Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Bible in 90 Days

An intensive Bible reading plan that walks through the entire Bible in 90 days.
Duration: 88 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Yeremiya 48 - Okukungubaga 1

Obubaka Obukwata ku Mowaabu

48 (A)Ebikwata ku Mowaabu:

Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti,

“Zikisanze Nebo, kubanga kijja kuzikirizibwa,
    Kiriyasayimu kiswale kiwambibwe,
    ekigo eky’amaanyi kijja kuswala kimenyebwe.
(B)Mowaabu taddeyo kutenderezebwa;
    mu Kesuboni abantu balitegeka okugwa kwe, nga boogera nti,
    ‘Mujje, tumalewo ensi eyo.’
Nammwe, mmwe Madumeni mulisirisibwa,
    n’ekitala kirikugoberera.
(C)Muwulirize emiranga egiva e Kolonayimu,
    okwonoonekerwa n’okuzikirizibwa okunene.
Mowaabu alimenyebwa;
    abawere ne bakaaba.
(D)Bakwata ekkubo erigenda e Lukisi,
    nga bwe bakungubaga
ku luguudo olugenda e Kolonayimu,
    emiranga egy’okuzikirizibwa giwulirwa.
(E)Mudduke! Muwonye obulamu bwammwe;
    mubeere ng’ebisaka mu ddungu.
(F)Kubanga mwesiga ebikolwa byammwe n’obugagga bwammwe,
    nammwe mulitwalibwa ng’abaddu,
ne Kemosi alitwalibwa mu buwaŋŋanguse
    awamu ne bakabona be n’abakungu be.
Omuzikiriza alirumba buli kibuga,
    era tewali kibuga kiriwona.
Ekiwonvu kiryonoonebwa
    n’olusenyu luzikirizibwe
    kubanga Mukama ayogedde.
Muwe Mowaabu ebiwaawaatiro abuuke agende
    kubanga alifuuka matongo,
ebibuga bye birizikirizibwa,
    nga tewali abibeeramu.

10 (G)“Akolimirwe oyo agayaalira omulimu gwa Mukama Katonda.
    Akolimirwe oyo aziyiza ekitala kye okuyiwa omusaayi.

11 (H)“Mowaabu abadde mirembe okuva mu buvubuka bwe,
    nga wayini gwe batasengezze,
gwe bataggye mu kibya ekimu okumuyiwa mu kirala,
    tagenzeko mu buwaŋŋanguse.
Kale awooma ng’edda,
    n’akawoowo ke tekakyukanga.
12 Naye ennaku zijja,”
    bw’ayogera Mukama Katonda,
“lwe ndituma basajja bange abaggya wayini mu bibya,
    era balimuyiwa ebweru;
balittulula ensuwa ze
    baase n’ebibya bye.
13 (I)Awo Mowaabu alikwatibwa ensonyi olwa Kemosi,
    ng’ennyumba ya Isirayiri bwe yaswala
    bwe yeesiga Beseri.

14 (J)“Oyinza otya okugamba nti, ‘Tuli balwanyi,
    abasajja abazira mu ntalo?’
15 (K)Mowaabu alizindibwa n’ebibuga bye ne bizikirizibwa;
    abavubuka be abato bagende battibwe,”
    bw’ayogera Kabaka, erinnya lye ye Mukama Katonda ow’Eggye.
16 (L)“Okugwa kwa Mowaabu kusembedde;
    akabi katuuse.
17 Mumubeesebeese mwenna abamwetoolodde,
    mwenna abamanyi ettutumu lye;
mugambe nti, ‘Ng’Omuggo ogw’amaanyi ogw’obwakabaka gumenyese,
    ng’oluga olw’ekitiibwa lumenyese!’ 

18 (M)“Mukke muve mu kitiibwa kyammwe
    mutuule ku ttaka,
    mmwe abatuuze b’Omuwala w’e Diboni,
kubanga oyo azikiriza Mowaabu
    alibajjira azikirize ebibuga byammwe ebya bbugwe.
19 (N)Muyimirire ku luguudo mulabe,
    mmwe ababeera mu Aloweri.
Mubuuze omusajja adduka, n’omukazi atoloka,
    mubabuuze nti, ‘Kiki ekiguddewo?’
20 (O)Mowaabu aswadde kubanga amenyesemenyese.
    Mukaabe muleekaane!
Mulangiririre mu Alunoni
    nti Mowaabu kizikiridde.
21 (P)Okusala omusango kutuuse mu nsi ey’ensenyi
    ku Koloni ne ku Yaza ne ku Mefaasi,
22     (Q)ne ku Diboni, ne ku Nebo ne ku Besudibulasayimu,
23     (R)ne ku Kiriyasayimu ne ku Besugamuli ne ku Besumyoni;
24     (S)ne ku Keriyoosi ne ku Bozula
    ne ku bibuga byonna eby’omu nsi ya Mowaabu ebiri ewala n’ebiri okumpi.
25 (T)Ejjembe lya Mowaabu lisaliddwako,
    n’omukono gwe gumenyese,”
    bw’ayogera Mukama Katonda.

26 (U)“Mumutamiize;
    kubanga ajeemedde Mukama.
Ka Mowaabu yekulukuunyize mu bisesemye bye,
    era asekererwe.
27 (V)Isirayiri tewagisekereranga?
    Baali bamukutte mu bubbi,
olyoke onyeenye omutwe gwo ng’omusekerera
    buli lw’omwogerako?
28 (W)Muve mu bibuga byammwe mubeere mu njazi,
    mmwe ababeera mu Mowaabu.
Mubeere ng’ejjiba erikola ekisu kyalyo
    ku mumwa gw’empuku.

29 (X)“Tuwulidde amalala ga Mowaabu
    amalala ge agayitiridde n’okwemanya,
okwewulira kwe era n’okweyisa kwe
    era n’okwegulumiza kwe okw’omutima.
30 Mmanyi obusungu bwe obutaliimu,” bw’ayogera Mukama Katonda,
    “okwenyumiriza kwe okutaliiko kye kugasa.
31 (Y)Noolwekyo nkaabirira Mowaabu,
    olwa Mowaabu yenna nkaaba,
    nkungubagira abasajja ab’e Kirukeresi.
32 (Z)Nkukaabira ggwe amaziga, nga Yazeri bw’akaaba,
    ggwe omuzabbibu gw’e Sibuna.
Amatabi gammwe geegolola okutuuka ku nnyanja;
    gatuuka ku nnyanja y’e Yazeri.
Omuzikiriza agudde ku bibala byo
    ebyengedde era n’emizabbibu.
33 (AA)Essanyu n’okujaguza biggiddwa ku nnimiro
    ne ku bibanja bya Mowaabu.
Nziyizza okukulukuta kwa wayini mu masogolero;
    tewali asogola ng’aleekaana olw’essanyu.
Newaakubadde nga waliyo okuleekaana,
    okuleekaana okwo si kwa ssanyu.

34 (AB)“Amaloboozi g’okukaaba kwabwe galinnye
    okuva e Kesuboni okutuuka ku Ereyale, n’okutuuka ku Yakazi.
Okuva e Zowaali okutuuka e Kolanayimu n’e Egulasuserisiya,
    kubanga n’amazzi g’e Nimulimu gakalidde.
35 (AC)Ndiggyawo
    abo abawaayo ebiweebwayo mu bifo ebigulumivu e Mowaabu,
    ne bootereza n’obubaane eri bakatonda baabwe,” bw’ayogera Mukama Katonda.
36 (AD)“Noolwekyo omutima gwange gukaabira Mowaabu ng’endere;
    gukaaba ng’endere olw’abasajja b’e Kirukesi.
    Obugagga bwe baafuna buweddewo.
37 (AE)Buli mutwe mumwe
    na buli kirevu kisaliddwako;
buli mukono gutemeddwako
    na buli kiwato kisibiddwamu ebibukutu.
38 (AF)Ku buli kasolya ka nnyumba e Mowaabu
    ne mu bifo awakuŋŋaanirwa,
tewaliwo kintu kirala wabula okukungubaga,
    kubanga njasizzayasizza Mowaabu
    ng’ekibya ekitaliiko akyagala,” bw’ayogera Mukama Katonda.
39 “Ng’amenyeddwamenyeddwa! Nga bakaaba!
    Mowaabu ng’akyusa omugongo gwe olw’obuswavu!
Mowaabu afuuse kyakusekererwa,
    ekyekango eri bonna abamwetoolodde.”
40 (AG)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti:
“Laba! Empungu ekka,
    ng’eyanjuluza ebiwaawaatiro byayo ku Mowaabu.
41 (AH)Ebibuga birikwatibwa
    n’ebigo biwambibwe.
Ku lunaku olwo emitima gy’abalwanyi ba Mowaabu
    giribeera ng’omutima gw’omukazi alumwa okuzaala.
42 (AI)Mowaabu alizikirizibwa,
    kubanga yajeemera Mukama.
43 (AJ)Entiisa n’obunnya n’omutego bibalindiridde,
    mmwe abantu ba Mowaabu,”
    bw’ayogera Mukama Katonda.
44 (AK)“Buli alidduka entiisa
    aligwa mu bunnya,
n’oyo aliba avudde mu bunnya
    alikwatibwa omutego;
kubanga ndireeta ku Mowaabu
    omwaka gw’okubonaabona kwe,”
    bw’ayogera Mukama Katonda.

45 (AL)“Mu kisiikirize kya Kesuboni,
    abadduka mwe bayimirira nga tebalina maanyi,
kubanga omuliro guvudde mu Kesuboni,
    ennimi z’omuliro wakati mu Sikoni,
era gw’okezza ebyenyi bya Mowaabu,
    n’obuwanga bw’abo abaleekaana nga beewaanawaana.
46 (AM)Zikusanze ggwe, Mowaabu.
    Abantu b’e Kemosi bazikiridde,
batabani bo batwaliddwa mu buwaŋŋanguse
    ne bawala bammwe mu busibe.

47 (AN)“Ndikomyawo nate obugagga bwa Mowaabu
    mu nnaku ezijja,”
    bw’ayogera Mukama Katonda.

Omusango Mowaabu gw’asaliddwa gukoma wano.

Obubaka Obukwata ku Amoni

49 (AO)Ebikwata ku baana ba Amoni bye bino.

Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,

“Isirayiri terina baana balenzi?
    Terina basika?
Lwaki Malukamu atutte Gaadi?
    Lwaki abantu be batutte ebibuga by’e Gaadi?
(AP)Naye ennaku zijja,” bw’ayogera Mukama Katonda,
“lwe ndiraya eŋŋoma ezirangirira olutalo
    ku Labba eky’abawala ba Amoni.
Kirifuuka ntuumu ya mafunfugu,
    n’ebyalo ebiriraanyeewo byokebwe omuliro.
Isirayiri eryoke egobere ebweru
    abo abagigoba,”
    bw’ayogera Mukama Katonda.
(AQ)“Kaaba, ggwe Kesuboni, kubanga Ayi kizikiridde!
    Mukaabe mmwe abatuuze b’omu Labba!
Mwesibe ebibukutu mukungubage.
    Mudduke mudde eno n’eri mu bisenge by’ekibuga,
kubanga Malukamu alitwalibwa mu busibe,
    awamu ne bakabona n’abakungu.
(AR)Lwaki mwenyumiriza olw’ebiwonvu byammwe,
    ne mwenyumiriza olw’ebiwonvu ebigimu?
Ggwe omuwala atali mwesigwa,
    weesiga obugagga bwo n’ogamba nti,
    ‘Ani alinnumba?’
Ndikuleetako entiisa,
    okuva mu abo bonna abakwetoolodde,”
    bw’ayogera Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye.
“Buli omu ku mmwe aligobebwa,
    era tewali n’omu alikuŋŋaanya abadduka.

(AS)“Naye oluvannyuma ndikomyawo nate omukisa gy’abaana ba Amoni,”
    bw’ayogera Mukama Katonda.

Obubaka obukwata ku Edomu

(AT)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti,

“Tewakyali magezi mu Temani?
    Abeegendereza babuliddwa okutegeera?
    Amagezi gaabwe gaweddemu ensa?
(AU)Mukyuke mudduke mwekweke mu mpuku eziri ewala
    mmwe abatuuze b’e Dedani,
kubanga ndireeta ekikangabwa ku Esawu,
    mu kiseera bwe ndimubonerereza.
Abanozi b’emizabbibu singa bazze gy’oli,
    tebandikuleseeko mizabbibu mibale bubazi?
Singa ababbi bazze ekiro,
    tebandibbye byonna bye beetaaga?
10 (AV)Naye ndyambula Esawu mwerule;
    ndizuula ebifo bye mwe yeekweka,
    aleme kwekweka.
Abaana be, n’ab’eŋŋanda ze n’ab’omuliraano baakuzikirira,
    era wa kuggwaawo.
11 (AW)Bamulekwa mu mmwe mubaleke, ndibalabirira.
    Ne bannamwandu mu mmwe banneesige.”

12 (AX)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, “Obanga abo abatandinywedde ku kikompe bawaliriziddwa okukinywako, lwaki mmwe temubonerezebwa? Temuuleme kubonerezebwa, mulina okukinywa. 13 (AY)Neerayirira,” bw’ayogera Mukama Katonda nti, “Bozula alifuuka matongo era ekibuga ekijjudde entiisa, ekinyoomebwa era ekikolimire, era ebibuga bye byonna biriba matongo emirembe gyonna.”

14 Mpulidde obubaka okuva eri Mukama Katonda.
    Omubaka yatumibwa eri amawanga okugamba nti,
“Mwekuŋŋaanye mukirumbe!
    Mugolokoke mukole olutalo!”

15 “Kaakano ndibafuula aba wansi ennyo mu mawanga,
    abanyoomebwa mu bantu.
16 (AZ)Entiisa gy’oleeta
    n’amalala g’omutima gwo bikulimbye,
mmwe ababeera mu bunnya bw’amayinja,
    mmwe ababeera waggulu mu nsozi.
Wadde nga muzimba ebisu byammwe okubeera waggulu nga eby’empungu,
    ndibawanulayo ne mbasuula wansi,”
    bw’ayogera Mukama Katonda.
17 (BA)“Edomu kirifuuka kyerolerwa,
    abo bonna abayitawo balyewuunya batye
    olw’ebiwundu bye byonna.
18 (BB)Nga Sodomu ne Ggomola bwe byayonoonebwa,
    wamu n’ebibuga ebirala ebiriraanyeewo,” bw’ayogera Mukama Katonda,
“tewaliba n’omu abibeeramu;
    tewali musajja alikituulamu.

19 (BC)“Ng’empologoma eva mu bisaka by’omu Yoludaani
    okugenda mu muddo omugimu,
ndigoba Edomu mu nsi ye amangu n’embiro.
    Ani oyo omulonde gwe nnaateekawo akole kino?
Ani ali nga nze era ani ayinza okunsomooza?
    Era musumba wa ndiga ki ayinza okunjolekera?”
20 (BD)Noolwekyo, muwulire Mukama Katonda kyategese okuleeta ku Edomu,
    kyategekedde abo abatuula mu Temani.
Endiga ento mu bisibo za kuwalulwa,
    alyonoonera ddala ebisibo byazo ku lwabwe.
21 (BE)Bwe baligwa ensi erikankana,
    emiranga gyabwe giriwulirwa mu Nnyanja Emyufu.
22 (BF)Laba, alibuuka mu bire ng’empungu n’atumbiira,
    n’alyoka akka ng’ayanjululiza ebiwaawaatiro bye ku Bozula.
Ku lunaku olwo emitima gy’abalwanyi ba Edomu
    giribeewanika ng’ogw’omukazi alumwa okuzaala.

Obubaka ku Damasiko

23 (BG)Ebikwata ku Damasiko:

“Kamasi ne Alupaadi biweddemu amaanyi,
    kubanga biwulidde amawulire amabi.
Bakeŋŋentereddwa,
    batabuddwa ng’ennyanja esiikuuse, tebasobola kutereera.
24 Ddamasiko ayongobedde,
    akyuse adduke
    era okutya kumukutte;
obubalagaze n’obuyinike bimunyweezezza,
    obulumi nga obw’omukazi alumwa okuzaala.
25 Lwaki ekibuga ekimanyiddwa tebakidduse,
    ekibuga mwe nsanyukira?
26 (BH)Ddala abavubuka baakyo baligwa mu nguudo,
    n’abalwanyi baakyo bonna ku olwo baakusirisibwa,”
    bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye.
27 (BI)“Ndiyokya bbugwe wa Ddamasiko omuliro;
    gwakumalawo n’embiri za Benukadaadi.”

Obubaka ku Kedali ne Kazoli

28 (BJ)Bino bye bikwata ku Kedali n’obwakabaka bwa Kazoli, obwalumbibwa Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni.

Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,

“Golokoka, olumbe Kedali
    ozikirize abantu be bugwanjuba.
29 (BK)Weema zaabwe n’ebisibo byabwe bya kutwalibwa;
    enju zaabwe ziryetikkibwa
    n’ebintu byabwe byonna n’eŋŋamira zaabwe.
Abasajja balibakanga nga bawowoggana nti,
    ‘Akabi kavudde ku buli ludda!’

30 “Mudduke mwekukume mangu!
    Mubeere mu mpuku empanvu, mmwe abatuuze b’omu Kazoli,”
    bw’ayogera Mukama Katonda.
“Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni abasalidde olukwe;
    ategese okubalumba.

31 (BL)“Golokoka olumbe eggwanga eriri mu ggandaalo,
    eriri mu kweyagala,”
    bw’ayogera Mukama Katonda,
“eggwanga eritalina miryango gisibwa wadde ebyuma;
    abantu baalyo babeera awo bokka.
32 (BM)Eŋŋamira zaabwe zaakunyagibwa,
    n’amagana gaabwe amanene gatwalibwe.
Ndibasaasaanya eri empewo, abo abali mu bifo eby’ewala,
    mbaleeteko akabi okuva ku buli ludda,”
    bw’ayogera Mukama Katonda.
33 (BN)“Kazoli alifuuka kifo kya bibe,
    ekifo eky’amatongo eky’emirembe n’emirembe.
Tewali alikibeeramu;
    tewali muntu alikituulamu.”

Obubaka ku Eramu

34 (BO)Kino kye kigambo kya Mukama Katonda ekyajjira nnabbi Yeremiya ekikwata ku Eramu, nga Zeddekiya kabaka wa Yuda kyajje alye obwakabaka.

35 (BP)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti,

“Laba, ndimenya omutego gwa Eramu,
    amaanyi gaabwe mwe gasinga okwesigibwa.
36 (BQ)Era ndireeta ku Eramu empewo ennya,
    okuva mu bitundu ebina eby’eggulu;
ndibasaasaanyiza eri empewo ezo ennya,
    era tewaliba nsi n’emu
    abawaŋŋanguse ba Eramu gye bataliddukiramu.
37 (BR)Ndimenyeramenyera Eramu mu maaso g’abalabe be,
    mu maaso gaabo abamunoonya okumutta;
ndibatuusaako ekikangabwa,
    n’obusungu bwange obungi ennyo,”
    bw’ayogera Mukama Katonda.
“Ndibawondera n’ekitala
    okutuusa lwe ndibamalirawo ddala.
38 Nditeeka entebe yange ey’obwakabaka mu Eramu
    era nzikirize kabaka we n’abakungu be,”
    bw’ayogera Mukama Katonda.

39 (BS)“Wabula ekiseera kijja,
    lwe ndiddiramu Eramu,”
    bw’ayogera Mukama Katonda.

Obubaka ku Babulooni

50 (BT)Kino kye kigambo Mukama Katonda kye yayogerera mu nnabbi Yeremiya ekikwata ku Babulooni n’ensi ey’Abakaludaaya.

(BU)“Buulira mu mawanga era olangirire,
    yimusa bendera olangirire,
    tolekaayo kintu kyonna ogambe nti,
‘Babulooni eriwambibwa;
    Beri kiswale,
    ne Meroddaaki kijjule entiisa.
Ebifaananyi bya bakatonda abakole n’emikono bijja kuswala
    era bitye.’
(BV)Eggwanga okuva mu bukiikakkono lijja kukirumba
    lyonoone ensi y’Abakaludaaya.
Tewali muntu alisigalamu;
    abantu bonna balikiddukamu era n’ensolo zonna.

(BW)“Mu nnaku ezo, era mu kiseera ekyo,”
    bw’ayogera Mukama,
“abantu ba Isirayiri awamu n’abantu ba Yuda
    balikaaba amaziga nga banoonya Mukama Katonda waabwe.
(BX)Balibuuza ekkubo eridda e Sayuuni
    era bakyuse obwenyi bwabwe okukitunuulira, nga boogera nti,
Mujje twesibe ku Mukama Katonda
    mu ndagaano ey’emirembe gyonna
    etegenda kwerabirwa.

(BY)“Abantu bange babadde ndiga ezibuze;
    abasumba baabwe babawabizza
    ne babatuusa ku kutaataaganira ku nsozi.
Baava ku lusozi ne badda ku kasozi
    ne beerabira ekifo kyabwe eky’okuwummuliramu.
(BZ)Buli eyabasanganga nga abatulugunya;
    abalabe baabwe ne bagamba nti, ‘Tetulina musango gwe tuzza,
kubanga baajeemera Mukama Katonda, obuddukiro bwabwe obwa nnama ddala,
    ye Mukama, essuubi lya bakitaabwe.’ 

(CA)“Mudduke okuva e Babulooni;
    muleke ensi y’Abakaludaaya,
    mubeere ng’embuzi ezikulembera ekisibo.
Kubanga, laba, ndigolokosa ekibiina ky’amawanga amanene
    okuva mu nsi ey’obukiikakkono okulumba Babulooni.
Baliyimirira mu nnyiriri zaabwe bakirumbe,
    bakiwambe nga basinzira mu bukiikakkono.
Obusaale bwabwe buliba ng’obw’abalwanyi abakugu,
    abataddira awo ngalo nsa.
10 Noolwekyo ensi y’Abakaludaaya erinyagibwa;
    abo bonna abaliginyaga balitwala byonna bye baagala,”
    bw’ayogera Mukama Katonda.

11 (CB)“Kubanga musanyuka ne mujaguza,
    mmwe abaanyaga omugabo gwabwe,
kubanga muligita ng’ente enduusi ewuula emmere ey’empeke,
    ne muleekaana ng’embalaasi ennume enkulu,
12 nnyammwe alikwatibwa ensonyi;
    oyo eyakuzaala aliswazibwa.
Aliba ensi esemberayo ddala,
    ensiko, ensi enkalu, eddungu.
13 (CC)Olw’obusungu bwa Mukama Katonda tajja kubeeramu bantu,
    naye alisigala matongo.
Bonna abayita e Babulooni balyewuunya batye era bakisooze
    olw’ebiwundu bye byonna.

14 (CD)“Musimbe ennyiriri okwetooloola Babulooni,
    mwenna abanaanuula omutego.
Mumulase! Temulekaawo kasaale n’akamu,
    kubanga yajeemera Mukama Katonda.
15 (CE)Mumukube olube ku buli ludda.
    Ajeemulukuse, eminaala gye gigwa,
    n’ebisenge bye bimenyeddwa.
Kubanga kuno kwe kwesasuza kwa Mukama Katonda,
    mumwesasuzeeko;
    mumukole nga bw’akoze abalala.
16 (CF)Asiga mumuggye mu Babulooni,
    n’omukunguzi oyo akwata ekiwabyo mumuggye mu makungula.
Olw’ekitala ky’omujoozi,
    leka buli omu addukire mu nsi y’ewaabwe,
    buli muntu adde eri abantu be.

17 (CG)“Isirayiri kisibo kya ndiga ezisaasaanye,
    empologoma kye zigobye.
Eyasooka okumulya
    yali kabaka wa Bwasuli;
eyasembayo okumenya amagumba ge
    yali Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni.”

18 (CH)Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti,

“Ndibonereza kabaka w’e Babulooni n’ensi ye
    nga bwe nabonereza kabaka w’e Bwasuli.
19 (CI)Naye ndikomyawo Isirayiri mu kisibo kye
    era aliriira ku Kalumeeri ne Basani;
alikuttira
    ku busozi bwa Efulayimu, ne mu Gireyaadi.
20 (CJ)Mu nnaku ezo, era mu biseera ebyo,” bw’ayogera Mukama Katonda, “omusango ku Isirayiri gulinoonyezebwa, naye tegulibaawo, era n’ebibi bya Yuda birinoonyezebwa, naye tewaliba na kimu, kubanga ndisonyiwa abo bendeseewo.

21 (CK)“Mulumbe ensi ye Merasayimu
    n’abo abali mu Pekodi.
Mubagoberere mubatte, mubazikiririze ddala,”
    bw’ayogera Mukama Katonda.
    “Mukole byonna bye mbalagidde.
22 (CL)Oluyoogaano lw’olutalo luwulirwa mu ggwanga,
    eddoboozi ery’okuzikiriza okunene!
23 (CM)Ennyondo y’ensi yonna
    ng’ekubiddwa n’emenyeka!
Babulooni kifuuse matongo
    mu mawanga!
24 (CN)Nakutegera omutego, ggwe Babulooni,
    babagwiikiriza ne babakwata nga tebategedde,
baakukwata ne bakuwamba
    kubanga wawakanya Mukama.
25 (CO)Mukama agguddewo etterekero ly’ebyokulwanyisa bye
    naggyamu ebyokulwanyisa eby’ekiruyi kye,
kubanga Mukama Katonda ow’Eggye alina omulimu ogw’okukola
    mu nsi y’Abakaludaaya.
26 (CP)Mujje mumulumbe mmwe abava mu buli nsonda,
    mumenye ebyagi eby’emmere y’empeke,
    mumukuŋŋaanye abe ng’entuumo y’emmere y’empeke.
Mumuzikiririze ddala;
    waleme kusigalawo n’omu ku bo.
27 Mutte ennume zaabwe zonna,
    muzitwale zittibwe.
Zibasanze kubanga olunaku lwabwe lutuuse,
    kye kiseera kyabwe eky’okubonerezebwa.
28 (CQ)Muwulire eby’abadduka n’abanoonyi b’obubudamu okuva mu Babulooni
    nga balangirira mu Sayuuni
engeri Mukama Katonda waffe gye yeesasuzza,
    gye yeesasuzza olwa yeekaalu ye.

29 (CR)“Koowoola abalasi b’obusaale balumbe Babulooni,
    ne bonna abanaanuula omutego.
Mumwetooloole yenna;
    tewaba n’omu awona.
Mumusasule olw’ebikolwa bye byonna;
    mumukole nga bwe yakola banne.
Kubanga yanyooma Mukama,
    Omutukuvu wa Isirayiri.
30 (CS)Noolwekyo, abavubuka be baligwa mu nguudo;
    abaserikale be balisirisibwa ku lunaku olwo,”
    bw’ayogera Mukama Katonda.
31 (CT)“Laba, ndi mulabe wo, ggwe ow’amalala,”
    bw’ayogera Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye,
“Kubanga olunaku lwo lutuuse,
    ekiseera ky’on’obonerezebwamu.
32 (CU)Oyo ow’amalala alyesittala agwe
    era teri n’omu alimuyamba kuyimuka;
Ndikoleeza omuliro mu bibuga bye
    oguliyokya bonna abamwetoolodde.”

33 (CV)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti,

“Abantu ba Isirayiri banyigirizibwa
    awamu n’abantu ba Yuda;
Bonna ababawambye babanywezezza,
    bagaanye okubata.
34 (CW)Omununuzi waabwe w’amaanyi,
    Mukama Katonda ow’Eggye lye linnya lye.
Alirwanirira ensonga zaabwe awatali kubuusabuusa,
    alyoke aleete emirembe mu nsi yaabwe;
    wabula alireeta okutabukatabuka mu bantu ba Babulooni.

35 (CX)“Ekitala kyolekedde Abakaludaaya,”
    bw’ayogera Mukama,
“n’eri abo ababeera mu Babulooni,
    n’abakungu baabwe n’abasajja baabwe abajjudde amagezi!
36 (CY)Ekitala kyolekedde bannabbi baabwe ab’obulimba!
    Balifuuka balisiriwala,
ekitala kyolekedde abalwanyi baabwe.
    Balijjula entiisa.
37 (CZ)Ekitala kyolekedde embalaasi ze n’amagaali
    n’abagwira bonna abamubeeramu!
    Balifuuka banafu ng’abakazi.
Ekitala kyolekedde eby’obugagga bwe!
    Birinyagibwa!
38 (DA)Ekyeya kyolekedde amazzi gaamu!
    Galikalira.
Kubanga ggwanga erisinza ebifaananyi,
    ebifaananyi ebirigwa eddalu olw’entiisa.

39 (DB)“Noolwekyo ensolo z’omu nsiko ziribeera eyo n’empisi,
    era eyo ekiwuugulu nakyo gye kiribeera.
Ekibuga ekyo tekiriddamu kubeeramu bantu
    wadde kutuulwamu bantu emirembe gyonna.
40 (DC)Katonda nga bwe yazikiriza Sodomu ne Ggomola
    n’ebibuga ebiriraanyeewo,”
    bw’ayogera Mukama,
“bw’atyo bw’alikikola ne mutaba muntu n’omu alikibeeramu;
    tewaliba n’omu alikisigalamu.

41 (DD)“Laba, eggye liva mu bukiikakkono;
    ensi ey’amaanyi ne bakabaka bangi,
    bakuŋŋaana okuva ku nkomerero y’ensi.
42 (DE)Balina obusaale n’amafumu,
    bakambwe si ba kisa.
Beebagadde embalaasi zaabwe
    ne baba ng’amayengo agawuluguma mu nnyanja;
bali ng’abasajja abalwanyi abajjira mu nnyiriri z’entalo
    okukulumba, ggwe Muwala wa Babulooni.
43 Kabaka w’e Babulooni afunye amawulire agabafaako,
    n’emikono gye girebedde.
Entiisa emugwiridde,
    ng’omukazi alumwa okuzaala.
44 (DF)Ng’empologoma eva mu kibira kya Yoludaani
    okugenda mu ddundiro eggimu,
Babulooni ndimugoba mu nsi ye awatali kutemya kikowe.
    Ani oyo omulonde gwe nnaawa okukola kino?
Ani ali nga nze, era ani ayinza okunsomooza?
    Era musumba ki ayinza okuyimirirawo okumpakanya?”

45 (DG)Noolwekyo, wulira Mukama ky’ategekedde Babulooni,
    ky’ategese okuleeta ku nsi y’Abakaludaaya.
Obwana bw’ebisibo byabwe bulitwalibwa,
    alizikiririza ddala ebisibo byabwe ng’abalanga obujeemu bwabwe.
46 (DH)Olw’oluyoogaano lw’okuwambibwa kwa Babulooni, ensi erikankana;
    okukaaba kwe kuliwulirwa mu mawanga.

Ekibonerezo kya Babulooni

51 Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“Laba, ndiyimusa omwoyo gw’omuzikiriza
    alumbe Babulooni n’abantu ba Lebukamaayi.
(DI)Ndituma abagwira e Babulooni
    bamuwewe era bazikirize ensi ye;
balimulumba ku buli luuyi
    ku lunaku olw’okuzikirira kwe.
(DJ)Omulasi talikuba busaale bwe,
    taliyambala wadde ebyambalo bye ebyokulwanyisa.
Temusonyiwa batabani be;
    muzikiririze ddala amaggye ge.
(DK)Baligwa nga battiddwa e Babulooni,
    nga batuusiddwako ebiwundu eby’amaanyi mu nguudo ze.
(DL)Kubanga Yuda ne Isirayiri tebinnalekebwa
    Katonda waabwe, oyo Mukama Katonda ow’Eggye,
wadde ng’ensi yaabwe esingiddwa omusango
    mu maaso g’Omutukuvu wa Isirayiri.

(DM)“Mudduke Babulooni.
    Mudduke okuwonya obulamu bwammwe.
    Temusaanawo olw’ebibi bye.
Kiseera kya Mukama okwesasuza;
    alimusasula ekyo ekimusaanira.
(DN)Babulooni yali kikompe kya zaabu mu mukono gwa Mukama;
    yatamiiza ensi yonna.
Amawanga gaanywa wayini we,
    kyegavudde galaluka.
(DO)Babulooni kirigwa mangu ago ne kimenyekamenyeka.
    Mukikungubagire.
Munoonye eddagala olw’obulumi bw’akyo
    oboolyawo anaawonyezebwa.

(DP)“ ‘Twandiwonyezza Babulooni,
    naye tayinza kuwonyezeka.
Leka tumuleke buli muntu adde mu nsi ye,
    kubanga omusango gwe gutuuse mu bwengula,
    gusituse gulinnye okutuuka ku bire.’

10 (DQ)“ ‘Mukama atulwaniridde,
    mujje tukitegeeze mu Sayuuni
    ekyo Mukama Katonda waffe ky’akoze.’ 

11 (DR)“Muwagale obusaale,
    mukwate engabo!
Mukama ayungudde bakabaka ab’e Bumeedi,
    kubanga ekigendererwa kye kuzikiriza Babulooni.
Mukama aliwalana eggwanga,
    aliwalana eggwanga olwa yeekaalu ye.
12 Muyimuse bendera mwolekere bbugwe wa Babulooni!
    Mwongereko abakuumi,
muteekeko abaserikale,
    mutegeke okulumba mbagirawo!
Mukama alituukiriza ekigendererwa bye,
    ensala ye okwolekera abantu ba Babulooni.
13 (DS)Gwe abeera okumpi n’amazzi amangi,
    omugagga mu bintu eby’omuwendo,
enkomerero yo etuuse,
    ekiseera kyo eky’okuzikirizibwa kituuse.
14 (DT)Mukama Katonda ow’Eggye yeerayiridde ku lulwe;
    ddala ndikujjuza abasajja, ng’ebibinja by’enzige,
    era balireekaana nga bakuwangudde.

15 (DU)“Ensi yagikola n’amaanyi ge;
    yagiteekawo n’amagezi ge,
    n’ayanjuluza eggulu n’okutegeera kwe.
16 (DV)Bw’abwatuka, amazzi ag’omu ggulu gawuluguma;
    ayimusa ebire okuva ku nkomerero y’ensi.
Amyansisa eggulu mu nkuba
    era n’aggya empewo mu mawanika ge.

17 (DW)“Buli muntu talina magezi wadde okutegeera;
    Buli muweesi aswadde olw’ebifaananyi bya bakatonda by’akoze n’emikono gye.
Ebifaananyi bye bya bulimba;
    tebirina mukka.
18 (DX)Tebiriiko kye bigasa, ebisaanye okunyoomebwa
    ebirizikirizibwa nga Mukama azze okusala omusango.
19 Oyo omugabo gwa Yakobo tali nga bano,
    kubanga yakola ebintu byonna,
nga mwotwalidde n’eggwanga ly’omugabo gwe,
    n’erinnya lye ye Mukama Katonda ow’Eggye.

20 (DY)“Muli mbazzi yange,
    ekyokulwanyisa kyange eky’olutalo,
mmwe be nkozesa okubetenta amawanga,
    mmwe be nkozesa okuzikiriza obwakabaka,
21 (DZ)era ggwe gwe ndikozesa okubetenta embalaasi n’omwebagazi,
    ggwe gwe ndikozesa okubetenta ekigaali n’omuvuzi waakyo,
22 (EA)era ggwe gwe ndikozesa okubetenta omusajja n’omukazi,
    era ggwe ndikozesa okubetenta omukadde n’omuvubuka,
    era ggwe gwe ndikozesa okubetenta omuvubuka n’omuwala omuto.
23 (EB)Ggwe gwe ndikozesa okubetenta omusumba n’ekisibo kye,
    ggwe gwe ndikozesa okubetenta omulimi n’ente ennume,
    ggwe gwe ndikozesa okubetenta bagavana n’abakungu.

24 (EC)“Ndisasula Babulooni ne bonna ababeeramu nga mulaba olw’ebibi byonna bye baakola mu Sayuuni,” bw’ayogera Mukama.

25 (ED)“Mbalinako ensonga, ggwe olusozi oluzikiriza,
    mmwe abazikiriza ensi yonna,”
    bw’ayogera Mukama.
“Ndikugolererako omukono gwange,
    nkusuule ku mayinja g’ensozi,
    nkufuule olusozi olutakyayaka.
26 (EE)Tewali jjinja lirikuggibwako kukola jjinja lya ku nsonda,
    wadde ejjinja lyonna okukola omusingi,
    kubanga olibeera matongo emirembe gyonna,”
    bw’ayogera Mukama.

27 (EF)“Yimusa bendera mu ggwanga!
    Fuuwa omulere mu mawanga!
Tegeka amawanga okumulwanyisa;
    koowoola obwakabaka buno bumulumbe:
    obwa Alalati ne Mini ne Asukenaazi.
Londa omuduumizi amulumba,
    weereza embalaasi eziri ng’ekibinja ky’enzige.
28 (EG)Teekateeka amawanga okumulwanyisa;
    bakabaka Abameedi,
bagavana baabwe era n’abakungu baabwe bonna,
    n’amawanga ge bafuga.
29 (EH)Ensi ekankana ne yeenyola olw’obulumi,
    kubanga ebigendererwa bya Mukama eri Babulooni tebikyuka,
okuzikiriza ensi ya Babulooni
    waleme kubaawo agibeeramu.
30 (EI)Abalwanyi ba Babulooni balekedde awo okulwana;
    basigadde mu bigo byabwe.
Baweddemu amaanyi;
    bafuuse nga bakazi.
Ebifo bye mw’abeera byokeddwa omuliro;
    emitayimbwa gy’oku nzigi ze gimenyeddwa.
31 (EJ)Matalisi omu agoberera omulala,
    omubaka omu n’agoberera munne,
okulangirira eri kabaka w’e Babulooni nti
    ekibuga kye kyonna kiwambiddwa,
32 (EK)entindo z’emigga baziwambye,
    ensenyi ziyidde omuliro,
    n’abaserikale batidde.”

33 (EL)Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti,

“Muwala wa Babulooni ali ng’egguuliro,
    mu kiseera w’analinnyiririrwa;
    ebiseera eby’okumukungula binaatera okutuuka.”
34 (EM)“Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni atukubyekubye,
    atutabudde,
    tufuuse ekikompe ekyereere.
Atumize ng’omusota
    n’olubuto lwe n’alujjuza ebyassava byaffe ebiwooma,
    ffe n’atusesema.
35 (EN)Leka okubonaabona okututuuseeko kubeere ku Babulooni,”
    bwe boogera abatuula mu Sayuuni.
“Leka omusaayi gubeere ku abo ababeera mu Babulooni,”
    bwayogera Yerusaalemi.

36 (EO)Mukama kyava ayogera nti,

“Laba ndikulwanirira era ndikuwolerera eggwanga;
Ndikaliza ennyanja ye
    n’ensulo ze.
37 (EP)Babulooni kirifuuka bifunvu,
    mpuku ya bibe,
ekintu ekyenyinyalwa n’okusekererwa,
    ekifo omutali abeeramu.
38 Abantu baakyo bonna bawuluguma ng’empologoma ento,
    bavuumira wamu ng’abaana b’empologoma.
39 (EQ)Naye nga bakyabuguumirira,
    ndibategekera ekijjulo,
    mbatamiize
balyoke balekaane nga baseka,
    olwo beebake emirembe gyonna nga tebazuukuse,”
    bw’ayogera Mukama.
40 “Ndibaserengesa
    ng’abaana b’endiga, battibwe,
    ng’endiga n’embuzi.

41 (ER)“Sesaki nga kiriwambibwa,
    okujaguza kw’ensi yonna kugwewo.
Babulooni kifuuse matongo eri amawanga!
42 (ES)Ennyanja eribuutikira Babulooni;
    amayengo gaayo agawuluguma galigisaanikira.
43 (ET)Ebibuga bye birisigala matongo,
    ensi enkalu ey’eddungu,
ensi eteriimu muntu,
    eteyitamu muntu yenna.
44 (EU)Ndibonereza Beri mu Babulooni,
    mmusesemye bye yali amize.
Amawanga nga tegakyesomba kugenda gyali.
    Ne bbugwe wa Babulooni aligwa.

45 (EV)“Mukiveemu, abantu bange!
    Mudduke muwonye obulamu bwammwe!
    Mudduke muwone obusungu bwa Mukama obubuubuuka.
46 (EW)Temutya wadde okuggwaamu amaanyi
    ng’eŋŋambo ziyitiŋŋana mu nsi;
olugambo olumu lujja omwaka guno, olulala omwaka ogujja,
    eŋŋambo z’entalo mu ggwanga,
    era ez’omufuzi ng’alwana ne mufuzi munne.
47 (EX)Kubanga ekiseera kijja
    lwe ndibonereza ebifaananyi bya bakatonda ba Babulooni abaakolebwa n’emikono;
ensi eyo yonna eritabanguka,
    n’emirambo gy’abantu baayo abattiddwa gyonna gibeere omwo.
48 (EY)Eggulu n’ensi ne byonna ebibirimu
    birireekana olw’essanyu olwa Babulooni,
abalimuzikiriza balimulumba
    okuva mu bukiikakkono,”
    bw’ayogera Mukama.

49 (EZ)“Babulooni kirigwa olw’Abayisirayiri abaafa,
    nga bonna abaafa mu nsi yonna
    bwe baweddewo olwa Babulooni.
50 (FA)Mmwe abawonye ekitala,
    mwanguwe okugenda!
Mujjukire Mukama nga muli mu nsi ey’ewala,
    mulowooze ku Yerusaalemi.”
51 (FB)“Tuweddemu amaanyi
    kubanga tuvumiddwa
    era tukwatiddwa ensonyi,
kubanga abagwira bayingidde
    mu bifo ebitukuvu eby’ennyumba ya Mukama.”

52 (FC)“Naye ennaku zijja,” bw’ayogera Mukama,
    “lwe ndibonereza ebifaananyi bya bakatonda be, be yakola n’emikono,
era mu nsi ye yonna,
    abaliko ebisago balisinda.
53 (FD)Newaakubadde nga Babulooni atuuka ku bire
    era ne yeenyweza n’ebigo bye eby’amaanyi,
    ndimusindikira abazikiriza,”
    bw’ayogera Mukama.

54 (FE)“Eddoboozi ly’okukaaba liva mu Babulooni,
    eddoboozi ery’okuzikirira okunene
    okuva mu nsi y’Abakaludaaya.
55 (FF)Mukama alizikiriza Babulooni,
    alizikiza oluyoogaano lwakyo olunene.
Amayengo g’abalabe galijja ng’amazzi amangi;
    okuwuluguma kw’amaloboozi kuliwulirwa.
56 (FG)Omuzikiriza alirumba Babulooni;
    abalwanyi be baliwambibwa,
    n’emitego gyabwe girimenyebwa.
Kubanga Mukama Katonda asasula,
    alisasula mu bujjuvu.
57 (FH)Nditamiiza abakungu be n’abasajja be abajjudde amagezi,
    ne bagavana, ab’ebitongole awamu n’abalwanyi;
balyebaka emirembe gyonna era tebalizuukuka,”
    bw’ayogera Kabaka ayitibwa Mukama Katonda ow’Eggye.

58 (FI)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti,

“Bbugwe wa Babulooni omunene alisendebwa
    era n’emiryango gye emiwanvu gyokebwe;
abantu beetawanyiza bwerere nga bafuba,
    okutawaana kw’eggwanga kuliba nku za muliro.”

59 (FJ)Buno bwe bubaka Yeremiya bwe yawa omukungu Seraya mutabani wa Neriya, mutabani wa Maseya, bwe yagenda e Babulooni ne Zeddekiya kabaka wa Yuda, nga Zeddekiya afuga mu mwaka gwe ogwokuna. Seraya ye yali omu ku bakungu abakulu. 60 (FK)Yeremiya yali awandiise mu muzingo ebikangabwa byonna ebyali bigenda okutuuka ku Babulooni, byonna ebyali biwandiikiddwa ebyali bikwata ku Babulooni. 61 Yagamba Seraya nti, “Bw’otuuka mu Babulooni, laba ng’osoma mu ddoboozi ery’omwanguka ebigambo bino byonna. 62 (FL)Olwo ogambe nti, ‘Ayi Mukama, ogambye nti olizikiriza ekifo kino, nti tewali nsolo oba muntu alikibeeramu; kibeere matongo emirembe gyonna.’ 63 Bw’omalanga okusoma omuzingo guno gusibeeko ejjinja ogukanyuge mu mugga Fulaati. 64 (FM)Olyoke ogambe nti, ‘Bw’ati Babulooni bwalisaanawo aleme kubbulukuka olw’akabi ke ndimuleetako. N’abantu be balizikirira.’ ”

Ebigambo bya Yeremiya bikoma awo.

Okugwa kwa Yerusaalemi

52 (FN)Zeddekiya yali wa myaka amakumi abiri mu gumu egy’obukulu we yafuukira kabaka, n’afugira emyaka kkumi na gumu mu Yerusaalemi. Nnyina yayitibwanga Kamutali muwala wa Yeremiya ow’e Libuna. (FO)Zeddekiya n’akola eby’omuzizo mu maaso ga Mukama, nga Yekoyakimu bwe yali akoze. (FP)Abalabe ba Yerusaalemi ne Yuda ne babalumba kubanga Mukama yali abanyiigidde. Ku nkomerero n’abagobamu mu nsi. Ebyo byonna ne bituuka ku Yerusaalemi ne ku Yuda, Mukama n’okubagoba n’abagoba mu maaso ge, ne Zeddekiya n’ajeemera kabaka w’e Babulooni.

(FQ)Mu mwaka ogw’omwenda ogw’obufuzi bwa Zeddekiya, ku lunaku olw’ekkumi mu mwezi ogw’ekkumi, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni n’eggye lye lyonna, n’alumba Yerusaalemi, ekibuga ekyo n’akizingiza n’akizimbako ebifunvu okukyetooloola. Ekibuga ne bakizimbako ebifunvu okutuusa mu mwaka ogw’ekkumi n’ogumu ogw’obufuzi bwa kabaka Zeddekiya.

(FR)Ku lunaku olw’omwenda olw’omwezi ogwokuna enjala n’eba nnyingi nnyo mu kibuga nga tewaali kyakulya. Bbugwe w’ekibuga yamenyebwa Abakaludaaya. Eggye lyonna erya Yerusaalemi ne lidduka okuva mu kibuga kiro nga bayita mu mulyango oguli wakati w’ebisenge ebibiri ebiri okumpi n’ennimiro lwa kabaka, newaakubadde ng’Abakaludaaya baali beetoolodde ekibuga. Badduka ne bagenda mu Alaba. Eggye ly’Abakaludaaya ne ligoba kabaka Zeddekiya ne bamukwatira mu nsenyi ez’e Yeriko, Abaserikale be bonna ne bamuvaako ne basaasaana. (FS)N’akwatibwa.

Zeddekiya n’atwalibwa eri kabaka w’e Babulooni e Libuna mu nsi ey’e Kamasi; n’amusalira omusango ne gumusinga. 10 (FT)Awo kabaka w’e Babulooni n’atta batabani ba Zeddekiya nga kitaabwe alaba; n’atta n’abakungu bonna aba Yuda. 11 (FU)N’alyoka aggyamu Zeddekiya amaaso n’amusiba mu masamba ag’ebikomo n’amutwala e Babulooni, gye yamuteeka mu kkomera okutuusa lwe yafa.

12 (FV)Ku lunaku olw’ekkumi olw’omwezi ogwokutaano, mu mwaka ogw’ekkumi ogw’obufuzi bwa Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni, Nebuzaladaani omuduumizi w’eggye erikuuma kabaka, eyaweerezanga kabaka w’e Babulooni, yajja e Yerusaalemi. 13 (FW)Nebukadduneeza n’ayokya yeekaalu ya Mukama n’olubiri lwa kabaka, n’ennyumba zonna eza Yerusaalemi. Buli kizimbe kyonna eky’omugaso n’akyokya. 14 (FX)Eggye lya Babulooni lyonna eryali liduumirwa omuduumizi w’abakuumi bakabaka ne limenyera ddala ebisenge bya Yerusaalemi. 15 Nebuzaladaani omuduumizi w’abakuumi n’atwala abamu ku baavu ennyo n’abo abaasigala mu kibuga, awamu n’abaweesi n’abaali beewaddeyo, mu buwaŋŋanguse eri kabaka w’e Babulooni. 16 (FY)Naye Nebuzaladaani n’asigazaayo abamu ku baavu ennyo mu ggwanga okulabiriranga emizabbibu n’okulimanga.

17 (FZ)Abakaludaaya ne bamenya empagi ez’ebikomo, n’ebikondo ebyali biseetulwa, n’Ennyanja ey’ekikomo, ebyali mu nnyumba ya Mukama ne batwala ekikomo kyonna e Babulooni. 18 (GA)Ne batwala n’entamu, n’ebisena, n’ebisalako ebisirinza, n’ebibya, n’ebijiiko, n’ebintu byonna eby’ekikomo ebyakozesebwanga mu kuweereza mu Yeekaalu. 19 (GB)Omuduumizi w’abakuumi ba kabaka n’atwala ebensani n’ebibya by’obubaane, n’ebijiiko, n’ebikondo bye ttaala, n’ebibya, n’entamu ebikozesebwa mu kiweebwayo ekyokunywa, byonna ebyali byakolebwa mu zaabu ne ffeeza.

20 (GC)Ekikomo okuva ku mpagi ebbiri, n’Ennyanja, n’ennume ekkumi n’ebbiri ez’ebikomo wansi waayo, n’ebikondo kabaka Sulemaani bye yali akoledde yeekaalu ya Mukama, byali bizito nnyo ebitapimika. 21 (GD)Buli emu ku mpagi yali obuwanvu mita munaana ne desimoolo emu; n’obwetoolovu mita ttaano ne desimoolo nnya; n’omubiri gwayo gwali nga sentimita musanvu nga yamuwuluka. 22 (GE)Yaliko n’omutwe gw’ekikomo, n’omutwe gumu ng’obuwanvu bwayo nga mita bbiri ne desimoolo ssatu, omutwe nga guliko ebitimbe n’amakomamawanga enjuuyi zonna, byonna nga bya bikomo; empagi eyookubiri nayo yaliko ebifaanana ebyo n’amakomamawanga. 23 (GF)Mu buli mbiriizi za buli mpagi kwaliko amakomamawanga kyenda mu mukaaga era gonna awamu okwetooloola empagi gaali amakomamawanga kikumi.

24 (GG)Omuduumizi w’abakuumi n’atwala Seraaya kabona asinga obukulu ne Sefaniya kabona owookubiri n’abaggazi abasatu nga basibe. 25 Abo abaali bakyali mu kibuga, n’atwalako omukungu akulira eggye, n’abawi b’amagezi omusanvu. N’atwala n’omuwandiisi eyali omukungu omukulu avunaanyizibwa okuwandiika abayingira mu magye ne basajja be nkaaga abaasangibwa mu kibuga. 26 (GH)Nebuzaladaani omuduumizi n’abatwala bonna n’abaleeta eri kabaka w’e Babulooni e Libuna. 27 (GI)Kabaka n’abattira eyo e Libuna, mu Kamasi.

Bw’atyo Yuda n’awaŋŋangusibwa, okuva mu nsi ya boobwe.

28 (GJ)Buno bwe bungi bw’abantu Nebukadduneeza be yatwala mu buwaŋŋanguse:

mu mwaka ogw’omusanvu ogw’obufuzi bwe:

Abayudaaya enkumi ssatu mu amakumi abiri mu basatu;

29 mu mwaka ogw’omunaana ogwa Nebukadduneeza,

n’atwala lunaana mu asatu mu babiri okuva e Yerusaalemi;

30 mu mwaka gwe ogw’amakumi abiri mu esatu,

Abayudaaya lusanvu mu ana mu bataano be baatwalibwa Nebuzaladaani omuduumizi w’abakuumi wa kabaka.

Bonna awamu ne baba abantu enkumi nnya mu lukaaga.

Yekoyakini Asumululwa

31 Awo mu mwaka ogw’amakumi asatu mu omusanvu ogw’okusibibwa kwa Yekoyakini kabaka wa Yuda, mu mwaka Evirumerodaki lwe yafuuka kabaka w’e Babulooni, n’ata Yekoyakini kabaka wa Yuda, n’amuggya mu kkomera ku lunaku olw’amakumi abiri mu etaano olw’omwezi ogw’ekkumi n’ebiri. 32 N’ayogera naye n’ekisa n’amuwa entebe ey’ekitiibwa eya waggulu okusinga eza bakabaka abalala abaali naye e Babulooni. 33 (GK)Yekoyakini n’akyusa okuva mu ngoye ez’ekkomera era obulamu bwe obusembayo n’aliranga ku mmeeza ya kabaka. 34 (GL)Era kabaka w’e Babulooni yawanga Yekoyakini ensako eya buli lunaku, obulamu bwe bwonna okutuusa lwe yafa.

Yerusaalemi Kifuuse Matongo

(GM)Ekibuga ekyajjulanga abantu nga kyabuliddwa!

Ekyabanga eky’amaanyi mu mawanga,
    nga kifuuse nga nnamwandu!
Eyali kabaka omukazi ng’alina amasaza,
    afuuse omuddu omukazi.

(GN)Ekiro akaaba nnyo nnyini,
    n’amaziga ne gakulukuta ku matama ge.
Mu baganzi be bonna,
    talina n’omu amubeesabeesa.
Mikwano gye bonna bamuliddemu olukwe,
    bafuuse balabe be.

(GO)Yuda agenze mu buwaŋŋanguse
    oluvannyuma lw’okubonaabona n’okukozesebwa n’obukambwe ng’omuddu.
Kati abeera mu bannamawanga,
    talaba kifo kya kuwummuliramu.
Bonna abamunoonya bamusanga
    mu nnaku ye.

(GP)Enguudo za Sayuuni zikungubaga,
    kubanga tewali n’omu ajja ku mbaga zaakyo ezaalagibwa.
Emiryango gye gyonna girekeddwa awo,
    bakabona be, basinda;
bawala be abaweereza bali mu buyinike,
    naye yennyini ali mu nnaku.

(GQ)Abamuyigganya bafuuse bakama be;
    abalabe be beeyagala,
kubanga Mukama amuleeseeko ennaku,
    olw’ebibi bye ebingi.
Abaana be batwalibbwa mu buwaŋŋanguse,
    bawambiddwa omulabe.

(GR)Ekitiibwa kyonna ekyali ku muwala wa Sayuuni
    kimuweddeko,
abalangira be bafuuse ng’ennangaazi
    ezibuliddwa omuddo;
mu bunafu,
    badduse ababagoba.

(GS)Mu nnaku ez’okubonaabona kwe ng’asagaasagana,
    Yerusaalemi ajjukira ebintu eby’omuwendo byonna
    bye yalinanga mu nnaku ez’edda.
Abantu be bwe baagwa mu mikono gy’omulabe,
    tewaali n’omu amubeera;
abalabe be ne bamutunuulira
    ne bamusekerera olw’okugwa kwe.

(GT)Yerusaalemi yayonoona nnyo nnyini,
    bw’atyo n’afuuka atali mulongoofu.
Bonna abaamussangamu ekitiibwa bamunyooma,
    kubanga balabye bw’asigalidde awo;
ye yennyini asinda,
    era akwatibwa ensonyi.

(GU)Obutali bulongoofu bwe bwali mu birenge bye;
    teyassaayo mwoyo ku bulamu bwe obw’ebiseera ebijja.
Okugwa kwe kwali kwa kyewuunyo;
    tewaali n’omu amubeesabeesa.
“Ayi Mukama, tunuulira okubonaabona kwange,
    kubanga omulabe awangudde.”

10 (GV)Omulabe yagololera omukono
    ku bintu bya Yerusaalemi byonna eby’omuwendo;
yalaba amawanga amakaafiiri
    nga gayingira awatukuvu we,
beebo be wali ogaanye
    okuyingira mu kuŋŋaaniro lyo.

11 (GW)Abantu be bonna basinda
    nga bwe banoonya ekyokulya;
eby’obugagga byabwe babiwanyisaamu emmere,
    okusobola okuba abalamu.
“Laba, Ayi Mukama Katonda, onziseeko omwoyo
    kubanga nnyoomebwa.”

12 (GX)“Mmwe tekibakwatako, mmwe mwenna abayitawo?
    mwetegereze mulabe
obanga waliwo obuyinike obwenkana,
    obwantukako,
Mukama bwe yanteekako
    ku lunaku olw’obusungu bwe obungi.

13 (GY)“Yaweereza omuliro okuva waggulu,
    ne gukka mu magumba gange.
Yatega ebigere byange akatimba,
    n’anzizaayo emabega.
Yandeka mpuubadde,
    nga nzirise olunaku lwonna.

14 (GZ)“Ebibi byange binfuukidde ekikoligo;
    bisibiddwa ne binywezebwa omukono gwe.
Binzitoowerera mu bulago,
    era bimmazeemu amaanyi.
Mukama ampaddeyo mu mikono gy’abo
    be siyinza kugumiikiriza.

15 (HA)“Mukama anyoomye
    abalwanyi abazira bonna abaali nange;
akuŋŋaanyizza eggye okunwanyisa,
    okuzikiriza abavubuka bange.
Mukama alinnyiridde Omuwala Embeerera owa Yuda,
    ng’omuntu bw’asambirira ezabbibu mu lyato ng’asogola.

16 (HB)“Kyenva nkaaba,
    amaaso gange ne gajjula amaziga,
kubanga tewali n’omu andi kumpi okumbeesabeesa,
    ayinza okunzizaamu amaanyi.
Abaana bange banakuwavu
    kubanga omulabe awangudde.”

17 (HC)Sayuuni agolola emikono gye,
    naye tewali n’omu amudduukirira.
Mukama awadde ekiragiro ku Yakobo
    baliraanwa be babeere balabe be;
Yerusaalemi afuuse
    ekintu ekitali kirongoofu wakati mu bo.

18 (HD)Mukama mutuukirivu,
    newaakubadde nga najeemera ekiragiro kye.
Muwulirize mmwe amawanga gonna,
    mutunuulire okubonaabona kwange;
Abavubuka bange ne bawala bange
    batwalibbwa mu busibe.

19 (HE)“Nakoowoola bannange bannyambe,
    naye tebanfaako;
bakabona bange n’abakadde b’ekibuga kyange
    bazikiririra mu kibuga
nga banoonya ekyokulya
    baddemu amaanyi.

20 (HF)“Laba, Ayi Mukama Katonda bwe ndi omunakuwavu!
    Ndi mu kubonaabona,
n’omutima gwange teguteredde
    kubanga njeemye nnyo ekiyitiridde.
Ebweru ekitala kirindiridde okunsanyaawo,
    ne mu nnyumba mulimu kufa kwereere.

21 (HG)“Abantu bawulidde okusinda kwange,
    naye tewali n’omu ananyamba.
Abalabe bange bonna bawulidde okusinda kwange;
    basanyukidde ekyo ky’okoze.
Olunaku lwe walangirira,
    lubatuukeko, babeere nga nze.

22 (HH)“Obabonereze olw’obutali butuukirivu bwabwe bwonna,
    nga nze bwe wambonereza.
Okusinda kwange kungi
    n’omutima gwange guzirika.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.