Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Bible in 90 Days

An intensive Bible reading plan that walks through the entire Bible in 90 days.
Duration: 88 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Olubereberye 28:20-40:11

20 (A)Awo Yakobo ne yeerayirira ng’agamba nti, “Katonda bw’alibeera nange, n’ankuuma mu lugendo luno lwe ndiko, n’ampa emmere okulya era n’ebyokwambala ne nkomawo mirembe mu nnyumba ya kitange, 21 (B)olwo Mukama n’aba Katonda wange. 22 (C)Era ejjinja lino lye nsimbye okuba empagi liriba nnyumba ya Katonda, era n’ebyo byonna by’ompa ndikuwaako ekimu eky’ekkumi.”

Olugendo lwa Yakobo

29 (D)Awo Yakobo ne yeeyongerayo mu lugendo lwe, n’atuuka mu nsi y’abantu b’ebuvanjuba. Bwe yatunula n’alaba oluzzi mu nnimiro, ng’ebisibo bisatu eby’endiga zigalamidde awo ku lwo, kubanga awo we zaanywesezebwanga. Ejjinja eryasaanikiranga ku mumwa gw’oluzzi olwo lyali ddene, era ebisibo bwe byakuŋŋaananga, abasumba ne balyoka baliyiringisa okuliggya ku mumwa gw’oluzzi ne banywesa endiga; bwe zaamalanga ne balizzaako.

(E)Awo Yakobo n’abuuza abasumba nti, “Abooluganda muva wa?” Ne bamuddamu nti, “Tuva Kalani.”

Kwe kubabuuza nti, “Labbaani mutabani wa Nakoli mumumanyi?” Ne bamuddamu nti, “Tumumanyi.”

N’abuuza nti, “Ali bulungi?” Ne baddamu nti, “Ali bulungi, era laba Laakeeri muwala we wuuli ajja n’endiga!”

N’abagamba nti, “Mulabe, obudde bukyali bwa ttuntu, ekiseera tekinnatuuka okukuŋŋaanya ensolo awamu, muzinywese mulyoke mugende muzirunde.”

Bo kwe kumuddamu nti, “Ekyo tetusobola kukikola ng’ebisibo byonna tebinnakuŋŋaanyizibwa, nga n’ejjinja terinaggyibwa ku mumwa gw’oluzzi, olwo ne tunywesa endiga.”

Yakobo Asisinkana Laakeeri

(F)Yakobo bwe yali akyayogera nabo, Laakeeri n’atuuka n’endiga za kitaawe. Kubanga ye yali azirunda. 10 (G)Yakobo bwe yalaba Laakeeri, muwala wa Labbaani, mwannyina nnyina, n’endiga za Labbaani, n’agenda n’ayiringisa ejjinja okuva ku mumwa gw’oluzzi n’anywesa endiga za Labbaani. 11 (H)Yakobo n’alyoka agwa Laakeeri mu kifuba, n’ayimusa eddoboozi n’akaaba. 12 (I)Yakobo n’alyoka ategeeza Laakeeri nti, waluganda ne kitaawe, era ye mutabani wa Lebbeeka. Laakeeri kwe kudduka n’ategeeza kitaawe.

13 (J)Awo Labbaani bwe yawulira ebya Yakobo, mutabani wa mwannyina, n’adduka okumusisinkana, n’amugwa mu kifuba n’amulamusa bulungi, n’amutwala mu nnyumba ye. Yakobo n’ategeeza Labbaani byonna ebyaliwo. 14 (K)Labbaani n’agamba nti, “Mazima oli ggumba lyange, era nnyama ya mubiri gwange! N’abeera naye omwezi mulamba.” 15 Awo Labbaani n’agamba Yakobo nti, “Olw’okubanga oli waluganda ky’onoova ompeerereza obwereere? Ntegeeza empeera yo bw’eneebanga.”

16 Labbaani yalina bawala be babiri; erinnya ly’omukulu nga ye Leeya ne ly’omuto nga ye Laakeeri. 17 Leeya yali manafu, kyokka ye Laakeeri nga mulungi era nga w’amaanyi. 18 (L)Yakobo yayagala Laakeeri, era n’agamba Labbaani nti, “Nzija kukuweereza[a] emyaka musanvu olwa muwala wo omuto Laakeeri.”

19 Labbaani kwe kumuddamu nti, “Kituufu okumuwa ggwe ne ssimuwa musajja mulala yenna. Beera nange.” 20 (M)Bw’atyo Yakobo n’akolerera Laakeeri emyaka musanvu, naye ne giba ng’ennaku obunaku gy’ali kubanga yamwagala nnyo.

21 (N)Awo Yakobo n’agamba Labbaani nti, “Kale mpa mukazi wange, mmutwale, kubanga ekiseera kye twalagaana nkimazeeko.”

22 (O)Labbaani kwe kukuŋŋaanya abantu b’ekifo ekyo, n’akola embaga. 23 Naye mu kiro Labbaani n’atwala muwala we Leeya n’amuwa Yakobo okumutwala okuba mukazi we.[b] 24 Labbaani yali awadde Leeya Zirupa amuweerezenga.

25 (P)Bwe bwakya, Yakobo n’alaba nga bamuwadde Leeya. Kwe kugamba Labbaani nti, “Onkoze ki kino? Saakuweereza lwa Laakeeri? Kale lwaki onimbye?” 26 Labbaani n’amuddamu nti, “Mu nsi yaffe tekiri mu buwangwa bwaffe, omuto okusooka omukulu okufumbirwa. 27 (Q)Sooka omale n’ono wiiki eno emu, n’oli tugenda kumukuwa; kyokka olimukolerera okumala emyaka emirala musanvu.”

28 Ekyo Yakobo n’akikkiriza, n’amalako wiiki emu eyo, Labbaani n’alyoka amuwa Laakeeri muwala we okuba mukazi we. 29 (R)Labbaani n’awa Laakeeri Biira amuweerezenga. 30 (S)Yakobo n’atwala Laakeeri n’aba mukazi we; n’ayagala Laakeeri okusinga Leeya, n’aweereza Labbaani emyaka egyo emirala omusanvu.

Abaana ba Yakobo

31 (T)Mukama bwe yalaba nga Leeya akyayibbwa n’aggula olubuto lwe. Laakeeri ye yali mugumba. 32 (U)Leeya n’aba olubuto, n’azaala omwana wabulenzi. N’amutuuma erinnya Lewubeeni, ng’agamba nti, “Kubanga Mukama alabye okubonyaabonyezebwa kwange: ddala baze ananjagala.”

33 (V)N’aba olubuto olulala, n’azaala omwana mulenzi, n’agamba nti, “Kubanga Mukama alabye nga ndi mukyawe, kyavudde ampa omwana owoobulenzi omulala; n’amutuuma erinnya Simyoni.” 34 (W)Ate n’aba olubuto n’azaala omwana mulenzi, n’agamba nti, “Kale kaakano baze ajja kuba bumu nange, kubanga mmuzaalidde abaana abalenzi basatu.” Omwana kyeyava atuumwa Leevi.

35 (X)Era Leeya n’aba olubuto n’azaala omwana wabulenzi, n’agamba nti, “Ku luno nzija kutendereza Mukama,” kyeyava amutuuma Yuda; n’alekayo okuzaala.

Batabani ba Biira ne Zirupa

30 (Y)Laakeeri bwe yalaba nga tazaalidde Yakobo baana, n’akwatirwa muganda we obuggya; n’agamba Yakobo nti, “Mpa abaana oba si ekyo nzija kufa!”

(Z)Obusungu bwa Yakobo ne bubuubuukira Laakeeri, n’amugamba nti, “Nze Katonda akummye okuzaala?”

(AA)Laakeeri kwe kumwanukula nti, “Omuweereza wange Biira wuuno, weetabe naye azaalire ku maviivi gange, ndyoke nfune abaana nga mpita mu ye.[c] (AB)N’alyoka amuwa omuweereza we Biira okuba mukazi we, Yakobo ne yeetaba naye. Biira n’aba olubuto n’azaalira Yakobo omwana owoobulenzi.

(AC)Awo Laakeeri n’agamba nti, “Katonda ankoze bulungi, n’awulira eddoboozi lyange, n’ampa omwana owoobulenzi.” Kyeyava amutuuma Ddaani. Biira omuweereza omukazi owa Laakeeri n’aba olubuto ate, n’azaalira Yakobo omwana owoobulenzi owookubiri. (AD)Laakeeri n’alyoka agamba nti, “Nnwanye ne muganda wange okulwana okw’amaanyi era mpangudde;” omwana kyeyava amutuuma Nafutaali.

(AE)Awo Leeya bwe yalaba akomye okuzaala, n’addira omuweereza we Zirupa n’amuwa Yakobo abe mukazi we. 10 Zirupa omuweereza wa Leeya n’alyoka azaalira Yakobo omwana owoobulenzi; 11 (AF)Leeya n’agamba nti, “Guno mukisa gwennyini!” Kwe kumutuuma Gaadi.

12 Ate Zirupa omuweereza wa Leeya n’azaalira Yakobo omwana owoobulenzi owookubiri. 13 (AG)Leeya n’agamba nti, “Neesiimye! Kubanga abakazi banampita wa mukisa;” kyeyava amutuuma Aseri.

14 (AH)Lumu mu biseera eby’amakungula g’eŋŋaano Lewubeeni n’agenda mu nnimiro, n’anoga amadudayimu,[d] n’agaleetera nnyina Leeya. Laakeeri n’agamba Leeya nti, “Nkusaba ompe ku madudayimu g’omwana wo.” 15 (AI)Kyokka ye n’amuddamu nti, “Okiyita kitono ggwe okunnyagako baze? Ate otwale n’amadudayimu g’omwana wange?” Laakeeri n’amugamba nti, “Kale anaaba naawe ekiro kino olw’amadudayimu g’omwana wo.”

16 Yakobo bwe yakomawo okuva mu nnimiro akawungeezi, Leeya n’afuluma okumusisinkana, n’amugamba nti, “Weetabe nange, kubanga nkuguze n’amadudayimu g’omwana wange.” Kwe kwetaba naye.

17 (AJ)Katonda n’awulira Leeya, n’aba olubuto, n’azaalira Yakobo omwana owoobulenzi owookutaano. 18 (AK)Leeya n’agamba nti, “Katonda ansasudde empeera yange, kubanga nawa baze, omuweereza wange,” omwana kyeyava amutuuma Isakaali.

19 Leeya n’aba olubuto ate, n’azaalira Yakobo Omwana owoobulenzi ow’omukaaga. 20 (AL)Leeya kwe kugamba nti, “Katonda ampadde ekirabo, kaakano baze anaabanga nange, kubanga muzaalidde abaana aboobulenzi mukaaga.” Ow’omukaaga kyeyava amutuuma Zebbulooni.

21 Oluvannyuma n’azaala omwana owoobuwala, n’amutuuma Dina. 22 (AM)Ate Katonda n’ajjukira Laakeeri, n’amuwulira n’aggula olubuto lwe. 23 (AN)N’aba olubuto n’azaalira Yakobo omwana owoobulenzi, Laakeeri n’agamba nti, “Katonda anziggyeeko okunyoomebwa;” 24 (AO)n’amutuuma Yusufu, ng’agamba nti, “Mukama annyongere omwana omulenzi.”

Yakobo Ateesa ne Labbaani

25 (AP)Laakeeri bwe yazaala Yusufu, Yakobo n’agamba Labbaani nti, “Nsiibula, ŋŋende ewaffe mu nsi yaffe. 26 (AQ)Mpa bakazi bange n’abaana bange, be nkuweererezza, ondeke ŋŋende: kubanga omanyi okuweereza kwe nkuweerezza.”

27 (AR)Labbaani kwe kumuddamu nti, “Nga bwe nfunye omukisa mu ggwe, nkusaba oleme kuva wano, kubanga ndabye nga Mukama yampa omukisa ku bubwo. 28 (AS)Ntegeeza empeera yo nange ngikuwe.” 29 (AT)Yakobo n’amuddamu nti, “Ggwe kennyini omanyi nti nkuweerezza era n’ensolo zo nga nzaazizza. 30 (AU)Kubanga walina ntono nga sinnajja, naye zeeyongedde nnyo; era Mukama n’akuwa omukisa buli gye n’addanga. Naye kaakano nze ndikolera ddi ennyumba yange?”

31 Labbaani kwe ku mubuuza nti, “Nkuwe ki?” Yakobo n’amuddamu nti, “Tojja kubaako ky’ompa, okuggyako okunkolera kino, ndyoke nneeyongere okulunda ekisibo kyo: 32 (AV)nzikiriza mpite mu kisibo kyo leero, nziggyemu buli ndiga enkulu eza bugondo n’eza bitanga, n’endiga ento enzirugavu, n’embuzi eza bugondogondo n’ezabitanga mu mbuzi, era ezo ze zinaabeera empeera yange. 33 Kale oluvannyuma lwa byonna obutuukirivu bwange bulimpolereza bw’olijja okukebera bw’onsasudde. Bw’olisanga embuzi yonna etali ya bugondogondo n’eya bitanga, oba endiga yonna enkazi enzirugavu eyo eribalibwa nti nnagikubbako.”

34 Labbaani n’amuddamu nti, “Ekyo kirungi. Kale kibeere bwe kityo nga bw’ogambye.” 35 (AW)Naye ekiro ekyo Labbaani n’aggya mu kisibo embuzi ennume eza biwuuga n’eza bitanga, n’embuzi enkazi zonna eza bugondogondo n’eza bitanga, buli eyalina ebbala eryeru, na buli ndiga nzirugavu n’aziwa abaana be bazirunde; 36 nga beesudde ebbanga eritambulirwa ennaku ssatu okuva ku ye okutuuka ku Yakobo. Yakobo ye n’alunda ezo ezaasigalawo ku kisibo kya Labbaani.

37 Awo Yakobo n’addira obuti bw’omulibine omubisi, n’obw’omusakedi, n’obw’omwalamoni n’abususumbulako ebikuta mu bukuubo. 38 N’asimba obuti bw’asasambudde mu maaso g’ebisibo ku by’esero ensolo we zanyweranga. 39 Bwe zajjanga okunywa ne ziwakiranga mu maaso g’obuti obwo, ne zizaalanga eza biwuuga, n’eza bugondogondo n’eza bitanga. 40 Yakobo n’ayawula ento ne zibeera zokka. Naye endala n’azitunuza okwolekera eza biwuuga n’enzirugavu eza Labbaani. Bw’atyo ne yeekolera ebisibo eby’enjawulo, n’atagatta zize na za Labbaani. 41 Buli nsolo enkazi ez’amaanyi bwe zaabanga zigenda okuwaka nga Yakobo ateeka ku by’esero obuti bwe buli okwolekera ensolo ezigenda okuwaka, ziwakire okumpi nabwo. 42 Naye ku nsolo ennafu teyabutekangawo. Olwo ensolo ennafu ne zibanga za Labbaani, zo ez’amaanyi ne zibanga za Yakobo. 43 (AX)Mu ngeri eyo Yakobo n’agenda ng’agaggawalira ddala nnyo, n’afuna ebisibo bingi ddala, wamu n’abaweereza abakazi n’abasajja; era n’afuna n’eŋŋamira n’embalaasi.

Yakobo Ateekateeka Okudda Ewaabwe

31 Awo Yakobo n’awulira nga batabani ba Labbaani bagamba nti, “Yakobo atutte ebyo byonna ebyali ebya kitaffe, era mu byali ebya kitaffe mw’aggye obugagga buno bwonna.” Era Yakobo n’alaba nga Labbaani takyamufaako nga bwe yali olubereberye.

(AY)Awo Mukama n’agamba Yakobo nti, “Ddayo mu nsi ya bajjajjaabo, mu bantu bo, era nnaabeeranga naawe.” Awo Yakobo kwe kutumya Laakeeri ne Leeya ku ttale gye baalundiranga ekisibo. (AZ)Bwe baatuuka n’abagamba nti, “Ndaba nga kitammwe takyanfaako nga bwe yakolanga olubereberye, naye Katonda wa kitange abadde nange. (BA)Mumanyi bwe naweerea kitammwe n’amaanyi gange gonna. (BB)Kyokka ye kitammwe yandyazaamanya n’akyusa empeera yange n’agikendeeza emirundi kkumi; wabula Katonda n’atamukkiriza kundeetako kabi. (BC)Kale bwe yagambanga nti, ‘Eza bugondogondo ze zinaabanga ezizo ekisibo kyonna ne kizaala eza bugondogondo, era bwe yayogeranga nti eza biwuuga ze zinaabanga ezizo ekisibo kyonna ne kizaala eza biwuuga.’ (BD)Bw’atyo Katonda aggye ku kitammwe ensolo ze n’azimpa.

10 “Mu kiseera ensolo mwe ziwakira, naloota nga nnyimusa amaaso gange nga ndaba embuzi ennume nga zirinyira enkazi eza biwuuga n’eza bugondogondo n’eza kiweewoweewo. 11 (BE)Ne mu kirooto ekyo malayika wa Katonda n’ampita nti, ‘Yakobo.’ Ne nziramu nti, ‘Nze nzuuno.’ 12 (BF)N’aŋŋamba nti, ‘Yimusa amaaso go olabe, embuzi zonna ezirinnyira ekisibo bwe ziri eza biwuuga, eza bugondogondo n’eza kiweewoweewo; kubanga ndabye ebyo byonna Labbaani by’akukoze. 13 (BG)Nze Katonda w’e Beseri gye wafukira amafuta ku jjinja lye wasimba, gye weeyamira obweyamo. Kale kaakano golokoka ove mu nsi muno, oddeyo mu nsi gye wazaalirwa.’ ”

14 Awo Laakeeri ne Leeya ne bamuddamu nti, “Ekyo kituufu kubanga tetulina mugabo, mu busika bwa kitaffe. 15 (BH)Era atutwala ng’abatali ba mu nnyumba ye. Kubanga yatutunda, era ebyatuvaamu bya badde akozesa. 16 Eby’obugagga byonna Katonda bya muggyeko, bifuuse byaffe n’abaana baffe. Kale kaakano buli Katonda ky’akugambye okukola kikole.”

Yakobo Adduka Okuva ku Labbaani

17 Awo Yakobo n’agolokoka, n’ateeka batabani be ne bakazi be ku ŋŋamira; 18 (BI)n’agoba ente ze zonna, n’ebisolo bye ebirala byonna bye yafuna: obugagga bwe bwonna bwe yafunira mu Padanalaamu, agende mu nsi ya Kanani eri kitaawe Isaaka.

19 (BJ)Labbaani yali agenze kusala byoya ku ndiga ze, Laakeeri n’abba bakatonda b’omu nnyumba ya Labbaani. 20 (BK)Yakobo n’adduka ku Labbaani Omusuuli, era teyamutegeeza nti amuvaako agende. 21 (BL)Yadduka ne byonna bye yalina, n’agolokoka n’asomoka omugga Fulaati, n’ayolekera Giriyaadi ensi ey’ensozi.

22 Ku lunaku olwokusatu Labbaani bwe yategeezebwa nti Yakobo yamuddukako, 23 Labbaani n’atwala basajja be, n’awondera Yakobo okumala ennaku musanvu, mu Giriyaadi ensi ey’ensozi. 24 (BM)Naye Katonda n’ajjira Labbaani, Omusuuli, mu kirooto, ekiro, n’amugamba nti, “Weegendereze, toyogera na Yakobo kigambo kyonna, ekirungi oba ekibi.”

25 Awo Labbaani n’atuuka ku Yakobo, eyali akubye eweema ye mu nsi ey’ensozi, Labbaani ne basajja be nabo ne basiisira mu nsi ey’ensozi eya Giriyaadi. 26 (BN)Labbaani n’agamba Yakobo nti, “Okoze ki, okuntwalako bawala bange mu kyama ne babanga abanyage? 27 (BO)Kiki ekyakuddusa mu kyama nga tombuuliddeko, ndyoke, nkusibule mu kinyumu: n’ennyimba, n’ebitaasa, n’ennanga. 28 (BP)Kale lwaki tewaŋŋanya na kugwa mu kifuba bazzukulu bange ne bawala bange okubasiibula? Ekyo kye wakola si kya buntubulamu. 29 (BQ)Mbadde nsobola okukukola akabi, wabula Katonda wa kitaawo yayogedde nange ekiro kino, n’aŋŋamba nti, ‘Weegendereze oleme okwogera ne Yakobo ekigambo kyonna, ekirungi oba ekibi.’ 30 (BR)Ne kaakano ogenda kubanga wayagala nnyo okuddayo mu nnyumba ya kitaawo; naye wabbira ki bakatonda bange?”

31 Yakobo n’addamu Labbaani nti, “Natya, kubanga n’alowooza nti oyinza okunnyagako bawala bo. 32 (BS)Naye gw’onoosanga ne bakatonda bo taabe mulamu; waakufa. Mu maaso ga bantu baffe bano, ndaga ekikyo kye nnina okitwale.” Yakobo teyamanya nti Laakeeri abbye bakatonda ba Labbaani.

33 Labbaani n’ayingira mu weema ya Yakobo ne mu weema ya Leeya, ne mu weema ey’abaweereza bombi; naye n’atalaba bakatonda be. N’ava mu weema ya Leeya, n’ayingira mu ya Laakeeri. 34 (BT)Laakeeri yali atutte bakatonda ba Labbaani, n’abateeka ku matandiiko g’eŋŋamira, n’abatuulako. Labbaani n’ayaza weema yonna naye n’atabalabamu.

35 (BU)Laakeeri n’agamba kitaawe nti, “Mukama wange aleme okusunguwala kubanga sisobola kuyimirira w’oli kubanga ndi mu mpisa y’abakazi.” Labbaani n’anoonya naye n’atalaba bakatonda be. 36 Awo Yakobo n’alyoka ajjula obusungu ne yeejuumulira Labbaani, n’amugamba nti, “Nzizizza musango ki? Kibi ki kye nnina, olyoke ongoberere n’obukaali butyo? 37 (BV)Bw’oyazizza mu bintu byange, kikyo ki ky’osanzemu? Kiteeke wano wakati mu maaso g’abantu bange n’ababo, balyoke basalewo omusobya ku fembi.

38 “Emyaka gino gyonna amakumi abiri gye mbadde naawe, endiga zo ne mbuzi zo tezisowolanga, era siryanga ndiga mu kisibo kyo. 39 (BW)Eyo eyataagulwanga ensolo enkambwe ey’omu nsiko saagikuleeteranga, nze nafiirwanga, waginsabanga, wadde eyo eyabbibwanga ekiro oba emisana nayo yabalirwanga ku nze. 40 Ekyo ne kindeetera essana okunzigwerangako, n’okubeeranga mu mpewo ekiro, n’otulo ne tumbula. 41 (BX)Emyaka gino amakumi abiri mbadde mu nnyumba yo; n’akuweereza emyaka kkumi n’ena olwa bawala bo bombi, ate ne nkuweereza emyaka mukaaga mu kisibo kyo, kyokka okyusizza empeera yange emirundi kkumi. 42 (BY)Singa Katonda wa kitange, era Katonda wa Ibulayimu, Katonda Entiisa ya Isaaka teyali ku lwange, mazima ddala wandinsiibudde ngalo nsa! Katonda yalabye okubonaabona n’okutegana kwange, kyeyavudde akunenya ekiro.”

Endagaano wakati wa Yakobo ne Labbaani

43 Awo Labbaani n’addamu Yakobo nti, “Bano bawala bange, n’abaana baabwe bazzukulu bange, n’ebisibo, bisibo byange era ne byonna byolaba byange. Naye bawala bange n’abaana baabwe be bazadde, nnyinza kubakolera ki leero? 44 (BZ)Kale jjangu tukole endagaano gwe nange, ebeere omujulirwa wakati wo nange.” 45 (CA)Awo Yakobo n’addira ejjinja n’alisimba ng’empagi. 46 N’agamba abantu be nti, “Mukuŋŋaanye amayinja.” Ne bagakuŋŋaanya ne bagatuuma entuumo, ne baliira[e] awo awali entuumo. 47 Labbaani entuumu n’agiyita Yegalusakadusa, ye Yakobo n’agiyita Galeedi.

48 Labbaani n’agamba nti, “Entuumo eno ye mujulirwa wakati wo nange leero.” Kyeyava agiyita Galeedi, 49 (CB)n’empagi n’agiyita Mizupa, kubanga yayogera nti, “Mukama atunulenga wakati wo nange, nga twawukanye omu okuva ku munne. 50 (CC)Bw’oliyisa obubi bawala bange, oba bw’olibawasizaako abakazi abalala, newaakubadde nga tewali muntu n’omu wakati waffe, ojjukire nti Katonda ye mujulirwa wakati wo nange.”

51 (CD)Awo Labbaani n’agamba Yakobo nti, “Laba entuumu eno n’empagi bye ntadde wakati wo nange. 52 (CE)Entuumu eno ye mujulirwa era n’empagi nayo mujulirwa nga nze sirisukka ntuumu eno na mpagi eno okukukola akabi. 53 (CF)Katonda wa Ibulayimu, era Katonda wa Nakoli,[f] Katonda wa kitaabwe atulamule.”

Yakobo naye n’alayirira bw’atyo Katonda, Entiisa ya kitaawe Isaaka. 54 Yakobo n’awaayo ssaddaaka ku lusozi; n’ayita abantu be okulya; ne balya, ne basula ku lusozi ekiro ekyo.

55 (CG)Ku makya ennyo Labbaani n’agolokoka n’asiibula bazzukulu be ne bawala be ng’abagwa mu kifuba; n’abawa omukisa, n’addayo ewuwe.

Yakobo Yeeteekateeka Okusisinkana Esawu

32 (CH)Awo Yakobo n’akwata ekkubo lye, bamalayika ba Katonda ne bamusisinkana. (CI)Yakobo bwe yabalaba n’agamba nti, “Lino ggye lya Katonda.” Ekifo ekyo n’alyoka akituuma Makanayimu.

(CJ)Awo Yakobo n’atuma ababaka eri Esawu muganda we, mu kitundu kya Seyiri[g] mu nsi ya Edomu. N’abagamba nti, “Mugambe mukama wange Esawu nti, ‘Omuddu wo Yakobo abadde ne Labbaani okutuusa kaakano, (CK)alina ente, n’endogoyi, n’endiga era n’embuzi, abaweereza abakazi era n’abasajja. Kaakano aweerezza mukama we Esawu obubaka buno afune okusaasirwa mu maaso ge.’ ”

(CL)Ababaka bwe baakomawo eri Yakobo ne bamugamba nti, “Twatuuka ewa muganda wo Esawu era ajja okukusisinkana ng’alina abasajja ebikumi bina.” (CM)Olwo Yakobo n’atandika okutiira ddala, n’asoberwa. N’ayawulamu abantu be yali nabo, n’ayawulamu n’endiga, ebisibo bye yalina ne mu ŋŋamira, ebibinja bibiri, ng’alowooza nti, “Esawu bw’anaatuuka ku kibinja ekisooka n’akizikiriza, kale ekibinja ekisigaddewo kinadduka.”

(CN)Awo Yakobo n’agamba nti, “Ayi Katonda wa jjajjange Ibulayimu, era Katonda wa kitange Isaaka, Ayi Mukama eyaŋŋamba nti, ‘Ddayo mu nsi yammwe, mu bantu bo, nange nnaakugaggawazanga,’ 10 (CO)sisaanira wadde akatundu akatono ak’okwagala kwo okutaggwaawo, wadde obwesigwa bwonna bw’olaze omuddu wo. Kubanga nasomoka omugga guno Yoludaani nga nnina muggobuggo; naye kaakano nfuuse ebibinja bibiri. 11 (CP)Nkusaba omponye mu mukono gwa muganda wange, Esawu, kubanga mmutya, talwa kujja n’atutta ffenna awamu n’abakazi n’abaana. 12 (CQ)Naye waŋŋamba nti, ‘Nnaakugaggawazanga, era abalikuvaamu baliba ng’omusenyu gw’ennyanja, ogutabalika obungi bwabwe.’ ”

Ekirabo kya Yakobo eri Esawu

13 (CR)N’alyoka asula eyo ekiro ekyo, n’aggya ekirabo kya muganda we Esawu ku ebyo bye yalina: 14 embuzi enkazi ebikumi bibiri, embuzi ennume amakumi abiri, endiga enkazi ebikumi bibiri, endiga ennume amakumi abiri, 15 eŋŋamira enkazi amakumi asatu n’obwana bwazo, ente enkazi amakumi ana n’ennume kkumi, n’endogoyi enkazi amakumi abiri, n’endogoyi ennume kkumi. 16 N’azikwasa abaddu be, buli kisibo ng’akyawudde, n’agamba abaddu be nti, “Kale munkulemberemu, mulekeewo ebbanga wakati wa buli kisibo.”

17 N’alagira eyakulembera nti, “Esawu, muganda wange bw’anaakusisinkana n’akubuuza nti, ‘Oli muntu w’ani? Ogenda wa? Na bino by’olina by’ani?’ 18 (CS)N’olyoka omuddamu nti, ‘Bya muddu wo Yakobo, birabo by’aweerezza mukama wange Esawu, era tali wala naffe.’ ” 19 Bw’atyo era n’alagira n’owokubiri n’owookusatu ne bonna abaagobereranga ebisibo nti, “Nammwe mwogere ebigambo bye bimu bwe musisinkana Esawu, 20 (CT)era mugambe nti, ‘Omuddu wo Yakobo tali wala naffe.’ ” Kubanga Yakobo yalowooza nti, “Nnaamuwooyawooya n’ekirabo ekinkulembedde, n’oluvannyuma nnaalaba amaaso ge, osanga tankole kabi.” 21 Ekirabo kyekyava kimukulemberamu, ye n’asula mu kifo we yali ekiro ekyo.

Yakobo Amegganira e Penieri

22 (CU)Mu kiro ekyo Yakobo n’agolokoka n’atwala bakazi be bombi, n’abaweereza be abakazi ababiri, n’abaana be ekkumi n’omu n’asomokera e Yaboki. 23 N’abatwala ne byonna bye yalina n’abasomosa omugga. 24 (CV)Ye Yakobo n’asigala yekka, omusajja n’ameggana naye okutuusa obudde okukya. 25 (CW)Omusajja bwe yalaba nga taasobole Yakobo, n’akoma ku kinywa ky’ekisambi kye. Yakobo n’atandika okuwenyera nga bw’ameggana n’omusajja. 26 (CX)Omusajja n’alyoka agamba Yakobo nti, “Ndeka ŋŋende kubanga obudde bugenda kukya.”

Naye Yakobo n’ayogera nti, “Sijja kukuta nga tompadde mukisa.” 27 Omusajja n’amubuuza nti, “Erinnya lyo gw’ani?” N’amuddamu nti, “Yakobo.”

28 (CY)Awo n’amugamba nti, “Tokyaddayo kuyitibwa Yakobo. Wabula onooyitibwanga Isirayiri, kubanga omegganye ne Katonda, awamu n’abantu n’owangula.”

29 (CZ)Awo ne Yakobo n’amugamba nti, “Mbuulira erinnya lyo.” Naye ye n’amuddamu nti, “Lwaki ombuuza erinnya lyange?” Awo n’amuwa omukisa.

30 (DA)Yakobo ekifo ekyo kyeyava akiyita Penieri, ng’agamba nti, “Kubanga ndabaganye ne Katonda, kyokka obulamu bwange ne busigalawo.”

31 Enjuba n’evaayo ne mwakako nga bw’asala Penieri, ng’awenyera olw’obuvune mu kisambi kye. 32 Abayisirayiri kyebava batalya kinywa ky’ekisambi na buli kati, kubanga ekyo omusajja wa Katonda kye yakomako.

Yakobo ne Esawu Basisinkana

33 (DB)Awo Yakobo n’ayimusa amaaso ge n’alaba Esawu ng’ajja ng’ali n’abasajja ebikumi bina. Yakobo n’alyoka ayawulamu abaana abaali ne Leeya ne Laakeeri awamu n’abaweereza be abakazi ababiri. Abaweereza n’abaana baabwe ne bakulembera, Leeya n’abaana be ne baddako, Laakeeri ne Yusufu ne basembayo. (DC)Ye Yakobo ng’abakulembedde, nga bw’avuunama ku ttaka emirundi musanvu, okutuusa lwe yatuuka okumpi ne muganda we.

(DD)Naye Esawu n’adduka okumusisinkana, n’amulamusa ng’amugwa mu kifuba n’amunywegera; bombi ne bakaaba. (DE)Esawu bwe yayimusa amaaso ge n’alaba abakazi n’abaana, n’abuuza Yakobo nti, “Bano baani abali naawe?” Yakobo n’amuddamu nti, “Be baana Katonda baawadde omuddu wo mu kisa kye.”

Awo abaweereza be abakazi n’abaana baabwe ne basembera, ne bavuunama, mu ngeri y’emu. Leeya n’abaana be nabo ne basembera ne bavuunama. Oluvannyuma Yusufu ne Laakeeri ne basembera nabo ne bavuunama. (DF)Esawu n’abuuza Yakobo nti, “Otegeezaaki olwa bino byonna bye nsanze?” Yakobo n’addamu nti, “Lwa kufuna kusaasirwa kwa mukama wange.”

Naye ye Esawu n’amugamba nti, “Bye nnina bimmala, muganda wange, by’olina beera nabyo.” 10 (DG)Yakobo n’amuddamu nti, “Nedda nkwegayiridde, obanga nfunye okusaasirwa mu maaso go, kale kkiriza ekirabo kyange ekivudde mu ngalo zange. Kubanga ddala okulaba ku maaso go kiri ng’okulaba amaaso ga Katonda, olw’ekisa ekyo ky’onnyaniririzzaamu. 11 (DH)Nkwegayiridde kkiriza ekirabo kyange ekikuleeteddwa, kubanga Katonda andaze ekisa kye, era siri mu bwetaavu.” Bw’atyo Esawu n’akikkiriza.

12 Awo Esawu n’agamba nti, “Kale tutambule, nze nzija okukukulemberamu.”

13 Naye Yakobo n’amuddamu nti, “Mukama wange amanyi nti abaana banafu, era n’ebisibo biyonsa, era singa bitambuzibwa awatali busaasizi bijja kufa. 14 (DI)Mukama wange k’aleke omuddu we, nze nzija kujja mpola, okusinziira ku ntambula y’ebisolo ebikulembedde, era ne ku ntambula y’abaana, okutuusa lwe ndituuka mu Seyiri.”

Yakobo agenda e Sekemu

15 (DJ)Awo Esawu n’agamba Yakobo nti, “Kale ka ndeke abamu ku basajja abali nange.” Naye Yakobo n’amuddamu nti, “Tekyetaagisa. Kale nsaba ekisa mu maaso ga mukama wange.” 16 Bw’atyo Esawu n’addayo ku lunaku olwo mu Seyiri. 17 (DK)Naye Yakobo n’alaga mu Sukkosi, ne yeezimbira ennyumba, n’azimbira n’ensolo ebisiisira; ekifo ekyo kyekiva kiyitibwa Sukkosi.

18 (DL)Era Yakobo n’atuuka mirembe mu kibuga Sekemu, mu nsi ya Kanani, ng’ava e Padanalaamu, n’asiisira okwolekera ekibuga. 19 (DM)Abaana ba Kamoli kitaawe wa Sekemu ne bamuguza ekitundu mwe yasiisira, n’abasasula ebitundu bya ffeeza kikumi. 20 N’azimbira eyo ekyoto n’akiyita Ekyoto kya Katonda wa Isirayiri.

Sekemu Asobya ku Dina

34 (DN)Awo Dina muwala wa Leeya gwe yazaalira Yakobo, n’agenda okukyalira abakazi ab’omu nsi eyo. Sekemu mutabani wa Kamoli Omukiiti omufuzi w’ensi eyo n’amulaba n’amukwata n’amusobyako. Omwoyo gwa Sekemu ne gutwalibwa Dina muwala wa Yakobo, n’amwagala n’ayogera naye ebigambo ebiweweevu. Sekemu n’alyoka agamba kitaawe Kamoli nti, “Mpasiza omuwala ono abeere mukazi wange.”

Yakobo bwe yawulira nga Sekemu asobezza ku muwala we Dina, n’aba mukkakkamu okutuusa batabani be abaali balabirira ebisibo ku ttale lwe badda. (DO)Kamoli kitaawe wa Sekemu n’agenda eri Yakobo okwogera naye. (DP)Batabani ba Yakobo ne bakomawo eka nga bamaze okukitegeera. Ne banakuwala era ne basunguwalira nnyo Sekemu olw’okukola eky’ekivve era ekitasaana mu Isirayiri.

Kyokka ye Kamoli n’ayogera nabo ng’agamba nti, “Omwoyo gwa mutabani wange gwegomba nnyo muwala wo, nkwegayirira mumuwe amuwase. Kkiriza tufumbiriganwenga, otuwe bawala bo, nammwe muwasenga bawala baffe. 10 (DQ)Munaabeeranga mu ffe, era mukolenga buli kye mwagala mu nsi yaffe. Mubeeremu era musuubuliremu, mugaggawale nnyo.”

11 Sekemu naye n’ayogera ne Yakobo ne bannyina ba Dina, nti, “Nsaba ndabe ekisa mu maaso gammwe, era kyonna kye munansalira nzija kukibawa. 12 (DR)Munsabe ebyobuko ebirabo n’ebigenderako, byonna nzija kubibawa nga bwe binaaba binsabiddwa; kye muba munkolera kwe kumpa omuwala abeere mukazi wange.”

13 Batabani ba Yakobo ne baddamu Sekemu ne kitaawe Kamoli nga babakwenyakwenya kuba Sekemu yali asobezza ku mwannyinaabwe Dina. 14 (DS)Ne babagamba nti, “Ekyo tetusobola kukikola okuwa mwannyinaffe omuntu atali mukomole, kubanga kya muzizo gye tuli. 15 (DT)Kye muteekwa okukola, tulyoke tukkirize, kwe kufuuka nga ffe nga buli musajja mu mmwe akomolebbwa. 16 Tulyoke tubawe bawala baffe, era naffe tuwase bawala bammwe, tubeere mu mmwe tufuuke eggwanga limu. 17 Naye bwe mutakkiriza kukomolebwa, kale tunaatwala muwala waffe ne tugenda.”

Okwesasuza Olwa Dina

18 Ebigambo byabwe ne bisanyusa Kamoli ne mutabani we Sekemu. 19 (DU)Era omuvubuka teyalwa kukomolebwa, kubanga yayagala nnyo muwala wa Yakobo. Omuvubuka oyo ye yali asinga okussibwamu ekitiibwa mu baana ba Kamoli bonna. 20 (DV)Awo Kamoli ne mutabani we Sekemu ne batuuka ku wankaaki[h] w’ekibuga kyabwe ne boogera n’abantu b’ekibuga kyabwe nga bagamba nti, 21 Abasajja abo mikwano gyaffe. Ka babeere mu nsi yaffe bakoleremu, kubanga, mulabe, ensi nnene ebamala. Ffe ka tuwase bawala baabwe era naffe tubawe bawala baffe. 22 Wabula buli musajja mu ffe ateekwa okukomolebwa, nga bo bwe bakola; tufuuke eggwanga limu, lwe banakkiriza okubeera mu ffe. 23 Olwo ente zaabwe, ebintu byabwe n’ensolo zaabwe zonna tebiibe byaffe? Kye tuba tukola kwe kukkiriziganya nabo, balyoke babeere mu ffe.

24 (DW)Abasajja bonna abaali ku mulyango ebweru w’ekibuga ne bakkiriziganya ne Kamoli ne mutabani we Sekemu; buli musajja eyafuluma ebweru w’omulyango gw’ekibuga n’akomolebwa.

25 (DX)Bwe waayitawo ennaku ssatu, nga bakyali mu bulumi, batabani ba Yakobo: Simyoni ne Leevi bannyina Dina ne baddira ebitala byabwe ne balumba ekibuga, abaamu nga tebategedde, ne batta buli musajja. 26 Battiramu Kamoli ne mutabani we Sekemu ne baggya Dina mu nnyumba ya Sekemu ne beetambulira. 27 Awo batabani ba Yakobo ne bagwa ku munyago ne banyaga ekibuga olwa mwannyinaabwe. 28 Ne batwala ebisibo by’endiga, amagana g’ente, n’endogoyi, na buli ekyali mu kibuga ne ku ttale. 29 N’obugagga bwonna, n’abaana bonna awamu n’abakazi, na buli ekyali mu mayumba, byonna ne babiwamba ne babinyaga.

30 (DY)Awo Yakobo n’agamba Simyoni ne Leevi nti, “Mundeetedde akacwano, nfuuse wa kukyayibwa abantu bonna ab’omu nsi, Abakanani n’Abaperezi. Ffe tuli batono, kale bwe baneekuŋŋaanya ne bannumba nzija kumalibwawo, nze n’ennyumba yange yonna.”

31 Bo ne bamuddamu nti, “Lwaki yayisa mwannyinaffe ng’omwenzi?”

Katonda Azza Obuggya Endagaano ne Yakobo

35 (DZ)Katonda n’agamba Yakobo nti, “Golokoka oyambuke e Beseri, obeere eyo, ozimbire Katonda ekyoto, eyakulabikira bwe wadduka muganda wo Esawu.”

(EA)Awo Yakobo n’agamba ab’omu nnyumba ye ne bonna abaali naye nti, “Muggyeewo bakatonda abalala abali nammwe, mwetukuze mukyuse ebyambalo byammwe, (EB)tulyoke twambuke tugende e Beseri ndyoke nzimbire Katonda ekyoto, Katonda eyanziramu mu nnaku ez’okunakuwala kwange, era abadde nange buli gye ŋŋenze. (EC)Awo ne bawa Yakobo bakatonda abalala bonna be baalina, n’empeta ezaali ku matu gaabwe;[i] Yakobo n’abiziika wansi w’omuvule ogwali okumpi ne Sekemu.” (ED)Bwe baali batambula, entiisa ya Katonda n’egwa ku bibuga ebyali bibeetoolodde, ne batagoberera baana ba Yakobo.

(EE)Yakobo n’ajja e Luzi, ye Beseri, ekiri mu nsi ya Kanani, ye n’abantu bonna abaali naye. (EF)N’azimba eyo ekyoto, n’akituuma Erubeeseeri. Kubanga eyo Katonda gye yamweragira bwe yadduka muganda we.

(EG)Debola omujjanjabi wa Lebbeeka n’afa n’aziikibwa wansi w’omuvule, wansi wa Beseri kyekyava kiyitibwa Alooninakusi. (EH)Yakobo bwe yava mu Padanalaamu Katonda n’amulabikira, n’amuwa omukisa. 10 (EI)Katonda n’amugamba nti, “Erinnya lyo ggwe Yakobo; tokyaddayo kuyitibwa Yakobo, erinnya lyo linaabanga Isirayiri.” Bwe kityo erinnya lye ne liba Isirayiri. 11 (EJ)Katonda n’amugamba nti, “Ndi Katonda Ayinzabyonna: zaala oyale, eggwanga n’enkuyanja y’amawanga biriva mu ggwe, ne bakabaka balisibuka mu ggwe. 12 (EK)Ensi gye nawa Ibulayimu ne Isaaka, ndigikuwa ggwe, era ndigiwa n’ezzadde lyo eririddawo.” 13 (EL)Awo Katonda n’alinnya okuva waali mu kifo we yayogerera naye.

14 (EM)Yakobo n’asimba empagi mu kifo Katonda mwe yayogerera naye, empagi ey’ejjinja; n’agiyiwako ekiweebwayo ekyokunywa, n’ayiwako n’amafuta. 15 (EN)Yakobo ekifo Katonda we yayogerera naye n’akiyita Beseri.

16 Bwe baava e Beseri, era nga bakyali walako okuva Efulasi, Laakeeri n’alumwa, n’alumwa ddala nnyo. 17 (EO)Bwe yali ng’alumwa bw’atyo omuzaalisa n’amugamba nti, “Totya kubanga kaakano onoofuna omwana omulala owoobulenzi.” 18 Omwoyo bwe gwali gumuggwaamu ng’afa, n’amutuuma Benoni, naye kitaawe n’amuyita Benyamini.

19 (EP)Awo Laakeeri n’afa n’aziikibwa ku kkubo erigenda Efulasi (ye Besirekemu). 20 (EQ)Yakobo n’asimba empagi ku malaalo ge, y’empagi y’amalaalo ga Laakeeri, ekyaliwo n’okutuusa kaakano.

21 Isirayiri ne yeeyongera okutambula, n’akuba eweema ye, emabega w’omunaala gwa Ederi. 22 (ER)Isirayiri bwe yali ng’ali mu nsi omwo Lewubeeni n’agenda ne yeebaka ne Biira omuweereza wa kitaawe, Isirayiri n’akiwulira.

Batabani ba Yakobo baali kkumi n’ababiri.

23 (ES)Batabani ba Leeya baali:

Lewubeeni mutabani wa Yakobo omubereberye,

ne Simyoni, ne Leevi, ne Yuda, ne Isakaali ne Zebbulooni.

24 (ET)Batabani ba Laakeeri ye:

Yusufu ne Benyamini.

25 (EU)Batabani ba Biira, omuweereza wa Laakeeri be ba:

Ddaani ne Nafutaali.

26 (EV)Batabani ba Zirupa omuweereza wa Leeya be ba:

Gaadi ne Aseri.

Bano be batabani ba Yakobo abaamuzaalirwa mu Padanalaamu.

Okufa kwa Isaaka

27 (EW)Awo Yakobo n’ajja eri kitaawe Isaaka e Mamule, oba Kiriyasaluba, ye Kebbulooni, Ibulayimu ne Isaaka mwe baatuulanga. 28 (EX)Isaaka yawangaala emyaka kikumi mu kinaana. 29 (EY)Isaaka n’afa ng’akaddiye nnyo n’agenda abantu be gye bagenda, ng’amaze ennaku nnyingi, batabani be Esawu ne Yakobo ne bamuziika.

Ezadde lya Esawu

36 (EZ)Bino bye bifa ku b’olulyo lwa Esawu, ye Edomu.

(FA)Esawu yawasa abakazi ng’abaggya mu Bakanani: Yawasa Ada muwala wa Eroni Omukiiti, ne Okolibama muwala wa Ana mutabani wa Zibyoni Omukiivi, ne Basimansi muwala wa Isimayiri muganda wa Nebayoosi.

(FB)Ada n’azaalira Esawu Erifaazi, ne Basimansi n’azaala Leweri; ne Okolibama n’azaala Yewusi, ne Yalamu ne Koola; abo be batabani ba Esawu abaamuzaalirwa mu nsi ya Kanani.

(FC)Awo Esawu n’atwala bakazi be, ne batabani be, ne bawala be n’abantu be bonna, n’ente ze, awamu n’ebintu bye byonna bye yafuna mu nsi ya Kanani; n’agenda mu nsi ey’ewala ku ya muganda we Yakobo. (FD)Kubanga obugagga bwabwe bwali bungi nnyo nga tebukyabasobozesa kubeera wamu n’ensi mwe baali ng’ebafundiridde olw’obungi bw’ebisolo byabwe. (FE)Olwo ye Esawu, era ye Edomu, n’abeera mu nsi ey’ensozi za Seyiri.

Bino bye bifa ku b’olulyo lwa Esawu, kitaawe w’Abaedomu abaamuzaalirwa ng’ali mu nsi y’ensozi za Seyiri.

10 Batabani be baali:

Erifaazi eyamuzaalirwa Ada, ne Leweri eyamuzaalirwa Basimansi.

11 (FF)Batabani ba Erifaazi baali

Temani, ne Omali, ne Zefo, ne Gatamu ne Kenazi.

12 (FG)Timuna yali mukazi wa Erifaazi, mutabani wa Esawu era yamuzaalira Ameleki. Abo be batabani ba Ada mukazi wa Esawu.

13 Bano be batabani ba Leweri:

Nakasi, ne Zeera, ne Saama ne Mizza. Abo be bazzukulu ba Esawu ne mukazi we Basemasi.

14 N’abaana ba Okolibama muwala wa Ana, muzzukulu wa Zibyoni, baali

Yewusi, ne Yalamu ne Koola, be yazaalira bba Esawu.

15 (FH)Bano be bakulu b’enda ya Esawu:

Enda ya Erifaazi omubereberye wa Esawu:

Temani, ne Omali, ne Zefo, ne Kenazi, 16 (FI)ne Koola, ne Gatamu ne Amaleki abaali mu nsi ya Edomu be batabani ba Ada.

17 (FJ)Enda ya Leweri mutabani wa Esawu:

Nakasi, ne Zeera, ne Samma ne Mizza nabo baali mu nsi ya Edomu, era baava mu Basimansi, mukazi wa Esawu.

18 Abaazaalibwa Okolibama mukazi wa Esawu, muwala wa Ana:

Yewusi, ne Yalamu ne Koola.

19 (FK)Abo bonna be baava mu Esawu, ye Edomu, era be bakulu b’enda zaabwe.

20 (FL)Batabani ba Seyiri Omukooli abaabeeranga mu Edomu be ba

Lotani, ne Sobali, ne Zibyoni, ne Ana, 21 ne Disoni, ne Ezeri ne Disani. Abo be baava mu Bakooli, be baana ba Seyiri abaali mu nsi ya Edomu.

22 Batabani ba Lotani baali

Kooli, ne Kemamu, era Lotani yalina mwannyina nga ye Timuna.

23 Batabani ba Sobali be ba

Aluvani, ne Manakasi, ne Eberi, ne Sefo ne Onamu.

24 Aba Zibyoni, be ba

Aya ne Ana; ono ye Ana eyavumbula ensulo z’amazzi agookya, ezaali mu ddungu; bwe yali ng’alunda endogoyi za kitaawe Zibyoni.

25 Abaana ba Ana be ba

Disoni ne Okolibama omuwala.

26 Bo batabani ba Disoni be ba

Kemudaani, ne Esubani, ne Isulani ne Kerani.

27 Aba Ezeri be ba

Birani, ne Zaavani ne Akani.

28 Ate aba Disani be ba

Uzi ne Alani.

29 Bano be bakulu b’enda za Bakooli:

Lotani, ne Sobali, ne Zibyoni, ne Ana, 30 ne Disoni, ne Ezeri ne Disani.

Bano be bakulu b’enda za Bakooli ng’ebika byabwe bwe byali, mu nsi ya Seyiri.

Bakabaka ba Edomu

31 (FM)Bakabaka abafuga ensi ya Edomu, nga tewannaba na kabaka afuga Isirayiri be bano:

32 Bera mutabani wa Byori yafuga Edomu ng’asinziira mu kibuga kye Dinukaba.

33 (FN)Bera bwe yafa Yobabu mutabani wa Zeera ow’e Bozula n’afuga mu kifo kye.

34 (FO)Yobabu bwe yafa Kusamu Omutemani n’afuga mu kifo kye.

35 (FP)Ne Kusamu bwe yafa, Kadadi mutabani wa Bedadi, eyawangula Midiyaani, mu nsi ya Mowaabu n’afuga mu kifo kye; ng’afugira mu kibuga ky’e Avisi.

36 Ate Kadadi bwe yafa, Samula ow’e Masuleka n’afuga mu kifo kye.

37 Samula bwe yafa Sawuli ow’e Lekobosi, ku mugga Fulaati n’afuga mu kifo kye.

38 Sawuli bwe yafa, Baalukanani mutabani wa Akubooli n’afuga mu kifo kye.

39 Ate Balukanani mutabani wa Akubooli bwe yafa, Kadali n’afuga mu kifo kye, ng’ali mu kibuga kye Pawu; mukazi we yayitibwanga Meketaberu muwala wa Mezakabu ne Matirida.

40 Bano be bakulu b’enda zaabo abaava mu Esawu, nga bwe baali mu bifo byabwe:

Timuna, ne Aluva, ne Yesesi,

41 ne Okolibama, ne Era, ne Pinoni,

42 ne Kenazi, ne Temani, ne Mibuza,

43 ne Magidiyeri, ne Iramu.

Abo be bakulu b’enda ya Edomu, ye Esawu kitaawe wa Edomu, okusinziira mu bifo mwe baali mu nsi y’obutaka bwabwe.

Ekirooto Kya Yusufu n’Obukyayi bwa Baganda be

37 (FQ)Yakobo yabeeranga mu Kanani, ensi bajjajjaabe mwe baatambuliratambuliranga.

(FR)Era bino bye bifa ku lulyo lwa Yakobo:

Yusufu bwe yali nga wa myaka kkumi na musanvu ng’ali ne baganda be batabani ba Biira ne Zirifa, nga balunda ekisibo ky’endiga, Yusufu n’ategeezanga Yakobo kitaabwe ebintu ebibi bye baakolanga.

(FS)Bw’atyo Isirayiri n’ayagala nnyo Yusufu okusinga abaana be abalala, kubanga nga ye mwana ow’omu bukadde bwe; n’amutungira ekyambalo eky’amabala amangi. (FT)Naye baganda ba Yusufu bwe baalaba nga kitaabwe amwagala okusinga bo ne bakyawa Yusufu, ne batayinza na kwogera naye na kisa.

(FU)Lumu Yusufu n’aloota ekirooto, n’agenda n’akitegeeza baganda be, ne beeyongera nnyo okumukyawa. Yabagamba nti, “Muwulire ekirooto kino kye naloose. (FV)Twali tusiba ebinywa by’eŋŋaano nga tuli mu nnimiro, ekinywa kyange ne kiyimuka ne kiyimirira; laba ebinywa byammwe ne bikyebungulula ne bikivuunamira.” (FW)Baganda be ne bamugamba nti, “Olowooza olitufuga? Olowooleza ddala nti tulibeera baddu bo?” Olwo ne beeyongera nnyo okumukyayira ddala olw’ekirooto kye n’ebigambo bye.

Ate n’aloota ekirooto ekirala n’akitegeeza baganda be, n’agamba nti, “Ndoose ekirooto ekirala: ne ndaba enjuba n’omwezi n’emmunyeenye ekkumi n’emu nga binvuunamira.”

10 (FX)Naye bwe yakitegeeza kitaawe ng’ali wamu ne baganda be, kitaawe n’amunenya ng’agamba nti, “Kirooto ki kino ky’oloose? Ddala nze ne nnyoko awamu ne baganda bo tulijja ne tuvuunama mu maaso go?” 11 (FY)Baganda be ne bamukwatirwa obuggya, kyokka ye kitaabwe n’akuuma ekigambo ekyo mu mutima gwe.

Yusufu Atundibwa Baganda be

12 Awo baganda ba Yusufu ne bagenda okumpi ne Sekemu okulunda ekisibo kya kitaabwe. 13 Isirayiri n’alyoka agamba Yusufu nti, “Nga baganda bo bwe balundira e Sekemu, jjangu nkutume gye bali.” Yusufu n’amuddamu nti, “Nzuuno ntuma.” 14 (FZ)N’alyoka amugamba nti, “Genda kaakano olabe obanga baganda bo n’ekisibo bali bulungi, okomewo ontegeeze.” Awo n’amutuma okuva mu kiwonvu kya Kebbulooni, n’atuuka e Sekemu.

15 Awo omusajja n’amulaba ng’atangatangira ku ttale, n’amubuuza nti, “Onoonya ki?” 16 N’amuddamu nti, “Noonya baganda bange, nkwegayiridde mbuulira gye balundira ekisibo.” 17 (GA)Omusajja n’amuddamu nti, “Beeyongerayo, kubanga nabawulira nga bagamba nti, ‘Ka tugende e Dosani.’ ” Awo Yusufu n’agoberera baganda be n’abasanga e Dosani. 18 (GB)Baganda be ne bamulengera ng’akyali wala, era bwe yali nga tannabasemberera ne bateesa bamutte.

19 Ne bagambagana nti, “Sekalootera wuuyo ajja. 20 (GC)Kale mujje tumutte, tumusuule mu kimu ku binnya;[j] tuligamba nti, ‘Ensolo enkambwe ye yamulya; tulabe ebirooto bye bwe birituukirira.’ ”

21 (GD)Naye Lewubeeni bwe yakiwulira n’agezaako okumuwonya mu mikono gyabwe n’agamba nti, “Tetumutta. 22 Tuleme kuyiwa musaayi; ka tumusuule mu bunnya buno wano mu nsiko. Temumuteekako mukono gwammwe.” Yayogera bw’atyo alyoke amuwonye mu mikono gyabwe, amuddize kitaawe.

23 Awo Yusufu bwe yatuuka ku baganda be ne bamwambulamu ekyambalo kye eky’amabala amangi kye yali ayambadde: 24 (GE)ne bamutwala ne bamusuula mu bunnya obwali obukalu nga tebuliimu mazzi.

25 (GF)Awo bwe baatuula okulya, ne bayimusa amaaso ne balengera ekibiina ky’Abayisimayiri nga bava e Gireyaadi, ng’eŋŋamira zaabwe zeettise ebyakaloosa, n’envumbo ne mooli nga bali mu lugendo babitwala e Misiri.

26 (GG)Yuda kwe kugamba baganda be nti, “Kitugasa ki okutta muganda waffe n’okuyiwa omusaayi gwe? 27 (GH)Tumuguze Abayisimayiri. Omukono gwaffe guleme okumubaako, kubanga muganda waffe, omubiri gwaffe gwennyini.” Baganda be ne bakkiriziganya naye.

28 (GI)Abasuubuzi, Abayisimayiri bwe baabatuukako ne baggya Yusufu mu bunnya, ne bamuguza Abayisimayiri. Baamubaguza ebitundu bya ffeeza amakumi abiri; ne bamutwala e Misiri. 29 (GJ)Lewubeeni bwe yadda n’alaga ku bunnya n’alaba nga Yusufu taliimu, n’ayuza engoye ze, 30 (GK)n’addayo eri baganda be n’abagamba nti, “Omwana taliiyo. Kale naamunoonyeza wa?”

31 (GL)Awo ne baddira ekyambalo kya Yusufu, ne batta embuzi, ne bakinnyika mu musaayi. 32 Ne baddira ekyambalo ekyo eky’amabala amangi ne bakitwalira kitaabwe ne bamugamba nti, “Twalaba ekyambalo kino, kikebere olabe obanga kye kya mutabani wo.”

33 (GM)N’akyetegereza n’agamba nti, “Kye kyambalo kya mutabani wange! Ensolo enkambwe yamulya. Ddala Yusufu yataagulwataagulwa.”

34 (GN)Awo Yakobo n’ayuza ebyambalo bye, n’akungubagira Yusufu okumala ebbanga ddene. 35 (GO)Batabani be bonna ne bawala be ne bagenda gy’ali okumusanyusa, kyokka ye n’atakkiriza kusanyusibwa. N’agamba nti, “Nedda, ndikka emagombe nga nkyakungubagira omwana wange Yusufu.” Bw’atyo Yakobo n’akungubagira nnyo Yusufu.

36 (GP)Mu kiseera kyekimu Abamidiyaani bwe baatuuka e Misiri, Yusufu ne bamuguza Potifali, omu ku bakungu ba Falaawo; omukungu oyo ye yali omukulu wa bambowa.

38 Awo olwatuuka Yuda n’ava ku baganda be n’aserengeta, n’ayingira ew’Omudulamu, erinnya lye, Kira. (GQ)Yuda n’alabayo muwala wa Suwa, Omukanani, n’amuwasa, ne yeetaba naye, (GR)n’aba olubuto n’azaala omwana owoobulenzi n’amutuuma erinnya Eri. Mukyala wa Yuda n’aba olubuto olulala n’azaala omwana omulenzi n’amutuuma Onani. Ate n’azaala omwana omulala n’amutuuma Seera. Yamuzaalira mu Kezibu.

Era Yuda n’awasiza mutabani we omukulu, Eri, omukazi erinnya lye Tamali. (GS)Naye Eri mutabani wa Yuda omukulu n’aba mwonoonyi mu maaso ga Mukama; Mukama n’amutta.

(GT)Awo Yuda n’agamba Onani nti, “Genda eri muka muganda wo, ofunire muganda wo ezzadde.” Naye Onani n’amanya nti ezzadde teririba lirye; bw’atyo bwe yeetaba naye, amannyi n’agafuka wansi aleme okufunira muganda we ezzadde. 10 (GU)Ekyo kye yakola kyali kibi mu maaso ga Mukama. N’ono Mukama kyeyava amutta.

11 (GV)Awo Yuda olw’okutya nti Seera ayinza okufa nga baganda be, n’agamba Tamali nti, “Ogira obeera nnamwandu, ng’oli mu nnyumba ya kitaawo okutuusa Seera lw’alikula.” Tamali kwe kugenda n’abeera mu nnyumba ya kitaawe.

Yuda ne Tamali

12 (GW)Bwe waayitawo ebbanga mukazi wa Yuda, muwala wa Suwa n’afa. Yuda bwe yayita mu kukungubaga, n’agenda ne Kira Omudulamu e Timuna eri basajja be abasazi b’ebyoya by’endiga ze. 13 Tamali bwe kyamubuulirwa nti, “Sezaala wo agenda e Timuna okusala ebyoya by’endiga ze,” 14 (GX)n’asuula eri ebyambalo by’obwannamwandu ne yeeteekako ekiremba ne yeebikkirira, n’atuula ku mulyango gwa Enayimu, ekiri ku kkubo ng’ogenda e Timuna. Kubanga yamanya nti, Seera akuze, kyokka nga tamuweereddwa ku muwasa.

15 Yuda bwe yamulaba, n’amulowooza okuba omu ku bamalaaya, kubanga yali abisse amaaso ge. 16 (GY)N’agenda gy’ali ku mabbali g’ekkubo, n’amugamba nti, “Jjangu, neetabe naawe,” kubanga teyamanya nti ye yali muka mutabani we. Tamali kwe ku mubuuza nti, “Onompa ki bwe neetaba naawe?” 17 (GZ)Yuda n’amuddamu nti, “Nnaakuweereza embuzi ento.” N’amubuuza nti, “Onompa omusingo nga tonnagimpeereza?”

18 (HA)Yuda n’amuddamu nti, “Nkuwe musingo ki?” N’amugamba nti, “Akabonero ko, akajegere ko awamu n’omuggo gwo oguli mu mukono gwo.” Awo n’abimuwa, ne yeetaba naye, n’amufunyisa olubuto. 19 (HB)Tamali n’agolokoka n’agenda, n’aggyako ekiremba n’ayambala ebyambalo by’obwannamwandu bwe.

20 Yuda bwe yatuma mukwano gwe Omudulamu, okutwala omwana gw’embuzi, addizibwe omusingo teyalaba ku mukazi. 21 (HC)Bwe yabuuliriza ab’omu kifo omwo, omukazi malaaya eyali Enayimu ku mabbali g’ekkubo, ne bamuddamu nti, “Wano tewabeeranga mukazi malaaya.” 22 N’alyoka addayo eri Yuda n’amugamba nti takubikako kimunye; era n’abantu ab’ekitundu ekyo bamutegeezeza nti, “Awo tewabangawo mukazi malaaya[k].”

23 Yuda kwe kumugamba nti, “Omukazi oli, ebintu k’abisigaze tuleme okusekererwa, naweereza embuzi eno, naye n’atalabikako.”

Perezi ne Zeera Bazaalibwa

24 (HD)Emyezi ng’esatu bwe gyayitawo ne bagamba Yuda nti, “Muka mwana wo Tamali yafuuka mwenzi. Ate ebyo nga biri awo obwenzi obwo yabufunamu n’olubuto.” Yuda kwe kwejuumuula nga bw’agamba nti, “Mumuleete ayokebwe.”

25 (HE)Tamali bwe yali atwalibwa n’atumira sezaala we Yuda n’amugamba nti, “Omusajja nannyini bintu bino ye kazaalabulwa. Nkusaba weetegereze ebintu bino: akabonero, akajegere n’omuggo, by’ani?”

26 (HF)Awo Yuda n’abitegeera n’agamba nti, “Omuwala mutuukirivu okunsinga, kubanga saamuwa mutabani wange Seera.” Yuda n’atamuddira.

27 (HG)Ekiseera eky’okuwona bwe kyatuuka n’alabika nga wakuzaala balongo. 28 Era bwe yali mu ssanya omulongo omu n’afulumya omukono gwe, omuzaalisa n’agukwata n’agusibako akawuzi akaakakobe nga bw’agamba nti, “Ono y’asoose okujja.” 29 (HH)Naye omulongo bwe yazzaayo omukono gwe munda, muganda we n’afuluma; omuzaalisa n’agamba nti, “Lwaki owaguzza?” Erinnya ly’omwana kyeryava liba Pereezi.[l] 30 (HI)Oluvannyuma muganda we n’afuluma n’akawuzi akaakakobe nga kali ku mukono gwe, n’ayitibwa Zeera.

Yusufu ne Muka Potifali

39 (HJ)Awo Yusufu bwe yatwalibwa e Misiri, Potifali omukungu wa Falaawo, omukulu w’abambowa Omumisiri n’amugula okuva ku Bayisimayiri abaamutwala e Misiri.

(HK)Mukama n’aba ne Yusufu n’aba n’omukisa ng’ali mu nnyumba ya mukama we Omumisiri. (HL)Ne mukama we n’alaba nga Mukama amuwadde omukisa mu buli ky’akola. (HM)Awo Yusufu n’aganja nnyo mu maaso ga mukama we, n’amulabiriranga, n’amufuula omukulu we nnyumba ye ne byonna bye yalina. (HN)Okuva olwo Mukama n’awa omukisa ennyumba y’Omumisiri olwa Yusufu. Omukisa gwa Mukama ne guba ku byonna bye yalina, mu nnyumba ne mu nnimiro. (HO)Awo Omumisiri n’ateeka byonna mu mikono gya Yusufu. Yusufu n’avunaanyizibwanga byonna okuggyako emmere mukama we gye yalyanga.[m]

Kyokka Yusufu yali mulungi nnyo, mubalagavu. (HP)Awo olwatuuka oluvannyuma lw’ebbanga eriwerako, mukyala wa mukama we namutunuulira n’okwegomba era n’amugamba nti, “Weebake nange.” (HQ)Naye Yusufu n’agaana, n’agamba mukazi wa mukama we nti, “Laba, mukama wange yankwasa byonna ebiri mu nnyumba, n’abiteeka byonna mu mikono gyange, (HR)era tewali n’omu ansinga mu nnyumba ye, tewali na kimu ky’atankwasa okuggyako ggwe, kubanga ggwe oli mukazi we. Kale nnyinza ntya okuyingira mu kwonoona okwenkanidde awo n’okusobya eri Katonda?” 10 Newaakubadde muka mukama we yamutayirira, Yusufu ye teyamuwulira na mulundi na gumu.

11 Naye lwali lumu Yusufu bwe yayingira mu nju okukola emirimu gye nga tewali n’omu mu nnyumba, 12 (HS)muka mukama we n’akwata ekyambalo kya Yusufu nga bw’agamba nti, “Weegatte nange.” Yusufu n’amwesimatulako, ekyambalo kye ne kisigala mu ngalo z’omukazi wa mukama we. Ye n’adduka n’ava mu nnyumba.

13 Naye omukazi bwe yalaba ng’asigazza ekyambalo kya Yusufu, 14 (HT)n’ayita abasajja ab’omu nnyumba ye n’abagamba nti, “Mulabe, yatuleetera Omwebbulaniya okutuduulira, yazze gye ndi okwebaka nange, 15 bw’awulidde nga ndeekaana n’adduka n’ava mu nnyumba.”

16 Awo kwe kutereka ekyambalo okutuusa mukama wa Yusufu lwe yadda eka. 17 (HU)Omukyala n’abuulira bba byonna ng’agamba nti, “Omuddu Omwebbulaniya gwe watuleetera, yayingidde gye ndi okunjooga. 18 Naye nabadde nakaleekaana, n’aleka ekyambalo kye gye ndi, n’adduka n’ava mu nnyumba.”

Yusufu Ateekebwa mu Kkomera

19 (HV)Awo mukama wa Yusufu bwe yawulira ebigambo omukazi bye yamutegeeza ng’agamba nti, “Bw’ati ne bw’ati omuddu wo bwe yampisizza,” obusungu bwa bba ne bubuubuuka. 20 (HW)Mukama wa Yusufu n’akwata Yusufu n’amuteeka mu kkomera omwasibirwanga abazzizza emisango eri kabaka.

21 (HX)Naye Mukama n’abeera ne Yusufu, n’amulaga okwagala kwe okutalojjeka. N’aganja nnyo mu maaso g’omukuumi w’ekkomera. 22 (HY)Omukuumi w’ekkomera n’ateeka abasibe bonna mu mikono gya Yusufu, era buli ekyakolebwanga nga Yusufu y’akirinako obuvunaanyizibwa. 23 (HZ)Omukuumi w’ekkomera nga tafaayo ku buli ekyalinga mu mikono gya Yusufu, kubanga Mukama yali naye, era Mukama n’amuwa omukisa mu buli kye yakolanga.

Yusufu Annyonnyola Ebirooto

40 (IA)Oluvannyuma lw’ebyo omusenero wa kabaka w’e Misiri wamu n’omukulu wa bafumbi be ne banyiiza mukama waabwe kabaka w’e Misiri. (IB)Falaawo n’asunguwalira nnyo abakungu be abo: omusenero n’omukulu w’abafumbi, (IC)n’abawaayo mu mikono gy’omukulu w’ekkomera, Yusufu mwe yali. (ID)Omukulu w’ekkomera n’abawa Yusufu okubakuuma, n’abalabirira, ne babeera mu kkomera.

(IE)Naye ekiro kimu omusenero n’omukulu wa bafumbi aba kabaka w’e Misiri abaali mu kkomera ne baloota, buli omu ekirooto kye, era nga buli kimu kirina amakulu gaakyo. Yusufu bwe yajja gye bali ku makya, n’abalaba nga beeraliikirivu. (IF)N’alyoka abuuza abakungu ba Falaawo abaali naye mu kkomera, mu nnyumba ya mukama waabwe nti, “Lwaki leero mulabika nga mweraliikiridde?”

(IG)Ne bamuddamu nti, “Twaloose ebirooto, naye tewali wa kubivvuunula.” Awo Yusufu n’abagamba nti, “Katonda y’abivvuunula. Kale mbasaba mubimbuulire.”

Awo omusenero n’ategeeza Yusufu ekirooto kye n’agamba nti, “Nalabye omuti omutiini mu kirooto. 10 Ku mutiini nga kuliko amatabi asatu, gwabadde gwakatojjera ne gumulisa, ebirimba ne bibaako zabbibu ennyengevu. 11 Nga nkute ekikopo kya Falaawo mu ngalo zange, ne nzirira zabbibu ne nzikamulira mu kikopo kya Falaawo, ne nkimukwasa.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.