ntikko eya buli kitebe kwaliko engeri ey’ekikoba ekyekulungirivu; okukka kwakyo obutundu bubiri obwa mita, n’embiriizi zaakyo n’enkulukumbi ebyagiwaniriranga, byakwatagananga ku ntikko. 36 Ku biwanirira ne ku nkulukumbi, Kiramu yakolako ebifaananyi ebyole ebya bakerubi, n’eby’empologoma, n’eby’enkindu mu buli kifo omwali ebbanga, era n’ayolako ebimuli okwetooloola. 37 Bw’atyo bwe yakola ebitebe ekkumi. Byonna yabikola mu kyuma ekisaanuuse kyekimu, era n’abikola byonna nga bya kigero kyekimu, n’okufaanana nga bifaanana.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.