Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Bible in 90 Days

An intensive Bible reading plan that walks through the entire Bible in 90 days.
Duration: 88 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Koseya 13:7 - Amosi 9:10

Kyendiva mbalumba ng’empologoma,
    era ndibateegera ku kkubo ng’engo.
(A)Ng’eddubu erinyagiddwako abaana baalyo,
    ndibalumba ne mbataagulataagula.
Era okufaananako ng’empologoma bw’ekola ndibaliira eyo,
    ensolo ey’omu nsiko eribataagulataagula.
(B)Ndibazikiriza mmwe Isirayiri,
    kubanga munnwanyisa.
10 (C)Kabaka wammwe ali wa, abalokole?
    Abafuzi ab’omu bibuga byo byonna bali ludda wa,
be wayogerako nti,
    ‘Tuwe kabaka n’abafuzi?’
11 (D)Nabawa kabaka nga nsunguwadde,
    ate ne mmubaggyako nga ndiko ekiruyi.
12 (E)Omusango gwa Efulayimu guterekeddwa,
    era n’ekibi kye kimanyiddwa.
13 (F)Obubalagaze ng’obw’omukyala alumwa okuzaala bumujjira,
    naye omwana olw’obutaba n’amagezi,
ekiseera bwe kituuka,
    tavaayo mu lubuto.

14 (G)“Ndibanunulayo mu maanyi g’emagombe,
    era ndibalokola mu kufa.
Ggwe kufa, endwadde zo ziri ludda wa?
    Ggwe Magombe, okuzikiriza kwo kuli ludda wa?

“Sirimusaasira,
15     (H)ne bw’anaakulaakulana mu baganda be.
Empewo ey’ebuvanjuba erijja okuva eri Mukama,
    ng’eva mu ddungu,
n’ensulo ze ne zikalira,
    n’oluzzi lwe ne lukalira.
Eggwanika lye lirinyagibwa,
    eby’omuwendo byonna ne bitwalibwa.
16 (I)Abantu b’e Samaliya balivunaanibwa omusango gwabwe
    kubanga bajeemedde Katonda waabwe.
Balittibwa n’ekitala, n’abaana baabwe abato balibetentebwa,
    n’abakyala baabwe abali embuto balibaagibwa.”

Okwenenya Kuleeta Omukisa

14 (J)Mudde eri Mukama Katonda wammwe, ggwe Isirayiri.
    Ebibi byammwe bye bibaleetedde okugwa.
(K)Mudde eri Mukama
    nga mwogera ebigambo bino nti,
“Tusonyiwe ebibi byaffe byonna,
    otwanirize n’ekisa,
    bwe tutyo tunaawaayo ebibala by’akamwa kaffe, ng’ebiweebwayo eby’ente ennume.
(L)Obwasuli tebusobola kutulokola;
    Tetujja kwebagala mbalaasi ez’omu ntalo.
Tetuliddayo kwogera nate nti, ‘Bakatonda baffe,’
    nga twogera ku bintu bye twekoledde n’emikono gyaffe,
    kubanga mu ggwe, bamulekwa mwe bajja okusaasirwa.”

(M)Ndibalekesaayo empisa zaabwe embi,
    ne mbaagala awatali kye mbasalidde kya kusasula.
    Kubanga obusungu bwange butanudde okubavaako.
(N)Ndifaanana ng’omusulo eri Isirayiri:
    alimulisa ng’eddanga,
era alisimba emirandira ng’emivule gy’e Lebanooni.
    (O)Amatabi ge amato galikula;
n’obulungi bwe buliba ng’omuzeyituuni,
    n’akaloosa ke kaliba ng’akaloosa k’omuvule gw’e Lebanooni.
(P)Abantu balibeera nate wansi w’ekisiikirize kye,
    era alibala ng’emmere ey’empeke.
Alimulisa ng’omuzabbibu,
    era alyatiikirira nga wayini ow’e Lebanooni.
(Q)Ggwe Efulayimu mugabo ki gwe nnina mu bakatonda bo?
    Ndimwanukula ne mulabirira.
Nninga omuberosi omugimu, era n’ebibala byo biva mu nze.

(R)Abalina amagezi bategeera ensonga zino,
    era abakabakaba balibimanya.
Amakuba ga Mukama matuufu,
    n’abatuukirivu bagatambuliramu,
    naye abajeemu bageesittaliramu.

(S)Buno bwe bubaka bwa Mukama obwajjira Yoweeri mutabani wa Pesweri.

(T)Muwulirize mmwe abakadde ba Isirayiri,
    buli ali mu nsi naye awulirize.
Kino kyali kibaddewo mu biseera byammwe,
    oba mu biseera bya bakitammwe?
(U)Mukibuulire abaana bammwe,
    nabo balikibuulira abaana baabwe,
    nabo balikibuulira ab’emirembe egiriddawo.
(V)Ebibinja by’enzige ebisooka bye zitalidde,
    enzige eziddirira zibirumbye,
ate ezo bye zireseewo,
    enzige ento bye ziridde,
ate zino bye zireseewo,
    enzige endala ne zibizikiririza ddala byonna!

(W)Muzuukuke, mmwe abatamiivu, mwekaabire amaziga;
    mukube ebiwoobe mmwe mwenna abanywi b’omwenge,
mukube ebiwoobe kubanga akamwa kammwe
    katuuse okwerabira omwenge omusu.
(X)Eggwanga lirumbye ensi yange,
    ery’amaanyi ennyo era ery’abantu abatabalika.
Amannyo gaalyo gali ng’ag’empologoma,
    n’amasongezo gaalyo ng’ag’empologoma enkazi.
(Y)Eggwanga eryo lizikirizza emizabbibu gyange,
    ne limalawo emitiini gyange.
Lisusumbudde ebikuta byagyo,
    byonna biri ku ttaka,
    amatabi gaagyo gasigadde gatukuuliridde.

(Z)Mukungubage nga nnamwandu omuto afiiriddwa bba,
    ng’ayambadde ebibukutu olw’ennaku.
(AA)Ebiweebwayo eby’emmere ey’empeke n’ebiweebwayo eby’okunywa
    tewakyali kirabikako mu nnyumba ya Mukama.
Bakabona abaweerereza mu maaso ga Katonda
    bakungubaga.
10 (AB)Ennimiro ziweddemu ebirime;
    ettaka likaze,
Emmere ey’empeke eweddewo,
    omwenge omusu n’amafuta g’emizeeyituuni ne bibulira ddala.

11 (AC)Mmwe abalimi mukwatibwe entiisa,
    mmwe abalima emizabbibu mukaabe.
Mukaabire eŋŋaano ne sayiri,
    kubanga ebyandikunguddwa byonna biweddewo.
12 (AD)Omuzabbibu gukaze
    n’omutiini guyongobedde.
Omukomamawanga, n’olukindu ne apo
    n’emiti gyonna egy’omu nnimiro giwotose.
Abantu tebakyalina ssanyu.

Abantu bayitibwa Okwenenya

13 (AE)Mmwe bakabona, mwesibe mwambale ebibukutu mukungubage.
    Mmwe abaweereza ba Katonda wange ab’oku kyoto,
mweyale wansi awali ekyoto,
    musule awo ekiro kyonna nga mukuba ebiwoobe,
kubanga mu nnyumba ya Katonda wammwe temukyali kiweebwayo kyonna,
    eky’emmere ey’empeke oba eky’envinnyo.
14 (AF)Mulangirire okusiiba okutukuvu
    n’okukuŋŋaana mu maaso ga Katonda.
Muyite abakulu abakulembeze
    n’abantu bonna ababeera mu nsi,
bajje mu nnyumba ya Mukama Katonda waabwe
    bamukaabirire.

15 (AG)Zitusanze olw’olunaku luli!
    Kubanga olunaku lwa Mukama olw’entiisa lusembedde.
Lulijja, ng’okuzikiriza
    okuva eri Ayinzabyonna.

16 (AH)Emmere tetuweddeeko
    nga tulaba?
Essanyu n’okujaguza
    mu nnyumba ya Katonda waffe tebikomye?
17 (AI)Ensigo ziwotokedde
    mu ttaka,
amawanika makalu
    n’ebyagi by’emmere bikaze,
    kubanga emmere ey’empeke eweddewo.
18 Ensolo nga zisinda!
    Amagana gabuliddwa amagezi;
kubanga tewali muddo,
    n’endiga nazo zidooba.

19 (AJ)Ayi Mukama, Ggwe gwe nkaabirira,
    kubanga omuddo gwonna gumaliddwawo empiira,
n’emiti gyonna egy’omu nnimiro
    nagyo giyidde.
20 (AK)Ensolo ez’omu nsiko nazo zikukaabira okuziyamba,
    emigga gikalidde,
    ne gye ziriira, omuddo gwonna guyidde.

Okulabula ku Lunaku lwa Mukama Olujja

(AL)Bakabona mufuuyire ekkondeere mu Sayuuni.
    N’akagombe ak’okulabula kavugire ku lusozi lwange olutukuvu.

Buli muntu yenna mu ggwanga akankane olw’entiisa,
    kubanga olunaku lwa Mukama lusembedde,
era lunaatera okutuuka.
    (AM)Luliba olunaku olutaliiko ssanyu, olw’ekizikiza;
    olunaku olw’ebire ebingi n’ekizikiza ekikutte.
Eggye ery’enzige ery’amaanyi ennyo,
    ng’ery’abantu abalwanyi ab’ekitalo, libuutikidde ensozi.
Tewabangawo ggye lirifaanana mu biro byonna eby’edda,
    era teribaayo liryenkana mu mirembe gyonna egiriddawo.

(AN)Enzige ezikulembedde zirya ng’omuliro ogwokya buli wantu,
    n’ezizivaako emabega nazo zibizikiririze ddala ng’ennimi z’omuliro.
Mu maaso gye ziraga ensi erabika bulungi ng’ennimiro ya Adeni,
    naye gye ziva buli kimu zikiridde;
    ensi yonna zigirese nga ddungu jjereere.
(AO)Zifaanana ng’embalaasi,
    era zidduka ng’embalaasi ez’entalo.
(AP)Zigenda zibuuka ku nsozi
    nga zikekera ng’amagaali agasikibwa embalaasi bwe gakekera;
ne ziwuuma nga bwe zitulikatulika ng’omuliro ogwokya ebisubi ebikalu; era nga
    ziri ng’eggye eddene mu lutalo eryetegekedde okulumba omulabe.

(AQ)Abantu abazirabyeko nga zisembera bali mu bulumi bungi,
    era bonna beeraliikirivu.
(AR)Zirumba n’amaanyi ng’eggye ery’abalwanyi,
    ne ziwalampa ebisenge ng’abajaasi.
Zikumbira mu nnyiriri zaazo nga zitereera bulungi
    awatali kuwaba n’akamu.
Tezirinnyaganako,
    buli emu ekumbira mu kkubo lyayo.
Ziwaguza mu buli kyakulwanyisa kyonna,
    ne watabaawo kisobola kuziziyiza.
(AS)Zifubutuka ne zigwira ekibuga.
    Zikiwalampa ne zibuna bbugwe waakyo.
Zirinnya amayumba
    ne ziyingirira mu madirisa ng’ababbi bwe bakola.

10 (AT)Zikankanya ensi
    era n’eggulu ne lijugumira.
Zibuutikira enjuba n’omwezi,
    era n’emmunyeenye tezikyayaka.
11 (AU)Mukama akulembera eggye lye
    n’eddoboozi eribwatuuka.
Eggye lya Mukama ddene nnyo era lya maanyi.
    Abalirimu abatuukiriza ebiragiro bye ba maanyi.
Kubanga olunaku lwa Mukama lukulu
    era lwa ntiisa nnyo.
    Ani ayinza okulugumira?

Abantu Bayitibwa Okwenenya

12 (AV)Mukama kyava agamba nti,
    “Mukomeewo gye ndi n’omutima gwammwe gwonna.
    Mukomeewo n’okusiiba n’okukaaba awamu n’okukungubaga.”

13 (AW)Muyuze emitima gyammwe
    so si byambalo byammwe.
Mudde eri Mukama Katonda wammwe,
    kubanga ajjudde ekisa n’okusaasira,
era tasunguwala mangu; ajjudde okwagala okutaggwaawo;
    n’abandisaanidde okubonerezebwa abasonyiwa.
14 (AX)Ani amanyi obanga anaakyuka n’abasonyiwa,
    n’abawa omukisa gwe
ne musobola n’okuwaayo eri Mukama Katonda wammwe
    ekiweebwayo eky’emmere enkalu, n’ekiweebwayo eky’ekyokunywa?

15 (AY)Mufuuyire ekkondeere mu Sayuuni,
    mulangirire okusiiba okutukuvu.
    Muyite olukuŋŋaana olussaamu Katonda ekitiibwa.
16 (AZ)Mukuŋŋaanye abantu bonna.
    Mutukuze ekibiina ekyo ekikuŋŋaanye.
Muyite abakulu abakulembeze.
    Muleete abaana abato
    n’abo abakyali ku mabeere.
N’oyo eyakawasa aveeyo mu kisenge kye,
    n’eyakafumbirwa naye aveeyo gy’ali.
17 (BA)Bakabona abaweereza ba Mukama
    bayimirire wakati w’ekisasi kya yeekaalu n’ekyoto,
bakaabirire Mukama nga bamusaba nti, “Saasira abantu bo, Ayi Mukama;
    abantu b’obusika bwo tobaleka kugwa mu mikono gya bannamawanga okubafuga
    era n’okubasekerera.
Bannamawanga baleme kuduula nga boogera nti,
    ‘Katonda waabwe ali ludda wa?’ ”

Mukama Asaasira Abantu Be

18 (BB)Awo Mukama n’akwatirwa ensi ye ekisa,
    n’asaasira abantu be.

19 (BC)N’ayanukula abantu be nti,

“Muwulirize, nzija kubaweereza emmere enkalu, n’envinnyo, n’amafuta,
    ebimala okubakkusiza ddala,
era siriddayo kubaleka, ne mufuuka ekivume,
    bannaggwanga amalala ne babasekerera.

20 (BD)“Ndibagobako eggye ery’omu bukiikakkono
    ne ndigobera mu ddungu ery’ewala ennyo.
Ekibinja ekikulembeddemu ndikigobera mu nnyanja ey’Ebuvanjuba,
    n’ekibinja eky’emabega ndikigobera mu nnyanja ey’Ebugwanjuba.
Ekivundu n’okuwunya birituuka wala
    okusinga ebyo byonna bye libakoze.”

21 (BE)Mwe abali mu nsi, temutya.
    Musanyuke era mujaguze;
kubanga Mukama abakoledde ebikulu.
22     (BF)Nammwe ensolo ez’omu nsiko temutya;
    kubanga omuddo gwonna mu nsiko gusibukidde.
Emiti gibaze ebibala byagyo,
    era emitiini n’emizabbibu nagyo gibaze ebibala bingi.
23 (BG)Musanyuke mmwe abaana ba Sayuuni;
    mujagulize Mukama Katonda wammwe.
Kubanga abawadde
    enkuba esooka mu butuukirivu.
Era abawadde enkuba nnyingi esooka n’esembayo
    mu mwaka ng’obw’edda.
24 (BH)Amawuuliro gammwe galijjula eŋŋaano,
    n’amasogolero gammwe galijjula envinnyo n’amafuta n’okubooga ne gabooga.

25 “Ndibaddizaawo byonna enzige bye zaalya mu myaka egyo.
    Lyali ggye lyange ery’amaanyi lye nabasindikira nga lirimu lusejjera,
    n’enzige ezisala obusazi,
    awamu n’ezo ezizikiririza ddala.
26 (BI)Kale, munaabanga n’ebyokulya bingi nga bwe muneetaaganga.
    Munaatenderezanga erinnya lya Mukama Katonda wammwe
    abakoledde ebintu ebirungi bwe bityo.
Era abantu bange tebakyaddayo kuswazibwa.
27 (BJ)Mulimanya nga ndi wakati mu Isirayiri,
    era nga Nze, Mukama, Nze Katonda wammwe,
    so tewali mulala;
n’abantu bange tebakyaddayo kuswazibwa.

Mukama Afuka Omwoyo We ku Bantu Be

28 (BK)“Awo olulituuka oluvannyuma lw’ebyo,
    ndifuka Omwoyo wange ku bantu bonna.
Batabani bammwe ne bawala bammwe balitegeeza eby’omu maaso;
    abakadde baliroota ebirooto,
    n’abavubuka bammwe balyolesebwa.
29 (BL)Mu biro ebyo
    ndifuka Omwoyo wange ku baweereza bange abasajja n’abakazi.
30 (BM)Era ndyolesa ebyamagero mu ggulu
    ne ku nsi:
    omusaayi n’omuliro n’ekikoomi eky’omukka.
31 (BN)Enjuba erifuuka ekizikiza,
    n’omwezi gulimyuka ng’omusaayi,
    olunaku lwa Mukama olukulu era olw’entiisa nga terunnatuuka.
32 (BO)Awo olulituuka buli alikoowoola
    erinnya lya Mukama okusaasirwa alirokoka.
Kubanga mu lusozi Sayuuni ne mu Yerusaalemi
    walibaawo abaliwona
    nga Mukama bw’ayogedde,
ne mu abo abalifikkawo
    mulibaamu abo Mukama b’aliyita.”

Abalabe ba Isirayiri Basalirwa Omusango

(BP)“Mu nnaku ezo, era mu biseera ebyo,
    Yuda n’ekibuga Yerusaalemi ndibiddiza emikisa gyabyo nga bwe gyabanga edda.
(BQ)Ndikuŋŋaanya abamawanga bonna
    ne mbaserengesa mu kiwonvu Yekosafaati,
ne mbasalira omusango
    olwa byonna bye baakola abantu bange Abayisirayiri ab’obusika bwange.
Kubanga baasaasaanya Abayisirayiri mu mawanga,
    ne bagabana ensi yange.
(BR)Baagabana abantu bange nga babakubirako obululu;
    ne batunda abalenzi olw’abakazi bamalaaya,
n’abawala ne babatundamu omwenge
    ne beenywera.

(BS)“Mwe Ttuulo ne Sidoni n’enjuyi zonna ez’Abafirisuuti, mmwe b’ani ku Nze? Nnina kye nabakola kye mugezaako okwesasuza? Bwe munaaba nga mugezaako kwesasuza, ebikolwa byammwe nzija kubibakyusizaako mangwago. (BT)Kubanga mwatwala effeeza yange ne zaabu yange n’ebintu byange eby’omuwendo omungi ne mubissa mu masabo gammwe. Mwatwala abantu b’omu Yuda ne mu Yerusaalemi ne mubatunza Abayonaani.

(BU)“Laba, ndibaggyayo mu mawanga gye mwabatunda; mmwe mbakole nga bwe mwabakola. (BV)Batabani bammwe ne bawala bammwe ndibaguza batabani ba Yuda, nabo balibaguza abantu ab’omu ggwanga ery’ewala ennyo, ery’e Seba.” Ebyo Mukama y’abyogedde.

Bakabona Balangirira Omusango eri Abaamawanga

(BW)Bakabona mulangirire mu mawanga bwe muti nti,
    Mwetegekere olutalo!
Muyite abalwanyi bammwe ab’amaanyi,
    buli mulwanyi yenna asembere ajje mu lutalo.
10 (BX)Enkumbi zammwe muziweeseemu ebitala,
    n’obwambe bwammwe mubuweeseemu amafumu;
omunafu agambe nti,
    “Ndi wa maanyi.”
11 (BY)Mujje mangu mwe mwenna abamawanga agatwetoolodde,
    mukuŋŋaanire mu kiwonvu.
Ayi Mukama, weereza eggye lyo libalumbe.
12 (BZ)“Amawanga geeteeketeeke
    gajje mu kiwonvu ekya Yekosafaati;
kubanga eyo gye ndisinzira
    ne nsalira amawanga gonna ageetoolodde wano omusango.
13 (CA)Kozesa oluwabyo lwo,
    kubanga ekiseera eky’amakungula kituuse.
Mujje mubabetente nga bwe mulinnyirira emizabbibu mu ssogolero
    okutuusa envinnyo lw’ekulukuta,
    ekibi kyabwe kinene nnyo.”

14 (CB)Abantu bukadde na bukadde
    abali mu kiwonvu eky’okusalirwamu omusango!
Kubanga olunaku lwa Mukama lusembedde
    lwaliramulirako mu kiwonvu eky’okusalirwamu omusango.
15 Ekizikiza kibuutikidde enjuba n’omwezi,
    n’emmunyeenye tezikyayaka.
16 (CC)Mukama aliwuluguma ng’ayima ku Sayuuni;
    alibwatuka n’eddoboozi lye ng’asinziira mu Yerusaalemi.
    Eggulu n’ensi birikankana.
Naye Mukama aliba ekiddukiro ky’abantu be,
    era ekigo ky’abaana ba Isirayiri eky’amaanyi.
17 (CD)“Kale mulimanya nga Nze Mukama Katonda wammwe,
    abeera ku lusozi lwange olutukuvu Sayuuni.
Era Yerusaalemi kinaabeeranga kitukuvu,
    nga ne bannamawanga tebakyakirumba.

18 (CE)“Olunaku luli bwe lulituuka, ensozi ziritonnyesa wayini omuggya,
    n’obusozi bulikulukusa amata,
    n’emigga gyonna egya Yuda emikalu girikulukusa amazzi.
Ensulo eriva mu nnyumba ya Mukama
    n’efukirira ekiwonvu kya Sittimu.
19 (CF)Misiri erifuuka amatongo
    n’ensi ya Edomu erifuuka ddungu jjereere
olw’ebikolobero bye baakola ku bantu ba Yuda,
    ensi mwe battira abantu abatalina musango.
20 (CG)Naye mu Yuda mulibeeramu abantu ennaku zonna,
    ne Yerusaalemi kiribeerawo emirembe gyonna.
21 (CH)Ndyesasuza olw’omusaayi ogw’abo abattibwa,
    era teriba mutemu asonyiyibwa.
Kubanga Mukama abeera mu Sayuuni.”

(CI)Bino bye bigambo Amosi eyali omu ku balunzi b’endiga mu bitundu by’e Tekowa bye yabikkulirwa, musisi amale ajje nga wakayitawo emyaka ebiri, mu mirembe gya Uzziya kabaka wa Yuda, era nga gy’emirembe gya kabaka Yerobowaamu mutabani wa Yowaasi nga y’afuga Isirayiri.

(CJ)Amosi yagamba nti,

Mukama awuluguma ng’asinziira mu Sayuuni,
    era eddoboozi lye liwulirwa nga libwatukira mu Yerusaalemi;
omuddo mu malundiro gulikala
    n’entikko y’olusozi Kalumeeri erisigala njereere.”

Okulamulwa kwa Baliraanwa ba Isirayiri

(CK)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“Olw’ebyonoono bya Ddamasiko ebisatu,
    weewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange.
Kubanga baabonereza nnyo abantu b’e Gireyaadi
    nga babasalaasala n’ebyuma.
(CL)Ndiweereza omuliro mu lubiri lwa kabaka Kazayeeri
    era njokye n’ebigo bya kabaka Benikadadi.
(CM)Era ndimenya enzigi z’ekibuga Ddamasiko
    era ndizikiriza kabaka ali mu Kiwonvu ky’e Aveni,
oyo akwata omuggo ogw’obwakabaka mu Besiadeni.
    Abantu b’e Busuuli balitwalibwa mu buwaŋŋanguse mu Kiri,”
    bw’ayogera Mukama.

(CN)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“Olw’ebyonoono bya Gaza ebisatu,
    weewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange.
Kubanga yatwala eggwanga ddamba mu busibe
    n’alitunda eri Edomu.
Ndiweereza omuliro ku bbugwe wa Gaza
    ogulyokya ebigo byakyo.
(CO)Ndizikiriza atuula mu Asudodi,
    n’oyo akwata omuggo gw’obwakabaka ndimumalawo okuva mu Asukulooni.
Ndibonereza Ekuloni
    okutuusa lwe ndimalirawo ddala Abafirisuuti,”
    bw’ayogera Mukama.

(CP)Mukama bw’ati bw’ayogera nti,

“Olw’ebyonoono bya Ttuulo ebisatu,
    weewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange.
Kubanga yatunda eggwanga ddamba erya Edomu mu busibe
    n’amenya endagaano ey’obwaseruganda eyali ekoleddwa,
10 (CQ)kyenaava mpeereza omuliro ku bbugwe wa Ttuulo,
    ogunaayokya ebigo byakyo.”

11 (CR)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“Olw’ebyonoono bya Edomu ebisatu,
    weewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange.
Kubanga yayigganya muganda we n’ekitala
    awatali kusaasira,
obusungu bwabwe ne bubuubuuka obutakoma
    era ne batabusalako.
12 (CS)Ndiweereza omuliro ku Temani
    oguliyokya ebigo bya Bozula.”

13 (CT)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“Olw’ebyonoono bya Amoni ebisatu
    weewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange.
Mu ntalo ez’okugaziya ensi ye,
    yabaaga abakazi abaali embuto ab’e Giriyaadi.
14 (CU)Ndiweereza omuliro ku bbugwe wa Labba,
    era gulyokya ebigo byakyo.
Walibaawo n’oluyoogaano olunene ku lunaku olw’olutalo
    mu mpewo ey’amaanyi, kibuyaga ng’akunta.
15 Kabaka waakyo alitwalibwa mu buwaŋŋanguse,
    ye n’abakungu be bonna,”
    bw’ayogera Mukama.

Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“Olw’ebyonoono bya Mowaabu ebisatu
    weewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange.
Kubanga yayokya amagumba ga kabaka wa Edomu
    ne gafuuka evvu.
Ndiweereza omuliro ku Mowaabu
    era gulyokya ebigo bya Keriyoosi.
Abantu ba Mowaabu balifiira
    wakati mu kusasamala okungi omuliba okuleekaana n’okufuuwa amakondeere.
(CV)Ndizikiriza omukulembeze wa Mowaabu
    n’abakungu baamu bonna, ndibatta,”
    bw’ayogera Mukama.
(CW)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“Olw’ebyonoono bya Yuda ebisatu
    weewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange.
Kubanga banyoomye amateeka ga Mukama,
    ne batakuuma biragiro bye nabawa
ne bagondera bakatonda ab’obulimba
    bajjajjaabwe be baagobereranga.
(CX)Ndiweereza omuliro ku Yuda
    ne njokya ebigo bya Yerusaalemi.”

(CY)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“Olw’ebyonoono bya Isirayiri ebisatu
    weewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange.
Batunda obutuukirivu bafune ffeeza,
    ne batunda n’abaavu olw’omugogo gw’engatto.
(CZ)Balinnyiririra emitwe gy’abaavu
    mu nfuufu,
    n’abajoogebwa ne batalamulwa mu bwenkanya.
Omwana ne kitaawe bayingira eri omuwala omu
    ne boonoona erinnya lyange.
(DA)Bagalamira okumpi ne buli kyoto
    ku ngoye ezaweebwayo ng’obweyamo.
Mu nnyumba ya bakatonda baabwe
    mwe banywera omwenge oguleetebwa abatanziddwa.

(DB)“Nazikiriza Abamoli ku lwabwe
    newaakubadde nga baali bawanvu ng’emivule
    era nga ba maanyi ng’emyera.
Nazikiriza ebibala ebyali waggulu
    okutuuka ku mirandira egyali wansi.
10 (DC)Nakuggya mu nsi y’e Misiri,
    ne nkukulemberera emyaka amakumi ana mu ddungu,
    weetwalire ensi y’Abamoli.

11 (DD)“Nayimusa abamu ku batabani bammwe okubeera bannabbi,
    ne ku balenzi bammwe okuba Abawonge ba Mukama.
Si bwe kiri bwe kityo abantu ba Isirayiri?”
    bw’ayogera Mukama.
12 (DE)“Naye mmwe ne mudda mu kuwa Abawonge ba Mukama omwenge okunywa,
    ne muwa bannabbi amateeka nga mubagamba nti temuwa byabunnabbi.

13 “Laba, ndibasesebbula
    ng’eggaali eryettisse ebinywa by’emmere ey’empeke bwe lisesebbula ekiri mu kkubo lyalyo.
14 (DF)Abanguwa tebaliwona,
    n’ab’amaanyi tebalikuŋŋaanya maanyi gaabwe
    era n’omuzira nnamige talisobola kuwonya bulamu bwe.
15 (DG)Omukubi w’obusaale omukugu taliyimirira kunywera,
    n’omuserikale ow’ebigere nnakinku talisobola kuwenyuka.
    Abo abasajja abazira abeebagazi b’embalaasi tebalisobola kuwonya bulamu bwabwe.
16 (DH)Ku lunaku olwo abalwanyi abazira nnamige
    balidduka bukunya!”
    bw’atyo bw’ayogera Mukama.

Okulabula Abantu ba Isirayiri

(DI)Muwulire ekigambo kino Mukama ky’aboogerako mmwe abaana ba Isirayiri, ennyumba yonna gye naggya mu Misiri.

(DJ)“Mu bantu bonna abali ku nsi,
    mmwe mwekka be nalonda.
Kyendiva mbabonereza
    olw’ebibi byammwe byonna.”
Abantu ababiri bayinza okutambulira awamu
    wabula nga bakkiriziganyizza?
(DK)Empologoma ewulugumira mu kisaka
    nga terina muyiggo?
Empologoma ento ekaabira mu mpuku yaayo
    nga teriiko ky’ekutte?
Akanyonyi kayinza okugwa mu mutego
    nga tewali kikasikirizza?
Omutego gumasuka
    nga teguliiko kye gukwasizza?
(DL)Akagombe kavugira mu kibuga
    abantu ne batatya?
Akabenje kagwa mu kibuga
    nga Mukama si y’akaleese?

(DM)Naye ddala Mukama Katonda takola kintu kyonna
    nga tasoose kukibikkulira
    baweereza be, bannabbi.

(DN)Empologoma ewulugumye,
    ani ataatye?
Mukama Katonda ayogedde
    ani ataawe bubaka bwe?

(DO)Langirira eri ebigo by’e Asudodi
    n’eri ebigo by’e Misiri nti,
“Mujje mukuŋŋaanire ku nsozi z’e Samaliya
    mulabe akajagalalo akanene akali eyo
    n’abantu be nga bwe bajoogebwa.”

10 (DP)Mukama agamba nti, “Abantu abajjuzza
    ebigo byabwe n’ebintu ebinyage,
    tebamanyi kukola kituufu.”

11 (DQ)Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,

“Omulabe alirumba ensi,
    n’amenyaamenya ebigo byo eby’amaanyi
    era n’abinyagulula.”

12 (DR)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“Ng’omusumba bw’agezaako okutaasa endiga ye okuva mu kamwa k’empologoma
    n’asikayo amagulu abiri obubiri n’ekitundu ky’okutu,
    bwe batyo Abayisirayiri bwe balinunulibwa,
abo abatuula mu Samaliya
    ku nkomerero y’ebitanda byabwe
    ne ku bitanda byabwe mu Ddamasiko.

13 (DS)“Muwulirize kino era mulumirize enju ya Yakobo yonna,” bw’ayogera Mukama Katonda Ayinzabyonna.

14 (DT)“Ku lunaku lwe lumu lwe ndibonereza Isirayiri olw’ebibi bye,
    ndisaanyaawo ebyoto by’e Beseri,
n’amayembe g’ekyoto galisalibwako
    ne gagwa wansi.
15 (DU)Era ndisaanyaawo ennyumba ebeerwamu mu biseera eby’obutiti,
    awamu n’ennyumba ebeerwamu mu biseera ey’ebbugumu;
era ndimenyaamenya n’ennyumba ezayolebwa n’amasanga,
    ne nsanyaawo n’embiri,”
    bw’ayogera Mukama.

Katonda yeerayirira okuzikiriza Abantu

(DV)Muwulire kino mmwe ente ez’omu Basani ezibeera ku Lusozi Samaliya,
    mmwe abakazi abajooga abaavu ne munyigiriza abanaku,
    era abagamba ba bbaabwe nti, “Mutuletereyo ekyokunywa.”
(DW)Mu butukuvu bwe Mukama Katonda alayidde nti,
    “Ekiseera kijja
lwe balibasika n’amalobo,
    era abalisembayo ku mmwe ne basikibwa n’amalobo agavuba.
(DX)Mulisikibwa okuva mu mayumba gammwe
    ne musuulibwa ebweru nga muyisibwa mu bituli ebibotoddwa mu bbugwe,
    musuulibwe ku Kalumooni,
    bw’ayogera Mukama.
(DY)Kale mmwe mugende e Beseri mukoleyo ebitasaana;
    era mugende ne Girugaali mwongere okukola ebibi.
Mutwalengayo ssaddaaka zammwe buli nkya,
    n’ekimu eky’ekkumi buli myaka esatu.
(DZ)Muweeyo ekiweebwayo eky’okwebaza eky’emigaati egizimbulukusibbwa,
    mulangirire n’ebiweebwayo eby’ekyeyagalire;
mwe mwenyumiririza, mmwe Abayisirayiri
    kubanga ekyo kye mwagala,”
    bw’ayogera Mukama Katonda Ayinzabyonna.

(EA)“Nabaleetera enjala embuto zammwe ne ziba njereere mu buli kibuga,
    ne ssibawa kyakulya mu buli kabuga,
    naye era ne mugaana okudda gye ndi,”
    bw’ayogera Mukama.

(EB)“Ne mbamma enkuba
    ng’ekyabulayo emyezi esatu amakungula gatuuke.
Ne ntonnyesa enkuba mu kibuga ekimu
    ne ngiziyiza mu kirala.
Yatonnyanga mu nnimiro emu,
    mu ndala n’etatonnya, ebirime ne biwotoka.
(EC)Abantu ne bavanga mu kibuga ekimu ne balaga mu kirala nga banoonya amazzi banyweko,
    naye ne gababula;
    naye era ne mutakyuka kudda gye ndi,”
    bw’ayogera Mukama.

(ED)“Emirundi mingi ebirime byammwe n’ennimiro zammwe ez’emizabbibu na bigengewaza.
    Nabileetako obulwadde.
Enzige nazo ne zirya emitiini gyammwe n’emizeeyituuni gyammwe,
    naye era temwadda gye ndi,”
    bw’ayogera Mukama.

10 (EE)“Nabasindikira kawumpuli
    nga gwe nasindika mu Misiri.
Abavubuka bammwe ne mbattira mu lutalo n’ekitala
    awamu n’embalaasi zammwe ze mwawamba.
Okuwunya kw’olusisira lwammwe ne kuyitirira nnyo
    naye era ne mugaana okudda gye ndi,”
    bw’ayogera Mukama.

11 (EF)“Nazikiriza abamu ku mmwe
    nga bwe nakola Sodomu ne Ggomola,
ne muba ng’olumuli olusikiddwa mu muliro ogwaka
    naye era ne mulema okudda gye ndi,”
    bw’ayogera Mukama.

12 “Kyendiva nkukola bwe ntyo, ggwe Isirayiri,
    era ndikwongerako ebibonoobono.
    Noolwekyo weetegeke okusisinkana Katonda wo, ggwe Isirayiri.”
13 (EG)Kubanga laba, oyo eyatonda ensozi
    era ye yatonda n’embuyaga
    era abikkulira omuntu ebirowoozo bye.
Yafuula enkya okubeera ekiro,
    era alinnya mu bifo ebigulumivu eby’ensi.
    Mukama Katonda ow’Eggye lye linnya lye.

Okukuba Omulanga ogw’Okukungubaga n’Okwenenya mu Isirayiri

(EH)Muwulirize mmwe abantu ba Isirayiri ekigambo kino eky’ennaku ekibakwatako.

(EI)“Isirayiri embeerera agudde
    obutayimuka nate.
Bamwabulidde
    era tewali amuyimusa.”

(EJ)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,

“Ekibuga ekiyungula abalwanyi olukumi okugenda mu lutalo
    kirisigazaawo kikumi bokka,
n’ekyo ekiweereza ekikumi,
    kirizza kkumi bokka!”

(EK)Bw’ati bw’ayogera Mukama eri ennyumba ya Isirayiri nti,

“Munnoonye kale munaabanga balamu.
    (EL)Temunnoonyeza Beseri
so temulaga Girugaali
    wadde okulaga e Beeruseba.
Kubanga abantu b’e Girugaali balitwalibwa mu buwaŋŋanguse
    era ne Beseri kiriggwaawo.”
(EM)Munoonye Mukama munaabanga balamu
    aleme okubuubuuka ng’omuliro ku nnyumba ya Yusufu;
guligyokya
    nga tewali wa kuguzikiza mu Beseri.

(EN)Mmwe abantu ba Isirayiri abafuula obwenkanya okuba eky’okufumwa obufumwa
    mutulugunya obutuukirivu.

(EO)Oyo eyakola ettendo eriri mu mmunyeenye ezaaka ng’ebizungirizi
    era afuula ekisiikirize okubeera enkya
    era akyusa obudde ne buva mu kitangaala ne bufuuka ekiro,
ayita amazzi g’omu nnyanja
    ne gafukirira ensi ng’enkuba,
    Mukama lye linnya lye.
(EP)Okutemya n’okuzibula aleeta okuzikirira ku b’amaanyi
    era n’asaanyaawo ebibuga ebiriko ebigo.

10 (EQ)Mukyawa abalamuzi abasalawo mu bwenkanya
    era munyooma n’abo aboogera amazima.

11 (ER)Olinnyirira omwavu,
    n’omuwaliriza okukuwa emmere ey’empeke.
Newaakubadde nga mwezimbidde amayumba ag’amayinja,
    temuligabeeramu;
era newaakubadde nga mwesimbidde ennimiro z’emizabbibu ennungi,
    temulinywa ku wayini waamu.
12 (ES)Ebibi byammwe mbimanyi,
    nga bingi ate nga bisasamaza.

Munyigiriza omutuukirivu ne mulya n’enguzi,
    abaavu temubasalira musango mu bwenkanya.
13 Noolwekyo oyo alina amagezi kyaliva asirika obusirisi mu biseera ng’ebyo
    kubanga ennaku mbi.

14 Munoonyenga okukola obulungi, so si obubi
    munaabeeranga balamu!
Bw’atyo Mukama Katonda ow’Eggye anaabeeranga mubeezi wammwe
    nga bulijjo bwe mumuyita.
15 (ET)Mukyawe ekibi, mwagalenga ekirungi
    era embuga z’amateeka zibeerengamu obwenkanya.
Oboolyawo Mukama Katonda ow’Eggye anaabakwatirwa ekisa
    abantu abo abaasigalawo ku Yusufu.

16 (EU)Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti,

“Walibeerawo okwaziirana mu nguudo
    n’okukaaba mu buli kibangirizi eky’omu kibuga.
N’abalimi baliyitibwa, bakaabe,
    n’abakungubazi bakube ebiwoobe.
17 (EV)Walibaawo okukaaba mu buli nnimiro ya mizabbibu
    kubanga nzija okuyita wakati mu mmwe.”

18 (EW)Zibasanze mmwe abasuubira
    olunaku lwa Mukama.
Lwaki mwesunga olunaku lwa Mukama?
    Olunaku olwo luliba kizikiza so si kitangaala.
19 (EX)Olunaku olwo lulibeera ng’omusajja adduka empologoma
    n’asisinkana eddubu,
bw’aba ng’ayingira mu nnyumba
    ne yeekwata ku kisenge,
    ate n’abojjebwa omusota.
20 (EY)Olunaku lwa Mukama, teruliba kizikiza awatali kitangaala n’akatono,
    ng’ekizikiza ekikutte ennyo?

21 (EZ)Nkyawa, era nnyooma embaga zammwe n’emikolo gyammwe egy’eddiini
    so sisanyukira kukuŋŋaana kwammwe.
22 (FA)Weewaawo, ne bwe munaawaayo gye ndi ebiweebwayo byammwe ebyokebwa n’ebiweebwayo eby’emmere ey’empeke,
    sijja kubikkiriza.
Ne bwe mulireeta ebiweebwayo olw’emirembe ebisinga obulungi,
    siribikkiriza.
23 (FB)Muggyeewo ennyimba zammwe ez’okutendereza.
    Siriwuliriza na bivuga ng’entongooli zammwe.
24 (FC)Kye njagala okulaba ge mazima n’obwenkanya nga bikulukuta ng’amazzi,
    n’obutuukirivu nga bukulukuta ng’omugga ogw’amaanyi.

25 (FD)“Mwandeeteranga ssaddaaka n’ebiweebwayo mu ddungu
    emyaka gyonna amakumi ana, ggw’ennyumba ya Isirayiri?
26 Muyimusizza essabo lya kabaka wammwe,
    amaanyi ga bakatonda bammwe,
    n’emmunyeenye ya katonda wammwe,
    bye mwekolera mmwe.
27 (FE)Kyendiva mbawaŋŋangusa okusukka Ddamasiko,”
    bw’ayogera Mukama, ayitibwa Katonda Ayinzabyonna.

Mukama anenya abali mu Mirembe

(FF)Zibasanze abo abateefiirayo mu Sayuuni,
    n’abo abawulira emirembe ku lusozi lw’e Samaliya.
Mmwe abasajja abeekitiibwa ab’ensi enkulembeze,
    abantu ba Isirayiri gye beeyuna.
(FG)Mugende mulabe e Kalune;
    muveeyo mulage mu Kamasi ekikulu,
    ate era muserengete mu kibuga ky’Abafirisuuti eky’e Gaasi.
Basinga obwakabaka bwammwe obubiri?
    Ensi yaabwe esinga eyammwe obunene?
(FH)Mulindiriza olunaku olw’ekibi,
    ate ne musembeza effugabbi.
(FI)Mugalamira ku bitanda ebyakolebwa mu masanga
    ne muwummulira mu ntebe ennyonvu
nga muvaabira ennyama y’endiga
    n’ey’ennyana ensava.
(FJ)Mwekubira ennanga nga Dawudi bwe yakolanga,
    ne muyiiya n’ennyimba ku bivuga.
(FK)Mwekatankira wayini,
    ne mwesiiga n’ebizigo ebirungi,
    naye temukaabira kubonaabona kwa Yusufu.
Noolwekyo mmwe mulisooka okugenda mu buwaŋŋanguse.
    Era embaga zammwe n’okwewummuza birikoma.

(FL)Mukama Katonda ow’Eggye alayidde, Mukama Katonda Ayinzabyonna agamba nti,

“Neetamiddwa amalala ga Yakobo,
    nkyawa ebigo bye,
era nzija kuwaayo ekibuga
    ne byonna ebikirimu eri abalabe baakyo.”

(FM)Era singa ennyumba eneeba ekyalinawo abasajja ekkumi abasigaddewo, nabo balifa. 10 (FN)Era singa ow’ekika akola ku by’okuziika, anaaba afulumya amagumba n’abuuza oba waliwo omuntu yenna eyeekwese munda mu nnyumba, oba alina gwe yeekwese naye, n’addamu nti, “Nedda,” olwo omuziisi anaamusirisa ng’agamba nti, “Sirika; tetwogera ku linnya lya Mukama.”

11 (FO)Laba Mukama alagidde,
    ennyumba ennene erimenyebwamenyebwa,
    n’ennyumba entono erimenyebwamenyebwa.

12 (FP)Kisoboka embalaasi okuddukira ku mayinja?
    Waali wabaddewo abalima ku mayinja n’enkumbi ezisikibwa ente?
Naye obwenkanya mubufudde obutwa
    n’ekibala eky’obutuukirivu ne mukifuula ekikaawa.
13 (FQ)Mwenyumiririza bwereere nti muli b’amaanyi olw’okuba nga mwawamba ekibuga Lodeba.
    Mwogera nti, “Tetwawamba Kanayimu n’amaanyi gaffe?”

14 (FR)Mukama Katonda ow’Eggye agamba nti,
    “Ndibasindikira eggwanga libalumbe, mmwe ennyumba ya Isirayiri;
liribajooga ebbanga lyonna
    okuva e Lebo Kamasi okutuuka mu kiwonvu kye Alaba.”

Okwolesebwa ku by’Omusango

(FS)Bino Mukama Katonda bye yandaga. Yali ateekateeka ebibinja by’enzige okusaanyaawo ebirime ebyalimwanga, nga baakakungula olukungula olusooka ssinziggu, kabaka kw’afuna omusolo. (FT)Enzige bwe zaalya buli kantu akaali mu nnimiro akalamu, ne nkaaba nti, “Mukama Katonda, sonyiwa abantu bo nkwegayiridde. Yakobo aliwona atya? Nga mutono nnyo.”

(FU)Mukama bwe yawulira okukaaba kuno n’akyusa ekirowoozo kye.

N’agamba nti, “Ekyo tekiribaawo.”

(FV)Bino Mukama bye yayongera okundaga. Yali ategeka okubonereza abantu n’omuliro. Gwalya ennyanja eyali wansi w’ensi ne gumalawo n’olukalu. (FW)Ne nkaaba nti, “Ayi Mukama Katonda nkwegayiridde osonyiwe abantu bo! Yakobo anaasobola atya okusigalawo? Nga mutono nnyo!”

(FX)Awo Mukama bwe yawulira okukaaba kuno, n’akyusa ekirowoozo kye.

Era n’agamba nti, “Era n’ekyo tekijja kubeerawo.”

Ate Mukama n’andaga okwolesebwa okulala. Ne ndaba Mukama ng’ayimiridde ku bbugwe azimbiddwa obulungi nga yatereera era nga Mukama akutte bbirigi mu mukono gwe. (FY)Mukama n’ambuuza nti, “Amosi, kiki ky’olaba?”

Ne nziramu nti, “Ndaba bbirigi.”

Mukama n’alyoka aŋŋamba nti, “Laba nteese bbirigi wakati mu bantu bange Isirayiri. Sijja kuddayo kukyusa kirowoozo kyange nate ku ky’okubabonereza.

(FZ)“Ebifo ebigulumivu ebya Isaaka birizikirizibwa,
    n’ebifo bya Isirayiri ebitukuvu birifuuka matongo.
    N’ennyumba ya Yerobowaamu ndigirwanyisa n’ekitala.”

Amosi Ne Amaziya

10 (GA)Awo Amaziya kabona w’e Beseri n’aweereza kabaka wa Isirayiri, Yerobowaamu, obubaka ng’agamba nti, “Amosi agezaako okukulyamu olukwe wakati mu Isirayiri mwennyini. Ensi teyinza kugumira bigambo bye.” 11 Bw’ati Amosi bw’ayogera nti,

“ ‘Yerobowaamu alifa kitala,
    ne Isirayiri balitwalibwa mu buwaŋŋanguse
    bave mu nsi yaboobwe.’ ”

12 (GB)Awo Amaziya n’alyoka alagira Amosi nti, “Vva wano ggwe omulabi[a]. Ddayo mu nsi ya Yuda gy’oba oweera obunnabbi, ofunire eyo omusaala gwo. 13 (GC)Toweera wano bunnabbi nate e Beseri kubanga luno lubiri lwa kabaka era ssinzizo lya bwakabaka.”

14 (GD)Amosi n’amuddamu nti, “Saali nnabbi oba omwana wa nnabbi nnali mulunzi wa ndiga era nga ndabirira miti emisukamooli. 15 (GE)Naye Mukama yanziggya eyo mu kulunda ekisibo n’aŋŋamba nti, ‘Genda owe obunnabbi abantu bange, Isirayiri.’ ” 16 (GF)Noolwekyo ggwe wuliriza ekigambo kya Mukama. Ogamba nti,

“ ‘Towa bunnabbi bunenya Isirayiri,
    era lekaraawo okubuulira ebikwata ku nnyumba ya Isaaka.’ 

17 (GG)Mukama kyava akuddamu nti,

“ ‘Mukazi wo alifuuka malaaya mu kibuga
    era n’abaana bo aboobulenzi n’aboobuwala balifa ekitala.
Ettaka lyo lirigabanyizibwamu ne liweebwa abalala
    naawe kennyini olifiira mu nsi ey’abakafiiri.
Ekituufu kiri nti abantu ba Isirayiri balitwalibwa mu buwaŋŋanguse,
    ne baggyibwa mu nsi yaboobwe.’ ”

Ekisero Ky’ebibala

Bino Mukama Katonda bye yandaga. Ne ndaba ekisero ekirimu ebibala ebyengedde. (GH)Mukama n’ambuuza nti, “Amosi, kiki ky’olaba?”

Ne muddamu nti, “Ndaba ekisero ky’ebibala ebyengedde.”

Mukama n’alyoka aŋŋamba nti, “Ekiseera eky’okubonereza abaana ba Isirayiri kituuse. Siribasonyiwa nate.

(GI)“Ku lunaku olwo,” bw’ayogera Mukama Katonda, “okuyimba kw’omu yeekaalu kulifuuka kukungubaga. Walibeerawo okufa okuyitirivu, emirambo nga gibunye wonna. Walibaawo akasiriikiriro.”

(GJ)Muwulire bino mmwe abalinnyirira abateesobola,
    era abasaanyaawo abanaku b’omu nsi,

(GK)nga mwogera nti,

“Ennaku enkulu ez’Omwezi ogwa kaboneka ziggwaako ddi,
    tulyoke tutunde emmere yaffe ey’empeke,
era ne Ssabbiiti eggwaako ddi,
    tutunde eŋŋaano yaffe?”
Mukozesa minzaani enkyamu
    ne mwongera emiwendo
    ne mukozesa n’ebipimo ebitatuuse,
(GL)mmwe abagula abaavu n’effeeza
    n’abanaku ne mubagula n’omugogo gw’engatto,
    ne mutundira ebisaaniiko mu ŋŋaano.

(GM)Mukama yeeweredde amalala ga Yakobo ng’agamba nti, “Sigenda kwerabira bintu bye bakoze.

(GN)“Ensi terikankana olw’ekyo,
    na buli abeeramu n’akungubaga?
Ensi yonna eritumbiira ng’omugga Kiyira
    n’ekka ng’amazzi
    ag’omugga gw’e Misiri bwe gakola.”

(GO)Mukama Katonda agamba nti,

“Ku lunaku olwo, enjuba erigwiira mu ttuntu
    era ensi erikwata ekizikiza emisana ttuku.
10 (GP)Embaga zammwe ez’eddini ndizifuula mikolo gya kukungubaga
    era okuyimba kwammwe kwonna kulifuuka kukaaba.
Mwenna nzija kubatuusa ku kwambala ebibukutu
    n’emitwe gyammwe mugimwe.
Olunaku olwo ndilufuula ng’olw’okukungubagira omwana owoobulenzi omu yekka,
    era n’enkomerero yaabyo ekaayire ddala.

11 (GQ)“Ekiseera kijja,” bw’ayogera Mukama Katonda,
    “lwe ndisindika enjala mu nsi yonna,
teriba njala ya mmere oba nnyonta y’amazzi,
    naye eriba enjala y’ekigambo kya Katonda.
12 (GR)Abantu balibundabunda okuva ku nnyanja emu okudda ku ndala,
    bave mu bukiikakkono badde mu bukiikaddyo
nga banoonya ekigambo kya Mukama,
    naye tebalikifuna.

13 (GS)“Mu biro ebyo,

“abawala ababalagavu n’abalenzi ab’amaanyi
    balizirika olw’ennyonta.
14 (GT)Abo abaalayira eby’ensonyi eby’e Samaliya
    oba abaayogera nti, ‘Nga katonda wo bw’ali omulamu ggwe Ddaani,’
    oba nti, ‘Nga katonda w’e Beeruseba bw’ali omulamu,’
    baligwa obutayimuka nate.”

Okuzikirira kwa Isirayiri

(GU)Bwe ntyo nate ne ndaba Mukama ng’ayimiridde ku mabbali g’ekyoto, n’ayogera nti,

“Mukube emitwe gy’empagi bya yeekaalu n’amaanyi mangi,
    emifuubeeto gikankane.
Bisesebbuke bikube emitwe gy’abantu bonna,
    n’abo abaliba bawonyeewo ndibattisa ekitala.
Tewaliba n’omu awona.
(GV)Ne bwe balisima ne baddukira emagombe,
    omukono gwange gulibaggyayo.
Ne bwe balirinnya waggulu mu ggulu
    ndibawanulayo.
(GW)Wadde balyekweka ku lusozi Kalumeeri,
    ndibanoonyaayo ne mbaggyayo.
Ne bwe balyekweka wansi mu buziba bw’ennyanja
    ndiragira ogusota ne gubalumirayo.
(GX)Ne bwe balitwalibwa abalabe baabwe mu buwaŋŋanguse,
    era nayo ndiragira ekitala ne kibattirayo.
Ndibasimba amaaso
    ne batuukibwako bibi so si birungi.”

(GY)Era Mukama, Mukama ow’Eggye,
    akwata ku nsi n’esaanuuka,
    abantu baayo bonna abagibeeramu ne bakungubaga,
ensi yonna n’etumbiira nga Kiyira
    ate n’ekka ng’amazzi g’omugga gw’e Misiri;
(GZ)oyo eyazimba olubiri lwe olulungi ennyo mu ggulu,
    omusingi gwalwo ne gubeera ku nsi,
ayita amazzi g’ennyanja,
    n’agayiwa wansi ku lukalu,
    Mukama lye linnya lye.

(HA)Mukama ayongera n’agamba nti,
    “Mmwe abaana ba Isirayiri temuli ng’Abakuusi gye ndi?
Ssabaggya mu nsi y’e Misiri
    nga bwe naggya Abafirisuuti e Katufoli,
    n’Abasuuli e Kiri?”

Essuubi lya Isirayiri

(HB)“Ddala ddala amaaso ga Mukama Katonda,
    gatunuulidde nkaliriza obwakabaka obwonoonyi.
Ndibuzikiriza ne mbusaasaanya
    okuva ku nsi.
Kyokka sirizikiririza ddala
    ennyumba ya Yakobo okugimalawo,”
    bw’ayogera Mukama.
(HC)“Kubanga ndiwa ekiragiro,
    ennyumba ya Isirayiri erinyeenyezebwa
    mu mawanga gonna,
ng’emmere ey’empeke bwe kuŋŋutibwa mu kakuŋŋunta
    era tewaliba kayinja akaligwa wansi.
10 (HD)Aboonoonyi bonna mu bantu bange,
    balifa kitala,
abo bonna aboogera nti,
    ‘Akabi tekalitutuukako.’ ”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.